Omusomesa yawandiikanga ku lubaawo olusiige n’obusa
ng’akozesa muwogo omukalu
OKIMANYI bulungi
nti tewali muzimu ogusobola okusomera awamu n’abantu ne batakimanya. Singa bwe kyali,
nange abayizi bandikitegedde nti ndi muzimu ne batandika okunneekengera. Naye olunaku
lwe nnasooka okulinnya ekigere kyange mu kibiina, nnali ng’eyali mu kirooto. Nnajugumira
nzenna ebyoka ne binneggunda n’ekifu ne kinzija ku maaso. Olunaku lwali lwa
Wanga ne neesogga ekibiina kya nnassale ey’omwami ayitibwa Katabaazi abeera ku
kyalo Nsanvu. Olw’okutabika essanyu n’okutya, eby’okumpaandiisa mu ssomero
ssaabimanya. Kye nzijukira kyali nti nnasanga bannange baatandika dda okukwazza
emisomo gyabwe. Kino kyali kitegeeza nti nnali mabega ku bye byali basomeseddwa.
Omusomesa
olwesogga ekibiina, abaana bonna ne bayimirira okumwaniriza mu bigambo bye ssaategeera
bulungi. Omusomesa ono lwali lusolobyo lwa musajja, nga yakuza n’ekirevu nga
eky’embuzi ennume. Omuggo nagwo gwali tegumuva mu ngalo. Olw’amala okulamusibwa
abayizi, yenna ng’alinga omuwendule, amaasso yagatuusiza ku nze. Ssaamanya oba nga
nnamulabikira bubi. Naye nnalabira awo ng’omusajja abwatuka n’omuliro mu maaso
nti; “Ggwe kano
akaakala omutwe! Do you hear me? What is
your name?”
Bye yabuuza
ssaamanya kye bitegeeza, bwentyo kwe kusigala ng’amatama ntengo. Awo bwe yalaba
nga simuddamu, n’alya nate mu ttama ng’ambuuza nti; “Simanyi tompulira? Do you hear me? Where do you live?”
Nze
nneeyongera okutunula empwangali ng’embwa esudde ekide. Bwe yalaba ng’ali mu
kufuuyira ndiga mulere, kwe kumpitayo
n’annyimiriza mu maaso g’abayizi. Teyalwa nnampakya oluyi luli nvamumba ne ntalantuka
nga bwe mpoloma n’ennywegera ettaka. Y’ansitulawo bukubirire nga nzenna
mpaawaala amatu, n’ansakata embooko bbiri nnambirira ku butuuliro, wamma ggwe
ne nkaaba olukeremette.
Waliwo
omwana omuwala eyaleekaanira mu banne nti; “Master!
Oy’omwana akyali mupya, era bazadde be bamuleese leero ku makya!”
Kino
omusomesa yakitwala ng’okumuyisaamu amaaso. Bw’atyo kwe kubwatuka nate nti;
“Kigwengeregweregere
ggwe! Okubeera omupya kitegeeza kumera magimbi? Nandiki lwaki teweeyogerako? Ye
kawala ggwe, ye ggwe amwogerera? Kale yitawo mangu nkubemu ggwe! Do you hear me?”
Teyalwa
n’omuwala n’amuggyayo gy’atudde okukakkana ng’amusabudde embooko ttaano
nnambirira. Omuwala yaddayo okutuula nga yenna amaziga gamuyitamu. Oluvannyuma
nnakivumbula nti omuwala yali ayitibwa Robina, nga naye aviira ku kyalo kimu
nange e Salye.
Ng’amaze
okutubonereza ffembi, omusomesa yafungiza ku mikono gy’essaati ye, n’atandika
okuwandiika ku lubaawo. Yakulukuunya mu lukono ebintu bye nnali ssirabanga nako.
Nze nnali nkyesimbye bwa ntoogo mu maaso g’ekibiina nga n’amaziga gakyampitamu.
Omusomesa olwamala okuwandiika ku lubaawo, n’akyukirawo nga bw’ambuuza nti; “What is the date today?”
Kaabula
kata ngwewo ennume y’ekigwo bwe nnawulira nga nate ajoboja ebigambo mu lulimi
lwe ssitegeera. Ekyavaamu kwe kunjokya ekibuuzo ekirala nti; “Ye ggwe kano , Do you hear me? How old are you? Stupid!”
Nange olw’alaba
nga bikyankalidde ku mumwa, kwe kumuddamu nti; “Musomesa, nkusaba onsonyiwe
gunsinze. Naye ssitegeera lulimi lw’oyogera.”
Ku luno nneesombera
olumbe lw’ekirago. Omusomesa nga yenna aliko n’obumansuka yansimbuliza oluyi mu
matu nga bw’atulika nti; “Kaabulahhane
obutamanya lulimi! Here we speak English
and no vernacular Luganda! Do you hear me? Kalabe kakanula obuuso
obukalinga obutuli bw’eddiba!”
Olwali
okwogera ebyo, ekibiina kyonna n’akiwa ekibbo ky’enseko. Abaana baasekera
waggulu n’obuluulu ne bagobereza. Awo ye kwe kundagira nzireyo ntuule nga bw’ahhamba nti; “Ate enkya todda
wano nga toyambadde uniform ! Ffe
wano tetwambala kkunkumula! Oyinza okulowooza nti wano wazze mu katale! Do you hear me?”
Bwe nnatuula
mu kafo kange, ne gujabagira buto. Omusomesa yatandika okubuuza buli muyizi
amulage obuti bwe. Yatambulatambula mu nkuubo z’ekibiina nga bw’agamba nti; “Kati
njagala buli omu ondage obuti bw’onoobazisa. Do you hear me? Jjo mwenna mwasizza kimu nga nkuyege nti munaaleeta
obuti leero. Kati buli omu tteeka obuti bwo ku mmeeza. Do you hear me?”
Nnatuuyana
entuuyo ne zinzigwamu bwe nnalaba ng’omusomesa atambulatambula mu nkuubo
z’ekibiina kyonna. Teyalwa nange n’antuukako. Awo nga nzenna omutima gunkubira
mu mutwe, nnatandikirawo okujugumira. Omusomesa kwe kunkuba akaggo mu mugongo
nga bw’ayomba nti; “Ate ggwe bw’otanneegendereze nja kukusalako amatu ago agaakukukunalako
nga ag’akamyu! Do you hear me? Tosobola
kuyiiya ne weeyazika ku buti bwa banno? Kati onoobazisa ki?”
Bwe yamala
okuta akaka, y’addayo mu maaso g’ekibiina okuwandiika ku lubaawo.Ekibiina kyali
kifunda ddala. Twalimu abaana nga kkumi na bataano ng’abalenzi ffe tusinga
obungi. Omusomesa yawandiikanga ku lubaawo olusiige n’obusa ng’akozesa mwogo
omukalu. Bwe yamala n’akyukirawo nga bw’atubuuza nti; “Musanvu ttoolako bbiri. I mean seven minus two equals what? Do you
hear me?”
Awo Robina
n’awanika omukono n’ayimirira, era ekibuuzo n’akitta nti; “Five!”
Omusomesa
n’addamu nti; “Very good! Bright girl. Mumukubire
mu ngalo. Do you hear me?”
Awo abaana bonna ne bakuba mu ngalo.Olw’okuba nze nnali
nkyamegeredde, nneerabira n’okukuba mu ngalo. Omusomesa yanaanuuka eri
n’ansonga akaggo mu mmunye nga bw’ambuuza nti; “You stupid boy, do you hear me? Two minus one equals what?”
Teyalwa
n’akyuka n’abiwandiika ku lubaawo. Awo omulenzi ayitibwa Sserunkuuma gwe nnali
ntudde okumpi n’ankuba akaama nti; “Ddamu nti One.”
Nange
ssaalinda musomesa kukyuka, ne njogererawo mu ddoboozi ery’omwanguka nti;
“Wano!
Wano…!”
Ku luno
wamma ggwe n’etyabira akalimu obuwuka. Omusomesa teyalwa n’angoberawo mu
kibiina, tali ku baana basirusiru. Y’ankwata ku matu n’anfulumya wabweru nga bw’ahhamba nti; “Sigeza ne nziramu
okukulaba ng’oyingidde mu kibiina kyange nate! Do you hear me?”
Nange olw’anfulumya,
nnabanga omusibe gwe batadde okuva mu nkomyo. Era ssaatawaana kulinda
binnaddirira, ne njokya omusubi. Nnaduka gya mbwa nga bwe ntunulatunula emabega
sikulwanga wabaawo abampondera. Nnawulira omusomesa ng’andagiiriza ebigambo
ebimpi n’ebiwanvu, naye nze nga nsabirira kimu kutuuka mangu waka.
Bwe nnatuuka
eka, Jajja y’ambuuza lwaki nnali nkomyewo ng’obudde bukyali.Bwe nnalumuviira ku
ntono, y’ambuuza erinnya ly’omusomesa oyo ow’olugono abadde andiisa akakanja.
Nze namuddamu nti mpulidde abaana bamuyita
lya“Do you hear me”. Kino Jajja
kyamunyiiza nnyo, bw’atyo n’alayira wakiri okufiira mu kitooke kya gonja naye
nga tanzizizzaayo ku ssomero eryo okutuusa ng’omusomesa oyo agobeddwa. Wamma
ggwe nange nnasekera mu kikonde ne hhamba nti
kakubye.
Awaka nate
nnakulungulawo kumpi omwezi mulamba nga nzannya ne Mafaabi embirigo n’enkuyo.
Mwannyina wa Mafaabi gwe bayita Nanduudu naye baamuleeta awaka, bwe tutyo ne tuwera
abato basatu. Naye Nanduudu yali mukulu ng’atemera mu myaka nga kkumi n’ena. Bw’atyo
y’eyali atulagira kumpi buli mulimu awaka nga tuyamba ku Jajja. Yali muwala
muwanvu nga mweru, ng’alina n’akazigo mu mannyo. Abavubuka b’oku Salye nabo
tebaalwa ne batandika okumuswama n’okumusuuliza enkessi. Omu kubo eyali omusaale
yali ayitibwa Kiduudu, mutabani wa nnakyeyombekedde Namboozo. Kiduudu yalwana
bwezizingirire okulaba nga yewangulira Nanduudu. Teyalwa n’abiyingizaamu naffe
abato. Yasooka kutuguliranga kabalagala n’ebikajjo, n’oluvannyuma n’atuwanga
n’essente enkalu okutwalira Nanduudu. Awo nze ne Mafaabi ne tugufuula mugano.
Nanduudu ne bwe yabeeranga talina ky’atutumye wa Kiduudu, nga ffe tugenda ne tumusaba
essente n’ebyokulya ne tubyezza, wamma ggwe ne tuddako ne mu kati ne twewogoma.
Naye bajajja
abaalugera nti ssosolye bw’atafa atuuka ku lyengedde, wamma baalutuusa. Anti
lwali lumu, Kiduudu n’alaba nga Nanduudu amuliiridde ebintu ebiwera,
n’ateekateeka okubimusasuza. Yagera abakulu bagenze okukongojja omumbejja
Nnamaalwa, n’agoba bumale awaka. Kazi yali yateesezza dda ne Nanduudu akafo mwe
banaayeseza empiki z’omukwano nga ffe tetutegedde. Naye bwe twagwa mu lukwe,
wamma ne tuzina gunteese. Essaawa ziba ziwera kkumi na bbiri ez’akawungeezi, ne
tulengera Kiduudu ne Nanduudu nga beevumba enju ya Jajja. Naffe twasitukiramu
ng’eyatega ogw’ekyayi, enju ne tugiyingira bukubirire nga tebanneggaliramu.
Mwana mulenzi ne munne bwe baatulaba mu nju, tebaatyanamu ne beeyokya obuliri
bwa Jajja nga ffembi tubeegese amaaso. Mafaabi tawena naye obuliriri
n’abwesogga. Nange bwe nnalaba nga nnaatera okuviiramu awo ng’ogusima ebbumba,
nange obuliri ne mbulinnya. Olwo netuwera abantu bana balambirira ku kitanda
kimu.
Kiduudu
teyabugumya na ku mbooge n’atandiika ogwamuleese. Wamma ggwe ekitanda ky’agwa
ku kyokya. Anti kaabula kata kimenyeke olw’obuzito n’okusuukundibwa. Kabula
kata nze enseko zinzite nga ndaba Nanduudu akaaba naye nga takulukusa maziga.
Nnalaba n’ebyeneena ebirala bingi ebyannema amalojja, ng’abaagalana
bakoleezezza omuliro. Awo nze kwe kulaba nga Kiduudu akayukira Mafaabi nti; “Ggwe
kano vvaawo,
tokwatayo!”
Tuba
tukyali mu kayisanyo nga tukyanyumirwa akabaga, ne tuwulira enswagiro wabweru.
Nze nnasooka okufuluma. Bwe nnalaba embuzi zaffe wabweru nga zirya ebiwata, ne nkimanya
nti waliwo omuntu omukulu aziyimbudde. Ssaalwa ne ntemya ku bannange nti obudde
bwali buzze ku bunnaabwo. Kiduudu olw’awulira bino, n’abuuka ku kitanda ne yeekukuma
wansi waakyo n’abunira. Mafaabi olw’afuluma n’alengera Jajja ng’akyali walako
ajja, n’addayo bunnambiro okutemya ku Kiduudu abombe. Kiduudu yafubutuka mu nju
ng’akamyanso, n’atebenta emisinde nga ne gy’alaga talengerayo. Ebyembi nga
binajja, ekkubo lye yakwata lyali lye nnyini Jajja naye mwe yali ajjira. Yenna
ng’alinga akaweewo, kaabula kata atomere Jajja eyali yeetisse enku. Jajja yeekanga
ekimpemempeme ky’omusajja n’enku n’azikuba ku ddimwa. Bwe yakyuka okulaba ani
amuyiseeko ng’ekimyanso, nga nfuufu yokka gy’alaba, omumpembe abombye. Wamma
ggwe ky’oyagala kikuseeza.
Jajja olw’atuuka
awaka, ne yeetala n’akirako Nnamutale omunyageko ente. Yatandiika okutuyita buli
omu, naye nga ffenna twekukumye dda ebuziizi. Mafaabi yali yeewanise ku kibanyi
waggulu, Nanduudu nga yekwese mu kinaabiro, ate nga nze ndi mabega wa luggi mu
ffumbiro.
Jajja
olwali okusiba embuzi ku nkondo, n’addamu buto okutukoowoola kinnoomu.
Yasookera ku Nanduudu nga tawuuna. Bwe yazzaako nze, omukka ne mmira. Olw’ayita
Mafaabi, yagenda okuwulira ng’ayitabira ku kibanyi waggulu. Jajja olw’ayingira
mu ffumbiro, yasanga Mafaabi yeesuubira ku kibanyi ng’agezaako okukka. Amangu
ago yamubuulizaawo ensonga lwaki yali yekwese. Olw’alaba nga Mafaabi atunula
mpwangali, n’amubuuza naffe gye twali. Ebibuuzo byonna Mafaabi yabiddangamu mu
ngeri ya matankane. Jajja teyalwa n’amuwujja oluyi nga bw’ayomba nti; “Bwana
mmwe lumu mulinsuula mu matigga. Omubbi afubutuse eno mu nju naye ne wabulawo
n’omu ku mmwe akuba enduulu? Mubadde wa?”
Mafaabi
naye tawena, yamuyita mu magulu n’atonta. Jajja olw’alaba bino, n’atandika
okusaggula mu buli kafo akeekusifu. Nze eyali yekwese emabega w’oluggi,
amaviivi gaatandika okunjugumira. Ssaamanya Nanduudu gye yaggya ekidomola. Anti
ye yakomawo nga yeetisse amazzi n’ategeeza Jajja mbu yali ava mugga. Ssaalinda
kumubuuza bibuuzo ebinkwatako, nange ne mbuukayo gye nnali nnemedde. Era kwe kumukakasa
nga bwe mbadde hhenze
okuyimbula embuzi ne nsanga ng’amaze okuziyimbula. Bwe yandagira okwoza ebintu,
ne nzisa ekikkoowe. Ye Mafaabi yakomawo mu kimpowooze ng’omukutto gw’amenvu,
naye n’aneegattako okwoza ebintu.
Enkeera bwe
twetunulaganako nga buli omu asekera mu matabi ga ngalo. Ye Nanduudu yaswala
n’aswaluka mu maaso gaffe, naye ne tukuuma ekyama kyaffe obutakyasanguza mu
maaso g’omuntu yenna omukulu.
Ekyalo
Salye kyali kitebenkedde okumala akabanga. Naye ekiseera ky’atuuka ne tutandika okuwulira envuuvuumo z’olutalo wakati wa
gavumenti n’abayeekera. Ffe ehhambo zino
twaziziimuula era ne tugenda mu maaso n’okukakkalabya emirimu gyaffe egya
bulijjo. Naye lumu twawulira nti abayeekera baali balumbye ekyalo Luwombo ne bateekera
ennyumba z’abantu nabbambula w’omuliro ne zisirikka. Kigambibwa mbu bakawenkene
bano baali balondamu ennyumba za bannamawanga naddala Abadaama ne bazisaanyaawo.
Naye ffe bino twabiyita bya njwanjwa era ne tugenda mu maaso n’okukwazza
egyaffe.
Ekiro kimu
twali nga twankamalira amatu gaffe ku ttaka, abatujju abayitibwa Abanyanya ne bazinda
ekyalo Salye. Jajja ne Toyota
baali bankamala okwebikka amazzi, ne zireeta abalabbayi nga bambalidde ku
migongo ng’enswa. Baasooka kukonkona nga bwe baboggola nti; “Ffunguwa mulango!”
Jajja yali
agenda okuggulawo nga bwe yeekaaliisa, naye Toyota n’amukuba ku mukono. Abampembe olw’alaba
nga twefudde bannampuliraziri, ne batandika okusamba oluggi nga bwe bawera enkolokooto
nti baali bagenda okutusala obulere singa batusanga tukyamoga. Jajja olw’alaba
nga talina bw’anaabitebya, ne yeesikambula ku Toyota eyali amukugira, n’agenda okuggulawo.
Olwali okuggya eminyolo ku luggi, agasajja galusibira mu bbwa mukaaga ne geesogga
enju nga gaweekedde emigemera wala. Jajja gaamuwamba emikono ne gidda gye gitawemera
ntungo era ne gamusiba ku nkondo y’embuzi. Awo essajja eryali lisinga gonna
obuwagguufu, ne lyevumba ekisenge. Ly’asanga Toyota yayonoonye dda mu mpale ng’asaabye
obubi n’omusulo olw’entengero. Essajja ly’amubajja oluyi n’atalantuka
okukakkana ng’agudde kya bugazi ku ddimwa. Awo essajja eryali ly’esibye
akakookolo ne libwatuka nti; “Toowa
ppeesa! Mutubuulire mangu ssente gye ziri nga tetunnabakuba byasi!”
Jajja
yeewozaako nga bwe tutalina wadde ekuba ennyonyi. Naye essajja likaddugala bwe
lyamusongamu omudumu gw’emmundu n’abunira.
Nze nnali
nneebase wansi ku kiwempe nga nneebisse akadeeya k’emmwanyi omwali ebituli, era
ng’omwo mwe mbazigirira. Essajja erimu bwe ly’atunula wansi ne liraba ekintu
ekyebisse ekkutiya, ne limanya nti muntu. Amangu ago ne limpereekereza ensambaggere
mu lubuto ne neenyoola. Teryalwa ne linsitulawo wansi ne limpujja oluyi mu
maaso n’amatu ne gampaawaala. Jajja olw’alaba nga ne kanzungu ankutte ntagala,
ne yeekalakaasiza ku nkondo nga bw’agamba nti; “Bannange wakiri muttemu nze,
naye temunzitira muzzukulu!”
Awo essajja
eddala eryalina amannyo amasongovu nga ag’emizzi ey’omu nsiko, ne litulisa
essasi mu bbanga, wamma ffena emmeeme ne zitutyemuka. Kaabula kata ndowooze nti
Jajja ekyasi kimulidde. Amangu ago ga kalibutemu ne gasaasaanira ennyumba yonna
nga ganoonya ssente na buli kimu kye gaalabanga ekirungi. Obusente bwa Jajja
bwe yali yakukulira mu nsawo z’ebijanjaalo n’emitwetwe w’obuliri bwe, tebwalutonda.
Ensawo z’ebijanjaalo ebbiri nazo tezaalutonda. Agasajja olw’alala nga tewakyali
kyakutwala, ne gatulagira ffenna okwevuunika ku ttaka nga tuzibirizza amaaso.
Olw’alaba nga tetwenyeenya ne gafuluma
kinnalimu okweyongerayo. Naye ffe twasigala twevuunise mavuumira ku
ttaka, kumpi kumala essaawa nnamba nga
tulowooza nti gakyala kimpadde gaali gakyali mu nju.
Nga
tukyekukumye ku ttale mu matumbi budde ago, twawulira ng’ekiri ku muliraano ewa
Wambazu kisa kinegula. Amasasi gaanyooka n’agamu ne gagwa okumpi ne wetwali
twekukumye. Enduulu n’ebiwoobe by’asaanikira ekyalo kyonna. Olwo emiranga
n’amaziga ne bibuutikira buli kanyomero ka Salye. Lugaba naye yalwirawo ddala
obudde okubuggyako eddiba. Embwa zaaboggola kumpi mu buli maka ng’oyinza
okulowooza nti ziri mu kumeggana n’abatujju. N’oluvannyuma z’atandiika okukuba
ebiwoobe n’okuwoowoola ng’ezaali zikungubagira abaali bagenze ennyindo gye zirembekera
mukoka. Emmambya ng’emaze okusala, tw’asojjolimba mpola nga bwe twekengera
buli kintu okutuusa bwe twevumba enju
nate. Olw’okuba nnali ssikombye ku mpeke ya tulo, olw’adda mu nju, ne mbooge teyabuguma
nga ndi mu matta nsejjere.
Bwe nnazuukuka,
nnasanga abatuuze abawerako nga bakuuhhaanidde
wabweru wansi w’omufene. Buli omu yali yeekokkola nga bw’alojja agasajja ga
muntunsolo agaali gatuzinzeeko ekiro ekyayise. Abatuuze babiri zaali z’embuyaga
ezikunta. Abalala munaana baali bapookyeza ku ndiri nga basigaddeko kikuba
mukono. Ababiri abaali balusuddemu akaba, mwe mwali muzeeyi Ssessereeda
mulirwana wa Wagi, n’omusajja omulala ataategeerekeka bulungi. Ky’ateeberezebwa
nti ono alabika yali omu ku galusibira mu bbwa agaali gatulese nga tufumbya
miyagi.
Tuba
tukyali ku gwa mbuzi kuyita mu malagala, at’endiga n’erinnya enju. Anti awo mu
budde obwa kalasamayanzi embeera yalinnya enkandaggo. Abantu abaaali bataamye
obugo baateekera ennyumba za bannaabwe nnakibengeyi w’omuliro, zonna ne zifuuka
muyonga. Mbu buli mutuuze ow’eggwanga lya Badaama na buli omu eyalina akakwate
ku musajja ayitibwa Obote, baabimusibira ku nnyindo. Ekyalo kyonna ky’awunya
evvumbe, olwo ffe abataali bakansangwawo mu Buganda ne tutandiika okutuula
obufoofofo. Omu ku mikwano gyaffe enfiira bulago eyayitibwanga Okecho yagezaako
okwekyusa erinnya ne yeeyita Muteesasira. Abaali bookya amayumba olw’atuuka
ewuwe, n’atandiika okubuubuuka ng’omwokyeko omuliro nga bw’alajana nti; “Bannange
ggwe teguttako nze! Nze siri Mudaama! Nze ndi Maganda era mannya yange ye
Muteesasira! Ne makyala yange yiiyo nayo Maganda!”
Omu ku
basajja eyali akutte akadomola k’amafuta n’ekibiriiti kwe kubuuza Okecho nti;
“Jjaame Muteesasira, wedira ki?”
Ko Okecho
nti; “Nze yeddira mbuzi.”
Bwe baamubuuza
akabbiro, Okecho yaddamu nti; “Nze teganabbako kintu ya muntu yenna. Era nze
teguliiko mubbi!”
Abasajja
abaali bataamye ng’enjuki, olw’awulira okulaajana kwa Okecho, enseko ne zibula
okubatta. Era olw’essanyu eringi, enju ye ne bagitaliza, bw’atyo Okecho n’awona
okusindiikirizibwa ng’ekyo ku ttale. N’okuva olwo amaka ge ne bagakazaako lya
Muteesasira. N’abatuuze olw’alaba ng’erinnya libakaluubirira okumalayo, ne
baliyimpaya okukakkana nga Okecho bamuyita Muteesa. Ne guno gujwa amaka g’eyali
Okecho bagayita ga Muteesa.
Ennaku
ezaddako twasulanga ku nsiko, anti ssekawuka kaali kakulumye. Era bwe bwawungeeranga
nga tuyita mu byangu okuteekateeka eby’okulya n’okwebikka tutere tweyune
ettale. Olw’okutya okutulugunyizibwa, ne ku nsiko twasulanga tukukunadde nga
lumonde mu kikata nga tuli ku bunkenke tetumanyi kabasa katwolekedde. Lumu twali
twekwese mu bisagazi ekiro, nga n’abaana abamu twebase, ne tugwamu ekikangabwa
ekyatubunya emiwabo. Anti olw’okuba Jajja ne Toyota endeku y’omwenge yali tebava mitwetwe,
ekiro ekyo baasula bagwekamirira mbu bakendeeze ku birowoozo. N’ekyalinga
kitusuza wakati mu bisagazi, twalinga twagala okuwulira enswagiro z’abatujju
amangu tutere tubeetegule. Naye Jajja ku luno amagengere gaamukwata mangu
okukakkana ng’ali mu kufuluuta. Naffe abalala olw’alaba nga mukulu waffe
yeebase, ne tugamba nti nnyonyi nkulu y’eyigiriza nnyonyi nto okubuuka. Tetwalwa
naffe ne tukuba amatu wansi. Naye ffenna nga tubulizzaako wakati mu tulo, Jajja
yawamatuka n’afubututuka emisinde wakati mu bisgazi nga bw’aluma mu kibatu nti;
“Tufa! Bannange tufa mutuyambe…! Tufa mutuyambe…! Tufaa…”
Naffe olw’awulira
akagugumuko nga Jajja bamutwala entatinda, ne tumanya nti embwa yali eridde
emmwanyi. Buli omu yakwata lirye wamma ggwe ne tugenda n’ekisubi ku liiso nga
tubuuka bibanda. Nze nnabuuka mu bbanga ne hhenda nga
ttena ne mpita mu bisagazi ebyali binkalabula okukamala, okukakkana
ng’embowabowa zimmezze kya bugazi. Bwe nnanywegera ettaka, ssaasitukawo
okutuusa bwe nnawulira ng’empitambi ewunya. Okugenda okusitukawo nga mu bubi
mwe nnyini mwe nnakubye ffolooma y’omutwe gwange. Waayita akabanga katono ddala
ne mpulira nga Jajja atuyita amannya tuddeyo mu kafo mwe tubadde twekukumye.
Naffe kinnoomu ebisagazzi twabisaggula tudda gye tumuwulira. Bwe twatuuka
w’ali, n’atubuulira mbu abadde mu kirooto. Mbu yali aloose ng’agasajja
gatugudde mu buwuufu gaagala okutukavvula obunyama. Ffenna twalwawo
okukikkiriza nti abadde aloota buloosi. Twagiranga ne tulowooza nti agasajja
gaali gaatwebunguludde dda nga gawulira ne bye twali twewuunaganya. Era tw’asula
tutemya nga nkwale okutuusa obudde okukya.
Ku maliiri
enkoko twagikwata mumwa ne tuddayo eka. Ku luno Jajja yakeera mu nnimiro atere
atunoonyeze ku k’e Wamala. Ye Toyota
yasigala mu ffumbiro ng’afumba kyayi tutere tubugumye ku mbuto. Nze nnali
nnaganzise dda ssekalootera wansi ntere nneesasuze otulo twange twe nnali nsubiddwa
ekiro ekyayise. Naye mba nnankakuba amatu wansi, ne tuwulira emmundu nga ziseka
buteddiza. Toyota
olw’awulira omusinde gw’emmundu, n’afubutuka mu ffumbiro nga yenna amansuka ng’akaweewo,
ne yeeyokya olusuku lw’amatooke nkugambye n’atyekuula mizibu. Kaabula kata
essasi limuyunje butooke, era yawonera watono nnyo awaalema ekkere okubuuka.
Anti essassi lyatonnyera ddala ssempala we yali yankasimbula ekigere ne lisimawo
n’ekinnya. Nange olw’alaba nga munnange bamututte obugere tebulinnya , ne mmuwondera
nga bwe mmukoowoola nti; “Jajja tondeka …!”
Ebintu bino
ebyagwawo byandeka ntunula sseddoolo ng’omukadde ayogereza. Kigambibwa mbu
abayeekera ba Museveni be baali bakooza abantu akagiri. Abalala nga bagamba mbu
bamuntu nsolo ba kawenkene Obote be baali batusuza ku tebuukye. N’abandi nga
banyumya mbu luno lwali lutalo wakati w’ Abaganda ne Bannamawanga abaali beewahhamya mu Buganda . Naye abasinga obungi bino
baabisambajja mbu temuliimu nsa wadde akannigguusa.
Obwegugungo
bweyongerera ddala nga buli muntu atambula agaludde nga nsanafu, sikulwanga
agwa mu batemu ne bamutta nga teyeerwanyeko. Bangi baawanuuzanga mbu kawenkene
Obote ne basajja be bakanywamusaayi baali beefunyiridde ku g’w’okulwanyisa
omulwanyi nnamige ayitibwa Museveni. Mbu era Museveni ono yali musajja wa ngeri
nga ssiiti. Anti mbu yali atera ne yeefuula n’afaanana ensolo okugeza nga kkapa
sinakindi ebiwojjolo ebya kyenvu. Kale buli eyalengeranga ku kkapa oba
ekiwojjolo ekya kyenvu, nga tabyesembereza, sikulwanga agwa ku Museveni. Bino
by’alandira ddala ne bituuka ne ku mboozi ezikwata ku mukazi nnaluwali ayitibwa
Lakwena. Mbu nnabyewanga ono y’eyali aduumira ekibinja ky’abayeekera abasajja nabo
abaali basuza Museveni nga teyeebase. Amawulire gaasaasaanira ekitundu kyonna
mbu Lakwena yalina ebbeere limu ku kifuba kye. Ate mbu naye yali amanyi
okwefuula ekiwojjolo n’alyoka akekeza ennyago n’abasajja ne bamuggyirako
enkoofiira. Naye ekiseera ky’atuuka ensi n’etebenkera, era abantu ne badda buto
ku mirimu gyabwe ne bakakkalabya.
Ebifa ku
Nanduudu ne Mafaabi ssaddayo kubimanya. Najjukira kimu nti mu biseera by’entalo,
maama waabwe yabatwala n’abakukulira eyo mu bitundu by’e Kasubi. Anti mbu bbaawe
Kagode bwe baali batakyalinnya mu kimu, yali yeeweredde okuzzaayo abaana be e
Bugisu basomere eyo. Naye waaliwo muto munnange mutabani wa mwannyina wa Jajja
eyajja okuva e Mbale ne tubeeranga wamu naye. Ono yali ayitibwa Mumbya
ng’asibuka e Bumbooyi mu Bugisu gye bazaala Jajja. Mumbya nnali mujjukirako
kimu nti y’eyali omusaale lumu bwe twalwanira olusaniya lw’omuceere, mu lumbe
lwa Jajja Namukuuta azaala Jajja Kayinza
e Bumbooyi. Anti abato twali tuteekeddwa okutuulira awamu batuleetere olusaniya
lw’emmere yaffe. Baatufunira n’omukuumi eyakwata akaggo n’atutiisatiisa
obutakola ffujjo. Bw’atyo omukuumi yalonda Mumbya eyali atusingako ekiwago,
agende atuleetere emmere yaffe. Mumbya bwe yaweebwa olusaniya lw’omuceere,
omwami teyalutuusa we twali tutudde. Yayimirira ebbali mu mumwanyi, n’alyoka
atandika okuvaabira omuceere gwaffe ng’eyasimattuka Kkunsa. Olwo naffe olw’alaba
nga munaffe atuliddemu olukwe, ne tugugumuka ffenna ne tumuyiikira, era
okukakkana ng’olusaniya tulumenyeemenye, omuceere ne gusaasaanira oluggya
lwonna. Omukuumi y’eyatugumbulula n’obuswanyu naye ng’abamu twadduka tetukombye
wadde ku mpeke y’omuceere. Naye ebyo by’aliwo mu biseera bya mabega ddala.
Eby’embi Mumbya bwe yajja e Buganda ,
yakulungulayo ebbanga ttono ddala ne bamuzzaayo e Bugisu okukakkalabya emisomo
gye.
Bwe nnalaba
nga sikyalina muto munnange gwe nzannyanga naye, nnatandika okuliisa muzeeyi William akakanja. Nnageranga ayengezezza
amenvu ge, ne ngasoobereranga olw’eggulo ne ngabwebwena, wamma ng’enkima edda
ku bbali. Muzeeyi olw’alaba ng’amenvu ge gabulawo buli olukedde, ne yeewerera
okugalungamu emmimbiri. Nange olw’akigwamu nti luwedde ku mpagala ono yali ayinza
okunsuula ku migandu, amenvu ge ne ngeenenya. Ekyaddirira kwe kumukyokoozanga
n’okumuwamatulanga mu tulo nga yebase mu kiyumba kye ki baamututte bukya.
Muzeeyi William olw’alaba nga
nneyongedde okumera obwebindu, n’ansalira ag’enkolwa. Anti lumu yeekukuma
emabega w’oluggi n’ekibbo ky’evvu mu ngalo. Nange olw’anaawuuka eri okujja
mmusisimule mu tulo, nnalabira awo ng’omumpembe anfukumula ekibbo ky’evvu mu
mutwe kyonna ne kinzigwerako. Bwe nnalaba nga lukangabaana ampise ku litalaba,
ssaalonzalonza ne mmyansa okwenazaako evvu nga Jajja Kayinza tannabitegeerako.
Bwentyo okuva ku olwo eby’okukyonyesanga muzeeyi William ne mbimma amazzi.
Jajja
Kayinza bwe yalaba nga nfuukidde ddala kiwagi awaka, n’anzizaayo ku ssomero mbu
lye liba lingolola ettumba. Nange bwe nnaddayo ku ssomero lya Katabaazi e
Nsanvu, obwa mawale nnabuzza ku bbali, era emisomo gyange ne ngikwata kannabwala.
Ku mulundi guno nnasanga “Do you hear me”
nga baamufuumuula mu ssomero. Mwami Katabaazi mwene yeeyatusomesanga. Era
buli kye yansomesa nna kikwatanga bukusu. Ebibuuzo bya nnasale nabyo nnabiwuuta
buva, era okukakkana ku nkomerero ya ttaamu bannange bonna nga nze abanyweddemu
akendo. Wabula ekintu kimu ekitansanyusa, be basomesa abanzikakkanako
ekiyiifuyiifu ne bantundulamu envunza ezaali zaagumba mu bigere ne njala
z’emikono. Eky’okuzitundulamu tekyandinnumye nnyo, naye okuteeka mu biwundu
kamulali n’ambalagala, kyannuma nnyo. Nnaswala mu maaso ga bayizi bannange,
naye ne nnyiigira nnyo Robina eyaleeta kamulali gwe bansiiga mu mabwa. Wabula
ye Sserunkuuma mutabani wa byomere Bwabye e Nsanvu, yahhumya ng’ambudaabuda nti
okubonaabona si kufa.
Emisomo gya
nnasale bwe nnagikuba oluku mu mutwe, Jajja y’antwala mu ssomero eddala ku
Eklezia y’ Abakatoliki e Salye ntadiike okusoma ekibiina ekisooka. Abasomesa b’ampa
ebibuuzo ebisookerwako okungezesa obanga ddala nnali nsaanidde eddaala eryo.
Omusomesa gwe bayita Ndikola yambuuza nti; “What
is your name?
Ko nze
nti;“My name is Mukwasi.”
N’ambuuza nti; “Mukwasi where do you live?”
Nneemuddamu
nti; “I live at Salye.”
Awo Ndikola
kwe kubikkula ebitabo bye n’atandika okuwandiika ebintu bye ssaamanya.
Ekyavaamu kwe kusitula amaaso ge n’agantunuuliza nga bw’ambuuza nti; “Mukwasi, how old are you?”
Ekibuuzo
kino kyampitirirako obuzito. Nnatuuyana ennyindo, ne ntakula ne mu mutwe nga
nnoonya eky’okumuddamu. Bwe nnalaba nga Ndikola ansimbye amaaso ge
taganzigyako, nange siwena ne muddamu nti; “Old?
No, I am young!”
Awo
ebyaddirira byali bibi. Anti baakantema nti nnali sisaanidde kusomera mu
kibiina ekisooka. N’olwekyo nnali nteekeddwa okuddamu nassale mmale
okwetegereza obulungi ebintu.
Bwentyo
nnassale nagiddamu envuunula bibya. Omwaka ogwaddako ekibiina ekisooka nakyo ne
nkyesogga. Kino kyannyumira nnyo kubanga mu kyo mwalingamu n’omuwala Geetu
eyali y’andya omwoyo. Bwentyo nnafubanga nnyo okuddamu ebibuuzo ebitubuuzibwa
abasomesa mu kibiina, Geetu asobole okundaba nga bwendi omugezi. Naye nnasinga
kumunyumirwa ng’abasomesa batufulumizza wabweru okusoma endabirira y’emibiri
gyaffe n’okuzannya. Olw’okuba abalenzi twaggyangamu amasaati gaffe, bo abawala
baggyangamu ebiteeteeyi byabwe ne basigala mu buwale bwokka. Bwentyo nange
nnakozesanga omukisa guno okwetegereza Geetu mu buli kanyomero ka mubiri gwe ne
simulabako wadde akamogo. Twakolanga enkulungo netuyimba nti;
“Tuula
tuula wakati
N’otunuulira
abaana
Golokoka
amangu ago
Ojje olonde
oyo gw’olonze…”
Awo bwe nnabanga
nze atudde wakati mu nkulungo, olwasitukanga Geetu gwe nnalondanga ne tulya
akabaga. Naye ng’enjogera bw’eri nti ebinyuma biggwa byokya, waayita omwaka
gumu gwokka Jajja n’ankyusa okunziza ku ssomero eddala e Kawuulu, okusoma
ekibiina eky’okubiri.
E Kawuulu nate
gye nnasisinkana mukwano gwange enfiira bulago Sserunkuuma, wamma ggwe omukwano
ne gutusaza buto mu kabu. Twasomokanga naye emitala ebiri okugenda n’okuva ku
ssomero. Twayitanga babiri ne bwe baaba nga bagobyeko omu ku ffe okunona
ebisale by’essomero. Twasookanga kwekweka mu bikajjo bya bifeekeera Kawooza ne tubisa
bukuyege. Ate ffene, emiyembe, jjambula n’empafu mu byalo gye twayitanga nabyo
twabireka nga kye tubikoze entungo ggobe. Naye twafubanga nnyo okulaba nga
bannyini byo tebatugombamu bwala ne tukifuuwa nga tukizza munda.
Okuva mu
kibiina ekisooka okutuukira ddala mu ky’okuna, emisomo gy’ahhenderanga bukwakku. Buli
kibuuzo kye bandeeteranga kwalinga kuzannya n’akwagala, nga nakisse dda.
Obwongo bwali bunneesera bwesezi era nga bayizi bannange bankazaako lya kagezi
munnyo. Bwe nnalaba nga bampaanawaana nnyo, ne nkivumbula nti Sserunkuuma
yalina omuwala ayitibwa Nakatabira eyali amulya obwongo mu kibiina kyaffe eky’okusatu.
Nange bwe nnalaba nga ssirina mubeezi, ne ntandiika okwegwanyiza omuwala ono.
Sserunkuuma bwe yakivumbula nti nnali nsaalimbira mu matwale ge, eby’okwagala
Nakatabira n’abiggyamu enta. Bwe yamundekera, nange ne nzira mu mitambo nga
tutandika kutijja na mwana muwala. Twatandiika okutuula awamu mu kibiina. Buli
lwe nnatuulanga ne Nakatabira nga mpulira ekibuguumirize ekirungi nga kimpitamu
ne ndowooza nti ntuuse mu ggulu. Twawanyisiganyanga ebitabo, ne twekoppanga ne
mu bibuuzo. Kabalgala n’obumpwakimpwaki obulala twabuliranga wamu n’ekyavaamu
kwe kuvumbula Nakatabira gy’abeera. Yali abeera mu katawuni akayitibwa Ajiija.
Kale buli lwe waabangayo akatale k’omubuulo, nga nange mbissaamu engatto
okugenda mu Ajiija wakiri ndabeko ku Nakatabira. Eyo nate gye twemiisizanga
ebya ssava kale ne nzirayo eka ng’omutima gundi wamu. Okumanya Nakatabira yali
ansula ku mutima nga lufuba, olaba nnayiga n’okugolola ku ngoye zange, nze
nnende eyalinga ayambala amavuunya? Wamma ggwe omukwano gutta bingi.Ani yali
akimanyi nti enkukunyi esobola okumegga embwa?
Olw’omukwano
gwaffe omungi ogw’olusuusuuto, kabula kata ngwe ebibuuzo byange eby’ekibiina
eky’okusatu. Enkoona kaabula kata enywegere ettaka, taba kuba Sserunkuuma
eyansalira amagezi ne tukoppa ebibuuzo. Twatuulira wamu, ne tukweka ebitabo
byaffe wansi w’entebe. Kale buli kibuuzo ekyabanga kitulemye, nga tukozesa
ebigere ne tubikkula ebitabo byaffe ne tukoppa. Ye omusomesa twamukubanga
ekimmooni n’atamanya kigenda mu maaso. Baagenda okulangirira ebyavudde mu
bibuuzo, nga tubikubidde waggulu.
Omwaka
ogwaddako, Jajja yalumbibwa ekirwadde ky’omutima ekitategeerekeka era emagombe
yasimbayo kitooke. Kigambibwa mbu ekirwadde kyali kivudde ku kwekamiriranga
amagengere, n’okufuuweetanga ttaaba atamuvanga mu kamwa ne ku matu. Olw’okuba
mukazi wattu yasiibanga ku ndiri, emirimu gy’awaka egyali ginkoma mu bulago,
kaabula kata nange ginkutule omugongo buli lwe nnavanga ku ssomero. Olw’okuba
n’ogwokutabaaza akasimo Jajja yali aguwummudde, kaabula kata nange ebisale
by’essomero binnemerere. Era kwali kuluma na gwa ngulu ne tufunvubira
okunoganga emmwanyi n’okuyiisanga omwenge gw’ebigere okuggyamu ejjamba
ly’okusoma. Naye Toyota yali yagufuula muze okugobereranga omwenge gwaffe mu
birabo n’aggyayo ssente zonna n’azezza. Olw’okuba Jajja yali asiiba yeesomba mu
ddwaliro, n’obusente bwe yali yasimira wansi w’ekitanda, yabukukunulayo ne buggweera
mu ddwaliro. Abasawo b’eddwaliro ly’e Buikwe baafubanga nnyo okulaba nga Jajja
afunamu ku mbavu, naye nga buteerere. Ekyavaamu ne bamuweereza mu ddwaliro
eddala e Nyenga. Ab’eyo nabo olw’alaba ng’obulwadde bwa Jajja busajjakudde, ne batendewalirwa
era okukakkana nga bamusindise mu ddwaliro ekkulu e Kawolo. Abasawo baamulabula
nti bw’ataave ku kufuweeta ttaaba n’omwenge, yali wakukifuuwa ng’akizza mu nda.
Eyo nayo yavaayo ng’embeera yeeyongedde okusajjuka.
Jajja
yasalwo lumu nti obulwadde bwe bw’ali bwetaagisa omusawo omuganga ow’ekinnansi.
Bw’atyo lumu y’ankwata ku mukono ne tutindigga eggendo ssemagendo okugenda ku
mutala Matale. Eno y’eyali omuganga omwatiikirivu gwe baali baakazaako erya
Mutenzaggulu. Twayaniribwa bulungi awaka era Jajja ne bamuwa omukeeka n’atuula.
Mutenzaggulu olwajja, yasooka kweswanta ng’atubuuza ani eyali atukkirizza
okutuula ku mukeeka gwa bajajja! Tw’alaba bitukalidde ku matama, ne tuwoza kimu
nti Jajja tusonyiwe. Teyalwa n’abuuza ani ku ffembi eyali omulwadde. Jajja
yawanikirawo omukono n’atandika okulombojja ebimuluma, n’abasawo endulundu be yali
agenzeeko ne balemererwa.
Mutenzaggulu
kwe kuyingira mu ssabo lye, n’akomawo ng’akutte ensaasi, effumu, ensimbi,
olubugo n’ebintu ebirala bye ssaategeera. Yatunuulira Jajja enkaliriza nga
bw’anyeenya n’omutwe n’alangirira nti; “Muzeeyi, waliwo omuntu eyakulogera mu
ssalambwa ery’emitwe ebiri. Eddogo eryo kkambwe nnyo. Omuntu okuliwona
kimwetaagisa okuleeta enjala z’omufu eyafa olw’obusagwa bw’omusota.”
Nze nnali
nkyayanaamiridde, nate omulaguzi n’anyeenya buto mu nsaasi nga bw’akatutema
nti; “Muzeeyi singa kakutanda n’odda mu kuliisa ebijanjaalo empiso, wandyekanga
ng’oteekeddwa okuleeta wano ebbeere lya nnamagoye eyazaalako abalongo abawala
ne babuuka!”
Jajja olwawulira
ebyo, amaziga ne gatandika okumuyitamu. Awo Mutenzaggulu kwe kubwatuka nti; “Toswala
kukaabira mu maaso ga bajajja? Tokimanyi nti bajajja bayinza okukambuwala ennyo
ne bakusasuza ebintu bingi? Onoggya wa akataala k’omusota ogw’ebibomboola
oguteyibulangako? Nandiki oyagala bajajja bakutume obusajja bw’omuntu ow’envi n’ekiwalaata naye nga tamanyi mukazi? Osobola
ggwe okuleeta wano omutwe gw’engo eriko amayembe? Lwaki oyagala okunyiiza bajajja?”
Jajja olw’awulira
ng’olukalala lw’ebintu ebiyinza okumusabibwa lweyongerayongera, kwe kwasamya
akamwa n’abuuza nti; “Kati Jajja yogera ekintu ekituufu kye nnaasobola okuleeta
onkoleko. Naye muli mpulira nsiriira nzigwawo. Nnyamba buyambi, wakiri
mpangaaleyo emyaka ng’ena, nneme kufa kuleka muzzukulu wange ono mu mbeera embi
bw’eti.”
Omulaguzi
olw’akyusa amaaso n’antunulako, yanyeenya mu nsaasi nate nga bw’ayogera nti;
“N’oyo
muzzukulu wo ndaba ng’ebiseera bye ebyomumaaso sibitangaavu. Kimwetaagisa
okunywa ku musaayi gw’emmondo etayonsangako. Bwe kitaba kityo, ateekeddwa
okunuusa ku mukka oguva mu vvumbe ly’akasanke akatalina kisu. Naye nga bwe muli
empongabyoya, bajajja tebajja kubakaluubiriza bulamu. Waliwo eddagala lino mu
bisusunku erya bannakunkunye dda. Nja kukusala emisale mu kifuba ndikusiige.
Ate lyo eddala oteekeddwa okulyesiba mu kiwato obutakuvaamu ne bw’oba ogenda
okunaaba. Waliwo n’eddala ly’oteekeddwa okunaabira mu mazzi g’enkuba erimu
kibuyaga nga weyambulidde mu masahhanzira
obudde nga bwankakya.”
Jajja olw’alaba
ng’ebintu omuganga by’ayogera birabika tebiisoboke, n’amusaba okumusala emisale
mu kifuba amusiigemu eddagala kyokka. Bw’atyo omulaguzi y’aggyayo obwambe
n’atandika okumusala emisale nga kw’atadde n’okumuluma mbu amulumika.
Jajja yajja
alinamu obusente butono ddala. Bwe yabuwa Mutenzaggulu, yasimba nnakakongo
n’alayira mu mannya ga bajajjaabe bonna nti ye tayinza kukwata obusente
obw’omunyoto ng’obwo. Teyalwa n’alabula nti singa Jajja teyeegendereza, obulamu
bwe bw’ali ku kalebwerebwe , era essaawa yonna bajajja baali bakyayinza okumuleka
n’akkirira ewa Ssenkaaba. Bw’atyo kwe kunyeenya mu nsaasi n’ayogera nate nti; “Nnyabo,
ebintu bino tobisaagiramu. Bajajja si bantu nga ggwe okubalowooleza. Kye boogedde
tekiddibwamu. Bw’oba oyagala obulamu, ssasula ebintu ebiba bikusabiddwa. Naye
bw’oba tokyayagala bulamu bwo, ogira odda mu kwemotya!”
Bweyamala
okulya mu ttama, n’akuba ensaasi ku ttaka, n’atandiika n’okukuhhaanya ebintu bye okubizzaayo
mu ssabo.
Jajja
yakakasa Mutenzaggulu nga bw’agenda okuddayo atunde emmwanyi, embidde, lumonde
ne mwogo bye yalina, asobole okufuna ku ssente eziwera. Awo omulaguzi kwe kumufalaasira
nti; “Ate teweerabira okujja n’enkoko enjeru. N’ekirala ssaagala kudda mu
kubalaata. Essente bajajja bazaagala mu nnaku musanvu zokka. K’osussaamu
essaawa ne bw’eba emu yokka, mmanya bumanya nti obulamu bwo onooba obusudde mu
nnyanga. Obadde okimanyi nti asiika obulamu tassa mukono?”
Tetwalwa
nga twessa mu ddene kudda kka. Mutenzaggulu twamuleka akyanyeenya nsaasi nga
bw’atulaamiriza mu bigambo bye ssaategeera makulu gaabyo. Mu kkubo, twatambula
ffembi tukotese emitwe nga bwe twevuma ensi eyali etuzunza eno n’eri ne tukirako
balugu atannakwata muti. Twagenda okutuuka eka nga ffembi ennyindo z’enkata, nga
n’entuuyo tuzisaza bibatu. Twasanga Toyota yegendedde dda okwewaaga amagengere
nga tewali aggulirawo enkoko okuyingira.
Ensimbi
Mutenzaggulu ze yatusaba, Jajja yaziwenja buseenene era mu nnaku nnya zokka,
omulaguzi yali amaze okufuna akake.Newankubadde nga Jajja essente yazeekuula
bwekuuzi, bwo obulwadde bweyongera okweriisa enkuuli. Emisale omuganga gye yamusala
mu kifuba nagyo gyazimbulukuka okukirako Kungu ne Migadde.
Okulwala
kwa Jajja kwankuba ekkonde ddene nnyo. Naye nnasigala ekkalaamu nkyagikutte
kannabwala. Era mu kibiina eky’okuna bannange bonna nabeetikka nembakuba mu ky’okutaano.
Eky’okutaano kyonna nnakimalako mbeera wakubiri. Ate mu ky’omukaaga abasomesa ne
bahhonnomolako
omukisa ogw’okutuula ebibuuzo eby’ekibiina ky’omusanvu naye ne ngudibaga. Nnali
ssaagala kuleka mikwano gyange emabega naddala Sserunkuuma. Ye munnange gwe baayitanga
Olanya yabuuka ekibiina era ebibuuzo by’ekyomusanvu n’abiwuuta buva okukakkana
ng’atulese emabega, ye ne yeesogga ssiniya.
Nakatabira
ye nnali nnamukyawa bubi nnyo nga twafuuka kabwa na ngo. Kino ky’ava ku
kumukwata lubona ng’asinda omukwano n’ogulenzi gw’oku kyalo Buwaga, ekyali
kiteeberezebwa okuba enkambi y’abasezi. Nange nnagamba mu mutima gwange nti,
“Sseeguya Nakatabira oba tambuuza alekeyo. Abalungi bangi ndikwanayo omulala.
Ye abaffe, bwe nnali ssinnamukwana ssaalina mikwano?” Bwentyo mwana muwala ne mmunaabira
mu maaso.
Ekibiina
eky’omukaaga nakyo kwali kuseereza ligenda mugga. Naye bwe nnali nkola ekibuuzo
kyange ekisembayo, wamma nnagwa ku kyokya. Anti lwali lunaku lwa Nagawonye nga
tumaze okukola ekibuuzo eky’oku makya, nnetusalawo okutambulamu. Twekolamu
akabinja ka balenzi bataano ne tutoloka ku ssomero yogaayoga Salye. Eyo twali
tugenze mu ffaamu ya byankwa Kalyabe omwana w’omwami, tutere tweriire ku
jjambula. Bwe tutyo twalya jjambula wamma ne tumwogoloza. Naye olw’okuba tewali
yalina ssaawa ku mukono, twalemererwa okuteebereza obudde bw’ekibuuzo ekiddako.
Bwe tutyo twagenda okuddayo ku ssomero, twasanga bannaffe baatandise dda
okukola ekibuuzo. Omusomesa eyali akuuma olwatukubako amaaso, yagambirawo nti; “Be
bano obwedda betubadde tulinda!”
Teyalwa
n’awuuba embooko y’omupeera mu ngalo ng’eno bw’atukudaalira. Ebyembi nga
binajja otuuyanira ku ggolu. Anti waaliwo n’ekibinja ky’abawala bataano nabo
abatuukira mu kaseera ako kennyini nga nabo bava kulya jjambula e Malongwe.
Omusomesa olw’alaba ng’abalenzi tuli bataano,n’abawala bataano, ng’ate fenna
tuva kulya jjambula, yagamba bugambi nti; “Kampewennyule abagwenyufu bano nabo
bakikakase!”
Tuba
tukyali awo ne zireeta omukulu w’essomero mwami Lule, naye ataalonzalonza n’atuukwatamu.
Yasooka kutubuuza nti; “Mwenna abaana ekkumi, abalenzi bataano, n’abawala
bataano, muva wa?”
Twasirika
busirisi anti nga naffe twewuunya engeri gye kizzeemu. Lule kwe kutulagira ffenna
okwasama alabe amannyo n’ennimi zaffe. Agenda okutwetegereza nga ffenna ekkumi
ennimi zaffe zifuuse za kakobe, ekyali kiraga nti tuva ku ttale kulya jjambula.
Awo n’atubuuza nti; “Bwe mumaze okulya jjambula mukoze ki ekirala?”
Twali
tukyebwalabwala nga tutegeka okwewoozaako nti tetuviiridde mu kifo kimu, omwana
eyali atulengerera mu ddinisa kwe kuleekaana nti; “Bava mu squeeze!”
Awo
ekibiina kyonna ne kitulika omulundi gumu enseko ne zibula okubatta. Omusomesa
olw’agenda okubasirisa, ffe Lule n’atugalamiza ku ssementi n’ayita abasomesa be
buli omu n’atusakata emiggo gye yali ayagala. Olw’amala okutulirika egya
Mbaguta baatulagira okuyingira naffe tukole ekibuuzo ekyali kigenda mu maaso.
Baatugambirawo nti twali tuteekeddwa okumalira awamu ne banaffe be twali
tusanzeemu. Naffe tetwalwa nga tutandiika okutambuza ekkalaamu ng’eno bwe tufeesa
n’abandi ng’amaziga gabayitamu. Bakira nga buli mwana atutunulako, ng’ayogera
ekigambo kimu nti; “Squeeze!” Era
abamu ku ffe baalufuula lutalo kata ehhuumi zaake
mu kibiina, naye abasomesa ne bataasa embeera.
Ekyewuunyisa,
ebibuuzo bwe by’akomawo, bayizi bannange bonna nnali mbakubizza nkaaga. Era eka
nnaddayo nga nkyacanca ng’akimezezza okw’enjala, olw’okuba nti emisomo gya
ppulayimale nnali nnaatera okugikuba oluku mu mutwe. Nnali mugumu nti ekibiina
eky’omusanvu kyali tekiyinza kunnema. Nnali siri wakudda mu kusiika binyomo
okutuusa ng’eddaala lino ndirinnye ku nfeete. Ne Jajja yanninamu obwesige
n’essuubi naddala ku bikwatagana n’ekusoma ebitabo.
Naye
abaalugera nti ky’otonnalya tokyesunga baalutuusa. Anti ebintu byonna nga bikyali
mu lusuubo,akabaate kaagwa mu bulamu bwange. Lumu nnsigala awaka mu ggandaalo
ng’abakulu bakkkiride mu ssamba y’emmwanyi okuwulula. Waliwo sseggwanga emu
eyali egufudde omuze okuddanga ku nkoko zinne n’ezikooza akagiri ng’ezibojjabojja
ne zituuka n’okuttulukuka omusaayi. Naye bwe yabojja enkoko emu n’egigoba ku
kitole ky’omugoyo kye nnali ngisuulidde, nnasitukiramu nga nzenna sseerya
nkutu, sseggwanga ngimalemu akambayaaya. Bwentyo nnagifubutula nga ndiko
n’obumansuka ne twolekera olusuku lw’ebitooke naye ng’enkoko egenda enkuba
ekimmooni mu masanja ne mu migogo.
Tuba
tukyezooba, ne mpulira kanzungu n’amaloboozi ga nnamungi w’abantu nga gajja mu
ngeri eya kibuyaga. Bwe nnayimirira okwetegereza amaloboozi gye gava,
nnalengera omuntu kinvinvi eyali ayambadde embugo, nga yenna enviiri zaamubikka
omugongo gwonna. Bwe yakyuka ne mmulaba mu maaso omwali mwajjula enkanyanya
n’ebikakampa, n’abulawo mu mpewo gye bayita ey’akazimu. Mu nsisi ennyinji ennyo,
nnakyusa obwanga ne ntyekuula emisinde mizibu okudda awaka. Naye ekigere kyange
ekimu kyagenda ne kiwambira mu byayi, okukakkana ng’ekirala nkirinnyisizza mu
kinnya kye nnali ssirabye. Bwentyo nnagwira okugulu kwange okwa kkono evviivi
ne likyuka okutunula emabega w’ekigere.
Nnakuba
omulanga ogw’omwanguka ogwannyula n’abaali bagenze okunoga emmwanyi. Toyota y’eyasooka
okuntuukako, n’ansanga nga ndi mu bulumi obw’ekitalo. Yanneebagala nga nzenna
amannyo gandi ku ngulu, n’antuusa mu nnyumba. Jajja olw’atuuka n’ansanga mu
biwoobe, teyatawaana na kubuuza bwe gubadde, wabula yaddukirawo butereevu wa
muyunzi w’amagumba ayitibwa Majengo. Nnali ngagalamidde awo mu ddiiro nga ge nkaaba
ge nkomba, ne nnengera Majengo ng’ajja bukula nga ne Jajja amuvaako emabega.
Majengo olw’antuukako n’ambuuza bwe gubadde, yannebagalirawo n’anfulumya
wabweru nga nzenna ndebaaleba. Bwe yanteeka wakati mu luggya n’ambuuza
ekinviiriddeko okugwa. Nze nnagamba mu mutima nti okufa kukira okuswala.
Bwentyo nnakomba ku erima ne hhaana
okumubuulira nti mbadde ngoba nkoko. N’eby’omukadde gwe nnalabye saabissinyaako.
Wabula nnamugamba kimu nti ndabye ow’e Kalungu ne nziruka era kye kinviiriddeko
okugwa mu kinnya.
Majengo
teyalwa n’atandika okukwazza ogwali gumuleese. Yannyimiriza nga nnekutte ku
mugongo gwe n’akutama nga bw’asima ebunnya mu kisiikirize kyange. Bwe yamala,
buli kannya n’akaziikamu eddagala. Teyalwa n’atukakasa nti yali agenda okuyunga
okugulu kwange ng’asinziira ewuwe wakati mu ttumbi. Yahhamba nti; “Bw’onoowulira
ng’obulumi bususse obungi mu kiro, mmanya bumanya nti awo nnaabeera ndi kuyunga
amagumba g’okugulu kwo!”
Nange
ssaagaana ne nninda ekiro nga mmize omwoyo nti ekijja kijje naye ng’okugulu kwange
kuzzeewo. Ekiro tekyalwa ne kituuka. Nnakanda kulinda mpulire omuganga kafulu
nga bw’annyunga amagumba, naye nga buteerere. Bwe nnakwata ku kugulu kwe nnyini,
nnasanga kuzimbye okujula okwabika. Amangu ago ne ntandika okusala entotto nga
ndaba nga Majengo muyaaye eyasazeewo okutuzannyira ku mutwe. Olw’alaba
ng’omuggo oguli ewamunnange teguusobole okungobera engo mu nju yange, nnasalawo
okwenyigira ekigere. Anti bajajja baalugera nti nannyini mufu y’akwata
awawunya.
Waayita
enzingu bbiri nga Majengo takubikako kya mu lubaale. Naffe olw’alaba nga
munaffe afuuse musu gw’e Kanyanya, ne twenogera eddagala erinyiga n’okuyunga
amagumba. Olwo nze nnali nfuukidde ddala kaddu wannema nga ntambulira ku miggo.
Naye nnalina ekiruyi ku mutima nga nninze okwambalagana obukanzu ne Majengo
tulye amatereke nga mmubuuza akana n’akataano lwaki yali asazeewo okunkuba
eddolera.
Majengo olw’alabikako,
yankakasizaawo nti abadde takyakomba na ku mpeke ya tulo ng’asula akuluusana
okulaba ng’okugulu kwange kuwona bukubirire. Nze kaabula kata mwokye oluyi nga
mmulanga obukuluppya n’obulimba. Okugulu kwange kwali kweyongera kwepika kyokka
ng’omumpembe agezaako okumpita ku litalaba. Bwentyo nnamulagira nti njagala
okugulu kwange akuyunge nga nnange mmulabako n’amaaso gange gennyini. Majengo
naye teyalwa n’akakkana ku kugulu ng’alinga omuwendule, n’akunyoola mu ngeri
ey’effuttwa n’ekiruyi kata omusajja anzise obulumi. Nzenna nga nzimbye
ng’ekisaka, nnamuviira mu lusambaggere naagwa eri kya bugazi, anti gw’owonya
eggere… Majengo yenna ng’atunguse amaaso okujula okuva mu kiwanga, yalya mu
ttama nti; “Ggwe muzzukulu wa Soleya (okutegeeza Sofia , erinnya lye baali baakaza ku Jajja),
singa tonkwata nabwegendereza, ojja kukifuuwa ng’okizza mu nda!”
Teyalwa
n’akwata ekikapu kye n’asaayirira engere ne yeggyawo. Jajja naye yajja
mukungujjo okumbuuza obanga nnali nfunyeewo ku njawulo. Nnamugambirawo nti
eby’ekigere we byali bituuse twali tusaanye tubiyingizeemu abasawo abakugu
ab’ekizungu. Naye Jajja yahhambirawo
nti ensawo ye yali eragaya.
Twalwirawo
ddala okufuna omusawo omukugu, so nga tetulina wadde ekuba ennyonyi okusobola
okwetwala mu ddwaliro. Ekigere ky’abimba kyonna ng’oyinza n’okulowooza nti
bannyungako omugogo gwa nnakabululu. Jajja olw’alaba ng’embeera yeeyongedde
okubijja, n’awuubako olubu lw’ebigere e Nalubabwe gye yakukunula omusawo
omukubi w’empiso. Ono yali muzeeyi kinvinvi eyali atemera mu gy’obukulu nga
nkaaga, ng’era baamukazaako laya Sseddoolo.Eddagala lye yali alitambuliza mu
nsawo ey’eddiba ly’emmondo . Yalivugiranga ku kagaali ke ka maanyi gandi mu
kifuba . Naye ba mpulidde kamenya baali baamwanika dda obuziina mbu Sseddoolo ono
singa yali yagaggawala dda. Naye mbu buli kasente ke yafunangako ng’akwanamu
abawala abato, n’endala n’azikombamu obugonja wamma ggwe ne mungu n’afata
abbaali.Mbu n’ekirala yali atabula eddagala ery’ekinnansi n’ery’ekizungu, olwo
n’alyoka awumuggula abalwadde agayiso agaabazimbyanga n’obutuuliro. Kale olw’ehhambo ze nnali mpulidde ku
Sseddoolo, yagenda okujja nga nze emmeeme yange yankehhentererwa dda simwesiga.
Sseddoolo
bwe yabaguka okunzijanjaba, yammalako ebyewungula. Anti yasowola mu nsawo ye
oguyiso obwaguuga era nnandagira okwambulamu empale mbu agumpike mu butuuliro.
Nnasooka kukubyakubyamu nga nnerowooza oba nga ddala omulangaatira gwa kinvinvi
ono gwali gusaanidde okunzijanjaba. Sseddoolo olw’alaba nga nkyali mu kwemotya,
kwe kwekalakaasa nga bw’agamba nti; “Ssebo wange, nnina abalwadde bangi
abannindiridde. Ssaagala kudda wano okundiira ow’ejjokolera . Siri muto munno
nti tunaamala kwezooba ndyoke nkukube empiso. Kyuka mangu ggwe nze nkole
ogwandeese!”
Nnalaba
sirina kya kukola, ne mmala gakkiriza, anti n’aganaafa bagasalira essubi.
Sseddoolo yaggyayo oguyiso gwonna nga guliko n’obuswandi n’agumpumuggula ku butuuliro,
olwo nga nze nnumye n’ogw’engulu. Bwe yamala n’agunsowolamu nga bw’afuuwa
n’oluwa gy’oli nti kubadde kuzannya n’akwagala. Teyalwa n’akebera mu nsawo ye
lukwakwayo n’aggyamu amakerenda agakiragala. Yagankwanga era nnandagira
okugamira gonna ngamalewo ng’andabako. Bwe nnakomba ku kkerenda erimu, ly’ali
nga mu kukaawa, omululuuza gudda ku bbali. Awo nze omumwa ne nguzza mu nnyindo,
n’emitaafu ne ginneereega mu bwenyi n’enfujja ekkerenda ng’emmeeme
ensinduukiridde. Sseddoolo yantunuuliza enkaliriza nga tanzigyako maaso
okutuusa lwe nnamubuuza nti; “Musawo, lino ompadde ddagala, nandiki onnungidde
mmimbiri enanzikiriza e Kaganga nzike!”
Sseddooolo
teyannyanukula, wabula yasitukirawo bunnambiro ne yeebereka akagaali ke ne yeeyongerayo.
Sseddoolo
yanzijanjaba okumala omwezi omulala mulamba naye nga ssirabawo njawulo wadde
okufuna ku lungubanguba. Yanfumitanga agayiso ne mbulako n’engeri gye ntuulamu.
Ebizimba by’annetimba ku butuuliro naye nga ye ahhamba kimu
nti mbiyiseeko eccupa ennyogoga. Ebyo byali bikyali bityo nate ekizimba ne kisamba
eddagala. Anti lumu nnali nfuluma okuva mu nju, ne ntalantuka ne neekuba ennume
y’ekigwo ku mayinja g’omu mulyango, wamma ggwe ekigere ne nkiddamu envuunula
bibya. Ku luno nnamanya nti wamma eyali andoga, embugo yali akyaziwanise.
Tebaalwa nga banzizaayo ku ndiri ne mpookya buto.
Ekigere ky’anfuukira
ekigere. Nnatandika okwevuma ensi n’okwebuuza oba nga ddala Liisoddene gy’ali.
Bwe nnalabanga bannange abalamu nga batambula, wamma ggwe ne mpulira ensaalwa.
N’abantu abajjanga okunsaasira nabo bannyongeranga okuyungula amaziga. Obuvune
tebwandinnumye nnyo, naye ate ekya Jajja ne Toyota okugufuulanga omuze okuyombanga
n’okugwahhana mu
bulago buli lukedde, ky’ampisanga bubi nnyo. Lumu nga batamidde, baalya
amatereke ekiro mu ttumbi ne bangwira ku buliri nga bwe beevulungula n’okwekuba
agakonde. Ekyalinga kibeekubya empi mbu Jajja yali yagufuula muze
okukudaaliranga Toyota
buli olukedde. Mbu Toyota yali ngalo bunani, lukyolo atalina wadde
buvunaanyizibwa okuggyako okuba omutamiivu waddanga. Ebyo byonna Toyota yali abigumidde,
naye Jajja bwe yamulangira eky’obutaba “musajja” ky’amuggya mu mbeera. Jajja
bakira ng’abimusomera mbu obwa kireebereebe bwe bwaviirako ne Muboyi lumu
okumweteega n’amukuba mizibu egyamuleka ne mu kkubiro. Toyota naye teyalwanga n’ayanukuzanga Jajja
empi n’ensambaggere kata amukutule enkende. Buli lwe baalwananga, nga nze muli
mpulira ekiruyi ekyagala okugenda okuvumbagira Toyota mmutaagule bugo naye akinnyonnyoke.
Naye nga ne bwe baba baasuze bubeefuka, enkeera wabalabanga nate omukwano
gubasaza mu kabu. Nange ekyavaamu ne mbavaako ng’embwa bwe yava ku nseko.
Ekigere
kyange kyali kyeyongera kulemala, ng’eno bayizi bannange beeyongera kukwazza
emisomo gyabwe egy’ekibiina eky’omusanvu. Nnawulira ennaku, amaziga ne gampitamu
nga ndaba ntambulira ku miggo. Naye waalingawo mukwano gwange gwe bayita
Batanyaga ggwe nnali nsoma naye ng’aviira mu ttawuni e Buikwe. Ono y’eyannyamba
n’andeeteranga ku bye baabeeranga basomye ku ssomero. Bwentyo nange nnayimanga
ku ndiri n’ensoma ebitabo ntere mmanye bannange bye basoma. Batanyaga
y’eyatwala n’amawulire ku ssomero nti nnali ntambulira ku buyungo. Ye nnali
nnamulimba nti emmotoka y’eyantomera nga nsala oluguudo ekigere ne kimenyeka.
Omusomesa waffe ow’okubala bino olw’amuggwa mu matu, n’akuba akakule nga bwe yeejaga
n’agamba ekibiina kyonna nti; “Mmulabye? Bulijjo tubakaabirira wano nti
musasule essente ez’okugenda okulambula naye ne mutuhhoola! Kati wuuyo munnamwe
Mukwasi ali ku ndiri biwalattaka. Anti emmotoka yamutomera lwa butamanya
kibuga!”
Lwali lumu
ne neewaliriza okugendako ku ssomero. Awo ekigere kyali kigoomedde ddala nga
ntambulira ku miggo. Olwali okuyingira mu kibiina, bayizi bannange bonna ne bantunuuliza
amaaso ag’ekisa n’okunyolwa nga bwe beekuba obwama nti; ‘Wuuyo emmotoka gwe yatomera
nga tamanyi kibuga!’ Bwentyo nnasomayo ennaku nga ssatu zokka, eby’okugendanga
ku ssomero nnembimma amazzi. Kino kyava ku kwetamwa okulabanga bayizi bannange
ntakera nga bantunuulizanga enkaliriza nga bwe bageegeenya n’entambula yange.
Olussi abamu baakubanga n’obukule, naddala abawala omwali ne Nakatabira gwe nnali
nnakyawa. Ssaalwa ne nzira awaka okwekubagiza n’ebiyengeyenge mu maaso nga
n’amaziga gannyunguka buli kaseera.
Lumu
omusajja Omugisu ayitibwa Wakanyasi eyali omuwi w’amagezi ow’abasazi b’embalu e
Salye, yawuubako olubu lw’ebigere eka. Olwali okumuwa kamwasajjute n’atuula,
yatandikirawo n’okuyomba nti; “Nnywe abasatte ba mussukulu wange Mukwasi
mubatte mutya? Lwashi omwana temumwebakala ne mumutwala mu ttwaliro e Kawolo?
Nnywe temulaba nk’omwana ekikere kye kirematte? Tunaamusyeta tutya empalu
afaanane ppaapa we ng’ekikere kye kyekotyombolamu bwe kityo?”
Teyalwa
n’asituka ku kamwasajjute, n’akoleeza emmindi ye etaamuvanga ku mumwa nga bw’ayongerezaako
nti; “Seeti bampita Wakanyasi. Era mbakampa ebikambo bino nti ndi musajja Mukisu
omukatte ennyo. Olumasaaba lwe lulimi lwange, era bacacca baffe baalyanga
‘embeba,’mmanya emmese. Bwentyo mpalabula. Nse sikya kusubwa okulya epusi,
ente, n’enkoko edwaya olw’okuba nnywe abakaanye, era ne mulakakyalira
omussukulu n’alemala. Anaasampa atya empalu nga mulema? Bwe mufa ku byange, ne
kuw’enkaato temukendayo!”
Wakanyasi
olw’amala okuta akaka, n’akyusa obwanga n’addayo nga yenna aliko n’obumansuka. Jajja
amagezi ga Wakanyasi yagawuliriza, era nange kino nkyansanyusa nnyo. Waayita
ennaku musanvu zokka, n’anteeka ku kagaali okuntwala mu ddwaliro. Omuvubuka
ayitibwa Wameera, mutabani wa Samwili yavulumula akagaali yogaayoga
ng’antuusizza mu ppaaka y’emmotoka e Buikwe. Jajja naye y’ajja awondera mpola
ku bigere. Naye bwe yatuuka mu ppaaka, emmotoka ne tugirinnya bukubirire
yogaayoga Lugazi e Kawolo mu ddwaliro.
Bwe twatuuka
mu ddwaliro, abasawo beekyanga bonna ne becwacwana n’okuyombesa Jajja.
Baamusongamu ennwe nga bwe bamubuuza ensonga lwaki yali alagajjalidde ekigere
ky’omuzzukulu okutuuka okulemala. Jajja naye byamukalira ku mimwa n’asaba
ekisonyiwo nga bw’agamba nti n’essente ez’okuntwala mu ddwaliro yali
azinoonyeza mu kiwato nga mazina. Abasawo banzirusizaawo bunnambiro mu kyuma
ekikuba ebifaananyi by’omu mubiri. Bangalamiza wansi w’aguuma agatunula
ng’abantu, kata nzirukeyo olw’ebimyanso n’okwetooloola kwa zinnamuziga z’ebyuma
bikalimagezi. Bwe baamala okunkuba ebifaananyi, ne bampeereza nabyo ew’omusawo akola ku by’amagumba.
N’omusawo olw’alaba ebifaananyi, n’ayambala amaganduula, n’ateereeza galubindi
ze ku maaso, era n’andagira okulinnya ekitanda. Teyalwa okugulu n’akugololamu
katono nga bw’ambuuza kiki kye nnali mpulira. Bwe nnamugamba nti mpuliramu
obulumi obutonotono, n’atumya ssementi. Teyalwa okugulu n’akusiba nga bw’akusiigako
sseminti n’amasanda ameeru kwonna ne kubulira munda. Oluvannyuma lw’essaawa
ng’emu, y’ansiibula nga bw’ahhamba nti
nnali nteekeddwa okufuba ennyo okulaba nti obukyafu tebuyingira mu kisementi
munda. Mbu kino kyali kiyinza okundeetera ensekere nzinnume okugulu wamma ggwe
nkifuuwe nga nkizza munda. Era y’ahhamba nti
nnali nteekeddwa okumala omwezi mulamba ndyoke nzireyo mu ddwaliro
anzingululeko ogusementi. Teyalwa n’ankwanga n’amakerenda ge nnali ow’okumirirangako.
Nga
tuzzeeyo eka, okugulu kwange kwakulungula omwezi mulamba nga kuli mu kisementi
munda. Bwentyo nnasiibanga mu nju nga ssaagala bantu okujja bansaasire. Anti
buli lwe bajjanga ne bannakuwalirako, nnawuliranga bubi nnyo era nga ntandiika
okwekubagiza n’okwejjusa olw’ebyo byonna ebyali bintuuseeko. Lumu omusomesa
wange eyanvugangako ku kagaali ke okunkomyawo eka, yawuubako olubu lw’ebigere
eka okunkyalirako. Nze ssempala olw’akimanya nti Omusomesa ali wabweru,
nneekukumira ddala wansi w’ekitanda nga ssaagala andabe ne gussementi ku
kigere. Musajja wattu olwayitaayitako nga tawulira amuwuuna, n’akyusa obwanga
n’addayo.
Waayita
mbale Batanyaga n’akantema nti baali bamaze okukola ebibuuzo bya ttaamu esooka.
Nnawulira ennyiike ku mutima n’amaziga ne gattulukuka ne gannyingira mu nnyindo
ne mu kamwa. Naye omwezi omusawo gwe yandaga tegwalwa ne guggwaako. Bwe tutyo
twaddayo ne Jajja e Kawolo mu ddwaliro batere bansumululeko ogusementi ku
kugulu. Omusawo bwe yanziggyaako ekisementi, hhenda
okwetegereza, ng’okugulu kwange kwonna kukozze
okukirako akaggo. Awo ne nkimanya nti wamma obulema nange twali butoola.
Omusawo yannyongera makerenda gokka n’atusiibula.
Bwe nadda
eka, Batanyaga yandeeteranga ebitabo n’empapula ku bintu bye baalinga basomye.
Nnamutegeeza nti nnali simanyidde ddala obanga nnali wakwewandiisa okukola
ebibuuzo eby’akamalirizo. Obulamu bwange bwali bukubiddwa ekkonde ddenae nnyo
olw’okulemala, nze omuvubuka eyali yeetambuza. Batanyaga yaggyayo akatambaala
ke akaali akeeru, n’asangula amaziga gange nga bw’ahhumya nti; “Katonda
ky’aterekera omunaku tekivunda, ate okulemala tekitegeeza nti teweesobola oba
nti obulamu bukomye awo.”
Ebigambo
bya Batanyaga by’ahhumya,
bwentyo ne mmalirira okuddayo nsome ne wankubadde nga nnali nfuuse kaddu
wannema. Naye mba nkyezzaamu amaanyi, omu ku bakazi abaateranga okugula emmere
ya Jajja, yajja n’ansanga nga ntudde mu luggya. Yeekanga n’abuuka ng’omuntu alabye
omusota nga bw’agamba nti; “Ayi Mukama Katonda tufudde! On’omwana eyali
omulungi amata obuta kati yalemala atambulira ku miggo? Bambii…!”
Ebigambo
bye by’atuukira ddala ku mmeeme yange ne bigifumitafumita nzenna nempulira nga
gwe bayiyeeko olunyata lw’omuliro. Nate amaziga ganfukumuka ne nteekako
n’okufeesa.
Lumu Batanyaga
yakomawo n’ahhamba nti
yali awandiisizzaayo erinnya lyange ku lukalala lw’abayizi abaali ab’okutuula
ebibuuzo eby’akamalirizo. Era nti ekyali kisigalidde kwali kusasula essente
z’ebibuuzo, olwo hhende nzijuze
empapula z’ekitongole kye by’enjigiriza mu ggwanga. Nnamwebaza era ne hhenda mbigamba Jajja
n’atandiikirawo okunoonya essente z’essomero.
Bwe nnagalamiranga
ku buliri bwange ekiro nga ntunudde mu kasolya waggulu, nnakubyakubyamu obulamu
bwange obw’omu maaso nga bwe bulibeera. Nnalaba nga ku miteeru egyali
ginjolekedde, nnali ntengejjera busa. Nnakiraba nga n’ebyokusoma bye nnali
nneesibako nnali nsiwa nsaano ku mazzi ng’era mmala bya mu bulago. Naye
waalingawo n’ekirowoozo ekyanzijira nti osanga ndiddamu ne mbeera omulamu nate,
emiggo ne ngimmegguza eri. Nneegumya nti oba oli awo okugulu kwange okwali
kulemadde kyali kikyasoboka okukugolola ne kuddayo buto nga bwe nnali.Bwentyo
ssaalwa ne hhenda ntema
omugogo gw’embidde mu nsiko. Ssaalwa ne neebaka ku ttaka, omugogo ne ngussa ku
kugulu okulema, ne ntandiika okukunyiga. Kino nnakikola enfunda eziwera. Bwe nnalaba
nga waliwo ku njawulo, ne nkukusa omugogo omunene ne nguyingiza mu kisenge
kyange. Olwo buli lwe nnabanga nneebase ku buliri, ng’omugogo nagwo ngwebasa ku
kugulu kwange okulema. Bwe nnalabanga ng’okusannyalala n’obulumi bikaalaamye,
ne nnuma amannyo. Awo we nnagwira ne ku Bbayibbuli ey’oluzungu eyali yakukula
nga yayulikako ekitundu, ne mpummulizanga okwo ebirowoozo. Nnannyumirwanga nnyo
okusoma engero ezikwata ku Ssekabaka Daudi, entalo Isiraeli zeyalwananga
n’Abafirisuuti, amagezi ga Sulemaani, ebikwata ku Musa oluusi ne banabbi
naddala Ezekeeli ne Yeremiya.
Ttaamu
ey’okubiri bwe yatandiika, Batanyaga yajja n’antegeeza nti abasomesa baali
beetaaga essente z’ebibuuzo bunnambiro. Ebigambo ebyo olwagwa Jajja mu matu,
n’akwata mu ndyanga n’ampa ssente ne nzitwalayo ku ssomero. Olwo nnali
nkyatambulira ku muggo naye ng’okugulu kwange kutandise okukuba ku mpembawemba.
Bwe nneewandiisa ku ssomero, abasomesa b’ahhamba nti
nnali siri wakusobola okugendanga ku ssomero buli lunaku. Naye banzikiriza
okwewandiisa nga bwe bankuutira okufuba okufuna buli kye baali basomesezza
okuva ku bayizi bannange.
Bwe naddangayo
eka, omugogo gwe nnali nakukulira mu buliri bwange nneeyongera okugwebasanga ku
kigere kyange ekirema gukigolole. Bwe gwawotokanga, ne ntema omulala ne neeyongera
okugolola ekigere. Munnange waagenda okuyita omwezi omulala nga ntandiise
okusimba okugulu ku ttaka ne nnyimirira butengerera nga sseekutte ku muggo. Awo
mu myezi egyaddako ne ntandika okutambula nga mpenyera mpolampola. Bwe nnalaba
ng’okuwenyera kunnemeddemu, ne neewalirizanga okutambula mu ngeri ey’akasoobo
nga bwe njiiya entambula esaanidde. Ssaalwa okugulu kwange okulamu nakwo ne ntandika
okkutambuza nga kugeegeenya kuli okulwadde. Bwe nnalaba nga kinkoledde, ne nfuna
entambula empya eyawukana ku eri gye nnalina nga sinnafuna obuvune. Waayita
ebbanga ttono omuggo ne ngusuulira ddala . Naye nnatambulanga nneegendereza
nnyo kubanga nnali nky’awulira obulumi buli lwe nnasimbanga okugulu kwange ku
ttaka. Era nnatandika n’okugendanga ku ssomero buli lunaku.
Abaalugera
nti okubonaabona si kufa wamma baalutuusa. Nange nnalabira awo nga nzizeemu
buto okukwazza emisomo gyange. Naye kyantwalira ebbanga eriwerako okutegeera
ebyali bisomeseddwa newankubadde nga nnasomanga ebitabo bya Batanyaga nga ndi
ku ndiri. Okubala kwo kwampisanga bubi nnyo era ng’omusomesa waakwo buli
lw’ayingira mu kibiina nga njula okukifuluma. Ate gw’ajabagira buto bwe nnakivumbula
nti omusomesa ono y’eyali abijwetese mbu emmotoka y’eyantomera nga njolesa
amaalo mu kibuga. Bwentyo ne bye yali asomesa ne mbikyawa nga bimpunyira
zziizi.
Ebibuuzo
eby’akamalirizo tebyalwa ne bituuka. Olw’okuba ttaamu esooka n’eyookubiri zaali
za bugubi, kaabula kata ebibuuzo mbitye. Naye Batanyaga yahhumya nti kikafuuwe okugwa
ebibuuzo ng’abatalina bwongo. Waaliwo empapula z’ebibuuzo ebyakukusibwa nga
kigambibwa mbu by’ebyali bigenda okujja. Era abasomesa baffe abamu
baakyamuukirira nga bwe batufalaasira nti tubisome n’obumalirivu naye nga
tebatugamba nti by’ebyali bijja.
Abayizi abagasomera
mu bbaasa mbu baalengerera wala, amaanyi gaabwe gonna ne bagamalira ku ebyo byokka.Naye twagwamu
kanzungu bwe twatuuka mu bibuuzo eby’akamalirizo nga temuli wadde ekibuuzo
n’ekimu ekibyefaanaanyiriza. Ye Batanyaga olw’okuba omujagujagu yali akukusizza
empapula endala okwali ebifaananyi, n’alyoka akoppa biri n’addako ne mu kati.
Naye aba akyakoppolola buli kamu, agenda okuyimusa amaaso, yagatuusiza ku mukuumi
w’ebibuuzo nga naye agamwegese. Batanyaga olw’alaba nga talina bw’anaabitebya,
empapula kwe yali akoppolola zonna n’azikuba mu ttama. Yavaabira empapula nga
bw’azigaaya obumere wamma n’omukuumi n’amuggyirako enkoofiira. Bwe yalaba
enkacappa y’omulenzi, yanyeenya bunyeenya mutwe ng’embuzi etenda enkuba, ne yeeyongerayo
n’okukuuma.
Bwe twamaliriza
ebibuuzo, wamma ggwe twabanga abali mu kirooto.Abaana bonna, abalenzi n’abawala
baajaganya ne beggwahhana mu
bifuba nga bwe beenywegera, wamma nze ne njula okufa ensaalwa. Anti nze
waabulayo omuwala n’omu ajja okungwako mu kifuba wadde okunkulisa ebibuuzo.
Bo balenzi
bannange baali beejaga nga buli omu ali
mu kayisanyo. Kino kyanzijukiza olunaku lwe twagenderako okulambula ekkuumiro
ly’ebisolo Entebe. Ku olwo balenzi
bannange bonna baakomawo mu bbaasi nga buli omu alina omuwala gwaleze okuggyako
nze. Kirabika nze nnali omusiiwuufu ku mbaga. Naye ku olwo ssaanyiiga nnyo
kubanga nnali nkyalina obuvune bw’ekigere. Kyokka ku luno nnasigala bwa ppeke,
ne ntambula mukungujjo okuva e Malongwe gye twakolera ebibuuzo, okutuukira
ddala e Kawuulu. Eno twasanga abasomesa batutegekedde ekijjulo makeke
okutukulisa ebibuuzo. Bannange bonna ng’obumwenyumwenyu bubeetimbye ku matama,
baalya ne basolobeza, n’abandi ne batandika okwerera. Waaliwo agalenzi asatu go
agaagufuulira ddala omugano. Erimu baali baliyita Wagagge, eddala nga lye li
Ssebatindira, n’eryokusatu nga baliyita Olwenyi. Gano ggo gaasitukira mu bawala
babiri babiri ne gabalera nga n’abasomesa bali awo bageegese amaaso.
Okulya ebya
ssava bwe kwaggwa, ne batuteekerako endongo, wamma ggwe baana bawala
ebijuujulu, n’abavubuka envumuulo ne basituka okunyeenya ku galiba enjole.
Nnalengera abaana nga beekutte babiri babiri bazina ng’enje, nga bwe
bayiringula ebiwato ng’omutali magumba. Olwo nze kitawe ataalina wadde okugulu
okumu okw’omuwala ow’okuzina naye, amalusu nnamiranga muganda. Ne Batanyaga gwe
nnali mpita mukwano gwange nfa nfe, yali yanneesulubabbye dda . Yali n’omuwala
gwe baayitanga Kebbina, wamma ggwe nga nabo balya bulamu. Nnalengera ne
Nakatabira ng’asinise amannyo ng’asuubula embwa ng’eno bw’azina n’eddenzi
eryali linsingira ddala obunene n’ekiwago. Bwe yagiranga n’atunulako ku ludda
gye nnali ntudde obwannamunigina, nga bwe yegiriisa ng’ekisotta entula. Buli
lwe nnamulaba ng’atunuuliza omulenzi we oluuso, wamma ggwe nze ne nfa
ekitiibwa. Bwe nnalaba ng’akabaga kanfuukidde omuteego, ne ntemya ku
Sserunkuuma ne tutera tusomoka okudda eka. Bwentyo bwe nnaleka bannange nga
basagambiza bwe babiibya, ne nsomoka ekibira okudda ku mutala Salye ntere ntawahhane n’ensi nga bwe nninda
ebibuuzo lwe biridda.
Bya Mugoya Michael- asigalatalaama@gmail.com
No comments:
Post a Comment