Monday, 21 November 2016

OMUSAMBWA GW'EMBALU GW'ESALA AKAJEGERE #9



Lumu Walude yatusanga ng’ekiyumba mwe twalinga tusula kinaatera okutugwira….



EBY’OKWOGERA ku muzimu ndowooza tubiveeko kati, kubanga omaze okukikakasa nti ssiri mpewo. Naye ng’enjuba bw’eri okumpi okuzingako ebikunta byayo, katuyite mu byangu. Kankunyumize ku ngeri gye neeyibula ng’omusota ate n’enfuuka ow’obusagwa mu kiseera mwe nnandibeeredde omunnyo gw’ensi. N’oluvannyuma nja kukusiibula oddeyo mu bazadde bo e Buwaasu obanyumize byonna by’owulidde. Naye obudde nga bwe bugenze, emboozi ze nsuubira obutatuukako, nja kunyumya nga bwe nzikuwandiikira ku ndagala, bakadde bo banaazikusomera enkya.

Akaseera ke nnamala nga nzizeeyo ku kyalo Salye kaali kanyuvu nnyo olw’okuba ensawo yange yalimu ejjamba. N’olwekyo buli kye twalinga twetaaga awaka nga Jajja nkimutuusaako.Omupiira gw’e Salye nagwo nnaddamu okugukyanga mu biseera byange eby’eddembe. Abawala b’oku kyalo nabo baali batandiise okwesomba naye ne nkabatema nti nnali ndokose. Era buli lwa Ssande nnakeeranga okutindigga olugendo ssemagendo okugenda mu Kafutano awaali ekkanisa y’Abalokole, okusinza Gguluddene.

Okusabira mu kkanisa y’Abalokole ey’omu kyalo kwanfuukira omugugu olw’okuba tebaalina bidongo ng’ekkanisa z’oku kibuga. Naye ng’omusumba Ssentamu bakira atukakasa nti Katonda anoonya abo abamusinza mu mwoyo ne mu mazima. Omusumba nga tawena yanyeenyanga ensaasi, n’alagira abakubi b’engalabi, n’embuutu okumwegattako olwo ne tusimbula ettendo ng’oyinza n’okulowooza tuli mu ssabo ewa Wagi. Ekkanisa yalina endongo emu yokka ng’era y’ekozesebwa kkwaya naddala bwe baaba nga batuwaamu oluyimba olw’enjawulo.

Obulamu bw’asooka okunkaluubirira olw’okuba ekkanisa kumpi yonna yali ejjuddemu ba luwedde ku mpagala, ba nnakunkunyedda, n’abaana amabujje. Bo abavubuka envuumuulo, ne baana bawala amata be nnalabanga mu kkanisa z’oku kibuga, wano nga tebakubikako kya mulubaale. Era okuva ku kkanisa okuddayo eka, nnatambuliranga mu lwebeeya lw’abakyala emyaka be gyali giwuubidde akatambaala. Lumu nnasisinkana omu ku batuuze b’e Salye ayitibwa Wandwasi. Ono yali yeegunjulidde ogw’okutambulizanga ettaka mu kikapu mbu baleme kumubbako kibanja kye. Kale bwe yandaba nga nva ku kkanisa, kwe kunjokya ekibuuzo nti; “Ggwe omuvubuka embulakalevu kiki ekyakulokosa? Waakoze bibi ki ebikulokosa ng’okyali bbujje?”
Nange nnamuddamu kimu nti; “Kiba kisa kya Mukama omuntu okulokoka.”

Ate ye Jajja buli lwe nnamubuuliranga ku njiri ng’ankakasa nti; “Nze enjiri ya Yesu ngikkiririzaamu. Naye olw’okuba ebibi nnina ndulundu, Katonda tasobola kunsonyiwa. Era bwe ndiba ow’okulokoka, ndirokokera mu ddiini yange. Anti naawe ondaba, eccupa y’enkangaali n’emisokoto gya taaba tebinva ku mumwa! Ate ne bannaffe abeeyita Abalokole be bamu ku bantu abasinga okukola ebyambyone n’ebikolobero. Ye ggwe atakimanyi nti Mugide luli baamukwatira ku malaalo g’omugenzi Omuse ng’asera ekiro? Kuno ku Salye waliwo atakimanyi nti Mugide mulokole?”

Olwawulira ebyo nange kwe kumuddamu nti; “Katonda ayagala ggwe nga bw’oli. Era bw’oliba ofudde tolimugamba bya ndigi, emisokoto gya taaba, abalokole abalinga Mugide, eddiini, n’ebiringa ebyo. Era bw’olibimugamba, alikuddamu kimu nti; ‘Ebyo byonna mbiwulidde, naye kati njagala ggwe mwene weeyogereko.”
Naye ebyo byonna Jajja byamuyitanga ku matu ne bigenda n’embuyaga.

Okusoma tekwalwa ne kuddamu. Era nnaddayo e Lweru ne nsaba ekifo mu ssiniya ey’okuna, abasomesa ne bakimpa. Naye byo ebisale by’essomero ssaabisasulirawo, bwentyo  ne neeyambisa ebbaluwa ya Tigers Club  gye baali bandekedde okunjogerako. Aba Tigers Club nabo tebaalwa ne badda mangu era ne bansasulira ebisale by’essomero byonna. Bayizi bannange abandaba nga twegwa mu bifuba ne Uncle Simon ne Pastor  Chris baasigala bambuuza kimu nti, ‘abo wabafuna otya?’ Nga nze mbasongera waggulu.

Kwo okusoma kwankaluubirira nnyo. Olw’okuba nnali nteekeddwa okuddamu ssiniya ey’okuna, nnagisomera wamu n’abayizi be nnali nsingako ekibiina. Bo bannange bwe twasomanga, baali baatuuka dda mu ssiniya ey’okutaano. Ennyambala yaabwe, enneeyisa, n’ebitiibwa bye baali bafuna nga bansammuliza bisammulize. Ekyasinga okunnuma kwe kulaba nga ne be nnali nsinga mu kibiina, bampitangako nga bonna baniigiina ne galubindi ku maaso nga balinga abankudaalira. Kino kyandeetera okwewaayo ne neefunyirira ku bitabo nga sisoma ne basoma. Naye gye nnakoma okusoma ennyo, ne bayizi bannange gye baakomya okunkubyanga enkaaga. Naddala bwe gwatuukanga mu kubala nga nze ndaba biriroliro, ate nga bo bannange kubanga kuzannya n’akwagala. Naye ssaggwaamu maanyi, ekkalaamu ne neeyongera okugikwata kannabwala.

Buli lwe twakolanga ebibuuzo nga ssikaala y’essomero baana balala be bagiwangula. Naye kino tekyannumanga nnyo kubanga nnali nkimanyi nti ekizibu ky’ebisale by’essomero Tigers Club yali yakigonjoola. Buli lwe baabanga bakereye okuleeta essente, wakiri nga ntambuza ebigere ne hhenda e Lugazi okubakubira essimu mbajjukize.

Ebibuuzo ebiddirira eby’akamalirizo ebiyitibwa mock exams nnabikola bulungi. Naye okubala kwa mmegga kya bugazi n’enkoona n’enywa. Era nzijukira omu ku baali batukuuma eyatunula ku lupapula lwange olw’okubala. Bwe yalaba nga mpandiise volongoto, n’ankuba enkuku mu mutwe nga bw’ayogera nti; “Mukwasi you’re sick!”

Lumu nnadda eka nga ey’okuvviivi tekyasaka, njagala kuwummulako. Olwali okutuuka e Salye ku kisaawe, ne nnengera emmotoka eriko ennamba za gavumenti nga kuliko erinnya AMREF. Nnagiyitako buyisi ne ŋŋenda okuwujjaalako mu kasiisira kange. Mba nankamalira amatu wansi, ne mpulira abantu aboogerera ebweru. Bwe nnafuluma, amaaso nnagatuusiza ku musajja ow’ekiwago nga yeesaze ekkooti n’ettaayi, akutte n’akasimu mu ngalo. Yali wamu ne Mumbya bwe twazirundanga mu buto. Awo Jajja naye eyali abajjiddeko kwe kuhhamba nti; “Muzzukulu, ng’otunuulidde kojja wo ng’atamumanyi? Ono ye Engineer Walude, mutabani wa mwannyinaze bwe tuva mu lubuto olumu e Mbale.”
Nnali sinnaba na kulamusa Walude, n’abuulizaawo Jajja nti; “Ono ye Mukwasi, akaana ke nnaleka nga kato?”
Ko Jajja nti;”Y’oyo gw’olabako.”
Awo Walude kwe kunkyukira n’ambuuza nti; “Ye ggwe awandiika amawulire g’essomero ge nsomye ku bipande mu nju?”
Ko nze nti; “Ky’olabako ky’obuuza?”

Anti nnali neegunjulira ogw’okusaka n’okuwandiika amawulire agafa ku ssomero e Lweru buli wiiki, ne ngatimba ku mpapula ennene abaana ne basoma. Bwe gaggwaako ne ngatimbulula, era ne ngatimba eka mu kasiisira kange. Olw’ekyo, nnali neekoledde erinnya ku ssomero era baali bankazizzaako lya Mpulidde Kamenya. Kale Walude bwe yajja n’asanga amawulire gano mu kasiisira kange, kwe kubuuza nti; “Ani ono alina omukono oguwandiika obulungi ng’ekyuma?”
Ko Jajja nti;” Oyo mutabani wo Mukwasi, kati asoma ssiniya ya kuna e Lweru.”

Awo Walude kwe kubuuza nti; “Ky’otegeeza Ssenga mu bukadde bwo ne mu bwavu osobodde okuweerera omuzzukulu n’omutuusa ne wano?”
Awo Jajja kwe kumwanukula nti; “ Omwana mugezi, naye n’ekirala yagenda eyo ku kibuga n’awakankulayo abazungu abaamukomyawo eno, era kati be bamuweerera mu ssomero.”
Kale Walude bwe yantunuuliza eriiso ery’enkaliriza, n’anyeenya omutwe nga bw’agamba nti; “Mukwasi okoze bulungi nnyo okufuba okusigala ng’osoma.”

Walude ono yali omu ku baana abaviira mu luggya lw’omu kika kya Jajja e Mbale. Yali mutabani wa mwannyina wa Jajja ayitibwa Aliiyi Mafaabi e Bumbooyi. Walude bw’atyo yali akulidde wakati mu bwavu obutagambika. Era yali asomedde mu busomero bwa ba nnakunkunyedda. Naye olw’okuba obwongo bwali bumwesera ng’ate mukozi, yasuubulanga amenvu, ebinyeebwa, kabalagala, enseenene ne kasooli asobole okufunamu ejjamba eryamukuumira mu ssomero. Bwe yatuuka waalemererwa, kitaawe n’amukwata ku mukono era n’amuwandiisa nga mulekwa mu kibiina kya Weeyeeda oba Twekembe. Ekibiina kino kye kyamuyambako okweyongerayo n’emisomo gye. Emisomo gy’e Mbale bwe yagiwuuta obuva, ne bamuweereza e Tororo nayo gye yayitira waggulu, okukakkana ng’atuuse n’e Makerere okusomerera obwa Engineer. Eyo e Makeerere musajja wattu yali yeerya nkuta za mimwa. Era mu kusoma, mu kibiina yali agenda ayambadde ssapatu mu bigere n’obuziina bw’engoye. Bo banne baalinga banekedde mu makooti, amataayi n’engatto ez’ebbeeyi, naye nga ye abitunulako ng’atabyagala. Buli lwe yayagalanga okudda e Mbale okusaba ku kasente, nga yeekwata ku ggaali y’omukka mu bubba n’emutuusa gy’alaga. Bwe baamukwatanga, ng’abalaga kkaada y’essomero ne bamuta. Oluusi eggaali yagiviirangamu e Buikwe n’ajja e Salye okulaba ku Jajja gwe yali ayita ssenga.

Lumu Walude yatusanga ng’ekiyumba mwe twalinga tusula kinaatera okutugwira.Teyalwa n’asamba entuumu y’ettaka eringi ng’embuzi n’abaana tetusobola kuliyitamu. Bw’atyo bw’omu yakakkana ku nju empya eyali etulemye okumaliriza n’agimaala mu kaseera mpa wekaaga ne tugyesogga. Kale kati Walude yali akuze ng’afunye n’omulimu ogw’ebbeeyi mu kitongole kya AMREF e Nakasero. Era ne ku kyalo gye yakulira e Bumbooyi, yali akisikidde amazzi amayonjo mu buli maka, wamma ggwe ng’abatuuze bamuyimba nga luyimba.

Bw’atyo Walude bwe yantunuulira, yahhamba nti nneesibe bbiri nsome bulungi ssiniya eyookuna, eddaala eriddako ndisomere ku kibuga e Kampala. Nti era yali mwetegefu okunsuula omukono okutuusa nga nkooye nzekka okusoma.

Olwawulira ebyo, kata mpunge. Naye essanyu nnalikweka munda yange era kata linjabye. Era Walude tawena ffenna ab’awaka n’atukwanga obupapula bwa ssente obupya ttuku. Teyalwa n’atulekera endagiriro ye era n’atusiibula. Ssaalonzalonza emmotoka ne tugirinnya basatu ne mbawerekerako okumalako ekyalo Salye awo ne ndyoka mbasiibula. Nnakomawo eka nga nneewuunya ebikulu Lugaba by’akola.

Ebibuuzo eby’akamalirizo byali bibindabinda, ng’ate erudda abasajja Abagisu bandi bubi. Baali bambuuza ddi lwe nnali ow’okusasula ebbanja ly’omusambwa nsalibwe embalu.  Bakira nga nze kabula kata okuggyamu n’empale mbakudaalire nti ke nnalokoka tebaali bankumpisaako newankubadde akamwano akasala enjala. Nabo olwalaba amampaati n’amagimbi ge nnali mmeze, ne banzisa akasiiso ow’endali k’assa omukukumi.

Lwakya lumu eyo mu ttumbi ne mpulira omusinde gw’ehhoma eya kadodi. Nnali nneesibidde mu kasiisira kange nga nsoma ebitabo byange ku ka ttadooba, nga nnende n’ebigere mbisimbye mu bbaafu y’amazzi agannyogoga. Amangu ddala kattadooba nnakafuuwa, ne nzingyako n’ebitabo byange ne nzira mu ddinisa. Olwali okutunula wabweru, nnalaba agasajja ga lumiramwoyo nga gabagalidde embuukuuli, ebitimba, amafumu n’amatooki nga geebunguludde akasiisira kange konna!  Olwo ehhoma ezajja nga ziwuuna zonna ne zisirika omulundi gumu. Mba nkyakubagana, ng’eno amagulu bwe ganjugumira n’ebyoka okunneggunda mu lubuto, agasajja ne gakuba olube nti;
Awoo yaayaa..! Bamasaaba khwaleeta…!”                                                   
Awo nate ne galanya buto ehhoma nga bwe gasamba ebide ku ttaka n’okulya mu ndago nti;

Leero Leero hee…!
Leero Leero …!
Syeta omwana afaane bbaabba we!”

Olwawulira obukule, obuluulu n’enswagiro, ne nkimanya nti ebintu byali birungi si birungi ng’omwana afaananye muliraanwa. Nnatandikirawo okufaafaagana ng’entungo eyiika, ne neetala akasiisira n’okukirako akataayi ku nswa. Mba nkyasattira ng’omukunku eyeekoonye, Wameera, omuvubuka eyali akulembedde ekiwenda kino, n’alya mu ttama nga bw’agamba nti; “Mukwasi, bw’oba omugezi ffulumayo mangu mu kasiisira! Keweemotya n’ogaaniramu, ennyumba yo tugenda kugisereekulula tukukukunuleyo ng’enseene!”

Bwe nnawulira ebigambo bya Wameera ng’awanda muliro, ne mmanya nti singa sseesiba nkerekejje agasajja gaali gayinza okunkutula akaligirigi. Siwena oluggi ne ndukomeka, ne nsomba emmeeza n’entebe ne nzibawo buli kituli. Nnali nkyabiyita bya kubalaata, ŋŋenda okuwulira ng’ensambaggere n’emigobante biyiikira oluggi ng’enkuba. Olwo ne mbyangatana ng’afumbirwa ayitiridde. Nnayagala nfubutukire mu luggi olw’emmanju nga ndowooza nti wakiri ne bwe bantwala nga ey’oku viivi tekyasaka, kaliggweeramu eyo. Naye mba nkyamagaladde, ŋŋenda okulaba ng’akasolya k’enju agasajja gatandise okukatakula gatere gangwe ku mutwe. Bwe nnalaba nga bye nsiba bikutuka, nnasalawo okweyiwa amanda mu mbugo; Nneesiba ekitambaala ku mutwe era ne nfuluma enju mu mirembe ng’endiga eyeetwala eri omubaazi. Olwo agasajja agaali mu luggya ne gakuba oluyoogaano nti;
“Umusinde waaweere!” (Omulenzi awedde).

Abaali balinnye ku kasolya n’abaali banteegedde ebbali mu lusuku, tebaalwa ne bakukunukayo nga bonna baswakidde ne bannyambulamu essaati. Amangu ddala, abantu abaali bateevuunya ng’obuwuka, banzikakkanako ekiyiifuyiifu ne banzirusa kifuba-ddembe nga bwe baakoloobya ennyimba z’embalu. Mu bavubuka be baali bagombyemu obwala, mwe mwali n’evvubuka eriyitibwa Odaada. Lino lyo lyali likuliridde nnyo ng’era buli olukya balyewerera okuliyisaako ekyambe ky’embalu. Lyali liwanvu ng’olusolobyo ng’ate lya kiwago. Naye ekyasinga okwewuunyisanga abantu, ky’ekigere kyalyo ekyali kyabyabyatala ne kigaziwa n’okukirako ekitiiyo. Kale buli lwe lyaddukiranga mu musenyu oba enfuufu, nga ligenda lisenda bisende ng’ekitiiyo bwe kiyoola n’okutikka omusenyu ku mmotoka. Ku luno nnalyo teryalutonda era bakira nga lyo lye basinga okuzinisa n’okuyimbisa ennyimba z’embalu. Nze omumwa nnali ngutunzeeko mpiso ng’era nkola gwa kudduka gwokka.

Agasajja gaatuddusa okwetooloola ekyalo Salye kyonna. Gaagiranga ne gakuba Odaada amatabi g’emiti mu mugongo n’ebisubi ebisiiwa nga kibugga, ng’eno bwe gamufuuyira enkanja z’amalwa mu maaso,  n’okumusiiga obusa bw’ente. Nze mu mutima nnali nsaba Lugaba annyambe amponye agasajja agaali geeyongedde okutaama ng’enjuki. Naye nnasigala ndi kwebuuza ekintu kimu lwaki nze gaali tegali kundiisa kakanja nga bwe gwali ku Odaada? Kazi essaawa yange yali tennatuuka.

Olwali okutuuka okumpi n’ewa Ssenga Kasifa, essajja limu eriyitibwa Walimbwa nerimmegga sseddume w’ekigwo, okutemya n’okuzibula nga ssekalootera anywegedde eddimwa. Awo agasajja gonna ne ganzikakkanako ng’agawendule ne gansakata kibooko ezisiiwa nga kwe gatadde ensambaggere, agakonde n’okumpujja embajjo z’empi. Ebyo nnandibigumidde, naye olwalaba ng’erimu ku gasajja agaali gankuba teryali Ligisu, ng’era terimanyi na ngeri akaso gye kalumamu, ne neesala akajegere nange ne ntambuza ehhuumi.  Nnawuumiza essajja ekikonde ku luba ne lifujja n’omusaayi. Kuno kwalinga kukasuka jjinja mu njuki. Olwo agasajja gonna n’obwana obwali ku mugano, bangiikira kirindi ne banvulungula mu bitaba bya mukoka. Tebaalwa ne baleeta n’ebidomola by’amazzi ne baganfukumulako gonna nga bwe bannyigira mu bitoomi n’okunsamba ng’omupiira wakati mu kkubo. Essajja eddala lyansamba mu lubuto n’oluvannyuma ne lisumulula empale yaalyo ne lifuuyisa omusulo ku mutwe gwange. Eddala lyo ly’aleetera ddala omusulo mu bbaafu ne ligunjiira gwonna mu maaso kata nzirike.

Agasajja gaba gakyakola effujjo lyago, Ssenga Kasifa gye yafubutuka ssaamanya nayo. Amangu ago nga yenna ataamye bugo yabuulizaawo nti; “Mwana w’ani oyo gwe mukolerako ebikolobero ebyenkanidde awo?”
Tawena n’abagwamu lwa mpaka n’ansitulawo mu bitoomi. Yali antwala nga bw’avuma agasajja ebbula mirimu, nago ne gambaka omukono ogwa kkono, ssenga n’asigaza ogwa ddyo. Olwo ne batandika okunsikambula nga buli omu asika azza wuwe. Ssenga yansikanga ng’eno bw’awereekereza agasajja agavumo agazito n’okugeewerera okugakuba mu mbuga z’amateeka gabitebye. Agasajja n’abantu abalala olwawulira ebyo, buli omu ne yeemulula mpola ne bayokya omusubi.

Baagenda okubuna emiwabo nga nze kitawe ntonnya musaayi. Ssenga yantambuza mpolampola n’antwala mu nju ye mwe yannyigira ebiwundu. Yasooka kulowooza nti agasajja gaali gankekejjuddeko obulya enkoko, naye ne mmugamba nti tegantayiridde.

Enkeera Ssenga nga tasalikako musale, yagwa ku buli omu gwe yateebereza okunkolako effujjo, n’ayagala okubakuba mu mbuga z’amateeka. Naye kyamubuukako bwe nnamugamba nti nze nnali bonna mbasonyiye kubanga baabadde tebamanyi kye bakola. Ssenga olwawulira nga njogera ku ky’okusonyiwa abakozi b’ebyambyone, n’agamba nti; “Mbadde mbuusabuusa nti okulokoka tekuba kugwa ddalu, naye olwaleero nkikakasizza nti, omuntu aguddemu katwewungu tekimwetaagisa kumala kukuba mayinja n’okweyambulamu engoye. Naye eddalu lirina langi ez’enjawulo. Era okulokoka y’emu ku langi z’okugwa eddalu!”

Bwe nnamala okunyiga ebiwundu, nnaddamu buto okukwazza emisomo gyange era engabo nate ne ngirumya mannyo. E Lweru essomero lyali ku musingi gwa Busiraamu. Kale nze ne munnange ayitibwa Moses omulokole kayingo, tetwalwa ne tugwamu katwewungu. Anti buli ekide eky’ekyemisana bwe kyavuganga nga tutanula ogw’okubuulira enjiri mu buli kibiina. Moses yabuuliranga mu Lungereza, ng’ate nze nzivuunula by’abuulira okubizza mu Luganda. Abaana abamu baatuwulirizanga, naye abasinga obungi ne batukuba olube nga batuyita bannabbi ab’obulimba. Anti mbu Abalokole baali baabalimba dda mbu enkomerero yali yakutuuka mu mwaka ogw’enkumi ebbiri n’etatuuka. Ko abalala nti ffe tetwalina njawulo na kawenkene kanywamusaayi ayitibwa Kibwetere. Anti mbu Kibwetere ono yadda ku bagoberezi be e Kannungu mu bugwanjuba bwa Uganda, n’abateekera nabbambula w’omuliro ne basirikkira mu ssinzizo lye. Era amawulire gaabifulumya nti abagoberezi ba Kibwetere abakunnukiriza eyo mu lukumi n’omusobyo baali basirikkidde mu nnakibengeyi w’omuliro ne bakkirira e Kalannamo. Era mbu kyali kiteeberezebwa nti Kibwetere naye yali Mulokole. Naye Abalokole abasinga bino baabyesammula ne bagamba nti bannaddiini baali babasibako matu ga mbuzi okubaliisa engo.  Kale nno naffe bwe twagezangako okubuulira enjiri mu bibiina, ng’abaana bakuba oluyoogaano nti; “Ye mmwe ba Kibwetere!”

Abaana buli lwe baatuvumanga nti tuli ba Kibwetere, nga nze nzigwamu amaanyi. Naye ye Moses yeeyongeranga bweyongezi n’okubuulira enjiri. Era abaana lumu beekandagga ne baggyayo ekide ky’essomero ne bakikuba ng’obudde tebunaggwaayo. Tebaakoma awo ne batutiisatiisa okutuwaabirayo mu bakulu b’essomero nti twali tubaabuulira eddiini ey’obulimba. Nze bwe nnawulira ebyo, ne nkeendeeza omuliro, naye ye Moses n’alemerako. Era lumu yasaba era n’alagula mu linnya erya Yesu nti endongo esiibula abaana ba ssiniya ey’okuna yali yakudobonkana, ne kituukirira. Awo abaana bonna ne bamukazaako nti yali musezi, sinakindi mulogo.

Ebibuuzo nnabyetegekera wakati mu bunkenke nga nkimanyi nti singa kantanda ne bimmegga, nnali wa kukifuuwa nga nkizza munda. Aba Tigers Club nnali wakubagamba ki? Nandiki Walude nnali wakumulimba ki? N’olwekyo nnasalawo okusulanga mu bitabo nga kwe ntadde n’okubyebikka. Ng’ebulayo omwezi nga gumu gwokka, olwamalanga okulya eky’eggulo ewa Jajja, nga nkasibira ewa mukwano gwange Omusiraamu ayitibwa Luwaga mu Kafutano, ne bannaffe abalala. Olwo ebitabo ne tubyota buliro paka obudde kejenge.

Nze nnali nsinga kutya kubala. Anti nga bukya nziramu okusoma, nga mu kubala nsomba myenda myereere. Kino kyali kiyinza okunviirako obutayitira mu ddaala erisooka newankubadde ng’amasomo amalala nnali ngakuba budinda. Naye bannange naddala Luwaga, baalwana bwezizingirire okuntangaaza n’okumpabula mu bibuuzo bye nnali ssitegeera mu kubala.

Kinyiri, omu ku bayizi eyali kagezimunnyo mu kubala, yali yammalako ebyewungula. Yalina omutwe ogw’empalaata nga gwefaanaanyirizaako endeku eriko amaaso. Era abayizi abasinga baali baamukazaako lya Zzonto-omugezi. Anti buli lwe kaakutandanga n’omuyita akulagirire ku kubala, ng’asitukiramu n’atandiika okukusaliza ebibalo. Yabaliranga kumukumu ng’eno bw’akubuuza ebibuuzo eby’amangu nti; “Kkumi na musanvu emirundi mwenda ziba mmeka?”
Bwe wasiriikirirangamu katono bw’oti, n’akuwujja oluyi nga bw’akubuuza nti; “Kikumi ataano mu munaana bw’ogabizaamu musanvu ofuna mmeka?”
Bwe wawuunanga obuwuunyi, ng’akukuba ogukonde mu mugongo nga bw’ayomba nti; “Naye mpuuta ggwe! Buwuttufu bwa kika ki obwo obutasobola kuteebereza nti zibeera  abiri mu emu n’obutundutundu munaana?”
Musajja wattu wagendanga okuva awali Kinyiri, ng’enkuku, empi, ebikonde, n’ebivumo by’ogabanye, ettaka ttono.

Naye nange nnamukwasizanga ku lulimi Olungereza, olwo wamma ne ziryoka zidda okunywa ng’omumizi n’omuwuwutanyi tusisinkanye. Kinyiri yalinga awandiika Olungereza ffe lwe twali twakazaako nti lusamba bitooke era olukuba n’embogo. Era lumu twagwa ku bbaluwa gye yali awandiise ng’esoma bw’eti;

My names are Kinyiri. Iam a 19-years old boy, working my O-level this year. My father leave us when I was still youngest. My mother dead last year and there is five youngest brother and two sister after me. Now Iam a oldest person in home, and I needs to looking after them. I want to finished my O-levels so that I can got a work, but my problem are that I doesn’t has moneys to pay for my school feeses. I asked my sister to has sex with large men to get moneys, because I can’t think of any other way to paying my school feeses  and buy foods and other thing we needs for the family…”

Newankubadde ng’ebintu Kinyiri bye yateranga okuwandiika byali bikwasa n’ennaku, nze kumpi nnaggyangamu n’empale yange nange ne nkudaala nga bwe mmusekerera obwebafu obwamutuusa n’okwezoobanga n’ekinyanyimbe.

Naye eby’okuseka nnabizzanga ku bbali buli lwe nnalengeranga omusomesa waffe ow’okubala. Ono ye abaana baali baamukazaako lya Funny Face oba “FF”. Anti mbu omutwe gwe gwali gwakulamu ng’ogwa sseddume w’embizzi, nga n’amannyo ge gaasongola ne gawanvuwa n’okukirako emimwa gye. Kale buli lwe yagezangako okuseka, ng’abikka ku mannyo ge n’omukono mbu galeme okulabika. Olwo bo abaana n’abalekera ekibbo ky’enseko. Naye yabakwasizanga mu kubala. Funny Face yali tabala ne babala. Buli lwe yamalanga okusaza ebibalo ku lubaawo, ng’atuwa eby’okukola ng’eno bw’ayitaayita mu baana okugolola ensobi. Buli lwe yatuukanga ku nze n’alaba ‘amajaani’ ge mpandiise, awo n’alyoka akuba evvu nti;

“I shall not tolerate such foolishness! Mukwasi, you are capable of gettinga a first grade. But I do not want you to get a D1 in Math. I only want you to get a pass 8. But I will not waste my time on you! Remember, we are moving towards UNEB headquarters at Ntinda. But for you instead, you’re moving towards Kikooli and Kakunyu!”

Olwayogeranga ebyo, olwo abaana ne batulika nga kasooli ne basekera waggulu n’obugere ne bwegalika. Amangu ddala ng’abuulizaawo nti; “Who is that one laughing with a funny face?”
Olwo ng’ate fenna tuddamu ne tuseka nnyindo yankolera.

Ebibuuzo tebyalwa ne bituuka. Ng’ebula mbale ekkalaamu zitandiike okunoonya empapula, buli muyizi n’abatamanyi mulyango gwa kkanisa oba muzikiti gye gutunula, baakasibiranga mu masinzizo. Nze nnasuubiza Liisoddene nti kempita ebibuuzo, ndi wakumuddizanga kimu kya kubiri ku buli nsimbi zenfuna. Era ebibuuzo tebyalinda, ne bikonkona.

Abayizi abakola amasomo ag’ekikugu aga Science,  be basooka mu nsiike. Nange waliwo agamu ku go ge nnali nkola. Naye nga nnali mmanyi magezi ga mu bitabo gokka. Go ag’okutabulatabula ebintu, eddagala, n’ebiringa ebyo nnali ssibimanyi. Kale bwe twayingira mu kibuuzo ne tutandiika okutabulatabula amalagala, okusala ennyaanya, emicungwa, eby’ennyanja, ebikere, n’amagumba g’enkoko, nga nze ntunula biriroliro. Anti bino byo twalinga tubyegezaamu bbalirirwe era abasinga ku ffe guno gwe gwali omulundi gwaffe ogusoose okubikwatako mu kibuuzo. Bangi ebigiiko n’obwambe baabikwatanga bakankana nga bwe bazunga nga balugu atannakwata muti. Mary, omu ku bawala bwe twali tuviira ku kyalo Salye, mu kukankana okungi, yeekanga atomedde Bunsen Burner kwe twali tutokoseza amazzi, neegwa eri. Olwo fenna ne tutandika okwemasagga ng’eno bwe twetawula tuva eno tudda eri ng’ababuliddwako eby’okukola. Awo nange we nnafunira ekyanya ne hhenda nga ntunula ku mpapula z’abaana abagezigezi ndabe bye baali bawandiise. Nnabayitangamu lukwakwayo era okugenda okudda ku mmeeza yange nga ntegedde bye nteekeddwa okuwandiika.

Amasomo aga Science olwagamala, ne tubakana n’olulimi Olungereza. Olwo nnaluwuuta buva, nate ne zireeta Okubala. Kuno nakwo kwantunuza ebiwekete ne ntakula omutwe n’okutunuulira amabaati nga binsobedde. Naye olw’okuba nnali nkutteyo ennamba nnya ez’obubonero obungi, okwo kwe nnasibira olukoba. Era olwaziraba mu kibuuzo, ne nzisaza nga nnumye n’ogwe ngulu. Ekyanzizaamu amaanyi kyali nti obudde bw’agenda okuggwaayo, nga nkyalinawo bye mpandiika.

Byo ebibuuzo eby’amasomo amalala kumpi byonna kwalinga kuyisa mukka mu kisero. Era ebisinga nnabimalirizanga obudde tebunnaggwa nayo, ne nzira mu kukuba bulatti ng’omulwadde omubatize. Olwo bo baana bawala ebibuuzo be byali bitunuzza empwangali,  ne banzisa obupapula. Omu ku bo yampandiikira akapapula nga kuliko obugambo nti; “Mukwasi bambi nnyamba, ondagirireko No. 6(a) ne  9(b). Nkusuubiza nti bwe tunaava mu kibuuzo ne bwonsaba obulamu bwange nja kubukuwa!”
Ye omuwala omulala eyali antudde ku mukono ogwa kkono naye yattunkiza ogw’okumpitaayita obutasirika. Olwo nze we nnali ne nkamuka entuuyo nga ntya nti abakuumi baali bayinza okutukwata olubona nga tuwaya, ne gujabagira. Naye mwana muwala enkucwa olwalaba nga nneefudde kiggala, n’antega akatego ak’okunzisa amabbabbanyi. Anti olwali okukubayo eriiso gy’ali, nnalaba yenna ng’atudde ekyaziyazi omugumba ky’atuula ku mbaga, nga n’amagulu ge gombi ali mu ku gakubya ey’Abayege. Amangu ddala nnawulira amasannyalaze   mu mutima ne mu mubiri gwonna wamma ggwe n’entuuyo ne zeeyongera okukamuka. Nnagezaako nnyo okwewala okutunulayo nate naye nga mu mutima gwange ekirowoozo ekiwoomerevu kinkuba akaama nti; “Ttunulayo nate. Tekiriimu Setaani!”
Naye ekirowoozo ekirala ne kinzijira nti; “Totunulayo. Ekyo kikemo. Katonda ajja kukunyiigira!”
Ekirala ne kiddamu mangu nti; “Wamma tunulayo, abadde nti byonna bitonde bya Katonda, ate oba olaba n’embwa tesobola kuzira mata!”

Awo nange olwakubayo eriiso ery’okubiri, mwana muwala endalagge ne yeekyusaamu katono bw’ati ng’eno bw’annyigira ne ku liiso lye ery’ekisa, nkugambye nga yenna agonze akirako n’eryenvu. Bwe nnalaba nga gususse ew’omulamuzi, ne nzirira okugulu kwange okwa ddyo ne nkutuuza ku kwa kkono. Olwali okusalako, ne nvuunika omutwe gwange ku mmeeza nga bwe hhamba nti; “Oba nfa, kanfe, naye nga situnuddeeyo mulundi mulala.” Ebyo nnabyogera ng’eno ebifaananyi by’ekyo kye nnali ndabyeko byesomba mu bwongo bwange n’okukirako kawawa ku nte. Bwe twafuluma okuva mu kibuuzo, entaalu y’omuwala nate y’ankoonako nga yenna atunula nga lumonde omunyigire mu mulyango, n’ahhamba nti; “Mukwasi, lumu olijja gye ndi ng’ofa, naye nange sirikwolesa newankubadde ku ntumbwe y’okugulu kwange okwa kkono!”

Olwakuba ebibuuzo oluku mu mutwe, nnatandikirawo okutema empenda ez’okutoloka okuva ku kyalo Salye ng’agasajja agasazi g’embalu teganahhombamu bwala. Bwentyo nnasookera ku kuwulugumiza aba Tigers Club olukomo lw’essimu ne mbasaba bansuule omukono ku by’okutoloka. Nnabakakasa nga bwe nnali ntandiise okuliira ku nsiko okusobola okwebalama agasajja agaali gatandiise okumpenja obuseenene gankomole kifuba-ddembe. Era nnatemyako ne ku Ssentamu omusumba w’Abalokole mu Kafutano eyankakasa nti Baibuli tewakanya kukomolebwa. Naye nti ky’ewakanya gy’emikolo egikolebwa mu kukomolebwa egitaweesa Katonda kitiibwa. Nange olwawulira ebyo, ne neemulula kibombyambwa mu kimpoowooze ne ntoloka okuva e Salye yogaayoga ku Tigers Club House e Mengo.

Bwe nnayitirayitiramu abakulu ba Tigers Club ku kabaate k’okusalibwa embalu ke nnali njolekedde, tebadda mu kuwannaanya. Uncle Andy yakwata mu ndyanga era n’alagira omukyala omuzungu ayitibwa Maggie  ne banteeka mu mmotoka yogaayoga mu ddwaliro ly’Abasiraamu e Kibuli nkomolebwe.

Ebyankolebwako mu ddwaliro e Kibuli byandeka abasawo baayo mbaasimula bugolo. Anti nnende nnali ndowoozezza nti abasawo abasajja be baali bagenda okunkomola. Naye kyambuukako bwe nnalaba mwana muwala eyali ayambadde ekiteeteeyi ekya kiralagala ng’asibye n’ekitambaala ekyeru ku mutwe bwe y’ampita okwesogga ekisenge. Bwe nnayingira mu kisenge, nate nnasangayo mwana muwala omulala. Ono yali muwala wa kigero nga mweru era ng’ayogera asikattira mu bigambo. Olwamala okumbuuza n’okuwandiika ebinkwatako, y’andagira mbu nneeyambulemu empale. Nnali nkyekwatakwata, omuwala n’akangula ku ddoboozi nti; “Ssebo ggyamu empale! Simanyi olinda nze mwennyini ngikwambulemu?”

Amangu ddala omuwala omulala ne yeesogga mu kisenge n’ebisowaani eby’amabaati awamu ne ppamba mu bucupa. Bwe yalaba nga munne akyandagira okweyambulamu empale, ye kwe kugamba nti; “Hm! Akweka buki obwo bw’alowooza nti tetubulabangako. Ssebo, ffe twalabaalaba dda ebiduduma n’okukirako emizinga gya Idi Amin Daada!”
Yagenda okumalayo ebigambo bye, nga nze empale nnagisudde dda ku ttaka. Omuwala ow’ekigero kwe kumbuuza nti; “Ate akawale ak’omunda okalekeddemu ani? Wano olabawo mukazi wo nti y’anaakakwambulamu? Weeyambule mangu ggwe nze ntere ndabe obuzito bwe ŋŋenda okusalako!”

Bwe nneeyambula nzenna ne nsigala buswa, nawalampirawo mangu ekitanda nga ssaagala bawala bano kunneetegereza. Omuwala eyali akutte ebisowaani kwe kunduumira nti; “Weebake kya bugazi n’amagulu ogaawule!”
Olwayogera ebyo, bombi ne bafuluma. N’akataayi tekaasala, ne zireeta abasajja babiri nga beesibye ebitambaala ebyeru ku mimwa ne ku nnyindo. Omu kwe kumpumuggula oguyiso ku mutaka yennyini ne mpulira ng’obulumi bumpita mu busomyo. Tebaalwa ne bangalamiza bulungi ne baggyayo makansi n’obwambe obumyansa nga ffeeza. Okutemya n’okuzibula ng’ekikuta baakikutuddeko dda! Nneewuunya nnyo kubanga ssaawulira ku bulumi bwonna ng’oggyeeko obw’empiso gye bankuba ku ntandikwa. Abasawo olwamala okuntunga n’okunsibako zi bbandegi, nnayambalirawo empale ne ntambula bulungi ng’atalina kinkoleddwako, ne nfuluma. Nnasanga Maggie yasasudde dda ebisale by’eddwaliro byonna. Bw’atyo y’andagira ne nnyingira mu mmotoka ye ne tuddayo ku Tigers Club e Mengo.

Obujjanjabi n’ebigenderako byonna nnabifunira ku ddwaliro lya Tigers Club. Nnasulanga wamu n’abaana abalala enfunzi abaalinga bafunye obuvune obutali bwa ngeri zimu. Maggie y’eyakeeranga n’ankuba empiso n’okunsumululako bbandegi enkadde n’azisikiza empya. Naye buli lwe yajjanga n’ankwatako nga njula okufa ensonyi. Anti eby’okwambalanga empale nnabimma amazzi ne nsiibanga mu ssikaati oba mu leesu. Obulumi bwalinga butono, naye ng’eyo ekiro mu ttumbi ng’ekizimba kisamba eddagala. Nnawuliranga okubalagalwa mu bbwa nga gwe bakamulira kamulali mu mmunye. Anti nga buli lwe nneebakanga ekiro eyo mu ssaawa ez’akawozamasiga, nga ssekalootera asomba ebirooto eby’obuseegu ebipya n’ebikadde. Olwo nga nzenna nzuukuka njase n’okukirako ekisiki ky’omuliro. Nneezulanga ndi mu bulumi obw’ekitalo olwo wamma ne ntambula kimbalimbali okufuluma ebweru nfuyibweko ku mpewo okukakkanya ku mbeera.

Ekirungi kyali nti Maggie yanzijanjaba bulungi nnyo, era waayita wiiki emu yokka ne nziramu okwambala empale. Era ebiseera ebyo nnali nvumbudde Kojja Walude gye yali abeera mu kibuga. Bwentyo olwasiibulwa okuva ku Tiger’s Club nnakasibira Kampala Mukadde ewa Walude. Nnasanga agenze kukola mirimu, bwentyo kwe kusalawo okumulinda okutuusa lw’anadda.

Kyambuukako, ewa Walude gye nnali nsuubidde abalamuzi nnasangayo bassi. Nnali nsuubira nti nnasanga omwami nga yazimba enju olubiri lulamba. Naye nnatuukira mu kiyumba ki baamututtebukya. Awo nze kwe kwebuuza nti omusajja Engineer omulamba gwe bavugira ne mu mmotoka ez’ebbeeyi, asula atya mu kiyumba ekifulukkwa? Mba nkyewuunya ebyo, ne wafubutukayo abantu okuva mu bisenge nga buli omu ambuuza nti; “Tusangaire! Koizeeyo!”

Mu bano mwalimu abakyala, abawala, abavubuka n’obwana obuto. Nnagenda okubalaabalamu abantu abambuuzizza nga bakunukkiriza mu kkumi. Bwe baddayo wabweru, ne mu bisenge ebya kkateni, nneebunguluza ku maaso okwetoolooza eddiiro mwe nnali ntudde. Entebe zaali za bbeeyi, kkapeti, ddoloowa, emmeeza n’ebigenderako. Ttivi, leediyo lugogoma n’amataala nabyo byali bitemagaana nga mukene mu ddiiro. Ebifaananyi bya nnyinimu ne kabiite we nga batikkirwa amadiguli, nabyo byali bitimbiddwa waggulu ku kisenge nga baloola. Mba nkyalozoolera, ne zireeta omuwala omu ng’aleebaleeba n’ekikopo kya kyayi, n’afukamira era n’akiteeka bulungi ku mmeeza. Nnamwebaza, era bwe yandaga akabina okuddayo, nange ne nzira ku byange. Nnakanda kulinda bandeetere eby’okunywerako  nga buteerere. Omuwala bwe yadda, kwe kumbuuza nti: “Omalire okunywa kyayi?”
Awo nze kwe kukwata ekikopo kya kyayi ne ntandika okunywa, naye nga tewali njawulo na ku muntu anyweddemu amazzi.

Eky’emisana bwe kyatuuka, omuwala y’omu n’ajja n’essowaani mu ngalo n’agiteeka mu maaso gange ku mmeeza. Ku luno teyafukamira. Bwe nnatunula ku ssowaani, kwaliko omunwe gw’ettooke gumu n’ekibajjo ky’ejjuuni nga bitabuddwamu ebinyeebwa. Olwali okubikwatako, ne biggwawo. Olwo omuwala kwe kuyima mu kisenge ekirala n’andagira okutwalayo essowaani mu ffumbiro bwemba nga mmaze okulya. Nange kye nnakola, era ne neenoonyeza n’amazzi ag’okunywa.

Olw’eggulo zaaleeta abantu abalala, omwali abaana abasoma, n’abakyala basatu abaalabika ng’abalina zi ofiisi mwe bakolera. Kale enjuba yagenda okugolooba, ng’awaka wajjudde abantu abasoba mu kkumi n’abataano. Mu baali bakomyewo, mwe mwali n’omukyala muka Walude eyatusanga nga tulaba ttivi mu ddiiro. Ye olwamala okutulamusa, n’akwata ttivi n’agitwala mu kisenge kye, n’alabira eyo yekka. Walude mwennyini yakomawo nga mukoowu nnyo era mu ddiiro yatuulawo katono. Yali asituka agoberere mukyala we mu kisenge, ne nkamutema nti Abasiraamu baali bantayiridde era nti enkeera nnali nsuubira okuddayo e Salye. Nnamukakasa nti n’ebibuuzo nnali mbimaze era nga ndi mu kunoonya kya kukola mu luwummula. Bw’atyo naye y’ahhamba nti ebibuuzo bwe biddanga, mmutemyeko alabe engeri gy’ayinza okunsuula omukono. Olwayogera ebyo ne yeggyawo okugenda okugandaalako.

Eky’eggulo baalya muceere na nnyama. Naye olw’okuba nze nnava buto nga ssirya nnyama, ekiro ekyo nnalyako empeke nga bbiri ez’omuceere ze baali banteeredde ku bwaguuga bw’essowaani. Ogw’okwebaka bwe gwatuuka, nate ne gujabagira. Anti nnali nneesunze dda okusula ku kitanda double bed mazongoto, okuli emifaliso yinki mukaaga, amasuuka ameeru ne bbulangiti ey’ebyoya. Naye kyambuukako omuwala omukozi bwe yankasukira akasuuka k’omwana ayonka, era n’ahhamba nti nnali wa kwebaka mu ntebe mwe nnali ntudde! Era mu ntebe mwe nnafunyiza omugongo nga bwe nsaba ne Lugaba obudde abuggyeko mangu eddiba ntere nviire ebinene bya Wanga.

Enkeera Walude bwe yankwanga ku kavu w’ensimbi, nnasibira Salye. Eyo nnasanga kumpi buli omu ng’akimanyi nti nnatoloka ne hhenda okukomolebwa mu ddwaliro ly’Abasiraamu. Olwatuuka ewa Jajja nnalekera awo okwambalanga empale, bwentyo ne neesiba leesu Maggie gye yali ampadde okutuusiza ddala nga mponye. Bwe nnatandika okudduka n’okusamba ku mupiira, ne nkimanya nti nnali nzivuunuse obulumi bw’embalu. Agasajja agaalinga ganjigga obuseenene mbu gankomole, gaatandiika okuntunuulira ekiziimuziimu, n’agalala ne gatiira ddala okunsemberera nga gawoza kimu nti; ‘Oyo Mulokole, takwatibwako!’

Bwe nnalaba ng’ekyalo kintuuliridde nnyo, nnasalawo okusaba Jajja anzikirize nzireyo ku kibuga. Nnamugamba nti kyali kinneetaagisa okugenda nkole ku ssente ezisobola okutubeezaawo, nga bwe nninda n’ebibuuzo okudda. Jajja yanziramu nti; “Muzzukulu mpulira kiyegu ankutte, n’ekifuba kinjakirira mu nda yange ng’omuliro. Naye kati w’otuuse osobola okwesalirawo. Kye nnali ntya kwali kukuleka nga tewali muntu akukwata ku mukono. Naye kati nga bw’osomyeko, wuuyo kati ofunye n’emikwano abakusudde akabega, kati Lugaba ne bw’ampita, nfa omutima gundi wamu.”

Nnali nneetegese okugenda ku lunaku oluddirira, naye ekiro ekyo Jajja yakolola nnyo nga bw’asikondoka, nnentya nti yali ayinza okukolola n’olulimi lubuukeyo mu mumiro. Era ku makya bwe nnamubuuza embeera nga bwe yali, Jajja yanziramu nti; “Muzzukulu, nkolola, naye ekyo tekikulobera kugenda ku kibuga. Nkusabira otuuke mirembe era ofune okuganja mu maaso g’abantu.”

Nnayagala nnyo okusigala ndabe embeera ya Jajja nga bw’enaabeera, naye mwennyini n’ankakasa nga bwe yali ow’okuba obulungi.  N’ekirala nnayagala mmusabire, Yesu asobole okumuwonya olunnabe lw’olumbe naye ne mbuusabuusa. Nnatya nti kino kyali kiyinza okumuyisa obubi. Bwentyo nnasigala ntunula kimpewuukiriza ng’embwa esitamye ku ntaana.

Ssaalwa ne nessa mu ddene yogaayoga Namuwongo ewa Chantal nate. Eyo ebintu byansobera eka ne mu kibira. Anti nnasanga ng’abantu be nnalekayo baasenguka dda ennyumba baagireka ttayo. Bwe nnabuuza ab’oku muliraano, omu ku bakyala ab’oku mizigo kwe kukantema nti Chantal yadda Muyenga. Era teyali mubi n’andagirira ekitundu gye baasengukira.

Nnatambula mukungujjo okwambuka akasozi Muyenga nga nnoonya Chantal gye yasenga n’amaka ge. Ssaalwa ne ntuuka ku kikomera kya ssabakenkufu Ssemakula Kiwanuka omwali ennyumba Chantal mwe baali basengukidde. Olwakonkona, mu kikomera w’avaayo omuvubuka kaddugala eyanzigulirawo. Bwe nnamubuuza Chantal, yanziramu nti yali yagenda mitala wa mayanja era nga wa kukomawo nkeera. Kale olw’okuba nze n’omuvubuka ono twali tetwemanyi, nnamubuulira amannya gange, nze ne neeyongerayo.

Embeera yeeyongera okumbijjira, anti nga sirina wa kwegeka luba. Bwentyo nnasalawo okugenda nga nkonkona ebikomera bya babigegere e Muyenga, nga mbabuuza oba balina ku mirimu egya mukomba bbokisi bannyambe. Naye buli we nnakonkona, ng’enzigi banzikuba mu maaso. Abamu bahhambirangawo nti mbaviire bo tebakolagana na bayaaye.

Bwe nnalaba ng’embeera yeeyongedde okulinnya enkandaggo, nnatindigga olugendo okuva e Muyenga yogaayoga wa Walude e Kampala Mukadde. Walude bwe yambuuza ebikwata ku bendeseeyo eka, nnamuddamu kimu nti bonna balamu katebule, okuggyako Jajja eyali akololamu. Era ekiro ekyo nate nnasula mu ntebe.

Enkeera ssaabugumya na ku mbooge, ne nzirayo buto e Muyenga n’e Kansanga mu bikomera bya babifeekeera n’ebitongole by’abazungu eby’obwannakyewa, nga nnoonya mirimu. Nnatambula ne nkamuka entuuyo okunzigwamu, naye nga tewali mugagga n’omu ahhambako wadde nti oba komawo enkya tulabe. Olwalaba nga ndi kutengejjera busa, nnasalawo okuddayo ewa Chantal mbuuze nate oba nga yali akomyewo.

Bwe nnatuuka ewa Chantal, omuvubuka kaddugala nate y’eyanzigulirawo ekikomera. Bwe yandaba kwe kuŋŋamba nti Chantal yali akomyewo, naye ng’agenze ku Speke Hotel, gye yali akolera. Bwe nnali mmusiibula ntere hhende okusisinkana Chantal ku kibuga, omuvubuka kwe kumpita era ne nzita ku bigere ntere mpulire ky’ahhamba. Olwakyuka n’ambuuza nti; “Kozi wahhambye nti bakuyita Mukwasi?”
Ko nze nti; “Ye ssebo!”
Awo ye kwe kuhhamba nti; “Waliwo abavubuka babiri abazze wano jjo nga wankavaawo. Bahhambye nti baviira ku kyalo Salye, naye mbu JAJJA WO YAFUDDE!”
Bwe nnamubuuza amannya g’abavubuka, y’ahhamba nti; “ Omu bamuyita Byansi, ate omulala ye Kiiwa. Olwawulira amannya ago gombi, nnakikakasa bukakasa nti kituufu.

Bwentyo olwasiibula omuvubuka, ebiyengeyenge bya nzija mu maaso, omutima ne guntyemuukirira, amagulu ne ganjugumira, emitaafu ne gineetimba mu kyenyi, nkugambye nzenna ne ntunula ebiwekete. Nnalabira ddala nga Jajja ke yali afudde, ennaku nnali wakugiyonka butaaba mu bantu abatammanyi. Nnasalawo okutambula nzire ewa Walude mmubikire nga Jajja bwe yali akkiridde e Kalannamo.

Ewa Walude nnatuukayo ng’obudde buwungedde, naye ssaamusanga waka. Omu ku bawala b’awaka olwandabako kwe kuhhamba nti; “Wabula muvubuka ggwe olina omutima ogw’ekko! Ggwe abantu bo bwe bafa tobika? Amawulire gaatutuuseeko wano nti Jajja wo yafudde jjo! Oli muntu nnabaki ggwe aleka Jajja wo omulamba ng’afa n’osalawo okujja ku kibuga, ate n’otatubuulira nako?”
Awo nange kwe kwewozaako nti; “Ekituufu kiri nti Jajja nnamulese ng’akolola, naye ssaategedde nti yabadde agenda kufa!”
Omuwala y’antunulako ng’ekyenyinyaza, ye ne yeeyingirira mu kisenge kye.

Akawungeezi nnakitegeerako nti Walude yali agenze okuleeta emmotoka eneetwala omulambo gwa Jajja e Mbale. Era ekiro ekyo we nnasisinkanira ne Kojja Mufuuzwa, muganda wa Walude. Bwentyo ekiwanga nnakiwalangasiza mu muzigo gwe e Kakajjo ku luguudo oludda e Makerere.

Enkeera twabukeereza nkokola ne twambalira ku mabega nga jjenje, ne tulinnya emmotoka ya pick-up Walude gye yaggya ku mulimu, ne tweggyawo. Twayitira e Luzira okunonayo ba ssenga be nnali sirabanga nako ne tulyoka twolekera ekyalo Salye.

Nnatuula emabega mu mmotoka nga nsibye amaziga obutampitamu. Naye bwe twatuuka ku kyalo Salye, amaziga gaawaaguza mu mmunnye lwa mpaka, ne gatandika okuttulukuka. Twagenda okutuuka ewa Jajja ng’abantu baajjudde dda bonna bali mu biwoobe nga bwe beekokkola Walumbe zaaya atugumbula abalungi n’ababi. Awatali na kuyisa budde, twesogga enju okunonamu omulambo gwa Jajja tugutikke ku mmotoka. Newankubadde nga nnali omu ku abo abaasitula omulambo, nnagaana okugutunulako mu maaso, nga nneewala okutumbuka nkube emiranga. Era olwaguzinga obulungi ne tugussa mu ssanduuko, ne tugusitula ffenna kirindi, ne tuguteeka ku mmotoka.

Walude olwakoleeza emmotoka, nze ne ntandika okusiibula abakungubazi ab’oluganda, abako n’emikwano abadduukirira, era ne basulawo mu lumbe. Bangi ku bo baali bansaasira nga bwe bakaaba. Bwe nnabatunulangako, nange ne mpulira nga hhenda kutumbuka nkaabe. Ekyavaamu ne ngwa kinnakimu mu bifuba, ne mbaleka okweyuna emmotoka nga bwe mbagumya nti nnali waakudda twogere ebikwata ku kufa kwa muzeeyi mu bulambulukufu bwakwo.

Bwe tutyo bwe twasiibula ekyalo Salye. Ku mmotoka twagenderako ne Simoni Toyota, omusajja Omulundi eyali yafuuka bba w’omugenzi omutongole. Ku baatuwerekera mwe mwali ne mwami Nnyombi, omu ku basumba b’ekkanisa y’ Abalokole mu Kafutano.

Walude yavulumula emmotoka, era essaawa zaagenda okuwera ekkumi n’emu ez’akawungeezi, nga twagobye dda bumale ku kyalo Bumbooyi e Bugisu gye bazaala Jajja. Eyo nayo twasanga baakumye dda ekisiki ky’olumbe, nga n’emiranga gibuutikidde ekitundu kyonna. Abakyala abaali beebikiridde ebitambaala, abaami abaali batikidde entalabuusi, n’abaana abaali bakuunyuuka obute, bonna ng’amaziga n’ebiyengeyenge bibeetimbye mu maaso.

Omugenzi yali wakugalamizibwa nkeera. Kale ffenna twali ba kusula mu lumbe ekiro ekyo. Naye Simoni Toyota, omusajja Omulundi eyali bba wa Jajja, ye yasula ku tebuukye. Anti mbu yali awuliddeko oluvuuvuumo olw’olukwe ssinziggu. Mbu abasajja Abagisu baali beesomye okumukakkanako ekiyiifuyiifu ekiro ekyo, bamukekejjuleko akalya enkoko, mu mukolo gw’embalu. Kale musajja wattu yasula akukunadde ng’akatiko, nga buli lw’awulira akamenya oba oluyoogaano, kitawe ng’alowooza nti agasajja gamujjiridde. Naye si bwe gwali.

Nze nnasula wamu ne mwami Nnyombi Omusumba, mu nju ya kojja wange Mufuuzwa. Naye eyo ekiro mu ttumbi, omusumba yanzuukusa n’ahhamba nti yali afunye ekirooto. Mbu agasajja agalina emitwe n’emikira nga egy’enkima gaali gabagalide eby’okulwanyisa zzisabyalo nga gatwolekezza obwanga okutusaanyaawo tukkirire e kaganga tuzike. Mbu agamu ku go gaali gakuuliita n’ebiso by’embalu nga gagenda gakomola buli kiisi gwe gasanga. Bw’atyo Omusumba kwe kunkwata ku mukono ne tutandika okusaba nga tuyingirira amaanyi g’omumpembe Setaani, ekirooto ekyo kireme okutuukirizibwa. Naye olw’okuba nze nnali mukoowu nnyo, Omusumba nnamuleka ng’akyagoba n’okumenyaamenya emizimu, nze ne nzira mu mattansejjere.

Ku makya, abatuuze n’abehhanda baakeera kutulamusa. Bakira nga bambuuza mu lulimi Olumasaaba nti; “Mwagonere mutye n’imbewo?”ekivvuunulwa obutereevu nti “ Mwasuze mutya n’empewo?” Awo nze nnabaddangamu nti; “Ffe twasuze ku mifaliso, ne twebikka ne bbulangiti bulungi, kale empewo teyatufuuye!”
Awo Mumbya eyakulira e Mbale, kwe kunkoonako nga bw’ankuba akaama nti; “Ekyo si kye bategeeza. Bali kutegeeza nti ng’olabye n’ennaku y’okufiirwa.”
Nnawulira mu nda yange nga nswadde nnyo olw’obutamanya bulungi olulimi lwange oluzaaliranwa.

Essaawa bwe zaawera omunaana, nnasiisi w’omuntu ateevuunya ng’obuwuka yakuulumulukuka okuva e Bule n’e Bweya okujja okukuba eriiso evannyuma ku Jajja Kayinza. Omusumba Nnyombi teyalwa ne yeesimba butengerera mu kidaala n’atandika okuliisa abakungubazi ekigambo kya Liisoddene. Bakira ng’akikaatiriza nti; “Abantu b’e Bugisu, Yesu yafa era n’azuukira. Na buli omu ku ffe afa, naye alizuukira ku lunaku olw’enkomerero. Naye bw’ofa nga tokkirizza Yesu okubeera omulokozi w’obulamu bwo, omwoyo gwo gutuukira mu ggeyeena ne gutuntumuka omuliro. Naye bw’ofa ng’okkiririzza mu linnya lya Yesu, nga weenenyezza ebibi n’olokoka, era n’onaazibwa n’omusaayi gwa Yesu, ggwe omwoyo gwo gutuukira mu kifuba kya Ibrayimu mu lusuku lwa Katonda.”

Awo nze nneebunguluza ku maaso okutunula ku bantu abaali bawuliriza Omusumba. Abasinga ku bano baali basajja abatikidde entalabuusi enjeru ku mitwe gyabwe. Naye Omusumba baali bamutunuulira ekiziimuziimu ng’era balinga abaagala okwekandagga.

Tetwalwa omulambo gwa Jajja ne tugusitula nga bwe tuyimba ennyimba eziguwerekera okutuukira ddala ku ntaana. Nga tetunnamuyiwako ettonotono, nate Omusumba yatusirisa ffenna. Mu kasiriikiriro ako y’ampitayo mu bantu n’andagira okusoma olunyiriri mu ssuula gye yali abikudde mu Bayibuli. Awo nze kwe kusoma nti; “Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n’ogenda gy’oyagala yonna: naye bw’olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy’otoyagala.”

Bwe nnamaliriza okusoma ebigambo ebyo, Omusumba n’alagira abasajja ne bassaayo omulambo gwa Jajja mu ntaana, ne batandika n’okuyiwako ettaka. Akaseera ako kaali kazibu nnyo mu bulamu bwange, naye oluggumuggumu gye lwava ssaamanyaayo era twagenda okuva emagombe nga sitonnyezza wadde ku ttondo ly’ezziga. Abakyala n’abaana bo baakuba ebiwoobe ng’eno bwe bayimba n’ennyimba ez’okusinda ennaku. Awo mu bantu we nnafunira n’omukisa ogw’okusisinkana omusajja gwe bahhamba mbu ye taata anzaala. Kaabula kata omusajja taata mmwegaane olw’okunsuulirira, naye nnagamba mu mwoyo gwange nti omuzadde abeera muzadde era tajoogebwa. Bwentyo nnagenda ne mmugwa mu kifuba, taata naye n’asanyuka nnyo olw’okundabako nga nkuze. Y’ahhamba nti abadde andowoozaako nnyo, era nga ntakera yeesunga olunaku lwe tulisisinkana. Nange nnamuddamu nti kyali kirungi nnyo nti kabuladda yali azuuse, naye nti nnali waakudda mangu ku kibuga nneeyongereyo n’okuwatanya emisomo gyange. Nti era bwe ndifuna akadde akalala ndimukyalira gy’abeera olwo emboozi eryoke egwe bulungi amakerenda. Bwentyo ssaalwa, taata ne mmusiibula.

Twali twankalinnya emmotoka tuddeyo e Kampala, ne nnengera omuvubuka Nabende mutabani wa Kagode abaatugobaganya mu kibanja kyabwe e Salye. Yali muvubuka ng’akyuse nnyo, naye nga ssimulinaako nnugu yonna. Newankubadde nga Kagode n’omugenzi Jajja baali nga tebaakyalima kambugu, nzijukira ffe abato twali tukolagana. Kale Nabende ono kye nnali nsinga okumujjukirako yali nnyumba ey’akasiisira gye yali yazimba mu kibanja kitaawe mwe yali yatugoba. Kitaawe bwe y’akka gye batambuliza emigongo ng’obwato, Nabende yattunkiza ogw’okunkyaliranga mu kifo ekipya mwe twali tugumbye. Eyo gye yandabira nga nnina omuzindaalo gwa leediyo ennene, gwe nnavuunikanga ku nsuwa ne gulyoka guggunda n’ennyenje ne zivaayo ebuziizi. Ne Nabende bwe yalaba ekyo, naye n’agula ensuwa eyiye n’agivuunikangako leediyo ye, olwo n’alyoka asindogomya endongo, wamma ggwe ne Bukeerere n’amwenya.

Era waayita mbale nga Nabende yeewangulidde dda ekkazi linnamwandu eryali limusinga emyaka ng’abiri n’omusobyo. Twasooka kubiyita bya muniino okutuusa nze mwennyini lwe nnabasanga lubona nga Nabende n’ekkazi lye beeseza empiki z’omukwano mu ffumbiro lyabwe. Olwalaba ng’abaagalana bali butoola, nnendowooza nti osanga omukwano gwali gubayinze obuzito ne gubalema okusitula bagutwale mu kisenge. Naye bino byonna byali bibaddewo mu biseera eby’emabega. Kati Nabende naye yali akuzeemu. Era kitaawe olwafa, mwana mulenzi n’asalawo okutunda ettaka lye lyonna e Salye, n’agenda okusenga ku butaka e Mbale mu Bugisu. Bw’atyo naye bwe y’andabako, ffembi ne tujjukira ebiseera ebyo ebyatunyumiranga ennyo  ku kyalo Salye.

Essaawa zaagenda okuwera ekkumi n’emu ez’akawungeezi, nga twatuuse dda ku luguudo kapyata olw’e Tirinyi. Awo Walude emmotoka n’agyongeza omuliro. Ye ne mukyala we baali batudde mu maaso. Olwo nga nze, Omusumba, bassenga, Toyota ne kojja Mumbya twali tutudde mabega. Naye twasooka kugwamu entengero, Toyota bwe yawanuka n’agwa ennume y’ekigwo mu mmotoka, n’asambagala nga bw’avulula n’amalusu. Kaabula kata fenna tubune emiwabo, taba kuba musumba eyatugumya nti Toyota emizimu gye gyali gimulumbye. Bwe tutyo twamuwaamu akaseera katono, okukakkana ng’abadde afudde azze engulu.

Embeera eba yankadda mu nteeko ng’eno bwe twetegereza n’emiseetwe gy’e Bugwere n’e Busoga, emmotoka yaffe n’etuuka mu masahhanzira g’oluguudo lw’eggaali y’omukka n’olw’emmotoka. Tuba tunaatera okusala oluguudo lw’eggaali y’omukka, ne tugirengera nga yonna ejja emazeeko nga muwogo, nga kwe twadde n’okumyansa n’okunyanyaagiza ehhombe yaayo. Walude bwe yalaba bino, n’agezaako okusiba emmotoka. Naye olw’okuba yali ku misinde gya yiriyiri, emmotoka yasigala ekyekulula, olwo fenna ne tumanya nti eyatwalula yali esiridde. Emmotoka nayo ng’eringa empendule, ate yagenda kusibira mu luguudo lwa ggaali lwennyini. Eggaali yali ebuzaayo obutikitiki nga busatu etukoone, Walude n’ategula emmotoka omulundi gumu ne yeesenda okuva ku luguudo. Olwo yo eggaali y’omukka n’eyitawo n’amajegere, ng’egenda ekubagana, gyoli nti etugamba nti ‘mugende mulye enkoko zammwe’.

Awo fenna nga tukubiddwa encukwe,Walude y’azza emmotoka ebbali ne tusooka okwekulisa okusimattuka amaala ga Walumbe ow’e Ttanda. Awo Omusumba kwe kuntemyako nti akabenje ako be balabe be yali aloose ekiro nga tetunnaziika Jajja.

Bwe twadda ku mmotoka twagenda mirembe era nga fenna tuwoza kimu nti Lugaba yali azizza bibye. Banaffe ab’e Salye twabaleka Buikwe. Nze, Walude n’owuwe, ne Mumbya ne tweyongerayo e Kampala.

Nga nzize mu Kampala, ewa Walude nnasulayo ennaku mbale, era bwentyo ne mmalirira okugenda ku Speke Hotel okunoonya Chantal. Baali bandagirirako nti Chantal alina edduuka ggaggadde mu wooteeri eno nga litunda ebibumbe, ebibajje, ebiruke n’eby’emikono ebirala ebya malidaadi. Kale bwe nnatuuka ku wooteeri eno, abakuumi nnabagamba nti njagala kulaba Chantal nannyini dduuka eritunda eby’emikono. Nabo tebaali babi ne balindagirira.

Bwe nnayingira mu wooteeri munda, kaabula kata ndowooze nti nnali ntuuse mu ggulu. Anti wooteeri yonna n’abaali bagikolamu bonna baali banyirira n’okukirako ebinya. Mu dduuka lye bandagirira nnasangamu abawala Abannarwanda babiri. Omu baali bamuyita Fifi eyali omumpi naye nga yamyuka n’okukirako ettungulu. Ate omulala yali ayitibwa Shulu eyali yawanvuwa ng’olusoslobyo naye nga muddugavu n’okukira enziiziiri. Bombi baali balabika bulungi nnyo ng’era obayiwako n’amazzi n’oganywa.

Guno si gwe gwali omulundi gwange ogusoose okulaba Shulu ne Fifi. Nnateranga okubalaba nga bayingira emmotoka ez’endabirwamu enzirugavu buli lwe baaba bazze okukyalira Chantal e Namuwongo. Naye nga buli lwe baalinga bakyadde, nga bakoma mu nju tebafulumako wabweru. Ng’era okubalabako, obalinda nga bagenda okulinnya emmotoka eyabaleese okubazzaayo. Nze ne bwe nnabagguliranga ggeeti emmotoka yaabwe efulume , nga  ne bwengezaako okwetegereza abagituddemu, ng’ate ekifaananyi kyange kye ndaba gy’oli nti nneeraba mu ndabirwamu. Naye ku luno nnali wa kuboota buliro. Kale bwe nnabuuza baana bawala oba Chantal waali, bahhamba kimu nti ngira mmulindirako awo mu gatebe ga wooteeri. Nange ssaalwa nga neesumaalika mu za Mugula ne nsala nako.

Waayita akabanga mpa wekaaga, Chantal n’akomawo okuva gye yali alaze. Teyalwa n’ajja we nnali ntudde n’annamusa bulungi nga bw’ambuuza ensonga lwaki nnali mbabuliriddeko nnyo. Nange ssaali mubi ne ndumuviira ku ntono. Nnamutegeeza nti Jajja Kayinza gwe nnali ndaba ng’omuzadde yekka mu bulamu bwange, yali akkiridde enviiri gye zittira ng’omuddo. Chantal yali akyannakuwalirako, ne nkamutema nti nnali nkyalindirira ebibuuzo byange eby’essomero okudda, naye nga nnali nsulira wa Kojja wange e Kampala Mukadde. Era ssaalwa ne mmusaba nti nnali nkyayagala okuba nga nneeyongera okumukolera ku mirimu gye nnamukoleranga, anti gy’ova toyombye…Chantal naye teyali mubi n’ahhamba ngira mmulindako asooke amalirize emirimu gye, tulyoke tuddeyo ewuwe ffembi. Nange siwena nga mmulinda okutuusiza ddala essaawa ssatu ez’ekiro.

Nnatuula mu gatebe ga wooteeri nga bwe ndiisa amaaso ku lutimbe lw’ebifaananyi, telefaina ggaggadde. Naye ebifaananyi byammalako eby’ewungula. Anti bakira nga buli lwe nkubayo eriiso, bwe sirengera musajja ng’akomba emimwa gy’omukazi, nga ndaba mukazi asumulula musajja ttaayi, oba nga bali bombi mu buliri bazannya. Amaaso bwe nagaggyanga ku lutimbe lwa ttivi, ate nnagaggukizanga ku byana biwala ebikola mu wooteeri. Bino byo ndowooza byali by’akafuula kakodyo okwambalanga obukete ate ne bitambulanga nga bikikinazza obubina ng’enswa eyingira enkata. Bwe kaakutandanga ekimu ku byo ne kikutuula mu maaso, nga sikaati yaakyo yeesikira ddala n’olengera e Bule n’e Bweya.

Bwe nneetooloolako wabweru wa wooteeri nate nnalengera ebikuuno. Nnasanga byana biwala ebyamyuka ng’amatungulu nga bisimbye lwa kasota ku nguudo  ezeetoolodde wooteeri, nga bigyetimba mu maaso, kinnakimu, ne biyiguliza, ne bitambulamu mu ngeri ya kkapa esooba ng’ebimu bwe byogera ebigambo ebisiiya nti; “Daddy, jjangu ogule ku eno emboobeze.”

Awo kumpi buli musajja eyafulumanga okuva mu mmotoka nga wooteeri agyiyingira na kijuujulu ky’aba asiimye. Abasajja abalala bo nnabalengera bayitawo buyisi ne beesogga mu kamu ku busenge we nnalengera nga bakebera mu bifaananyi. Olwamalanga okusiimako ky’asiimye, ng’awulugumizaawo olukomo lw’essimu. Oluusi waayitanga akabanga katono ddala, ne wajja omukazi eyeefaanaanyiriza n’abaali wabweru. Omusajja olwatunulanga ku kifaananyi, ne yeetegereza n’omukyala, nga bombi beggyawo era ne babulirayo mu bisenge bya wooteeri. Chantal naye nnamulaba afubutuka eyo mu bisenge nga bw’atereeza enviiri ze, nze ne ndowooza nti yali ava kulya mmere.

Chantal olwatuuka mu dduuka, n’alagira abawala okuliggalawo era fenna wooteeri ne tugifuluma. Twali twakeesimba wabweru, emmootoka ey’ekika kya land-rover n’etusibirako. Chantal yagiggula bugguzi oluggi olw’omu maaso n’alinnya, n’abawala nabo ne bagyesogga. Awo nze eyali akyayasaamirirdde, Chantal n’andagira nange okugiyingira tweggyewo. Nange olwassa ekigere kyange mu mmotoka, ne tusimbulirawo. Nnalengera ebimu ku biwala abyali ku nguudo nga bikuba emmotoka mwe twali emikono, n’ebirala nga bigiwereekereza agagambo agasinga n’eppipa obunene.

Nnayagala nnyo nneetegereze omusajja eyali atuvuga mu mmotoka eno naye nennemwa. Olw’okuba Chantal yali atudde naye mu ntebe ez’omu maaso nga bwe beesonseka obugambo obwabasesanga bombi, nkikakasa omwami ono teyali Kayihura John oba Boss. Ye Kayihura nzijukira bulungi yayogezanga bboggo ng’ate taseka.

Abawala be nnali ntudde nabo mu ntebe ez’emabega baagaana okubaako kye boogera nange. Bakira nga boogera mu lulimi Luswayiri lwokka lwe baatabiikirizanga n’Olunnarwanda. Bwe nnalaba nga ssirina n’omu ku bo anfaako, nenzira mu kwetegereza ekkubo mwe twali tuyita.

Zaagenda okuwera essaawa nnya ez’ekiro, nga twagguse dda ku ggeeti ya Chantal e Muyenga. Emmotoka bwe yasiba, teyakuba hhombe. Chantal ye yavaamu yekka, era n’asiibula abawala, n’oluvannyuma nange n’andagira okufuluma emmotoka. Era yo land-rover  y’adda kyennyumannyuma n’abawala, bwe yabulirayo, Chantal n’alyoka akonkona ggeeti okutuggulira. Nnawulira embwa nga ziboggola, olwo ne walyoka wafubutukayo omukyala ekimyula ayatuggulirawo ng’eno bw’akulisaayo Chantal. Tetwalwa ne twesogga enju, era ye Chantal yatuukira mu gatebe ge ga luvookwaya, n’anasula nnamuziga ya ttivi okwelolera ku bifaananyi. Omukyala ekimyula eyatuggulira nnakivumbula nti ayitibwa Janet. Yali muwanvu, mweru, era nga n’enviiri mpanvu zimukoma mu mugongo. Naye yaliko eriiso erisinga eryanda obumyufu, era bwe kaakutandanga n’akutunula butereevu mu mmunye ng’oyinza okulowooza nti ogasimbaganye na musota. Teyalwa n’agenda mu ffumbiro lyabwe ery’omu nju n’akomawo n’emmere ku masowaani. Ffembi yatugabula bulungi, ng’eno bw’ayogera ne Chantal mu Luzungu, Olunnarwanda, n’Oluwayiri.

Bwe twamala okulya obitaffutaffu, Chantal n’annyanjula ewa Janet nga bw’agamba nti nnali wa kumuyambangako emirimu gy’awaka naddala okufumbira embwa emmere, okwozanga akamotoka ke akatono, okwera oluggya, okulima mu bimuli, okusiimula enju n’amadinisa, awamu n’okuntumanga ku maduuka ne mu butale okugula ebintu.

Nnatunula nnyo ndabe abaana ba Chantal ne bba, naye ssaabakubako kya mulubaale, newankubadde okuwulirako omuntu omulala yenna mu nju. Nnalowooza nti ku luno nnali nange wa kusula mu nju, naye kyambuukako Chantal bwe yankasukira bbulangiti n’andagira okugenda okwebaka mu mmotoka yaabwe kamunye eyali yakwama nga tekyagenda ku luguudo. Bwe nnafuluma enju era embwa nazo ne zinnyaniriza mu ssanyu nga ziringa ezigamba nti munywanyi waffe tubadde tuludde okukulabako.

Ku makya enkoko nnagikwata mumwa, ne nzigalira embwa mu kiyumba kyazo, ne njera oluggya, ne nnongoosa ne mu bimuli. Ssaalwa ne nkonkona abakulu, nabo olwanzigulira ne nkwata ekiwero enju nayo ne ngisiimuula yonna. Bakira  nga Chantal annyingiza mu bisenge bye ne zikabuyonjo nga bw’andagira bwemba nnongoosa n’engeri gye mba njoyootamu enju ye amakula. Mu nju mwalimu ebinaabiro bibiri, ebisenge bisatu, eddiiro gagadde limu, awamu n’effumbiro. Wansi waayo waali wayooyoote n’obubaawo obw’ebbeeyi ng’era ne bw’otunula otya toyinza kulaba ku ssementi. Mwalimu zi wooduloopu ggaggadde, enetebe ez’omulembe n’ebumeeza obw’endabirwamu. Zo zi kabuyonjo ng’otuulako ntuule, n’olyoka okola emirimu gyo. Ate byo ebinaabiro mwalingamu ebbaafu omunaabirwa ezifaanagana n’eryato eryeru. Zino zanzijukiza amaato ag’embaawo mwe twasogoleranga omwenge ku kyalo Salye. Buli omuntu lwe yayagalanga okunaaba, ng’atuula mu bbaafu, n’anasula akapeesa ak’ekika ky’amazzi g’ayagala okunaaba; agabuguma oba agannyogoga. Naye nze Chantal yahhamba nti nnali nteekeddwa kunaabiranga wabweru ekiro mu luggya.

Emirimu ssaakoma ku ogwo, naye n’ogw’okufumbanga kyayi, eky’emisana n’eky’eggulo baagumpa. Era Janet y’eyangigiriza engeri gye basiikamu enva awamu n’okutabula ebirungo by’emmere ey’enjawulo. Teyalwa n’angigiriza engeri gye bakozesa ekyuma ekifumba emmere kye bayita Cooker, awamu n’okukozesa ebyuma ebikamula eby’okunywa n’okukalirira emigaati. Waayita mbale ng’emirimu gino gyonna ngikuba budinda, naye nga ginkoma mu bulago.

Chantal olwamalanga okunywa kyayi, ng’andagira okugenda ku siteegi mmuleetere omuvuzi w’emmotoka eya sipensulo. N’abavuzi b’emmotoka olwalaba nga nfuuse wa lulango gye bali, ne banfuulira ddala mukwano gwabwe enfiirabulago. Anti buli lwe bandabangako, nga bamanya nti Chantal ayagala mmotoka emutwala ku mulimu mu kibuga. Yo emmotoka ye yasiibanga waka nga tewali agivuga. Nange lumu nnebbirira nga ngudde ku kisumuluzo kyayo, ne hhenda ngitegula kata ngitomeze enju. Bwe nnalaba ng’emmotoka enaatera okunzaalira makaayi by’azaala ku nsiko, ne ngisindika busisndisi okugizza mu kifo kyayo, era n’emikululo gy’emipiira ne njeeresa olweyo.

Oluvannyuma Shulu ne Fifi nabo bajja ne batandiika okuviiranga mu maka ga Chantal okugenda okusoma. Nnakivumbula nti bombi baali basoma senior  ya kutaano mu Agha Khan Senior Secondary School, e Kampala Mukadde. Era buli ku makya, waabangawo emmotoka ekeera okubanona okubatwala ku ssomero. Lwe yabanga tezze nga balinnya takisi ku siteegi.

Naye baana bawala bano baalina efujjo eritalojjeka. Baali bamanyi okweyambulamu engoye zaabwe zonna ne basigala mu buwale bwokka olwo ne bakunnumba mu nnyumba nga bombi bali bute. Baateranga okumpita mboolezenga engoye zaabwe, nzibagololere nga kw’ossa n’okubasiimuuliranga engatto zaabwe. Bombi baali basula mu kisenge kimu. Era ekisenge kyabwe kino kyonna baali baakitimba ebifaananyi by’abayimbi abazungu, abazannyi ba ssineema ez’obuseegu, awamu n’abakazi abambadde emisono gy’engoye eza buli kika. Nga buli lwe baba batagenze ku ssomero, badda mu kisenge kyabwe ne batumbula leediyo, olwo ne balyoka banyeenya ku galiba enjole nga bwe bakuba obuluulu n’olube. Baalinanga n’obusimu obwavuganga kumpi buli kaseera, olwo ne balyoka beegolola bwa ntoogo ku buliri bwabwe, amagulu ne bagawanika ku bisenge ng’eno bwe beeyogeza ku masimu mu buloboozi obuseeneekerevu. Ate awo akawungeezi nga Chantal tanadda, nga beemulula mpola  ne babulawo. Enkeera nnabawuliranga buwulizi nga nate bali mu nju munda ne neewuunya engeri gye baayingidde nga ssibalaba.

Ekiro kimu  nnabalengera nga bagenze okukyakala, nange neneerema okukomba ku mpeke y’otulo ndabire ddala engeri  baana bawala gye bayingira mu ggeeti nga bakomyewo. Era eyo ku ssaawa nga munaana ez’ekiro, olwalaba ng’embwa zeetalira ku ggeeti nehhenda okulaba bwe gubadde. Olwalingiza mu kadinisa ka ggeeti nnalengera baana bawala nga buli omu ali mu mmotoka ya njawulo n’omusajja nga beekomba emimwa ng’eno beeweeweeta mu nviiri ne mu mabeere. Bwe baamaliriza egyabwe, emmotoka ne bazifuluma, nempulira nga enzigi zaazo zeekuba nga bwe basiibula ba kabiite baabwe nti; “Goonight Honey! See you tomorrow!” Awo nze olwabalaba nga bajja ku ggeeti, ne neekukuma mu bimuli. Baana bawala baayisa obuuma wansi wa ggeeti ne bagisindika omulundi gumu, ne yeggula era bo ne bayingira. Okuva ku olwo, ne mbaggyirako enkuufiira ku mutwe.

Olulala ekirowoozo kyanzigira ne ntandiika okuketta abawala bano bye beekola nga bali bokka. Era lumu nga Chantal amaze okugenda ku mulimu, nnawulira Fifi ng’agamba munne mbu yali agenda kunaaba. Olwawulira ekyo, nange ssaalonzalonza ne nfuluma enju, nenzira emmanju ku kadinisa k’ekinaabiro eky’omunda. Nnasitula akatebe ne nkassiza ddala wansi w’eddinisa ne nkayimirirako. Nnakanda kulinda muwalajjana okwesogga ekinaabiro, naye nga buteerere. Nnali nnaatera okubivaako, ne mpulira oluggi lw’ekinaabiro nga lweggula. Awo nze omutima ne guntyemuuka. Amangu ago nnalengera Fifi yennyini nga yeesogga ekinaabiro. Okutemya n’okuzibula ng’engoye azeemazeeko ku mubiri ali buswa. Teyalwa ne yeesimba mu maaso g’endabirwamu wamma ggwe mwana muwala n’atandika okwekola obusolo. Olwo nze eyali mu ddinisa amabbabbanyi ne gajula okunzita. Anti nnali nzijiridde kulaba Fifi yekka, naye bwe yeesimba mu maaso g’endabirwamu, nnatandika okulaba abantu babiri. Omu nnali mmulaba mu maaso, ate omulala mabega.

Mwana muwala olwamala okwenyigontola, yasumulula amazzi n’atandiika okunaaba ng’ayimiridde. Olwo amagulu gange ne gatandika okujugumira nga bwe gakankana. Teyalwa ne yeebaka mu bbaafu ayakulanga eryato, n’asumulula amazzi ne gabanga agajjula, n’alyoka agatabulamu ebika bya sabbuuni ebiwunya obulungi, n’akola ekyovu, ne yennyika yenna n’abulira muli nga mutwe gwokka gwe gulabika ku ngulu. Teyalwa n’abbulukukayo mu bbaafu nga yeekunkumula ng’embuzi ekubiddwa enkuba, era ebbaafu n’agiyimiriramu butengerera.

Nnali nkyeyongera okunyumirwa ne mpulira ehhombe y’emmotoka wabweru wa ggeeti. Amangu ddala nnafubutuka emisinde ntere hhende okuggulirawo abakulu. Naye nadduka nzenna njaka nga nkirako gwe bayiyeeko amafuta ne bankoleezaako omuliro. Nnagenda okutuuka ku ggeeti, ng’emmotoka ebadde ya ku muliraano. Amangu ago nadduka za mbwa ntere nzireyo mu kafo kange nneetegereze buto. Naye nnagenda okudda nga mwana muwala yeesibye dda ttawulo, teyalwa ekinaabiro n’akifuluma. Nnalindako katono nga ndowooza nti oba oli awo anadda naye ne binsala. Amangu ago ekirowoozo kyanzijira nga kigamba nti ‘by’olabye bintu bya kigwenyufu nnyo! Oli muntu museegu nnyo, era oteekeddwa okugenda weenenye mu maaso ga Katonda.’

Janet naye yali mukyala nga kampugwira era nga wa ngeri nga siiti. Yali afuuweeta sseggereeti n’okusinga abasajja abaamutandikawo. Okwo kwe yazzanga n’okwekamirira bbiya n’ebitamiiza ebirala. Lumu yeekatankira kumpi kkuleeti nnamba eya bbiya n’alyoka asesema mu nju yonna ng’obula ne w’oyisa ekigere. Bwe twalaba ng’omukyala amagengere gamufuukidde ekyambika, ne tumunywesa amata n’amagi amabisi. Nneewuunnya nnyo kino kubanga e Salye buli eyatabukirwanga omwenge, ffe twalinga tumunywuesa musulo gwa bantu. Naye Janet bwe yadda engulu, teyalwa nate n’atumya emisoskoto gya sseggereeti n’omwenge omulala.

Waayita bbiri Janet n’antegeeza nti ye Mulokole kkungwa mbu era tewali kye babuulira mu kkanisa z’Abalokole ky’atamanyi. Awo nange ssaalwa ne ntandika okumubuulira enjiri nga bwe mmugamba nti ‘Baibuli esomesa nti omuntu yenna bw’alirekayo okukola ebibi n’akola eby’ensonga, aliwonya emmeeme ye okufa. Naye oyo eyali akola eby’ensonga bw’alibireka n’atandika okukola ebibi, emmeeme ye erizikirira.’

Janet teyalwa n’ambwatukira nga bw’ayomba nti; “Twala eri obunnanfuusi! Nze nga ggwe buli lunaku nkulaba ng’obukaba bukusiiwa ne weetegereza Fifi entambula n’entuula ye! Ky’ogamba ekyo si kibi? Baibuli egamba nti omuntu yenna eyeetegereza omukazi atali wuwe n’amwegomba mu mutima gwe abeera amaze okumwendako! Kati onkakasa otya nti toli mulokole mwenzi?”

Twali tukyereega, ne mpulira ehhombe y’emmotoka ku ggeeti. Olwagenda okuggulawo, amaaso nnagatuusiza ku Chantal ng’ali wamu n’omwana omuwala. Yamutwanjulira nti bamuyita Dorah ara mbu y’eyali ow’okunnyambangako ku mirimu. Era Dorah yali wakukola gwa kutufumbiranga n’okusiimuulanga mu nnyumba. Nze bandekera gwa kwozanga engoye, okunaazanga embwa n’ekuzifumbira awamu n’okulimanga mu bimuli.

Dorah yali muwala Munnarwanda naye nga ayogera atereeza bulungi olulimi Oluganda. Yali munyumya mulungi era nga tatera kunyiiganyiiga. Era yali muwala wa katakketakke, ennyindo ndaalo, amaaso ga ndege, ennviiri za munyerere, nga mutono bulungi naye ng’akabina ke akanoonyeza mu kiwato nga mazina. Bwentyo kyambeerera kyangu nnyo okufuuka mukwano gwe ow’olulango mu maka gano. Waayita mbale nga kumpi buli kimu tukikolera wamu ng’eno n’emboozi bw’egwa amakerenda.

Dorah ono y’eyanzibirako nti ekyaviirako Chantal okuseguka okuva e Namuwongo n’adda e Muyenga zaali nsonga z’amaka. Mbu bbaawe John Kayihura gwe twali twakazaako erya Boss yali yasaba Chantal mbu baddeyo e Rwanda gye basibuka, naye omukyala n’akomba ku erima. Mbu Boss  bwe yawalaza empaka n’addayo e Rwanda, olwali okulinnya ekigere kye mu kibuga Kigali, nga bamubikira nti omwana we omuto e Kampala yali alembyerembye olw’e Kaganga. Amangu ago Boss kwe kukyusa obwanga n’akomawo e Kampala ng’aliko n’obumansuka. Tawena, abaana be bonna abaali basigadde ne Chantal n’abamukwakkulako yogaayoga ng’abazizzaayo e Rwanda. Ye Chantal yamera ettumba n’agaanira ddala okumuwondera ng’awoza kimu nti bazadde be n’ab’ehhanda ze bonna Bannauganda abazaalibwa mu nsi ya Ankole ewakulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Awo ye kwe kusalawo n’asigala mu Kampala, naye nga bbaawe y’amuweereza ensimbi ezikola emirimu n’okusasulira ennyumba gye baapangisa e Muyenga.

Fifi ne Shulu olwalaba nga nnali nsiiba wamu ne Dorah, ne batandiika okugasomera mu bbaasa mbu omukwano gwali gututambuza sserebu. Bakira nga buli Fifi lw’akomawo okuva ku ssomero ng’abuubuuka ng’omwokyeko omuliro nti; “Wano nga wafaanana bulungi! Kiki ekibadde kigenda mu maaso? Mukwasi ne Dorah! Hmm!!” Olwo mwana muwala n’akuba obukule nkugambye n’okulatta n’alatta.

Kyokka buli lwe nnabuuzanga Dorah ku bikwata ku mukwano, yanzirangamu nti ye yali yasaba dda Katonda afumbirwe omusajja omuzungu alina guppikipiki ogunene. Nange olwawulira ebyo, ne mmuleka, agire  ng’alinda kyeruppe.

Buli Dorah lwe yafumbanga ennyama nga nze sigikombako. Nnali nnava dda mu  buto nga bwe ndya ennyama, ndwala ne nnyenjebuka. Naye Dorah olwalaba bino, yanzikakkanako lwa mpaka n’ansimba emikono okunsabira ntandiike okulya ennyama. Bwe yamala okunkuutira evviivi tawena n’asitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi, n’anfumbira ebifi by’ennyama era n’andagira mbirye mbimalewo. Nnasooka kukomba ku erima nga ntidde nti essaawa yonna omuwala yandinzaalira ebitukula. Naye bwe nneewaliriza nengirya, ssaddayo kulwala era na guno gujwa tewali ansinga kulonda nnyama nsava ku mudaala. Bwe nnanyumizaako mikwano gyange nti omuwala omulokole yansabidde ne nziramu okulya ennyama, bahhamba kimu nti, ‘lwakuba yabadde muwala y’ensonga lwaki walidde ennyama. Naye aba kuba mulenzi munno, singa wagisesemye dda!’

Eby’ensula byo byali bikyali bibi ddala. Bwe nnalaba nga mu mmotoka nsula neezinze bugongolo, nnasalawo okwebakanga wabweru ku lusebenju. Nnagalamiranga ku ntebe empanvu, embwa nazo ne zineegattako ne twebaka fenna awo ku lubalaza paka budde kkejenge. Ekiro kimu Chantal yawulira ng’embwa ziboggola nnyo, n’afuluma okulaba bwe gubadde. Yansanga ndi ku lubalaza nfuluuta, era nga n’ensiri zinneetimbye mu kyenyi ziri ku mugano. Yanzuukusa bunnambiro n’atandiikirawo okunsoya kajjogijjogi w’ebibuuzo n’ensonga lwaki nnali nsazeewo okwebakanga ku lubalaza. Bwe nnamuddamu nti mu mmotoka nnali nsula nezinze nga musota, teyalwa n’ankwanga omufaliso omukadde era n’andagira okusulanga mu ffumbiro lye mu nju. Kale Dorah olwamalanga okutugabula eky’eggulo nga nange nzinga ebikunta byange ebyasiibanga mu mmotoka yogaayoga mu ffumbiro. Olwamalirizanga okwebaza eyazimba, nga nate mbizingako buto okubizzaayo wabweru mu mmotoka.

Ebibuuzo bya ssiniya ey’okuna tebyalwa ne bidda. Nange amawulire olwangwa mu matu nti byali[MM1]  bikomyewo, nnakasibira Lweru ku ssomero. Nnatya okugenda ku ssomero obwa ppeke, bwentyo kwe kusaba mukwano gwange Byansi bwe twasomanga, n’amperekerako. Essomero nnalyesogga ng’eno amameeme gankubagana nzenna nga kw’otadde n’entuuyo ezaali zinkamuka obutaddiza. Abasomesa nabo ebaali babi, ne bankwanga ebbaluwa eraga ebyali bivudde mu bibuuzo byange. Ssaasumulula bbaasa ya bbaluwa okutuusa nga mmaze okufuluma wabweru w’essomero. Era n’eyo nnatiirayo okubisumulula, okutuusa Byansi bwe yambuuza nti; “Ebbaasa gy’otya okusumulula mulimu bbomu? Nandiki ebibuuzo si ye ggwe wabyekolera?”

Awo nange ssaalwa ne ntandiika okusumuluza ebbaasa oluggumuggumu ne nningiza ebyali mu nda. Bwe nnatunula we bawandiise obubonero bwe nnafuna mu kubala nga bulaga nti nnakuyita, nnabuuka mu bbanga nga bwe nkuba enduulu n’okudduka nga kwe ntadde. Bwe nnayimirira, ebbaluwa yonna nagisowolayo ntere neetegereze n’obubonero obw’amasomo amalala. Okugenda okwetegereza, nga n’amasomo amalala gonna nnagawuuta buva. Mbu bukya lubanga lwa mmindi, omujiji gwaffe gwe gwasinga okuyitira waggulu ku ssomero e Lweru. Era mu mujiji guno nnali nkutte kya kubiri mu bayizi bonna.

Bwe nadda mu kibuga Kampala, amawulire g’okuyita kwange nnasooka kugafuuwa ba Tigers Club ne kojja Walude. Bonna bankubira emizira, nebangulira n’ebirabo. Naye aba Tigers Club bahhambirawo nti newankubadde baali bankubidde jjerebu, tebaali beetegefu okunsasulira ssente okusoma eddaala eriddako. Era bampeerawo amagezi nti nzikirize bantwale nsomerere eby’okufumba, n’oluvannyuma banfunire omulimu mu wooteeri gagadde Sheraton. Nange olwawulira ebyo, ssaalwa nembifuuwa Walude. Ye bino yabigaanira ddala n’ampa n’amagezi nti nneeyongere okwegayirira aba Tigers Club bagende mu maaso n’okumpeerera mu ssiniya ey’okutaano awamu n’ey’omukaaga. Naye aba Tigers Club bino byonna baabisimbira ekkuuli nebagamba nti Jajja Kayinza ke yakkirira ezirakumwa nnali ssirina wa kwegeka luba newankubadde mu kibuga. Mbu era singa kabatanda nebantuusa mu ssiniya ey’omukaaga baali tebaasobole okunsasulira ebisale bya yunivasite. Kojja Walude naye olwawulira bino, ye mwennyini n’abissaamu engatto yogaayoga ku Tigers Club House. Teyalwa mwennyini n’agenda okugasimbana n’abakulu n’abagamba nti;

“Omwana oyo munaku. Era nze okumulaba, nnamusanze wano mu bukulu nga ne jjaja we anaatera okutuva ku maaso. Ndi mwetegefu okumuyamba naye wenjogerera obuvunaanyizibwa nnina bungi. Kale mbasaba nti wakiri mumusaulire ekitundu ku bisale by’essomero, nange nnaasasula ekitundu.”

Uncle Simon teyalwa n’ayokya Walude ekibuuzo nti; “Mukwasi bw’anaamalako ssiniya ey’omukaaga onaamukolera ki?” Ko Walude nti;
Ebyo byo mubindekere.”

Aba Tigers Club  nabo tebaali babi nebakkiriza Walude kye yabasaba era nebahhamba okunoonya essomero gye nnali ow’okusomera ssiniya eyokutaano.

Nnanoonya amasomero amalungi ku kibuga kata n’engatto egwe olubege. Naye omukisa gwankwat nebampa ekifo ku St. Peter’s SS Nsambya. Naye olw’okuba Walude yali abeera Kampala Mukadde ng’ate ateekateeka okudda e Bweyogerere, eby’ensula yange n’eby’entambula okugenda ku ssomero byali bizzeemu omukoosi. Nnasalawo okusaba Chantal anzikirize okuviiranga ewuwe e Muyenga nga bwe nsoma e Nsambya. Chantal naye bwe yamala okwogerezaganyaamu n’aba Tigers Club ku lukomo lw’essimu, yanzikiriza okusulanga ewuwe nga bwe nkwazza emisomo gyange. Chantal olwamala okunfuuwa bino, essanyu lye nnalina nga lisinga n’eryomwoki wa gonja. Anti nga nage sikikkiriza nti nze eyali asula eri mu bisegguusi by’e Salye nga nsoma Lweru, ku luno nnali ndi wa kusomera ku kibuga ng’ate nviira mu mbuga ya babyomere e Muyenga.

Okusoma bwe kwaddamu, Chantal yampanga essente buli ku makya zinnyambe okulinnya emmotoka okugenda ku ssomero. Naye emmotoka nazirinnyako wiiki nga bbiri zokka, nentandiika okutambuza ebigere, ate zo essente nenzikuba ensawo. Ssaalwa nenfun n’abantwalangako ku bwereere buli lunaku. Bano baali mikwano gyange be nnali nfunye okuva mu kkanisa y’abalokole aboogera ekinyanyimbe eyitibwa Kampala Pentecostal Church oba KPC. Era bano bano baali baviira mu kabondo akayitibwa Cell e Muyenga. Olw’okuba nnali nnyumirwa nnyo okusabira mu kkanisa eno mu kibuga wakati, baatufalaasira okwefunira obubondo buno mu bitundu gye tubeera mbu lwa kuba ekkanisa eno etambulira ku musingi gwa bubondo na kwagalana. Bwentyo nange nnali nfunye akabondo kange  ku Lubbobbo Close e Muyenga mwe twali tukuhhaanira buli lwa kusatu akawungeezi netukubaganya ebirowoozo ku bulungi bwa Lugaba kawamigero. Bwe nnagendayo omulundi ogusooka nnanyumirwa nnyo. Anti nnasisinkana abantu ab’ebitiibwa, abakozi era abaasoma ng’oluzungu balwogera balya lulye. Abamu baali bakola mu bbanka, abalala mu makampn g’ennyonyi, mu bitongole bya gavumenti n’eby’obwannakyewa ng’ate abalala bayizi mu matendekero aga waggulu. Bwe nnatunula bwenti nendaba ng’abantu abasomye era abategeera nabo baalokoka nenziramu ku maanyi. Anti ffe e Salye twali tukimanyi nti ba luwedde ku mpagala be balokoka.

Eyo mu bubondo, tweyanjulanga buli omu n’amannya ga munne, netuyimba, netukubaganya n’ebirowoozo ku ssomo eriba lyabuuliddwa mu kkanisa enkulu KPC n’amatabi gaayo okwetooloola ekibuga. Bino twabyogeranga mu lufuutifuuti nga bwe twemiisa ne ku by’okunywa n’okulya ebyategekebwanga kabakyaza. Bwe twamalanga okulya, nga tugabana eby’okusabira buli kinnoomu.

Nze buli lwe nnasiibulanga okuva mu kabondo kano, ng’omukulembeze waako ayitibwa Engineer Mubiru Robert anteeka mu mmotoka ye n’anzizaayo ewa Chantal nga nsowodde. Naye yankomyanga wabweu wa ggeeti, ye n’addayo. Era Mubiru ono ne mukyala we Rebecca be bantwalangako ku ssomero e Nsambya buli ku makya. Ate nga lwo olw’eggulo nga nkomawo nsaayirira engere.

Essomero lya St. Peters SS e Nsambya lyannyumira nnyo. Olw’okuba ssiniya eyokutaano nnagitandiika obudde buyise, bayizi bannange bandiko mu maaso ku byali biyigiriziddwa. Naye oluvannyuma, nnasobola okukwasa abasomesa bye byali batuyigiriza. Naye olutalo olusinga lwali lwa kukoppa  bye baali basomesezza nga ssiriiwo. Naye era waaliwo abawala annyambako okukoppa byonna bye nnali sisomye. Abawala abannyambako okukoppa byonna ebyalinga bisomeseddwa nnababuusa amaaso nnengassa ku mwana muwala nnalulungi ayitibwa Nambi. Ono ye mu bawala bonna be nnali ndabye, yali abanyweddemu akendo, anti ng’omuyiwako n’amazzi n’oganywa. Yali wa ssimbo, mweru n’okukirako ettungulu, muwanvu ng’ate nnalubiri. Buli lwe yamwenyanga, nga nze ssaagala alekere awo.

Lumu nnasemberera Nambi nga tuli mu kibiina nemmulamusa mu lufuutifuuti nti; “ Goodafternoon Nambi!” Naye mwana muwala yasirika busirisi ng’atalina ky’awulidde. Nange bwe nnalaba nga kabirinnage yeefudde nnampulirazziri, nnemmusegulira. Ate olulala twali tuva mu kulyako bumpwakimpwaki mu kalasamayanzi nnemmuvaako emabega nga bwe nkowoola erinnya lye, naye nate n’asirika busirisi. Awo nze kwe kuteebereza nti kirabika nti omuwala ono alina ekirwadde ky’amatu, oba si ekyo ng’antunula yange yali ekutuza endiga. Bwentyo okuva ku olwo, eby’okumwesembereza nembimma amazzi.

Essomero St. Peter’s SS e Nsambya lyalingako nnamungi w’abayizi ng’oyinza n’okubulwa w’oyisa ekigere. Ebizimbe by’essomero byali bikadde ebyomu mirembe gy’abafuzi b’amatwale. Lyali liriraanye ekitebe kya Abakatoliki ekikulu, eddwaliro lya gavumenti e Nsambya, awamu n’embuga y’ekitebe kya Amerika mu Uganda. Abasomesa omulimu gwabwe baali bagukuba budinda ate nga tebatuyisaako wa Mbuya. Buli lwa Nagawonye nga fenna tusimba lwa kasota netugenda mu mmisa eyakulemberwanga omusajja Omuyitale eyalina enviiri ezisinga ne ppamba obweru. Ono yabuuliranga ekigambo kya Eklezia naye nga bo abayizi bali ku byabwe n’abandi nga babongoota. Ate buli lunaku waalinawo akabinja k’abayizi Abalokole abaawoggananga nga basabira mu kimu ku bibiina. Lumu nange nnabeegattako. Nnasangayo Nambi ne mukwano gwe nabo nga bali mu kukowoola Liisoddene. Naye nze olwawulira nga kkerere eyitiridde, nembulawo kibombyambwa.

Lwali lumu nga mikwano gyange bwe twateranga okutambuza ebigere, baali babagobye ku ssomero olw’ebisale byalyo. Kale olw’eggulo, nze nnasalawo okulinnya emmotoka ya takisi, ntere neeyune obudde. Era bwe nnatuuka ku siteegi ya takisi nnasanga Nambi, omuwala eyali yantuuka nga Nalunga bwe yatuuka Jjuuko, nga naye ayimiridde awo ku siteegi alinda mmotoka. Emmotoka bwe yatuuka, fembi netugyesogga naye nga tewali anyega munne kigambo. Twatuula ku ntebe emu naye nga waliwo eyali atutuddemu wakati. Omukyala bwe yatuuka w’aviiramu, yafuluma emmotoka, olwo nze nensembera okuliraanira ddala Nambi. Awo omutima neguntyemuka , entuuyo nezinkamuka, nkugambye n’olubuto nerutandiika okunkuba Nakabanda. Ekyavaamu kwe kwegaganula nembuuza Nambi mu luzungu nti;
“Hey Nambi!”
Kaabula kata okulamusa nkuddemu omulundi ogw’okubiri nga ndowooza nti era mwana muwala yali tawulidde. Naye kyambuukako bwe yanziramu n’akamwenyumwenyu ku matama nti; “Hey, am okey, how are you Mukwasi!”

Oh! Kaabula kata eky’okuzaako kimbule. Naye bwe yambuuza engeri gye nnamumanyaamu erinnya lye, wamma yali nga’ampadde aw’okutandiikira. Amangu ago buli omu yabuulira munne gy’abeera. Nze nnamugamba nga bwe mbeera awamu ne taata awamu ne maama e Muyenga. Ate ye yambuulira nti yali asula Kansanga. Emboozi yali ekyagwa amakerenda nze nentuuka we nnali nviiramu mu mmotoka e Kabalagala. Nnanyolwa nnyo olw’emmotoka okutuuka wenviiramu. Naye newankubadde obudde bwandiira owejjokolera, nnasanyuka nnyo olw’okwogerako ne Nambi, omuwala ow’essimbo.

Newankubadde nga mu kibiina twatuulanga mu bifo bya njawulo, nnagiranga nensuuliza Nambi oluuso, naye nankwatiriza lubona nga ngezaako okumwetegereza. Awo mu biseera byaffe eby’eddembe ssaalwanga nentandiika okumusoya obugambo bw’omukwano. Naye kyambuukako mwana muwala bwe yakantema nti bwe kiba kituufu nga nnali mmwagala wabeewo ekintu kyemba mmukolera eky’enjawulo. Nange nnamalirira okufuna ekintu kyonna ekigula omukazi omuzungu, mpangule omutima gwa Nambi. Era ssaalwa nnemmuleetera omubisi gw’ebibala ebirungi okuva mu ggwanga lya Libya. Omubisi guno Chantal y’eyali aguleese bwe yali ng’awerekeddeko olulyo lwo Omukama w’e Tooro okukyalira General Muamar Gadafi, omukulembeze w’eggawanga lya Libya. Kale Chantal bwe yadda okuva ku bugenyi, fenna ab’awaka yatugemulira omubisi guno omunyunyuntuvu ennyo, n’ebibala ebirala. Kale bwentyo nange bwe nnatwalira ku Nambi ku makula g’omubisi guno n’agunywako , wamma ggwe mwana muwala eyali akalubye amaaso, n’agagonza. Era waayita mbale ng’omukwano gutusaza mu kabu.

Buli kimu twatandiika okukolera wamu buli kimu; si kulya, si kusoma, si kuddayo kka, nkugambye nnyumye ki ndeke ki? Nnamukakasa nga taata wange bw’akola mu kkampuni y’ennyonyi, ate nga ye maama akolera mu wooteeri gagadde mu kibuga. Era nnamugamba nti bannyinaze basomera ku ssomero lya bannaggwa dda erya Aga Khan. Ssaalwa nenziba n’ekifaananyi kya Fifi ne nkakasa Nambi nti Fifi y’omu ku bannyinaze enfiirabulago. Oluusi Nambi yannengeranga nga nfuluma mu mmotoka ne Engineer Mubiru, nemmugamba nti eyo emmotoka nayo yali ya taata wange.

Olunaku lumu abasomesa baatutuma abazadde baffe buli omu babeerewo nga tusoma. Bwe nnakigambako Chantal, yakkirirzaawo okujja. Abaana b’ekibiina kyange bwe omukazi ekimyula anyirira ng’ekinya ng’ate muwanvu n’okukira olusolobyo, bonna nebaasaamirira. Chantal olwamalirirza ogwali gumuleese, abaana abagasomera mu bbaasa nebagafuuwa Nambi nti Chantal naye baali tebaawuka mu nfaanana. Nambi naye teyalwa n’abihhamba nti abayizi bangi baali babimutaddeko mbu afaanana omukyala eyali ankiikiridde. Awo kwe kumbuulizaawo nti; “Oyo ye maama wo akuzaala?” Ko nze nti;
“Vaawo naawe mukwano! Oyo omukazi bamuyita Chantal era mwannyinaze naye lwakuba tetufaanagana. Taata waffe y’omu naye bamaama baffe ba njawulo.”

Nambi talina bye yanziramu era okuva ku olwo, mwana muwala n’afuukira ddala kabiite. Nnakivumbula nti Nambi yali muwala w’omu ku bannigi b’e Kansanga. Buli kintu Monica kye yalina nga kigula buwanana. Naye tatunula muntu yenna mu mutwe. Kale nange bwe nnalaba obulungi bwe, nendayira wakiri okufa n’obutanyagwa nga simuleseewo. Bakira nga buli lwe mba mmulabyeko ng’anyumya n’omulenzi omulala yenna, ng’olwo mwana muwala ajja kubitebya. Kale naye buli lwe yannengeranga nga nnyumyako n’omuwala omulala yenna, ng’olwo ajja kumbuuza akana n’akataano okutuusa lwe mbotola bye tubadde tunyumya.

Nambi yandiira obwongo wamma ggwe n’eby’okusaba Katonda nembivaako. Anti buli lwe nnagezangako okuzibiriza ku maaso nsabe, nga kifaananyi kya Nambi kye ndaba mu bwongo. Buli lwe twabanga tutendereza Liisoddene mu masinzizo, nga Nambi nze gwe ntendereza. Ate buli lwe nneebakanga nga Nambi gwe ndoota. N’oluusi neekanga nga mpandiise erinnya lye ku bitabo byange n’ebiwandiiko ebirala.

Ebiseera by’oluwummula byo byalinga bizibu nnyo gyendi. Anti nga ne bweziba wiiki ssatu zokka, nga nze ndaba ng’amaze emyaka esatu nga siraba ku Nambi. Era omwoyo gwange gwasulanga ku mpagi  nga nsula mmulowoozaako. Naye twasigala tuli wamu mu mwwoyo nga tweweerezeganya obubaluwa ne zi kaada okwebudaabuda. Yali yampa n’ennamba y’essimu ya maama we. Kale buli lwe nnaba nga njagadde okumukubira ku ssimu nga nga hhenda webazikubira nga waliwo omuntu yenna kasita abeera mukazi nga tuteesa nti y’aba asaba okwogeramu ne Nambi. Kale essimu bwe yayitangamu, nga Maama Nambi alowooza alowooza nti mukazi munne y’ali okumusaba ayogeremu ne muwala we. Olwakwasanga  Nambi essimu, nga nange ku ludda luno, omukubi w’essimu ankwasa essimu, olwo nga njogeramu ne kabiite. Kino nnakikolanga okubuzaabuza okubuzaabuza maama we aleme kumanya nti mulenzi y’ali mu kuwembejja muwala we.

Buli Nambi lwe yayogeranga ku ssimu nga ssaagala alekere awo. Anti ng’eddoboozi lye ery’eggwoowo linkuba wala nnyo era oluusi neekanga nga njogeredde ebbanga n’essente nnyingi nnyo, naye nenzisasula awatali nakuwannaanya.

Bwe twatuuka mu ssiniya ey’omukaaga, nnatandika okwekengera Nambi. Era twatandiika okwereega ebikya, anti nga ndaba kabiite agufudde muze okumpokeranga obutabo bw’eddiini gye nnali sitegeera bulungi.Olw’okuba nnali nsoose kulowooza nti Nambi yali muwala mulokole kkungwa, nnali mmaze okusalawo mu mmeeme yange nti sirirabayo muwala mulala ow’okuwasa, okuggyako Nambi. Naye nnatandika okukivumbula nti mwana muwal eby’obulokole ye si bye yaliko. Yali tabiwakanya, naye nga tabikkiririzaamu. Bakira nga buli lwe mmusaba tugende ku KPC tusabe, kwalinga kukoowoola abombye. Waayita mbale nentandiika okumulengeranga n’abalenzilenzi abalala. Ate olulala nnamusanga lubona ng’ali wamu n’omulenzi ateerya nkutu ng’amuzizza mu kafo akeekusifu, amukuba obwama olutakoma. Ye Nambi nnamulengera nga yenna amaaso gamuli mu ngalo. Nze olwalaba bino, omutima neguntyemuka nempulira ennugu mu bulago kata nneeyimbemu omuguwa. Era siwena olwaddayo eka nenzikakkana ku buli bbaluwa Nambi gye yali ampaandiikidde  n’obutabo bw’eddiini ye bwe yali yantonera, byonna nembiteekera nnakibengeyi w’omuliro nebiteta.

Nambi yateranga okudda gyendi ng’eno bw’ansoyaasoya obugambo bw’omukwano mbu mpeweere, naye nga buli kigambo ky’ahhamba, abeera ng’anfumita obusaale mu matu. Nnawulira nga mwana muwala antamye, naye nga mu mutima gwange agaanye okuvaamu. Ekyavaamu nange kwe kusalawo okuddukira mu bakulu b’ekkanisa okwenenya ebibi byange. Omu ku basumba, bwe yamala okunsabira yahhamba nti;
“ Tewali nkolagana eri wakati w’omusana n’ekizikiza. Ate era Omuyisiraeli n’Omumisiri tebalima kambugu. N’ekirala, tozuukusanga mukwano ng’ekiseera kyagwo tekinnatuuka. Era ssaba Mukama akuggyemu ebifaananyi by’omuwala oyo mu bwongo bwo, awo olyoke osobole okuzza ebirowoozo byo ku Yesu.”
Kale nange olwetegereza ebigambo by’omusajja wa Lugaba, omukwano gwange ne Nambi nentandiika okugwesamba nga ngezaako nnyo okunyumyanga n’abawala abalala bwe twasomanga. Nambi teyalwa n’atandiika okutunuuliza abawala bano eriiso ebbi nga bw’abasongamu ennwe n’okubeewerera, wamma ggwe nabo nebatandiika okunneesamba. Nange ekyavaamu kwe kusalawo neekwekenga mu bibiina ebirala, era eyo gye nnasomeranga ebitabo byange, anti akeemanya obunaku.

Ekiseera kyatuuka Dorah naava ewa Chantal olw’okuba mukama we ono yali yeeremye okumusasula omusaala gwe. Awo emirimu gyonna Dorah gye yali akola, nembeera nga nze agikakkalabya. Emirimu gyampitirirako obungi kata gyimmenye omugogongo. Era buli lwe nnaddangayo ewa Chantal  nga nvudde ku ssomero, nnatandikirangawo okwoza ebitnu, okugenda mu katale, okufumba emmere y’embwa, eky’eggulo ky’abakulu, okusiimuula enju, okugolola engoye n’ebirala. Ate kwo ku makya nnakeeranga kwera luggya, okufumbira ab’awaka ku kyayi, n’okulongoosa mu bimuli, olwo nendyoka njolekera erintwala ku ssomero. Chantal  bwe yakivumbula nti Fifi ne Shulu  nabo baalinanga emirimu gyabwe gye bandagira okukola ng’ate tebannyambako, teyalwa n’abanaabira mu maaso. Ne baana bawala olwalaba nga Chantal ampolereza nnyo, tebawena nebankazaako lya Chantal’s Boy. Era tebaalwa nebagenda okupangisa ennyumba eyali okumpi n’essomero lyabwe nga bwe beeteekerateekera ebibuuzo byabwe eby’akamalirizo.

Bwe nnalaba nga nange emirimu giri kumpi okunkutula akaligirigi, eby’okusomeranga awaka ebitabo nembivaako, nembizza ku ssomero yokka. Nnasomanga ebitabo okuviira ddala ku makyaokutuusiza ddala ku ssaawa kkumi na bbiri, anti nga nkimanyi nti eka ssirinaayo kyanya kya kusoma. Era ttaamu zaagendanga okuggwako nga wakiri ndi mu bataano oba abasatu abasooka mu kuyita obulungi ebibuuzo by’ekibiina. Ssaasabiriranga nnyo okuwangula ssikaala y’essomero, olw’okuba essente z’essomero aba Tigers Club  ne Walude baazisasuliranga mu budde. Era buli lwe nazzangayo alipoota yange ewa Walude ne ku Tigers Club nga bannyongeramu amaanyi nti nsome nnyo, olwo gavumenti eryoke esobole okumpeerera mu ttendekero erya waggulu. Olwo nange bwentyo nennyongerangamu amaanyi mu kulya ekitabo.

Bwe nnali nga ntuuse mu ssiniya ey’omukaaga, Chantal  yalekera awo okusulanga e Muyenga. Mbu yali agoberedde bbaawe eyali yasengukira e Kigali mu Rwanda. Kale bw’atyo Chantal  ennyumba mwe twali tusula yagirekamu mwannyina eyali ayitibwa  Jemo, kojja we omulema, awamu ne Janet. Chantal ye yaddanga bbalirirwe e Muyenga okulaba nga embeera yaffe bw’eri. Naye waayitawo akabanga katono ddala omwami ayitibwa Ssemakula eyali omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte mu Amerika, ate nga ye nannyini nnyumba mwe twasulanga, yatandiika yatandiika okubanja ssente ze ez’obupangisa. Teyalwa n’atandiika n’okututiisatiisa nti singa tetusasula ebbanja ly’obupangisa eryali lyetuumye, yali agenda kutukasuka wabweru.

Olunaku lumu Chantal yali akomyewoko awaka, n’akimanya nti Ssemakula yali azze. Chantal  teyalwa n’ankuba akaama nti; “Genda omugambe nti ssiriiwo!” Bwe nnagenda okubifuuwa Ssemakula eyali akyuse n’amaaso nga gamyuse, yasonga mu limu ku maaso ge nga bw’ambuuza nti;
“Mukuluppya ggwe, olowooza nti nze sikyalaba? Omukazi oyo nnaluwali ayingidde ggeeti nga mmulaba n’amaaso gange gano abiri, abulidde mu mpewo? Kla emmwe mugira mumbuzaabuza, naye oluvannyuma tujja kumanya nannyini nnyumba omutuufu!” Ssemakula teyalwa n’afuluma ggeeti y’ennyumba nga yenna agenda awanda muliro.

Jemo naye yali musajja muzibu nnyo. Gwali mulangaatira gwa musajja era ng’alabika ng’omuyaaye oba kkondo kungwa. Yasiibanga mu biduula ne mu mabbaala g’omwenge e Kabalagala. Eyo gye yavanga amatumbi budde nga yenna agangayidde amagengere, n’oluusi ng’ajja awambakatanye n’emmere y’embwa, emigaati n’ebikebe by’amata. Bwe yatuukanga, n’atuula wamu ne Janet nebatandiika okunkolokota nga bwe nnali nkola emirimu gy’awaka mu ngeri ey’akasoobo, mbu ng’ate mbayisaamu n’amaaso. Naye nange olulala nnabateera akaka nembagamba nti banviireko ddala kubanga si be baali bandeeta ewa Chantal.  Era lumu twamala kumpi ekiro kiramba nga tubulonda ne Jemo nga buli omu awalalira munne okumuvaako amaulekere emirembe. Era Jemo ne Janet  tebaalwa ne beekobaana bombi ne bampaabirayo ewa Chantal, naye n’anzisa akasiiso.

Lumu Chantal yakigwamu nti Jemo  yali abbirira abawala n’abaleeta mu kitanda kye. Anti mbu lumu yasanga nga mu kisenge kye muwunyiramu ebizigo n’obuwoowo obutali bubwe. Chantal teyalwa n’ahhamba nti buli lwe ndabanga Jemo ng’aleese omuwala yenna yenna mu nju, mmubagulizeeko mu bwangu.  

Naye Jemo yali musajja nkerettanyi. Anti lumu yebbirira n’aleeta omuswaswangule g’omuwala mu nju ya Chantal. Nze olw’okuba nnali hhenze ku ssomero, kale olwakomawo ssaakimanya nti mu nju mwalimu embalangu y’omuwala. Kale nze olwaggulawo ggeeti, nnatuukira mu mmotoka mwe nnaterekanga ebitabo byange. Olwali okukyuka bwenti ntere hhende mu ffumbiro, nnalengera okugulu kw’omuwala nga kubulirayo wabweru wa ggeeti mu kasoobo. Naye ssaakitwala nga kikulu. Bwe nnayingira mu nju, nnasanga Jemo ng’ayambala mpale. Olwamaliriza okusiba zipu, n’akwata akasawo k’ekikazi akaali mu ntebe, naye n’abulawo.

Lumu Chantal yakomawo neyeetikka enju nga bw’asonga olunwe mu Jemo nga bw’amugamba nti yali akooye abawala be okukubaakuba ku ssimu ye. Ne Jemo yeerwanako nga bw’agamba nti naye yalina essimu eyiye, kale kyali tekisoboka muntu we yenna kukuba ku ssimu ya Chantal bw’aba ayagala kwogera na Jemo. Beeyongera okuyomba olw’ebintu ebirala bingi, naye olw’okuba beereega nga boogera Lunnarwanda olulimi lwe nnali sitegeera bulungi, ebisinga byampitako.

Enkeera bwe nnagenda ku ssomero, Nambi yajja gyendi nga bw’akaaba amaziga nti; “Kyokka omwana w’omuntu alabye nnyo! Mukwasi, nkuweereza ntya obubaka bwange ku ssimu n’ogaanira ddala okubuddamu? Waakiri wandihhambyeko eno ku ssomero nti ‘weebale.”
Awo nange kwe kumubuuza nti; “Bubaka bwa ngeri ki obwo bw’oyogerako?”
Naye mwana muwala yagaanira ddala okumbuulira obubaka bwe yali ategeeza, era neyeeyongera okukulukusa amaziga. Nnayagala okuggyayo akatambaala kange mmusangule amaziga, naye nenzijukira nti omuwala ono yali yansaba dda ennamba y’essimu yange, naye nnemmuwaamu eya Chantal kubanga nze ssaalina ssimu.

Olw’okwagala okumanya obubaka obwali butuuse okukulukusa Nambi amaziga agajjulujjulu, bwe nnaddayo eka, nnasiba omutima nehhenda okubuuza Chantal ambuulire obanga ddala yalina obubaka bwange bwonna bwe yali afunye ku ssimu ye. Naye Chantal yasooka kumbuuza nti; “Obubaka okuva ew’ani?”
Nze kwe kumuddamu nti; “Omuntu bamuyita Nambi!”
Ko Chantal  nti; “Nambi omuyita otya?”
Nze olwawulira ekibuuzo ekyo, amatu negampaawaala, nentuuka n’okutuuyana ennyindo. Bwe nnamala okutakula ne mu mutwe, kwe kuddamu Chantal  nti; “Nambi mwannyinaze!”

Amangu ago Chantal yaboggola omulundi gumu nti; “Ani gw’otimba bbula? Wano jjo nnabadde nnyombesa Jemo nti abawala be bansumbuwa ku ssimu yange, mpozzi bulijjo abawala babo! Mwannyoko wa ngeri ki ayinza okukuweereza message ng’egamba nti; “ Please Sweetheart stop breaking and unbreaking my heart.”?

Wamma guno nnazza gwa Nnamunkukuulu. Anti okuva ku olwo, Chantal  y’annyiigira nnyo era enkolagana yange naye n’ejjamu omukoosi. Nange nneeyongera okunyiigira Nambi mu mutima naye lwakuba ssaakimugamba.

Lumu Chantal yali agenze e Rwanda. Nze bwe nnadda okuva ku ssomero, nnasanga nga Ssemakula ayungudde abampi n’abawanvu nebakasukaebintu byaffe ebyo mu nju byonna wabweru. Teyakoma awo, wabula n’emmotoka mwe nnasulanga yali agisise n’agiyingiza mu kikomera kye ekyali kituliraanye. Jemo, Janet ne ­Uncle omulema, baali nabo balinga abamazeemu omusulo.

Nnali nkyamagalaridde ku kikomera, Jemo n’ayingirawo n’emmotoka ekika kya kabangali era nnetutandiikirawo okutikkako ebitnu byaffe ebyali birekeddwa awo nnagalaale. Emmotoka yasomba ebintu emirundi ng’esatu, awo ku mulundi ogw’okuna nange nange nendyoka hheenderako. Nnagenda mpulira ennyiike mu mutima nga nnebbuza mu nda yange nti omugagga omutuufu ku nsi y’ani?

Emmotoka kwe twali, yasibira ku kikomera kirala e Kisugu. Ekikomera kino kyalimu ennyumba bbiri nnambirira ezeetongodde ng’era za mulembe ddala. Tetwalwa nnetutandiika okutikkula ebintu ku mmotoka nga bwe tubisombera mu emu ku nnyumba zino. Olwamaliriza, Jemo, janet ne Uncle omulema bo baddirayo mu mmotoka eyatuleese, nebandeka nzekka okuyingiza mu nju ebintu ebyali bisigalidde.

Nnali nkyameggana n’ebintu, newafubutukayo omukyala eyajja nga yenna alinga omusota omukubeko n’abwatuka nti;” Ye mmwe b’ani abaguddewo ennyumba yange nga sitegedde? Simanyi muli babbi?”
Awo nze nnende eyali yeebagadde entebe, ssaalwa nengikuba wansi nga nzenna ntunula mpwangali ng’embwa esudde ekise. Omukazi bwe yalaba nga neefudde nnampulirazziri n’agamba nti; “ Kahhende ndeete poliisi, kubanga mulabika muli kunzannyira ku bwongo!”
Awo nze kwe kumuddamu amangu nti; “Lindako nnyabo. Nange ndi ndi mukozi. Naye bakama bange balina omuntu gwe boogeddeko naye, era n’abakkiriza okuyingira ennyumba eno. Wandibalinzeeko katono kubanga bagenze okukima ebintu ebirala ebisigaddeyo!”

Nnali nankamaliriza okuwanjagira omukyala, eyali ayigulizza nga yenna antunuulira kiziimuziimu, Jemo naye n’akomawo. Ono y’eyanzigya ku muguwa.Omukazi teyabugumya na ku mbooge, nga baayambalaganye dda bukanzu ne Jemo.  Yayogeranga nga yenna bwe yeecwacwana n’akuba n’enkanda wansi nga bw’alayira wakiri okufiira mu kitooke kya gonja naye nga takkiriza balabbayi kuyingira mu nju ye. Awo Jemo kwe kumuwooyawooya nga bw’amugamba obugambo mu kyama bwe ssaategeera. Oluvannyuma, nnagenda okulaba nga omukazi abadde atuggubadde akakkana n’adda mu mbeera nkugambye n’akirako ekisiki ky’omuliro kye bayiyeeko olwenje lw’amazzi.

Oluvannyuma nga wonna kiri mulaala, Jemo yandagira nneeyongere okuyingiza ebintu mu nnyumba, era ye n’asigala ng’akyawayaamu ne n’omukazi eyali yeefudde kawenkene, n’oluvanntuma n’amuwerekerako.

Ekiro ekyo twakolera wamu ne Jemo, Janet, ne Uncle omulema ne tupanga ebintu mu nju. Ennyumba eno yali ya bisenge bibiri ebinene, eddiiro gagadde limu, ebinaabiro bibiri nga kw’ossa n’effumbiro okwali ne ssitoowa. Nze ssitoowa gye nnalongoosa nengifuula ekisenge kyange. Era waayita mbale ne tuba nga tuteredde ntende mu maka gaffe amaggya e Kisugu.

Lumu nnakeera okugenda nsinze ku Liisoddene. Kale olw’okuba essinzizo lyali mu kibuga wakati, bwentyo nnakeera ku makya nnyo okugendayo. Nnateranga kutambuza bigere okuva e Kisugu yogaayoga ku kibuga. Abantu b’awaka baalinga banneewuunya obwa katwewungu obwampisanga ku masinzizo endulundu agaalinga mu kitundu n’ensalawo okutindigganga olw’ekibuga. Naye kino kyaviirako Chantal, Janet, ne Jemo nabo okwepakiranga mu kamotoka kaabwe nebagenda okubaawo ng’abajulizi nga Liisoddene asinzibwa.

Lumu Janet yakomyawo amawulire awaka nti Chantal yeekubye ennume y’ekigwo ng’amasannyalaze gwe gaali gakubidde mu ssinzizo. Naye mbu kiteeberezebwa omwoyo omutukuvu yali amulinnye ku mutwe nga mmandwa. Okuva ku olwo, nga abakulu bano buli lwe baba bafunyeewo akadde nga bagenda ne basinza ku Lugaba.

Lumu Jemo y’andagira nti oluvaayo ku kkanisa, mpitireko e Muyenga gye twasenguka nziggyeyo nnamuziga ya ttivi gye twali twerabiddeyo. Nnage olwava ku ssinzizo, nnayitira Muyenga okukimayo nnamuziga za telefaina.

Olwali okwessa mu ddene nga mpambawakatidde obuuma, amangu ago nengwa mu bakuumi b’omukama w’e Tooro nebahhombamu obwala. Basooka kumbuuza wa gye nnali nzigye zi nnamuziga. Nnage nnabaddamu nti zinnamuziga zange. Awo erimu ku gasajja kwe kugamba nti; “ Olimba! Nkikakasa nti ye ggwe omu ku abo abagenda bawalampa ebikomera by’abagagga nemubanyagululako ebintu byabwe eby’omuwendo!”

Agasajja tegaalwa negangiikira, negansikamu empale, negannyambulamu n’essaati, era okutemya n’okuzibula negantwala kirinnyamutika yogaayoga ku ppoliisi e Kabalagala. Waliwo omu ku bavuzi ba Chantal mu mmotoka eyali ammanyi, era ono yagezaako okumpolereza naye nga go agasajja gakalambidde ku gw’okuntwala ng’ekyo ku ttale.

Olwatuuka ku ppoliisi, agasajja gampawaabirayo nti nnali mubbi kkondo nnantawunyikamu mu kubba zi nnamuziga za ttivi mu bikomera by’abagagga e Muyenga, Kansanga, Kisugu, Namuwongo ne Bukasa. Abappoliisi nabo lwambuuza ebiwandiiko ebinkwatako nga nange ssirinaawo wadde n’ekimu, nebandagira okwambulamu engatto n’omusipi. Nnamuziga za ttivi zo baaziteeka mmeeza ya ppoliisi ng’eno bwe beyongera okumbuuza amannya gange gonna. Nnagababuulira ng’eno bwe nneewozaako nti agasajja agannkutte gannanze bwemage , naye aba ppoliis nebeyongera okuntiisatiisa nti ebigambo bye nnali njogera byali biyinza okunsibya ebbanga eddene mu kkomera. Abasibe abamu baali besimbye butengerera mu ddinisa ly’ekkomera nga bawulira bulungi ebigambo bye nnali mpereekerezeganya n’aba ppoliisi. Abasibe nabo nga bakira bampereekereza agagambo nti;
Sagent! Oyo omubbi mmutuweereze mangu eno mu nda. Ye abaffe, alowooza nti ffe abali mu nda tuli mu kusiika binyomo?” 
Aba ppoliisi nabo nga balinga abawendule, tebaalwa nebaggulawo omulyango gw’ekkomera era nebansindika mu mannyo g’empisi.

Abasibe bannyaniriza mu kkomera na luyoogaano ng’eno bwe banjaza mu nsawo z’empale yange agasajja kumpi gye gaali gayuzizzayuzizza. Awo omu ku basibe gwe bayita RP kwe kugamba nti; “N’akomunda mukakwatemu mumwaze bulungi. Ayinza okuba nga lupiiya azikwekedde ddala mu kalya enkoko!”

Amangu ago RP kwe kumbuuza amannya, naye nze nensirika busirisi. Teyalwa n’ampujja oluyi. Omusibe omulala y’antega neneekuba sseddume w’ekigwo mu kikalaayi kya kazambi. Tebaalwa abasibe bonna nebangiikira ng’enjuki nebanfukirira agakonde n’ensambaggere, wamma ggwe nekanzijjuntuka. RP teyalwa n’alya mu ttama nti; “Mmulekere awo! Mwagala kutta musajja?”

Abasibe tebaalwa nebansitulawo mu kazambi  nga nzenna nvulubanye obubi, nebannyimiriza butengerera. Tebaalonzalonza nebaddamu nebadamu nate okumbuuza amannya gange, naye nga kulinga kusiwa nsaano ku mazzi. Awo omu ku basibe kwe kugamba banne nti; “Omumpembe ono, bannange, bw’ataba kasiru, y’andiba nga tawulira lulimi Luganda!”

Awo omusibe omulala kwe kuwa RP amagezi nti ayogere gyendi mu lufuutifuuti. Era RP teyalwa n’ayiwamu ekinyanyimbe nti; “Tell us men! Your name is what?”
Awo nze kwe kumuddamu nti bampita Mukwasi. Teyalwa nneyeeyongera okumbuuza nti; “Mukwasi obeera wa?”
Nnage olwamuddamu nti nnali mbeera Muyenga, abasibe bonna nebambuukira nga bwe baleekaanira waggulu nti nnali mmanyi olulimi Oluganda naye mbu nnali ndi kugezaako okubayita ku litalaba. RP teyalwa n’alagira abasibe bankwate era bannyimirize mu maaso ge. Olw’alaba nga nneesimbye butengerera mu maaso ge, RP  yandagirawo okutuula wansi. Bwe nnagezaako okutuula ku kafaliso naye kwe yali atudde, teyalwa n’ansindiikiriza ebbale nga bw’awoggana nti; “Musiru ggwe! Wano w’oyagala okutuula bayitawo Muyenga okumpi ne Sheraton! Tebamala gatuulawo! Simanyi ompulira?”

RP  lyali ssajja liwoggoofu nga teryambala ssaati. Lyayogereranga mu ddoboozi essaakaavu ng’eno bwe lifuuweeta n’emisokoto gya ssegereeti omwali muwunyira n’enjaga. Teryalwa nerigenda mu maaso n’okunfalaasira nti; “Mwana bwe tukubuuzanga amannya go n’ekika ky’omusango gwe wazizza, otuddangamu mu bwangu ddala. Oyinza okubeera awo naye nga ffe tetumanyi nti watugumbudde omuntu, kale n’otwefuulira ekiro okutufumuta ebiso mbwa ggwe! Kati yanguwa mangu otubuulire ekintu kye wakoze ekikuviiriddeko okukuleeta mu kkolokooni!”

Awo nange ssabugumya na ku mbooge, nembategeerezaawo nti bannanze bwemage okunsiba omusango ogw’okubba nnamuziga za ttivi ez’ebweru. Awo omusibe omu eyali yakuza enviiri ezifaanagana n’ebyoya by’enkoko kwe kunziramu nti; “Tewali mubbi atamanyi kwegaana. Naye ekintu kye wabbye kyo ky’amaanyi. Olabika wasoose kuwalampa kikomera kya mugagga. Wamma tooto oli muzira, osingira ddala bano bannaffe ba Kabali ababba emitwe gy’enkoko!”

Awo abasibe bonna nebatulika okuseka nnyindo yankolera. Tebaalwa nebandagira okugenda okutuula mu emu ku nsonda. Bwe nnafuna akafo we nsitama,omusibe omu kwe kunkuba ogukonde mu mugongo nga bw’ayomba nti; “Ggwe ffala omubbi atalina magezi! Ssaagala kumpanikako mpale! Va mangu mu territory yange nga sinnakwongera kkonde eddala!”
Teyalwa n’ansindikira ddala eri mu nsonda eyali ekikalaayi kya kazambi. Olw’okuba ekizikiza kyali kikutte mu nda, nneesanga ninnye ekimu ku bigere by’omusibe eyali aswakidde. Naye tawena y’ansindika nga ekyenyinyalwa okukakkana nga nga ngudde kya bugazi mu kikalaayi kya kazambi. Teyakoma ku ekyo, naye yagenda mu maaso okundagira mbu njoolewo kazambi yenna mu bwangu ddala era nneetegeke okumwetikka mmutwaleyo wabweru amanngu ddala ng’ekide ky’ekkomera kyankavuga. Bwentyo nange nnatuulira ddala okuliraana ekikalaayi kya kazambi nga nezinze bugongolo.

Ekkomera lino lyonna lyali likubyeko olukunkumuli lw’abasibe newankubadde nga lyali ffunda ddala. Nnagiranga nenjagala okulannamako naye nga tewali wempisa kigere. Kkolokooni yonna yali ewunya ekkalalume, omusulo, empitambi , ssegereeti, enjaga, ebiragalalagala, mmenye k ndeke ki? Ekizikiza ekyli kikutte munda nga tekisobozesa musibe yenna kwawula misana na kiro. Obumooli obuleeta ku kitangaala bwali waggulu nnyo ku bisenge nga kumpi tebbugasa.

 Bo abasibe baalinga basiiba mu buwale bwa munda bwokka. RP  n’abamyuka be bonna, baali nga bakola gwa kukuba matatu ne zzaala nga bwe batumya ne sseggereeti mu ssente ze baawambanga ku basibye abapya abayingizibwa mu mbuzi ekogga. Bwe baakoowanga okuzannya zzaala, olwo nga balyoka balagira buli musibe kinnoomu okunyumya ebikolobero bye yakolanga, nga tebannamugombamu bwala okumutuusa mu nkomyo. Kumpi abasibe bonna baanyumyanga emboozi ennyunyuntuvu ennyo ng’era osobola okuziwandiikamu akatabo kalamba. Abasinga baatunyumizanga ku bukolomooni bwe baakozesanga mu kunyagulula maka g’abantu, awamu n’okukijjanya abakuumi b’eddembe. Abalala bo baatunyumizanga abawala be baakwananga nebamala nebabatunuza mu mbuga ya Setaani nga kw’otadde ne baka basajja be baasiguukululanga mu malya.

Ebyo byonna baabinyumyanga naye nga nze ebirowoozo bindi bunaayira. Nnakubyakubyamu engeri gye nnaakeerangamu ku makya okwolekera ogw’okulima n’okutuntuzibwa nga sseesiikidde na ku kanyeebwa. Nnalaba nga ddala singa omusango guno gugeza negunzika mu vvi, emisomo gyange gyali gigenda okufa ttoge. Nneewuunaganya n’engeri Walude ne ba Tigers club bwe baali bagenda okwesala akajegere bwe balikivumbula mbu nnabba ebitali byange, nebanteeka mu kawome. N’ekirala, mikwano gyange egy’akabondo ka KPC e Muyenga baali baliwulira batya nti munnabbwe baamukwatidde mu gwa bulabbayi? Ye walibaawo omuzirakisa n’omu alinneeyimirira nempona okubeera emabega w’emitayimbwa? Ye abange, nnali wakwesimba ntya mu maaso g’omulamuzi okwewozaako nga bwe baali bansibyeko amatu g’embuzi bandiise engo?

Olwalaba ng’ebirowoozo binnyinze obuzito, nenteeka omutwe gwange ku vviivi nentandiika okukulukusa amaziga agajjulujjulu nga ngoolekezza Ddunda Lugaba. Nnagiranga nehhamba nti; Ayi Mukama, ggwe wagaamba nti ojja kubeeranga wamu nange buli gye ndaga. Era nti newankubadde nga ntambulira eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange. Nti nnebwe nnayitanga mu muliro tegunjokyenga. So nnebwennayitanga mu mayengo n’amataba tegantwalenga. Nti era bo bonna abakwesiga balinga olusozi Sayuuni, tebajjulukuka era teruunyeenyezebwenga. Nti era toli mwana wa muntu okulimba oba okwejjusa. Kati lwaki Mukama ondekeredde era n’onsuulirira. Lwaki abalabe bateeseteese emmeeza yaabwe mu maaso gange? Lwaki olese omubi okukuba obulatti yenna nneyeegulumiza waggulu w’amagezi go? Nnage kati nsazeewo nti amaziga gange sijja kugoolekeza muntu yenna okuggyako ggwe Katonda wange eyammanya nga sinnatondebwa mu lubuto lwa mmange…..”

Nnali nkyeyongera okukulukusa amziga, nempulira ng’abasibe bayita nti; “Mukwasi y’ani? Bakuyita wabweru bakuyita!”
Nnawulira nga nzenna mbadde ng’omuntu abadde mu nabbambula w’omuliro mu ggeyeena era aseneddwayo n’ateekebwa mu kiwummulo eky’emirembe n’emirembe. Amangu ago nnasituka nentandika okusangula amaaso nga bwe mbuzaabuza abasibe baleme kutegeera nti mbadde nkaaba twawa. Nnamansuka mu bwangunentuuka ku mulyango gw’ekkomera, ng’eno abasibe bwe bampanjagira nti; “Mukwasi munnaffe mukwano tusonyiwe byonna bye tukukoze! Naye totwerabiranga eyo yonna gy’ogenda.”
Ssaatawaana kubaddamu kubanga nnali ndowooza ekintu kimu kya kufuluma kkomera.

Omuserikale olwanzigulirawo nfulume, amaaso nnagatuusiza ku Uncle omulema n’omuvuzi w’emmotoka eya sipensulo nga bayimiridde wabweru bakutte ne nnamuziga za ttivi. Omuserikale y’andagira okuwandiika mu kitabo, n’ankomezaawo engatto zange, omusipi n’ebirala era n’anjagaliza okutuuka emirembe. Uncle omulema yahhamba nti; “Ee! Mukwasi, abasajja babadde bakusibye olw’ebintu ebibyo? Ensi nga teriimu bwenkanya?”
Amangu ago nnaduka za mbwa nehhenda mmugwa mu kifuba, era bw’atyo n’akongojja ku muggo nnetuyingira emmotoka eyatuzzaayo eka. Nnatuula mu mmotoka nga mu nda yange mpulira nninga omwana wa pulezidenti w’eggwanga lya Amerika eyankanunulibwa okuva mu ngalo z’abatujju bannalukalala.

Olwatuuka eka, nnasanga Jemo ne Janet nabo nga banninze n’okwesunga. Nabo ekkomera balinkulisa buteddiza. Janet yambuulira nti omuvuzi w’emmotoka ya simpesulo ye yali andabye ng’agasajja gankutte amataayi gampalabanya, n’alyoka adduka za mbwa okutemya ku Jemo, olwo nebalyoka bateekateeka okujja okunnunulayo. Nange olwamala okubeebaza olw’obudduukirize, nnabagambirawo nti mu kkomera mbadde nkulunguddemu essaawa bbiri zokka, naye zibadde ng’emyaka ebiri egy’okuluma obujiji. Kirabika kiba kika nnyo eri abasibe abakulungula emyaka n’ebisiibo emabega w’emitayimbwa!”

Uncle omulema teyalwa naye n’anteekerako olugero lw’obulamu bwe mu biseera we yabeerera omuvubuka. Yannyumiza nti bwe yali ng’akyavuga agamotoka ga lukululana  ne mikwano gye Abasomalia okuva e Mombasa okudda e Kigali, baateranga okuwummulirako mu bibuga ebutonotono. Mbu wano mu Uganda, baateranga okuwummulira e Lugazi ne Mbiko ku luguudo lw’e Jinja. Ebimotoka byabwe luvookwaya byasulanga mu bibuga bino Awo ye Uncle  naye yateranga kusula mu  loogi e Mbiko.

Mbu Uncle omulema yateranga kusooka kwemiisa ku ndigi, n’alyoka agenda mu kisenge kye okwebaza eyazimba ng’ali bwa ppeke. Ate oluusi teyatawaananga kusibawo luggi lwa kisenge kye. Naye mbu mikwano gye Abasomalia baali bafuuweeta ebbidde, ne bakommonta ne ku njaaye, wamma ggwe ne bagaaya ne ku mairungi kumpi kumala kiro kyonna.

Uncle  omulema yeeyongera okunyumya nti; Mukwasi, Sikigaanye, Abasomalia banywa enkangaali, naye tewali abawunyamu mu kunyumya kano akaboozi ke bayita ak’abakulu. N’olwekyo abakazi b’e Mbiko baali baagufuula mugano buli kawungeezi okwekuba ddikini bonna ne badda ku gwakulinda musajja yenna Omusomalia afubutuka okuva mu kimotoka lukululana, olwo ne zidda okunywa.

Omu ku mikwano gyange bwe twateranga okuvuga ebiroole bya Abayusuf and Sons yakwana omuwala w’essomero. Teyalonzalonza n’amuyingiza mu kimu ku bisenge bya loogi mwe twalinga tusula. Omuwala ono yali anyirira nnyo nga naawe bw’okimanyi abaana b’essomero bwe batera okuba. Naye olw’okwagala ennyo ssente, yeesanga yeesudde ne ku mukwano gwange Omusomalia. Era akawungeezxi kamu, ng’amaze okulya ebipapa n’ebicepere by’ Omusomalia, omusajja yayagala basuleko mu kafo akeekusifu amwebaze ku birungi by’abadde amukolera.

Mwana muwala eyali eyali yakuza obulungi akabina ke, omuwanvu, so nga ne mu maaso abasajja yali asiiba abakyusa ensingo, teyalwa n’akkiriza okugenda okugabira omusajja Omusomalia ebyalo n’amagombolola. Era akawungeezi ako yayambala n’ayaka nkugambye ne yeetimba n’akamwenyumwenyu ku matama. Tebaalwa ne beesolossa ekimu ku bisenge bya loogi. Nze olw’okuba nnalina omukyala owange eka, ssaatawaananga kwefunirayo malaaya yenna, wabula nnagumanga masajja ne neebaka ntere neetegekere olugendo lw’olunaku oluddirira.

Eyo ekiro mu ttumbi, nnagugumuka mu tulo nga mpulira omuntu akuba emiranga nga bw’ayaziirana nti; “Woowe munnyambe! Tonzita! Nsonyiwa ssebo! Nzikirizza omusango gunsinze! Naye tonzita… woowee…!”

Omuwala teyalwa n’akoleeza enduulu nga bw’ayita abantu mbu bajje bamuyambe. Nange nnabuukayo mangu mu kisenge kyange ne nzira mu lukuubo lwa loogi. Mu lukuubo nnasngamu abantu abalala nabo abaali bafulumyeyo mu bisenge byabwe okujja ekimpatiira balabe ogubadde. Fenna twawulira ng’omuwala awoloma nga gwe bali okutugira mu buliri. Nze nnatandiika okwewuunya kiki ekyali kituuse ku ku muwala kabiite wa mukwano gwange Omusomalia! Amangu ddala, omu ku basajja abaali badduukiridde enduulu yatugambirawo nti; “Bannange katumenye oluggi lw’ekisenge tutaase obulamu bw’omukazi, ayinza okufiira muno nga fenna tuwulira!”

Agasajja mukaaga tegaalwa ne gakakkana ku luggi lw’ekisenge ne galusamba ne lugwa munda. Nange ssaalwa ne neeyunga ku gasajja okwesogga ekisenge omwali mufubutuka emiranga. Kyatubuukako, amaaso bwe twagatuusiza ku mukwano gwange Omusomalia ng’agezaako okwambala empale. Amagulu ge mpale gombi yali agambazza, naye nga zzipu emulemye okusiba. Nnamulaba ng’alwanagana n’okusonseka mu mpale ye ekintu ekyali kikulumbadde ng’era kigaanyi okuggweeramu. Fenna olwalaba kino ne tutumbuka okuseka nnyindo yankolera. Nze mu kusooka nnali ndowoozezza nti munnange Omusomalia yali yesonsekayo ffumu oba omutayimbwa gwe yali atugumbuzisa omuwala. Naye nnagenda okutunula enkalariza , nga ku kino ekintu, mwana muwala yali mutuufu nnyo okukuba enduulu n’emiranga. Omuwala wakati mu kutya okungi n’okwewala okuswala, yeebikka n’abulira mu masuuka naye ng’asinda bw’akaaba twawatwawa.

Ssaamanya muntu ki eyatemya ku ppoliisi. Twagenda okulaba nga ba afande bayingiddewo nga baweekedde ku migongo nga nswa. Fenna baatuyoola kirindi nga bwe batugamba mbu tubadde tugufudde mugano okwefuulanga ba muliisamaanyi fenna ne tutunuza muwalajjana mu mbuga y’omumpembe Setaani. N’omuwala baamuyoolayo mu buliri nga yenna atonnya musaayi. Nnalengera Omusomalia ng’agezaako okwezingirira ekintu mu kiwato kye, nze ne ndowooza nti yali yeesiba musipi.

Ekiro ekyo twasula mu kkomera e Jinja. Naye Omusomalia yamala n’atweyimirira nga bw’atuwolereza nti ffe olutalo tetwaluliimu. Naye yatunenya nnyo olw’okumuyingirira ne tumusubya okumaliriza emirimu gye, n’okumalayo ssente ze ew’omuwala.

Ppoliisi yaggula ku Musomalia omusango ogw’okusobya ku muwala w’essomero n’amuleetako obuvune. Omusomalia yeewozaako nti ye yali yeegulidde malaaya wa ku kkubo so ssi mwana wa ssomero. Era yagenda mu maaso n’abuuza abaali bamuwozesa oba nga ddala baali bamukwatidde ku ssomero nandiki mu loogi! Naye okukutula eggoye, Omusomalia yawaayo abaserikale ba ppoliisi ekyojamumiro era n’akkiriza n’okujjanjaba omuwala, ebintu byonna ne bikoma awo. Kale munnange Mukwasi, ekkomera tteryewalika, ne bw’oba omusumba w’ekkanisa, wesanga naawe osuze mu nkomyo.”

Bw’atyo Uncle omulema bwe yandeeta akaseko ku matama nentuuka n’okerabira ebikolobero ebyali binkoleddwako mu kkomera e Kabalagala.

Bwe nnaddayo ku ssomero, nnasanga nga ogw’ebibuuzo eby’akamalirizo gubindabinda. Buli muyizi yali atuula bufoofofo anti ng’abasomesa baakatutema dda nti bino bye byali ebibuuzo kye twali tugenda okuba mu maaso. Ate mbu era mu kiseera kye kimu twali tuteekeddwa okusaba amasomo ge twali tuteekeddwa twagala tusomerere mu matendekero aga waggulu. Nze amasomo gange nnali nnagasabye dda, ara nnali njagala kusomerera by’amawulire bye nnayagala ennyo okuviira ddala mu buto. Okwo nnazzaako ogw’obusomesa, nensembyayo eby’embeera z’abantu. Nnali nkyakuba bulatti, abasomesa nebakatutema nate nti fenna twali tuteekeddwa okufuna ebbaluwa ez’obuzaale okuva mu kitongole kya gavumenti ekibikolako.

Ssaalwa nempuubako olubu lw’ebigere ku kizimbe ekiyitibwa Crane Chambers ekyali mu maaso g’ekibangirizi kya ssemateeka mu kibuga wakati. Muno mwe baali bagabira ebbaluwa ez’obuzaale. Naye nnatengejjera busa. Anti nnasanga omujjuzo gw’abantu mu nkuubo z’ekizimbe nga bonna bagenda mu ofiisi emu yokka eyali etasobola wadde okutuukamu abantu ekkumi. Bakira ng’abayizi basindikagana, nebagwirana, nnebeekuba ebikono n’enkokola, nkugambye  nebatuuyana ennyindo n’enviiri.

Omwami eyali asoma ebbaluwa ez’abo abaali bakoleddwako, bakira ng’aleekaanira waggulu nnyo, naye ng’abasinga obungi tetumuwulira bulungi. Ekyavaamu nange nempaguza okutuuka okumpi n’omulyango gwa ofiisi ogwali gufuuse akatuli obutuli. Omwami yeeyongera okusoma amannya g’abayizi okuva mu masomero ag’ejawulo, naye nga mu ssomero lyange mpulirayo erinnya limu oba abiri.

Nnalinda nnyo nga ndowooza nti osanga nange nja kubeera omu ku bannamukisa, ebbaluwa eyange nayo neesomebwa. Omusajja yasoma amannya n’atuuka n’okusaakaala obulago naye nga temuli lyange. Bwe nnamuwulira ng’asoma erinnya Namagembe nti “Nagamenge”, nze nnatumbuka butumbusi nseko nga bwe mpaguza mu bantu ntere neddireyo eka siri ku bantu bakola mirimu mu ngeri ey’amatankane.

Oluvannyuma abasomesa bampa amagezi nti nga bwe ssizaalibwa mu Kampala, nnali nteekeddwa okuddayo gye banzaala era nti eyo gye nnali owookujja ebbaluwa yange ey’obuzaale. Era nange ssaalwa ng’ebigere mbissaamu engatto yogaayoga Mbale mu Bugisu.

Taata yali yandagirira nti yasenguka okuva mu nsozi z’e Wanaale era nga yadda mu byerereezi by’e Musoto gye balimira omuceere. Kale nange olwatuuka mu tawuni y’e Mbale, nnapangisa omuvuzi w’akagaali n’antwala yogaayoga ku kyalo Zabanyanya. Eyo gye nnasanga kitange Wadundu nga yeesumaalika mu nnyumba gye yali yabumba ng’ekiswa n’akomererako amabaati.

Abatuuze b’e Zabanyanya bonna baagwamu akasattiro bwe baawulira nti mutabani wa Wadundu asomera e Kampala yali ayingiddewo mu kitundu. Nnage olwalaba ng’abakyala abansinga obukulu, n’abawala bwe tugyenkanya nga bonna basooka kufukamira nebalyoka bambuuza, olwo nenzimba nga neebuuza ekibuuzo nti, Nze ani afukamiza ebijuujulu by’e Mbale? Naye nnakiraba nga byonna bya Lugaba.

Nnasanga nga kitange yankawasaayo maama omuto eyali amutokoseza eddigobe. Yalinawo ne buganda bwange obuto bubiri bwe ssaamanya gye yabuzaala.

Ku olwo kitange yanzitira sseggwanga w’enkoko, nebansimba n’omuwumbo gw’amatooke n’omuceere wamma ggwe nendya, nembwegera, nensindisa n’ebigere. Ekiro ekyo kitange yaggyayo omufaliso gwabwe kwe basula era okwo kwe nnawalangasiza ekiwanga.

Ekiro ekyo nnafuna ekyanya nempitirayitiramu ku kitange ku bikwata ku bulamu bwange. Teyali mubi naye n’ampitirayitiramu ku bulamu bwe obwali obwa kagumba wegoge. Naye yanfalaasira nti newankubadde ye teyaliiwo mu buto bwange nga nkula, ne mu kubonaabona kwange kwonna, omuzadde asigala muzadde era tazzikawo. Bwentyo nange nnamusuubiza ebyo byonna abyerabire kubanga ye kitange emirembe gyonna.

Enkeera enkoko twagikwata mumwa nnetwolekera ekitebe ky’eggombolola e Bungokho-Mutoto okufuna ebbaluwa y’obuzaale bwange. Naye twakoma ku njokye, anti twalinda kumpi lunaku lulamba naye nga omukulu w’eggombolola eyalina ssitampu, takubikako kimunye. Bwe tutyo twasalawo okuddayo eka, ebikwata ku bbaluwa tubiddire enkeera.

Bwe twaddayo, twasanga omukulu w’eggombolola ng’ateredde ntende yenna anekaanekanye mu makooti ge bulungi. Bwe yatubuuza ensonga eyali etukeezezza mu ofiisi ye, nnamuddamu nti Ssebo nze gwolaba banzaala mu ggombolola yo eno. Era ekindeese kwe kunona ebbaluwa yange ey’obuzaale ensobozese okwewandiisa okukola ebibuuzo byange ebikubye kkoodi n’okusaba amasomo gennaasomerera mu matendekero aga waggulu.

Omukulu teyalwa n’ambuuza ebinkwatako era byonna n’abiwandiika ku kabaluwa ke yali awakankudde okuva wansi w’emmeeza. Oluvannyuma yatusaba ssiringi lukumi eza ssitampu. Nze nnali sitambuddeemu wadde n’ekuba ennyonyi mu mpale yange. Naye nnagenda okulaba nga kitange yeeyala ku ttaka n’atandiika n’okukuuta akalevu nga bwe yeegayirira omukulu w’eggombolola nti; “Taata tuyambe kubanga tuli bantu banaku nnyo! Omwana oyo gw’olaba, obulamu bwe bwa wajjuba. Mmuyambe atwale ebbaluwa, essente z’oyagala nze ndizikuwa ku lunaku olulala.”

Omukulu w’eggombolola kwe kugamba taata nti; “ Muzeeyi, nange ndi mwana wa muntu nga ggwe. Ensonga yo nnebwewandijihhambye ng’oyimiridde ku magulu go nnandikuwulirizza. Toteekeddwa kunfukaamirira nga kabaka wa Buganda!”

Ebigambo ebyo baabyogera, naye nga nze mpulira njagala ettaka lyasame limmire nsobole okuwona okuswala kitange kwe yali antuusizzaako. Bwe nnebunguluza ku maaso, nnalengera nga ne mu mulyango waliyo abantu abaali batulingiriza. Naye ow’eggombolola olwankwanga ebbaluwa, n’anjagaliza n’okuyita ebibuuzo obulungi, nnafuluma ekizimbe nga nzenna nswakidde mu bunyiivu olwa kitange okunswazaswaza n’afukamira olwa ssiringi olukumi zokka. Naye nnasirika nnesikimugamba. Waayitawo olunaku lumu lwokka nnensiibula Zabanyanya era nenkwata erinziza e Kampala.

Bwe nnatuuka e Kampala, nnasanga ng’ekiri ku ssomero kisa kinegula. Abayizi baali bategese ebbinu makeke eryali ery’okubasiibula n’okubaagaliza obuwanguzi mu bibuuzo ebyali bibindabinda. Buli muyizi yali yasasudde dda ensimbi ez’okuyingira era nange ku luno ssalutumirwa mwana. Naye nneeraliikiridde ekintu kimu ekikwata ku by’okwambala. Ssaalina lugoye lwonna olw’omulembe okuggyako uniform y’essomero. Nnakubyakubyamu engeri bannange gye banaaba banekedde mu masuuti ne mu makooti ng’ate nze kyokka nneeyiye mu ssweeta y’essomero, wamma nebimbula embiibya.

Waaliwo mukwano gwange enfiirabulago ayitibwa Kalule ayasulanga e Nsambya Ave Maria. Ono y’eyannyamba n’anjazika ku ngoye ze ez’okugenderamu ku mikolo. Kale bwe nnagenda ewaabwe, Kalule yannondera ekkooti, empale, essaati, ettaayi n’engatto era n’annyambaza wamma ggwe nnenekaanekana nzenna.

Ku lunaku lw’ebbinu, nnatambula nga nkaga, nzenna nga ntambuza lubege. Omuntu yenna eyandabako yali ayinza okulowooza nti mu nsingo yange baali bawagiseemu enkondo y’omuti, anti nnali ntunula mu kifo kimu kyokka  nga sseenyeenya. Nnende nnali nsibye ettaayi ey’ekikoola nga tosobola kunjawula ku nkoko emize ekisubi.

Bwe nnakkalira mu kafo kange, ne zireeta Nambi naye n’atuulira ddala awo kumpi nange. Mu bisookerwako, ekika kya ssooda kye nnanywa, naye kye yanywa. Mwana muwala yali ayambadde ne mungu n’afata abbaali.  Tewaali muwala yenna eyamuwunyamu mu kutemagana nga mukene. Omutima gwange tegwalwa ne gunkuba akaama nti ‘Mweddemu buto mweyagale.’ Naye nze nnasalawo kusirika ne neefuula atalina kya njawulo kyonna kye ndabye.

Bwe twamala okunywa n’okulya, endongo teyalonzalonza n’etandika. Olw’okuba nti nze mu mutima gwange nnali nkikkiriza nti nnalokoka, eby’okuzina mu ndongo nnabyesamba. Nnagenda ne ntuula ne mukwano gwange Wasswa omulokole ne tunyumirwa ssooda nga bwe tuliisa ne ku maaso ku bayizi abaali bagenda okunyeenya ku galiba enjole. Nnalengera ne Nambi nga naye akyusizza engoye ze, neyeesogga mu kiggunda ky’omwaka ku ssomero.

Amangu ddala, ekibbiitu kyaggyibwako akawuuwo, wamma ggwe endongo n’esekula okutuusa ennyenje nazo lwe zaavaayo ebuziizi. Eyo wakati mu kyepukulu, abayizi ab’emimwa egy’empewere bantuusaako wabweru amawulire agookya nti; “Mukwano gwo Nambi ali mu disco n’abalenzi bamuzizza mu kafunda eyo mu nsonda enziyivu. Buli mulenzi ali kumukwata w’ayagala!”

Ebigambo ebyo olwangwa mu matu, nnawulira obuswandi n’ennugu kata njabikemu. Nnajjonkera, nenswakiira, nkugambye nentandiika n’okuvulula endusu. Wasswa olwandaba nga nvudde mu mbeera, yannyongera eccupa ya ssooda nga bw’ahhamba nti; “Mukwasi kakkana! Jjukira nti oli muntu Mulokole. Naye ekyakukwanyisa omuwala atali Mulokole kiki? Ggwe tojjukira Samusoni mu Bayibuli eyayagala omuwala Omufirisuuti Delira? Omuwala oyo y’eyaviirako Samsoni okukwatibwa, okuggyibwamu amaaso, n’enkomerero y’amaanyi ge. Ebintu bino bikwase Mukama, kubanga yatusuubiza nti tetuukemebwenga okusukka obusobozi bwaffe nga bwe buli.”

Wasswa yayogera ebyo naye ng’alinga afuuyira endiga omulere. Amangu ago nnalengera eddenzi eryali linsingira ddala ekiwago n’obuwanvu nga liwalabanya Nambi okumuzza emmanju w’essomero. Bombi baali bakukuta nga beekutte ne mu biwato kabbaani ku ndongo. Nnawulira ekintu nga kinkutte mu bulago wansi w’eddookooli. Nnayagala nkikolole naye ekintu nekigaanirawo. Bwe nnakivumbula nti kyali kiruyi, nnaluma amannyo n’emba, nentandiika okuwuluguma ng’empologoma nzenna nenzimba okukirako ssekkoko.

Wasswa olwandaba nga nneeyongedde okuva mu mbeera, yahhamba tuve ku ssomero era bw’atyo n’amperekerako okuddayo eka.

Bwe nnadda eka, nnalemwa okukomba wadde ku mpeke y’otulo. Ekyavaamu kwe kudda ku mulimu ogw’okutankuula ebitabo byange byonna. Buli kiwandiike kyonna okuviira ddala ku bitabo n’ebifaananyi, okutuukira ddala ku mabaluwa kw’ossa n’obulabo Nambi bye yali yampeereza, byonna nnabikukunulayo ebuziizi. Ssaalwa nnembiteekera nnabbambula w’omuliro byonna nebiteta.

Uncle omulema olwalengera nnabbambula w’omuliro wabweru n’akongojja ku muggo gwe n’ajja okumbuuza bye nnali njokya. Ssaatawaana na ku muddamu wabula neneeyongerayo n’okukuma nnakibengeyi w’omuliro. Uncle omulema teyalwa kwe kulonda mu muliro akamu ku butabo bwe nnali njokya n’addayo nako mu nju. Oluvannyuma yakomawo era n’ambuuza nti;
“Mukwasi, ku luno Katonda naye omukyaye? Anti ndaba n’ebitabo ebimwogerako obyokyezza omuliro?”
Nange ssaalonzalonza nneemuddamu nti Nedda kojja! Muwala y’eyandese eddibu ku mutima. Awonye nnyo olw’okuba taliiwo, naye mbadde ng’enda okumwokya obunyama nga Kibwetere bwe yayokya ababe. Uncle omulema y’antunuulira n’akamwenyumwenyu ku matama era n’agamba nti;
“Mukwasi ! Abawala balinga nva. Ozirya leero nezikutama. Ate enkeera n’oziddira nate. Naye bw’olaba musajja munno ng’akuliddeko enva eziwooma, naawe linda lw’olifuna essente otere ogende bakusalire ennyama ensava ku mudaala!”
Uncle omulema yayogera ebyo byonna nga bw’aseka, era teyalwa n’akongojja okuddayo mu ntebe ye eyali mu nnyumba.

Uncle omulema y’eyali yasigalawo yekka mu maka gano okuva mu lulyo lwa Chantal. Jemo ye yali akomawo bbalirirwe, ate ye Janet  ng’alina mukwano gwe omukyala Omulokole gye yali yasengukira. Go amabanja gaali gatukoma mu bulago. Anti ntakera, nga Uncle omulema antuma okwewola ebintu ku maduuka g’abantu, ate netulwawo okubisasula. Kale bannyini maduuka n’emidaala mu butale buli lwe bandabangako nga bansongamu ennwe awamu n’okwagala okunzigyirayo ebiso.

Chantal  ye yali takyalabikako ddala era nga kirabika yali alabye ng’embeera erinnye enkandaggo n’amalamu omusulo. Naye kino yakikola oluvannyuma lwa Jemo ne Janet  okwekobaana nebannimirira empindi ku mabega . Anti lumu Chantal yali akomyewo okuva emitala w’amayanja nebamutuuza mu lukiiko. Tebaalwa nebannonda, nga banjogerako ebigambo ebitaliiko mutwe n’amagulu . Mbu nze nnali mbayisaamu amaaso, ndi ngalo bunani, nsiiba mu bitabo ng’ate nkomawo awaka ng’obudde bukunidde. Uncle omulema bino olwamugwa mu matu, y’anzibirako nti bannange baali beekobaanye okunkunkumula omukono mu kibya.

Chantal  bwe yampita mu lukiiko mbitebye, nange nnakimanya nti akejja obunaku keemanya. Kale abakulu bwe bansomera olukunkumuli lw’emisango omwali n’ogw’okwenyinyimbwanga buli lwe mba nga nnaaza embwa zaabwe, nnabaddamu nti, Bakama bange, emisango gyonna ginsinze, era mbasaba munsonyiwe.

Amangu ago Janet eyali aswakidde mu busungu obw’ettumbiizi, era eyali alinze eky’okumbwatukira mu matu, teyalwa n’akakkana mpola. Teyalwa n’olukiiko n’alwabulira nga tasiibudde neyeegendera mu ffumbiro. Era okuva ku lunaku olwo ssaddayo kukuba kimunye kyange ku Chantal na guno gujwa.

Fifi  ne Shulu bo ebibuuzo ebyabwe baabikuba dda oluku mu mutwe. Baali bandekera n’ebimu ku bitabo byabwe eby’omulembe bye nnassomanga okwongereza ku byange. Naye bambi, ebibuuzo byabwe byagenda okudda nga byabakuba kya bugazi n’enkoona nezinywa. Shulu  ye yasalawo okweddirayo e Kigali mu Rwanda mbu yafumbirirwa omusajja Omugirimaani. Ate ye Fifi nnalwawo okuddayo okumulaba.

Bwe nnali nga nkyawulira ennugu n’eddibu ku mutima gwange olw’ebikolwa bya Nambi, nnajjukira omusajja kaddugala omulwanyi nnamige ayitibwa Othello e Bulaaya. Ono y’eyali omutwe omukulu mu bumu ku butabo bwe twasomanga mu ssomo erikwata ku Litulika w’olulimi Olungereza. Othello  ono yalimbibwalimbibwa mukwano gwe enfiirabulago omuzungu ayitibwa Iago n’amukozesa ensobi. Anti Iago yabityebeka mbu omwagalwa wa Othello  omuzungu ayitibwa Desdemona yali abaliga ewa Casio naye eyali omulwanyi mu magye ga Othello. Olw’obuggya n’ekiruyi ekingi, Othello yakakkana ku kabiite we Desdemona n’amutugumbula. Naye yali yankamala okumumiza omukka omusu, nnekizuulibwa nti Iago  yali akoze lukwe eri Othello,  era byonna bye yali ayogedde byali bya bwewussa. Othello olwalaba ng’aswadde nnyo olw’okuttira mukazi we obwemage, naye tawena neyeesanjaga n’akkirira ekaganga azike.

Kale bwe nnajjukira  ebyo bye nnali nsomyeko, eby’okulowooza okuwoolera egwanga ku Nambi nembimma amazzi, anti bw’ofiirwa tosula ku malaalo.

Ebibuuzo byange eby’akamalirizo byali bibuzaako ennaku zokka bituuke. Naye ekitundutundu ku bisale by’essomero byange kyali tekinnasasulwa. Aba Tigers Club  baali bamaze okukola ogwabwe, naye nga Kojja Walude ye eby’ensimbi bimusobedde eka ne mu kibira.

Bwe nnalaba ng’abasomesa bakalambidde ku ky’okusooka okusasula ensimbi zaabwe balyoke banteeke ku lukalala lw’anaakola ebibuuzo, nnamanya nti wamma emberenge yali egaze. Awo ebyange byonna kwe kubikwasa Lugaba annwanirire.

Olunaku olwaddako, twali tuteekeddwa okukuhhaanira mu kabondo kaffe aka KPC e Muyenga. Nange bwe nnalaba ng’enjuba egoloobye, kwe kuwuubako olubu lw’ebigere mu kabondo kange ntere mpanjagire Lugaba okuntaasa akabaate ke nnali njolekedde. Kale bwe twamaliriza okusinza n’okugabana ku kigambo kya Ddunda, buli omu ku baali bakuhhaanye yasabibwa okuwaayo eri ab’oluganda okusaba kwe ewa Namugereka. Awo nage kwe kusaba ab’Oluganda bansabire mpite ebibuuzo byange ebyali bibindabinda. Nti naye tebeerabira, olw’ebisale by’essomero, okukola kwange ebibuuzo bino kwali kukyali mu lusuubo. Bannange nabo tebaali babi, nebawanjagira Liisoddene okunfujjako eddusu asumulule ebituli by’eggulu omwana we nkole ebibuuzo.

Bwe twasiibulagana, omu ku b’Oluganda bwe twali tusaba ayitibwa Mwogeza, y’ampita era n’ahhamba nti; “Mukwano, Mukwasi ng’olabye nnyo n’okusoma ate n’oba nga tomanyi oba on’okola ebibuuzo byo oba nedda!”
Ko nze nti Munnange Mwogeza, byonna katubikwase Lugaba, anti y’agaba ate y’aggyawo.
Mwogeza teyalwa n’ambuuza nti; “Ye zo essente ze bakubanja ku ssomero ziri mmeka?”
Nze kwe kumuddamu nti giri emitwalo mukaaga, ate zo bbanka zigaddewo leero, kale sisobola kusasulayo ssente yonna okuggyako ng’essomero linzikiriza nenzisasulayo butereevu. Naye nga lyo essuubi ery’okufuna ssente ndisigaza mu mikono gya Mukama.
Mwogeza kwe kuhhamba nti; “Tofaayo Mukwasi mukwano,kwata ssente ziizino ogende okole ebibuuzo byo, era nkwagaliza buwanguzi.”

Sijjukira oba nga ddala nneebaza Mwogeza olw’okunzigya mu matigga! Nnawulira essanyu lye nnali ndudde okufuna mu bulamu bwange, era kaabula kata ntumbuke nkaabe. Eka nnaddayo nga nsambira mabega nga jjanzi.

Olw’okuba bbanka zaali zigaddewo ku nkomerero ya wiiki, nnamira omwoyo okumenya amateeka ge ssomero, era nemmalirira essente okuzitwalayo ku ssomero. Ku lunaku lwe tutandiikirako ebibuuzo lwennyini, nnakeera ku ofiisi ya bbaasa w’essomero. Naye kyambuukako bwe nnasanga olukunkumuli lw’abayizi nabo abaali basimbye olw’akasota basasule ensimbi, kale nga tewali na wensobola kuyisa kigere. Mba nkyatunula ebiwekete, akide ekituyita okugenda tukole ebibuuzo nekivuga.  Nnakubagana amameeme gankubagana nentuuka n’okutuuyana ebigere mu ngatto. Nnatunula ebiriroliro naye ng’amagezi ganneesibye simanyi kya kukola.

Biba bikyansobedde eka ne mu kibira, ne nnengera Kojja Walude nga naye ajja amazeeko nga muwogo. Ssaalwa nembaguka okutambula mmusisinkane. Era yali yankatuuka, nemmugambirawo nti bayizi bannange baali batandise okuyingira bakole ebibuuzo. Awo ye kwe kuhhamba nti yali azze okwegayirira omukulu w’essomero anzikirize nkole ebibuuzo, yali wa kusasula ebbanja mu bwangu. Amangu ago nze kwe kukamutema nti ebyo yali ku bikadde kubanga nze nnali nnafunye dda ssente, naye engeri ey’okuyisaamu abaana nzisasuleyo y’eyali efuuse enzibu.  Bwe yambuuza gye nnaggye ssente, nnamuddamu nti nnali nzeewoze ku mikwano gyange.

Walude teyalwa n’anzigyako ensimbi era n’ahhamba nsigale emabega w’olunyiriri. Kale olw’okuba ye yali muzadde, olunyiriri lw’abayizi yayitako luyite yogaayoga ku mmeeza ya bbaasa. Okutemya n’okuzibula, nga Walude yakomyewo dda ne ka lisiiti akalaga nti tewali kimmanjibwa. Teyalwa n’akankwanga nga bw’anjagaliza obuwanguzi mu misomo gange era n’ansiibula.

Gyo emisinde nnadduka gya mbwa era kaabula kata n’abakuumi okuva mu kitongole ky’eggwanga eky’ebibuuzo mbayiteko ng’akaweewo. Naye bwe baamala okunjaza nembalaga ne byonna ebyetaagisa, nneesoggerawo ekibiina okukola ebibuuzo. Nnali nnankatuula ku ntebe yange, bakalabaalaba b’ebibuuzo nebatandiika okugaba empapula. Naye nze nnasooka kukutamya omutwe gwange ku mmeeza nneneebaza Mukama byonna by’ankoledde, era nemmusaba ampe amagezi ag’okuyita ebibuuzo hhende nsomere e Makerere. Olwali okubbulula amaaso, kalabaalaba n’ateeka olupapula lw’ekibuuzo ku mmeeza yange.
Ebibuuzo byonna nnabikolera ku bunkenke, anti nga nkimanyi nti olupapula lwonna lwengwa kiba kitegeeza eby’okugenda e Makerere mbeera mbifuuye mu hhombe. Naye waaliwo bayizi banafffe bo abaali baagufuula omuze omuze okusomolanga ebibuuzo nebabibba. Era olwawulinga nti “akasasi” kayingiddewo nga olwo fenna tumanya nti waliwo omuntu aleese ebibuuzo ebibbe. Bangi ku banaffe baabyeguliranga era nebasula nga batakula emitwe n’okusala entotto nga beewuunaganya engeri ey’okwahhangamu ebibuuzo bino.

Naye lumu twali twambalaganye bukanzu n’ekibuuzo eky’ebyafaayo bya ssemazinga wa Bulaaya, omu ku bayizi baannaffe n’atalantuka era neyeekuba sseddume w’ekigwo ku ddimwa. Wakati mu nsasagge, twalengera munnaffe  ng’asambagalira wansi mu mmeeza nga kw’atadde okwesika n’okweruma gyoli nti ensimbu zimukubye. Awo fenna netugugumuka nate netussaako kakokola tondeka nnyuma. Bangi empapula zaabwe baazikasuka baazikasuka eri, ate abalala nebazifunyaafunya nga balwana bwezizingirire okufuluma wabweru.

Wakati mu kasattiro, abaali batukuuma baayoolawo omuwala eyali agudde wansi mu ntebe, nebamwebagala okumufulumya. Naye abaali bamusitudde baakigwako omuwala bwe yabasambagalira mu mikono n’abagwa ne mu malaka ng’abasika n’okubakwagula. Ekyavaamu n’engoye ze yali ayambadde yaziyuza wamma ggwe fenna netulengera ebikuuno. Bwe baamussa wabweru wansi, yatandiikirawo okukuba emiranga nga bw’akaaba nti; “Woowe! Napoleon! Napoleon woowe! Napoleon  tebamuleese mu kibuuzo, woowe!”

Nnaffe twali tutandiise okukola obukuukuulu nga bakira bayizi bannaffe abamu ebibuuzo babiwanda bulusu nga beemulugunya nti; “Mwana leero Bukenya atuyise ku litalaba! Akasasi kaffe kaakubye bbali! Temuli kibuuzo n’ekimu ekizze!”

Abakuumi b’ebibuuzo bwe baatulaba mu bubinja, tebaalwa nebatugoba tuddeyo mu kibiina, wamma ekkalaamu netuzitabaaza buto. Ye munnaffe eyali aguddemu katwewungu, baamuddusizaawo mu ddwaliro lye twateebereza okuba ry’abalalu Butabika.

Waliwo n’envuuvuumo endala ezaava mu masomero agatuliraanye nga zaanaamiriza. Mu limu waaliyo omuyizi eyawanika omukono nga bali wakati mu kibuuzo, era n’akatema abakuumi nti ekibuuzo kye baali baleese si ky’ekituufu. Abakuumi nabo tebawena ne bamugombamu obwala ng’eno bwe bamubuuza wa gye yali alabye ekibuuzo ekituufu.

Bwe twafulumanga  okuva mu kibuuzo, bangi ku bannaffe baatandikanga okusonga mu bannaabwe ennwe nga babagugumbula olw’okubaguza “akasasi” akafu ne bakuba ebbali. Naye mbu abayizi abalala bo baali bafunye “akasasi” akatuufu, era mbu bo ebibuuzo ebisinga baabifuluma basambira mabega nga jjanzi.

Olwali okukuba ebibuuzo oluku mu mutwe, nnasiibula mikwano gyange bwe twasomanga, naye nga mpulira ennyiike ku mutima kubanga abasinga ku bo nnali siri waakuddayo kubakubako kimunye. Bwentyo bwe nnaddayo eka, nnasiibulirawo Uncle  omulema, engugu nenzimyumyula nga nzizza wa Kojja Walude naye eyali asengukidde e Bweyogerere-Ntebettebe. Eyo gye nnamalira oluwummula lwange nga bwe nninda ebibuuzo okudda.

Bya Mugoya Michael-asigalatalaama@gmail.com





                                                                                                                                         







 [MM1]Ended here

No comments:

Post a Comment