Tuesday, 15 November 2016

EMISAMBWA GY’EMBALU GITABAALA ENSOZI #1

Bya Mugoya Michael (Eyalokokako)

LUMU nnawerekerako mwannyinaze Nabutanyi okutyaba enku mu kibira. Twasanga omukazi omuwanvu ng’anaabira mu mugga okumpi n’amayinja g’olusozi. Yali ayimiridde butengerera mu kidiba ky’amazzi, ng’atukubye omugongo.Twali  tulabako nviiri ze zokka ezaali empanvu ng’emiguwa, ng’era zaagwa ku mabega ge. Buli lwe yakutamanga okweyiira amazzi, obunyonyi obwali mu kibira ne bukungiriza ng’obulabye omusota. Yali mukyala mulungi lwondo, ng’era wakiwago naye ng’omugongo gwe gulimu olukoloboze olwefaanaanyirizaako ettemankima.Bakira ng’afuumuukako omukka ogwali guwuuma ng’enjuki.

Mwana ggwe ekikutambuza ng’eyakomba mu kigere ky’embwa…

Twayimirira walako nga ffembi tutadde ensaya mu kwanaamirira olw’ekimpeneggu ky’omukazi. Awo Nabutanyi kwe kuhhamba nti, “Walumezi, gira tuddeyo, oyo alabika ssi muntu!” Olwali okwogera ebigambo ebyo, omukazi n’akyuka okutunula gye twali tuyimiridde. Olwamutunula mu mmunye, nze nnabanga atunudde mu njuba, era okutemya n’okuzibula ng’omukazi abuzeewo kibombyambwa. Awo Nabutanyi kwe kufubutuka nga bwe yeetema engalike nti; “Maama tufudde! Tusisinkanye Omusambwa! Omusambwa...!”

Nnali mpuliddeko nga maama atulabula obutetantala okutambulanga  ekiro
newankubadde mu ppereketya w’akasana mu bibira by’e Wanaale.Yali yatutegeeza nti mu kibira ky’e Walerera ekyali kiriraanye oluzzi lwaffe, mwali mufumbekeddemu amajjankunene. Mbu mwalingamu omusambwa ogwatambulanga nga gulina amagulu agenkana omuti obuwanvu.Mbu era oluusi wayinzanga okulowooza nti weggamye akasana mu kisiikirize ky’omuti, ogenda okulaba ng’omuti gutambula ne gukuviira.Oluusi ekisiikirize kyo kyennyini kye kyafuukangamu omuntu n’abulira mu kibira.

Waliwo ne muka muliraanwa waffe eyali agenze okutyaba enku mu kibira kino, ne wabaawo ekintu ekyamubbako omwana we gwe yali aweese ku mugongo. Yamala okuwulira eddoboozi ly’omwana ng’akaabira wakati mu kibira, n’alyoka akimanya nti ku mugongo yali aweese mpewo. Mukyala wattu kwe kulya ennumba n’akomba mu kibatu nga bwawondera oluwenda olumutwala omwana gye yali akubira emiranga. Naye gye yakoma okwesogga ekibira, n’eddoboozi ly’omwana we gye ly’akoma okweyongerayo munda. Era yagenda okuddamu akategeera nga gy’avudde ne gy’alaga taky’alabayo. Abatuuze b’e Wanaale be baamusanga enkeera ku maliiri ku mabbali g’omugga Namazyo mbu ng’emizimu gimunnyweddemu omusaayi. Naye yali akyalimu akategeera, era baaleeta muganga y’eyamuvumula n’amuzza engulu. Naguno gujwa, omwana we taddangayo kukubikako kimunye.

Ate omu ku batuuze eyagezaako okutema omuti mu kibira ogwali gumaze emyaka n’ebisiibo, teyalutonda. Anti mbu yali anaatera okugusuula ku ddimwa, ne gufubutukamu omukazi eyadduka nga bw’akuba enduulu.Yali mbu naye agezaako okuduma, mu kisaka ne muvaamu ekirombe ky’enjuki ezaamuyiikira okukakkana ng’akkiridde e Kaganga.

Naye nange ku luno zaali zinsanze. Anti Nabutanyi olwassaako kakokola tondeka nnyuma, nze nnasigala ntunula ebiwekete. Bwe nnagezaako okusenvula ku bigere, nga byombi bisannyaladde tebikyava mu kifo. Nnagenda okuwulira ng’amaloboozi g’abakazi googerera kumpi ku buli ludda, naye nga tewali muntu yenna gwe ndabako. Bwe nnagezaako okwasamya akamwa nkube ku nduulu, ng’eddoboozi terikyavaayo. Awo ne nkimanya nti eyanjalula yali esiridde.

Bwe nneebunguluza amaaso gange okwetegereza embeera, nnagatuusiza ku kijjolooto ky’omusajja kinvinvi eyakuza ekirevu ekyeru omwabulira omumwa gwe n’ennyindo. Yalina emikono nga mimpi, naye ng’enjala zaamu mpaavu okuva kuno ne gye nnanywa amazzi.Yali ayambadde ekkanzu enjeru, naye ng’atambula asindogoma nga gwebafumita. Bweyantunuuliza amaaso ge agaali gaddugala ng’enziiziiri, ne nkuba emiranga okukoowoola mmange, naye era eddoboozi ne ligaana okuvaayo. Waliwo n’abaana abawala babiri abaali bazze okukima amazzi, nabo olwalengera ekijjolooto nga kinneebunguludde, ne bafunya enkoggo nga bwe bakuba enduulu nti; “Woowe, mutuyambe tusisinkanye omusambwa…! Mutuyambe omusambwa…! Omusambwa..!”

Nnalengera amatabi g’emiti nga gawaguka gokka ne gaddukira mu bisaka ng’omuntu agezaako okutaayiza abaali bakuba olube. Ekikuuno kya luwedde ku mpagala nakyo kyabulira mu mpewo. Nnagenda okwetegereza we nnali nnyimiridde, ng’ekkubo eridda eka sikyaliraba. Bwe nnatunula waggulu, nnalaba ng’obudde bufuuse bwa kiboggwe, nga n’enjuba eringa emaze okuzingako ebikunta byayo. Nneeyongera okunoonya ekkubo nzire eka naye nga ekibira kyeyongera kukwata nzikiza.

Abakadde baali baatulabula dda nti bw’obulira mu kibira kyonna eky’e Wanaale ne kakutanda n’oyatula ekigambo nti, “mbuze,” nga ku olwo okimanya nti weeretedde wekka kalunsambulira. Anti mbu wawuliranga eddoboozi ly’emmotoka ng’ejja emazeeyo n’amataala wakati mu miti gy’ekibira, naye ng’oluguudo kw’eddukira tolulaba. Ekyaddirira kwe kuwuliranga amaloboozi g’abantu abakuba obukule n’okusagambiza ng’abatudde ku nsuwa z’amalwa. Nange olwakimanya nti nnali mbuze, nneerema okwatula nti “mbuze”,  bwentyo ne neeyongerayo mu kibira munda. Nnawuliranga amaloboozi g’abantu abali mu mboozi zaabwe, naye nga tewali n’omu gwe ndabako. Ebinyonyi ebya wamatukanga mu matabi g’emiti nabyo by’eyongera okunzigya enviiri ku mutwe, olwo ne ndyoka ntambula nga kasooli omubisi kumpi okubuna ekibira kyonna.

Naye waliwo awantu we nnatuuka ng’ekibira baakisaanyaawo ne basimbawo omusiri gwa kasooli. Nange olwatuukawo, ne nsalawo okugumba omwo, wakiri nninde nannyini musiri w’anajjira wonna andagirire ekkubo eridda eka. Nnasikambula amasanja ku bitooke ne neeyalira wansi w’omululuuza ne ntuula bubya. Naye olw’okuba omukoowu, nneesanga ntandise okutema ebisiki, era ne nsumagiramu katono.

Bwe nadda engulu, nnasanga nga mu maaso gange waliwo ekyoto ky’omuliro ekikumiddwa ne neebuuza ani eyali akikumye mu kaseera mpa wekaaga. Oluvannyuma nnalengera omuzeeyi akwotakwota, eyali ayambadde ekkanzu enjeru, ng’ajja akongojjera ku mpenduzo y’omuggo. Yatuulira ddala awo ku kyoto n’atandika okwota omuliro. Nnasooka kulowooza nti y’eyali nannyini musiri. Naye bwe nnalaba nga tanfaako wadde okumbuuza ebinkwatako, ne neeyongera okutya, naye ne nsirika. Ekizikiza nga kyeyongedde okukwata, nnagenda okulaba nga waliwo n’omukalaata gw’omuzeeyi omulala, naye eyali akumye ekikoomi ky’omuliro ku luuyi olulala olw’ennimiro. Okugenda okwetegereza nga kumpi ennimiro yonna ejjuddemu ebikoomi by’omuliro, nga bakinvinvi abanekedde mu makanzu agatukula ng’omuzira, bali mu kwota nga bwe bakommonta n’emigwabi. Nzenna ng’omutima gunkubira mu mutwe, kwe kuduma omuwawa ne neeyokya ekibira nate.

Kino kye nnali ndabye kyannyongera okukakasa ebigambo bye nnali mpulidde ku jajja Wagooli, nti amajjankunene gaali gafuumudde abaserikale abaali bakuuma ekibira mu nsozi. Mbu ebikuuno bya bazinda ekiro kimu ne bikuba eηηoma, ne bityabula n’amazina  g’embalu mu mpya z’ensiisira zaabwe, wamma ggwe n’enfuufu n’efuumuuka. Bamuntunsolo baafubutuka mu busiisira bwabwe nga babagalidde emigemerawala, ne balyoka bakekeza ennyago okukuba ebintu ebyali bitalabika. Amasasi bwe gaabaggwaako, ebijjolooto ne bikuba obukule n’enkyakaali nga bwe bibabuuza nti; “Abaffe? Amasasi gabeevedde tubaazike ku gaffe? Twabasegulira okuva mu bibira eby’omu biwonvu, kati era mubadde mutulumbye n’eno ku ntikko z’ensozi?”
Abaserikale olwawulira ebyo ne basibamu ebyanguwa okusegulira ebinene bya wanga. Era ensiisira zaabwe zonna baazireka ng’ebyetere biziteekedde nakibengeyi w’omuliro ne ziteta.

Bwe nneeyongera okusaalimbira mu kibira, nnatuuka ku mugga gwe nnateebereza okuba Namazyo. Omugga guno abatuuze b’okubyalo nga Kisekesi, Walerera, Buwaasu, Ibooda oluusi ne Kigyezi, baali kwe bakima amazzi. Bwentyo nnagezaako okugugoberera nti osanga gunnantuusa ku kkubo eridda eka. Naye olw’okuba gwali guyitira mu mpataanya z’amayinja, agakko, ne mu gannya agawanvu, nnatuuka wentendewalirwa ne mbivaako. Nnatya n’okusisinkana omusota gwe nnawulira nga jajja Wagooli agwogerako mbu gwalinanga emitwe esatu n’amaaso agaakaayakana. Mbu gwali tegutera kulabikalabika okuggyako nga kakutanze n’ofujja amalusu mu mugga guno. Bwentyo nange bwe nnasitama emabega w’omugga, nnali ku bunkenke nga nsuubira nti essaawa yonna ow’e Kalungu yali anzingako. Naye nnagezaako nnyo okutega okutu okuwuliriza ebigenda mu maaso mu kibira, essaawa eyo omutaali wadde akamunyeenya. Tewali kye nnawulira okuggyako ebiyiriro by’omugga Namazyo.

Nga nkyagumbye emmabbali w’omugga mu nzibaziba, enkuba yatandika okuvaamu obuto. Nnatandika okusattira kubanga nnali nkiwuliddeko nti abasezi b’e Wanaale baali bakozesa nnyo enkuba okulya abantu nga balamu. Mbu bangi ku bakanywa musaayi bano, baali beegunjulidde n’ogwokusindikira abalabe baabwe laddu n’esaanyaawo ennimiro n’amagana gaabwe. Kale ennimiro ezisinga mu nsozi z’e Wanaale zaali zaaziikibwamu amajadu agaloga enkuba awamu n’okugitonnyesa.

 Naye lumu omusezi omusajja ayitibwa Zeebolo, emponga byoya, eyali agufudde omugano okusiba enkuba n’asombera abataka enjala ani amuwadde akatebe, yagwa ku kyokya. Anti mbu abatuuze b’omu nsozi z’e Wanaale bwe baalaba nga beerya nkuta za mimwa, ne beesala akajegere, kanaaluzaala ne bamuwenja buseenene. Mbu baamukwata lubona mu kasiisira ke ekiro, ng’alaamiriza omutemampola gweyongere okukekemya abantu obukoko okutuusa lw’aliva mu bulamu bw’ensi. Abatuuze abaali babagalidde embukuuli, ebiso n’ebitimba nga beswanta,  akasiisira ka Zeebolo konna baakateekera nnabbambula w’omuliro ne kasirikka. Ne nnyiniko baamunnyululayo okukakkana nga bamusanjaze ebiso n’alembalemba olw’e kaganga. Zeebolo olwamala okumira omukka omusu, enkuba bikokyo eyalimu ne kibuyaga n’efudemba mu nsozi z’e Wanaale, era bangi n’ebaleka nga bafumbya miyagi.

Kyali kya buwangwa omusezi yenna bwakwatibwa, ng’okumutirimbula bamala kwe yambisa omuzihhoonyo gw’olulagala oluto. Guno baaguyisanga mu butuuliro bw’omusezi ne gubbukira mu kamwa ke. Kale omusezi bwe yabanga ekkirira ewa Walumbe e Ttanda, teyatemanga miranga. Mbu bwe kaamutandanga n’akulukusa ku zziga, ng’olwo abantu b’olulyo lwe bonna olunnabe lwa Walumbe lubasonjola okuviira ddala ku mukadde gwe bakululira ku kaliba, okutuusiza ddala ku bbujje eriyonka. Kale buli laddu lwe yabwatukanga, nga nze wensiisidde, njula kusaba ettaka limmire.

Bwe nnatanula ku bigere ntere neetegule okusaalimbira mu lya Mukajanga, nneesanga nziguse buseke mu kibangirizi eky’ebisaka byokka ku ntikko y’olusozi. Bwe nneebunguluza ku maaso, nnalaba nga ndi kinnya na mpindi n’oguyinja oguyitibwa Kawuuka ogwenkana Kungu ne Migadde. Oguyinja guno obwaguuga mwe mwali empuku luvookwaya nga mufumbekeddemu ebisenge eby’enjazi. Ebyogerwa ku mpuku y’e Kawuuka bangi baali babitankana. Naye mbu nnasiisi w’omuntu yakuumulukukanga okuva e Bule n’e Bweya okujja okweyambululako ebisiraani n’ebipali bye baalekanga ku ssessota ayitibwa Ameezi. Bangi baaleetanga ente enjeru, enkoko enjeru, endiga enjeru, n’embuzi kimeeme enjeru, ne babisaddaakira ku mugguukiriro gw’empuku eno.

Kale bwe nnatuuka ku mpuku, nnaddamu essuubbi nti osanga wanaabaawo omuntu an’ajja okulambula ku jjinja, n’antaasa okuva mu mannyo g’empisi. Nneebunguluza ku maaso nate ne nnengera ensozi eziri ku mitala gy’e Buduuda n’e Busaano awamu n’ebitundu by’e Bubenzye bye nnali mmanyi, olwo ne hhuma nti nnali sikyafudde. Bwentyo nnasiisira wabweru w’omulyango oguyingira mu mpuku eyali ekutte ekizikiza n’okukirako amagombe.

Nnali nkyakubyakubyamu ekiddirira, ne mpulira enswagiro mu mpuku. Waaliwo ekintu ekyali kijja kitambula nga kisojjolimbira ku mpulunguse z’amayinja. Ekyaddirira kwe kuwulira essoowaani n’ebikopo nga byatikayatika. N’oluvannyuma nnawulira ekintu ekyali kiri mu kupanga agayinja ku ganne waago. Waliwo n’obuntuntu obulala obwali butambula nga bukwabuuka, nnendowooza nti zandiba ensolo ez’oku ttale. Wakati mu ntengero, nnawulira ogumenke ogwali gujja nga gusinda, ng’ate gusindogoma ng’omulambo ogubbulukukayo mu ntaana. Bwe nneetegereza, nnalengera ekiwuduwudu ky’omulangaatira gw’omusajja ekyefaanaanyiriza ekisodde, nga kitambula kitagala. Olw’okuba kyali kiviira mu kakubo mwe nnali nzijidde, nnafubutuka emisinde ne neesogga mu mpuku. Bwe nnayimirira ne ntega okutu, entunnunsi z’omutima gwange zokka ze nnawulira. Awo mu kasiriikiriro akalwanya n’eminya, nnawulira ng’era waliwo ekintu ekijja kitambula ng’omuntu, okuva ku ludda gye nnali ntunudde. Nze kwe kwemulula empola ne nzira ebbali. Bwe nnagolola omukono gwange  okuwammanta awali ekisenge ky’empuku, nnawulira  engalo ezinnyogoga nga zigubaka. Amangu ago ne neesikambula okufubutuka nga bwe ntema emiranga nti; “Maama woowe nzuuno nfa nzigwawoo…!”

Nnatalantuka ne nkuba ssekalootera ku njaziyazi z’amayinja, wamma n’agasitukawo ne gambula. Nnatuuyana nzenna ne mpulira nga nvulubanye omusaayi ogwali gunva mu kamwa ne mu nnyindo. Bwentyo nnalalambala ku ddimwa ne nnida kimu okussa omukka gwange ogw’enkomerero.



Abaalugera nti otulo tetumanya alirira nnyina baalutuusa. Nange nnalabira awo ng’otulo tummezze ndi mu mattansejjere.Awo ekiwanga kyange ne kisomba ebirooto okwagala okubimalayo. Nnaloota maama wange Namubaakye. ng’annoonyeza mu kibira ekiro nga bw’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Walumezi! Walumezi mwana wange! Nze maamawo akuyita! Komawo tuddeyo eka, nfumbye amatooke, ebinyeebwa, n’amaleewa!”
Nnagezangako nnyo okuyitaba, naye ng’obulago bwange buzibye sisobola kufulumya ddoboozi.

Maama yeeyongera okukoowoola, ne mpulira ng’eddoboozi lye libulirayo mu nsuku ne mu bibira by’e Magale, Ibooda n’e Kigyezi. Nate n’akomawo okuyitira okumpi n’empuku, ne mpulira ng’eddoboozi lye liggwererera mu bibira by’e Busaano n’e Buduuda.

Eddoboozi bwe lyasirika, ogusota ogw’ekika kya ttimba, ne gwesogga empuku wakati mu mbuyaga eyali ekunta ng’emenya n’emiti. Ensisi yannetimba omubiri gwonna, ne mpulira nga sikyalimu ka buntu. Ogusota gwekulula bulambalamba ne gunneezizingirira mu bulago nzenna nnembulira mu nkata yaagwo. Nnatandika okulaba obutaala obutono nga butuuziddwa ku mayinja agaakula ng’entebe  mwamyakooye. Ate ggo amayinja amalala nga gaakula ng’omutima gw’omuntu omwabuluzeemu wakati.Tegwalwa ne guleeta omutwe gwagwo ne guntunuuliza amaaso agalinga eryanda ly’omuliro.Gwasowolayo olulimi lwagwo olwenkana ekkonkome obunene, era ne gutandika okwogera mu ddoboozi essaakaavu nti:

“Ggwe ani asaalimbira mu matwale gange? Wano oli mu kifo Ssenkulu wa Kawuuka kw’atuula okuwuliriza ensonga z’abazzukulu be! Ye ggwe wekka atakimanyi nti eno y’embuga y’olubiri lwange omuli nnamulondo kwe nnamulira Obugisu? Nze katonda wa bajajja b’abazzukulu b’abaana b’omu nsozi. Nze katonda wa Mundu ne Seera. Nze katonda wa Kintu e Buganda wadde nga bazzukulu be banneerabira. Nseyeeyeza mu bwengula bw’ensozi, njiikuula attaka, ne mpolongosa n’amayinja g’ensozi. Nze katonda w’emigga Namazyo, Namakyere, Nabuyonga, Namataale, Manaafwa n’emirala. Nze avumula endwadde, Nze agaba oluzaalo, era Nze atonnyesa enkuba. Ye Nze asuula laddu ku nsi, Nze atambulira mu mutenzaggulu, Nze aleeta “enkuluutwe” esala ebyalo n’obusozi n’ebuyiwa emitala ne mu biwonvu.

“Leero ggwe gwe bandeetedde  mu mbuga yange, era ye ggwe gwe nnaatuma, okununula abazzukulu bange abawahhangukira mu nsi y’ebugwanjuba. Bangi baagenda mu linnya ly’emirimu ne batadda. Ekibuga kyange baakireka mu matongo ne bakulaakulanya ebibuga by’oku mawanga. Abawala b’e Mbale bangi bakyusizza amannya gaabwe n’olulimi lwe boogera, era ne bafumbirwa abasajja abatali bakomole ab’omu nsi eyo. N’abalenzi bangi batidde obukambwe bw’ekiso ky’embalu yange, ne beeyonoonesa n’abawala ab’ebugwanjuba.

“Ntumye abatume n’abalwanyi abawerako okukomyawo bazzukulu bange, naye entumwa zitiddwa gye zaatumwa, n’abandi ne bakomawo nga boogera ennimi ez’omuliro. Ku luno ggwe olunaamala okuketta ensibuko y’amaanyi g’abalwanyi b’ebugwanjuba nnamige, Nze mwene nja kusitukiramu nzinde obwa kabaka obwo. Abasajja b’ebugwanjuba abaawayira abawala b’e Bugisu, ku luno baakukomolebwa kifuba ddembe.Abatalina ebitundu by’ekyama eby’okukomola, tujja kubasalako amakundi oba engalo zaabwe ensajja. Ekyo bwe kinaalema, nja kuyungula eggye ly’abawala b’e Mbale bannalulungi bakette abasajja Abamasaaba abaddukira e bugwanjuba, nga ne gye buli eno tebasalibwanga mbalu.  Bakabirinnage bano era be banaasendasenda abasajja b’ebugwanjuba babasiiyise obukaba, n’oluvannyuma babazaalemu abaana abawala abalina ebigere by’ente. Mu ngeri eyo nja kuba obwakabaka mmaze okubusuulamu nnabe. Kubanga  Nze katonda w’ensozi. Era ye ggwe omununuzi w’ensozi asembayo.

“Kati njagala ogende e bugwanjuba otabaale ebyalo. Ggolokoka oyake.Yambala amaanyi, ozinduukirize  Kasajja omukaba, ssewannaku Kiwoobe, ne Kirookolooko omukommonsi w’emigwabi. Totya okusaggula ebyagi bya Kibwebwenyi, so n’obusungu bwa Sserubwatuka tebukubunya emiwabo. Buggya, Mutebi ne mwannyina Lugambo tebakubuzaabuza, olwo Kiruyi ne Muwanga onaaba obayise ku litalaba. Katanza ne Kaggwensonyi balwanyi bazibu nnyo naye tobatya, kubanga amaanyi ga Tulo, Masenke ne Nnampulirazziri mmanyi we gasibuka. Naye weegendereze nnyo Bamweyana omulalu, ne muganda we Kawumpuli, awamu ne Matulege ssebabi, obutakutabaala. Ye Kisulosulo twamuwamba dda, okuggyako Nnamuzinda ow’amampaati, ne Kawagga ow’olunkulu. Era wekkaanye  Namaleere obutakulumya mutwe, Kinuuni ne Musoke obutakunywa musaayi, awamu ne Kawekwa obutakugulumbya lubuto.

“Musisi ayinza okukuleetera okutya n’eyaabwe, naye Kiwekuzi, Nabundulira ne Kawuula bali ku ludda lwaffe, era be banaatukolera ku bikwata ku nzaalo. Weetegereze nnyo obuswanyu bwa Kagoggo, ate Nalwewuuba takulumya nnyo mutima. Lwasa bwalikuluma amannyo, mutaataaganye ne Kawunyira, olwo onooba Kayiikuuzi ne Mukasa nabo omaze okubeetegula. Nkwatetante ne Nalwezinga basobola okukuzihhamya nga bayambibwako Luwuggula, naye bw’otabulatabula enkolagana yaabwe ne Lukwata, olwo nga Ndawula ne Ddungu babatwala gye batayagala. Kikwebezi gwe wandisembezzaayo okuketta, naye amaanyi ga Kibuuka Omumbaale ne Kiwanuka gakyambobbya omutwe. Nteebereza nti Nabuzaana atuula mu nnyanja ne Mukasa, be bakanaaluzaala b’obuzibu buno. Singa okomyawo amawulire gonna agakwata ku Kibuuka ne Nabuzaana, olwo tunaaba ng’abawangudde olutabaalo. Naye ekisinga obukulu, weewale nnyo abantu aboogera ennimi ez’omuliro. Kubanga nze katonda w’ensozi sikwatagana na ba…”

Ogusota gwali gukyeyongera okunnombojjera olukwe ssinziggu, akamyanso ka laddu ne kayita mu mpuku, era obutaala bw’oku mayinja bwonna ne buzikira. Okutemya n’okuzibula ensolo efaanana endogoyi enjeru ne yeesogga empuku, ng’ebyoya byayo byakaayakana ng’ennimi z’omuliro. Amangu ago ogusota ne gunneezingululako, bwentyo ne mpawamatuka ng’ava mu tulo nga bwe ndeekana n’okukaaba ekiwalakate nti: “Maama nzuuno mu mpuku e Kawuuka tompitako…!”

Bwe nnazibula amaaso gange, nneesanga siri mu mpuku. Obudde bwali bukedde ng’enjuba evuddeyo mu nsozi. Nnali mu kyerereezi ky’ensozi ez’omu malangaata ge ssaategeera bulungi. Nnali nneegolodde ku muddo ogw’omu nkoola omulungi, nga gwa kiralagala omuto.

Nnawulira nga emirannamiro wange mu kiwonvu, waliyo omusinde gw’eggana ly’ente ezaali zijja zirya omuddo. Bwe nneetegereza, mu matongo, ente ssaaziraba naye nga mpulira eddoboozi ly’omulaalo eyali afuuwa oluwa. Nnalengeranga omuggo gw’omulunzi nga gwe wuubira mu bbanga, naye nga siraba ku muntu n’omu newankubadde ente. Bwe nnalaba nga bino nabyo ssiibisobole, ne neeyongerayo waggulu ku lusozi. Nnayambuukiriza nga bwe ne kululira mu mpataanya z’amayinja, ne ntuukira ddala okumpi n’entikko y’olusozi. Eno waaliyo obunnyogovu obusuffu obungi, naye nga nneerayiridde obutaddayo wansi mu kiwonvu. Kalenge yali akutte ku ntikko y’olusozi. Buli akasana lwe kaamukubangamu, ng’emisaalaba egy’omuzira emyeru esatu giboneka. Nnayagala nnyo okwetegereza nkakase oba nga ddala bye nnali ndaba gyali misaalaba. Naye olw’obutiti, ebimyanso, n’enzikiza y’ebire, nnatya okweyongerayo waggulu. Gyo emisaalaba gy’eyongera okuboneka nga bwe gibulirayo mu bire.

Waliwo oguyinja ogwayiringita okuva ku ntikko y’olusozi ku misinde egya yiriyiri, kata gunekkate mu kifuba. Naye bwe gwatomera olwazi  kwe nnali nnyimiridde, omuntu n’ayogerera emabega wange nti; “ Mwana ggwe ekikutambuza ng’eyakomba mu kigere ky’embwa lumu kirikutuusa e Magombe!”
Bwe nnakyuka okulaba ekimpemempeme ekyali kyogedde, amaaso nnagatuusiza ku musajja eyali ayambadde olubugo ng’atikidde n’enkoofiira enjeru ku mutwe. Bwe nnalaba nga nate njolekedde akatyabaga, ne ngezaako ebyayi okubinnyika mu nsuwa mmombe. Awo omusajja kwe kuleekaana nti; “Nedda tontya! Nkulaba onneekengedde, era ontunuuliza kiziimuziimu. Siri muzimu nga ggwe bw’olowooza. Ssembera wano onkwateko. Nnina ennyama, amagumba n’omusaayi nga ggwe!”

Bwe nnayimirira okumwetegereza, yali musajja akyali mu myaka egy’ekivubuka, naye ng’ayogera mu ddoboozi lya kikadde ddala. Yali atunula ng’omuntu gwe nnali ndabyeko. Awo ye kwe kunsemberera nga bw’angamba nti; “Nkimanyi olabye ebintu bingi mu nsozi ebikumazeeko eby’ewungula. Naye jjangu tutuule wamu. Nze siri muzimu!”

Nze kwekumubuuza nti; ”Bw’oba toli muzimu, ovudde wa? Nandiki ekikwenjeeza eno mu nkoola z’ensozi kiki?”
Awo ye kwe kuggya enkoofiira ye ku mutwe gwe, n’atuula ku guyinja ogwabadde gugenda okuntomera, n’ampita okusembera w’ali nga bw’ahhamba nti: “Okimanyidde ki nti nze ayinza okukuwonya ebizeezengere bye wasuze olaba? Lwaki olowooza nti ndi muzimu? Osobola okulaba omuzimu n’amaaso go,  n’otatuusibwako kabi konna?”

Nze kwekumuddamu nti; “Ekiro kyonna nnasuze nnoonya ekkubo erinzizaayo eka. Bye nnalabye mu kibira, bye nnaloose, n’engeri gye ntuuse eno ku ntikko y’olusozi, bijula okunsuula eddalu. Era…”
Awo ye kwe kundya ekirimi nti; “Kakkana, nkunyumize ebitukwatako nze naawe. Nkimanyi waliyo eyakulonze, era n’akutuma okugenda mu nsi y’ebugwanjuba onunuleyo abantu baffe.”
Ko Nze nti; “Nedda! Ekyo kirabika ky’abadde kirooto.”
Naye ye ne yeeyongera okwogera nti; “Gy’olaga tomanyiiyo. Nze kamwa koogera nviiridde mu nsi eyo. Mmanyi bulungi olulimi lwayo. Nninayo n’obutuuze. Naye osobola otya  okutabaala omulabewo nga tonnamanya bimukwatako? Okwo kuba ng’okweyiwa wekka olunyata mu mbugo. Ye okikakasa otya obanga ddala kikugwanidde okutabaala ensi y’ebugwanjuba?  Omanyi omulabewo ow’olulango? Tolowooza nti ojja kumeggana na mubiri oba n’omusaayi. Tokiraba nga kya mugaso okusooka okumanya omutuufu y’ani mu lutalo luno?  Lwaki toneegattako ne tutuula wano ku jjinja ffembi, ne nkunyumiza bye nnalaba mu nsi y’ebugwanjuba. Omanyidde ki oba ng’ebyannema okutuukiriza, ggwe olimenya mu jjenje kkalu? Era okyalowooza nti ndi muzimu? Nandiki onteebereza okuba omusambwa?”

Awo nze bwe nnajjukira bye nnayiseemu mu mpuku, ne nzikiriza okutuula wansi w’ebigere bye, era ne mmugamba nti; “Kirabika toli muzimu! Era wandiba nga toli musambwa, naye ng’oli kintu kirala. Nze ndi kaana kato, ssirina kye mmanyi bulungi. Naye nnaasinziira ku by’ogenda okunnyumiza, awo we nnaamanyira ekituufu obanga ddala toli muzimu.”

Awo omusajja n’amwenya amajeemulukufu era n’atandika okwogera nti; “Ensi gye bakutumyemu ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Etusinga bingi era tusaanye tuyigire  ku yo naffe  tulyoke twebbulule mu ddubi mwetwatubira. Nkimanyi waliwo eyakulagidde mbu tusaanye tugitabaale. Naye osaanye werowooze nga tonnayambalira ku mabega.”

Nze kwekumubuuza nti; “Ani yakubuulidde byennaloose?”

Naye era ne yeeyongera mu maaso n’emboozi ye nti; “Wano tuli ku kyalo Bundesi, e Buduuda ku ntikko y’olusozi gambalagala omuzungu lwe yatuuma Eligoni. Wadde nga ggwe olowooza nti ndi muzimu, naye ndi mugandawo bwoya. Tusibuka mu bajajja baffe abeebase e Buwaasu okumpi n’e Walerera mu nsozi z’e Wanaale.Bajajja baffe ye Wagooli, Madanda, Nazaami, Mulekhwa, ne Mugoya. Bataata baffe ye Wadundu, Washiteeko, ne Wasimera. Ffembi tusibuka mu ntumbwe za Wadundu. Amannya g’abaana n’abazzukulu baffe tugabbula mu lulyo lwaffe olwa Bamaanahe e Buwaasu. Mu lulyo lwaffe, buli luggya luteekeddwa okubbulwamu erimu ku mannya ga bajajja baffe. Mu mannya ga bajajja mwe muli emikisa gy’omusambwa gw’embalu n’egy’abafu abatukulembera mu ntabaalo, naddala nga luno naawe lw’oyolekedde. Era kya buwangwa buli ntumwa ekomawo okuva ebugwanjuba, okutuukira e Bundesi, okunyumiza agiddira mu bigere olugendo lw’e Bugwanjuba. Kale muganda wange kkalira nkuteereko olugero nnamutaayiika ku bye nnalaba mu nsi y’abambazi b’amakanzu ne bboodingi. Naye weetegereze nnyo ebigambo bino:









2 comments:

  1. Webale kusoma lugero luno. Ebintu ebisinga ebirambikiddwa mu lugero luno byaliyo. Osobola okubigabanako ne mikwano gyo ku Facebook awamu n'abogoberezi bo ku Twitter, Webale nnyo!

    ReplyDelete
  2. hello bro, I need to talk to you. give me your contact. This is good info you shared here.

    ReplyDelete