Mbu obujulizi bwange baali bagenda okububunyisa mu
Buyonaani, Butuluuki, Girimaani, Bufalansa, Budaaki, Budeeni, Buswedi, ne mu
mawanga amalala
NTANDISE okuwulira ebintu
ebiwuluguma. Omanyi oluusi amayinja mu lusozi luno Eligoni gamanyi
okusiguukulukuka ne gakaabya abantu akayirigombe. Newankubadde nga n’obudde
butuliiridde ow’ejjokolera, emboozi ezimu ndi kuziwandiika ku bipapula byange
n’endagala. Luliba olwo olibyesomera. Naye ndeka ng’ende mu maaso n’okukunyumiza
ku nzigi Namugereka ze yanzigulirawo, naye nga nze mwene nziggala.
N’oluvannyuma bwe watabaawo kikyuse, nja kukuwerekerako nkulage ekkubo
erikuzzaayo e Buwaasu mu bataata.
Oluwummula mwe nnali nnindirako
ebibuuzo bya ssiniya ey’omukaaga, lwampisa si bulungi. Anti nnasulanga nkukunadde wakati mu
kweraliikirira olw’ebibuuzo ebimu bye nnali nsuubira nti byali bya kudda nga
binkubye kya bugazi. Bwentyo nnasalawo
okuziika obweraliikirivu bwange mu kusomanga ekigambo kya Lugaba nga bwe nsaza
ne ku nnyiriri ze nnali nsuubidde nti zaali zigenda okunkolera ekyamagero. Era
nnasaba Lugaba nti wakiri ku bunero 25 obwa ssiniya ey’omukaaga, ampeeko 22
nsobole okusomerera eby’amawulire ku kasozi Makerere. Ebyo olwabissa ku bbali
ne nsigaza kukkiriza na kulindirira birivaamu.
Bwe nnalaba ng’eka wantamye,
nnatandiika okutema empenda ez’okwefunira ekigulira magala eddiba. Bwentyo
nnasookera ku kuyamba mukwano gwange Kalule ow’e Nsambya eyali azzeemu okutuula
ssiniya ey’omukaaga. Ono nnafubanga nnyo okumuyamba okuwandiika olulimi
Oluganda awamu n’ebyafaayo bya ssemazinga w’e Bulaaya. Bw’atyo naye yafubanga
nnyo okunfunirayo ku jjamba , era oluusi lwe yabanga tafunye ekuba ennyonyi
ng’ansaba ne nsula ewaabwe.
Taata wa Kalule naye yali musajja
muntumulamu nnyo. Buli lwe nnabanga nsuzeeyo, nga ffenna abavubuka mu nju ye
atutuuza wansi n’atusomera ekigambo kya Lugaba, ne tusabira wamu, n’oluvannyuma
n’atulyowa emyoyo. Teyakomanga awo wokka, wabula yatubuuliriranga okwewala
obugwenyufu, obukaba, awamu n’obusiiwuufu bw’empisa. Era yatukuutiranga
okutambula nga twegendereza nnawookeera w’obulwadde kiryatabaala obwali bukudde
ejjembe mu nsangi ezo.
Ekiro kimu nga ffenna tumaze
okukomba ku komuntamu, Taata wa Kalule yatutuuza ku mmeeza emu n’atukuutira
nate nti;
“Baana bange Kalule, Buwembo,
Ssenkumba, Kasibante, Kajimu ne Mukwasi; ndifa nga ndi musajja musanyufu nnyo,
singa mwenna emisomo gyammwe mugikuba oluku mu mutwe. Ate era ne mutakoma awo
wokka, naye ne muwasa abawala abalungi amata nga mubakubye embaga kkuulamalungi.
Naye kye mbalabulamu baana bange,
tewabangawo n’omu ku mmwe agezaako okuwasa omuwala amusingako emyaka. Newankubadde
ng’omuwala omusingako emyaka ebiri oba gumu. Ssinakindi ng’emyaka mugyenkanya.
Bangi ku mmwe mubadde mwebuuza nti
lwaki abasajja abasinga tebakyayagala bakyala baabwe? Kino kiva ku nsonga ya
myaka. Katugambe, Mukwasi oyinza okukwana omuwala anyirira ng’ekinya , naye nga
mwenkanya emyaka. Olumala okumuwasa, wayitawo emyaka ng’etaano gyokka
n’otandiika okutya okutambulanga naye. Anti buli gy’oba oyita, nga banno
bakusongamu ennwe nga bwe bagamba nti wawasa maama wo. Olwo bw’osisinkana
mikwano gyo egitamumanyi, otandika okumwanjula gye bali nti, ‘Ono ye ssenga
wange oba mwannyize omukulu bulijjo gwe mbanyumizaako!’ Olabira awo ng’ate
otandiise okwagalamu obuwala bw’essomero obuto. Otandiika n’okwekyawa
n’obutayagala kudda mu maka go buli kawungeezi.
Kale batabani bange, mubeere
baguminkiriza nnyo. Abalungi ndagala nnamu, teziggwa mu lusuku. Omuwala
anyirira olwaleero, oyinza okumusanga enkya nga yafuuka dda essanja. Ate oyo
omusiiwuufu kaakano, ojja kumusanga enkya ng’osobola n’okumuyiwako amazzi
n’oganywa.”
Ebigambo ebyo, taata gwe twali
twakazaako erya ‘Kazende’ yabyogera nga ffe tuli mu gwa kwesongamu nnwe
n’okwenyigira ku maaso. Anti kumpi abavubuka ffenna twalina obuwala bwe twali
tukwana, naye ng’obumu ku bwo butusinga emyaka. Awo Ssenkumba, omuvubuka
Katonda gwe yali yagonnomolako ekitone eky’okwogera ebigambo ebisesa abantu,
teyalwa n’ankuba akaama nti; “Kazende alabika aky’alowooza nti ente enkulu
tenywa mazzi!”
Lwali lumu muka Kojja Walude
n’anfunira omulimu ogw’okukolanga ku ssimu mu kibuga Mukono. Bwentyo
nnatuulanga wabweru w’edduuka okulinda abantu abaagala okukuba amasimu, ne nkibakolerako.
Bangi ku bo bampanga ku ssente, ate abandi ne basalangawo okunziba. Waliwo omu
ku bo eyakuba essimu n’ayogerera kumpi essaawa nnamba. Olwamaliriza, yang’amba
nti abadde yeerabidde essente ze mu mpale ye eka. Nange ssinyigirwa mu nnoga,
nnasituka ne mmukwata amataayi era ne tutandika okwenyoola. Balirwana bange be
baatutaasa era ne balagira omusajja okundekera ebiwandiiko bye, ye agende
aleete ssente. Naye ssempala bwe yagenda, yafuuka musu gw’e Kanyanya.
Abantu abalala nabo baali
baagufuula muze okwogerera eddakiika emu yokka. Bwe baamalanga, ne bankwanga
olupapula lwa ssente ennene. Olwo wamma ne ndyoka neezooba n’eddimu
ery’okuzivungisa. Ate abalala bajjanga ne bagamba nti;
“Muvubuka, njagala kwogerera
eddakiika emu yokka!”
Olwo eddakiika bwe yabanga eneetera
okuggwaako, nga bwe ngezaako okumusalako, ng’ankolera akabonero akategeeza nti
akyeyongerayo n’okwogera. Bwe yamalirizanga, olumusaba ssente z’ayogeredde,
olwo ng’abaguka okwereega, nneyeekyanga nga yenna bwe yeesalabatta nti; “Nnakugambiddewo
nga ssinnakuba ssimu nti njagala kwogerera eddakiika emu yokka! Era eyo gye
nnaasasulira.”
Omulala ye yali muwalajjana eyajja
n’atuulira ddala awo we nnali nkolera. Teyalwa n’atandiika okukubira abantu
amasimu nga bw’abagamba nti bamusange mu kafo kange. Buli ssimu gye yakubanga
ng’ayogerera kumpi eddakiika kkumi ddambirira. Naye yakanda kulinda abantu
baabadde ayita, nga tewali n’omu alabikako. Bw’atyo mwana muwala n’atuula awo
katubidde. Nange olwalaba ng’obudde butandise okukwata, ne ntandika okumusaba
essente zange. Teyalonzalonza n’atandika okuneegayirira nga bw’ayogera nti; “Mukwano
nsonyiwa, omuntu alina essente zange agaanyi okujja. Ate nze nviiridde wala
nnyo e Tooro. Ate wano e Mukono, buli gwenkubidde tewali n’omu gwemmanyi
gy’abeera. Obusente bwe nsigazza busobola kunzizaayo mu Kampala wokka. Bambi nnyamba onsonyiwe!”
Omuwala yali mulungi mata. Era buli
lwe yantunuulizanga eriiso ery’ekisa, nze muli ne mpulira nga nsiriira
nzigwawo. Amangu ago, mukwano gwange eyakolanga ku dduuka eriddako, bwe yandaba
nga ndaga olwoyo, kwe kunziza ebbali n’ankuba akaama nti;
“Naye ggwe Mukwasi wakula otya?
Tosobola wadde okulaba ekintu ekiri mu giraasi? Omuwala oyo ali kukutegeeza nti
mmutwale asule ewuwo! Wakiri mmubuzeebuze omusuze awo mu dduuka. Ggwe
olunaamala ‘okumubaaga, omusiibule ku makya agende. Olinda kumukuba mbaga mawuuno ng’ate essente
tolina?”
Olwawulira ebigambo ebyo,
nnatandika okutakula omutwe n’okuweeweeta akalevu kange. Waliwo omukyala
eyatungisanga ekyalaani awo ku muliraano. Bwe yandaba nga ndi okubbiriza
amaaso, kwe kubuuza ekyali kituuse ku muwala. Omuwala bwe yabimuyitirayitiramu,
ye kwe kumusaba ekitabo ky’enkuluze y’olulimi Olungereza kye yali akutte.
Yamulagira akimpe kikole ng’omusingo, zo ssente z’essimu omuwala azireete ku
lunaku oluddirira. Yayongerezaako nti; “Kale zo essente bw’ataazireete, ggwe
Mukwasi onoozibanjamu nze.”
Bw’atyo omuwala kwe kundekera
enkuluze y’Olungereza, ye n’alinnya ezimuzza e Kampala .
Naye nze nnasigala nneevuma obutaba
na nnyumba eyange ku bwange. Nnagiranga ne neevuma mu mutima nti; “Eno eggoolo
ebadde esigadde okukuba obukubi mu katimba ennemye etya?” Kale bwe nnaddayo eka
nnagiranga ne neekyusa mu buliri bwange era ne neenyoola nga nzenna ebirowoozo
by’omuwala bimpambye obwongo. Ekyavaamu kwe kutandiika okulowooza nti osanga ne
guno gubadde musambwa. Anti envuuvuumo z’omusambwa gw’e Mukono zaali zikyase
nnyo era nga bangi bagwasimula bugolo.
Mbu waliwo omuvuzi wa boda-boda eyali agudde ku kyokya
ky’omusambwa e Mukono. Mbu abakyala babiri abanyirira okuzaama baamusaba
abatwaleko eyo mu bitundu bye Goma. Kale ye olw’abaweeka ku kapikipiki ke, mwana
mulenzi n’akoleeza omuliro ne beggyawo. Naye mbu bwe yatuuka mu kitundu omwali
ekibirabira, agenda okutunula emabega ng’abantu b’abadde aweese ku ppikipiki tabalabako!
Awo ye kwe kumanya nti lubaze. Bw’atyo eppikipiki yagifuumuula ng’agizza ku
ssiteegi gye yali avudde. Olwali okutuuka, yatandikirawo okulombojjera banne
nti abakyala b’abadde aweese babuuse ku ppikipiki ne babulawo nga tamanyi! Awo
banne kwe kumubuuza nti; “ Ate abo abakyala abali ku ppikipiki yo emabega
obaggye wa?”
Omwami yagenda okutunula ku
ppikipiki, nga kutuddeko abakyala bali bennyini be yabadde aweese. Enkyukwe
ey’amaanyi yamukuba n’assaako kakokola tondeka nnyuma. Ne banne abaali ku
ssiteegi olwalaba ebikuuno, bu boda-boda baabukasuka
eri, bo bonna ne batonta.
Omulala yanyumya mbu yali akola bwa kinyoozi e
Mukono. Mbu wajja omukyala eyayeruka ng’omuzungu, n’amusaba okumusalako enviiri.
Omusazi w’enviiri yakanda kuzisala, naye nga z’amala okusalako z’ezimera.
Yagenda okwetegereza, yalaba ng’omukyala alina ebigere ebiringa eby’ente.
Teyalwa n’atakiza enduulu. Abadduukirize baagenda okutuuka, ng’omukyala
abombye. Kinyoozi teyalwa n’agendako mu kirabo ky’omwenge olw’eggulo. Teyalwa n’atandika
n’okunyumiza abakyala abaali banywa omwenge, nti yakyaliddwa omukazi alina
ebigere ebifaanana eby’ente. Aba
yankamaliriza emboozi ye, omu ku bakyala kwe kumubikkulira ku ntumbwe ye nga
bw’amubuuza nti, ‘Omukyala oyo yabadde n’ebigere ebiringa bino ebyange?’
Kinyoozi yagenda okutunula ku bigere by’omukazi, nga bifaananira ddala eby’ente.
Tawena n’afubutuka buto emisinde nga ne bwe bamussaako akamyu tekamusanga.
Ye omuvuzi w’emmotoka z’abasaabaze
yalunyumya nti lumu yali anaatera okunnyuka, abasaabaze bonna ne bafuluma mu
mmotoka ye. Naye mbu mu mmotoka mwasigalamu omukazi omu eyali atemagana nga
mukene. Omukazi ono yeegayirira omuvuzi w’emmotoka nti ye yali agenda wala
nnyo. Naye mbu olw’okuba obudde bwali bumuzibiririddeko mu kkubo, kwe kusaba
ddereeva amuyambe agende asulireko ewuwe. Ddereeva naye teyali mubi, ng’avuga
mukazi yogaayoga mu nju ye. Teyalwa n’amuteerayo n’amazzi ag’okunaaba ng’eno
bw’amutegekera ku k’okulya n’okusula. Omukyala olwamala okunaaba, teyalwa
n’atereera ku mmeeza batere balye. Ne ddereeva teyalonzalonza n’atandika
okumusaba omukwano guno ogw’ekiyita mu luggya. Omukyala naye teyamukaluubiriza
mbeera era n’akkiririzaawo ekintu okwedomola.
Ekiro ekyo mbu ddereeva n’omukyala
baasula mu ssanyu. Kale olw’okuba akaboozi kaabagendera butooke, ddereeva
teyalwa n’asaba omukyala babeere bafumbo, ekintu naye kye yakkiriza.
Naye mbu lumu ddereeva yagenda
okudda awaka, yasanga ennyumaba munyale, anti nga nkalu ekirako n’omuzikiti.
Bwe yabuuza ku muliraano, nabo baamugamba nti kyali kyebonere; nti obwedda
mukyala we waali, era tebannalaba ku mmotoka yonna esomba ebintu. Mbu naguno
gujwa, ddereeva akyewuunya ekintu ekyatwala ebintu bye.
Kondakita w’emmotoka teyalwa
n’amwokya ekibuuzo nti; “Owange ddereeva, omusambwa ogwo nagwo guwooma
ng’omuntu?”
Olwo abasaabaze bonna ne baseka
nnyindo yankolera. Awo omu ku basaabaze kwe kunyumya nti naye yali yeekwanira
dda eggwalajjana erinyirira, mbu nga lisava erittulukusa n’abasajja endusu.
Kale mbu bwe yalituusa ewuwe, kyamubuukako okulaba nga buli mmere gy’aliteekera
ku mmeeza, agenda okudda nga ligimazeewo. Bw’atyo ye kwe kusalawo okulitwala mu
kisenge kye litere lisasule byonna bye lyali limuliddeko.
Mbu olwali okwesonseka obuliri,
omwami yali asituka azikize ettaala, naye eggwala ne liwanvuya omukono gwalyo,
era okutemya n’okuzibula ng’ettaala z’enju zonna zizikidde! Musajja wattu
yatunula bijiijidde ng’embuzi ekaabira amalagala. Mbu yali akyali mu kwemotya,
eggwala ne limubuuza nti; “Okyalinda ki? Nze mpulira nfaa…!
Nnende yenna ng’akyali mu katuubagiro
n’okujugumira, eggwala lyamusika lwa mpaka yogaayoga nga bali butoola mu
buliri. Mbu n’akaboozi yakanyumya lwa kifuba-ddembe. Naye mbu olwalaba nga
g’abadde ayita amajjankunene, eby’okwerigomba abakazi gabakubya nkaaga,
y’akakkana wamma ggwe empiki ne bazeesa bukwakku. Mbu wakati mu kaboozi akaali
kagudde amakerenda, amataala gonna agaali gazikidde, gaayaka buto. Omwami
okugenda okwetegereza omukazi gw’abadde yeebase naye, ng’afuuse kawanga ka
mufu!
Kale bwe nnajjukirra emboozi ezo,
nnatya nnyo, ne ndowooza nti osanga nange nnali mponye omusambwa gw’e Mombasa . Era enkeera bwe
nnaddayo ku mulimu, omuwala teyali mubi yaleeta essente era n’akubako ne ku
masimu amalala, n’atusiibula mu mirembe.
Ebibuuzo bya ssiniya ey’omukaaga
byagenda okudda nga nnabiwuuta buva. Naye ku bubonero 22 bwe nnali nsabye Lugaba,
nnafunako 20, era bwentyo mu ssomero lyonna nnali wakubiri.
Nnali nsuubidde okusanyuka ennyo
nga bwe gwali mu ssiniya ey’okuna, naye essanyu lyesiba. Bo aba Tigers Club baasanyuka nnyo ne bansitula
ne mu bbanga okuneetoolooza Club House yonna
gyoli nti nze nnali nsinze mu ggwanga lyonna. Ne Walude eyali agenze emitala
w’amayanja baabimutuusaako. Kale yagenda okudda ng’essanyu ly’alina lya mwoki
wa gonja. Muli nange nnazinanga gunteese nga nninze lunaku lwe balinnangirira
okwambuka akasozi k’abayivu.
Ettendekero lya Makerere teryalwa
nalyo ne lifulumya olukalala lw’abayizi be lyali liyise. Era ku olwo nnatambuza
bigere okuva e Bweyogerere okugenda e Makerere ndabe oba nga nange nnali
mpitiddwa. Nnatuukira mu nsindikagano, ng’olukunkumuli lw’abayizi abaali
beesimbye ng’amafumu g’Abasagala, nga n’abandi balwana basome ku mannya gaabwe.
Nange ssaalwa ne mbeenyigamu okutuukira ddala ku lubaawo ne ntandiika okunoonya
erinnya lyange.
Nnatuuyana ennyindo n’ebyoka ne binneggunda
bwe nneekaliriza enkalala zonna nga naye erinnya lyange teririimu. Nnalowooza
nti ku olwo nnali nkombye mu kya kkobe, era nnavaawo nga nzenna njugumira
amagulu n’okutunula ebiriroliro, kata nfukumule n’amaziga. Naye nnasalawo
nzireyo nneetegereze buto enkalala zino buto.
Bwe nnaddayo, nnasooka kulowooza
nti era nnali nkwosekwose mu ga lumonde. Anti nnalaba erinnya eryefaanaanyiriza
eryange. Bwe nekkaanya obulungi, nnakikakasa nti amannya gombi gaali gange.
Amangu ago nnabuuka mu bbanga nga bbomu gwetulikiddeko, era ne nzirawo buto okulaba
essomo lye bantimbyeko. Eby’amawulire tebaabinkombyako, naye nga
bangonommoddeko ogw’obusomesa, era nga gavumenti y’egenda okunsasulira
n’okundabirira. Era nga nnali wa kusula mu kisulo ky’abalenzi ekyayitibwanga
Lumumba mu Makerere. Mu mutima gwange nneebaza Mukama, newankubadde nga nnali
nkombye mu kya kkobe, naye wakiri ebiririra n’etawunya.
Bwe nnali nga nkyetegekera okuddamu
nate emisomo gyange, nnawuubako olubu lw’ebigere e Mengo ku Tigers Club. Eyo nnasangayo bakyeruppe
abaali bazze okundaba. Mbu bano baali baagala okukakasa bye baali basomyeko mu
mawulire ga Tigers Club ebikwata ku
mwana omukopi eyayise okugenda mu ttendekero lya gavumenti ekkulu. Era bonna
nga bawambakatanye ne zikkamera, entambi ezikwata amaloboozi, n’obutabo,
baatandika okumbuuza akana n’akataano ku bikwata ku bulamu bwange n’okusoma.
Bakira nga banasula zikkamera n’okunkwata ku ntambi za ttivi ne leediyo awamu
n’okuwandiika kumpi buli kye bandabako. Nange bwentyo ebibuuzo byabwe byonna
nnabiwuuta buva, era ebikwata ku bulamu bwange byonna nnabibannyonnyola bulungi
ne babiggwa ennyalwe.
Nange siwena nneefunirayo omu ku
bakyala abazungu ne mmusaba endagiriro ye ey’omukutu ssemakutu kwe twali
ab’okuwuliziganyanga bw’aliba azzeeyo e Bungereza. Naye teyali mubi n’agimpa
nga bw’ankakasa nti kye nnali ntuuseeko baali bagenda okukibunyisa ku mikutu
gy’amawulire egy’enjawulo mu nsi yonna. Mbu obujulizi bwange baali bagenda
okububunyisa mu Buyonaani, Butuluuki, Girimaani, Bufalansa, Budaaki, Budeeni,
Buswedi, ne mu mawanga amalala agali ku ssemazinga wa Bulaaya ne Amerika. Kale
bwentyo nnabasiibula nga nzenna nkuba bulatti ng’omulwadde omubatize, era
ssaalwa ne njolekera Nsambya okulaba ku Kalule.
“Ggwe kano ka Nantaba! Olabye ekivume mukulu wo
ky’aleese mu nju muno? Kati ate naawe bw’onadda mu kusiika ebinyomo emisomo gyo
n’ogiyiwa mu nnyanga, ssiririnnya kigere kyange mu maka go ne bweguba omulundi
gumu! Bulijjo mbakuutira wano nti omwenge tebagulegako nga tegunnatuuka mu
mpaawo! Kati munno wuuyo yeetemeddeko yekka ettaka. Naye Katonda nga bw’ali omulamu,
omuwala oyo alyejjusa n’akomawo gye ndi ng’ali ku maviivi. Yeerabidde nti
okwagala okuliira kwe kumubaazizza ejjaayu!”
Bwe nnawulira ebigambo ebyo,
ssaatawaana kubuulira taata wa Kalule ku bikwata ku kuyita kwange okwambuka
akasozi k’abayivu e Makerere. Era nnasiibula mu bwangu ne neeyongerayo.
No comments:
Post a Comment