Omulenzi omu ‘omusinde’ ayitibwa Masambu yasalawo embalu
agizinire wamu ne mukwano gwe
OMUZIMU
tegusobola kuyita mu bulamu ng’obwo bwe nkunyumizzaako. Kinaaba kya busirusiru
singa ogenda mu maaso n’okulowooza nti nange ndi muzimu. Naye nga bwe nkulaba,
obwedda weetegereza olubugo lwe nnyambadde. Kirabika otandiise okuteebereza nti
ndi mulambo ogw’ankazuukira okuva mu ntaana. Naye sijja kukifaako nnyo. Nze kahhende mu maaso n’okukunyumiza
ebyantuukako.
Mahheeni y’eyali omuvubuka bwe twalinnyanga
mu kimu. Omuvubuka ono naye yali abeera ku kyalo Salye. Yali mukoddomi wa
mutabani wa Wambazu omukulu ayitibwa Wamboga. Mahheeni yali
yagoberera mwannyina okumuyambangako emirimu egy’awaka mu ddya. Mwannyina yali
akyali muwala muto, era ng’anyirira okukirako n’ekinya. Yalina akaloboozi
akaseeneekerevu ennyo ate nga katono. Kale bwe yabanga ayogera, n’ototega
bulungi kutu kwo, w’ayinzanga okulowooza nti ppuusi y’eyogera.
Mahheeni yanneegattako ne tutandika
okutijja ku kyalo mu biseera by’oluwummula lwange nga nnindirira ebibuuzo
okudda. Twazannyanga embirigo n’enkuyo wamma ggwe ne tubyogoloza. Olw’okuba Mahheeni yali wa ffujjo
okunsingako, teyalwa n’alumba ne muwala wa Wagi ku muliraano. Waayita mbale,
amawulire ne gasaasaanira Salye, mbu Mahheeni yali
atunnuza muwala w’omuganga mu mbuga ya setaani , wamma ggwe ne yeeyolera empiri
mu bunnya. Bino Wagi olwamugwa mu matu, n’ayungula abampi n’abawanvu okuwenja
Mahheeni
obuseenene. Musajja wattu yakulungula kumpi omwezi mulamba ng’aliira ku ttale.
Eyo mu bisegguusi gye yali yeekukumye obwannamunigina, gye nnamutwaliranga ku
k’okulya awamu n’amawulire agakwata ku byali bigenda mu maaso mu nkambi ya
Wagi. Naye eyamuggya ku muguwa yali muwala wa Wagi mwennyini. Ono yalinnya mu kyoto n’awera nti yali
agenda okweyimbamu omuguwa yeetuge, singa kitaawe tamuviira ku mulenzi we. Ne
Wagi olw’alaba nga bimusobedde eka ne mu kibira, eby’okuyigganya Mahheeni n’abiggyamu enta. Mahheeni bwe yasimmatuka olutalo
luno, n’assa ekikkoowe era ne yeekuba mu kifuba nga bw’alayira okufiira mu
kitooke kya gonja obutaddayo kusaalimbira mu maka ga Wagi mbu aliimisa muwala
yenna.
Waayita
ebbanga ttono, ne tutandika okutolokanga okugenda mu bibanda bya ssineema e
Buikwe okuliisa ku maaso. Twasookanga kubba mmwanyi n’ebikajjo by’abakulu ne tubitunda
ku bbeeyi ey’endola, olwo ne twolekera ebibanda bya ffirimu. Ensimbi bwe zaatubulanga,
nga twolekera ekyalo Kagunga ewa Muboyi okukola emirimu gya lejjalejja.
Ekyalo
Kagunga, kumpi Muboyi yakisulangako bw’omu n’abomu maka ge. Amaka ge gaali
geebunguluddwa kibira kyokka, era ng’omala kusaggula nsiko n’olyoka otuuka ewa
Muboyi. Yali musajja mmekete atanyigirwa mu nnoga. Abaana be yali abakozesa
emirimu okukirako obulogoyi ng’abatemesa emiti n’okwokya amanda. Ne mukyala we
Namagoye yali amusuza ku migobante naddala buli lwe yavanga e Salye eyo mu
ttumbi ng’agangayidde amagengere. Yagendanga aleekaanira waggulu nti; “Nze
Muboyii…! Bwendifa mulikomba endagala.!” Kale bwe yaatuukanga awaka, n’alyoka
abunya abo’mu nju ye emiwabo, n’abandi ne basula ku nsiko.
Namagoye
lumu naye yeekumamu ogutaaka n’anoba ewa Muboyi. Era ekiro ekyo yasula wa Jajja
Kayinza mu kwabya olumbe lwa kinvinvi William
eyali yakkirira ewa Ssenkaaba. Muboyi olw’alaba ng’omukyala amuyise ku
litalaba, naye tawena n’ayimbula embizzi ze bbiri n’obwana bwazo munaana
munaana, n’azimugobereza ku lumbe e Salye. Abaali mu lumbe baagwamu ensasagge
ne basattira bonna bwe baalengera Muboyi ng’ajja buteesagga n’olwebeeya
lw’embizzi nazo ezaali zitaamye obugo. Abaali mu lumbe nabo tebaalinda
mpalakitale ya musajja kulinnya ggere mu mikolo gyabwe, ne bamugombamu obwala
okukakkana nga bamutadde ku bunnyogoga. Namagoye naye baamukwata lubona ekiro
ng’ageezaako okweyimbamu ogwa kabugu yeggye mu bulamu bw’ensi eno, tali ku
musajja amumalako emirembe. Naye olwamukwata ne bamuweeweenyulamu embooko nga
ziizo, bombi ne babagoba ne bbaawe baddeyo e Kagunga. Kale ew’omusajja oyo
Muboyi, Mahheeni nange
gye twakasibiranga okunoonya ensimbi tutere tugule ebitumbuuwa n’okulaba ku
lutimbe lwa ttivi.
Jajja
Kayinza yali atwala Mahheeni nga
mwana we ow’awaka, okuviira ddala mu buto. Era nzijukira nnali nnasomako naye
mu kibiina ekisooka. Naye olw’okuba yali mwana mawale, abasomesa baamutwala nga
biralambadde oluvannyuma lw’okulumako enjala z’omusomesa omu eyali agezaako
okumukuba embooko. Kale Mahheeni bw’atyo
eby’okusoma okuva olwo n’abimma amazzi nadda ku kyalo okukuba emisota.
N’abawaka olw’alaba nga nnende afuuse kiwagi, Wamboga n’amutikka mu kimotoka
kye ki ganyegenya, n’amuzzaayo ewaabwe e Teeso nga teyeesiikidde na ku
kanyeebwa. Anti ekibi kigwana wala.
Bwe nnalaba
nga ku kyalo tekukyali muto munnange gwe nzannya naye, ne neegunjulira
ogw’okugendanga ku kisaawe ewa Wawuuya okucanga akapiira. Kino Jajja ky’amuyisa
bubi nnyo ng’agamba nti abavubuka baali bakunkuba amakuuli n’endobo banzizeeyo
buto ku ndiri nga biwalattaka. Naye nze ebyo byonna by’ampita ku matu ne bingwa
enkoto ne ηηenda mu maaso n’okwesambira
omupiira. Naye bwe nnawulira ng’okugulu kwange okwali okulwadde kutandise buto
okunnuma, ne nzijukira nti agatawulira mukama waago gabikka ntembo. Bwentyo
ssaalinda budde kudda ku bunnaabwo, eby’omupiira ne mbizza ebbali ng’emberenge
tennagaga.
Ebibuuzo
by’ekibiina eky’omusanvu by’agenda okudda nga nnabiwuuta buva. Ng’oggyeeko
okubala kwe nnayitira ku kaguwa, ebibuuzo ebirala byo kumpi bannange bonna nze
nnali mbanyweddemu akendo. Ye Nakatabira n’omulenzi we ebibuuzo byali bibakubye
kya bugazi n’enkoona ne zinywa, era baazisimisaayo nsuuluulu.
Jajja bwe nnamutwalira
lipoota, yasanyuka nnyo era omwenge n’agunywa okujula okugumalayo mu birabo.
Bakira ng’agira n’akudaalira abagutunda nti; “Mpa ggw’eno empaawo! Ku mmwe
waliwo n’omu eyali asomesezza ku mwana n’amusussa ekibiina eky’omusanvu?”
Sseggwanga
w’enkoko eyali ekulungudde emyaka n’ebisiibo nga yeriisa nkuuli, ku olwo nayo
teyalutonda. Era kabwejungira mwennyini nze nagiyisaako ekiso ku nsingo ne ngiwuuta
amanzaali. Ate oba Jajja yali alagidde ngirye, nze nnali ngirinze ki?
Ekyaddirira
kwali kunoonya ssomero gye nnaasomera ssiniya. Era awatali kuwannaanya kwonna,
nnafuna ekifo mu ssomero ly’Abayisiraamu e Lweru gye nnali ow’okusomera. Eyo
gye nnasanga ne Sserunkuuma nga naye gy’agenda okusomera. Era twayita mu byangu
ne tutandikirawo okukakkalabya emisomo gyaffe nate.
Ekyasinga
okunsanyusa mu ssiniya, kwali kwambala empale empanvu awamu n’okutambulirako mu
ngatto. Anti ppulayimale yonna ssempala nnali nkoona kagere keereere ne nsimba
kasooli, wamma ggwe amaggwa n’amayinja ne bindeka nga neekokkola okusoma.
Nzijukira olunaku abasomesa lwe baatulagira mbu twambale ffenna engatto kubanga
Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda
yali wakukyalako ku ssomero lyaffe. Ku olwo nadduka za mbwa ne neeyazika
engatto za mutabani wa Muboyi. Zaali z’amasanda, ze baalinga baakazaako
emmondo. Mu kukyamuukirira okungi, engatto nnazambala kifuula nnenge. Anti
engatto ey’ekigere ekya ddyo, nnagyambaza kya kkono, ate eya kkono n’edda mu
kya ddyo. Awo wamma ggwe omwami ne nkumba, ne nkaada, nkugambye nga ngudde
n’olubege.
Olwatuuka
ku ssomero, buli mwana ng’alinga omuwendule, yajjanga okumbuuzaako nga
bw’antunula ne ku bigere byange. Olwakyukanga okuddayo ng’enseko z’aseka kibbo
kiramba. Olwo nze nnende nnali ndowooza mbu bayizi bannange baali basanyuse lwa
kundabako nange nga nnyambadde ku ngatto. Ekyamponya gwali musana ogwememula ne
mpulira ng’engatto nzinjokya okujula okummambulako eddiba, siwena ne nziggya mu
bigere byange. Era e Salye naddayo ng’engatto nzikutte mu ngalo nga ntambuza
bigere. Okuva ku olwo, saddayo kwambala ngatto zonna, wadde ssapatu
newankubadde lugabire. Kale nnagenda okuyingira mu ssiniya ng’engatto njize
engeri gye zambalwamu. Ekizibu kyali kimu nti Jajja yali angulidde engatto nga
mpanvu nnyo, era nga bwe nzambala, mbeera ng’ayambadde emaato mu bigere. Nange
siwena ne nzisonsekamu ebigoye n’ebipapula zisobole okuntuuka.
Ttaamu
esooka mu ssiniya ssaagisoma bulungi kubanga ebisale by’essomero byali by’ekanamye
bulala ng’ate ensimbi Jajja yali azinoonyeza mu kiwato nga mazina. Naye ttaamu
yagenda okuggwaako nga nkoze bulungiko. Ekifo nnakwata kya kkumi na munaana mu
lukunkumuli lw’abaana be nnali nsoma nabo mu kibinja kyange. Ye Sserunkuuma y’eyanywa
mu banne akendo mu kibinja kye yali asomeramu era n’afuna ssikaala okusomera
obwereere mu ttamu eddako. Olw’alaba kino nange ne mpera nkolokooto nti olusoma
oluddako nteekwa okuwangula ssikaala y’ekibinja kyange, Jajja mmuwonye omugugu
gw’ebisale by’essomero. Era bwe kityo bwe kyali. Awo ttaamu zonna ezaddako
bayizi bannange bonna nnali mbakubya nkaaga. N’ekirala ekyannyamba kyali nti ne
bwe nnabanga ssibeetisse, waakiri nga mbeera wa kubiri era ssikaala ne ngifuna.
Anti essomero lyali ligaba ssikaala bbiri mu buli kibinja.
Mwana
muwala ayitibwa Namutebi ow’emmamba, olw’alaba ng’obwongo bunneesera, n’agamba
nti wamma tunaatambulanga babiri. Nange olw’amutunulako ne mmulaba nga mulungi
akyamya n’abayise, wamma amangota ne mmira muganda. Ebintu nnali nsoose
kubisaagiramu nga mbiyita bya muniino. Anti amaaso nnali nsoose
kugatunuulizanga kaana kawala ka lukende lwa nnumba akayitibwa Namaganda akaali
kafaanana ng’Omuzungu. Naye bwe nnakivumbula nti Sserunkuuma yali yasuulizza
dda enkessi akeewangulire, nze ne mbiggyamu enta.
Naye
olw’okuba Namaganda yali atambulira wamu ne Namutebi ng’era bombi baviira ku
kyalo kimu e Nantwala, nnatandika okwetegerezaako Namutebi. Era ssaalwa ne mmalirira
mu mutima okumusembeza okumpi n’emmeeme yange. Waayita mbale nga mwana muwala
obumpwakimpwaki tubulya ffembi, kyokka nga buli lwe ngezaako okumwatulira nti,
“Nkwagala”, ng’emmeeme entyemuukirira ne ntuuyana n’entuuyo okwagala
okunzigwamu. Bwentyo nnamala ebbanga eriwerera ddala nga ngezaako okusala
entotto ku ngeri gye nnakimugambamu, okutuusa lwe nnalemererwa ne tudda mu by’okwetunuulizanga
amaaso gokka nga bwe twemoola. Naye lumu Namutebi yanzigya enviiri ku mutwe
kata ankubewo n’ekigwo. Anti twali tweweerezeganya obupapula mu kibiina, ne mmulangira
olw’okuba omukodo amma n’embwa. Mwana muwala naye yandaga nti tanywa guteese,
n’ansimba ekibuuzo kimu nti; “Wali onsabye ki ne bwekiba nga tekisoboka ne nkikumma?”
Ebigambo byankalira ku mimwa nga mu butuufu ndabira ddala nti omusango gwali
gunzise mu vvi, era nga nnali nnalwa dda mu nnyama, ssupu n’awola.
Namutebi
yali ansula ku mwoyo nga lufuba, ng’era y’atambuza ebirowoozo byange byonna,
kyokka nga nneerema okukimwatulira. Anti buli lwe nnamutunuuliranga bwenti, ne ndaba
enviiri ze eza munyerere, amaaso ge ag’endege, ennyindo ye endaalo, ensingo
ey’ebiseera, n’olususu lwe olw’akatakkettake, ne mpulira nga nfa obwagazi. Ate
bwe yagattangako obukakkamu, eddoboozi lye ery’eggwoowo, akamwenyumwenyu
akaamuleetanga n’obunnya ku matama, n’obuyonjo bwe obwa kabirinnage, wamma ggwe
n’anzisa amabbabbanyi.
Naye nnali
nkyaliisa ebijanjaalo empiso, evvubuka ery’omusinde lye bayita Makoleya, ly’ampita
ku litalaba okukakkana nga Namutebi limunkwakuddeko. Mikwano gyange gye
gyanzibirako nti gy’asanga Namutebi ne Makoleya mu kisulo ky’abalenzi
ng’omukwano gubakamudde n’entuuyo. Nnasooka kubiyita bya muniino, naye nga
wayiseeko akabanga, nnakivumbula nti wamma nnali nkuuma lubugo nga lubaale
mubbe. Bwentyo bwe nnalaba nga nkomye ku njokye, Namutebi eyali ampise mu
myagaanya gy’engalo ne mmwesonyiwa, nga ssiri ku gwa kweyolera ηηaaηa kwe ssiirye
magi.
Mu ttaamu
mwe nnayawukanira ne Namutebi, kaabula kata ssikaala nnayo enneme. Era taba
kuba Katonda kumpandako ddusu, eby’okuwangula ssikaala nnali mbifuuye mu
ηηombe. Anti ssikaala abasomesa baali bagigemulidde omuvubuka kagezi munnyo
ayitibwa Ssemitego. Naye bwe nneetegereza lipoota yange ne nkivumbula nti
waaliwo obubonero bw’essomo erimu bwe baali batampadde, nnalumbirawo omukulu w’essomero
nga nzenna emitaafu ginneereeze mu kyenyi. Omukulu w’essomero bwe yantuma
obujulizi obukakasa oba nga ddala nnali ntudde ekibuuzo ekyo, siwena ne nkukunulayo
empapula omusomesa ze yali atuddizza ne nzikuba ku mmeeza ye. Bwe baagatagatta
obubonero, nga Ssemitego mmusingidde watono nnyo awaalema ekkere okubuuka. Anti
nnamusingako akabonero kamu kokka, era ssikaala ne ngimusuuza.
Eka ku luno
Jajja nnakamutema nti emisomo gyali gimmezze eky’obugazi, era nti ne ssikaala
yali empise ku mumwa ng’ekiyenje bwe kiyita ku mumwa gw’ekoko ekiro. Jajja naye
teyali mubi ng’anoonya ssente za kunsasulira ttaamu eddako n’azinkwanga.
Essente bwe
zanzira mu ttaano, nnasambira mabega nga jjanzi, era ne nziruka gya mbwa
yogaayoga mu dduuka ly’Omuyindi e Lugazi. Eyo gye nnagula leediyo lugogoma
awamu n’omuzindaalo luvookwaya n’embikuba awaka. Jajja bwe yambuuza gye nnali
nzigye ebyuma ebibwatuka nga laddu, nnamukakasizaawo nti nnali mpangudde
akalulu ka jjada. Naye n’akkiriza. Bwe nnalaba ng’omuzindaalo gwe nnali nguze
teguggunda nnyo nga bwe nnali njagala,
ne nguvuunika ku nsuwa. Olwo bwe nnassangako leediyo, wamma gwe ne gulyoka
gusindogoma kata enju ya Jajja empya gugibambuleko akasolya. Era awo we nnatandikira
okwagala ennyo ennyimba, okuviira ddala ku kadongo kamu, okutuukira ddala ku
z’abakyeruppe ez’empolampola. Ekyavaamu ennyimba zonna eza Bannauganda ne nzikyawa,
ne mbeera nga nnyumirwa za bazungu zokka, oba ezo eziva wabweru wa ssemazinga
w’abaddugavu-Afirika. Siwena ne ntandika n’okuwandiikanga ebigambo byazo mu
kitabo eky’enjawulo nsobole okuziyiga n’okumanya amazina agazigenderako.
Ssaalwa n’eddoboozi lyange ne ndisaakaaza mbu ndyoke nsobole okuyimba
ng’abayimbi be twali tuyita Abanniga, Ababanda, Abalaasi, oba Abayaga. Nnagenda
okuddayo ku ssomero nga nzenna mpulira ndi “wa kabi” nnyo ssisaagirwako.
Bwentyo bwe
naddayo ku ssomero e Lweru nnatandikirawo okukwana abawala “ab’akabi” ng’ebya
Namutebi tobinnyumiza. Ssaalonzalonza ne nnumba omuwala ayitibwa Kyakuwa naye
nga yeekazaako lya Spice Gelly, eyali
afaanana muyindi-muzungu, ne ntandiika okumutokota. Okusooka yali alowooza mbu
nkyali ssekibotte gwe baayitanga “Ffala”, naye bwe nnamuyimbiramu akamu ku
buyimba obw’Ekinniga ke yali anyumirwa ennyo, mwana muwala n’ammatira era
okukakkana ng’omukwano gutandise okutusaza mu kabu. Twatandika n’okweyawula ku
bannaffe ne twekukuma mu bufoofofo obwekusifu wamma ggwe buli omu n’ayimbira
munne obuyimba obw’akabi. Awo nze mu mutima gwange ne neewaana nti; “Okitegeera
otya mwana? Eno efuukidde ddala ‘ddeemu’
yange era agikwatako ayoya magombe!” Ne “ddeemu”
mwennyini yakinkooneramu n’ankakasa nga bwe yali anfa, nti era tutere tugendengako ne mu ddisiko
tulye ddansi. Kino nnasooka okukyekengera kubanga amazina g’abazungu nnali
ssinnagayiga bulungi.
Naye nnajjukira
olunaku lumu ku mulirwano ewa Wambazu e Salye, bwe baali baabya olumbe lwa
nnyina. Ku lumbe kwaliko ebiggunda bye baggya ku kibuga, bwentyo ekiro ekyo
nange nnatoloka awaka ne ηηenda okulaba ku baali bazina. Bwe nnatuula awo
ebbali mu kidaala, okuliisa ku maaso gange ku byana biwala ebyali biyiringusa
ebiwato ng’omutali magumba, omu ku bawala abaali bazina n’ankimako we nnali
ntudde. Y’ankwata emikono gyombi, ne tugenda nga twebonga ng’enje mu ngeri
ey’ekikugu ennyo. Ye amagumba ge galabika gaali gagonda nga aga kkapa, naye nga
nze omugongo gukalubye gwonna gulinga mwe bawagise emitayimbwa. Bwe nneekakaba
ne mmukwata mu kiwato, nnagenda okuwulira ng’omuliro gumpita mu mpale
ng’amasannyalaze gwe gakubye. Kino kyankanga nnyo! Naye bwe nnakwata ku mpale
yange ndabe oba nga yali ekutte omuliro, kyambuukako okulaba ng’ate etobye
butobi nga gye nkunkumuddemu. Omuwala ssaamuddira wabula okumukakasa nga bwe nnali
njagala okweteewuluza. Bwe yanta ne neewenjulako katono ebbali, nnafuuka musu
gw’e Kanyanya ne mmyansa. Era ebyaddirira ssaabimanya. Naye ku luno nnali
ηηumye masajja okulaba oba nga ddala ne Kyakuwa yalina omuliro ogwamasannyalaze,
ogulinga guli ogwali ku muwala gwe nnazina naye ku lumbe.
Kyakuwa
yali mbalangu ya muwala. Yali teyeemotya era nga buli ky’akola akikola
n’omutima gwe gwonna, ka kibe kirungi oba kibi. Era lwali lumu ng’olunaku
olukulu lubindabinda, Kyakuwa n’addamu okunzijukiza nti ku luno twali
tuteekeddwa okugendako mu kiggunda tulye ku bulamu, paka budde kkejenge. Ssaali
mubi nange nga mmukakasa nti yali tatumye yeesitukidde. Era nnatandikirawo
okunoonya ensimbi ez’okutuyingiza mu ddisiko.
Wiiki
eyaddako, nnabissaamu engatto yogaayoga wa nnagagga Mutimba eyali omulimi
omututumufu ku kyalo Nsanvu. Mutimba yalina emiti egya kkalitunsi gye yali
ayagala abapakasi bagisombe okugyambusa akasozi Nsanvu bagitikke ku loole.
Nange ssaalwa nga nneegatta ku bapakasi, omulimu ne ngukola nga nzigyeeyo
n’ag’omu buto. Emiti kaabula kata gimmenye ekifuba, naye ne nfunvubira entuuyo
ne nzisaza bibatu okutuusa omulimu lwe nnagulinnya ku nfeete. Bw’atyo ne
Mutimba teyali mubi n’ankwanga kavu wange ne mbulawo.
Bwe nnava
ewa Mutimba, nnakasibira we basibira enviiri ze twayitanga ez’Ekiraasi. Bwe bansiba
ebiviiri, ne ngula n’ogupale luvookwaya okwali agasawo agenkana obudomola
obunene. Okwo nnagulirako agagatto obwaguuga ge nnayambala nzenna ne nniigiina
ng’oyinza n’okulowooza nti ntambulira ku buyungo.
Olunaku
mulindwa bwe lwatuuka, nga nessa mu ddene akawungeezi okugenda okunona ku Spice Gelly Kyakuwa tugende tupepeye.
Naye bwe nnagenda okwekwatakwata, ng’essente ze nnali nsigazza zisobola
kusasulira omuntu omu yekka okuyingira mu ddisiko. Kyokka mu mutima gwange
nnali njagala wakiri Kyakuwa andabeko nga nnyambadde engoye ez’akabi. Naye
amagezi ganneesiba, kubanga nnali nteekeddwa okumusasulira naye ayingire mu
ddisiko tuzine babiri. Naye ng’olugero bwe lugamba nti amagezi muliro, bwentyo
nnasalawo okugweyazika ewa mukwano gwange Kiiwa e Salye. Kiiwa ono ebikwata ku
bawala n’eby’amazina yali abikuba budinda. Bw’atyo olwandabako nga nzenna
nnyambadde Kijamaika, yakuba bukubi mu ngalo nga bw’agamba nti; “Ki mwana buddy! Ennaku zino ng’oli ‘Mumerika’
nnyo! Sikyakuziga ‘fit ccali’ wange!”
Nze kwe kuwuuba
omukono gwange mu bbanga nga bwe nsonga engalo ku ttaka, ne muddamu nti; “Mwana
chic yange eyagala tugende tubbaalemu, naye ndi yala ate ddeemu eri naawe nga bw’ogimanyi teyitika. Peg y’ansudde beautiful eye
ne mpulira nga njagala ekintu tukifixingewo
fit mangu nnyo!”
Awo Kiiwa
kwe kundaga ekikonde kye nga bw’aηηamba nti; “Ccali wange ‘bbonga’ wano. Naye boy
wange wadde ng’oli ‘kiyaaye’, city
olabika togiziga fit. Kimanye nti Spice Gelly muwala Mungere nnyo! Naye kola bw’oti: Girl
ojja kusooka kumusuulamu eya beer
wabweru wa disco. Awo ggwe omukubemu
ka kiss, weeyongereyo ogende olumbe baccali ab’okumulyango obakube word. Obagamba nti ogenda okubapangira emmaali
nga bw’obasongera ku ddeemu. Bw’omala
oyite Girl mwennyini muyingirewo mu disco nga mu bounsinga nga bakiyaaye. Mu disco
munda baccali bwe banaakulaba nga ddeemu ogirya word bajja kulowooza nti oli kubakoonerawo pass ya world cup.
Okitegeera otya buddy? Bbonga wano!”
Amagezi ga
Kiiwa nnagakwata bukusu, era ekiro ekyo Kyakuwa nnamusanga mu kafo ketwali
tutera okusisinkaniramu e Buikwe. Olwamulabako nga yenna ayambadde ayaka
ng’ettaala, wamma ne ηηamba nti obulamu bw’ensi bunyuma kiro. Naye olw’andabako
nga nzenna nnyambadde n’okukirako abayimbi Abamerika baalaba ku ttivi, n’abuuka
n’angwa mu kifuba nga bw’akaaba nti;“ Oh
my honey! I never knew U’re so cute like this! U look cool
and great my hunk!”
Abaali awo
ebbali bonna ne bafa ensaalwa. Awo nze ne mmukwata mu mutwe nga bwe mmuwooyawooya
nti;“Babe! Am sori, I delayed. But 2nite
we gonna have giggy with 2gether til dawn see us part hot babe! Understan what
am say? Just take it kool Gal and give it to me just like Timberland and 2pac
Shakuz California
Galz with Dr. Dre or Missy Demina Elliot and Magoo! Understan me babygirl?”
Awo ye kwe kunziramu
mu Luganda nti; “ Muk, oyanguwangako n’onsiisiitira
ng’omukwano
gunnuma.”
Teyalwa
n’adda mu lwaffe nga bw’agamba nti;“U
know hunk, am no Beyonce, Kelly Roland
no Christina Aguilera, Celine Dion or Whitney… But am Spice Gelly of the
Spice Galz. Am gonna Spice yo 2nite and party like a rockstar my LL Kool Jay, wanna
say?”
Tetwalwa ne
twekwata kabbaani ku ndongo ne tukwata eritutwala mu ddisiko. Obudde bwali
bukutte nga n’omwezi gwememula ku ggulu.
Twatuuka awaali ekiggunda wamma ng’endongo
esindogoma n’ennyenje ezigobyeyo ebuziizi. Kyakuwa nnamutuuza awo ebbali ne mmugulira
n’eccupa ya bbiya ne mmuleka awo nga yemiisa. Olwamunywegerako, ne mmusaba
okunnindako akatono. Nnasenvula ku bigere ne mbulira mu bantu abaali
bateevuunya ng’obuwuka wabweru w’ekikaali kya ddisiko.
Mba
nkyayitaayita mu lukunkumuli lw’abantu okugenda ku mulyango we basolooleza
ssente, ne ndaba ebifuna.Waaliwo abavubuka basatu abaali bakyanga bukkaadi nga
bwe bayita nti; “Kano kafuna, kano tekafuna. Bw’oteeba akafuna, ssente zo
zikubisibwamu emirundi ebiri. Ate bw’otafuna gezaako omulundi omulala. Kati
akafuna kaliwa?”
Bwe nnalaba
ng’abantu bangi bakuηηaanye beetegereza bukkaadi, nange ne nkyama. Awo ne
wavaayo evvubuka limu ne liteeka ssente zaalyo ku ka kkaadi akatuufu, ne lifuna
omudidi gw’ensimbi era ne lyeggyawo. Ekinyegenyege nange ne kinkwata
okwewangulira ku ssente ez’endola. Omuvubuka bwe yaddamu okukyanga bukkaadi, ne
nneetegereza enkaliriza engeri gye yali abukyangamu. Nnalaba nga kkaadi eyali
entuufu ng’efuna kiralu y’eyo yennyini gye nnali nsimbyeko amaaso gange.
Ssaalwa ne ngisongako. Omukyanzi kwe kuηηamba nti; “Oteebye bulungi, naye
ssente z’otaddeko ntono, yongerako ofune kiralu!”
Nange
ssaalwa nga nsowolayo ssente zange zonna mu mpale ne nzisuula ku kkaadi
entuufu.
Omukyanzi
yagenda okubikkula ka kkaadi nga ke kafu! Nnalabirawo ng’omusajja asonseka
ssente zange zonna mu nsawo ye ng’eno bwe yeeyongera mu maaso n’okulangirira
nti; “Kano kafuna, kano tekafuna, kati akatuufu ke kaliwa?”
Nzenna nga
ntunula ebiriloliro, nnakakkana ku mukyanzi wa kkaadi ekiyiifuyiifu ne mmugwa
mu bulago ne tutandiika okwenyoola nga bwe mmugamba okunziriza ssente zange mu
bwangu ddala! Nnagenda okulaba nga waliwo agasajja ga kanyama omuli n’eryali
liwangudde ssente, nga ganneebunguludde n’emisokoto gy’enjaga ku mimwa. Awatali
nakuwannaanya nnayimukira mu ssajja eriyaga limu ne ndikiika olusambaggere,
naye ne limbaka okugulu nga kukyali mu bbanga.
Tuba tukyalya amatereke, eriyaga eddala ne linkwata ebiviiri nga bwe linsikambula
ne ntalantuka nengwa kya bugazi ku ddimwa n’enfuufu n’efuumuuka. Olwo agasajja
gonna ne gangiikira nga bwe ganfukirira agakonde ag’okumu okumu n’ensambaggere okwagala okumbetenta obuswa.
Kiiwa y’eyantaasa bwe yalaba ng’agasajja gampaata enzo n’aleekaanira waggulu
nti; “Mmwe gano! Oyo gwe mwagala okutta mbega wa ppoliisi.”
Agasajja
olwawulira ebyo ne gasibamu ebyago gonna ne gabuna emiwabo. Kiiwa y’eyanjoolawo
mu bitaka mwe baali bammezze, n’ankwata ku mukono nanzizaayo e Salye nga biwala
ttaka. Yannongoosa enviiri n’azisalako bulungi, Jajja n’atamanya ekyantuukako.
Oluvannyuma
ennyo nnakivumbula nti waaliwo essajja eriyaga erimu ku ge baayitanga Bouncer nga lye lyannyungulira abampi
n’abawanvu ne bansuula mu katego. Era li bouncer
lino lye lyali likabiite lya Kyakuwa kaawo kadda.. Mbu era nze nnali
nsaalimbira mu matwale agataali gange. Bwentyo ne Kyakuwa nnemuviirako awo
bukumbu ng’ayokya omusota. Okuva olwo ne neerayirira obutaddayo okwewaniikirira
ng’obusawo obukamula kkwete ku bawala bessimanyi endya n’ensula yaabwe.
Ebibuuzo
by’olusoma olw’okubiri mu ssiniya ey’okusatu byankuba kya bugazi n’enkoona
n’enywa. Era ssikaala nnadda mu kugikonga lusu nga mbwa. Nnali nkyakaaba twawa,
eka nayo ne gujabagira. Anti Kagode, kojja wa Jajja yeesuulamu akambayaaya
n’awa Jajja omwezi gumu gwokka okubeera ng’amuviiridde mu kibanja kye. Teyalwa
n’ayungula ne bakanyama abaabitusibira ku nnyindo wamma ggwe ne batutwalwa
kannagguluba nga tetwesiikidde wadde ku kanyeebwa. Embeera okusajjuka
obwenkanidde awo, mbu kyali kivudde ku mpalana eyali wakati wa Jajja ne
nnamukadde Nakaboki gwe yali atalima naye kambugu. Mbu Nakaboki naye eyali
owomukika kya Jajja, y’eyagenda n’amulimirira empindi ku mabega ewa Kagode. Mbu
yabijweteka mbu Jajja yali agaggawalidde mu kibanja kya Kagode n’avunda
buvunzi. Mbu olaba yali asomesezza
n’omuzzukulu kumpi kumutuusa n’e Makerere. Mbu era ku mmwanyi, embidde,
n’emmere Jajja bye yali akungula mu kibanja kino, singa yali wakuzimba nnyumba,
yandibadde ya kkalina nga ne mu ggalagi mulimu ebbaasi kabandole bbiri
nnambirira. Kagode olw’awulira ebyo, n’agamba nti tetujja kugaggawalira mu kibanja
kye. Teyalwa n’atunaabira mu maaso. Kale bwe tutyo mu bulumi obw’ekitalo bwe twava
mu kibanja kya Kagode kye twali tukulunguddemu okumpi emyaka kkumi n’etaano
mirambirira.
Naye ng’eyeeterekera
bwe butera okukya, Jajja yali yagulayo akabanja akatono e Salye ku kisaawe
okuva ku nnamukadde ayitibwa Wadamba. Bwe tutyo mu kabanja kano mwe twali tugenda okwegeka oluba.
Ekyatuyamba kyali nti ne muganda wange omukulu ayitibwa Lojaasi okuva e Mbale,
yajja n’atwegattako ne tutandika okuzimba ennyumba ey’essubi mugongo gwa mbwa.
Lojaasi ono yali kafulu mu kuzimba ennyumba mugongo gwa mbwa. Era bwe tutyo
twafunvubira ne tukabasananga emisana n’ekiro okutuusa ennyumba lwe yaggwa ne tugyesogga
ng’ekyali mbisi.
Bwe twakkalira
mu kafo kaffe akaggya, omutemampola nagwo ne gutuzinda. Twatandika okweyaguza
olugyo nga tewali wadde n’akokuzza eri omumwa, wamma ggwe ne twerya enkuta
z’emimwa. Buli Jajja lwe yantunulanga mu maaso, ng’ebiyengeyenge bimujja mu
mmunye, n’ajula okukaaba agajjulujjulu. Wakati mu kibululu ky’ennaku,
twatandika okunoonya emirimu egy’okupakasa mu nsuku ne mu masamba g’abatuuze
basobole okutuwa ku kamere. Bwe twalaba ng’embeera yeeyongedde okulinnya
enkandaggo, ne tusalawo okuyunjanga embidde ne tuzirya. Ensiko nayo
twagisaggulanga nga tunoonya lumonde ne muwogo omuwutta. Toyota ye yabukeerezanga nkokola n’agenda
okunoonya gye bafumbira omwenge era awaka yazzanga ttamiiro. Ye Jajja yakogga
yenna n’akirako akasubi, n’obulwadde bw’ekifuba ne buttuka buto. Wamma ggwe
ekuba omunaku tekya.
Twali
tukyali mu ebyo, kazi nga gakyali mabaga. Anti lumu Jajja nga yenna yeekyaye,
yagenda ne yeekatankira amagengere n’akomawo ng’embwa agiyita ηηwa. Ku luno
ndowooza Katonda yazza bibye, anti Jajja oluusi omwenge gwamupaazanga n’asula
mu nsiko ekiro eyo mu bisegguusi by’e Kagunga. Naye ku luno yakomawo eka,
n’asiikuula olutalo kafungula nkete ne Lojaasi. Mbu Lojaasi obwenzi bwali
bumwetimbyebbula okutuusa n’okumukwanyisa agakazi agakulu ge yandiyise ga maama
ge. Mbu mukulu wange era yali yeefudde
mukoko mu kudda ku bawala ba mulirwana waffe ayitibwa Wawuuya ne yeeyisa nga
sseggwanga mu nkoko enseera. Yali asookedde ku muto ayitibwa Namboozo, naye
omuwala n’amuleka mu gw’ebusami bwe yayagalamu muzeeyi Kositanti eyali atemera
mu myaka ensanvu egy’obukulu. Namboozo yali muwala wa myaka kkumi n’etaano
ng’era yamyuka n’okukirako ekimyula. Ye muzeeyi kinvinvi Kositanti yali musajja
kaddugala era nga tosobola kumwawula ku nziiziiri. Abatuuze abamu bwe baamubuzanga
ensonga lwaki yali yeefudde sseddubutto, yabaddangamu kimu nti; “Eggunju ekadde
terirya nkoko nseera? Nandiki, ente enkulu tenywa?”Abantu baamuvangako banyeenya
mitwe ng’embuzi etenda enkuba.
Lojaasi bwe
yalaba ga muzeeyi Kositanti amusinzizza embiibya, n’asalawo okwagalamu Harriet, mukulu wa Namboozo. Naye
akavubuka ke bayita Okwale kaamuyita ku litalaba, Harriet ne kamuyisa emmanju okukakkana ng’ali mu nju yaako atokosa
ddigobe. Lojaasi naye olw’alaba nga baana bawala bamwesulubabba ntakera,
n’asalawo okweddiza muwala wa Wawuuya asingirayo ddala obukulu. Kigambibwa mbu
ono yali asinga Lojaasi emyaka kkumi n’etaano mirambirira. Mbu era yali
nnamwandu ng’era kiteeberezebwa nti bba yali yafa obulwadde bwa nnawookeera
ssiriimu, eyali ataamye obugo mu biro ebyo. Naye ebyo byonna Lojaasi
yabiziimuula n’agenda mu maaso n’okutijja n’eggwala lye eryali liyitibwa Alita.
Bino Jajja
olwamugwa mu matu, n’agenda okumunywera omwenge. Anti baalugera dda nti ggambo
bbi Wamwenge alisanga ku mwoyo. Bw’atyo Jajja bwe yadda eka, ne yeetikka enju
kata ffenna atubunye emiwabo. Ekiro kyonna Lojaasi ne Jajja baabulonda,
emitaafu ne gibeereega mu byenyi nga buli omu awanda muliro paka budde
kkejenge. Jajja ng’agamba nti Lojaasi asaanidde ave ku gakazi agakadde agatambulira
ne ku miggo, ayagalemu bato banne. Ne Lojaasi ng’amubuuza kimu nti kiki abawala abato kye balina, abakazi
abakadde kye batalina? Jajja tawena n’amugamba nti singa taave ku muwala wa
Wawuuya, yali wa kumugoba mu kibanja kye.
Enkeera
Lojaasi bwe yalaba nga ebigambo bya Jajja bimufumise n’okukirako amaggwa,
tawena ne yeerungira emmimbiri n’agiwuuta buva. Nnamukwata lubona ng’omwami
yekatankira kanywe okawulire gy’oli nti mazzi. Bwe yandaba nga mmugudde mu
buwuufu, yasalawo okugumaza embiro. Ssaalwa ne ntemya ku b’awaka nti Lojaasi
yali yeerungidde obutwa, bonna ne bagwamu ensasagge era ne bansaba okudduka
bunnambiro mpite ab’obuyinza tumukoleko. Ne Lojaasi yagera nvuddewo, n’ayita mu
mulyango ogw’emmanju omwami n’ayokya omusubi.
Nnagenda
okudda, nnasanga omumpembe abombye. Amangu ago, nze ne mutabani wa Wadamba gwe bayita
Namaga twafuna akagaali ka maanyi ga kifuba ne tuwondera. Twatwala n’amagi
amabisi ag’okumunywesa wamma ggwe ne tunyoola omusumaali okugoberera Lojaasi
gye yali abulidde. Naye buli we twabuulizanga nga batugamba nti tebannalaba ku
Lojaasi, awo nga naffe tweyongerayo ku musinde ogw’akamyanso. N’akagaali
kaalaba tukasotta kiralu, ne katuyiringisa buteddiza, okukakkana nga katumezze
sseddume w’ekigwo ku mayinja, wamma ggwe n’enfuufu n’efuumuuka. Ekyewuunyisa,
ffembi twasitukawo nga tutonnya musaayi olw’ebinuubule, naye ku magi ge twali
tusitudde, tekuli wadde n’erimu eryayatika.
Emyezi gye kulungulira
ddala nga Lojaasi takubikako kya mulubaale ne tulowooza nti obutwa bw’amutta.
Lwali luvannyuma nnyo ne ndyoka ngasimbagana ne Lojaasi buto n’alunviira ku
ntono. Mbu bwe yatuddukako, yakasibira mu bikajjo bya Metta e Lugazi ne yeekukuma
omwo. Bwe yali akyagumbye, emmeeme ne musiikuuka yenna n’atuuyana entuuyo
okumuggwaamu. Yalaba anaatera okukkirira ewa Ssenkaaba, n’amenya ekikajjo
n’akikavvula kyonna ng’eno emmeeme bwe musinduukirira. Oluvannyuma
lw’okweggweera ekikajjo, yeeganzika ku ttaka, n’atandika okufuluuta. Bwe yadda
engulu n’alaba ng’akyali mulamu, yakasibira mu ddwaliro e Kawolo abasawo ne bamukolako
n’awona. Bw’atyo Lojaasi bwe yalaba ng’obulamu bw’e Buganda bumufuukidde omuteego, ne yeddirayo
e Bugisu nga bye yalaba ku kyalo Salye abyasimula bugolo.
Nnali
nkyanyeenya omutwe ng’ekkonkome nga bwe nnewuunya Lugaba by’akola ku dduniya, abasajja
Abagisu abasala “embalu” nabo ne basitula enkundi. Abagisu baali banneewerera
dda nti bwe kataligirya, wakiri erizaala amasumba naye nga bamaze okunsala
embalu. Mbu nnali nneefudde kiwagi ne mmala ebbanga ddene nnyo nga ndiira ku
luwonzi, eby’okusala embalu ne mbisuula muguluka. Bw’atyo omuvubuka embula
kalevu ayitibwa Wameera mu buvumu obungi, yakkumakkuma abasajja Abagisu ku
kyalo Salye n’emiriraano, era ekiro kimu ne banzingako.
Ekiro ekyo nnali mu nju nga ntumbudde leediyo
eyo mu ttumbi, ne mpulira omusinde n’enswagiro wabweru. Ssaalwa ne nfuluma okulaba
biki ebyali bijugumira amatumbi budde.Olwali okussa ekigere kyange wabweru, ne mpulira
omusinde gw’abantu abaali bajja bayimba nga bwe bafuuwa emirere n’okukuba eηηoma eya
“kadodi”. Olwawulira eηηoma, wamma ne mmanya nti lwali lubaze. Amangu ago
nneeyokya enju n’oluggi ne ndukomekerako emitayimbwa. Abampembe olwatuuka mu
luggya, ne beeyawulamu ebibinja bibiri; ekimu ky’ekukuma mu lusuku, at’ekirala
ne kirinda okunsaggulayo e buziizi gye nnali nneekukumye. Abasajja olwakonkona,
Jajja nga yenna omwenge gumuli ku mutwe, oluggi yalubandulawo kinnamagye wamma
ggwe n’anzaalira ebitukula makaayi by’azaala ku nsiko. Olwalaba ng’eyanjalula
esiridde, ne neeyokya ekisenge kya Jajja ne neekukuma mu buliri bwe n’omukka ne
mmira. Nnawulira Wameera ng’abuuza Jajja nti; “Mukwasi aliwa? Mutusonyiwe
okubayingirira ekiro, naye twagala Mukwasi atusasule ebbanja ly’omusambwa
gwaffe ogw’embalu.”
Awatali
nakuwannaanya, abasajja Abagisu beevumba ekisenge kyange ng’ensanafu ne bampenja
buseenene mu buli kanyomero. Mu kisenge kya Jajja yayingirayo essajja limu
eryali lyambadde akakookolo mu maaso, nga litikidde engule y’engeye ku mutwe
awamu n’ebide ebikubagana ku magulu, ng’era likutte n’effumu mu ngalo. Essajja
lyamulisa ttooki ku buliri ne litalabako muntu yenna. Teryalwa ne likyusa
obwanga okudda mu kisenge ekirala, n’oluvannyuma ne liddayo mu ddiiro. Olwo nze
eyali yeekukumye wansi w’ekitanda ne nzisa ku kikkoowe.
Nnali
nkyakalambidde ku ky’okwekweka, emmese gye ssaamanya gye yava yampita ku
nnyindo ng’emazeeko nga muwogo, nze ne ndowooza nti baali bansidikidde ejjembe
linsagguleyo ebuziizi. Amameeme gaba gakyankubagana, Wameera n’abuuza agasajja
ge nti;
“Ne wansi
mu bitanda mukebeddeyo?”
Nze
olwawulira ekibuuzo ekyo ssaalonzalonza ne neemululayo wansi w’ekitanda ne nzira
ku ngulu era ne neenyigiriza ku kisenge kwennyini nga tonjawula ku masuuka.
Essajja ery’ebide ku magulu bwe ly’akomawo n’ettooki yaalyo, ly’amulisaako
wansi wa kitanda yokka. Awo ne lyeyongerayo mu bisenge ebirala, n’oluvannyuma
ne liddayo mu ddiiro nga bwe lyesooza nti;“Ne wansi mu bitanda taliiyo. Alabika
yatutebuse n’afuluma enju bwe tubadde nga tetunnatuuka.”
Agasajja
bwe gaalaba nga sikubikako kimunye, ne gasalawo okuddayo. Naye tegaagenda wala,
anti gonna kirindi geekukuma wabweru mu lusuku nga geebunguludde enju yonna.
Mbu gaali galinze okungwa mu buwuufu, singa kantanda ne nkukunukayo gye nnali
nneekwese. Ensiri nazo tezaali mbi ne zigeegabula. Nze nnende nnali ne ddiddeyo
dda mu kisenge kyange nga neezinira gudiikudde. Agasajja olw’alaba nga gwe gaali
gateeze nfuuse musu gw’e Kanyanya, ne gakuba
akadodi kaago ne gagenda.
Bwe nnalaba
nga mponye agasajja okundya obulere, ennaku ezaddako ne ntandika okusala amagezi
ag’okweggyako ‘ekisiraani’ ky’okusalibwa embalu. Nnasooka okulowooza ku
ky’okugenda okwekukuma mu nju eyali ku kyalo Salye abantu bonna gye baatyanga
okusulamu. Ennyumba eno eyali yalekebwa ettayo mu kibanja ky’omutaka ayitibwa
Sseηηendo, kumpi yali buli omu emwogeza obwama. Kigambibwa mbu singa
weetantalanga n’osula mu nnyumba eno, eyo mu ttumbi wawuliranga enzigi nga
zeggula zokka gy’oli nti abantu bayingira bwe bafuluma. Ekyavaamu ng’ettaala
zeekoleeza zokka obudde ne bufuuka misana ttuku. Bwe wabanga okyewuunya
ebikuuno, emmese enjeru ng’ennyange ne zifubutuka
mizibu okuva mu kasolya k’enju ng’omusota ogw’emitwe ebiri guzitwala ntyagi.
Bwe kaakutanda n’okuba enduulu, ng’olwo weetyabidde akalimu obuwuka. Obudde bw’agendanga
okukya nga wafuuse dda embuyaga ezikaza engoye. Naye nze nnali mmaliride
okugenda okwekukumanga mu nju eyo nga ndowooza nti oba oli awo abasajja Abagisu
banaatya okunkwatiramu.
Naye bwe nnalaba ng’ennyumba entiisizza nnyo, nnamalirira
okwewaayo ng’enkoko emira ensanafu, nneesaleko nzekka embalu era nneewonye
okuswalira mu lujjudde lw’abantu. Bwentyo nnawagala ekiso ne kyogiwala okusala
becca. Nnateekateeka ku lunaku lwa Nagawonye ne neeyokya ekinaabiro ekyali
emmanju nga ndiko n’obuswandi. Ssaalwa ne neeyambulamu empale ne ntuula ku
jjinja erinaabirwako. Bwentyo nnavumbagira akalya enkoko kange mu ngalo ne nkasika
era ne kaleeguuka ng’olukoba. Nga sseemotya, nnagalula akambe mu bbanga, ne ntandiika
okubala okuva ku kkumi, mwenda, munaana, musanvu…Bwe nnatuuka ku emu, omutima
ne guntyemuuka ne ntya okuyisa ekiso ku kalya enkoko kange konna akaali kereeze
ng’akagoogwa. Embalu bw’etyo n’ennema okwetayirirra. Nnafulumayo mu kinaabiro
nga nzenna nneebwalabwala ng’eno bwe nneevuma Lugaba eyasalawo ne nzaalibwa mu
ggwanga ery’Abagisu okubonaabona ng’eyabba endeku.
Bwe nnalaba
ng’eby’okwesala embalu binnemye, nnasalawo okulinda kyonna ekijja, kasita
kitaba kyakwesimba mu lujjudde lw’abantu okunkekejjulaku akalya enkoko kange
amatiribona. Nnali nnawulira dda ne ku mboozi ezikwata ku bavubuka Abagisu
abaatya okusalibwa embalu ne bagwa ku kyokya. Omulenzi omu ‘omusinde’ ayitibwa Masambu
yasalawo embalu agizinire wamu ne mukwano gwe lugoogyanye ayitibwa Masaaba.
Masambu yali muvubuka wa kiwago nnyo ng’aliko endoddo y’entumbwe, ng’ate mu
kifuba n’obuwanvu tewali abimusinza ku kyalo Salye. Buli mutuuze e Salye n’e
Nsanvu yali atya Masambu olw’ekiwago n’amalala ge yatambuzanga. Naye abatuuze
baali balinze olunaku lumu lwokka lw’alisimbibwa mu lujjudde lw’abantu
okumusala embalu. Era olunaku terwalwa Masambu ne munne Masaaba ne batandika
okuzina akadodi. Baabo beetoolodde ebyalo. Babawadde embuzi, enkoko, endiga,
ente, emmere n’essente enkalu. Masambu yayimba ennyimba zonna ez’embalu
n’azimalayo. Buli lwe yasambanga ebide bw’ati ku ttaka enfuufu n’efuumuuka,
wamma ggwe baana bawala ne bakuba obuluulu ne mungu n’afata abbaali.
Olunaku
mulindwa terwalwa ne lutuuka. Masambu ne munne bombi beesimba butengerera mu
kisaawe e Salye obwanga ne babwolekeza ekyambe ky’embalu. Nnasiisi w’omuntu
yakuluumulukuka okuva e Bule n’e Bweya okujja okwerabira ku Masambu, omuvubuka
emmekete, nga bw’agumira ekiso. Abantu abamu baawalampa mu matabi g’emiti
basobole okwerolera ku makula n’obuvumu bw’omuvubuka envuumuulo Masambu. Baba
bakyesimbye mu kisaawe, omusazi w’embalu eyayitibwanga Magombe n’anyanyaagiza
effirirmbi eyakutula n’abamu emitima. Awo emizira ne gitta abalabi. Ekiso
ekyali kimyansa ng’enjuba tekyalwa ne kikaabira ku kasolo ka Masaaba,
ekikuta ne kigwa wali. Tebaalwa ne baleeta kamulali, kibugga, omwenge n’omunnyo
ne babimusiiga mu bbwa, naye nga kaana kalenzi keesimbye butengerera
tekeenyeenya wadde okutemya ku mmunye. Baggyayo n’ebidomola by’amazzi ne bagafukumula
ku bbwa ng’eno bwe balikunya, naye nga Masaaba alemedde ku magulu ge abiri. Awo
enduulu n’esaanikira ekisaawe kyonna ne kikwata omuliro. Abantu baagiranga ne beekuba
obwama nti; ‘Olaba akavubuka ka lugoogyanye ka Masaaba kasobodde okugumira
embalu bwe katyo, bwe kinaatuuka ku Masambu tekiibule omukombi! Wamma ggwe
gunaabula asala!’
Masaaba bwe
yava mu ddiiro, Masambu n’ayingirawo nga yenna emitaafu gimwereeze mu kyenyi.
Abaali bamuyimiridde okumpi b’agamba mbu n’eriiso lye erimu lyali limyuse
n’okukirako eryanda. Amangu ago omusazi w’embalu gwe bayita “omukyebi” mu
Lugisu, n’amusimbirawo omuggo . Masambu omuggo yagukwasa ebiri n’aguwanikira ku
kibegaabega. Abantu olw’alaba nga Masambu omuggo agukwasizza maanyi, ne bakoleeza
enduulu. Magombe olw’akommonta effirimbi, Masambu n’asuula omuggo gwe baali
bamukwasizza. Amangu ago Abagisu abaali bamwetoolodde ne beesala akajegere nga
bwe bamusoya ebibuuzo lwaki yali asudde omuggo gw’omusambwa. Masambu yabaddamu
kimu nti yali teyeewulira bulungi era nti yali ayagala okugenda yeteewuluzeeko.
Abagisu tebaali babi nga bamuwerekerako yogaayoga mu kabuyonjo akole emirimu
gye. Baamulindira ku mulyango gwa kabuyonjo gwennyini ssikulwanga omumpembe
abomba. Omu ku bakuumi yategeeza banne nti Masambu yali aguddemu ekidumusi era
kaabula kata omwami alemereyo mu kabuyonjo ng’ebintu birungi si birungi.
Masambu bwe
yakomezebwawo mu kisaawe, abantu baali batandise okujjamu akakunkuna nti osanga
mwana mulenzi amameeme gaali gatandise okumukubagana. Omukyebi Magombe teyalwa
effirimbi n’agikommonta buto, enduulu n’ekoleera mu kisaawe kyonna. Masambu olw’alaba
ng’omukyebi agaludde ekiso ekyali kimyansa olw’obwogi, n’agamba nti odda Mbale.
Yasuulirawo omuggo gwe yali asitudde mu bbanga, n’avumbagira emikono gya
Magombe gyombi n’amumegguza eri ng’ekyonziira. Abasajja babiri abaali
bamukuumye obutiribiri erudda n’erudda, bombi Masambu yabasimbuliza
ensambaggere ne bagwa eri kya bugazi. Masambu olw’alaba ng’abalabe be bonna
bali ku ttaka bataawa, n’alyoka atyekuula mizibu ng’ayolekedde oludda abawala
gye baali bayimiridde, bonna ne babuna emiwabo. Olweyokya essamba y’emmwanyi za
muzeeyi Wadamba, n’amyansa ng’akamyu kadda ku bbali.
Ogubinja
gwa bamuntunsolo abatasiba zikweya bonna nga baweekedde emigobante n’ebitimba,
baasitukiramu ng’ow’emu, ne bawondera omumpembe ayali abombye. Baamukwatira mu
kitoogo ng’okugulu kwe okumu kulaalidde mu kateebe k’ettosi ne bamukomyawo
kirinnyamutikka ku kisaawe ng’akunnumba bute. Olw’amutuusa, baamumeggerawo
ekigwo, Magombe n’amukakkanako ekiyiifuyiifu, ekyambe ne kimukaabirako nga
bw’ayaziirana n’okukuba emiranga egy’alekera buli omu ekibbo ky’enseko.
Ye Masaaba
yali awo ebbali ng’akuba bulatti akirako n’omulwadde omubatize. Abawala b’e
Salye baamwebungulula nga bwe bamuwaanawaana obuzira, Masambu bwe yali afuuye
mu ηηombe. Abantu endulundu abaali bazze okulaba ku Masambu omuzira, baddayo
nga bonna bamwewuunya obutiitiizi. Wamma kituufu bw’eyinda si bw’etonnya.
Oluvannyuma
ennyo nga Masambu awonye ebisago by’embalu ebyamutuusibwako, yeewozaako mbu
ekyamutiisa embalu kyali nti baali bateekeddwa kumusalira mu luggya lwa kitaawe
so ssi mu kisaawe ky’omupiira. Naye abantu baamubuuzanga kimu nti, ye Masaaba
eyagumira ekiso baamusalira mu luggya lwa kitaawe? Ye kitaawe wa Masambu kaabula
kata amuzaalukuke olw’okumuswaza mu lujjudde lw’abantu, n’olw’engassi y’embuzi
kimeemee bbiri ze yawa abakyebi. Okuva ku olwo, ‘abasinde’ bonna ku kyalo Salye
baafubanga nnyo okugumira embalu,beewale okuswala n’okutulugunyizibwa.
Bwe naddayo
ku ssomero, abasomesa baabinsibira ku nnyindo ne bansindiikiriza okugenda
okunoonya ebisale by’essomero. Olw’okuba eka twali tulumbiddwa enjala
kiryankondwe, ssaatawaana kubuulira ku Jajja nti abasomesa baali bagugubidde ku
ky’okunsasuza ebisale by’essomero. Bwentyo nnasalawo okulumba omukulu
w’essomero ne mmuyitirayitiramu ku nnaku yange. Nnamusaba anfunireyo akalimu
konna nkamukolere, ye ansasulire ebisale by’essomero. Naye teyali mubi
ng’antwala mu kiraalo ky’ente ze. Yankwanga akagaali ka maanyi gandi mu kifuba, n’andagira okusomberanga ente ze
ebisgazi n’ebiwata buli ku makya n’eggulo okuva mu byalo. Akagaali ke kaali
kaggwa dda ku mpagala, era ng’okasotta omutima gukuli mu mutwe ng’eyabuulira
ow’olugambo. Naye ebyo byonna nnabigumira ne ntandika kaweefube ow’okwenoonyeza
ebisale by’essomero.
Ebisagazi
n’ebiwata nnabinoonyanga ggulo limu, ne mbyawulamu emirundi ebiri. Olwavanga ku
ssomero olw’eggulo, ng’akagaali nkasotta buteddiza, okutwalira ente z’omukulu
ebisagazi. Nate ku maliiri nnabukeerezanga nkokola akagaali ne nkasamba ente ne
nzitwalira ebiwata. Omulimu guno gwandinnyumidde, naye akagaali kanfuukira
omuteego, nga ntakera ssiva mu bamakanika e Buikwe. N’omukulu w’essomero olw’andaba
nga mmufuukidde kawawa olw’okumusabaasabanga essente ez’okukanikisa akagaali,
tawena n’annaabira mu maaso. Era bw’atyo, essente z’essomero yansasulirako za
ttaamu emu yokka. Ttaamu eyaddako, omukulu yakantema ng’ente ze bwe zaali
zirumbiddwa obulwadde bwa kalusu ne zisirikka. Naye nnakivumbula luvannyuma nti
akagaali ke yanzigyako yali akawaddemu omuntu omulala nga y’eyali anziriridde
mu bigere. Bwe naddayo mu ofiisi ye okumwegayirira ankwate ku mukono mu ssiniya
ey’okuna, omukulu yakomba ku erima n’akuba n’enkanda wansi obutaddayo
okunkombyako wadde ekuba ennyonyi. Bwentyo nnafuluma mu ofiisi ye nga nkotese
omutwe, anti ng’ebintu binsobedde eka ne mu kibira.
Bwe nadda
eka, nnasitukiramu bunnambiro ne ntandikirawo okunoonya emirimu ku kyalo
nsobole okufuna wakiri ku kasente ak’okwewandiisa okukola ebibuuzo bya ssiniya
ey’okuna ng’obudde bukyali. Naye abantu be nnakaabiranga ku nnaku yange, baddanga
mu kunkudaalira nga bagamba nti; “Ye abange, ffe abataasoma tetulya? Nandiki
abaasoma bameka abatalina wadde ekigulira magala eddiba? Wano mutabani wa
Yusuufu ddiguli teyagireka emitwetwe nga kati akuba misota ku kyalo? Kaabulaηηane
school fees! Byonna bya kufa kuleka.”
Ate bo
abansaasira ne bampa ku mirimu, baali balowooza nti mu kulima nsingako
kkalakita. Anti bansaliranga amakatala g’emmimbi eziva kuno ne gye nnava, wamma
ggwe ne ntabaaza ensimo ng’entuuyo nzisaza bibatu. Waliwo omutuuze ayitibwa
Musisi eyansalira olubimbi olwambuzaako embiibya. Kumpi yalinga andagidde
okusenda olusozi naye ng’obusente bwe yali ow’okumpa nga tebusobola na kugula okugulu
okumu okw’empale. Ate ye mutabani wa Mutimba e Nsanvu yandagira okusaawa ffaamu
ya kitaawe yonna. Nnagezaako okukikola okutuusa lwe nnabiggyamu enta, anti nga
n’obudde bw’okwewandiisa mu ssiniya ey’okuna buntwala kannagguluba. Ssaalwa ne nsala
ekkerejje okudda ewa Kibira eyali omubaka wa Buikwe mu lukiiko lw’eggwanga
olukulu.
Kibira yali
musajja byomere ng’alina ettaka, amamotoka, ente, n’ensuku z’amatooke ezaagwa
akaleka. Bwentyo nnabissaamu engatto ne mmukyalira mu maka ge ansuuleyo omukono
nsobole okweyongerayo n’emisomo gyange. Olunaku olwasooka nnamusanga
yeetuulidde mu nju ye olwali olubiri olulamba. Olw’andaba, y’ambuulizaawo
ekyali kintutte ewuwe nga ssisoose kulagaana naye. Nnamuddamu nti ndi mwana wa
ssomero, era nnali nzize ampe omulimu gwonna, ye ansasulire essente
ez’okwewandiisa okukola ebibuuzo bya ssiniya ey’okuna. Kibira teyali mubi n’aηηamba
ntuulireko awo ku katebe wabweru w’enju nga bwe yeelowooza. Ku katebe
nnatuulako okumala essaawa mukaaga
nnambirira naye nga Kibira takubikako kya mu lubaale. Olw’abuuza omu ku bakozi
b’awaka, yakantema nti omukulu yagenze edda okukakkalabya egy’eggwanga.
Nnagwawo ekigwo n’ebyoka ne binneggunda. Naye nnamalirira okuddayo enkeera,
anti ekigwo ekimu tekirobera baana kuyimba.
Bwe naddayo
enkeera, kaabula kata Kibira andyemu amaaso. Yambwatukira mu matu nga laddu
nti; “Ggw’ani era ononye ki wano? Si ye mmwe ba nsanga bisibe abatusuza nga
tukukunadde nga lumonde mu kikata?”
Nzenna
ng’emikono ginzize gye gitaliira ntungo, nga n’amaviivi gankubagana, nnamuddamu
mu ddoboozi ery’obwetoowaze nti; “Ssebo ye nze Mukwasi era nviiridde ku kyalo
Salye.”
Kibira kwe
kunziramu nti; “Mukwasi? Mukwasi babeera babbi!”
Ko nze nti;
“ Nedda ow’ekitiibwa, Ndi muyizi e Lweru, era nnoonya buyambi nsobole okukola
ebibuuzo byange eby’akamalirizo mu ssiniya ey’okuna.”
Kibira olw’amala okuwulira ebigambo byange,
n’andagira okutuulira awo wabweru ku katebe ye ne yeesogga enju ye
kookomyamaaso. Okuddayo okumulaba, nnamulengera mu mmotoka ye nga bagiggulira
okufuluma, n’abulawo. Yandeka nkonkomalidde ku lusebsnju ntunula mpwangali
ng’embwa esudde ekide.
Bwe nnalaba
ng’omusajja ammaze obwoya ku ntumbwe, nnasalawo okunoonya erinziza e Salye.
Nasojjolimba mpola nga mpita mu busozi bw’e Lubanyi, mu miseetwe ne mu mayinja
nga bwe ntunula enjuba gy’eva, amaziga ne gampita mu kiwanga ky’emmunye.
Nnasanga awali ekiswa ekigulumivu ku ttale, ne ntuula okwo nga ntunudde
ebuvanjuba. Nneevuma lwaki mmange yanzisa mu nsi ng’akimanyi nti tajja kunkuza.
Ekyavaamu ne nkoteka omutwe, nga nzenna amaziga ganva mu maaso. Bwe nnalengera
abantu nga bajja, ne mbakuba ekimooni ne mpita mu nsiko nga ssaagala bategeere
nti nnali nkaaba. Bwe baayitawo, n’enzira mu kkubo, ne ntambula mukungujjo
okuddayo e Salye ng’ennyindo y’enkata.
Bya Mugoya Michael-asigalatalaama@gmail.com
No comments:
Post a Comment