Tuesday, 22 November 2016

DERIRA NE YEZEBBEERI KU KASOZI K’ABAYIVU #11

amakanda g’obukaba n’obwenzi obukulemberwa omyoyo egya Yezebbeeri ne Derira egyalambikibwa mu kitabo ekitukuvu.


EBINTU ebiwuluguma mpulira byeyongedde mu nsozi. Amayinja galabika ganaatera okuwanda omuliro. Singa kibadde kisoboka twandisembeddeyo mu kiwonvu wansi ne twetegula ebinene bya Wanga. Naye nga bwe nnaatera okumaliriza olugero lwange, katuguminkirizeeko. Kati kankunyumize ku myoyo gy’oteekeddwa okumanya egifugira mu bavubuka ab’amatendekero aga waggulu mu nsi y’ebugwanjuba. Mu gino mwe muli Derira ne Yezebbeeri egimegga bannaggwano ne bakabaka. Era bw’oba okyasazeewo okutabaala ensi eyo, weetegeke okugyegattako oba okugirwanyisa.

Zaali ennaku z’omwezi abiri mu mwezi ogwa mukulukusa bitungotungo, ne neesogga akasozi k’abayivu Makerere. Amabaluwa agaatuyita go twagajja ku bitongole eby’amasomo ge tutwala. Nange ku olwo nnagendera mu mmotoka ya Tigers Club awamu ne Uncle Simon. Ono yali asookedde ku kusisinkanamu ne Walude mu mboozi ey’akafubo. N’oluvannyuma bombi bansibirira entanda nga banfalaasira okuba omuntumulamu e Makerere nneme okugwenyuka n’okutemera ettaka ku misomo gyange.

Uncle Simon olwantuusa ku kisulo ekiyitibwa Lumumba, y’ansiibula era olwo lwe lwasemba okumulabako. Bwentyo nnakwata akafaliso kange yinki emu n’akasawo akafaanana ekikapu, ne neesogga Lumumba.

Nnasanga abayizi bangi nga batikkula ku mamotoka agafaliso aganene, ensawo ez’ebyuma, amaleediyo, ttivi, ffiriigi, ebiwujja empewo, ebyuma bi kalimagezi, nkugambye mmenye ki ndeke ki. Olwo nze nnende eyali asitudde akafaliso n’ensawo efaanana ekikapu ne njula okufa ensonyi.

Oluvannyuma nnasoma ku lubaawo ne mu butabo bwe baali batuwadde, ne ngezaako okunoonya ekifo we nnali nteekeddwa okuggya ekisumuluzo ky’ekisenge kyange. Olwatuuka ew’omukulu eyali agaba ebisumuluzo, nnasangayo olukunkumuli lw’abayizi  nga buli omu afunvubidde alwana bwezizingirire okufuna ekisumuluzo kye. Bwe nnalaba ng’akatuubagiro kakyagenda mu maaso, nnasalawo okusooka okugenda okwewandiisa  ew’omukungu akulira Lumumba. Nnali nkyasuubira nti okwewandiisa kwa bwerere, naye nnagwawo ekigwo bwe bansaba ensimbi ez’okwewandiisa. Ssaalwa ne mpulugumya olukomo lw’essimu ewa Walude okumutegeeza embeera nga bwe yali. Awo mukyala we kwe kundagirira ewa muganda we naye eyasulanga e Makerere. Ono y’eyanzigya ku muguwa n’asasula ebisale by’okwewandiisa mu kisulo.

Bwe naddayo ku gw’ekisumuluzo, nnasanga ng’abayizi ababadde mu katuubagiro bakendedde. Era olwatuuka ku mugguukirio, omwami eyali agaba ebisumuluzo yandagirira okugenda mu kisenge B2-7 nti mwe nnali nteekeddwa okusanga bannange. Nange saalonzalonza ne nnyambuka kkalina nga ng’enda nsoma ku nnamba z’ebisenge okutuusa lwe nnasoma B2-7.

Olwali okukonkona ku kisenge, nnasanga bannange basatu nga baakyesozze dda. Bwe nnabalamusa, mwalimu Mugerwa ow’e Katikamu, Mudaki ow’e Nabumali, ne Mugalu ow’e Mpigi. Bonsatule baali bakakaatanye n’agafaliso aganene, agasawo ag’abasaabaze b’ennyonyi, ne bbulangiti ez’ebyoya. Olwo nze ow’akafaliso ka yinki emu n’ensawo efaanana ekikapu awamu n’akasuuka akatambikka magulu, ssaalwa ne mbukuba ku katanda wansi era nenfuluma.

Ekiro ekyo, baatulagirira aw’okulya emmere era nange nempuubayo olubu lw’ebigere. Nnasanga ng’abagabuzi emmere bagigabira ku ssowaani ez’amabaati. Nze olwafuna ennyama n’omuceere ne mbisaanyaawo buteddiza. Bwenaddayo mu kisenge kyaffe, nneebakirawo ng’eno bwe neebaza Lugaba olw’okuntuusa mu ttendekero ekkulu lye nnali ngujuubanidde okusomeramu okuva mu buto.

Eyo ekiro mu ttumbi ng’ennyindo zikyebaza eyazimba Lumumba, twagwamu ekikangabwa. Twawulira akagugumuko wabweru omwali omusinde gw’abantu n’embuutu ezaagobererwa oluyoogaano n’ennyimba ez’ekinnamagye. Ffenna abana twasituka ne tutuula ku buliri bwaffe nga tukukunadde ng’obutiko. Twagenda okuwulira agasajja nga gajja gasamba enzigi  n’okukonkona nga bwe galagira buli ali mu bisenge munda okuggulawo obukubirire. Twali tukyayasaamirirdde, erimu ku gasajja ne lisamba oluggi lwaffe era ne lirusinsimula embuukuuli y’omuggo kata lugwe munda. Essajja ly’aleekaanira waggulu nti;
Freshers wake up now! It’s time to take Gongom to Gongomese in Box. Gallant Elephants, the great Lumbox Empire has arisen!”

Amangu ago twawulira okusaakaanya n’okusagambiza nga kw’otadde n’okukuba olube olw’amaanyi. Munnaffe Mudaki teyalwa n’aggulawo oluggi lw’ekisenge kyaffe. Agavubuka agaali gambadde amataawo ag’akasaayi tegaalwa ne geesogga ekisenge kyaffe nga gambalidde embuukuuli n’embuutu era nga galeekaanira waggulu nti;
Weewee…!
Weewee…!
Ee Lumumba oyee…!
Ee Box oyee…!
Ee Makerere oyee…!
Raa…!
Aa…!
Aa!”
                                            Awo bonna kirindi ne babaguka okuyimba nti;

“Omuvubuka oyo gwe mulaba
Kaali kayaaye maama
Baamukutte nga yekeja
Kaali kayaaye maama
Ku muwala wa Luboobi e Busukuma
Kaali kayaaye maama…”

Agavubuka tegaalwa ffenna ne gatwambulamu amasaati ne tusigala mu mpale zokka. Era gaatufulumizaawo ne gatuddusa okutwetoolooza emyaliriro gya Lumumba yonna okutuusa lwe gaatukkiriza mu kibangirizi ekya wansi. Omwo ffenna baatulagira twebake ku ttaka mu maaso g’ekibumbe eky’ekyuma ekiyitibwa Gongom. Gongom baali bamuyimirizza waggulu ku mmeeza nga bamwambazizza ekkanzu enjeru n’omunagiro omuddugavu, era nga bamutikidde n’enkuufiira eya ddiguli. Olwo wakati mu magulu ge nga baayokyezaayo omutayimbwa ogufubutukira mu maaso ga kkanzu ye, okwefaanaanyirizaako omusajja amabbabbanyi gwe gakutte. Omutayimbwa gwa Gongom baali baagwambaza obupiira bu galimpitawa nga n’obumu bulengejja ku mikono gye. Abamu ku ffe abaali bagaanyi okuvunnama mu maaso ga Gongom, agavubuka gaatugwako ekiyiifuyiifu ne gatukkata ku ddimwa nga bwe gatuyimbira n’okumokkola agagambo ag’obuwemu.

Bwe baamala okutuvunnamya mu maaso ga Gongom, baatufulumizaawo Lumumba era ne batuddusa nga batuzza ku kisulo ky’abawala ekiyitibwa  Mary Stuart. Eyo nayo twasanga abawala kumpi abaali bakuunyuuka obuswa nga basimbye lwa kasota mu maaso g’ekibumbe ekikazi ekiyitibwa Gongomese.  Baali bakyambazza bboodingi nga bakisibye n’ekikooyi. Kale abalenzi ba Lumumba olwaleeta Gongom ne bamuteeka wamu ne Gongomese, wamma ggwe ne gujabagira ng’omunafu azadde kaliira.

Ekyaddirira kwe kulaba abavubuka envuumuulo ne baana bawala abaali bakunnumba kumpi obute, nga benywegeragana nga n’abandi bwe babakubira obuluulu obw’oluleekereeke.

Ffenna nga tulinga abawendule, twatandiika okudduka nga twetooloola ettendekero lya Makerere lyonna. Twasookera ku kisomero ky’abasomesa, wuuyo ku kisulo ky’abawala abeeyita Ziggoonya, tuutwo ku kisulo kya Bawemmese, ne tusala yogaayoga ku Nkuruma, ne tumalayo ekya Afirika ne Livingstone. Twakomerawo ku tterekero ly’ebitabo ekkulu, ne tusalira ku kitongole ky’ennimi ne tutuuka nate mu Lumumba.

Bwe twadda mu Lumumba, ssentebe w’ekisulo yatwaniriza buto. Era nga ffenna tutudde bukonge, ssentebe yawawula emimiro n’atugamba nti;
“Tubayozaayoza olw’okwesogga Makerere, ate naddala okuleetebwa mu Lumumba. Bangi baasulanga mu bitabo mbu balyoke basobole okuyita bajje wano, naye tekyasoboka. Eno gye bayita Makerere, ennimiro y’emizabbibbu era ekibangirizi kya limbo n’amalaalo. Ffe wano mu Lumumba tweyita Njovu. Ffe tukulembera, olwo abalala ne bakwebera. Ye ffe amaaso ga Makerere. Ffe Teddy era ffe mutwe. Ffe magye, ffe ppoliisi era ffe bakulembeze. Ye ffe abasajja ffekka, era abawala ab’e Makerere bonna, ye ffe abaami baabwe!”

Awo abavubuka bonna tebawena ne babaguka okuyimba oluyimba lwa Lumumba nti;
“Twesiimye nnyo
Twesiimye nnyo
Olwa Lumumba yaffe
Ekitiibwa kya Lumumba
Kyava dda
Naffe tukikuumenga

Naayimba ntya ne sitenda
Ssabasajja Gongom (Ee Gongom)
Asaana….”

Awo baamokkolerawo eggambo eryanziba n’amatu, naye bo ne beeyongera mu maaso n’okuyimba nti;
“…abakazi bonna
Naffe tumuyambenga…”

Ssentebe yalangirira nti akawungeezi k’olunaku olwo, abalenzi ba Lumumba ffenna twali baakulumala mu kisulo ky’abawala Mary Stuart . Mbu ekyali kitutwalayo kwe kuketeza n’embooko z’abawala abapya era mbu twewangulire ebijuujulu ebipya. Naye mbu twali tetuteekeddwa kwerabira okusaba Gongom okutuwa obupiira bu kalimpitawa, mu kwetegekera omukolo guno gwe baayita Mega Benching. Kale baagenda okutusiibula nga kumpi ffenna tubaasimula bugolo.

Nze nnasooka okwevuma lwaki abakulu b’ettendekero baasalawo okunteeka mu kisulo eky’abayaga n’abakozi b’efujjo ekya Lumumba. Ate bwe nnasalawo okulambulako Lumumba yonna, kyambuukako okulaba ng’ekisulo kyonna kitiiriika kazambi, omusulo nga kw’otadde n’okuwunya ekivundu. Ebisenge byonna byali byatalaga, zi kabuyonjo zonna nga ziyiikayiika kazambi nga kw’otadde n’emifulejje omwalegama empitambi okunyooka ensowera ne kawawa. Okuggyako oludda okwali ekisenge mwe nnali nsula lwokka lwe lwali oluyonjo ng’era oyinza okulowooza nti kitundutundu kya ggulu.

Bwe twatandiika okusoma, bakira nga buli muwala ambuuza ekisulo gye nsula ne mmugamba nti Lumumba, ng’aneetegula. Bwe nnababuuza ensonga lwaki abalenzi ba Lumumba batutya, abawala baatandika okunnyumiza ebikolobero bya Lumumba. Mbu baawulira ng’abantu banyumya nti buli muwala agezaako n’alinnya ekigere kye mu Lumumba, yavangayo nga kye bamukoze entungo ggobe.

Omu yatunyumiza mbu mukwano gwe yali agenze okukyalirako omulenzi mu Lumumba. Omulenzi teyalwa n’amuyungulira agavubuka ga muliisamaanyi. Mbu gaamukakkanako ekiyiifuyiifu ne gamugagambula obunyama. Era yagenda okuvaayo nga takyetegeera.

Ye omuwala omulala yannyumiza nti omulenzi gwe yali yaganza mu Lumumba, yamukaka omukwano ng’ate oluggi lw’ekisenge mwe baali lukyali luggule. Era mbu akaboozi baakanyumya nga buli muntu ayita wabweru aboota buliro. Mbu era ekyavaamu be balenzi okwetuuma mu mulyango ne batandika okubakubira mu ngalo ng’eno bwe bayimba.

Mbu ate omuwala omulala, agalenzi ga kaggwensonyi olwamala okumukozesa ekirindi, gaamwambulamu engoye ze zonna n’asigala buswa. Tegaalwa ne gamugobera wabweru ng’ekyo ku ttale. Mbu yakunnumba bute ekiro ekyo mu Lumumba yonna ng’anoonya w’aneewogoma. Omulenzi omu yamusanga nga yeekukumye mu kinaabiro. Mbu mu kifo eky’okumujuna, yasumulula busumuluzi mpale ye naye ne yeemala eggoga. Yagezaako okuluma mu kibatu naye nga tewali adduukirira nduulu.

Kale abawala bwe baalabanga n’omutayimbwa gwa Gongom nga gwambadde kkondomu, entengero ne zibakwatanga era nga Lumumba bagiyita wala, sikulwanga bagwa ku kyokya.

Naye ebyo abawala abasinga baali babitya lwa kuba baali bakyali bagenyi e Makerere. Bwe baamala okumanyiira embeera, baatandika okukulummulukuka nga bava e Bule n’e Bweya, okwesogga ebisulo by’abalenzi mu Lumumba. Era nga ku buli nkomerero ya wiiki, nga kumpi mu buli kisulo kya mulenzi osangamu omuwala omu oba babiri n’okusingawo. Abasinga baasulanga nayo mu Lumumba. Olwo ekiro mu ttumbi bwe kaakutandanga n’ogenda ng’owuliriza ku buli luggi, bw’otawuliranga biggunda bya leediyo entumbule, ng’owulira byeggunda bya bitanda n’obuyimba obuseeneekerevu.

Olwalaba ng’embeera y’obugwenyufu mu Lumumba siigisobole, ne neegatta ku kibiina ky’abavubuka Abalokole ekya Lumumba. Nnalwawo okukimanya nti mu Lumumba namwo mulimu Abalokole. Naye ekyanzibula amaaso yali muvubuka Omuteeso eyakakkana ku Gongom n’amukiika embuukuuli y’omuggo mu linnya lya Yesu. Bannalumumba olwalaba nga Gongom  waabwe agudde kyabugazi nga n’omukono ogumu gumenyese, ne bayiikira omuvubuka ng’enjuki ne bamutaagula bugo. Amangu ago Lumumba yonna yagwamu ensasage, agavubuka ga lumiramwoyo agaali gambalidde embuukuuli n’ebitimba nga gataamye buyuki. Gaanyanyaagiza emirere n’eŋŋombe nga bwe gakumba okwesogga ekibangirizi mwe twaliranga emmere. Eyo baasangayo abayizi abaviira ebweru wa Lumumba nga bazze okusomeramu. Agavubuka nga gonna tegawena, abayizi bonna gaababunya emiwabo ne bagenda nga babuuka bibanda. Era bangi baagenda okufuluma mu Lumumba ng’ennyindo z’enkata ng’ate n’abandi bavulubanye omusaayi olw’emiggo egya batimpulwa.

Omuvubuka Omulokole eyakuba Gongom eky’obugazi, naye baamutwala nga biwalattaka. Era abadduukirize baagenda okumutuusa mu ddwaliro e Mulago nga musajja wattu takyamanyi biri ku nsi.

Okuva ku olwo nnatandika okuwulira abavubuka Abalokole nga bakeera okuyimba buli ku maliiri. Waaliwo Omusumba omuvubuka Omusoga ayitibwa Nagaya eyakeeranga okukonkona ku nzigi zaffe tugende tusinze Liisoddene ng’obudde tannabuggyako ddiba. Era Nagaya ono y’eyatubuuliranga enjiri ya Yesu ku makya nga tukuŋŋaanidde mu kibangirizi kya Gongom. Bakira ng’atufalaasira nti;
“Bannange ab’oluganda, mmuyimirire munywere kubanga omulembe guno mubi, ate n’ekifo mwe tuli si kirongoofu. Omulabe atweweredde okutuwewa ng’entungo, naye mugume kubanga tuli wakati mu kugezesebwa. Naye bwe tunaayita mu kugezesebwa kuno, ffe tunaabeera abasaale mu kugumya baganda baffe. Ow’oluganda Mukwasi, mu Lumumba muno mwe musimbye amakanda g’obukaba n’obwenzi obukulemberwa omyoyo egya Yezebbeeri ne Derira egyalambikibwa mu kitabo ekitukuvu. Omubi tajja, wabula okubba, okutta, n’okuzikiriza. Naye totya, Baibuli egamba nti tuli bawanguzi n’okukirawo. Era Yesu yajja okutuwa obulamu era tube n’obulamu mu bungi ddala…”

Bwe twamalirizanga okugabana ku kigambo kya Namugereka, twagwaŋŋananga mu bifuba era ne tusiibulagana n’obuseko ku matama. Okusaba kuno nnakugendangamu lunye, okutuusiza ddala bwe nnatandika olusoma lw’omwaka gwange ogw’okubiri e Makerere. Eby’abawala nnali mbyetegulide ddala era bo abankyaliranga baali abo bokka be nnasomanga nabo e Nsambya ng’era bamuswaba.

Nnali nneefuniddeyo ne mukwano gwange ayitibwa Musenze . Musenze ono naye yali asula mu Lumumba era nga yali asomerera busomesa bwa lulimi Lungereza nange bwe nnaliko. Eky’omukisa omubi, musajja wattu yali muzibe, ng’amaaso ge gaafa takyalaba. Naye kino kye kyasinga okunsikiriza gy’ali. Nnali njagala okumanya engeri omuvubuka ono gye yasomamu n’atuuka ne mu ttendekero erya waggulu. Bwentyo buli lwe nnamusisinkananga mu kibiina, nnasookanga kumulamusa, ne tunyumyamu, olwo ne ndyoka nzira ku byange.

Lumu Musenze yantumira omuntu. Kale bwe nnagenda mu kisenge gy’asula mu Lumumba, teyalwa n’ampitirayitiramu mu bizibu ebyali bimwolekedde ku kasozi k’abayivu. Y’aŋŋamba nti omuyambi we ayitibwa Mwisuka, eyalinga amutwalanga okusoma n’okumuleetera ku mmere, yali asazeewo okweddirayo mu kyalo kye. Mbu obulamu bw’e Makerere bwali bumukaluubiridde kubanga ye yali teyasoma kimala.  Kale mbu Musenze yali talina muntu mulala yenna ayinza okumuyamba mu buzibe bwe. Kubanga yali yeetaaga omuntu anaamusomeranga ku butabo, okumukwatanga ku mukono ng’agendako mu bifo eby’enjawulo, sinakindi n’okumusuzanga awamu n’ebirala bingi.

Musenze bye y’aŋŋamba byankwata ku Teddy era ne mmusuubiza nti nnali mwetegefu okumuyamba, tusule, tutambule era tusomerenga wamu. Musajja wattu olwawulira ebyo, teyalwa n’awammanta era n’angwa mu kifuba nga’anneebaza okumukkiriza okuyingira mu bulamu bwange. Okuva ku olwo ne tufuuka bamukwano ddala era nga gututambuza sserebu. Naye nnali nsoose kutya nga muli ndowooza nti abawala banandaba batya nga ntambula n’omuntu omuzibe w’amaaso. Kyokka bwe nnakivumbula nti ate abawala ku Musenze kwe bafiira, nange ne mmulemerako kabbaane ku ndongo.

Musenze yali afuuse wattutumu nnyo mu bibiina gye twasomeranga, mu Lumumba ne mu Makerere yonna. Kale olw’okuba nti nnali nfuuse mukwano gwe ow’okulusegere, bwentyo nange ssaalwa ne ntutumuka. Era Musenze ng’amaze okumanyiira embeera, y’ambikkulira ku kyama kye nti; “Mukwasi, mu kisenge kyange tusulamu babiri, nze naawe. Ate ggwe obuliri bwo wabuleka mu B2-7 era tewali muntu abusulako. Kati mbadde nkusaba tuteese; Waliwo omuvubuka Omunnakenya ayagala okupangisa ekimu ku bifo byaffe wano wensula mu C3-27. Ajja kuba ng’atuwa obuwanana bw’ensimbi. Okwo bwe tunaagattako n’essente gavumenti z’etupokera, tunaaba tetufuuse ba binnyonkondo? Ggwe Mukwasi ekyo okiraba otya?”

Awo nange nnamugambirawo nti akkirize Omunnakenya okupangisa ekimu ku bifo bye mu kisenge C3-27. Naye yali ateekeddwa okulaba ng’abakungu abatwala Lumumba tebakimanyaako. Nze nnali nja kusigaza ekifo kyange mu kisenge B2-7 era nga gye nnali ow’okuviiranga mmuyambengako.

Waayita mbale, Omunnakenya eyali yeeyita Kiyimba n’atandika okusula mu kisenge kimu ne Musenze. Yamusasula omudidi gw’ensimbi nange ze ssaategeera muwendo. Naye ezo ze twakyakalirangamu ne Musenze nga buli kye twegomba tukyetuusaako.

Naye Kiyimba yamala n’afuukira Musenze omuteego. Mbu olw’okuba Musenze yali muzibe nga talaba, Kiyimba yagufuula mugano nga gwa nswa. Bakira nga buli kiro Kiyimba akyaza mukwano gwe omuwala eyeeyitanga Fidelis, era empiki z’akaboozi k’omukwano ne bazeesa nga ne Musenze ali awo abawulira! Bino Musenze yabinnyumizangako naye nze ne ndowooza nti yali mu kusaaga, anti yakunyumirwanga nnyo.

Naye lumu nnali ŋŋenze okukimira Musenze eky’emisana. Bwe nnadda, nnasanga oluggi lw’ekisenge kyabwe nga luggule kyangaala. Naye ŋŋenda okutunula munda, nga Fidelis  ne munne bali mu buliri berigomba tebamanyi na biri ku nsi! Nange  bwe nnalaba nga binsobedde, nnakyusa obwanga ne mbuzza gye nsula.

Kiyimba teyakoma awo n’asombanga ne mikwano gye agavubuka envuumuulo agaviira e Kenya ne gasiibanga mu C3-27. Omwo nago mwe gaaleetanga obuwala bu lukende lwa nnumba, ne beesiisiitira, ne banywa omwenge n’enjaaye, ne batumbula galeediyo agaggunda, ne bakuba embeekuulo, nkugambye ne gubula asala. Newankubadde nga nze ne Musenze  twali tetufaanaganya mize n’agavubuka gano, twekanga gagenda gafuuka mikwano gyaffe mpolampola.

Bwe nnatuuka mu mwaka gwange ogw’okubiri, nnakyusa ekisenge mwe nnali nsula, ne ntandika okusulanga ne mukwano gwange Omutooro ayitibwa Katuuramu. Ono ye yali asomerera bya bulimi. Kale olw’okuba nnali nvudde mu kisenge ky’omujjuzo gwa’abayizi abana, nga kaakano tusula babiri ffekka, wamma ggwe ne nkyamuukirira. Nnende eyakeeranga okusinza Liisoddene ne Balokole bannange, nnakoowa ne mbiviirako ddala ng’embwa bwe yava ku nseko.

Nnatandika okufuna ku kyanya eky’okukyazanga ku bawala. Omu ku bano ye yasooka kunneesibako. Naye bwe nnakivumbula nti omuwala Sandra  ono yaliko mukwano gwa Kalule e Nsambya, ne nkimanya nti yali mulimba ng’ejjembe, bwentyo ne mmugendako mpola. Naye yali muwala wa mbazuulu, era nga si mwetegefu kunvaako bukumbu. Era teyalwa n’agufuula muze okunkyaliranga buli malya ga kya misana, era emmere twagiryanga babiri nga bwe tusoma ne ku bitabo. Awo lumu Katuuramu kwe kuŋŋamba nti; “Kirabika Sandra wamulya dda omwoyo. Naye olw’okuba ggwe olwawo nnyo okwawula entungo ku ggobe, ekyo tosobola kukiraba.”

Katuuramu nnamuddamu kimu nti Sandra mukwano gwange wa bulijjo era mmutwala nga mwannyinaze. Ye Sandra yeeyongera okunkyaliranga era teyalwa n’atandiika n’okwebakanga mu buliri bwange.
                                       
Lumu omusomesa waffe y’ampa ekibuuzo ekikwata ku mikutu gy’ebyempuliziganya nti nkinoonyerezeeko era nkisomese bannange mu kibiina. Nange ssaalwa nga nkola okunoonyereza kwange bulungi ddala. Olunaku mulindwa bwe lwatuuka, bannange abalala ne bawaayo okunoonyereza kwabwe mu bwangu. Naye nze nnasembayo okusomesa, nga nnekedde bulungi mu ngoye empya, nnende nsibye n’ettaayi. Era olwaweereza byonna bye nnali nnoonyerezza, nnaleka ng’abayizi bonna banyeenya mitwe mu kumatira. Era abangi nze gwe baalonda okuba anyweddemu banange bonna akendo.

Bwe twafuluma ekibiina, olwebeeya lw’emiswaswangule gy’abawala ne bannebungulula nga bampaanawaana n’okunneesesezaako, wamma ggwe ne mbula ne wempisa ekigere. Mu bano mwe mwali n’omuwalajjana Omunyankole ayitibwa Katusiimire eyalungiwa n’awola. Ono teyakoma ku kumpaana kwokka, wabula yamperekerako ne gye nnali nsula mu Lumumba. Era ye olwantuusa mu Lumumba, wamma emboozi n’egwa amakerenda. Yasooka kunneebuuzaako ku ngeri gye nkolamu okunoonyereza mu masomo gange. Ko nze nti nkozesa omukutu ssemakutu ogw’ebyuma bikalimagezi oguyitibwa Internet.  Teyalwa n’ansaba mbu nzije naye mmuyigirize okukozesa omukutu ogwo.

Ekyo bwe yakivaako, yatandika okumbuuza obanga nnali nnina omuwala yenna andya omwoyo. Awo nange kwe kumuddamu nti; “Katusiimire, ye ggwe wekka gwe mbadde ndaba mu bangi, naye nga ssirina ngeri gye nkutuukiriramu. Naye olwaleero k’ozze wano mu kisenge mwe nsula, ate waliwo omulala an’antwala omwoyo okusinga ggwe?”
Twayogera ku bintu bingi nnyo, era okugenda okuwunzika nga mwana muwala tayagala kusiibula. Nnamuwooyawooya mpola nga bwe mmutiisa nti agavubuka ga Lumumba gaali gayinza okumugajambula. Ekyo kyokka ky’ekyamukkirizisa okumuwerekera addeyo gy’asula. Nange olwamuwerekera, nnamutuusiza ddala mu kisulo kye gy’asula mu Makerere. Era olwali okwesimba mu mulyango bwenti, yannyanjulirawo mu bawala banne nti nze mulenzi we, wamma ggwe ne nfa ekitiibwa.

Okuva ku olwo nga nze ne Katusiimire omukwano gututambuza sserebu. Naye olw’okuba ssaalina kasimu ka mungalo, nnakozesanga kasimu ka Musenze, olwo wamma omukwano ne ngusinda n’omwana w’Omunyankole n’ensi n’eyanaamirira.. Katuuramu naye teyalwa n’abigwamu, era n’anziza ebbali  nga bw’aŋŋamba nti; “Mukwasi osaanye weekube mu kifuba! Ggwe wakula otya akyusakyusa abawala ng’engoye? Kati Sandra wamunaabira dda mu maaso nandiki?”
Nze nange nnamuddamu nga mmubuuza nti; “Katuuramu ye ggwe wekka atamanyi abawala b’e Makerere? Abawala abali wano si kutta kulonda! Weerobozaamu ekika ky’osiimye n’otwala!”

Katuuramu ono naye yalina omuwala ayitibwa Annet nga nabo emmere bagiriisa busongezo bwa ngalo. Bakira nga buli lw’akomawo okuva mu kusoma, adda ne Annet ne beesonseka mu buliri okuzannya, olwo wamma nze ne nfa ensaalwa.

Naye nange lumu nnalaba ng’enkuba bikokyo efudembye n’etulekera empewo mu budde obw’ekiboggwe, ne nkubira Katusiimire essimu nga mmusaba atere ajje ammalemu empewo. Ye Katuuramu ne Annet baali bakkalidde dda bubya ku kitanda kyabwe nga bemiisa eby’okunywa n’okumeketa obumpwankimpwanki. Katusiimire teyalwa naye n’atuuka, awo wamma ggwe nange ne nzisa ku kikkoowe. Mwana muwala olwakkalira, ffenna bana ne twesibira mu kisenge kyaffe; babiri babiri ku buli buliri. Amasannyalaze nago tegaakola bubi ne gavaako, nnetuba nga tetusobola kwawula kiro na misana.

Awo ffenna nga tuyidde n’okuboobeera nga tuboobedde era nga tusigazza kimu kya kwesomola ng’enkima erya amenvu, twawulira omuntu akonkona ku luggi. Bangi baali bakonkonye naye ne tugaana okubaggulira era ne baddayo. Naye ono ye yalemerako. Yakonkonkona n’ayagala n’okusamba oluggi. Awo Katusiimire kwe kunkuba akaama nti; “Ggenda oggulirewo munnammwe!”
Awo nze kwe kumuddamu nti; “Ssaagala bantu abansumbuwa nga ndi wamu ne kabiite wange.” Era siwena ne nsika bbulangiti ne tweyongera okwebikka.

Eyali akonkona bwe yalaba nga tufuuse bannampuliraziri, n’ateekako okwogeza ekkaaze n’okuyita nti;  “Mukwasi munzigulirewo! Nze Sandra!

Amangu ago, ekibuguumirize kye nnali nfunye kyabulira mu mpewo. Nnatandika okutuuyana ennyindo n’okutunula ebikalu. Ye Katuuramu n’owuwe baasirikirayo mu buliri bwabwe gy’oli nti baali tebalina kye bawulidde. Sandra  yeeyongera okukuba oluggi nga bw’anyoola n’eppata yaalwo. Okwo yayongerezaako n’okukaaba nti; “Mukwasi! Mukwasi…! Lwaki onkola kino? Nkimanyi nti mwoli mu buliri bwo era ompulira. Ggulawo…!”

Awo Katusiimire yenna ng’akyusizza ne ku ntunula, kwe kusituka n’atuula ku buliri era n’ambuuza ng’emmeeme gwe yebbise nti; “Mukwasi bulijjo onnimbalimba nti tolina muwala mulala gw’oyagala. Kati oyo ali mu kusamba oluggi mulenzi?”

Amangu ago nange kwe kutuula ku buliri nga bwe mmugamba nti; “Mukwano kakkana. Wali olabyeko enswa ng’egoba ennyonyi? Omuwala oyo anonye bitabo bye. Yabyerabidde wano ng’awerekeddeko ku mukwano gwe omulenzi! Naye nange kati ndi kwewuunya ekimukomezzaawo mu budde buno! Tobeera ng’olinayo omulenzi omulala gw’oyagala nga y’amutumye atukwate?”

Ko Katusiimire nti; “Ani? Nze? Sisobola kubeera na mulenzi mulala!”
Awo nze kwe kumugamba nti; “Kale. Onzizizzaamu amaanyi. Gira nno twebake, oyo ali ku luggi ajja kwerabirira.”

Tuba twankaddayo mu bbulangiti, Sandra n’akonkona buto nga bw’agamba nti;
“Mukwasi nkuwulira oyogera n’omuntu, naye ggulawo! Lwaki tolina kisa n’obuntubulamu?”

Ekyavaamu Katusiimire kwe kumegguza bbulangiti ebbali nga bwe yecwacwana nti; “Mukwasi, mpa ekisumuluzo nzigulewo nkuviire webake ne mukazi wo! Mpa…!

Wakati mu katuubagiro nga binsobedde eka ne mu kibira, nnatuuyana entuuyo ne ntandiika n’okuzisaza ebibatu. Naye nnasalawo ne nsiiga Katusiimire akazigo era ne mmusiba kantuntunu nti; “Dear  ye ggwe wekka atamanyi Lumumba? Omuwala oyo ali ku luggi abalenzi bandiba nga bamwambudde era ng’ali mu kunoonya wakwekukuma. Kati naawe gira wetantale oggulewo okufuluma ekiro kino, ng’ate n’amasannyalaze gavuddeko, olyoke olabe nga bwe bataakwambule bakugajambule ng’otunula!”

Katusiimire olwawulira ku bya Lumumba, teyalwa n’akakkana era n’addayo mu buliri. Nange olwalaba ng’ekya Lumumba kinkoledde, ssaalwa ne nzirayo mu buliri nga bwe nnyongerezaako nti; “Obudde bwe buti mu Lumumba bubeera bw’akabi nnyo eri omuwala yenna. Kaakano agalenzi agalina embuukuuli n’ebitimba geeteeze mu buli kanyomero ka Lumumba okuwamba buli muwala asajjalaatira wabweru. Era amagezi genkuwa , toseguka mu kifo kyo, kubanga kati agasajja gandiba nga gatuwulira n’ebyo byonna bye twogedde mu kyama!”

Katusiimire olwawulira ebigambo ebyo, yazibiriza ne ku maaso, nga buli kye mmugamba ky’amira. Ekyavaamu, Sandra eyali asiriikirizza mu kukonkona, yasindika akabaluwa wansi w’oluggi. Nze olwalengera akabaluwa ne nnyimbira Katusiimire ku tulo tulo kwata omwana, era olwamulaba nga yenna takyayagala kuzibula ne ku maaso, nnasooba mpola, akapapula ne nkasindika wansi w’ekitanda, ne nzirawo buto ku kitanda. Tetwaddamu kuwulira muntu yenna akonkona nate, wamma ggwe ebyaffe byonna ne bitereera. Nze nnali mu kufuuyirira lunwe amasannyalaze galeme kudda mangu mu kazikiza ako. Nago gaawulira okusaba kwange, era gaagenda okudda nga ne bw’aba lubaale takyalina ky’ataasa.

Awo ettaala zonna nga ziri mu kwememula, Annet yeesuulamu jjulume ng’ayagala Katuuramu amulinnyire mu bigere okuddayo mu kisulo kye ekiyitibwa Afirika. Ne Katusiimire olwalaba nga muwala munne yeesaze akajegere, naye n’akuba enkanda wansi nti teyali wa kusula mu Lumumba. Naffe olwalaba nga baana bawala bakombye ku erima, ne tuteekateeka okubasomosa Lumumba.

Olw’okuba obukuba bw’ali bwa lumaggamagga, mmanvuuli ya Sandra gye yali yaleka ewange, eyo gye twebikka ne Katusiimire nga mmuwerekera okuddayo. Mu kkubo twasisinkana abamu ku bavubuka ba Lumumba Abalokole abantunuuliza ekiziimuziimu nga beewuunya Omulokole awerekera omuwala ekimyula mu budde ng’obwo! Omu kubo tawena kwe kunnamusa nti;
 “ Ee! Brother Mukwasi; Yesu yebazibwe!”
Nange kwe kumuddamu nti; “Kituufu yeebazibwe!”

Okuva ku olwo ssaddayo okugenda okusaba ne bannange. Ne mu kkanisa KPC  nnagendangayo bbalirirwe . Ye Musenze gwe nnateranga okutwala ku kkanisa yali afunye omuvubuka omulala eyamutwalangayo. Nze nneyongera okukyamuukirira ne Katusiimire ng’obudde bwaffe tubumalira mu kutaayaaya n’okukyalira ku bufo obw’omulembe obwetoolodde Makerere. Byo eby’okunywa n’okulya e Wandegeya, Nakulabye ne mu kikumikikumi kaabula kata tubimaleyo. Ebisinga obungi ku by’okulya Katusiimire y’eyabisasuliranga, kale nze nnali sikozesa nnyo ssente ezange.

Bwe twalaba ng’ebifo eby’okusanyukiramu kumpi byonna tubimazeeyo, ne tutandika okuteesa ku nteekateeka ez’okwefumbiriganwa oluvannyuma nga tukubye emisomo gyaffe oluku mu mutwe. Twasalawo abaana bameka be tunaazaala, awamu n’amannya gaabwe, wa gye tunaazimba amaka gaffe, n’ekika ky’emmotoka gye tuneevugirangamu. Nkugambye nga buli kye tuloota tukiteesaako.

Newankubadde nga nnali ne wangulidde Katusiimire, nnasigala nga nkyalulunkanira abawala abalala nga mbeetegereza wamma nga n’okubegomba kwe ntadde. Era nnagiranga ne nebbirira, bangi ku bo ne mbasuulangayo obugambo, n’abandi ne mbatwalangako mu Lumumba gye nnasulanga. Nnali nnankakwanayo ebimyula ebirala bibiri, Nambi naye n’attunkiza buto ogw’okunkubiranga amasimu ng’ayita mu Katuuramu, mbu ng’ayagala naye ankyalireko e Makerere. Anti ye yali asomera mu ttendekero ly’ebyobusuubuzi e Nakawa. Kale nange ssaalonzalonza ne nzikiriza ajje okunkyalira.

Newankubadde nga nnali mpezezza abawala bana balambirira be nnali nzannyira ku bwongo, mwalimu omu ku bo omubalagavu ennyo gwe nnali nfiirako. Ono ye baali bamuyita Teddy omuwala omulungi kalaala gwe nnalaba nga twankatandika okusoma e Makerere. Naye bwe nnamukubiranga ennyo amasimu nga kwe ntadde n’okumukyalirakyalira mu kisulo kye,  teyalwa n’ayingirwamu akalangaala. Anti nnali nkyeremye okumwatulira nti yali yandya dda obwongo.

Teddy ono yali muwala Mulokole, mutono, kabirinnage, ng’era buli lwe mmutunulako, ebya Katusiimire nga tonnyumiza. Naye lumu bwe nnakubira Teddy essimu ekiro, mwana muwala yanzikakkanako n’anvuma okunoogoloza. Y’aŋŋamba nti ye takolagana na bantu bakirumira mpuyi bbiri nga nze. Era y’ankakasa nti ye ng’omuwala Omulokole, yali agenda okunsimba emikono angobeko emizimu gy’obwenzi n’obukaba egyali ginneetimbye. Kale nange olwalaba nga mwana muwala annaabidde mu maaso, ne mmwetegula, anti bw’otova ku mulungi.

Naye bwe waayitawo akabanga, Teddy yansuubiza okunkyalirako mu Lumumba gye nnali nsula. Bino olwangwa mu matu, nnagamba bugambi nti kye nnayagalizanga embazzi, kibuyaga asudde. Naye waaliwo akawala akalala nze ne Musenze ke twali twakazaako erya Kayoole-Okakunkumule, nako akaali kakwano kange ennyo. Kaali kawala kayulu nga n’ensiri ekeesingira obunene, naye nze nnali nkaagalako bwa kazannyirizi. Anti nga ko buli we kaba, kasiiba kalasana, n’okwogera ebigambo ebitakwatagana nga kwe katadde okwesesa n’okubuukabuuka nga ttena.

Z’olaga omulungi nga bwe zitalwa, olunaku Teddy lwe yalaga okunkyalira terwalwa ne lutuuka. Yali wa kujja ku ssaawa mwenda ez’emisana zennyini. Ku olwo ekisenge kyaffe kyonna nnakiyooyoota ne nzigula buli kasasiro yenna, ne nfuuyiramu n’obuwoowo. Zo ennyimba nnamutegekera za Kirokole enzungu ffembi ze twanyumirwanga. Nnabagulizaako ku Katuuramu nti waliwo omugenyi ow’enjawulo gwe nnali nneetegekera okukyaza ku ssaawa mwenda. Katuuramu naye teyali mubi n’ampa ekyanya.

Essaawa mulindwa bwe yali enaatera okutuuka, nnawulira omuntu akonkona ku luggi lwange. Nnalubandulawo mu bwangu nga ndowooza nti Teddy yali agguse bumale. Naye bwe nnalaba nga Musenze y’azze, kaabula kata oluggi ndumukube mu maaso. Musenze yakantema nti Katusiimire y’amutumye antegeeze nti yali atekateeka okujja okundabako ku ssaawa munaana. Nnaboggolera Musenze nti; “Ddayo mangu otegeeze Katusiimire nti ssiriiwo!”

Awo Musenze kwe kumbuuza nti; “Mukwasi obadde ki? Nga nkuwulira ossiza omukka kumukumu ng’omuntu ava okudduka!”

Nze kwe kumuddamu nti; “Musenze, nze nsazeewo kukwanamu Teddy kubanga ye muwala yekka omulungi ennyo. Ate ekisinga obukulu, Mulokole ddala. Era ku ssaawa mwenda ajja kuba yakkalidde dda bubya wano mu kisenge kyange!”

Musenze kwe kunziramu nti; “Mukwasi wandiba nga kati ogenda okwerabira ku lutalo kafungula nkete mu kisenge kyo olwaleero, anti Katusiimire agambye nti…”

Musenze yali tannamalayo bigambo bye, Katuuramu naye n’ajja ng’ebigambo bimwokya omumwa n’akantema nti; “Mukwasi, mbadde ndi mu kusoma, omuwala ayitibwa Nambi n’ansindikira obubaka ku ssimu nti ajja ku ssaawa mwenda olwaleero. Mbu ayagala okukulaba mu bwangu ddala kubanga ensonga nkulu nnyo!”

Awo Musenze kwe kutulika n’aseka nnyindo yankolera, kata awanuke ne ku kkalina agwe. Nnali nkyagoba minya, ate ebikere ne bisembera. Anti amangu ago Kayoole-Okakunkumule nako tekaalwa ne kajja nga kabuukabuuka n’okweyogeza nti; “Naye mmwe mwaba ki? Obwedda mbanoonya tukole ekibuuzo kye baatuwadde mu kibiina naye nga mwekwese eno? Mukwasi yitawo mangu ompe amazzi. Ee…! Ye lwaki neerumya? Leka amazzi nze mwennyini ngeesenere. Ha! Ye nga leero ekisenge kyammwe kinyirira ng’ekinya! Ee! N’obuliri buyooyoote bulungi! Ati owange, kanneebakeko kati, nnakooye bwa dda!”

Nnawulira nga njagala ettaka limmire naye ne ligaana. Katuuramu naye bwe yalaba ng’ebintu bimbuzizzaako embiibya, y’anziza ebbali n’atandiika okumbuulirira nti; “Mukwasi, vva mu kuvulungutana ng’ayoza assa mu ttaka. Ssigaza omuwala omu yekka gw’oyagala mu bulamu bwo. Awatali ekyo, ojja kweziika wekka ng’olaba. Kati laba abawala b’oyagala bana balamba bagenda okusisinkanira mu kisenge kyaffe! Olowooza ow’entumba taamere bbango?”

Awo nze kwe kumubuuza nga ne saasaabaga nti; “Kati oyagala nze nkole ntya? Nnalagaana n’omuwala omu yekka okukyala era nga ye Teddy. Naye kati bano ba Nambi, Katusiimire, ne Kayoole-Okakunkumule bonna masanja gennyini agaagala okunzaalira ebinene…”

Katuuramu kwe kundya ekirimi nti; “Mukwasi kati tewakyali budde obw’okwonoona. Omuwala ali kumpi kutuuka akusuule ku kibabu. Ky’oba okola kati, kwe kulagira kawakuzi Kayoole-Okakunkumule agende ewa Musenze gy’aba akulindira. Leka nze nkubire Nambi essimu mmugaane okujja aleme okukusuula ku maggwa. Ate ye Katusiimire nze kammulindire wano ebweru. Bwe kamutanda n’ajja kati nja kumubuzaabuza mmutwale ku canteen okutuusa nga Teddy amaze okuyingira ekisenge. Naye singa ajja nga ggwe ne Teddy muli munda, mumusibireyo wabweru, omukole kye wakola Sandra.”

Ko nze nti; “Katuuramu tonzijukiza  Sandra naye ayinza okujjira wano n’anziza mu ndooliito!”

Ebyo nnabyogera nga mmagaamaga ng’omubbi, sikulwanga Teddy ayingirawo nga ssimulabye. Era nnaddukirawo za mbwa ng’agudde kawansazi ne neesogga buto ekisenge kyange. Nnassanga Kayoole-Okakunkumule nga nnakyala yeegolodde ku buliriri bwange nga takyamanyi n’ebiri ku nsi. Amangu ago nnamukakkanako ne mmusikambula okuva mu buliri nga bwe mmugamba nti; “Vvaawo ogende mangu ewa Musenze! Nange nzija mu bwangu tusomere eyo abasomesa bye baatuwadde.”

Kayoole-Okakunkumule nga yenna tasalikako musale, y’ayomberawo nga bw’ambuuza nti; “Ekyo kyokka ky’ekingobya ng’ekyo ku ttale? Ye bwe neebaka mu buliri bwo mbeera nkoze musango ki? Bulijjo wano nga tubwebakamu ffembi naye n’otabungobaamu? Omaze kulaba olwaleero lw’obuyooyoose lw’obungobamu? Nze gw’ogoba nange mmanyi okuyooyoota obuliri okusingako ne wano. Mbwale obulabe?”

Kaabula kata akawala nkabajje oluyi; naye mba njagala okukabwatukira mu matu, omuntu n’akonkona ku luggi. Amangu ago nnayagala nneeyokye wansi w’ekitanda. Naye ŋŋenda okuwulira nga Katuuramu y’aggulawo. Yampita nate wabweru n’aŋŋamba nti;    “Nambi agaanye bye mmugambye, era agambye nti wakiri anajja n’asulira eno ng’akulinda. Anti mbadde mmugambye nti otambuddemu.”

Awo nze kwe kukayukira Katuuramu nti; “Ddamu okubire Nambi omugambe nti nnagenda Kenya! Ompulira?”

Ko Katuuramu nti; “Okalya dda kadda dda! Essimu yange eweddeko ssente!”
Amangu ago nnaddayo mu kisenge ntere nnooonyeze Katuuramu ssente agende akubire Nambi. Naye mba nankadda munda, Kayoole-Okakunkumule ne katandika nate okwetoola ng’obukya nti; “Ee! Mukwasi labayo kati obuliri mbwaze bulungi nnyo! So nno kirabika tubunyumiramu ffembi. Sigenda kwebaka wa Musenze. Eyo waliyo Kiyimba ne Fidelis we. Kaneebake wano. Mmanya, katwebake wano. Ee! Ye nga leero okyuse nnyo? Wenna nkulaba oli mu kudduka nga bwe weetakula ng’essolo egumba!”

Naye mba nkyatawuka nga bwe nnoonya we natadde ssente ezaali zimbuze, Katuuramu n’ampita bukubirire wabweru. Yaŋŋamba nti yali alengedde Katusiimire ng’ayambuka ewa Musenze mu kisenge C3-27. Awo nze kwe kumugamba nti; “Dduka mangu ogende omugambe nti ova kuntwala mu ddwaliro era nti nsigaddeko kikubamukono, bampadde n’ekitanda!”

Katuuramu aba yankagenda, ne basisinkana ne Musenze naye eyali ajja ng’awammanta ekkubo erimutuusa ku luggi. Amangu ago nnagenda okulaba ng’ate bombi bakomawo. Nnabuulizaawo nti; “ Musenze, Katusiimire ali wuwo?”

Ko Musenze nti; “Mukwasi, bw’oba omugezi dduka mangu wekweke mu Lumumba! Kubanga Katusiimire abadde azze okumbuuza oba nga ddala obubaka bwe nnabutuusizza gy’oli. Naye nze mmugambye nti agira annindako. Naye kyandibadde kirungi n’ofuna akafo akeekusifu mu Lumumba ne weekweka. Abawala bano bonna abana tebeemanyi. Kale ne bwebasisinkaganira ku luggi, bayinza obuteekengeregana nnyo. Naye singa bonna bana bakusangawo mu room yo, musajja wattu, abika ayambale!”
Awo nze kwe kumugamba nti; “Olwaleero singa Teddy ajja wano n’atansangawo, ajja kukitwala nti ndi muvubuka muyaaye, nti ndi mulimba, era talidda. Ate nga ye gwe nsinga okwagala.”

Ko Musenze nti; “Ky’oyagala okutegeeza nti bano abalala bo tobaagalangako? Ekituufu kiri nti buli omu ku bawala bano abana omwagala. Naye kati osinga kwagala Teddy kubanga tonnamumanya nnyo! Abawala bonna bana be bamu!”

Tuba tukyali mu ebyo, essimu ya Katuuramu n’evuga. Bwe yamala okwogera n’ajja n’akantema nti; “Nambi akubye essimu ng’agamba nti atuuse ku ggeeti eyingira mu Lumumba!”

Awo nze kwe kubwatuka nti; “Kati Nambi kiki ekimuleese? Mbadde ndowooza nti twekyawa dda!”
Musenze kwe kumbuuza ekibuuzo nti; “Ani yamuwa ennamba y’essimu ya Katuuramu? Si ye ggwe mwene? Ekyo kitegeeza nti omuwala wali okyamwagala, era ng’otera n’okumukubira ku masimu!”

Ssaalonzalonza ne neesogga mu kisenge ne mbwatukira Kayoole-Okakunkumule mu matu nti; “Naabugwamu! Vva ku buliri bwange ogende mu basajja bo!”
Kayoole-Okakunkumule naye kwe kulya mu ttama nti; “Ssiva wano! Ye ggwe musajja wange wekka. Bw’oba osobola jjangu onsitulire wamu n’obuliri otukasuke ebweru!”

Awo Musenze kwe kwogerera wabweru nti; “Mukwasi, teweekooya, akawala kayoole, okakunkumulemu omulundi gumu, n’oluvannyuma okate kagende.”

Mba nkyali mu kwereega n’akawala mu kisenge, ne mpulira okukonkona okw’ekimpoowooze ku mulyango. Amangu ago ka Kayoole-Okakunkumule akaali kankutte entegetege n’amagulu ne kanta. Nnaduka mangu okulaba ani akonkonye. Naye ŋŋenda okubandulawo oluggi nga ku Teddy y’ono. Amangu ago ebbugumu lyonna ne linzigwamu ne mmanya nti wamma ebintu byali bimbuzizzaako embiibya.

Teddy yammwenyezaamu katono nga bw’ambuuza nti; “Nnyingire?”
Ko nze nti; “Nnyabo ekisenge kyonna kikyo, toteekeddwa kusaba lukusa kuyingira.”

Yali aggyamu engatto ayingire, naye nze ne mmugaana, era n’ayingira nazo. Olwali okuyingira, amaaso ne bagasimbagana ne Kayoole-Okakunkumule nga buli omu alinga atidde munne. Kawala kattu nako tekaali kabi ne kamwaniriza bulungi nga bwe kagamba nti; “Totya nnyabo, wano nange ndi mugenyi. Naye ndi mugenyi wa Musenze.”
Era tekaalwa ne kafuluma ne kampitako mu mulyango nga bwe kaŋŋamba mu luzungu nti; “The Cat is finally out of the bag.” Mbu oluvannyuma lwa byonna kkapa yali ebuuseeyo mu kikapu, anti amazima gaali gazuuse.

Amangu ago Teddy nnamulaga aw’okutuula, era yatuulira ddala ku buliri bwange, bwonna ne bufuuka nga kwe ntuuzizza ekimuli kya looza. Nnamugamba nti “Mukwano nsonyiwa olw’okusanga abagwira mu kisenge kyo.”
Awo ye kwe kwogera ng’akerebera nga ssenga w’omugole nti; “Hm! Abadde nti nze y’abayingiridde ne mbagwira mu mikolo.”
Nze kwe kuddamu nti; “Toyogera bw’otyo mukwano. Ye ggwe mukolo gwange.”
Teddy kwe kunziramu nti; “Naye tofaayo, mbadde nsaaga busaazi.”
Awo nze kwe kumulamusa mu ngeri ey’eggonjebwa ennyo nti; “Nnyabo wange ndi musanyufu…”
Naye mba sinnamalayo bigambo mu kamwa, omuntu n’akonkona ku luggi . Amangu ago omutima gwantyemuka ne nkimanya nti ku ssaawa eyo ekizimba kyali kisambye eddagala. Nnasooka kwe kwatakwata nga bwe neetooloola ekisenge kyonna. Nnakwatakwata ku buli kintu nga nkisitula bwe nkizzaawo. Nnagenda okuzza amaaso ku Teddy, nga naye agage agansimbye. Teyalwa n’anzijukiza nti; “Mukwasi, waliwo omuntu akonkona ku luggi!”
Awo nange kwe kwefuula abadde atabitegedde, era ne kwatakwata nga bwe ŋŋamba nti; “Oo!  Oba ekisumuluzo nkisudde wa?”
Ko ye nti; “Mukwasi oluggi si lusibe. Ky’ogamba walusibye?”
Ko nze nti; “Ye nnyabo wange. Eky’omukisa omulungi ekisumuluzo kiikino nkirabye era kanzigulewo.”
Olwassa ekisumuluzo mu luggi, nnasiba lusibe nga bwe neeyogeza nti; “Ekisumuluzo kino nakyo oba kibadde ki leero? Kati laba nate kigaanyi okuggulawo!”
Ko Teddy nti; “Leka nkuyambeko!”
Nnali nkyekikiitanyiza  ku luggi, ne mpulira eddoboozi lya Katuuramu ng’ayogera mpola nti; “Mukwasi totya, nze munno Katuuramu. Nziguliraawo waliwo bye mbaleetedde.”
Ssaalwa oluggi ne ndubandulawo nga bwe neeyogeza nti;
“Oo! Webale Yesu, oluggi lubadde lutufuukidde omuteego!”

Amangu ago Katuuramu n’ankwanga eccupa z’eby’okunywa bbiri awamu n’eby’okuliirako era ye n’ansiibula nga bw’aŋŋamba nti; “Olwaleero ekibanyi kigenda okugwa n’amenvu. Naye mbaagaliza eky’eggulo amakunale!”

Oluggi nnalusibira ddala ne tusigala babiri n’ekijuujulu mu kisenge. Teddy yambuuza ensonga lwaki nnali nsibyewo oluggi olwali lugaanye okweggula. Nze nnamuddamu nti;
“Mukwano obulamu bwo bwa muwendo mungi nnyo gyendi. Naawe Lumumba nga bw’ogimanyi temuyitika muwala anyirira nga ggwe. Oyagala agasajja gakusikambule muno gagende gakugajambule?”
Ko Teddy nti; “Ssibirawo ddala.” Kuno kwalinga kusindika mpisi okugenda okuwooza akatale. Awo mu mutima gwange  ne ŋŋamba nti; “Mwana muwala owedde!”

Emboozi yagwira ddala amakerenda ne Teddy. Byo eby’okweraliikirira oba nga wanaabaawo omuwala omulala an’ajja, nnabyerabira.  Nnali nkubye enkanda wansi ne nninnya n’ekigere mu kyoto nga ndayira nti ekijja kyo kijje naye tewaabe kintu kinansuuza Teddy. Era zaagenda okuwera essaawa bbiri ez’ekiro nga kitokota si kisaanikire, era nga bye tutayogeddeeko tebinnamanyika mu nsi.

Teddy olwalaba ng’obudde bumuliiridde ow’ejjokolera, teyalwa n’ansiibula nga bw’anneebaza olw’okumuwa omukisa ogw’okunkyalirako. Nange nnamukakasa nti we nnali nsula naye waali wawe. Kale buli lw’abanga yeetaaze okujja okuwujjaalako, ekisenge kyange kyali kiggule. Bwentyo bwe nnamala okumuwerekera, nnakomawo nga nzenna nsambira mabega nga jjanzi. Nnatambula nga bwe neesesa nzekka n’okumegerera nkugambye nenkyacanca ng’akimezezza okw’enjala.

Bwe nnadda mu kisenge, nnasanga Katuuramu naye ateredde bubya n’omuwala omulala atali Annet. Baali banywedde ne ssooda Teddy gwe yali affisizzaawo. Kale teyanninda kumubuuza bikwata ku muwala, n’akantemerawo nti; “Mukwasi wabula tukuzannyidde ku bwongo! Okimanyi nti nze, Musenze ne Kayoole-Okakunkumule obwedda tuli kukulimbalimba nti Nambi ne Katusiimire bali kujja? Obwedda twagala okumanya muwala ki gw’osinga okwagala. Naye leero lwe tukivumbudde. Kyokka Kayoole-Okakunkumule si musanyufu. Mbu wamusaazisa nnyo n’alowooza nti mweyagalira ddala. Naye akikkirizza nti Teddy y’andiba ng’alina ky’amusingako.

Katuuramu bye yayogera byannyongera ssanyu era ne mbalekera ekisenge nze ne nnyambuka ku mwaliriro oguddako okulaba Musenze.  Olwakonkona ku luggi ne ssiwulirayo kanigguusa konna, nnalowooza nti osanga Musenze atambuddemu. Naye mba nsattulula ku bigere, ne mpulira eddoboozi ly’omuwala munda. Awo nze kwe kutta ku bigere ne nzirayo ku luggi. Ssaddamu kukonkona. Wabula nnakutama, ne nzibiriza ku liiso lyange erya kkono, ne nningiza mu katuli k’ebisumuluzo ku luggi, nsobole okulaba ebiri munda.

Eriiso lyange lyasooka ne lijjako ekifu. Anti nnalengera ebintu ebisambagalira mu bbulangiti gy’oli nti waaliwo omuntu atugira omulala wansi! Ssaalwa ne neetereeza okwetegereza obulungi. Nnalengera emitwe ebiri, ogumu nga gwa nviiri mpanvu enduke era nga gutunudde mu kasolya. Ate omutwe omulala nga ggwo gwa Musenze. Gwonna gwali gutuuyannye n’entuuyo, ng’omwami azisaza bibatu, wamma ggwe ng’ekiri wali kinyeenya magi. Nnayagala nnyo ntegeere omuwala naye ne nnemwa. Wabula kye nnamanya kyali nti omuwala oyo yali tasomera wamu naffe.

Bwe nnaddayo okulaba Katuuramu, nnasanga yasiibudde dda owuwe. Awo nange kwe kumubuuza ensonga eyali etuuseewo wakati we ne Annet. Katuuramu yalunviira ku ntono nga bw’akikkaatiriza nti ne bw’aliba lubaale taliddayo kumutabaganya ne Annet. Anti omu ku mikwano gye bwe baasomanga eby’obulimi yamubagulizaako ku bunnanfuusi bwa Annet. Mbu waliwo essajja ery’olubuto olunene lye baali balengedde nga lirina engeri gye likitizaamu ne Annet. Era ne Katuuramu teyalwa n’abalonda kagere yogaayoga mu emu ku ziwooteeri gagadde mu Kampala wakati. Mbu eyo Annet yalengerwako n’essajja nga bagenda beekutte mu biwato. Mbu Katuuramu yasooka kulowooza nti jajja n’omuzzukulu baali baagala kunyumya kaboozi ak’ebisoko n’engero. Kale awatali wadde kukemetterera, Katuuramu yakomawo nga yenna azimbye nga ssekoko era mu kwagala okwesasuza, y’akwanirawo omuwala omulala ayitibwa Helen.

Mu nnaku ezaddirira, Helen ekisenge kyaffe yali akifudde kikye. Yakyaliranga Katuuramu ne bakisimba ne kiroka. Naye Annet  teyadda mu bya mannyowenu nga munne amutwalako omulenzi we. Oluvannyuma lwa Katuuramu okuliira ku nsiko enzingu eziwera, lumu Annet yamugwikiriza mu kisenge kye. Mwana muwala nga yenna tasalikako musale yayokya Katuuramu kajjogijjogi w’ebibuuzo ng’ayagala okumanya ensonga lwaki yali amwetegudde. Katuuramu olwayanjula ensonga mu ddiiro, mwana muwala yakomba ne ku ppaasi ng’alayira nga ye bw’atayagalangako essajja lyonna ery’olubuto olunene. Katuuramu naye tawena n’amutegeeza nti bw’atayogera mazima, yali si mwetegefu kumuddiramu.

Annet olwalaba nga Katuuramu avudde mu mbeera, n’akkiriza nti waliwo essajja eryamulimbalimba n’ensimbi ne limukaka omukwano, naye mbu kaakano asaba kisonyiwo. Katuuramu olwawulira bino n’alinnya mu kyoto nga bw’alayira nti ye tayinza kuddira mu muwala omusege obusege ogwerimbika mu ddiba ly’endiga. Nze nnasanga Annet afukamidde mu bigere bya Katuuramu nga bw’afukumula amaziga agajjulujjulu, naye nga Katuuramu yeeremye. Ekyavaamu Annet n’ajulira gyendi. Naye Katuuramu yandabula nti bwe mbeera nga nnali sikyayagala tube ab’omukwano, kantande mpulirize ebyanjwanja Annet bye yali alokompoka nabyo. Nange nnagamba kimu mu Teddy gwange nti abaagalana bwe bayomba, tossaayo kikyo, era bwentyo ne mbaviira.

Katuuramu yagugubira ku ky’okukyawa Annet era bw’atyo n’amuleka ttayo, ye n’atandika okutijjanga ne Helen, omuwala bwe baava mu ssomero erimu ng’ate bombi olulimi Olutooro bafuuwa lufuuwe.

Nnali nkyali mu kwewuunya ebya Katuuramu ne Annet, ate Musenze naye n’agwa ku kyokya. Anti waaliwo evvubuka eriyitibwa Mapuje, eryali lyegunjulira ogw’okukaabya abawala akayirigombe buli ttumbi, lyamukwanira omuswaswangule gw’omuwala mbu eyali yazaalako. Omuwala ono mbu yasookera ku gwa kutwalanga Musenze ku kkanisa mbu batendereze Liisoddene nga bali bombi. Kale Musenze naye teyali mubi ne batanula okuba ab’omukwano. Naye mbu lumu Musenze yajjula ebitayidde. Kale omuwala olw’okwagala okwesasuza, yasalawo okukuuliita n’essimu ya Musenze empya ttuku. Musenze yagenda okuwammanta we yali alese essimu, ng’akayumba munyale. Yagezaako okumunoonyeza mu kisulo kya Banaggoonya, naye ne bakamufuuwa nti omuwala teyali musomi w’e Makerere, era mbu yali ayambako buyambi omuwala omuzibe ayitibwa Florence.

Florence ono olw’okuba baali baava mu ssomero limu ne Musenze, naye yatandika okwesombanga okujja mu Lumumba. Naye olw’okuba nange nnali ntera okumalira ebiseera byange ewa Musenze, Florence yangiga, era mbu yali anyumirwa nnyo obukakkamu bwange. Nnali mbiyita bya muniino, lumu Florence n’ayingirawo mu kisenge kyange n’akawala akalala akaamutambuzanga. Bwe nnamutuuza ku buliri, y’andagira okumusumulula enviiri ze ng’eno bwe yeeyogeza nti; “Nkwata mpola mukwano! Onnumya…!”
Nnende nnali nkyalowooza nti bya kubalaata, kazzi mwana muwala yali yavudde dda mu mbeera. Teyalwa eby’enviiri n’abivaako n’anvumbagira. Yammegga ekigwo kya bugazi nga bw’akalabula empale yange n’enjala kata agyabuluzeemu. Go amapeesa g’essaati alinga eyakunkumula amakunkumule. Nnayagala ntakize enduulu, naye ne ntya nti bavubuka bannange banaakiwulira batya nti omuwala omuzibe yantunuzza mu mbuga y’omulabe Setaani? Baali bajja kugamba nti nze nnabadde nkedde okuloza ku mwenge.

Florence  ku luno yali tazze kunywa guteeka. Akabbulawuzi ke yakayuzaamu omulundi gumu, wamma ggwe obuleega bwe bwombiriri ekisenge ne bukikubamu ebimyanso bya langi enjeru. Nnagamba nti guno bwe guba muzimu, guviiridde ddala ewa Walumbe e Ttanda. Kale nange n’aggyayo n’ago mu buto ne nfunvubira nga nnumye n’ogw’engulu ne mmuzza ku ddimwa. Nnali ndowoozezza nti wano yali ajja kugonda alowooze nti nnali nzikirizza okutabaala ebyalo, naye ne yeerema. Yankwata emikono gyombiriri ne tukkirira kirindi ku buliri, wamma ggwe ne gubula asala. Nnali ndi mu kulwanagana n’omululi gw’omuwala, ng’ate ekindi wansi mu mpale kisa kinegula. Naye nnagamba nti wakiri okufa n’obutanyagwa, nnali sijja kulya mmere nkake, bwentyo ne nsimba nnakakongo. Akawala akatambuza Florence ko enseko zaali zikatta kokka naye nga tekamanyi katuubagiro ke twalimu.

Florence bwe yalaba nga ŋŋaanyi okummuka, n’atandiika okuntiisatiisa nti yali agenda okukuba enduulu agambe nti mbadde nfuuse muliisamaanyi. Nange nnamuddamu kimu nti; “Geza okube ku nduulu bw’oba werabidde nti muno oli mu Lumumba! Agavubuka ga musibiramubbwa ganajja gakugajambule gakumaleko n’ekirookolooko ekyo ekikwewaza. Era bw’oba oli mugezi tambula ogende nga sinnayita ba muntunsolo!”

Florence olwawulira ebigambo ebyo, n’akakkana naye ng’weekeera n’okwesooza nti; “Oli kasajja kika ki ggwe kano ka mpale enywera muguwa? Mbadde ndowooza nti olimu obusajja bwamu naye towera! Era mbadde nkugezesa ndabe obanga ddala oweza ku maanyi. Naye ku kye mpulidde; basajja banno bawalampa nsozi, naye ggwe n’akakulukuku kakulemye okubuuka!”
Bwe nnalaba nga mwana muwala anfuukidde ezzike, ne mmuviira era nenzira ku byange. Nabo tebaalwa ne basiibula.

Okuva ku olwo nga nze ne Florence tetulinnya mu kimu. Musenze naye tawena yalina akawala ke nnasomanga nako akaayitibwanga Katalina. Kano kaali kawala katono nga n’empewo esobola okukafuuwa ne kagwa. Naye kaali ka mpisa era ng’obuntubulamu bwako abalenzi bubaleka bafumbya miyagi. Kale olw’okuba nze nnali nkamanyi endya n’ensula, Musenze yansaba mbu mmukolere obwakayungirizi.

Tetwalwa ne tukyalira omukutu ssemakutu ogw’ebyuma bikalimagezi ne tuwanulako ebbaluwa empandiike okuva ku www.lovingyou.com. Ebbaluwa twagyokyesaamu era n’eweerezebwa e Wandegeya, Katalina gye yasulanga. Kino Musenze yakikola amaze n’okuwaayo essimu ye empya ewa Katalina mbu agimukuumire. Kale Katalina bwe yafuna omukuku gw’ebbaluwa emusaba omukwano, n’assa Musenze akasiiso.

Lumu twali tuteekeddwa okuwummula, Musenze n’asalawo okukubira ku Katalina essimu. Katalina olwakimanya nti Musenze y’awulugumizza olukomo lw’essimu, tawena n’amuteera akaka. Yavuma Musenze n’amwogoloza nga bw’amulangira obwenzi, n’obukaba obwamutuusa n’okumuzibya amaaso. Era yamulabula nti ye takwanibwa ba muzibe amuveeko.

Nze nnende eyali ayimiridde ne Musenze ng’ayogera ku ssimu, encukwe yankuba bwe nnalaba nga musajja wattu yeekubawo sseddume w’ekigwo. Era nnamuyoolayoolawo mu bwangu ne mmukwata okumuzzaayo mu Lumumba. Ssaalwa ne nnumba Katalina okumubuuza bigambo ki bye yali agambye Musenze. Naye teyagaana ne yeekokkola Musenze olw’okumukwanira mu bbaluwa. Mbu ye ayagala abalenzi abeetuukira gyali bwe baba betaaga  omukwano gwe. Era okuva ku olwo, Musenze ne Katalina tebaddayo kulima kambugu.

Naye nange lumu enseko zankalira ku matama bwe nnali nga mpita ku kisulo kya Bannaggoonya akawungeezi. Nnalengera Teddy ng’awerekera olulenzi olwali lunsinga obulungi n’obuwanvu. Nnasooka kulowooza nti si ye Teddy okutuusa ye mwennyini bwe yampita nti; “Mukwasi nkulabye awo!”
Bwe yamala ne yeeyongerayo n’olulenzi lwe nga beekutte mu biwato. Nnasooka ne nkigumira nga ndowooza nti osanga nnali ndoota. Naye ekiro ekirala nnali ŋŋenze ku lukungaana lw’abavubuka Abalokole Bannamakerere oluyitibwa Prime Time ku kidiba ky’abawuzi, ne nnengera Teddy nate. Ku luno era yalina olulenzi lwe nga batudde wamu n’obumwenyumwenyu ku matama. Nnali nkyali mu kwemotya, bombi ne beggyawo nga batambula beerinnyako, nga n’emikono gyabwe giyisinganyiziddwa mu biwato byabwe. Ku luno kaabula kata ntulike nga bbomu njabike olw’ekiruyi .

Nnatandika okwebuuza mu mmeeme yange ensonga lwaki Teddy yali asazeewo okwagalamu omulenzi omulala? Ndowooza singa nnalina ebiwaawaatiro, nnandibuuse ng’empungu ne ŋŋenda nkwakkula Teddy mu mannyo ga ggoonya gano ge nnali ndabyeko.

Lumu nnakubira Teddy essimu mmubuuze ensonga lwaki yali andeseewo nze omulenzi eyali yeewaddeyo okumufiirira! Naye bwe nnakuba essimu, Teddy yasindira kuli nga bw’ali omulwadde era mbu teyeewulira bulungi. Nange nnakakkana era ne mmusuubiza nti nnali ŋŋenda kuyimirira wamu naye mu kusaba, Lugaba amenyeemenye amaanyi gonna ag’ekizikiza agaali gasazeewo okwegulumiza ku bulamu bwe. Era ssaalwa ne mmulungira ankaccapa n’omuzigo ne binoga. Anti essimu yange gye nnali nguze ku olwo nnagissaako essente eziwera. Siwena ne nfuna Baibuli n’olupapula, ne mpandiikako essaala yonna nga bw’eneebeera. Eyo mu ttumbi nnanyiga essimu, ne nzigyayo empapula kwe nnali mpandiise essaala. Nnagamba Teddy nti;
“Wewombeeke mu maaso ga Mukama, tukoowoole eggulu okutuusa ng’ofunye okuwonyezebwa. Baibuli egamba nti babiri oba basatu nga bakuŋŋaanye, Mukama abeera wakati mu bo. Kati fukamira ku maviivi go tukoowoole Yesu.”

Ssaalwa ne nsikayo omukko gw’olupapula ne ntandika okusoma essaala ng’eno bwe neekyanga awamu n’okusiiya nga gwe basunaasuna. Nnasoma essaala yonna nga mujjudde ennyiriri za Baibuli mu bulambulukufu bwazo. Nnawulira Teddy ng’addamu ku ssimu nti; “Amina! Kyekyo Mukama! Mu linnya lya Yesu! Shakatandalababa…” n’ebirala.

Bwe nnawunzika essaala ey’okuwonyezebwa , Teddy yanziramu nti; “Mukwasi bambi webale nnyo! Kati mpulira bulungi. Katonda yebale eyakuwandiika ennyiriri z’ekigambo kye ku Teddy gwo. Webale nnyo era Mukama akuwe omukisa.”
Ko nze nti; “Ekitiibwa n’ettendo byonna mbiddiza Yesu, empologoma ya Yuda. Waayita ennaku mbale, nga nate omukwano ne Teddy gutusaza mu kabu. Eyali aludde okunkyalira mu Lumumba n’attunkiza buto okujjanga.

Lumu Kiyimba eyasulanga ewa Musenze yakyawagana ne kabiite we Fidelis. Tawena n’afunayo omuwala Omugisu bitigibina omuswaswangule eyeeyita Nasike. Omuwala ono ne Kiyimba baali bafuukidde Musenze omuteego. Anti obudde bwagendanga okunyiimuula nga Nasike yagguse dda buseke ewa Kiyimba ne batandiika amapenzi. Bakira nga bateekako ttivi ne balaba ssineema ez’obuseegu n’amazina ag’ebimansulo. Ebyo olwabiggwanga ennyalwe, ne batumbula leediyo yonna n’eggunda agayimba ag’abayimbi Abanigulo okuva mu Amerika. Nasike teyalwanga ne yeeyambulamu engoye ze zonna n’asigala buswa mu kisenge. Newankubadde nga Musenze bino teyabirabanga, okubiwulira obuwulizi byamuyisanga bubi nnyo.

Kayoole-Okakunkumule naye teyabugumya na ku mbooge, n’ayita Nasike ku litalaba ne batandika okutijjanga ne Kiyimba. Nasike yalaba taasobole bya kulwanira mulenzi, olwokaano n’aluggyamu enta. Awo eŋŋambo ne ziyitiŋŋana mu bibiina gye twasomeranga mbu Nasike ne Kayoole-Okakunkumule baali bakazi baggya abatalima kambugu.

Nange ssaamanya kitambo ki ekyayambala Kiyimba. Anti waayita mbale ba nnakamwantette  ne babintuusaako nti Kiyimba ne Teddy omukwano gwali gujula kubatta! Era tebyalwa ne bizuuka nti Kiyimba ewa Teddy yali asiibula ku ssaawa za mu matumbibudde.
Ate olundi nnalengera Teddy ku ssaawa ssatu ez’ekiro ng’afubutuka mu Lumumba kyokka nga tatuuseeko wange. N’oluvanyuma nnawulira Kiyimba nga yewaana nti Teddy yali amusula ku mwoyo nga lufuba era mbu ye y’atambuza omusaayi gwe. Teyalwa n’ampa n’amagezi mbu tuwaanyisiganye abawala. Mbu ye yali anampa nnakampaata Nasike, ate nze mmulekere Teddy. Naye nze nakimukakasizaawo nti nze sikolagana n’abawala abagwenyufu nga Nasike. Ko Kiyimba nti; “Abadde nti mwembi muli Bagisu Abamasaaba. Ggwe tokiraba nga mwesaana. Akawala kalungi, keeru, kasanyusa ate kamanyi n’olulimi Olumasaaba!”
Awo nze kwe kuseka n’eggimbi ku mwoyo ng’era bwe mmugamba nt; “Nnina omuwala omulala ye Nambi asomera e Nakawa. Lw’alijja wano lw’olikimanya nti buno obuwala bw’e Makerere bwe muwaanawaana, birerya, bisusunku era masanja gennyini!”

Ssaalwa ne ndagaana ne Nambi okunkyalirako e Makerere. Waayita wiiki emu yokka mwana muwala n’ayingirawo nga yenna ayaka ng’ettaala. Nange nnamulindira ku ggeeti ya Lumumba. Era ye y’ampitako nga tandabye ne yeeyongerayo gye nnali mmulagiridde. Naye aba akyatambula, erivubuka eriyitibwa Olaa ne limuwamba. Erivubuka lino lye lyali lisinga obwa lujuuju n’obwa kasobeza mu Lumumba. Mbu lyali lisomerera by’amateeka naye nga likulungudde emyaka egisoba mu munaana ku ttendekero e Makerere. Kale lyasiibanga liwoggana mu Lumumba yonna nga likutte amaccupa g’omwenge ne sseggereeti ku mumwa. Olwo olwasisinkananga abakuŋŋaanye mu bubinja, ne litandika okusomesa enjiri ya pulezidenti Museveni n’eyali amuvuganya ayitibwa Besigye. Naye nga buli kye lyogera likikomekkereza n’okuleekaanira waggulu nti; “Olaa…Olaa…I am the man Olaa…!”
Olwo bo abawala abetantalanga okweyingiza mu Lumumba ekiro, nga Olaa bw’alemwa okubawamba, wakiri abayiira n’okubasammuliza omwenge.

Kale ne ku luno Nambi bwe yajja, newankubadde obudde bwali bwa misana, Olaa y’etantala okumuwamba. Naye nange gye nnafubutuka teyamanyayo, ne mmukwakkulako Nambi mu ngalo ze. Era tetwalinda bya kwereega, nze ne ntambula ne Nambi butereevu yogaayoga mu kisenge kyange.

Olwamala okutuuza n’okubudaabuda Nambi, nnagenderawo butereevu okutemya ku mikwano gyange bajje beerabire ku mbooko y’oluwala lwe nnabawaniranga. Era bangi abeereeta ng’abalina bye bakimye mu kisenge kyange, Nambi yabaleka bayiika ndusu. Nange ssaalwa ne nteesa ne Nambi ku ky’okuttunkiza obuto omukwano gwaffe nga tugutandikira we twagukomya mu myaka egyo. Naye teyali mubi n’annyigira ku liiso nti tukuume akaama kaffe. Era olw’eggulo olwo nnamutwala ku kyuma kya bbanka, ne mmuyiira ku mudidi gw’ensimbi gavumenti gwe yalinga etugonnomolako mu ngeri ey’ekyeyonoonero. Mwana muwala naye teyalwa n’anneebaza ak’ensusso nga bw’ankuutira okukuuma akalagaane akatajja buliika.

Lumu ensasagge yagwa mu kisenge kya Musenze ne Kiyimba. Anti Nasike yali nate attunkizza buto okujjanga ewa Kiyimba ne basooka okwerigomba buli ku makya. Mbu ate tebaakomanga awo, ekiro nakyo beekubiranga amasimu ne basindira okwo omukwano ogw’omu mpewo ng’oyinza n’okulowooza nti bombi bali mu buliri bumu. Bino Teddy olwamugwa mu matu n’ayitirawo Kiyimba bukubirire abitebye. Kiyimba yakakasa Teddy nti ye musajja Mulokole nnyo yajjula n’omwoyo. N’olwekyo mbu yali tasobola kukola kintu kya buseegu ekyenkanidde awo. Era yakakasa Teddy mbu ebibye ne Nasike byali byakoma dda era nga ne Nasike yeefunirayo dda omusajja Omuyindi.

Naye waliwo olunaku Nasike lwe yakeera neyeesogga ekisenge kya Kiyimba. Olw’okuba ku olwo Musenze yalina essomo ery’oku makya, yanoonya omuntu omulala atali Kiyimba amutwaleko mu kibiina. Bw’atyo n’aleka Kiyimba n’owuwe ng’omukwano bagukedde nga kyayi.

Musenze bwe yamaliriza okusoma, Teddy y’eyamuyambako okumuzzaayo mu Lumumba nga bwe beetegekera olusoma oluddako mu ttuntu. Kale bwe batyo baagenda okutuuka ku kisenge kya Musenze, nga wamma ekiri munda kisa kinegula. Anti Kiyimba yali atumbudde leediyo ng’eri mu kukooloobya ennyimba z’ekirokole ezitendereza Yesu. Omuntu yenna eyayitanga okumpi ng’ayinza okulowooza nti ekisenge ky’ekifuuse ekitebe ky’ekkanisa lutikko, nandiki we wali akidiba kya Sirobowaamu eby’amagero gye bisibuka.
Bwe batyo Musenze ne Teddy bwe baagezaako okukonkona ku luggi, ku bali munda tewali n’omu eyabawulira. Ekyavaamu Musenze kwe kugamba nti; “Ye lwaki neerumya n’okukonkona ng’ate nnina ekisumuluzo ekyange?”
Teyalwa n’agamba Teddy amukwatire ku bitabo bye, ye ne yeesokoola mu nsawo z’empale ye n’aggyayo ekisumuluzo era n’akisindika mu luggi ne lweggula.

Oo! Teddy olwali okukuba amaaso mu kisenge,yagatuusiza ku Kiyimba ne Nasike nga bombi beyambudde bali buswa. Eky’okubeera obute mukazi wattu yandikigumidde, naye eky’abampembe okuba nga baali beerippaganye kabbaani ku ndongo, ky’amulema amalojja. Teddy yenna ng’asamaaliridde, Musenze omuzibe, y’eyamulaga aw’okutuula. Awo Kiyimba ne Nasike ne beegattulula. Kiyimba y’aggyako leediyo eyali esimbudde amatendo ga Mukama n’okusingako bamalayika ne bakerubbi mu ggulu. Ye Nasike yeewumbawumbako amasuuka, n’ayambala obugoye bwe era n’atonta nga tewali gw’anyeze. Ate ye Kiyimba yasooka kulamusa Teddy nga bw’ayogera mu luzungu nti; “I am sorry!” Naye teyalwa n’atambulamu. Ye Teddy baamuleka nga tanyega, takyetegeera era ng’ensi emufuukidde ekyambika.

Kiyimba bwe y’adduka yatuukira wange. Yajja ng’essaati ye nsumulule amapeesa, ate nga ne zzipu y’empale ye agyerabiddeyo wansi. Teyalwa n’aŋŋamba nti; “Mukwasi, Musenze ky’ankoze ggwe wekka asobola okuwoolera egwanga. Omusajja ansudde mu ntata.”
Nze nnali nkyebuuza kiki ekiguddewo, Kiyimba naye teyalwa mu nnyama, n’anteerako olutambi nga bwe gubadde. Era ye kwe kuŋŋamba nti; “Bulijjo wano ndowooza nti Musenze kye wamukola ky’ekisinga obubi, naye ye ayisizza nawo!’

Emabegako, nange nnali ntuusizza Musenze ku kyokya. Ku olwo nnali nkyazizza Teddy mu kisenge kyange. Musenze bwe yakonkona ne mmuggulira, yambuulizaawo nti; “Mukwasi, muno nga muwunya bulungi, okweseemu omuwala?”
Teddy teyalwa kwe kunkolera akabonero nti nsirike. Era Musenze bwe yawammanta mu kisenge nga Teddy yekukumye mu nsonda, ye n’abivaako ne tudda mu mboozi. Twanyumyanga nze bwe mmusokaasoka ebibuuzo ebikwata ku Teddy. Musenze naye teyalwa n’akyasanguza nti Teddy y’omu ku bawala abaamusala era atalina ky’amugasa. Mbu yali yamusuubiza ebyoya by’enswa bingi, kale nga takyamwesiga. Ebyo byonna yabyogera nga Teddy amwegese amaaso, naye nga ye Musenze musajja wattu tamulaba olw’obuzibe.

Musenze bwe yaddayo, Teddy n’ava mu mbeera. Newankubadde nga nnali mmuwooyezzawooyezza obutawoolera gwanga, ye Teddy olwadda ewuwe, yaweereza Musenze obubaka bw’essimu obwamuggya n’enviiri ku mutwe. Awo Musenze kwe kukigwamu nti nnali mmuliddemu olukwe ne mmuleka okugeya omuwala nga tuli mu kisenge ky’ekimu.

Guno nange gwampitirirako okulaba nga mikwano gyange gyombi gikoonaganye. Naye nnagenda ne neezooba ne Teddy ne tutuula mu bigambo okutuusa lwe yasonyiwa Musenze era ne tusalawo eggoye. Awo nange nneetoowaza mu maaso ga Musenze era n’anziriramu. Naye ku luno, Kiyimba yali takyayinza kuyimirira mu maaso ga Teddy newankubadde ku Musenze olw’ekyo kye yali amutuusizzaako.

Kiyimba bwe yalaba nga bimusobedde eka ne mu kibira kwe kusalawo okugumaza embiro nga n’essente za Musenze ez’obupangisa tazisasudde kuzimalayo. Oluvannyuma twakivumbula nti yali afunyeeyo omuwala Munnakenya munne era ng’asulira ddala ew’omuwala. Naye mbu lumu omuwala ono yakyaza omulenzi mu nju yaabwe, kyokka n’atamwanjulira Kiyimba. Kiyimba naye teyali mubi n’abegattako, emboozi n’egwa amakerenda. Omulenzi bwe yasiibula, omuwala ne Kiyimba nabo ne bamuwerekerako ku siteegi y’emmotoka. Naye omuwala nga yenna teyeemotya, yalaga Kiyimba nti Kampala si bizimbe. Anti yamulekawo ku siteegi y’emmotoka, ye ne yeggyawo n’omulenzi we. Omuwala yaleka Kiyimba ng’atunula bijiijidde ng’embuzi ekaabira amalagala.

Musenze bwe yalaba nga Kiyimba afuuse musu gw’e Kanyanya, n’afunayo omuvubuka omulugwala ayitibwa Atibbuuni naye ffe gwe twali twakazaako erya Oluka, n’apangisa ekimu ku bitanda bye. Oluka ono yali takomba bugonja ne bagunywa. Era kumpi buli kiro yasulanga mu birabo by’omwenge e Wandegeya n’e Nakulabye. Eyo gye yavanga n’asimulula otulo okutuusiza ddala essaawa musanvu ez’emisana. Olwamalanga okukimira Musenze eky’emisana, ng’ayiwamu empale ye enzirugavu, essaati enzirugavu, ekkooti enzirugavu, ettaayi enzirugavu, sitokisi enzirugavu, engato enzirugavu, galubindi enzirugavu, n’akwatirako ffayiro enzirugavu, awamu n’ekkalaamu enzirugavu, ng’ate naye mwennyini muddugavu akirako n’enziiziiri. Olwo nnende n’alyoka akwata erimuzza mu kibiina okusoma. Kale bwe yayitanga mu Lumumba, ng’oyinza n’okumutomera, okuggyako ng’amaze kuseka n’olaba amannyo ge ameeru.

Lumu mbu Oluka yeesala ebyambalo bye ebiddugavu ng’agenda okuyitirayitiramu bayizi banne ebyali bivudde mu kunoonyereza kwe. Naye mbu yali akyayogera, omusomesa n’amusala ekirimi nga bw’abuuza abayizi ensonga lwaki baali basiriikiridde nnyo. Awo akawala akamu kwe kuleekaanira waggulu nti; “Oyo atuyimiridde mu maaso yandiba Black Mamba!” Yali ategeeza mbu Oluka alabika yali y’omu ku bamuntunsolo abaali begunjulidde ogw’okusakata bannakibuga embooko ne bazimatira. Olwo ekibiina kyonna ne kitumbuka okuseka amagyemulukufu.

Lumu Musenze y’andekera ekisumuluzo ky’ekisenge kye. Ye mbu yali azzeemu okulokoka envuunula bibya , ng’era waliwo omuwala eyali amutwala ekiro ekyo basule mu kkanisa nga banoonya amaaso ga Mukama. Nnali nsazeewo okusula ewange. Naye akawungeezi bwe nnagenda okuggulawo oluggi lw’ekisenge kyaffe, Katuuramu yaleekaanira waggulu nti; “Lindako!” Naye olw’emputtu n’okusaagirira, nnagenda mu maaso oluggi ne nduggula. Nnasanga Katuuramu ng’ayambala mpale, ng’ate ne mu buliri bwe mwebaseemu omuwala  eyali yeebisse ku mutwe! Amangu ago oluggi nnaluzzaawo nga ntya okufuuka kiremya.

Mu biseera ebyo nnali nkwanyeeyo akawala akava mu Ankole, nga  kannakampiginya, akanyiikuuli, era akaali kenkana akasubi obutono. Kano baali bakayita ka Asa. Kale bwe nnalaba nga Musenze andekedde ekisenge kye, ne mpita ka Asa nako akaali kanyirira ng’ejjenje essaabi, katere kajje. Bwe kajja, twasulira ddala mu buliri bwa Musenze, anti nga tewali atukuba ku mukono.

Naye eyo mu kinywambogo, Oluka yakomawo ng’omwenge gw’anywedde gukwata engo mu mannyo. Olw’okuba oluggi twali tulisibidde munda, musajja wattu yagezaako okuggulawo naye nga buteerere. Nze olwakimanya nti Oluka ayinza okuggulawo, akawala akasirikitu nnakakasuka ne nkakweka wansi mu kitanda. Kaggyaayo bulungi mu kitanda, ng’oyinza n’okulowooza nti muggo gwe nkukumyeyo.

Ssaalwa ne neekwatakwata ntere nzigulirewo Oluka. Naye mba nankakwata ku luggi, Oluka n’atandika okulusamba n’okulukuba emitayimbwa. Bakira ng’ayombera waggulu nti; “Musenze….! Ogaanye okunzigulirawo but if you dare open n’onzigulirawo, kennyingira munda ojja kukigwako!”

Oluka yakuba oluggi ne ntuuka n’okulowooza nti alumenye. Bwe nnalaba ng’oluggi lwandigwa munda, akawala ne nkakukunulayo mu kitanda, tutere twetegekere okufubutuka tufulume singa essajja li Oluka liyingira. Naye mba ka Asa nkyakabulizza mu nkwawa zange, Oluka n’alekera awo okukuba oluggi. Twamuwulira ng’agenda ayomba n’okwedibonkola ng’ow’amalibu agaba ekibumba nti; “Musenze, olinga angobye mu kisenge kyo olwaleero. Enkya buli kintu kyange kyonna ekiri mu kisenge kyo nkitwala!”

Eddoboozi bwe lyabulirayo, ffe ne tukwata ku luggi tutere tutonte. Naye kyatubuukako okulaba ng’oluggi terweggula. Twafunvubira ne tulwanagana n’oluggi, naye nga lwo lugaanye okweggula. Awo nze kwe kukwata kaziribongo kange ku mukono, ne tuddayo ku buliri okutandikira we twali tukomye.

Ku makya, enkoko twagikwata mumwa ne tulwanagana buto n’oluggi okutuusa bwe lweggula. Twafuluma nga tutunula erudda n’erudda nga tutya Oluka okutugwamu. Bwe twatuuka ebweru, oluggi nnaluggalawo buto, ka nzinkuunya kange ne nkalinnyira mu bigere okukazzaayo gye kaali kasula.

Bwe nadda ewange, nnasanga Katuuramu naye entuuyo akedde kuzisaza bibatu. Omuwala omulala gwe yayagalako gye baasomeranga mu ssiniya, yali agaanye okumuviira mu kisenge addeyo. Mbu mu kiro ekiwedde baali baasuze bejjukanya ebiwonvu n’ebikko gye baasomeranga. Awo nange kwe kumukudaalira nti; “Katuuramu bulijjo wano onsekerera mbu ndi mwenzi muzibu nnyo, naye kati Annet, Helen, n’oyo omuwala eyasuze muno bonna bannyoko?
Ko Katuuramu nti; “Wakiri nze Katu waabwe nnina abawala basatu bokka. Naye ggwe Mukwasi oli kumpi n’okuweza eddaziini y’abawala. Nkubuulire gye wasuze?”
Bwe nnalaba ng’ebigambo bigenda kusansuka, eby’okwegyerega ne mbiggyamu enta.

Awo ne Musenze we yatuukira ng’asaawa embaliga n’ambuuza nti; “Mukwasi, sinnamanya kituuse ku Oluka! Anti ndaba ali mu kufulumya ebintu bye mu kasirise, ate n’oluggi lw’ekisenge kyange lumenyeddwa.”
Nze kwe kubuulira Musenze nti; “Oluka yakomyewo eyo mu matumbi budde; n’asamba oluggi nga bw’alukuba embuukuuli n’emitayimbwa kata alubandulewo. Nange olwawulidde ebyo n’entya nti omusajja ayinza okummaza emmere singa mmuggulirawo.”
Ko Katuuramu nti; “Si ekyo kyokka ssebo, Mukwasi alina n’ekirala ekisinga obukulu ky’aleseeyo.”
Awo nze kwe kunyigira Katuuramu ku liiso nga bwe nseka ekimwngeru, n’abunira.

Oluvannyuma Oluka yasenguka n’aviira Musenze ng’anyiize olw’okumusibira ebweru ng’ate yasasula essente ez’obupangisa. Mbu naye ekyasinga okumunyiiza ye Musenze okumulimba nga bw’amukakasa nga ye bwe yali asuze mu kkanisa ng’asaba.

Waliwo olunaku Katusiimire lwe yansanga ne ka Asa nga ndi kukawerekerako mu tterekero ly’ebitabo okusoma. Teyalwa ne yeekwata mu mbinabina n’amogola amaaso nga bw’aziimuula ka Asa n’okutoomerera nti; “Asa simanyi oba nga ddala okimanyi nti oyo Mukwasi mulenzi wange? Bw’oba ng’obadde tonnakimanya, olwaleero lw’oba okiyiga era onneegendereze!”
Ko ka Asa nti; “Munnange nsonyiwa. Mbadde sikimanyi. Naye nga bwe nkitegedde, tewakyali mutawaana gwonna wakati wange naawe. Nkwatirako ne ku nsawo yange, nnaagisanga ewuwo nga mmalirizza okusoma.”

Ebyo baabyogera naye nga nze sirina kye mbanyega. Naye oTeddy gwange gwanyiigira nnyo Katusiimire olw’okunninnyanga akagere buli olukedde ng’ate yali akimanyi twali tetukyeyagala. Naye nnaguma ne mperekera ka Asa ne tugenda okusoma ebitabo byaffe. Awo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro nga tumaze okusoma, nnawerekerako ka Asa ewa Katusiimire okukimayo ensawo yaako. Bwe twatuuka, nze ne nzita ku bigere ko ne kagenda okukonkona era ne bakaggulirawo. Amangu ago kampita nti; “Mukwasi sooka ojje.”
Ko nze nti; “Nedda ssaagala!”
Ko Asa nti; “Ggwe jjangu olabe!”

Bwe nnagenda okutunula mu kisenge kya Katusiimire, amaaso nnagatuusiza ku ye mwene ng’ayambala akaleega, ng’ate mu buliri bwe mwebaseemu essajja. Awo ye kwe kwetereeza ne yeeyogeza nga yenna akaze amaaso nti; “Mukwasi sweetheart, nga nsanyuse okukulaba!”
Kaabula kata mmufujje amalusu mu maaso. Naye ekirungi ka Asa kaali kaatoddeyo dda ensawo yaako. Era ko ke kaamusiibula, ne tweggyawo ffembi. Nnagenda nkasokaasoka obugambo nti; “Kati ndowooza okikakassirizza ddala nti ggwe gwenjagala wekka, so si Katusiimire.”
Kaasirika busirisi ne tweyongerayo okutuusa gye twayawukanira ne twesiibula nga tetumala.

Musenze naye olwalaba ng’asula bw’omu, n’ateesa ne mukwano gwe omuzibe ayitibwa Mwambu eyasulanga mu kisulo ekiyitibwa Livingstone, ne bawaanyisiganya abawala. Anti Mwambu yali yankawa Musenze omuwala ayitibwa Babirye bangi gwe baali bagamba mbu amaaso gaamuli mu ngalo. Ate ye Musenze yawaayo Katalina, eyali akyamulemye okumatiza.

Waayita mbale Musenze n’atandika okuyiira Babirye omudidi gw’ensimbi wamma ggwe ne balya obulamu okutuusa n’okulumya Mwambu. Awo nze kwe kusitukira mu Musenze ne mmugugumbula olw’ekikolwa kye ne Mwambu. Nnamugamba nti; “Kuba kutyoboola ddembe ly’abakyala bw’obawaanyisiganya ng’eby’amaguzi. Ekikolwa kyammwe Baibuli ekivumirira nnyo!”
Awo Musenze kwe kumbuuza nti; “Ky’oyagala okutegeeza nti Baibuli ewagira abalenga abawala ku mirengo nga ggwe Mukwasi bw’okola? Ate gakyali mabaga, ŋŋenda n’okufunayo akawala akalala akato!”

Lumu Musenze yabissaamu engatto n’agenda ku emu ku leediyo z’omu Kampala ng’ayagala okugezesa Babirye. Eyo yalekayo erinnya ly’omuwala n’ebibakwatako bombi. Ekiro Musenze yansaba mmuwerekereko mu kisulo ky’abawala Africa Babirye gye yali asula. Tuba tukyali mu kkubo, omukozi w’oku leediyo y’omu Kampala n’awulugumiza Musenze olukomo lw’essimu era n’amutegeeza nti yali butereevu ku mpewo za leediyo. Yamusaba nti ayogererewo butereevu ne Babirye, ensi emuwulira. Awo Musenze ne Babirye tebaalwa ne beereegera ku mpewo za leediyo nga Musenze alanga Babirye okutya okwatula erinnya lye ku mpewo, ne mu lwatu nti ye mulenzi we. Awo Babirye kwe kugamba nti yali atudde ne bazadde be e Kabalole, kale nga tayinza kumala googera na muntu yenna ku ssimu oba ku leediyo. Awo Musenze kwe kwekalakaasa nti; “Ekitegeeza tonjagala?”

Abaagalana bombi beeregera ku ssimu ne ku mpewo za leediyo wamma ggwe ne Bukeerere n’amwenya. Naye bwe tweyongerayo mu kisulo kya Africa, Babirye twamusanga ali ku buliri bwe yeegolodde n’amagulu awanise. Musenze yamunyiigira nnyo olw’okumulimbira ku leediyo. Era enkeera bwe twagenda mu kibiina okusoma, nga buli muyizi asonga mu Musenze olunwe nga bekuba obwama nti; “Wuuyo eyayombedde omukwano ku mpewo za leediyo ng’ensi yonna ewulira!”

Waayita mbale Musenze n’addayoko e Busoga, era n’akomawo ng’afunyeeyo omuwala omulala ayitibwa Tracy. Waayita wiiki emu yokka, omuwala ono n’ayingirawo mu Lumumba ewa Musenze. Kale olw’okuba Musenze yali asula bw’omu, Tracy bwe yatuuka yasimbira ddala amakanda mu Lumumba n’atandika n’okutokosa eddigobe. Bino olwagwa Babirye mu matu, yayambalira ku mugongo nga nswa atere agasimbagane ne Tracy.

Tracy taba kuba nga yali agenze kusiba nviiri e Wandegeya, yandigudde ku ngo eriko omwana. Anti Babirye baamusanga yesimbye butengerera ku luggi lwa Musenze n’akabazzi mu ngalo. Era Musenze mwene y’eyamusiba kantuntunu n’amuwooyawooya okukakkana. Tracy yagenda okuvaayo mu ssaaluuni, yasanga Babirye azzeeyo ewuwe, naye nga yesomye okumulyamu amaaso singa tamuviira ku mulenzi. Tracy bino olwamugwa mu matu, naye n’azikubamu ne zaaka. Anti yawulugumya olukomo lw’essimu eri Babirye, ne baliira amatereke ku ssimu n’emimiro ne gibasaakaala. Bakira nga Tracy awalalira Babirye nti kaalimusanga ng’aleese obutumbugulu mu kisenge kya bbaawe, yali wa kumutaagula mu maaso amuyiire n’olwenje lwa asidi alyoke alabe ekimweyinuza. Ne Babirye yazzanga omuliro ng’alabula Tracy nti singa tava ku ssimu ya bbaawe, yali wakumusindikira ekiteega ky’e Rwanda kimutungulemu amaaso agaali gamwewaza.

Ye Musenze ku olwo yaddukira wange n’alunviira ku ntono nti abawala baali baagala okumusuula ku kibambulira. Naye nange y’ansanga ndi mu kasattiro. Anti nnali mpandiise obubaka  mu ssimu nga buwaana Nambi obulungi, ate ebyembi ne mbusindika ku ssimu ya Teddy nga sigenderedde! Amangu ago Teddy yawulugumya olukomo lw’essimu ng’ayagala okwekalakaasa, naye nze nnagaanirawo okugikwata. Okuva ku olwo ne ndabira ddala ng’ebintu by’abawala byali bindiiridde empinga era bwentyo ne neekuba mu kifuba, ne nsalawo okubiwummuza.

Ebyo byonna byalinga bigenda mu maaso, obugugumuko bw’abayizi e Makerere nabwo ne bukuula ejjembe.Kumpi nga buli mwezi wabeerawo okwekalakaasa kw’abayizi olw’ensonga ezitali zimu. Abamu beekalakaasanga lwa nsonga za bya bufuzi, abalala lwa bisale bya ttendekero, n’abandi lwa kunyigirizibwa olw’ensonga ezitali zimu.                     

Naye akagugumuko kafungulankete, k’eko abayizi mwe beekalakaasiza olw’abakulu b’ettendekero okusalawo okwongeza ebisale by’ebibuuzo ebiba biddiddwamu abayizi. Mu kiro ekikeesa olunaku lw’akagugumuko, Lumumba yonna yasula ku bunkenke. Anti omuvubuka empalakitale ayitibwa Mudaki eyali enjogeziyogezi ya Lumumba, yeegattibwako ssentebe ayitibwa Nsubuga, Olaa, ne bamuntunsolo abalala, ne bakummakuma Bannalumumba bonna okwekumamu ogutaaka.

Ekiro ekyo baasooka kuyingirisa agayinja ne baziba enguudo zonna eziriraanye Lumumba. Era buli mmotoka eyagezangako okweyisaawo, nga nnyiniyo bw’atasesema ssente enkalu, endabirwamu z’emmotoka ye tezirutonda. Agavubuka agaali gataamye obugo gaakuma ekyoto ky’omuliro wakati mu luguudo ne gafumbirako amaseppiki g’obuugi, buli Munnalumumba ayagala okunywa n’anywako. Oluvannyuma gaatandika okwokya ebipiira, okutulisa ebiriroliro n’okuyimba ennyimba ezisuuta Gongom ne Lumumba. Ekyaddirira kwali kukola bukuukuulu n’okwogerera waggulu nga ffenna gatukumamu omuliro mbu enkeera twambalire embuukuuli n’amayinja obwanga tubwolekeze abakulu b’ettendekero. Awo obuluulu ne buvuga, ffenna ne tutanula okukuba ebidomola n’okunyanyaagiza emirere egy’okwekalakaasa.

Eyo mu kinywambogo, Mudaki yakulembera ogubinja gw’agavubuka galumiramwoyo ne batandika okukuba n’okusamba buli luggi lw’ebisenge mu Lumumba. Ffe twawulira omusinde gw’ensambaggere nga gujja ku ssipiidi eya yiriyiri, naffe ne tugugumuka nga bwe tuleekaanira waggulu nti;
“Weewee…!
Ee Lumumba oyee…!
Ee Lumbox oyee…!
Ee Makerere oyee…!
Ee Retake fee zii…!”

Ffenna tweyiwamu amataawo ag’akasaayi era ne twebagala embuukuuli n’amayinja okugenda okwaŋŋanga abalabe baffe.

Twasooka kuzinda oluguudo oluyitibwa Sir Apollo Kaggwa, emmotoka ne tuziragira okuddayo gye zivudde. Abavuzi abaawalaza empaka, twabakakkanako ekiyiifuyiifu ne tubalirika emigobante, egyasigalawo ne gikwasaamu bitooke. Bannawalubwa emmotoka zaabwe twazaasayasa endabirwamu n’emipiira ne tugifumitafumita. Ate tweziranga kulaba emmotoka ya gavumenti yonna. Olwagiyimirizanga, nga tugiyiira olwenje lw’amafuta ne tugiteekera ne nabbambula w’omuliro n’eteta. Abazivuga abasinga obungi emmotoka zaabwe baazibuukangamu ne bagula ennyonyi, wamma ggwe ne byolera.

Bwe twalaba ng’emmotoka mu luguudo zeevedde, ne tuyingirira amaduuka g’abasuubuzi e Nakulabye. Gano kumpi gonna twaganyagulula okugaleka esseke. Agavubuka gamuntunsolo gaalina ebyuma ebimenya kkofulu nnegeesogga amaduuka nga tewali agakuba ku mukono. Olwo ffenna ne tulyoka tuyoola buli kya kulya, kunywa, masimu, ngoye, mmalidaadi n’ebintu ebikalu, wamma ggwe ne twekola ekigenyi. Go amacupa ga ssooda ne bbiya, ge twakozesanga okuwereekereza abantu abaalinga bagezaako okutwaŋŋanga. Emidaala gy’ebiriibwa n’ebirabo by’emmere byonna twabizingako ne tuleka bannyini byo nga bafumbya miyagi.

Waliwo omuzimbi eyali ku kkalina waggulu. Olwalaba nga naye tumuwereekereza envuumuulo z’amacupa, naye tawena n’akasuka olubaawo wansi ne lutimpula omu ku bayizi ku ssekalootera. Twagenda okumuggyawo, nga mukalu wa jjo. Waliwo n’omuyizi eyafubutula omukazi okuva mu kinaabiro ky’ebweru ng’anaaba. Omukazi naye yakuunyuuka buswa nga ffenna tumulaba neyeesogga mu muzigo gwe. Omuyizi yenna ng’aggyeemu n’essaati, yawondera omukyala ono yogaayoga ku mulyango gw’omuzigo gwe. Omukazi naye olwalaba ng’omuyizi amulemeddeko, yafulumayo mu muzigo n’olwenje lw’omusulo mu bbaafu, n’agumuyiira mu maaso yenna n’atotobana.

Twali tukyali ku mugano gw’enswa, ne tuwulira nti ppoliisi yali eyungudde abampi n’abawanvu okwebungulula Yunivasite yonna. Bakira nga bagugumula ebibinja by’abekalakaasi nga babakubamu omukka ogubalagala. Waliwo n’ebyasi ebyakubwa mu bannampulirazziri, okukakkana nga waliwo muyizi munnaffe alusuddemu akaba. Bangi baalumizibwa era ne batwalibwa bunnambiro mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka. Abalala bo baagombebwamu obwala ne batikkibwa ku bimotoka by’abaserikale ba kamyufu, era ne batwalibwa mu kkolokooni e Wandegeya, nga tebeesiikidde na ku kanyeebwa. Naye ku bano abaakwatibwa, abasinga baali bayizi bawala be bannyululanga mu bisulo byabwe ne mu binaabiro, abamu nga beesibye ttawulo zokka.

Kale naffe olwawulira nti ppoliisi yali ezze ku bannaffe ebakekemya bukoko, twagikuba ekimmooni ne tuzinda Wandegeya. Oluguudo oludda mu kibuga twalussaamu emisanvu, olwo ekibuga ne tukisalako. Twatandikirawo okukooloobya ennyimba nti;
Police..
Our murderers
We shall never forget you!”

Oluvannyuma twazinda amabajjiro g’e Makerere-Kavule bannyinigo bonna ne tubabunya emiwabo. Twebagala essanduuko z’abafu ezisingayo ebbeeyi ne tuziddusa okuzitwala mu Lumumba. Twali tugamba kimu nti mu zzo mwe twali tunaaziika bannaffe ppoliisi be yali erumizza ekivu. Ppoliisi nayo olwawulira nti ababazzi twali tubaguddemu nga kamunye mu nkoko, n’ejja n’ekimotoka ky’omukka ogubalagala. Bakamyufu abaali bambadde obukookolo nga babagalide n’agamundu, baabuuka ku kimotoka nga beswanta. Naffe olwalaba agasajja, ne tussaako kakokola tondeka nnyuma ne tumyansa ne ssanduuko zaffe. Bakamyufu tebawena ne batuwondera nga batwolekeza ebisasi by’omukka ogubalagala.

Twadduka za mbwa ne tuyita mu kisulo ekiyitibwa Nkrumah, wuuyo ku kizimbe ekikulu, ne tusalinkiriza okukakkana nga twesozze Lumumba. Ppoliisi nayo yatulemerako okutuukira ddala ku ggeeti eyingira mu kisulo kya Lumumba. Naffe bwe twayingiza essanduuko, twazikwekera ddala mu binaabiro ebisembayo munda. Naye tuba twankazikukuma, ne tulaba bannaffe abalala nga baduma muwawa. Mbu bakamyufu baali beesozze mu Lumumba. Ffenna twekukuma mu bisenge byaffe n’enzigi ne tuzikomeka. Abappoliisi nabo tebawena ne bagenda nga bafuuyira omukka ogubalagala mu myagaanya gy’emiryango gyaffe. Ffe abaali beesibiddeyo munda kata tufe ekiziyiro. Naye twalinanga ebidomola by’amazzi, era ago ge twannyikangamu obutambaala bwaffe ne tukunya amaaso galeme okuyisibwa obubi.

Waliwo omuserikale wa ppoliisi eyagezaako okuwalampa kkalina mbu alyoke ayingire mu kisulo ky’abayizi ng’ayita mu ddinisa. Naye yali yankateeka amagalo ge ku ddinisa, omwana n’agakuba ennyondo. Omupoliisi yawanuka n’akuba ssekalootera ku luggya lwa ssementi yenna n’abyabyatala. Era banne baagenda okumuyoolawo ng’obugere bukuba sikyakyala.

Omuserikale ono yanzijukiza omubbi w’engoye abayizi ba Lumumba gwe baakasuka okuva ku kkalina esembayo waggulu n’afiirawo mbulaga. Mbu ono waliwo abayizi abaamusanga mu kisenge kyabwe ng’ali mu kweroboza mu ngoye zaabwe. Bo baagamba mbu omubbi olwalaba nga bamukutte lubona, n’agamba nti; “Ee! Muzze? Kale mbalabyeko nnyo era mweraba!” Olwamala ne yeekasuka okuyita mu ddinisa, n’akuba omutwe ku ddimwa, n’asirikka. Naye bo abaali wansi baagamba nti omusajja abayizi baamusindika lwa mpaka okuyita mu ddinisa.

Ate olulala waliwo omubbi abayizi gwe baayambulamu engoye ne balyoka bamutwala entyagi ng’akunyuuka buswa okukkirira amadaala ga kkalina. Ebyembi yatuukira mu kibangirizi kya Bannalumumba mwe baali balabira omupiira gw’e Bungereza ku ttivi. Bano olwakuba amaaso gaabwe ku mutujju, eby’omupiira ne babivaako. Amangu ago baagugumuka, buli eyalina ky’akutte n’akikasuka ku kyalakimpadde. Baamukuba obutebe, engatto, emisipi, amayinja n’obutayimbwa, era okukakkana ng’omumpembe bamumizizza omukka omusu.

Abayizi olwalaba ng’obugugumuko bw’ababbi bubanyumira nnyo, ne batandika okugugumulanga abawala abaakyalanga mu Lumumba. Era omuwala yenna bwe kaamutandanga n’ajja mu Lumumba mu biseera eby’eggandaalo, ng’akigwako. Anti abavubuka beekungannyanga ne batandika okumukubira mu ngalo nga bwe bayimba nti;

“Omwana agireese…
Agireese!
Nnyabo!
Agireese ennyama!”

Olwo mukazi wattu bwe yabanga ayambuka amadaala, nga n’agatambula gamubula. Baamukubiranga olube okutuusa lw’atuuka ku luggi lw’omulenzi gw’ajjiridde. Bw’atamusaŋŋangayo, nga nate gujabagira. Anti ng’olwo bamuwondera bonna nga bwe bamuwereekereza agagambo ag’enkana Kkungu ne Migadde obunene.

Lumu waliwo omuwala eyagezaako okuduma bwe yalaba ng’abalenzi bamuyeeya n’okumukuba olube. Abavubuka olwalaba ng’omuwala asazeewo okugumaza embiro, ne bayoogaanira waggulu, wamma enduulu n’esaanikira Lumumba yonna. Olwo naffe abaali batabitegedde ne tuvaayo mu bisenge byaffe okulaba bwe gubadde. Twalengera mwana muwala eyali ayambadde akakete ng’akkirira amadaala ku misinde egy’ekizungirizi. Omu ku balenzi teyalwa n’amubaka ssikaati ye n’ekutuka, olwo omuwala n’akunyuuka buswa. Ebyaddirira nange ssaabimanya.

Mu kagugumuko k’abayizi akaali kakudde ejjembe, waliwo ekibinja ky’abayizi ekirala ekyazinda ekibuga Kampala wakati. Kino ky’agenda butereevu okusisinkana omwogezi w’olukiiko lw’eggwanga olukulu. Naye baali bankatuuka ku kitebe, ne bagasimbagana buto ne bamuntunsolo ba ppoliisi nga bambalidde ttanka z’omukka ogubalagala. Ekyavaamu abayizi ne beeyala wakati mu luguudo, era ne balemesa ebidduka okuluyitamu. Ate bo bannamawulire abaali batalutumidde mwana, abasinga kkamera n’ebyuma byabwe ebirala ebisaka amawulire baabifiirwa. Anti abayizi abaali bataamye baabibanyakulangako, n’ebindi ne babisaanyaawo.

Ng’abayizi bagumbye mu maaso g’ekizimbe kya palamenti y’eggwanga, omwogezi w’olukiiko lw’eggwanga yavaayo okujja okubawooyawooya. Yabagamba nti ensonga zaabwe ezibaluma yali agenda okuzanja  mu maaso g’ababaka bazikubaganyeeko ebirowoozo. Nti naye ekisinga obukulu, yali agenda okulagira abakulu ba Makerere bayimirize ekiteeso eky’okwongeza ebisale. Abayizi olwawulira ng’omukulu ayogedde bulungi, ne bagumbulukuka nga bwe bayimba nti; “Kati twagala Museveni yennyini y’aba ayogera gye tuli!”

Abayizi tebaalwa ne basaasaanira ekibuga kyonna nga bakuba abantu emiggo n’okunyaga amaduuka g’abasuubuzi Abayindi. Ekibuga kyonna kyagwamu ensasagge, n’oluguudo oludda e Nakasero ew’omukulembeze w’eggwanga bannamagye ne baluggalawo bukubirire. Abayizi baanyagulula amaduuka g’abantu nga bwe badduka okudda e Makerere mu gubinja ogw’efujjo.

Naye baba bankesogga akasozi Makerere, ebimotoka by’amagye ne biyingirawo  nga kujjudde bakanywamusaayi abaali babagalidde embuukuuli. Bano olwagwa mu bayizi, wamma ggwe ne bababunya emiwabo. Baakwata bangi ku bayizi ne babasakata emiggo mizibu wamma n’egyasigalawo ne gikwasaamu bitooke. Bamuntunsolo be baanunula n’omukulu wa ppoliisi abayizi gwe baali bawambye nga bagenda bamwetoolooza ettendekero.

Naye olutalo lweyongera okunyiinyiitira okutuusa omukulembeze w’eggwanga mwennyini bwe yajja n’ennyonyi okukakkanya embeera. Anti abayizi baali bagobye ne katikkiro w’eggwanga, gavumenti gwe yali ebasindikidde, nga bo bagamba nti baagala omukulembeze w’eggwanga mwennyini ayogere gye bali. Kale n’omukulu teyali mubi n’avaamu mu nnyonyi ye n’atandiika okubudaabuda abayizi ng’agamba nti; “Mmwe abasomesa b’e Makerere lwaki mubonyaabonya batabani bange ne bawala bange? Essente gavumenti z’ebasasula zibamala. N’olwekyo ssaagala kuddayo kuwulira nti abaana bange mubasaba essente endala.”
Abayizi olwawulira ebyo ne bakuba enduulu nga bwe baleekaanira waggulu nti; “Muzeeyi obeewo! N’ekisanja bakikwongere! Naye akalulu kaffe tujja kukawa Besigye waffe gwe wasibira e Luzira!”

Omukulembeze w’eggwanga olwamala okuzza embeera mu nteeko, abasomesa b’e Makerere nabo ne beekumamu ogutaaka. Anti bonna bassa ebikozesebwa wansi ne bagaana okuddayo okukwata ku nnoni. Mbu nnabe yali avudde ku gavumenti eyali ebasuubizza okubongeza ensako yaabwe, ate n’ebakudaalira mbu omusaala gwe baali bafuna gubamala. Bwe batyo baagaana okuddayo okulinnya ekigere kyabwe mu kibiina. Olwo naffe abayizi ne tusigala nga tutaayaaya nnagalaale. Gavumenti olwalaba ng’eby’ettendekero ly’eggwanga ekkulu bifuuse nnamulanda ng’amabeere g’embwa, tewena n’eriggalawo!                                                                                                                                        
 Bya Mugoya Michael-    0757540410                                                                                                



No comments:

Post a Comment