…Waliwo ebiseera emisambwa mwe gy’atambuliranga ku kyalo Salye…
KATI
ndowooza otandise okuggwaamu akakunkuna nti ssiri muzimu newankubadde ekitambo.
Naye kankunyumize ne ku bikwata ku kyalo gye nnakulira, osanga endowooza
y’emizimu n’emisambwa en’ekwabulira. Ekyalo
Salye kyali kisangibwa mu ssaza ly’e Buikwe mu Kyaggwe okumpi n’e Bukunja.
Kyali kye bunguluddwa ebyalo ebirala nga; Nsanvu ne Kagunga mu bukiikaddyo,
Luwombo ne Mmonde mu bugwanjuba, Nnalubabwe mu bukiikakkono, awamu ne Kawuulu
mu buvanjuba. Ekyalo kino kyali ky’etooloddwa emigga eminene ebiri; Buzibye,
ogukyawula ku Luwombo, Kagunga ne Nsanvu, ate Musaamya nga gukyawula ku Nnalubabwe
ne Kawuulu. Emigga gino girina ebyafaayo ebitiisa naddala mbu mu biseera
by’entalo abatujju baatirimbulirangamu abantu ndulundu. Bwe kityo, obudde bwe bwawungeeranga,
nga mu Musaamya ne mu Buzibye tosomoka.
Ekyalo
Salye kyali ky’etooloddwa agabira luvookwaya agaakwata be zzigizzigi, era
ng’omwo mwe mwakulukutiranga emigga Buzibye ne Musaamya. Kigambibwa mbu mu
gabira gano mwawoowoolerangamu emisambwa, ebizeezengere n’emizimu buli olukya.
Era nga mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe kaakutanda n’osaalimbira mu bibira bino,
ng’omanya nti weetyabidde wekka akalimu obuwuka. Anti bw’otaagasimbagana
n’omusota oguliko omutwe gw’omukyala eyagwa enviiri ku mabega, ng’obwanga
obwoleseganya n’engo enjeru eriko omukira ogwekulula ng’omusota. Eyo mu matumbibudde,
emizimu gy’atemanga emiranga nga bwe gikuba n’ebiwoobe nti; “Woowe! Mwannanga
bwemage okunzita!”
Oluusi
wawuliranga amaloboozi g’ebizeezengere n’ebimenke ebyabejjagalanga nga bwe bisindogoma
n’okusinda mu galoboozi agayiriitira. Ebiwuggulu, amafulungu, amakokootezi n’ehhaaha nabyo byasulanga
biwamatuka mu matabi g’emiti ng’ebirina ekibifubutula. Obusolo obuyitibwa
obuyoga oba bunnakalanga nabwo bwasulanga buwoloma okukeesa obudde mu galoboozi
aganene g’otobusuubiriza kuvaamu.
Emmambya
bwe yamalanga okusala, wawuliranga amaloboozi g’ebide by’embwa eziyigga awamu
n’omwasirizi, naye nga gagendera ku musinde gwa mpewo. By’ayitiranga mu kibira
nga bireekaana nnyo, naye waayitanga akaseera mpa wekaaga amaloboozi ne gaggwererera.
Bwe zityo enkoko z’oku Salye zaalwangawo okukookolima okutuusa ng’omuyizzi ono
n’embwa ze bimaze okuyitawo.
Ku Salye
kwalingako n’agasota agaakula ne gawola.Agamu ku go kigambibwa mbu gaali
gaamerako omuddo n’ebisagazi bye gaali geekulula nabyo ku migongo. Agasota
agalala agaayitibwanga ttimba n’embirango, go mbu gaali gaagufuula mugano
okuddanga ku bubuzi n’obuliga bw’abatuuze n’abaana bennyini ne gamira. Bwe kityo,
Bannasalye baatiisanga nnyo abaana baabwe obutataayaayiza ku ttale naddala mu
ppereketya w’akasana, sikulwanga bagwa ku kyokya.
Kigambibwa
mbu ku kyalo kino Salye kwalingako bakanywamusaayi abaatwalanga n’abalamu.
Abasezi abaalinga bakunnumba obute nabo baali njolo. Abalala kigambibwa mbu
baakubanga mu ngalo ne zaaka omuliro, so ng’abandi baatyekuulanga emisinde nga
badda kyennyumannyuma. Abalala mbu baddusanga obusongezo bw’engalo ku ttaka,
ng’ate byo ebigere by’ebiri mu bbanga.
Omuntu bwe yafanga
ku kyalo Salye, abatuuze bonna ng’enkumbi baziwanika okumala enzingu bbiri.
Olwamalanga okumuwerekera emagombe, ng’akawungeezi buli mutuuze afuba okwekuumira
ewuwe. Anti mbu waalingawo abasezi abaazuukizanga emirambo ne gibbulukukayo okuva mu ntaana. Mbu kino baakikoleranga wakati mu
mpewo eyalingamu ne kibuyaga. Omulambo gwavangayo mu ntaana ne gutandika
okutambula nga bwe gusinda
n’okusindogoma. Gwagendanga gusattira nga bwe gunoonya aw’okwewogoma.
Mbu naye bwe kaakutandanga n’ogusisinkana mu kkubo nga gujja, n’osalawo
okwekukuma ofe kimugugunyu, nagwo twegwakolanga nsobi yonna, gw’avanga eri ne gukugwira
ddala ku mugongo. Bw’otyo wagwebagalanga n’otambula mukungujjo okugutuusiza
ddala we bagenda okuguliira.
Eyo era gye
wasahhanga
emitulumbi emirala nga nagyo girindiridde okusanjagibwa bagirye omucomo. Olwo
ggwe omulamu baakwanirizanga wakati mu mizira n’omulambo gwo gwe weebagadde ku
mugongo. Ggwo olwatuukanga mu bbaagiro nga gunogoka gwokka ku mugongo, ne gugwa
mu ttambiro. Ggwe omulamu baakusibanga kantuntunu, ne bakuyingiza mu ddiiro
lyabwe mu nju era ne bakutuuza ku katebe akali ku mukeeka. Kale bwe
wakatuulangako, wasibiranga wansi mu kinnya ekiwanvu omwalinga mutegeddwa
emigandu n’amafumu. Okukakasa nti ofiiridde ddala, agasajja ag’ekiwago
gaaleetanga agayinja aganene ne gagakkata mu kinnya okutuusa lw’olembalemba
olw’ekaganga. Olwo naawe baakuliiranga wamu n’emirambo.Kale nno olw’ensonga eyo,
bangi ku kyalo Salye, enkoko tezaabasookanga kuyingira, singa wabaawo omufu gwe
baaziise.
Omu ku
batuuze omutamiivu waddanga ayitibwa Lwasa, yalunyumya nga bwe yawonera awatono
okuliibwa abasezi b’e Bukunja. Anti mbu yali ne munywanyi we ayitibwa Pasikaali
nga bagenze e Bukunja okuziika omutaka eyali omusamize kayingo. Mbu abantu
ow’enjogerambi b’ayita ebinyinyi, baakuluumulukuka okuva e Bule n’e Bweya,
okujja okuwerekerako omuganga ono nnaggwano eyali awummudde emirimu gy’ensi. Mbu
naye baba baganzikayo omugenzi mu ntaana, omusota ne guwanuka mu matabi g’omuti
ne gugwa ku ssanduuko y’omufu. Abantu abaali bajjudde obugule bonna ne babuna
emiwabo.Abavubuka envuumuulo abaali beebagadde omufu olwalaba ku w’ekalungu,
omulambo ne bagukasukayo mu kinnya, buli omu encukwe n’emutwala n’ekisubi ku
liiso. Abaali ebbali n’ewalako, olwalaba ensasagge nga bannaabwe bagugumuka
n’okudduka ng’obuweewo, nabo ne bagenda kiyumba anaagwa nga babuuka bibanda.
Mbu osanga abandi tebandidduse, naye olwabuuzanga bannaabwe ogubadde, nga
bakabatema nti omulambo gwasimudde nga bagussaayo mu ntaana. Bwe kityo kyateeberezebwa nti omusamize yali azuukidde. Olwo ekitundu
kyonna ne kigwamu akasattiro, ng’ebigambo biyitihhana nti
omulambo gw’omusamize gwali gutaamye bugo.
Ye Lwasa ne
Pasikaali olwawulira nti omufu yali ali mu kufubutula buli gw’asanga, nabo emisinde
ne bongeza. Naye mbu enkuba yabakwatiriza mu kkubo nga tebannatuuka wala, era kwe
kusalawo okujeggama ew’omuzirakisa omu ku kyalo. Baayanirizibwa bulungi era ne baweebwa
obutebe okutuulirako mu ddumbiizi. Naye olw’okuba abakalabakalaba, obutebe
baabuggya ku mikeeka kwe baali babutuuzizza, ne babutuulirako ebbali waagyo.
Nnyinimu
bwe yajja okubakulisa enkuba, baagenda okulaba ng’atunula ng’eyali atiddemu.
Lwasa bwe yamwetegereza ng’amulamusa, mbu yalaba amaaso ge nga gatunulamu nga
aga kkapa. So nga n’abantu ab’awaka okuviira ddala ku muto ayonka, entunula
yaabwe teyali ya bulijjo. Pasikaali naye olwali okwebunguluza amaaso,yagasimba
ku kawanga k’omutwe gw’omuntu akaali kaleebeetera waggulu mu kasolya k’enju. Aba akyali ku gwa mbuzi
kuyita mu malagala, at’endiga n’erinnya enju. Anti yalengera omukyala w’awaka
mu ffumbiro ng’atabuza ekikuggu ky’omukono gw’omufu mu nva. Baba
bakyayasaamiridde, ne bawulira nga mu kisenge ekirala waliyo abantu abaalinga
bali okwalirira endangala mu bbaagiro. Era baatandika okuwulira oluvuuvuumo n’amaloboozi
g’agantu agaali gasindogoma nga bwe gayiriitira. Awo Lwasa ne Pasikaali
olwawulira ebyetere, ne bagamba nti wano wafiira muloge. Beemulula mpola ne badda
okumpi n’omulyango ogufuluma. Bwe baatunula erudda n’erudda nga tewali
kamunyeenya, ne beeyokya mu nkuba, wamma ggwe ne batyekuula mizibu.
Embwa
z’awaka olwalaba abamansuka, ne ziboggola buteddiza okutemya ku bakama baazo.
Awo ekibinja ky’agasajja agaali mu ttambiro ne gafubutukayo okuwondera abaali
babombye. Pasikaali ne Lwasa olwawulira omusinde gw’abantu n’embwa, ne bava mu
kkubo ne beeyokya olusuku lw’amatooke, wamma ne bamyansa. Agasajja nago
gaawonderanga mbwa gye zigatwala, era olusuku ne galwevumba. Gaagezaako
okunyugunya amafumu, naye nga gakwasaamu bitooke. Olwali okumalako olusuku
lw’amatooke, ne beeyokya mu musiri gwa kasooli, wamma nate ne batolontoka.
Kasooli kye baamukola entungo ggobe. Anti kumpi omusiri gwonna baaguleka ku
ddimwa. Baagenda okumalako kasooli nga bali butoola n’embwa, wuuyo bayinjidde
omusiri gwa lumonde. Wano mbu buli luta lumu lwabuukanga ebikata bya lumonde
bitaano birambirira. Era buli we baasimbulanga ekigere, ng’omunwe gwa lumonde
gw’eziikulayo mu kikata.Lwasa yanyumya nti Pasikaali embwa z’amusanga ne zimugajambula.
Mbu era ebigambo bye bye yasembayo okuwulira, yali akuba emiranga nti;
“Lwasa
munnange ntaasa! Bandya…!”
Kale Lwasa
yawunzika agamba nti taba kuba Lugaba eyamuwandako eddusu, singa kati naye
z’embuyaga ezikunta. Era naguno gujwa yakomba ku erima obutaddayo kulinnya
kigere kye mu bitundu by’e Bukunja. Kigambibwa nti Lwasa okuva ku olwo
yafuukira ddala kkiributi. Mbu era lumu omusota gwamuyingirira mu nju. Mukyala
we olwalaba enkata y’omusota ku buliri bwabwe, emisinde yadduka adda wa bba.
N’omwami olwakimanya nti ow’e Kalungu yeevumbye enju ye, yasibamu ebyanguwa
n’amalamu omusulo yogaayoga wa muliraanwa we. Muliraanwa y’eyakuba omusota
n’agutta. Newankubadde ng’omusota gwali gutiddwa, Lwasa yamala enzingu bbiri
nga talinnya kigere kye mu nju. N’omukyala olwalaba ng’omwami amusuuliridde,
n’akwatamu obubwe okudda gye bamuzaala, tali ku musajja omutiitiizi
kireebereebe.
Waliwo
ebiseera ku kyalo Salye, emisambwa mwe gy’atambuliranga ekiro nga giyita amannya
g’abantu. Kigambibwa mbu singa weetantalanga n’omala gayitaba ekiro ng’owulidde
eddoboozi erikuyita, ggwe enkeera baasahhanga
ennyumba munyale. Bwe batyo abatuuze baafubanga nnyo okuyiwa evvu mu masahhanzira ne mu makubo agakyama
mu maka gaabwe. Mbu omusambwa olwavanga gye guvudde ne gulaba omusaalaba
gw’evvu, nga tegukyama mu kkubo eryo. Naye nga zo ehhambo ezikwata ku misambwa egiva e Mombasa , z’eyongeranga
okukyaka. Bakira nga wabaawo abanyumya nga bwe baasanze omukazi omuzungu
ng’anaabira mu luzzi n’abula. N’abandi nga babityebeka nga bwe waliwo omusajja
eyakwanye omukazi ow’enviiri empanvu, naye ekiro n’amufuukira omuteego bwe yawanvuyizza
omukono n’azikiza ettaala nga bagenda okwebaka. Newankubadde ng’ehhambo zino abasinga
baaziziimulanga nti zabwewussa, ekyalo zaakirekanga kiri ku bunkenke.
Abatuuze
abamu baalulojjanga mbu baazukukanga ku makya nga baliko ettaka ly’ennimiro ku
bigere ne bwe baba nga baanaabye eggulo limu nga tebaneebaka. Mbu waaliwo
abasezi abaazuukusanga abantu mu tulo ne babatwala babalimire mu nnimiro zaabwe
ekiro kyonna ng’abali mu kirooto. Bwe baamalanga okutabaaza akasimo, mbu olwo
abasezi ne babazzaayo mu nnyumba zaabwe n’obulimiro. Kale omuntu y’agendanga
okuzuukuka ku makya, nga yenna mukoowu nnyo tamanyi na kyamubaddeko.
Abatuuze
b’e Salye abasinga obungi baali banywi bawaddanga abaasulanga ne mu birabo
by’omwenge. Balujuuju bano baabukeerezanga nkokola okwekatankira bbwakata,
enkangaali, emmandule, akaliga, amalwa, kkwete, mwengebigere n’ebiringa ebyo.
Bwe kityo nno kumpi buli mutuuze wampaawo yalina olusuku lw’embidde. Muno mwe baayunjannga
embidde ne baziwanika ku bibanyi okwengera. Embidde baazipimanga mu
butuumutuumu obukola enkota ennamba eramulwa omuwendo ogw’awamu. Embidde
zaasombebwanga okuva mu lusuku ne ziwanikibwa ku kibanyi eky’ebweru oba mu
kiyungu. Mu bbanga nga lya nnaku musanvu, embidde zaabanga zimaze okubotoka.
Awo abasogozi baatemanga essubi ery’ekika ky’olusenke, emigogo, awamu
n’endagala ennamu ne bazimba essogolero. Baapanganga emigogo ebiri ku buli
ludda lw’essogolero ne gikomererwamu enkondo okuggumira. Wakati w’enjuyi zombi
baayalirirangawo essubi n’endagala
enkulu wansi, ate ku ngulu ne bazzaako endagala ento. Baapanganga emiti
egy’ekigera ky’emyaliriro gy’akatandaalo ku migogo, ne bakola ekitaliriro
ekikamula omubisi okuyiika ku ndagala.Essogolero baalizimbanga mu ngeri nti ku
ludda omubisi gye gukulukutira wabaayo ekinnya omwassibwanga ekibya
ekigulembeka. Ate ku ludda olugulumivu
y’eyabeeranga ekinnya eky’obukiika omwassibwanga eryato omusogolerwa
amenvu.
Amenvu bwe gaalinga
gali kumpi okwengerera ddala, ekibanyi baakiggyangamu omuliro, amenvu galeme okuwunya
omukka oba okuddugalirira. Amazzi gaakimwanga ggulolimu ne bagayiwa mu ppipa
oba mu maato amalala, so nga n’essubi baalitemeranga ddala ggulolimu. Awo
enkeera enkoko baagikwatanga mumwa ne bateekateeka essogolero era ne batandiika
n’okususa amenvu. Abakyala n’abaana abawala emirundi egisinga obungi kyalinga
kivve okusaalimbira okumpi n’essogolero. Anti mbu omusogozi emikisa gy’okummusa
omubisi yalinga agisibira ku balenzi ne basajja banne amenvu, ne gatafa.
Olwamalanga
okususa amenvu, ng’omusogozi afungiza ku mpale ye, n’alinnya mu lyato, wamma
n’atandika okukwazza ogwamuleese. Abasogozi abasinga ebigere baabisiimuulangako
busiimuuzi n’engalo, olwo ekigere kyonna nga kitonnyolokoka n’akirinnyisa mu
lyato ly’amenvu n’atandika okusogola. Abamu envunza zaali ziwoomerwa nnyo
ebigere byabwe, kale nga zaabisengamu. Nabo olw’okuzeebaza okulonda ebigere
byabwe, baaziwanga akasiimo ak’okusogolera awamu omubisi. Bw’atyo omusogozi yeegololanga
omugongo, ne yeefunyirira ku gw’okusogola, wamma ggwe n’alyoka asaza ebibatu
by’entuuyo ne kagwigiri yenna n’amumalira mu lyatyo. Bwe gutyo omubisi
ogwavanga mu kusogola kuno gwalinga muka nnyo, era bwe wagunyweranga ku lumonde,
wavangawo wenna obwegedde ng’olubuto lukuli mu mannyo.
Omubisi
ogusooka okummuka, baagwawulanga, ne guterekebwa okuvaamu omwenge omuka.
Kyatwalanga ennaku ezitakka wansi w’ebbiri okuyiisa omwenge. Omwenge guno
gwavanga mu mubisi ogubikiddwa mu lyato wansi mu kinnya nga libikiddwa endagala,
ebisogolero, essubi, awamu n’omuwemba omuse. Omusogozi yateranga okuwumula
ekituli mu bisogolero, n’asonsekayo oluseke okulega ku mwenge okumanya oba nga
guyidde. Bwe baalabanga nga kiri mulaala, nga bagusenayo mu lyato ne bagusengejjamu
enkanja n’olukudumu era ne baguteeka mu bita. Awo we baaguggyanga ne bagutwala
mu birabo gye bagunyweera, wamma ggwe balujuuju ne beebikka amazzi n’obugere ne
bwegalika.
Omwenge bwe
gwabanga tegutwaliddwa butereevu mu birabo, baagufumbagamu walagi. Walagi
baamufumbiranga okumpi n’omugga eyo mu bibira. Omwenge baagufumbiranga mu ppipa
ku kyoto
ky’omuliro omungi. Eppipa baagiyungangako oluseke oluwanvu lwe baayisanga wansi
w’amazzi g’omugga. Mu luseke mwe mw’ayitiranga enguuli n’etuuka weerembekerwa
ng’ewoze. Muno mwe mwavanga omwenge omuka ennyo oguyitibwa emmandule awamu
n’ogwolujjulungu oguyitibwa lejula.
Abatuuze
b’e Salye batyagiri ab’agaggawala ne bavunda buvunzi, kigambibwa nti obugagga
bwabwe baali baabuyoola okuva mu kuyiisa omwenge. Baalina ensuku z’embidde
ezaagwa akaleka nga kwe batadde n’amasamba g’emmwanyi, wamma ggwe ne bafuna
obufukunya bw’ensimbi empya n’enkadde. Beenyumirizanga nnyo mu biraalo by’ente
n’ebisibo by’embuzi nga kwossa n’enkoko, mwe baafunanga bumaali n’ebintu
ebikalu nga babyeresa lweyo.
Omu ku
babinnyonkondo era kaawo ka dda ku kyalo Salye yali ayitibwa Wagi. Bifeekeera
ono yali musajja Mumasaaba Omugisu okuviira ddala eri mu nsozi z’e Mbale. Naye
nnaggwa dda ono teyali muyiisa wa mwenge. Ye obugagga bwe yali yabuggya mu kunyeenya
nsaasi. Binojjo Wagi yalina essabo luvookwaya, kale nga talagula aweeweeta
mpisi kkundi. Mbu ensonga ze yali asinga okukolako z’ezikwata ku nsonga
z’obugumba, bufumbo bw’alema, abakyala abasiriiza entamu, abatalina ssanyu mu
bufumbo, so nga n’abaami abaatomerwa endiga tobasudde muguluka. Mbu Wagi yali
anyumirwa nnyo okukola ku bakazi abaalinga banoonya oluzaalo n’obufumbo. Baana
bawala ebimyula baatindigganga ehhendo
ez’ewala, okujja okumwebuuzaako ensonga lwaki baali badibidde ku mpya. Wagi
naye teyalinga mubi, engabo y’ensaasi n’agirumya mannyo.Mu bijuujulu bino y’erobozaangamu
bye yalinga asiimye, wamma ne yeekola ekigenyi okukirako n’empisi gye batumye
okuwooza akatale. Wagi yaddanga ku byana biwala abyakuza obubina kw’oyimirira
n’owanula amenvu, n’abiganzika ku busubi bw’essabo lye, olwo n’alyoka
abikakkanako ekiyiifuyiifu n’abigagambula obumuli.
Kigambibwa
mbu Wagi yalina n’essabo ery’okubiri mwe yali yasimira ekitanda eky’omu ttaka.
Kale buli muwala eyamulabikiranga obulungi, yasookanga kumukwata ku kutu
n’amuwalabanya yogaayoga mu ssabo lino. Omwo mwe yayambuliranga baana bawala
n’abaleka buswa, olwo n’alyoka abakakkanako kirindi n’abatunuza mu mbuga y’omumpembe
Setaani. Kale buli muwala eyafulumanga mu ssabo lya Wagi, yavangayo amuwanda
lulusu. Naye waayitanga mbale nga batandika kuyoya ttaka, enseenene, n’e
miyembe emito. Oluusi n’emyezi omwenda tegyaweranga, nga baana bawala
babuusabuusa baana. Olwo buli mukyala mugumba n’akikakasa nti bajajja ba Wagi baali
mmo mu kugaba oluzaalo.
Abasajja
abaali baatomerwa endiga era ng’akaboozi k’ekikulu kabawunyira zziizi, nabo
olwawuubangako olubu lw’ekigere ewa Wagi, baavangayo basambira mabega nga
jjanzi. Naye lumu omwami ayitibwa Mudootere yagwa ku kyokya. Anti yasalawo
okugenda ewa Wagi ng’ayagala yeeyongeze ku maanyi ge agomu kisenge agaali
gatandise okuseebengerera. Ne Wagi teyali mubi ng’amutabulira eddagala
ly’anaakozesanga okulinnyalinnya obusozi n’okutabaala ebikko.
Mudootere
olwadda eka, teyalonzalonza ne yeekamirira
eddagala eryamuyengeddwa. Bwe yalaba nga yenna limubugadde bulungi, n’ayita
Dina mukyala we omuto batere beekole ekigenyi. Dina yali alowooza nti nga bwe yali
enkola yaabwe, ne ku luno omwami alabika yali ayagala kweweweezaamu, bw’atyo naye
ne yeesogga ekisenge. Naye Mudootere nga yenna alinga omuwendule, y’akakkana ku
mukyala we n’amuyunja butooke. Teyalwa n’amuyoolayoola, n’amukunkumula
ng’ebikunta, nga kw’atadde n’okuwoloma ng’embuzi ennume. Dina olwalaba nga gw’abadde ayita kabiite
amutaagula bw’amuvaabira ng’enswa, n’atema emiranga nga bw’asaba abazirakisa
bamutaase ekyetere ky’omusajja. Ab’okumuliraano olwawulira enduulu y’emisana,
ne badduukirira okutaasa embeera. Baagenda okutuuka ku nju ya Mudootere wamma
ggwe ng’ekiri munda kisa kinegula. Baawulira eddoboozi lya Dina nga likaabira
waggulu nti; “Bannange muntaase omusajja wuuno andya ammalawo! Andya! Andya!
Andya..!
Kizito, omu
ku badduukirize kwe kugamba banne nti; “Bannange katusambe oluggi, Mudootere
yandiba ng’atugumbula mukyala we.”
Katabani ka Kizito akato kwe kumwanukula nti;
“Nedda taata! Tali kumutugumbula. Omukazi ali kukaaba nti ali kumulya bulyi!”
Awo Kizito
kwe kulya mu ttama nti;“Ggwe kano !
Ddayo mangu eka! Ssaagala bwana buto bulingiriza bakulu bye bakola!”
Kasajja
kattu nako olw’alaba nga kitaawe waako awanise amatanga, ne kamyansa.
Gyo
emiranga gy’eyongera mu nju ya Mudootere, abantu abaali bayita mu kkubo nabo ne
bakyama okujja okulaba ani awoloma okwagala okubambulako n’akasolya k’enju.
Bakira ng’ekigambo kimu ky’ekifubutuka mu nju nti; “Andya! Andya! Andya! Andya! Andya…!”
Abasinga
baali babiyise bya muniino, okutuusa bwe baawulira ng’omuwala akaabira kumukumu
nti;“Ndya! Ndya! Ndya! Ndya! Ndya! Ndya…!”
Awo abadduukirize
nga bakulembeddwamu Kizito, kwe kutandika okumenya oluggi. Abaalugera nti
omukinjaaje bw’atuuka kawawa ava ku nte baalutuusa. Anti Mudootere olwawulira
ng’oluggi lw’enju ye balubandulawo, n’amaamuka ku Dina, n’ayita mu mulyango
gw’emmanju, era ssempala n’abomba. Kizito yali akyakikiitana n’okumenya oluggi,
Dina n’ayima mu kisenge ng’omumwa gumuli mu nnyindo n’ayomba nga bw’abuuza nti;
“Ani oyo atuyingirira emisana buti nga tuzannya ne bba wange? Temulina wammwe
mmwe bangalo bunani abasiiba muzunga ng’enjuki okutuuka n’okulingiriza
ebitabakwatako?”
Kizito ne
banne olwawulira ebigambo ebyo, ne bakyusa obuwufu nga bonna bakotese emitwe
ng’ediga nga bwe beekokkola abantu abafumbo.
Kigambibwa
mbu Mudootere bwe yayotta, buli mukazi gwe yasanga nga yeeyokya ensiko. Anti
mbu yamala enzingu bbiri ng’alemeddeyo waggulu takyasobola kukka wadde okwambala
empale. N’entambula yali ekyuse ng’efuuse matankane ng’empale y’Omuseveni.
Musajja wattu olw’alaba ng’empale emufuukidde akapale, n’asalawo okuddayo ewa
Wagi amwambululeko amaanyi agaali gagaanye okukakkana. Naye Wagi yakamutema nti
okumwambululako amaanyi amangi gatyo ge yali amugemulidde, kyali kitegeeza nti
Mudootere taliddayo kufuna twanyi twonna. N’amaanyi amatono ge yali nago mu
kusooka, yali agenda kugafuuwa mu hhombe
afuukire ddala kateyamba atasoboala wadde okuwalampa akakulukuku. Mudootere
yatunula ebiriloliro, ne yeegayirira Wagi amuyambe wakiri amusalire ku magezi
amalala, naye Wagi ne yeerema. Awo Mudootere naye kwe kulayira nti wakiri okufa
n’obutanyagwa, yali t’ajja kuwaayo amaanyi ge mu ngeri ey’ekyeyonoonero
bw’etyo. Bwe yalaba nga bimusobedde eka ne mu kibira, ekiro kimu n’asibamu
ebibye n’agenda kipayoppayo okusegulira ekyalo Salye. Naguno gujwa tewali
amanyi Mudootere gye yabulira.
Wagi bwe yakimanya
nti Mudootere yasazeewo okugumaza embiro, yasekera mu kikonde. Era n’omwezi
tegwayitawo nga Wagi yamaze dda okwezza Dina, mwana muwala eyali omubalagavu
amata. Abantu abaalaba eyali muka Mudootere ng’ali wa Wagi amutokoseza
eddigobe, bonna baasigalanga bakutte ku mitwe nga beewuunya empaladdume
y’omusajja.
Abaalugera
nti okalya dda kadda dda wamma baalustuusa. Anti lumu Wagi naye emmere
yamukaawira mu maka ge. Mbu lwali olwo n’abissamu engatto okugendako mu katale
k’omubuulo mu Ajiija. Bw’atyo yeebereka akagaali ke ka maanyi gandi mu kifuba,
ng’akasibyeko n’ekikapu mwe yatambulizanga emmumbwa, yogaayoga mu katale. Olw’okuba
Dina yali muwala muto, ng’ate mubalagavu, mutabani wa Wagi ayitibwa Mukooli
yali yamulya dda omwoyo. Kale yali alinze ekyanya nga kitaawe taliiwo
amugambeko. Bw’atyo Mukooli olw’alaba nga ne bamaama be abakulu bagenze mu
nnimiro okuwenja ak’omu ntamu, n’agamba nti Ddungu yali ayizze. Bw’etyo
enjasabiggu y’omububuka yeemulula mpola ne yeesogga ekisenge kya Dina, maama
omugole. Dina olwamulaba yasooka kutya nga bw’amubuuza nti; “Mukooli ononye ki
mu kisenge kya maama wo nga tategedde?
Kati oba kunsanga nga ssambadde…?”
Mukooli nga
yenna afuuyirira olunwe, kwe kugamba Dina nti; “Dina nkwegayiridde tompita
mutabani wo. Nnyabo wange, simanyi, naye onansonyiwa busonyiyi. Kitange wuuyo
omulaba emyaka gimuwuubidde akatambaala. Ne wenjogerera bino yandiba ng’ali
kumpi okukkirira emikono gye giwanirira ebisambi. Kale essaawa yonna nze nga
mutabani we omu yekka, ngenda okumuddira mu bigere, nsikire obugagga bwe
bwonna. Naye Dina, okyali muwala muto, amata, ekimuli, gwe njiwako n’amazzi ne nganywa.
Naawe okiraba bulabi, kumpi buli musajja ku Salye omussa amabbabbanyi
olw’obulungi bwo. Naye okwewala okuyitibwa nnamwandu nga kitange afudde, oba abantu
okukusekerera olw’okufumbirwa essajja ekadde, lwaki toyagalamu nze muto munno?
Ffembi nga bwe tufaananya omusaayi omuto tusobola bulungi okweyagalira mu
bulamu bw’ensi eno obumpi. Abantu olibagamba nti wali ofumbiddwamu nze, so ssi
sseddubutto Wagi!”
Mukooli
yayogera olutakoma, naye nga Dina amwegese amaaso talina ky’amunyega. Mukooli
olw’alaba ng’amalusu gajula okumuggwa mu kamwa nga n’obulago butandise
okumusaakaala, n’asala amagezi amalala. Yakwata ku kutu kwa Dina okwa kkono n’amusikako
mpola nnyo. Okutemya n’okuzibula nga mwana muwala yagudde dda eri ku buliri,
nga yenna alinga amubuuza nti ky’olabako ky’obuuza? Ne Mukooli olw’alaba ku
byengera by’omutonzi, n’asagambiza nga bw’amira amalusu n’okusangula entuuyo.
N’akataayi tekaasala luggya nga mwana mulenzi ne maama we bali butoola mu
kisaawe ky’omukwano beeriisa nkuuli.
Naye
ng’ebinyuma bwe bitera okuggwa nga bikyayokya, tewali yamanya ky’akomyawo
Wagi amangu ago. Yenna yabuuka ku
kagaali ke ng’omuwendule, n’ayolekera ekisenge kya mukyala mugole. Wamma ggwe
ssebaggalamiryango beerabira emyagaanya. Anti Wagi oluggi yakwatako lukwate ne yeesogga
ekisenge kya Dina nga yenna aliko n’obumansuka.
Kaabula
kata Wagi agwewo ennume y’ekigwo taba kusooka kukwata ku mutwe. Amaaso
yagatuusiza ku Mukooli n’omuwala
ng’omukwano gubakamudde entuuyo bazisaza bibatu. Yasooka kulowooza nti
Mukooli alabika yali afunyeeyo edduuda ly’oku Salye nga lye liri okumugabira
ebyalo n’amagombolola. Naye ekyamuggya ekifu ku maaso, kwe kulaba nga mutabani we
yennyini y’ali mu mabeere ga nnyina omugole agayonka ekifuulannenge.
Abaali
batamidde omukwano olw’alaba ng’embaga yaabwe eyali enyumye n’okukirako eya Majanja
erinyiddwamu eggere, ne beerippulula.
Awo Dina ne Mukooli kwe kutandika okwebwalabwala ng’eno bwe beewunaganya
ng’abatategedde ekiguddewo. Wagi yenna ng’amaaso gajjudde omuliro y’abwatuka
nga laddu nti; “Mwembi munve mu maaso nga sinabasanjaga!”
Mukooli
y’eyasooka okwemulula n’afuluma. Ye Dina yasigala mu buliri nga bwe yeebwalabwala
ng’akabwa akaliba akabbi. Wagi ng’ataamye n’okukirako enjuki, yasowola emabega
w’oluggi embukuuli y’omugobante, n’akakkana ku Dina okumulirika egya Mbaguta.
Mukooli olwawulira nga taata atimpula mukyala we okwagala okumutta obussi,
n’akyusa obuwufu okumwahhanga. Wagi
olwalaba ng’abalabe baweze, n’afungiza n’empale, wamma ggwe ne zidda okunywa.
Ky’ani, kya taata! Ky’ani, kya mutabani! Wuuyo beeyodde, bagudde mu bintu,
beevulungudde, okukakkana nga taata y’ali ku ngulu. Dina olwalaba nga Wagi ammezze
kabiite we amukaabya akayirigombe, n’alonda omuggo gwe yali asudde. Teyalwa
n’agumukiika mu mugongo ng’ajjeeyo n’agomu buto gonna. Wagi yanogoka ku Mukooli
nga bw’akaaba nti; “Nfuddee…! Akabwa ke neeyolera kannumye enteega!”
Abaagalana
ababiri olwalaba nga muzeeyi avulula musaayi, ne beekwata ku mikono era ne bamalamu
omusulo.
Ebyaddirira
ssaabimanya. Naye abagasomera mu bbaasa bagamba mbu Wagi omugongo gwe
baaguyungira mu ddwaliro lya bakyeruppe. Mbu n’okuva olwo, eby’okwerigomba n’abyenenya
ng’embwa bw’eyeenenya enseko. N’olukunkumuli lw’abakyala be yalina bonna
baamwetegula ne banoba nga bakooye okulyanga amakaya.
Ebyo byali
bikyali bityo ate kajjampuni n’abalagala mu bbwa. Anti amayembe g’omulaguzi
omulala ayitibwa Yokaana ku lusozi Salye gaasitula enkundi. Gano go gaali
gasaba gaweebwe emitwe gy’abawala embeerera. Bwe gatyo gaayogereranga ku mutwe
gw’omukazi mumpi awunnya ttaka ayitibwa Ssukuta. Omukyala ono y’eyali muka
muliraanwa wa Yokaana ow’omu ddembo. Ssukuta buli lwe yabanga agenze okwesiwa
entabaaza bakadde mu birabo, ng’amayembe gamukuba kya bugazi, n’asambagala,
n’avulula n’ejjovu mu kamwa okukirako omugwi w’ensimbu. Ssukuta yajobojanga
ebigambo ebitatuuse ng’avaamu eddoboozi ly’ekisajja eryali lisaba abaana
abawala abatanneetuuka beebakenga naye. Mbu amayembe gano gaayasanguzanga ne gyegavudde.
Kale
abatuuze olw’alaba nga ebigwo bya Ssukuta tebaabisobole, ne bamwebagajja
yogaayoga wa Yokaana ku lusozi. Yokaana olw’alaba nga bamuleetedde ekyetere
ky’omukazi, ne yeesala akajegere n’ataama bugo ng’alanga abatuuze okumusibako
amatu g’embuzi bamuliise engo. Yali aky’ecwacwana, ejjembe ne lyogerera ku
mutwe gwa Ssukuta nti; “Yokaana ggwe wantuma okunoonya abawala embeerera ku
Salye naawe otandike okulya obulamu nga munno Wagi! Naye okusobola okutuuka ku
ssa lya Wagi, oteekeddwa okumala okwegadanga n’omukazi omukadde asinga obwa
nnakampiginya ku kyalo Salye!”
Bba wa
Ssukuta, olusolobyo lw’omusajja eyali asinga obuwanvu e Salye, ebigambo
by’amayembe olwamugwa mu matu, naye n’alya ennumba. Bw’atyo yalumba Yokaana
n’amukwata amataayi nga bw’amubuuza
akana n’akataano ensonga lwaki yali asindikidde mukyala we amayembe. Bw’atyo
n’asimba ne nnakakongo nti kaabe lubaale, ye teyali wakusimbula kigere okuva
ewa Yokaana okutuusa nga mukyala we amaze okuvumulwa. Yokaana olw’alaba nga
musajja munne amukutte entegetege n’amagulu, n’asalawo okwogera n’omuzigo mu
mannyo nga bw’amusaba mbu amwazikemu Ssukuta wakiri ekiro kimu kyokka alyoke
avumulwe. Bba wa Ssukuta naye n’akkiriza. Bw’atyo Yokaana ne yeebagala Ssukuta
yogaayoga mu ssabo lye, era eyo gye yasula okumala enzingu bbiri.
Waayita
mbale, baana bawala abanyirira ng’ebinya ne batandika okwesombanga ewa Yokaana
abalagule. Yokaana bw’atyo naye omulimu yagukwata kannabwala, n’anyeenya
ensaasi era n’alyanga ebya ssava, okukakkana nga ne Wagi amusinzizza ensumika.
Abamu ku
batuuze abalala ku kyalo Salye olw’alaba ng’abalaguzi babalyako ebya ssava,
nabo ne batandikawo amasabo agaabwe. Kumpi buli mwaka waalingawo essabo
erizimbibwa. Abagezigezi olw’alaba ng’amasabo gatutunuka ng’obutiko, ne batandika
okwekengera abo abaali beeyita abalaguzi. Era buli musajja eyalina omukyala
eyeeraguza, buli lwe yazaalanga omwana yasookanga kumwetegereza oba nga ddala
talina musamize gw’afaanana. Naye abaana abaazaalibwanga, bangi ku bo wali
tosobola kubaawula ku balaguzi bano. N’abaami olw’alaba ng’abasamize
babaafuukidde ekyambika ku bakyala baabwe, ne beekandagga. Beekumamu ogutaaka
ne bazinda buli ssabo lya musamize ku kyalo eyali abasibyeko akanyaaga.
Baasookera ku lya Yokaana ku lusozi, ne baliteekera omuliro lyonna ne lifuuka
muyonga. Bwe baava awo ne badda ku lya Kawungu nalyo ne balireka nga liteta.
Mbu ate bwe baatuuka ku lya Wagi, lyo ly’agaana okukwata omuliro. Abasajja
abaali bataamye obugo, olw’alaba bino, obusungu ne babuzza ku magana ge n’ensuku
ne babisanjaga okubireka ku ttaka. Abasamize abalala olwawulira nti abatuuze
baali bajja bawanda muliro, ne beemulula busota okwetegula akabasa. Mu bano mwe
mwali n’omulaguzi eyali yeeyita Kkongolamabeere, eyali omukulu w’abaserikale ba
ppoliiisi. Ono ye olwawulira nti balaguzi banne abatuuze babalese bafumbya
miyagi, n’asalawo okubomba n’akamotoka ke.
Waliwo
omuvubuka ayitibwa Kiiwa eyali kafulu mu kutomera amayu ga bandi, y’eyatemya ku
batuuze nti Kkongolamabeere yali ategese okugenda ekiserebettu. N’abatuuze bino
olwabagwa mu matu, ne bamussa akasiiso ow’endali k’assa omukukumi. Bwe batyo
baayungula empaladdume z’agasajja ne gayiringisa agayinja, ekkubo mw’anaayita
ne galissaamu emisanvu. Agasajja g’ekukumira ddala okumpi n’emisanvu ne gagumba.
Awo mu ssaawa ez’akawoza masiga, ne zireeta Kkongolamabeere mu kamotoka ke
akaali akamyufu. Olw’atuuka ku gayinja, n’asiba akamotoka ke yali avulumudde,
n’afuluma okulaba bwe gubadde. Awo agasajja ga kanyama agaali g’ekukumye ne gagumbulukuka
okukakkana nga gali butoola ne Kkongolamabeere. Nnende olw’alaba abatujju nga
bazzegawanye n’alya mu ttama nti; “Munnumbye n’ebiso n’embukuuli, naye nze nja
kubalwanyisa na muliro!”
Naye kuno
kwalinga kuwala nswaswa ku lwazi. Anti agasajja olwawulira bino ne gatabuka.
Erimu ly’amuwereekereza ekkonde tonziriranga ne limukutula n’akalinda minyira.
Awo agasajja agalala ne gamwolekeza ensambaggere ne yeevulungula n’agwa eri mu
lukonko. Okutemya n’okuzibula ng’akamotoka ke baakateekedde dda nabbambula
w’omuliro ne kabengeya. Kkongolamabeere baamukiika egya mbaguta egyasigalawo ne
gikwasaamu bitooke. Baamala kumwambulamu byambalo, olwo ne bamuleka n’abomba
bute nga sserumbeete w’olubuto akuuliitira bweru.
Bya Mugoya Michaeel -0757540410
No comments:
Post a Comment