… Ssennyonjo naye
yali asula kumpi mu kasiisira ak’ebibaati emabbali w’omwala wakati mu
mwegotteko gw’obuyumba…
BWE TUBADDE
tukubaganya ebirowoozo ku ssuula gye tukubye amabega, nkulabye ng’otandiise
okukikkiriza nti siri muzimu. Nnabadde nkusuubizza okukweyambulira olabe we
bansala embalu, naye nga bw’oli omwana omuto, leka emboozi zange zikumale.
Ndaba nazo zijjudde eby’obuseegu bingi, abaana abato bye mutasaanye kuwulira.
Naye ggwe oli wa mukisa ng’aliibwa engo. Kati kankunyumize nate ku ngeri ensi
gye yanfuukiramu ezzike nga njabulidde ekyalo Salye.
Gwali mwezi
gwa Muwakanya, ekyalo Salye ne nkiwuubira akatambaala. Ku mulundi guno nnali
nneewaddeyo wakiri okweyiwa amanda mu mbugo, naye nga ndafuubanye n’agomu buto
gonna okukyusa obulamu bwange. Mikwano gyange egisinga gyali gikakkalabya
misomo. Emikwano emitono gye nnali nsigazza ku kyalo abasinga baali bavubi,
abatembeyi ba mukene n’ebyennyanja, mpozzi n’abalunzi b’embizzi n’obumyu. Ebyo
nange nandibikoze, naye olw’okubugumizibwako, n’ekirooto ky’okutuuka nsomereko
ku kasozi k’abayivu tebyahhanya
kwerowooza.
Bwe ntyo ku
lunaku lwali lwa Kazooba ne mbukeereza nkokola okukwata erinziza ku kibuga.
Olw’okuba ensawo yange yali eragaya, nnasalawo okusomokera mu mugga Buzibye,
mpitire ku mutala Luwombo paka Kawolo. Lino lye lyali ekkubo ery’okumpiko ku
bigere. Emmotoka nnali wa kugifunira Lugazi olwo ndyoke njolekere ekibuga.
Mba
nnaatera okusomoka Buzibye, ne nsisinkana Malima, muzzukulu wa Wambazu
eyanfunira omwagalwa wange Winnie e
Jinja. Kale olwamukubako eriiso, emmeeme n’entyemuuka. Nnalowooza ebintu bingi
mu kaseera mpa wekaaga. Nnagamba mu nda yange nti nate ku luno ndabika ngudde
ku masongolankuyege. Malima bw’atakantema nti Winnie azze naye, wakumbikira nti omwana wa beene nnamutikka ettu.
Malima naye teyanninda kulowooza bisingako awo, n’ansanyukira nnyo nga
bw’ambuuza nti; “Mukwasi, ennaku zino
obuliridde nnyo, waliwo obuzibu bwonna?”
Ko nze nti; “ Nedda Malima, okuggyako
enteekateeka ez’okugenda ku kibuga.”
Awo ye kwe kubuuka nga bw’agamba nti; “Ee!
Nange mbadde ku kibuga ebbanga ddene. Era emikwano gye nfunye eyo ettaka ttono.
Ggwe ku kibuga ogenda kukolayo ki?”
Awo nze kwe
kumuddamu nti; “Ng’enda kunoonya abagabi b’obuyambi abayinza okunsuula omukono
nsobole okweyongerayo n’emisomo gyange.”
Awo ye kwe
kunziramu nga bw’ansaasira nti; “O, bambi! Nange munnange nnali nnafuna
abannyambako mu kusoma nga beeyita RYDA
abasangibwa e Lubaga. Baali bantwala dda mu ssomero lye bayita Eagles Nest. Baali bandabirira bulungi
mu by’okulya, okwambala, okusula, n’ebisale by’essomero. Naye olw’efujjo
lyange, nnasitukira mu omu ku baana b’essomero ne mmutimpula okumuleka mu
kkubiro. Omukulu w’essomero olwalaba bino, ebintu n’abinsibira ku nnyindo, era
kwe kundaba kati e Salye. Naye nga RYDA
bantu balungi nnyo. Ggwe obagamba kimu nti oli mulekwa oba mwana nfunzi, nti
tolina w’oyegeka luba, newankubadde aw’okuggya ak’okulya, otaayaayira ku nguudo
za mu Kampala ,
oviira wala, n’ebiringa ebyo. Bwe bawulira ensonga zo nga bakuwandiika mu
bitabo byabwe.”
Malima
yayogera nga nze amaaso ngamwegese nninamu n’akakunkuna nti oba yali annimba! Omanyi yali muntu mujagujagu
nnyo ng’amanyi n’okwogera ennimi kkumi na ssatu be ddu n’okusinga bannyini zo.
Ate yali yagendako n’e Nairobi mu Kenya
nga yeekutte wansi w’ekyana ky’emmotoka lukululana. Kale nnali nteekeddwa
okumwegendereza ng’akoza n’owe bbwa. Awo ye kwe kwongerezaako nti; “Ggwe
olutuuka mu kibuga, genderawo e Lubaga ku RYDA,
obuuze mwami Ssendagire, olwo ng’omaze!”
Nange olwawulira
ebigambo ebyo, nnagamba kimu nti wamma oseerezza ligenda mugga. Nnali
mmusiibula, awo ye kwe kumbuuza nti; “Owannge! Winnie agamba ki? Simanyi mukyatijja ng’obwedda?”
Ko nze nti; “Ebya Winnie tulibyogerako nga nkomyewo.”
Ssaalwa ne mmwebaza
by’ankoledde nga bwe mmukakasa nti ku luno bwe kataligirya wakiri erizaala
amasumba.
Olwamala
okusiibula Malima, ebirowoozo byange ne bikyukirawo. Eky’okugenda e Ggangu,
ewala gye nnali siwuliranganako, nnakisazaamu. Era nnasalawo okusooka okugenda
nnoonye RYDA e Lubaga. Ekyalo Luwombo
nnakimalako sitegedde okugenda okwejjuukiriza nga ndi mu makubo ga bikajjo bya
Mmeta e Lugazi. Nnatambulanga nsala entotto, nekoteera, nga kw’ossa n’okutunula
embebere ng’omukulu atetimba. Nnali nkubyakubyamu ku ngeri gye nnaasobola
okwevumba ekibuga, okukiyiga, n’obutagwa mu batujju abaali basitudde enkundi mu
biro ebyo.
Ekibuga
Kampala nnakyesogga mu ssaawa za kalasamayanzi. Olw’okuba e Salye nnavaayo
sikombye wadde ku ka mu ntamu, nnatandika okwayuuya. Emitaafu gya nneetimba mu
kyenyi, ne ntunula bijiijiidde, nkugambye nga ndabira ddala njolekedde
okuwalampa omwera mannyo. Waliwo n’omuyaaye eyansala ensawo nga nnankava mu
mmotoka, n’akuliita n’obusente bwe nnali nsigazza. Bakira ng’emmotoka
z’abasaabaze ziwenyuka ng’obuweewo, ne zinkuba enfuufu mu maaso ne mu matu
wamma ne neevuma ensi. Obuppikipiki bwa bbooda bbooda nabwo bwali bugufudde mugano
nga bwetala n’okukirako obutaayi ku nswa. Nga buli lwe ngezaako okubaza
emmotoka nsale oluguudo, nga ka ppikipiki kanneekikamu. Kaba kankamala
okunnemesa, ow’akagaali naye n’akaleeta ng’amazeeko. Oyo oluba naye okumwewoma,
nate emmotoka ezibadde zeevedde ne zijjula buto. Oba okyalinda mbu zikendeere,
ow’ekigaali n’emigugu naye n’abikuyisaako nga bw’aleekaana nti;”Ffaasi, ffaasi,
n’ebyokya!” Wamma omwana w’omuntu n’obulwako w’oyisa ekigere.
Nnatambula
mukungujjo ne ntindigga okuviira ddala ku luguudo oludda e Jinja nga bwe
nteebereza eridda e Lubaga. Lugaba naye yazza bibye, ne neesanga nga ndi ku
luguudo oludda e Namirembe, ne ngoberera olwo lwokka. Nassiisi w’omuntu eyali
ateevuunya ng’obuwuka yali asiisidde mu buli kanyomero ka kibuga ng’oyinza
okulowooza nti ensi yonna ekuhhaanidde mu Kampala . Nnatambulanga
nneekengera buli muntu eyagezangako okuneekukuutirizaako anti nga nnakitegedde dda
nti Kampala si
bizimbe wabula baana ba misota. Olaba n’akasente ke nnali nkukulidde ebuziizi
nga nkakuumye butiribiri, omuyaaye yali akasomoddeyo!
Olwatuuka
ku luguudo oludda e Lubaga, ne nzisa ku kikkoowe. Nnasitula abiri nga
nkazaluggya nga bwe nfuuyirira n’olunwe ntere ntuukire mu budde gye nnali
ndaga. Bwentyo nnasaayirira engere nga bwe nsoma ne ku bipande sikulwanga mpita
ku RYDA ne nkifuuwa nga nkizza munda.
Ebyembi, nnakasibira ku Eklezia entukuvu waggulu ku kasozi Lubaga.
Nneebunguluza ku maaso, naye nga bifaananyi by’Ababiikira ne Biikira Maria bye
ndaba byokka. Nnakyusizaawo obuwufu, ne nzirayo gye nnali nvudde. Eyo gye
nnakwatira oluguudo olulala ne mpondera olwo yogaayoga Mengo. Olwakimanya nti
ntuuse okumpi n’embuga ya Ssabasajja Magulunnyondo, amameeme gaatandika
okunkubagana. Nnateebereza nti abalaawe ba Lukoma Nnantawetwa baali bakungiikako buyuki bankube mizibu nga
bannanga gwa kusaalimbira mu mbuga ya bbaffe. Naye olwalaba nga buli omu ali ku
gigye, ne nkimanya nti nnali sikyise mbuga.
Mba
nkyasojjolimba, nga ku kipande kya RYDA
kwe nkuba amaaso. Kyali kiwanikiddwa nga kirengejjera ku lubalaza lw’amaduuka.
Nakyacanca, ne ndatta nga bwe nsagambiza. Anti nga nkimanyi nti ku luno nnali
njolekedde okwewangulira ssikaala y’emisomo gyange. Bwentyo nneesogga ekizimbe
okwali ekipande, ne mpita mu nkuubo, ne nnyambukira ku madaala okudda waggulu
ku kkalina. Eyo ku kkalina esooka, gye nnasanga offiisi ya RYDA. Ssaabugumya na ku mbooge, offiisi ne ngyevumba buteesagga.
Mu offiisi
nnasangamu omukyala omutono nga wakatakketakke. Yali ayambadde galubindi,
ng’asoma amawulire. Olwandaba, amawulire n’agazza ebbali n’ansimba amaaso. Offiisi
yali nfunda, naye nga kkabada, emmeeza, ffayiro, ebipande by’oku kisenge
n’entebe byalimu bulungi ddala. Nange olwesimba mu maaso ga nnakyala, ne mmulamusa
mu lufuutifuuti, era ne nnyanja ensonga eyali endeese. Nnamugamba nti; “Nnyabo,nze
Mukwasi, era nzize kwebuua obanga mmuweerera abaana abataliiko mwasirizi.”
Awo ye kwe
kumbuuza nti; “Naawe oli nfunzi?”
Ko nze nti;
“Ye nnyabo, era nnoonya buyambi nsobole okuddayo mu ssomero.”
Ye kwe
kunziramu nti; “Wano ffe nga tetuweerera baana mu masomero.Y’ani akulagiridde?”
Nze kwe kumuddamu nti; “Omuvubuka ayitibwa Malima y’eyandagiridde n’ahhamba nzije mbuuze omwami gwe
bayita Ssendagire.”
Omukyala
kwe kukuba ku mmeeza nga bw’agamba nti; “Ee! Ffe wano nga tetulinaawo muntu
yenna ayitibwa Ssendagire!”
Olwamala
okwogera ebyo ne yeddirayo ku mawulire ge n’atandiika okusoma.
Nga
wayiseewo akasiriikiriro, nze kwe kumubuuza nti; “Kati nnyabo nkoze ntya
okufuna ku buyambi?”
Ko ye nti; “Ogira
onoonya. Ate n’ekirala oli mukulu nnyo. Ffe abaana be tujuna be bali wansi
w’emyaka omunaana.”
Olwamala
okwogera ebyo, n’anyiga essimu ye ey’oku mmeeza, n’ateeka ekikono ku kutu
n’omumwa. Nze olwalaba ng’omukyala akuba essimu, ne mmanya nti yali agenda
kumbuulizaako awalala we nsobola okufuna obuyambi.
Naye nnagenda
okuwulira ng’ayogerera waggulu nti; “Hello,
mukwano, munnange nsonyiwa olw’ebyo ebyabaddewo eggulo. Ssaakigenderedde.
Enviiri zange zaabadde zeetaaga treatment,
ate ng’omwana gwe nnatumye okungulira shampoo
maama baby yamuzizza mu kulaba ttivi
n’okuzannya computer game ne banne…………
Eee! Naye kati leero ku ssaawa nga musanvu, tusisinkane ku Steers. Nja kujja ne ki teddy
bear, omanyi ennaku zino mbyagala nnyo. Wangi? Nedda mukwano! Anti Boss yagenze ku business trip ate nze ne ba workmates
eggulo twabadde ku beach e Ntebe.
Kati ffenna tulina hangover. …….Eee!
Naye owange, jjo lwe nnategedde nti abantu kye tubalaba ku ngulu si kye babeera………Eee…munnange!
Olaba ne Cashier waffe yazze
ayambadde ka ssikaati kampi nga kamukoma eno waggulu mu bisambi! Obugulu bwe
bwonna nga bw’obumanyi bwabadde bukuuliitira bweru! Hmm!! Nkubuulire ki, ndeke
ki? Ne Driver waffe olwamulabye, Coaster n’agivaamu, n’amukwata mu
kiwato, nga bw’amugamba nti; ‘tugende mu mazzi.’ Olwamugambye nti ye tamanyi
kuwuga, Driver n’amugamba nti; ‘nze
nnaakuyigiriza okuwuga.’ Yee…..! Tebaatawaanye na kukyusa ngoye nga beesogga mu
ma water. Ee! Munnange kituufu nnyo!
Ate ekyewuunyisa, bombi bafumbo! Vvaawo naawe! Ye ggwe atakimanyi nti Driver yawasa kano akawala ak’amatu amanene? So nno katera
okwambala engoye empanvu n’empale. Nako kandabikira okuba n’obugulu obubi. Ee,
ate lwaki tekaagala kwambala ngoye ezitulaga ku ntumbwe? Waa…! Cashier waffe ssente azimalira mu
kwenoonyeza basajja n’okubeegwanyiza. So nno figure ye si mbi nnyo, naye alabika aliko ebizibu ebirala
ebireetera abasajja okumwesamba. Sha! Vvaawo
naawe! Nze Shelly? Kikafuuwe! Nga Moze tannaleeta wano ssimu mpya nga
kuliko ne airtime eby’omukwano gwange
abyerabire! Naye kankome wano. Ee, oyagala lipstick
wange afeedinge? Nja kuku flashinga nga ntuuse. Eddie mundabire! O! wabula mulidde
bulamu! Bye ggwe ssimalaako ssente za
beene…..tunaddamu ku lunch time…”
Olwamala
okuzzaako essimu, n’asituka okukebera mu zimu ku ffayiro ezaali ziwanikiddwa
waggulu mu busanduuko. Olwo nze ne ndowooza nti essaawa mulindwa yali etuuse
ey’okumpandiika erinnya nange ntandike okulya ku ssente ez’akakule. Mwana
muwala olwassa fayiro ku mmeeza, n’aggyamu empapula ezimu n’atandika
okuwandiika. Nneeyongera okusekera mu kikonde, anti ng’olwo nkimanyi mbu ali mu
kumpandiikira bbaluwa enkakasa okufuna ssikaala. Yeeyongera okubikkula empapula
nga bw’awandiika okutuusa lwe nnalaba nga tanfaako, ne mmubuuza nti; “Nnyabo,
ngira nnindako oba nedda?”
Awo ye kwe
kuzzaako bulungi galubindi ze n’ayogera nga bwe yeenyinyimbwa nti; “Ee! Muvubuka,
obwedda okyatudde awo? Mbadde ndowooza nti wagenze dda! Munnange nze sirina kye
nnyinza kukukolera. Kyandibadde kirungi singa ogezaako awalala.”
Nange
olwawulira ebigambo ebyo, ne nkimanya nti mukazi muyima yali akyantuulidde mu
kisaalu, era ekyaddirira kwe ku binnyika mu nsuwa, ne nkyusa obwanga
okweyongerayo. Nnafuluma offiisi ng’ebiyengeyenge bineetimbye mu mmunye, ne nkikakasa
nti ensi yali etandise okunsattiza obukunku. Olwatuuka wabweru, nnayimiriramu
katono, nga nneewala obutasala luguudo ng’ekiwuggwe ky’okugaanibwa kikyandiko.
Olwayimirira
okukubyakubyamu ndowooze eky’okuzzaako, ebirowoozo byanneesiba. Nnatandika
okumala gatambula nga njolekedde oluguudo oludda ku lubiri okuva e Bulange.
Kaabula kata ntomere emu ku mmotoka nga nsala oluguudo ku nkulungo. Eyali
agivuga y’eyalwana obwezizingirire okusiba emmotoka, n’awonya obulamu bwange. Ddereeva w’emmotoka eno eyali ey’ekika kya Pajero
yampereekereza ebigambo ebimpi n’ebiwanvu nga bwannangira obuwuttufu obwali
buntuusizza okuseenya enviiri n’okukala omutwe ne gukirako empengere.
Natambula
mukungujjo nga bwe nsalinkiriza okuyita mu buwinjuwinju bw’ebitundu by’e Mengo
ng’amaziga ganva mu maaso nga kwe ntadde n’okweyogeza obwama ng’aliko emmandwa
oba aguddemu katwewungu, awamu n’okubala enjala z’oku ngalo. Eyo mu bikubokubo
gye nnagwira ne ku bipande by’essomero eriyitibwa Eagles Nest Senior Secondary School. Lino ly’essomero Malima lye
yali antegeezezza nti gye yali asomera ng’abazungu be baali bamuweerera. Nange
ssaali mubi nga ntandiika kugoberera ebipande gye byali binjolesa. Natambulako
ebigere nga biibyo nga nagguse dda bumale ku mulyango gwa Eagles Nest. Omulyango gwali gwa byuma na mitayimbwa, naye nga
bw’oyima wabweru osobola okulabira ddala ebigenda mu maaso ssomero munda.
Olwali
okuyimirira nga bwe nneeronda okuyiiya biki bye nnali nteekeddwa okwogera singa
njokebwa kajjogijjogi w’ebibuuzo, nnalengera omu ku basomesa ng’atudde wabweru
w’ekibiina ku katebe.Yali agolola ekitabo ky’omwana ng’eno bw’amuwabula. Yali
akutte n’akaggo bakira ng’akawuuba ng’eno bw’asonga mu kitabo n’okufalaasira
omuyizi. Bwe nnatunula erudda n’erudda nga ku mulyango sirabako mukuumi yenna,
nnasalawo okwesogga essomero, ne ng’enda butereevu awali omusomesa n’omuyizi
we. Nabo olwalaba nga nneesowodde bwa ntoogo, ne babikka ku bye baali bakola ne
bantunuulira enkaliriza. Ndowooza omuyizi y’eyasinga okunneetegereza, anti ye
yali ayambalidde ne galubindi ku maaso ge. Ssaalwa ne mbalamusa mu lufuutifuuti
nti: “Goodmorning Sir!”
K’omusomesa
nti; “How are you, any problem?”
Awo
nze kwe kwanjuluza nti: “Sir, I am
looking for Sponsors who can assist me to go back to school and continue with
my studies. Do you offer such assistance here at Eagles Nest?”
Omusomesa
olwawulira ebyo, n’akuba akakule nga bwangamba nti: “Ee! Ebyo wabiggye wa? Mu
lino essomero abaana beesasulira ssente zaabwe. Era tewali bya ndola ! Era buli omu kubo…”
Yali
akyeyogerayo, naye nze ssaalinda biddirira kwongera kuntabula mutwe,
nnasiibulirawo era ne neeyogerayo! Naye tawena nadda ku kya kuwabula muyizi we.
Omulyango gw’essomero nnagufuluma bulungi ne neeyongerayo nga mpulira ensi
enfuukidde omuteego. Nnatandiika okwekubagiza nti singa mmange yali akyali
mulamu, oba kitange nga yeesobola, bandinnyambye okwanganga ensi eno ejjudde
amaziga n’ebiwoobe. Amaziga gaba gakyakulukuta nga bwe ntambula, ne mpulira
eddoboozi ly’omuntu ng’ampita okuva emabega. Bwe nnakyusa amaaso, nagaggukiza
ku mwana mulenzi omuyizi oli, omusomesa gwe yabadde alagirira ku ssomero.
Yampuubira omukono ng’alaga nti mmulindeko. Nange ssaali mubi nga nnyimirirra okumulinda.
Ye
olwantuukako kwe kumbuuza nti: “Ggwe oviira wa?”
Nze
kwe kumuddamu nti: “Nviira Mbale”
Ko
ye nti: “Bazadde bo baafa?”
Ko
nze nti; “Omu yafa, ate omulala ye simanyi gy’ali, era y’ensonga lwaki ndi
mmombooze ku nguudo z’omu Kampala ”
Awo
ye kwe kumbuuza mu lufuutifuuti nti: “How
come you speak good English?”
Nze
kwe kusekamu, ne mmwanukula nti; “Nnali mbaddeko mu ssomero naye ne mpanduka
nga sirina muntu ampeerera. Naye waliwo eyandagiridde ekibiina kye bayita RYDA mbu kisobola okunnyamba”
Ko
ye nti, “RYDA? Oba wawulira bubi?
Waliwo kye bayita Tiger, era nga
kiyamba abaana abataliiko mwasirizi”
Awo
nze omutima kwe kunkuba nga bwe mmugamba nti; “Hmm! So nno, ndabika nnawulira
bubi, naye Tiger kyo kisangibwa wa?”
Awo
omuvubuka kwe kunkwata ku mukono nangamba nti; “Katweyongereyo, nange wempitira
ddala nga nzirayo eka.”
Mwana
mulenzi y’antambuza bulungi nga bwansaasira n’okunzizaamu amaanyi nti si y’eyali
enkomerero y’ensi, obulamu bwo bwe butyo. Yantwalira ddala n’antuusa ku
mulyango gw’ekibiina kya Tigers Club
e Mengo Lubiri. Waaliwo abaana abaali bazannyira awo wabweru w’olukomera,
n’abayita n’ababuuza nti: “Tooto, Abazungu weebali?”
Akamu
ku bwana akaali kawunya enjaga n’amafuta kwe kumuddamu nti: “Mwana schoobie, Abangere bagenze kuwenja
mmaali, mpozzi banadda enkya olw’eggulo.”
Awo
kwe kunkoonako n’angamba nti: “We wano. Era mpozzi onaakomawo enkya mu ssaawa
ez’akawungeezi nga banno bwe bagambye oyogeremu n’abakulu. Naye totya, lumu
naawe ojja kuddayo osome nga nze. Era kankusiibulire wano.”
Nze
kwe kumubuuza nti:“Naye ggwe obeera wa?”
Ko
ye nti:“Katwe.”
Era
teyalwa n’akwata mu ndyanga n’ankwanga ssiringi bina nga bw’angamba nti: “Ezo
onaaziryamu kya misana, era bye!”
Omuvubuka
ono kye yankolera kyampitirirako obulungi, era ne mmanya nti mu nsi mukyalimu
abantu abalungi. Kaabula kata ngaaane okumusiibula, nga njagala mbeerenga naye,
kyokka olw’okuba yali mu bwangu, yangwa mu kifuba, n’ansiibula.
Ng’omuzirakisa
ono agenze, nneeyongera okwogeramuko ne batooto, ne mbabuuza ennaku n’essaawa
abazungu ze babeererawo.Bangamba lunaku lwa Kazooba ne Mukasa, nti era ku luno,
baali baakudda nkeera ku ssaawa emu ey’akawungeezi. Ssaalwa ne neeyongerayo.
Essaawa
zaali ziweze musanvu, kale nnatandiika okusala entotto nga nkubyakubyamu wa gye
nnali nnaayegeka oluba okubukeesa. Nnasoma ku bimu ku bipande ebyali
bitimbiddwa ku bikondo by’amasannyalaze nga biranga olukungaana lw’enjiri,
eyali mbu nga etegekeddwa Omusumba Mugerwa owa Katwe Saints Gates Pentecostal Church, era mbu yali yakwogererwamu n’
Omutume Mitala owa Back to the Bible
Truth. Enjiri eno yali yakukulungulira ddala wiiki nnambirira nga n’ekyemisana
kya bwereere, wali mu kisaawe ky’omupiira e Katwe. Newankubadde ng’essaawa
ez’ekyemisana zaali ziweddeko, nnasalawo nnoonye ekisaawe ky’e Katwe, mbeereyo
ku njiri. Nnatambula nsoma ku bupande bw’amaduuka n’enguudo okutuusa bwe nnatuuka
e Katwe ku kisaawe ky’enjiri.
Enkuba
bikokyo nayo yali efudembye era nga Bannakatwe abasinga yali ebalese nga
bafumbya miyagi. Mukoka eyali adduka emisinde egya yiriyiri yeesogganga mu mayumba
g’abantu n’abagugumulayo ebuziizi, era bangi yabatwala babuuka bibanda nga ne
nnabugi si mufungize. Ab’omu butale nabo baali ge bakaaba ge bakomba, anti
ng’amazzi agaali ganjadde wonna gali mu kubasattiza ng’omukunku eyeekoonye.
Nnatambula nange mbuuka makkyo yogaayoga mu kisaawe e Katwe. Nnasanga ekisaawe
nakyo kifaafaaganye ng’entungo eyiika. Amazzi gaali gakimaamidde era
ng’emizindaalo gy’Abalokole kumpi gibbidde mu mazzi tebaba kugiwanika waggulu
ku kituuti ekisimire mu ttaka. Abalokole bannakyewa nabo baali balwana
bwezizingirire okusena amazzi mu kisaawe n’okugatemera enkonko. Omu ku bakalabaalaba,
yannyaniriza nnambuuza gye nnali nviiridde. Ko nze nti Mbale. N’angamba
nguminkirizeeko, batuleetere obutebe.
Waayita
akabanga mpawekaaga ne batandiika
okugezesa emizindaalo gyabwe. Tebaalwa ne balinnya ku kituuti ne batandiika
okusimbula ettendo nga bazina bwe babuuka n’okukuba mu ngalo. Abasinga ku bano
baali baana bawala ebijuujulu kw’oyiwa n’amazzi n’onywa. Bakira nga bayimba eno
bwe bawa n’obujulizi nga Mukama bwe yabawonya obwenzi, obwamalaaya, ebimansulo,
obuseegu n’okukuula ebinnyo. Omu ku bawala yali akyatuwa ku bujulizi nga bwe
yali nnakinku mu kwambula n’okunyagulula abasajja abaalinga bamugula
n’okumusaba omukwano, emizindaalo ne givumbeera n’amasannyalaze ne gavaako.
Omusajja eyali atikidde entalabuusi enjeru
ku mutwe ng’ayimiridde okumpi ne we nnali, kwe kwewuunaganya nga bw’agamba nti:
“Hmm! Wabula Katonda yakolimira eddiini y’Abalokole!”
Nga
bamaze okuzzaako emizindaalo, fenna abaali bayimiridde nga tuwuliriza bye
bagamba, baatuleetera obutebe ne tutuulako era ne tutandiika okuliisibwa ekigambo
kya Lugaba. Ku luno, Mitala omusajja eyatubuulirira okwewala obugwenyufu e
Bwaise, yali talutumidde mwana, era tebaalwa ne bamukwanga akazindaalo
n’atandiika okutulyowa emyoyo. Yasooka n’atubuulira ku bikwata ku bulamu bwe
okuviira ddala nga tannalokoka, okutuusa ku lunaku lwe yeegulira ku mufaliso
naye afune waayegeka ku luba. Buli kye yayogera nga kumpi ndaba alinga akigamba nze. Kaabula kata ntulike nkaabe,
naye n’atuzzaamu amaanyi nga bwagamba nti: “Mukama eyatandiika omulimu omulungi
mu ggwe, talikuleka okutuusa ng’agumalirizza.”
Ebyo
yabyogeranga nga nze nneewuunaganya wa gye nnali ow’okusula ekiro ekyo. Bwe nnageranga
ne ntunulako mu weema gye baali basiisidde awo ebbali, emmeeme yange n’enkakasa
nti omwo mwe nnaasula. Era olukungaana lw’agenda okuggwa, nga buli omu akwata
limuzza wuwe. Abaasigalawo ne batandiika okusengula emizindaalo n’ebyuma
by’ennyimba okubitwala mu weema. Awo nange siwena nga ntuukirira omukulu
w’abavubuka eyali kalabaalaba w’ebigenda mu maaso, ne mmuyitiramu ku nnaku
yange.
Yanziramu
kimu nti; “Bw’oba tolina wa kusula, wano tewali wetusobola kukusuza. Ye ggwe
oviiridde wa?”
Ko
nze nti “Mukono.”
Teyalwa
n’avaawo n’adda ku gigye egy’okulagirira engeri ebyuma gye byali biteekeddwa okukuumibwamu.
Bwe nnalaba ng’omwami tanfaako ng’ate obudde butandiise okukwata, ne ntuukirira
omu ku bavubuka abaali bamuyambako. Bwe nnamutottolera ennaku yange, yanziramu
kimu nti; “Lindako.” Bwe waayitwo eddakiika nga kkumi, n’antwala ate ewa
kalabaalaba gye nnali nsookedde. Kalabaalaba olwankubako amaaso n’alya mu ttama
nga bwagamba nti: “Oy’omuvubuka muyaaye! Yasoose kungamba nti aviiridde Mbale,
kati ate mpulira agamba mbu aviiridde Mukono! Munnange weerabirire, abantu
abamu babeera babbi, tetusobola gamala gasuza muntu yenna wano okuggyako ng’alina
ebbaluwa okuva ku ppoliisi.Y’ebiwandiiko ebikukwatako biruwa?”
Awo
nze kwe kukukunulayo kkaada y’essomero eyali ekunjubuse olw’okugyoleza mu mpale
ne ngimukwanga. Ye kwe kugamba nti: “N’eno kkaada nga tetegeerekeka bulungi! Genda
nayo ku ppoliisi!”
Olwawulira
ebyo ne mmanya nti eyanjalula yali esiridde. Ssaatawaana kwereega n’omwana w’omuntu
yenna, era ne ntandiika okusala amagezi amalala. Nnasalawo okutambuza ebigere
ngende e Ggangu ku lw’e Busaabala. Eno nnali ngenzeeyoko nga nnoonya mukwano
gwange Sam ggwe ssaasangayo.Mu kiro kino nnali mmaliridde okufa n’obutanyagwa
ettumbi linsange e Ggangu. Bwentyo nnasitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi ne nsaayirira
engere nga njolekedde ku lw’e Ntebe, wuuyo ku lw’e Busaabala nga ntambula
ng’omuwendule. Amataala g’emmotoka, omukka gwazo, ebinnya n’amayinja ge nnakonanga,
bye byalinga binnyaniriza buli we nnayita. Waliwo ekifo kye nnatuukamu
ng’oluguudo luyita wakati mu kibira. Amameeme gankubagana, n’enviiri ne zinva
ku mutwe nga ndaba njolekedde olusozi gambalagala nga naye sikyasobola kuddayo mabega.
Essaawa
zaali ziweze nnya ez’ekiro naye ng’olusozi Ggangu nkyalukonga lusu. Ekibira
nnakiyitamu nga buli lwe mpulira akamenya, emisinde ntyekuula mizibu. Nnagenda
okutuuka e Ggangu ng’ennyindo y’enkata. Ssaalwa nga ngenda ew’omu ku
bakalabaalaba b’ekkanisa y’Abalokole ku lusozi Ggangu. Akasozi konna kaali
kasiriikirivu ng’era amaloboozi agawulirwa ge g’engoma ezaali ziwuunira
emitala. Nasojjolimba mpola okuyita ku kkanisa ne njolekera awali ennyumba
z’abasumba nga bwe nkowoola nti “Abeeno! Nze Mukwasi, mukwano gwa Sam.”
Embwa
y’eyasooka okufubutuka eri nengwa mu magulu kata enkube kya bugazi. Nnali
nkyali ku gwa mbuzi kuyita mu malagala, at’endiga n’erinnya enju. Anti, omulangaatira
gw’omusajja gwe ssaamanya yannesimba mu maaso n’ambuuza mu ddoboozi essaakaavu
nga lya mmwanguka nti: “Ggwe ani atutabaala amatumbibudde?”
Ko
nze nti: “Ssebo nze Mukwasi, nkomyewo kulaba Sam, sirina wa kusula kiro kya
leero!”
Omusajja
kwe ku kantema nti;“Wano Sam takyabeerawo, yasenguka n’omusumba era baagenda
wala. Simanyi ompulira?”
Nze
kwe kumuddamu nti; “Ssebo nnyamba wakiri nsule mu kkanisa ndyoke nzireyo gye
nvudde, obudde buubuno bugenze nnyo!”
“Twala eri! Siri musirusiru obwenkanidde awo
okusuza omuntu gwe ssimanyi. Watya bw’obeera omubbi? Ate ggwe olabika n’obwa
kkondo”
Ebyo
yabyogera nga bw’ayita n’embwa endala eziwerera ddala ssatu ne zinneebungulula
nga bwe zitenga emikira n’okweswanta ng’ezirindirdde omukalo gw’ennyama okuva
mu ngalo za mukama waazo. Awo nze kwe kumugamba nti: “Ssebo nange ndi Mulokole,
sisobola kubba kintu kyonna newankubadde empiso etunga engoye.”
Awo
ye kwe kubwatuka nate nti; “Olimba ani? Ku obwo obukongovvule obukulinga
ekisotta entula, ogamba otya nti toli mubbi? Ate bw’oteesibe nkerejje nja
okukukutula akaligirigi ndyoke ndabe nate nga bw’obyangatana ng’eyafumbirwa
ayitiridde! Okikakasa oli Mulokole?”
“Ye
ssebo!”
“Oli
Mulokole?”
“Ye
ssebo!”
“Oli
Mulokole…?”
“Ye
ssebo…”
“Kale
ndaga biki ebyo by’olina mu kaveera! Teba bbomu!”
“Ssebo
zino ngoye zange”
“Ziggyeemu
ndabe!”
Yantunuulira
enkaliriza nga nze nkutamye wansi nkukunulayo ebigoye byange mu kaveera aka
kiragala. Bwe nnaggyayo engoye, n’azisenda ebbali n’omuggo nga bwazitaganjula
ng’alina amajadu ge yeekengedde. Olwamala okwekebejja akaveera, n’andagira
okuzzaamu engoye. Nange ssaali mubi nga nzingako ebigoye byange ne mbizzaamu mu
kaveera.
Yankwata
ku mukono n’ankulemberamu okwolekera emu ku nnyumba ez’emizigo ezaali wansi mu
miti gya kkasiya. Olwatuuka mu luggya lwazo, n’agenda ku gumu ku mizigo,
n’asindika oluggi ne lugwa munda ng’eno bw’amulisaayo n’ettooki. Awo kwe kundagira
nnyingire nga bw’anjoleekereza n’ebigambo nti: “Njagala enkya ekisenge kino
nkisange nga bwe nkirese! Kensanga nga waliwo newankubadde empiso n’emu ebuze,
olwo lw’onoomanya abantu balamu abeeresa emyeyango. Ompulira?”
Nange
namuddamu bitono nti: “Ssebo n’okutegeera ntegedde.”
Ssaalwa
nga neevumba nju ntere mpalangase ku kiwanga kyange mu kibatu. Naye olwali
okuyingira bwenti, nkyambuukako omusajja bwe yazzaawo oluggi n’ansibirayo munda
n’ekkufulu n’alumisa. Nnali nkyewuunya ekimpeneggu ky’omusajja, ngenda okwetegereza
ennyumba nga ya ddiiro lyokka ate nga temuli kantu konna newankubadde empiso.
Mpozzi ekyalimu zaali mpulunguse z’obubi bw’emmese, eminya ne nabbubi eyali
yasiba ensonda n’omunyale mu kasolya ak’ebbaati.
Nnasooka
kwe kukuma mu nsonda, alwo ne ndyoka neezinga ng’eggongolo. Naye mba nkyalatta,
ensiri ne zinnyaniriza n’amaloboozi agakirako ag’ennyonyi mu bbanga.
Natandikirawo okwekuba empi nga bwe nzikolimira ebbula mirimu erizikuunyuusa
n’ebyensuti. Nnalaba ensiri zonna ziringa empendule, nange ne nsala ag’enkolwa,
essaati ne njiggyamu, era ne njaalirirra wansi ku ssementi eyali annyogoga
n’okukirako omuzira. Nnasikayo mu kiveera akasaati akaali kaakunyuuka nga konna
kakunkumuka bukunkumusi, ne nkeebikka ku mutwe, olwo gyo emikono n’ebitundu
ebirala ne byerabirira.
Olwali
okweganzika wansi bwenti, enkukunyi nazo ne zisitula enkundi, ne zimmeketa
ng’ebinyeebwa, wamma ggwe kata ntakize n’enduulu. Nnajulira okuggulawo waakiri
ntuuleko wabweru ng’obudde bwe bukya, naye ng’oluggi lulinga omusajja lwe
yasibye n’enjegere z’ekkomera. Bwe nnakwata ku ddinisa nga nalyo yalisibidde
bweru. Wamma ggwe ne nnuma obujiji. Mba nkyakubyakubyamu, ensiri n’ewuumira
kumpi mu kutu kwange kwennyini, ne ndyoka ngibajja oluyi be ppya, kata oluba
lwange ndwaseeyase. Nnagiranga ne ntunulako waggulu ku bumooli ndabe oba
ng’obudde bunaatera okukya. Naye gye nnakoma okutunulayo, n’obudde gye bwakoma
okulwawo okukya. Ekiro kyonna nnakimalako nga sikombye wadde ku mpeke ya tulo.
Nzenna nga nzimbye mu maaso, nga n’omubiri gwonna gujjuddeko obutulututtu, ng’era
nsiwuuse nkirako eyasuze mu vvu.
Bwe nnawulira ng’enkoko zikookolima n’obunyonyi
nga butendereza Liisoddene, ne nzisa ku kikkoowe. Naye gaali gakyali mabaga,
anti nnalindirira omusajja okujja okunzigulirawo naye nga buteerere. Enjuba
yaviirayo ddala okutuusiza ddala essaawa ssatu n’ekitundu, olwo ne ziryoka
zireeta nnende ng’awambakatanye n’ekikopo kya kyayi ne kasooli omwokye mu ngalo.
Olwali okuggulawo n’ambuulizaawo n’akamwenyumwenyu ku matama nti: “Muganda
wange, wazuukuse dda? Kulika ekiro. Naye kati fuluma onaabeko mu maaso, omale
onywe ne ku kyayi wuuno.”
Nange
olwamala okumulamusa ne nfuluma okusena amazzi g’enkuba agaali wabweru mu
nsuwa, ne nnaaba mu maaso. Naye nnamugamba nti nnali siri wa kunywa kyayi we
kubanga nnali nkereye nnyo, nga nteekeddwa okuddayo ku kibuga okusisinkana abazungu.
Yanneegayirira naye nange ne nkomba ku erima ne nsimba ne nnakakongo obutakomba
wadde ku ttondo lya kyayi we. Era ssaalwa ne mmusiibula, ne nessa mu ddene
okudda ku kibuga.
Mu mpale nnalinamu ssiringi bina omuvubuka
eyantwala ku Tigers Club ze yali
ampadde. Mu kkubo e Masajja, nnazigulamu muwogo omusiike wa kikumi, n’ekikopo
kya kyayi, ne nziramu ku twanyi okutambula yogaayoga Katwe. Olwatuuka, nakasibira mu lukungaana lwa
njiri mu kisaawe e Katwe. Naye olw’okuba obudde bwali bukyali, tewaali njiri
yonna ebuulirwa. Wabula waaliwo obubondo bw’abakkiriza abaali balina bye basoma.
Nange olwayanirizibwa, omuwala yantwala butereevu mu kabondo k’abavubuka. Eyo
nate gye nnagasimbagana ne kalabaalaba eyali annaabidde mu maaso eggulolimu
ng’ampita omuyaaye. Ono y’eyali abuulirira abavubuka ng’abakakasa nga bwe kitasoboka
omubuka omulenzi okwagala ennyo Mukama ng’ate n’abawala abaagala. Nange ssaalwa
ne mbuukira ekigaali kye ne tulya ekigambo kya Lugaba. Yayogera bingi, naye nga
nze omutima gundi ku Tigers Club,
nninda kimu obudde buwuungeereko ngende nneeyanjuleyo.
Essaawa eyamalya g’ekyemisana bwe yatuuka, ffenna
ne tusimba lwa kasota tutere tukombe ku k’omu ntamu. Naye nnakifuuwa nkizza
munda. Anti baakantema nti emmere yali y’abagenyi abavudde ewala ate nga
beewandiisizza. Awo we nnakivumbulira nti nnali sseewandiisizza. Bwentyo ne mpanduka
mu lunyiriri ne nzira ebbali okwerya enkuta z’emimwa. Nnagezaako okwewoozaako
eri abagabuzi b’emmere nti nange nnali nviiridde wala. Banziramu kimu nti
emmere gye baali bategese yali mpime okusinziira ku bantu abaali beewandiisizza.
N’olwekyo nze baali tebambaliddeeko. Nnatunuulira omusajja eyangamba ebigambo
ebyo n’eriiso ery’ennaku naye nga ye taliimu wadde akasaasira.
Olw’eggulo
enjiri ssaagirinda kuggwa, nnensitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi ne ntambula
mukungujjo yogaayoga ku Tigers Club e
Mengo Lubiri. Kumpi nnatuukira mu budde. Anti olwali okutuuka wabweru w’olukomera ne mbuuza evvubuka likaddugala eryali litunuza
obukambwe n’obuyaaye nti: “Abangere
bazze?”
Ko
lyo nti; “Mwana Scoobie, wano teri
kiyaaye avimba buvimbi okuyingira mu nda. Ndekera wano sso emu oyitewo!”
Nange mu mpale nnalinamu ssiringi bibiri.
Nnatoolako kikumi ne nzimukwanga, okukakkana nga tuli ba mukwano. Yangambirawo
kimu nti; “Yingira ogende eri emmanju. Basimbye eyo emmotoka. Olutuuka buuza
nti njagala kulaba Uncle Simon.”
Olwamala
okwogera ebyo ye n’adduka za mbwa okwegulira ku ky’okulya. Nange baali nga
abasindise asitamye. Nnayingira mu lukomera munda, ne neetooloola ekizimbe
yogaayoga emmanju waakyo. Eyo gye nnasanga akamotoka akatono nga bakasimbye mu
maaso ga offiisi y’ekizimbe enkulu.
Ekizimbe
kino baali baakizimba ng’amaka g’omuntu. Kyali kya nkokoto, ssementi n’amabaati
aga bbululu ng’era kinene bulungi. Ebbali mu luggya waaliwo abaana abayaaye
bangi nga bazannnya, abalala nga banaaba, booza engoye n’okunywa amazzi ga ttaapu. Olw’okuba obudde
bwali butandiise okukwata, ssaasobola kwetegereza abaana abasinga obungi.
Wabula waaliwo abaana babiri abaali batudde okumpi n’emmotoka, abandaba ne bambuuza
oba nga nnali mupya. Ekyo kyennyini kye nnabaddamu, olwo ne baŋŋamba nti
nnindireko awo Uncle Simon nti era yali kumpi okufulumayo mu
offiisi.
Kyambuukako
okulaba Uncle Simon nga musajja kaddugala asingako n’enziiziiri obuddugavu, ng’ate
nze nnali mmusuubidde okuba kyeruppe! Yali musajja wa ssanyu nnyo era
ng’ayogera kumpi na buli omu mu kiseera ky’ekimu. Era olwali okundaba, nnali
sinaba na kumweyanjulira naye ye n’ambuulizaawo nti: “Ate ggwe oviiridde wa?”
Ko
nze nti;“Mbale!”
Awo
ye kwe kuddamu nti:“Ggwe tetulina kya kukukolera wano okuggyako okukuzzaayo e
Mbale! Ye osula wa?”
Ko nze nti;“Sirina!”
Ye
kwe kuhhamba nti; “Kale beera awo!”
Teyalwa
ne yeesogga offiisi nate. Nze nnasigala awo nga nneebuuza lwaki yali
tambuuzizza mannya. Nnatuula ku lubalaza lwa ofiisi n’abaana bali ababiri. Omu
ku bo kwe kuŋŋamba nti; “Totya. Bajja kukuyamba. Naffe wano tumazeewo akabanga
katono, naye batuyambye. Kati nze mmanyi n’okukuba ennanga, ate nsuubira bajja
kunkolerayo n’ebintu ebirala bingi.”
Naye
aba akyayogera, ne bamuyita ne munne,era ne bayingira mu offiisi munda. Awo nze
ne nsigala bw’omu nga nninda ekinaddirirra. Waayita akaseera mpa we kaaga, ne bakomawo,
era ne baŋŋambirawo nti Uncle
abagambye ŋŋende nabo. Ssaatawaana na kubabuuza wa gye twali tulaga.
Twafulumirawo olukomera, ne tulekawo abayaaye abalala, ffe ne twessa mu ddene.
Omu ku baana bano yali ayitibwa Bisirikirwa, nga wa myaka nga kkumi n’etaano
era ng’atunula ng’omusirise.Yali asitudde akaveera akakiragala omwali ebintu
bye ssaamanya. Omulala ye ssaatawaanya nnyo kumanya bimukwatako.
Olwafuluma,
twakwata ekkubo eryali lituzza e Mengo-Kisenyi. Bisirikirwa yambuuza nti; “Ggwe wandyagadde abazungu bakukolerere
ki?”
Ko
nze nti;“Njagala bampeerere mu ssomero!”
Awo
ye kwe kunziramu nti; “Era ekyo kyennyini ky’oba okalambirako buli lwe bakubuuza
ky’oyagala. Buli lwa bbalaza Uncle Andy omuzungu ajja, okuwuliriza buli
kizibu kya buli omu ku ssaawa nnya. Naye obeera oteekeddwa okwewandiisa ku lw’okutaano
n’obeera mu baana ekkumi abasooka okwewandiiisa. Era ffe twewandiisizza leero
ku makya, ajja kutulaba ku Bbalaza.”
Ebyo
yabiŋŋamba tweyongerayo mu lugendo, naye nga simanyidde ddala gye twali tulaga.
Munnaffe omulala kwe kuŋŋamba nti: “Ekirala, oteekeddwa okweyisa obulungi.
Ng’obeerawo ku Club House, ne bakulabako
wakiri buli lunaku nga wooli. Ate osaanye obutanywa njaga oba okunuusa amafuta
g’ennyonyi. Awo bw’otuuka okwewandiisa baba bakumanyi nti oli member ate toli wa mpisa mbi.”
Twayita
mu myegotteko gy’obuyumba n’ebiguudo eby’ettaka yogaayoga nga tugguse ku
kkanisa y’Abalokole mu Kisenyi. Bisirikirwa kwe kuŋŋamba nti mu kkanisa omwo
mwe twali tuteekeddwa okusula. Era twayingira, ne tusangamu abaana abalala
ab’oku nguudo nga buli omu alina entebe y’ebibaawo kwe yeebase. Nze nange nnali
nziggyeeyo emu ku ntebe nga ngituddeko, omuyaaye omu n’agingobako nga bw’annangira
obwa ffala. Bisirikirwa yankuba ku
mukono n’aŋŋamba tukkirire mu katale k’emmere tufuneyo eky’eggulo.
Nnamugambirawo nga bwe nnali sirina wadde ekuba ennyonyi.
Ko
ye nti; “Tolinaawo newankubadde ebibiri?”
Ko
nze nti; “Nninawo kikumi kyokka.”
Awo
ye kwekuŋŋamba tugende.
Olwatuuka
mu kirabo ky’emmere ewa Hajati Nalongo Bbeereddene mu Kisenyi, nnasanga
olwebeeya lw’abantu abaali bavaabira akawunga n’ebirenge by’ente ku masowaani
ag’embaati. Bisirikirwa yalina siringi bisatu, n’ansaba ekikumi, era n’alagira
batuwe essowaani z’akawunga n’ebijanjaalo bbiri. Olwabituwa, kaabula kata
ngwewo ennume y’ekigwo. Anti obumere nnabukwatamu emirundi ebiri nga bw’aweddewo
dda nkomba ngalo. Tetwalwa ne twessa mu ddene okuddayo nate ku kkanisa gye
nnavumbula nti omusumba waayo bamuyita Pastor
Chris.
Mu
kkanisa, twasulanga ku ntebe ez’embaawo, abalala ku ssementi. Okuggyako abo
abatono abaali bamanyiddwa era nga ba kaawokadda, be baalinanga emikeeka kwe
basula n’essuuka ez’okwebikka. Nange nnasulanga ku lubaawo, nga nzigyamu
essaati yange ne ngyebikka. Ku makya twabukeerezanga nkokola ne tutereeza
entebe n’ebikunta ne tubikweka mu nsonda, abalina gye balaga bo ne beggyawo.
Nze kitawe nnakeeranga kutuula mu kkanisa oba wabweru waayo nga nneeyaguza
lugyo.
Nnali
mwavu lunkupe nga ne bw’onsulika sivaamu wadde ekinusu. Bannange bo baali
bajagujagu nnyo, nga bakeera kugenda kusala nsawo, kukwabula masaawa, emikuufu egy’omu
bulago, ensawo z’abakyala, ebikomo n’amasimu bye baatundanga ne bafunamu
ekigulira magala eddiba. Abalala baakeeranga kugenda kunoonya ebyuma ebikadde
mu kibuga bye baatwalanga okutunda mu ziggalagi z’ebidduka. Abandi bo oluusi ne
mu kkanisa tebaasulangamu. Anti ng’ekiro baba bagenze kunyagulula amayumba g’abantu,
okubba amataala g’emmotoka, amabaati g’ebikomera, nga kw’ossa n’okugula
bamalaaya.
Omu
ku bavubuka kkungwa mu kwerigomba ne bamalaaya yali y’aneefunira. Anti ye
olwakivumbula nti nnali nkeera kuzingira mikono gyange mabega, n’ampa omulimu
ogw’okumwolezanga engoye ze buli ku makya. Bwe yaddanga n’alyoka ampaayo
ssiringi bibiri. Ebibiri ebyo bye nnagulangamu akawunga ak’ekye ggulo ewa
Nalongo. Kyayi, kw’ossa n’ekyemisana byo nnali nnabivaako ng’atabyagala.
Nalongo naye nnali nnamusalira ag’enkolwa. Bwe nnakivumbula nti akawunga ke
kaali tekanzikusa, ne nsalawo ngulenga kaluma. Nneeyazikanga essowaani y’omu ku
bannange, olw’eggulo ne ngenda ŋŋamba Nalongo okumpimira akawunga ak’ebibiri
nga tekuli nva. Kano
ko kaabeeranga kangiko, era olwamalanga okukalya nga keereere, nga
nkawereekerezaako ekikopo ky’amazzi g’omudumu, olwo embeera n’edda mu nteeko.
Buli
Lwakuna, lyali nga tteeka, nga ffenna abaana ab’okunguudo tuteekeddwa okulya
eky’emisana ku Club House. Ku olwo,
omuzungu Andy ne banne lwe baatufumbiranga
omuceere n’emboga, kw’ossa okutuwa obugaati, ennanansi n’ebirala ebigenderako.
Era essaawa olwaweranga omusanvu, nga Club
House yonna ejjula n’ebooga. Abayaaye baakuluumulukukanga okuva e Bule n’e
Bweya okujja okweriira ku by’endola.
Omuzungu
ne banne baasokanga kutusimbya lwa kasota ne batuyimbira n’okutuyimbisa
ennyimba ez’abazira. Olwo Senior Squad
ekibinja omwalinga agavubuka ga kanyama agaasambanga omupiira, n’eyingirawo
okuva mu kisaawe mu lubiri e Mengo. Bano bajjanga baleekaanira waggulu
n’okweswanta ng’omusota omukubeko. Naye baalindanga bu ttooto obwana obuto okusooka okugenda okufuna eby’okulya, olwo ne balyoka
beeyiwa mu lunyiriri nga bwe baleekaanira waggulu nti; “Senior Squad! Senior Squad! Senior Squad! Senior Squad! Senior Squad!
Senior Squad!...” nga kwe batadde n’okubuukabuuka mu bbanga n’okuwanika
emikono. Olwo ebikonde n’ensambaggere ne bisooka binyooka nga buli omu alwana
okulaba nti y’asooka mu maaso gye bagabira emmere. Nze kitawe ataali ttooto, ng’ate ne mu Senior Squad ssiriimu, nnatuulang ebbali ne nkwata ne ku ttama nga nneewuunya
emiswaswangule gy’abayaaye. Oluusi ssaafunanga mmere anti ng’olunyiriri
ndweyungako kikeerezi ng’emmere eweddewo.
Buli
Lwakutaano nate ng’enguumi ekeera kunyooka. Anti nga buli omu alwana erinnya
lye liwandiikibwe ku lukalala lw’abaana omuzungu b’anaalaba ku Lusooka. Bwe kaakutandanga
erinnya lyo ne litabeera mu mannya ekkumi agasooka, olwo eby’Omuzungu ng’obyerabira, olinda mulundi guddako.
Nze mu kusooka nnali mbitutte nga bya muniino, okutuusa lwe nnalaba nga
bannange bafubutukayo mu offiisi ya Andy
n’obumoome bw’ensimbi, ate abandi ne babaguliranga ebintu eby’ebbeeyi
okubazzangayo mu byalo byabwe ne ku masomero, olwo nange ne ndyoka nzibuka amaaso.
Ku
Club House nnagendangayo ne nnyimiriranga
okumpi n’emmotoka z’abakulu. Kale buli
lwe baavanga mu offiisi nga bansanga nneesimbye butengerera ku mmotoka zaabwe.
Awo we bankubiranga ku bujjambo, n’oluusi ne bambuuzanga ne ku mannya gange ne ngabagamba.
Olulala nga nsiiba mu bimu ku bisenge Uncle
ayitibwa Charles gye yasomeserezanga
abaana abaali batamanyi kusoma na kuwandiika, buli Lwakubiri. Eyo gye
nnatuulanga singa tewaba kigenda mu maaso, ne neegololera ku mmeeza nga bwe njayuuya.
Olulala nga nfulumako ne ŋŋenda okweyiwako ku tuzzi mu binaabiro nabyo
ebyalinga eby’okulwanira.Ssabbuuni ow’okunaaba n’okwoza twali tumusabiranga mu
ddinisa lya Andy. Naye nga lw’otamufunye
oliimisa munno alagajjalidde owuwe, n’obulawo naye. Oluusi nnatuulanga awo ku
kizimbe ekyali kizimbibwa nga nakyo kya Tigers
Club. Omu ku bazimbi kwe kumbuuza nti, “Naye lwaki ggwe tolinga banno?”
Nnamuddamu
kimu nti; “Nze bwentyo bwe nnazaalibwa.”
Naye
waalingawo omu ku bazimbi eyalinga apima ekizimbe n’okulagirira banne,
eyateranga okuyimba oluyimba mu luzungu
nti:
“God will make a way
Where there seems to be no way”
Oluyimba
lwankwatangako nnyo, naye nga muli ndowooza nti yali ayimba kubanga ye yali
bulungi nga tamanyi mbeera gye nnali mpitamu.Kubanga bwe naddangayo ku kkanisa
mu Kisenyi ne ndaba nga sirina wadde ssiringi kikumi okugula ku k’okuzza eri
omumwa, wamma ggwe ne ndabira ddala nga tewali kkubo lya kuddukiramu.
Ku
kkanisa nayo ebintu by’ayongera okunfuukira omuteego. Anti ng’eyo ekiro mu
matumbibudde waliwo omuvubuka eyayitibwanga Musoga, eyazuukukanga ekiro
n’alyoka asaba nga bw’aleekanira waggulu ennyo ffenna n’atumalako emirembe. Bwe
yamalanga okuleekaana mu nzikiza, n’ateekako ettaala, era n’atuzuukusa ffenna
lwa mpaka nga bw’atulagira tutandike naffe okusaba. Olw’okuba yali wa kiwago
ng’atusinga obuwanvu n’obukulu, twamutyanga nnyo era ne tukola bye yatulagiranga.
Nze eby’okusaba nnali sibimanyiddeeko ddala; okuggyako okusaba Mukama ampeerere
mu ssomero, ampe ennyumba esinga Uganda
House obuwanvu, mpozzi n’eddoboozi eriyimba okusingako n’erya Celine Dion obulungi. Era bwe mnagiranga
ne nzisa omutwe ku ntebe bwenti, awo we nnabongooteranga era ebyaddiriranga nnabitegeeranga
nkeera.
Olw’eggulo
waalingawo omukyala eyajjanga okutusabisanga n’okututendeka okuyimba. Bwe yabuuza
mu ffe ani yali yeetaga okwegatta ku bayimbi mu kkwaya, nnawanika omukono era
n’angatta mu abo be yali atendeka. Naye mukazi wattu ky’amubuukako bwe yakivumbula
nti eddoboozi lyange lyali lisingako ne ery’ekikere obubi. Era naye tawena n’aŋŋamba
nti, “Ggwe sirina ddoboozi mwe nsobola kukuteeka okuggyako okukuteeka ebbali.” Bwentyo
bwe nnagobwa okuva mu kkwaya. Era ekyaddirira kwe kutuulanga mu kkanisa buli
olukedde.
Oluusi
nnafulumangako wabweru ne neetegereza emirimu egyalinga gigenda mu maaso.
Abayiisa b’amalwa, abawewa omuwemba n’obulo, abakola mu byuma by’obuwunga
bwa kasooli ne mwogo, n’abakeera
okuzannya zaala n’amatatu bakira nga babukeereza nkokola okukakkalabya egyabwe.
Naye waalingawo abaasulanga mu birabo by’omwenge nga beesiwa omumbejja Namaalwa
era nga ku makya obalaba batagala bwe bazunga nga balugu atannakwata muti. Bo
bamalaaya baakeeranga nnyo okuva ku nguudo sikulwanga wabaawo abamanyi
n’abeewuunya obugwenyufu. Naye ndowooza abasinga baabeeranga baaguliddwa dda
nga bali mu maloogi ne mu maka g’abasajja, bakakkalabya egy’okukulaakulanya
eggwanga.
Ekyansanyusa
kyali kimu nti ku kkanisa waalingawo akaana ak’emyaka nga musanvu egy’obukulu
akaasalawo okuba kakwano kange nfa nfe. Baali bakayita Derrick, naye nga ekinneewunyisa buli lwe kaabanga kajja ku kkanisa,
nga kandeeterayo obumpwakimpwaki okuva eka waabwe. Nako kaali katera okugendako
ku Club House naye nga kalina bazadde
baako. Kale bwe kandeeterangayo ku kabalagala ku makya ne nnywerako n’amazzi,
wamma ggwe olwo ne nninda ebinaddirira. Naye lumu kambuuza nti;” Mukwasi lwaki
osulanga mu kkanisa?”
Ko
nze nti; “Lwakuba sirina mulimu.” Kaasirika busirisi ne kadda ku birala.
Bwe zaaweranga essaawa nga ttaano ku makya,
nnagendangako ku Club House eya “Tigers Club.” Era lumu nange nnabukeereza
nkokola ne ŋŋenda okwenyigira mu bayaaye abaali balwana okwewandiisa. Ku luno nange nnakuba
ku ŋŋuumi, nempaguza okukakkana nga ndi mu baana ekkumi abasooka. Uncle Simon eyali awandiika amannya, yasooka butanfaako nga bw’agamba nti;
“Ggwe wano nga tetukumanyi?”
Omu
ku baana kwe kumuddamu nti; “Uncle
naawe olimba! Oy’omuyaaye asiiba wano ne ku kkanisa oyinza otya okugamba nti
tomumanyi?”
Simon olwawulira ebyo, kwe kumpandiika mu katabo ke ebbali. Ku ssaawa
munaana ne batimba olukalala lw’abo abaali bateekeddwa okusisinkana omuzungu ku
Lusooka mu wiiki eddako. Nze baali
bantimbye mu kifo kya munaana era nnaddayo ku kkanisa nga nsambira mabega nga
jjanzi.
Lwali
lunaku lwa Kazooba nga tumaze n’okusabako ku makya ne ŋŋenda ku Club House ntere ngasimbagane ne
kyeruppe. Andy y’atandiika
okusisinkana abaana kinnoomu okuva ku ssaawa nnya ez’akalasamayanzi, okutuusiza
ddala essaawa kkumi ez’akawungeezi. Twasimba lw’akasota wabweru wa offiisi ye
ng’eno bwe twekalakaasa olwa banaffe abaayingirayo mu ofiisi ne bakulungula
kumpi essaawa bbiri nnambirira nga tebavaayo. Twalinga twebuuza kimu nti biki
ebyo bye baalinga babuulira omuzungu ebitaggwa? Bwe zaawera essaawa ekkumi,
omwana gwe nnali nziriridde naye n’ayingirayo. Awo nze ebyoka ne bitandiika
okuntokota. Nnakubyakubyamu biki bye nnali nteekeddwa okubuulira omuzungu kata
bimbule. Mba nkyabirowoozaamu, omwana n’afulumayo mu offiisi. Olwo nga nze
nteekeddwa okuddako. Naye mba nneesogga bwenti offiisi, Simon n’akantema nti Andy
yali akooye nnyo era nga yeetaaga okuwummulako. Mba ndi kumpi kwewozaako, Andy mwennyini n’afuluma offiisi era n’alinnya
emmotoka ye ne yeggyawo.
Ku olwo nnaddayo ku kkanisa nga nzenna ntunula
nkutujje, era nga neebuuza omulogo eyali andoga. Ne ku kkanisa ebintu tebyali
birungi. Nga essaawa bwe ziwera omusanvu, kumpi bannange bonna bagenda
nnebafuna ku k’okulya, naye nga nze tewali gye nzirukira. Nnayagala okwesuulamu
julune hhende nkyalire pulezidenti e Nakasero
mmuyitireyitiremuko ku nnaku yange. Naye bannange b’andabula nti singa
n’etantala okulinnya ekigere kyange e Nakasero, nnali wa kukasibira ku meere e
Luzira. Bwentyo kwe kusigalanga ku kkanisa nga nneezinze. Waaliwo abayaaye
abalala omuli ne Musoga, bo abaali bakola ogw’okusitula emigugu mu katale
Owino, n’okulondalonda ennyaanya n’emicungwa ebiba bifiikidde.
Olw’eggulo bwe nnabanga nfunye ku kasente, nga nsibira
wa Nalongo mu Kisenyi. Ono lumu nnamugamba nti ampimire akawunga akataliiko nva
nga ka ssiringi bibiri. Y’antunula mu maaso n’ambuuza nti; “Oli mulalu?”
Ko nze nti; “Nedda nnyabo, kino nkikola lwa kuba
akawunga ko bwe nkaliirako enva sikkuta, era nsigala njagala akalala. Naye bwe ndya
akaluma n’enkanywerako eggama y’amazzi, olwo mpulira nga sikyayagala kulya.”
Nalongo bwe yawulira ebyo, n’atandikanga okumpimira
akawunga akataliiko nva nga kawerako. Nange ako kwe nnasuliriranga n’ekikopo
ky’amazzi ag’oku mudumu. Oluusi nnaliimisanga abalyi abaalekanga emmere ku
ssowaani mu kirabo, ne ndya ebiba bisigaddeko. Naye olw’okuba nnali sirya nnyama,
emmere eyalinga erekeddwamu ssupu w’ennyama nnagitalizanga. Olwo ne nsigalira
okulya obukunkumuka bwa lumonde n’emmere endala eyabanga eriiriddwamu. Naye
waalingawo abantu abaamalanga okufujja amalusu mu mmere gye baba baleseeko,
olwo ne balyoka bavaawo. Oluusi nnamala nga geewalirirza nayo ne ngirya kasita
watabaawo muntu andabye.
Nga wayiseewo wiiki endala emu, nnafuna omukisa
okwewandiisa ku lukalala olw’abaana abanaasisinkana omuzungu ku Tigers Club. Uncle Simon yampaandiika
ku lukalala lw’abaana abanaasookerwako okugasimbagana ne Andy. Lunaku lwali lujja kubeera lwa Kazooba, era Uncle Simon ku luno yankakasa nti nnali siri wa kusubwa.
Naye ku Ssande nga nkyetegekera olunaku oluddako,
omuvubuka ayitibwa Ssennyonjo yayogerako nange ku kkanisa. Yahhamba nti yali andabidde ebbanga ddene ku kkanisa naye
nga tantegeera bulungi. Yambuuza nti; “Si ye ggwe omu ku bayaaye aba Tigers Club?”
Ko nze nti; “Ku Tigers
Club ntera okugendayo era naawe ntera okukulaba mu Senior Squad nga muva
okusamba akapiira!”
Awo ye kwe kumbuuza nti; “Naye nga ggwe toli muyaaye
nga bano?”
Ko nze nti; “Anti bagamba nti akejja obunaku keemanya.
Ggwe wali olabye ku jjanzi eribuuka n’enzige?”
Awo Ssennyonjo kwe kuhhamba nti; “Mukwasi,
ojje olekere awo okusulanga mu kkanisa. Nnina omuzigo gwe mpangisa mu Kisenyi,
awamu n’omufaliso. Gira tujje tutandike okusulanga awamu.”
Nnawulira nga Ssennyonjo anzigye mu ddubi mwe nnali
ntubidde. Era bwentyo kwe ku mwebaza nga bwe mmusabira n’emikisa Lugaba
amugonnomoleko ntoko. Yahhamba nti olunaku oluddako lwe twali tuteekeddwa okusulanga awamu.
Enkeera, nnali nnankamala okunaabako mu maaso nga
nninze kimu kukeera ku Club House
okukakasa oba nga ddala erinnya lyange litimbiddwa, Derrick n’ajja. Yahhamba nti Maama we yali ampita hhende mmulabeko. Awo nze kwe kugamba Derrick nti; “Olwaleero hhenda kusisinkana Andy,
n’olwekyo siteekeddwa kusubwa mukisa guno nga nzira mu birala.”
Awo Derrick
kwe kunziramu nti; “Abadde nti oyitira waffe ng’ogenda ku Club House! Onaasooka kulaba maama ky’akugamba, n’oluvannyuma
weeyongereyo okulaba Andy.”
Olwawulira ebyo, nange kwe kukkirirza ne twessa mu
ddene yogaayoga wa Maama Derrick.
Omukazi olwali okundabako, y’ambuulizaawo nti; “Mukwasi, ye ggwe asula mu
kkanisa?” Ko nze nti; “ Ye nnyabo, era bulijjo otera okundabayo.”
Teyalwa n’ankwasa ekidomola nga bw’ahhamba nti; “Nnyamba onkimire ku mazzi.”
Kaabula kata omukazi mmujeemere. Anti nnalaba ng’ali mu
kummalira obudde bwange, kyokka nga Andy
ali kumpi kutandiika okusisinkana abaana abalina ebizibu. Naye nnamala
geewaliriza ne nkwata ekidomola yogaayoga ku luzzi. Bwe nnamuleetera amazzi,
Maama Derrick kwe kunneebaza ennyo naye nga bw’ambuuza nti;
“ Ye ggwe omuvubuka Derrick gwe yahhambako nti osula mu kkanisa lwakuba tolina mulimu?”
Ko nze nti; “Ye nze nnyabo.”
Ye kwe kunziramu nga bw’ambuuza nate nti; “Bwe
nkufunira omulimu osobola okugukola?” Awo ne mmuddamu nti okwo kuba nga
kuseereza erigenda emugga. Era teyalwa n’ahhamba ngire ntuulireko awo ku katebe nga bw’ategeka ne
ku ka kyayi. Kaabula kata mmugambe nti nkyasooka kugendako ku Club House, naye ne hhuma okulinda okulaba mulimu ki gwe baali bantegekedde.
Bwe nnamala okunywa kyayi, Maama Derrick n’ahhamba nti ngira nnindako omuntu eyali agenda okuntwala awali omulimu kubanga
yali ajja. Amangu ago, mu kisenge ne wavaayo omulangaatira gw’omusajja
omuddugavu Omunyarwanda omuwanvu, n’ahhamba nti nnali ng’enda naye. Ono y’eyali Taata Derrick. Naye yasooka kumbuuza oba nga
ddala nsobola okukola emirimu n’obwesigwa. Awo Maama Derrick kwe kunziriramu nti; “ Oy’omwana n’okuba mulokole,
asobolera ddala.”
Taata Derrick
kwe kunkwata ku mukono n’ahhamba tugende gye ssaamanya. Nnayagala mmubuuze oba nga
twali tugenda wala, tusooke tubiyimirizeemu ntere nneeyune okusisinkana
omuzungu ku Tigers Club. Naye
nnasalawo okuguma amasajja ne nninda ebinaddirira.
Twatambulira ddala mukungujjo okuva e Mengo yogaayoga
mu kibuga wakati. Eyo gye twasanga emmotoka ezigenda e Namuwongo. Awo Taata Derrick kwe kumbuuza nti; “ Wali
otuuseeko e Namuwongo?”
Ko nze nti; “N’okuwulirayo siwulirangayo.”
Awo ye kwe kuhhamba nti nnali ndi wa kukoleranga Namuwongo. Bwe
twalinnya emmotoka, okuvaamu nga tuli Namuwongo okumpi ddala n’e Muyenga.
Olwava ku siteegi, ne tutambulako katono nga twolekedde ebikomera by’abagagga.
Mba nkyamegeredde, ne tutuuka ku kimu ku bikomera, era Taata Derrick n’anyiga akapeesa ka ggeeti.
Ssaamanya mugaso gwa kapeesa, naye nnalabira awo nga wavuddeyo omukuumi eyajja
n’atuggulira.
Bwe twayingira mu kikomera munda, kaabula kata ngwewo
ekigwo. Anti kyonna kyali kinyirira okukamala obumazi. Mwali mulimu enguudo eza
kkoolaasi, ebimuli ebitemagana, n’omuddo omuyooyoote ng’era oyinza okulowooza
nti otuuse mu ggulu. Mba nkyayasaamirirdde, embwa z’omugagga ne ziboggolera mu
kiyumba kyazo mu nda wamma ggwe ebyoka ne bintokota. Agabwa gaali ganene nga
gatunula ng’empologoma. Era olwagatunulako ne neekwata ku mukono gwa Taata Derrick, sikulwanga zimaguja ziwaguza ekiyumba
kyazo ne zintaagula obugo.
Twatambulira mu bukubo obwa kkoolaasi yogaayoga ku
mulyango oguyingira mu nnyumba ya bigegere olwali olubiri olulamba. Olwali
okutuuka ku lubalaza, nnalaba nga lwonna lwali luyooyoote n’amayinja
ag’omuwendo omungi. Awo era we nnategeerera nti nnali nnyambadde bubi nnyo.
Anti ku ssweta yange ey’ebikuubo nnali nnyambaliddeko empale eyakutuka zzipu
nga n’eppaasi yagyokyako ku butuuliro. Olwo
mmwo mu bigere nnali nsuddemu engatto ezaali zaagwa olubege nga zigenda bwe zimira
amayinja n’amazzi. Kale olw’okuba ssaalina sitokisi, nga bwe nziggyamu,
mmufubutuka ekivundu kye twayitanga kabboni
mugere nga n’atalina nnyindo
akiwulira. Bwe nnalaba nga we nnali ntuuse wannyirira okukamala, ne neerayirira
obutayingira mu nnyumba ya beene.
Taata Derrick
olwakonkona, nnawulira eddoboozi ly’omuwala nga liddamu nti; “Hold on!” N’akataayi tekaasala ng’oluggi
luguddwawo. Omwana omuwala omuwanvu nga mulungi lwondo kwe kwaniriza Taata Derrick ayingire mu nju mu lulimi
Olunyarwanda. Oh! Nze kaabula kata ngwewo ennume y’ekigwo bwe nnakuba eriiso mu
nju ne nnengera abantu abanyirira ng’ebinya nga batudde mu ddiiro eritemagana
nga mukene, omwali ne kkapeti ey’ekyoya! Awo nze kwe kugaanira ebweru. Taata Derrick
olwalaba nga ssimugoberera, n’agamba omuwala eyatuggulidde okumpita.
Omuwala nnamugamba nti nze ndi wa kusigala bweru, naye ne yeerema nti
nteekeddwa okuyingira, okutuusa lwe neegaganula ne nnyingira.
Nnende nnasitula engatto ez’ebituli ezaali zikutte
n’akafuufu k’omu Kisenyi nga kw’ossa n’amayinja gonna ge zaali zimize, ne mbikuba
mu nnyumba ya beene amatiribona. Olwali okwesimba mu ddiiro, nnatunuulira agatebe
agaalimu, nga temuli wadde n’emu mwensobola okwekakaba ntuule. Awo kwe kusalawo
wakiri okutuula wansi ku kkapeti. Awo omukyala omuwanvu eyali alaba ttivi kwe
kundaga erimu ku gatebe mbu mwemba ntuula. Kaabula kata mmugambe nti; ‘nze wano
wentudde wammala’ naye ne neegugumula ne ntuula mu gutebe. Kyokka nnagutuulako
kitundutundu nga ntya okuguggweeramu.
Nga nzikalidde mu gutebe, nneebunguluza ku maaso, ne ndaba
mu ddiiro nga mujjudde ebintu
eby’omulembe okuviira ddala ku bitambaala n’ebimuli, okutuusiza ddala ku ttivi
ne leediyo obwaguuga. Nnagenda okulaba ng’abali mu ddiiro bonna banneegese
amaaso, nga balinga abeebuuza nti masiikiini ono aviiridde ku kyalo ki? Mu bo
mwe mwali obwana obuto busatu akwali akalenzi akakulu ke bayita ka Mike, akawala akayitibwa Tona, n’ akalenzi akato ka Boneza. Obwana bwonna bwali bunyirira
ng’amata. Omukyala w’awaka naye yali anyirira n’okukirako emisambwa gy’e Mombasa . Omukyala yali
ayitibwa Chantal ate nga nnyinimu ye John naye nga bamuyita lya Boss.
Ono yali musajja wa kiwago nnyo era ng’ayogeza bboggo. Bano bonna amaaso baali
bagamalidde ku nze nga n’ebiri ku ttivi babivuddeko.
Taata Derrick
teyalwa n’annyanjula ewa Boss nti ye nze
omukozi gwe yali abafunide. Awo Boss
kwe kuntunuulira enkaliriza, n’oluvannyuma n’ambuuza mu Lungereza nti; “Young man, do you know how to iron clothes
well?”
Ko nze nti; “Yes Sir!”
Boss kwe kunjokya ekibuuzo ekirala nti; “Have you ever ironed clothes anywhere else?”
Awo nze kwe kujjukira nti nnakoma okugolola engoye ku
lunaku lwe nnali hhenze okukyalira Winnie e
Jinja. Nneeyazika ppaasi ya Edward
kiggala w’e Salye, eyali ey’ayamanda ng’ate simanyi nakukuba bukindo mu ngoye.
Naye era nnamala gaddamu nti; “Yes Sir!”
Oluvannyuma Chantal
y’ampita ne nfuluma naye wabweru, Taata Derrick
ne tumuleka ng’awayaamu ne Boss,
ng’ate bo abaana bali ku ttivi tebagiggyaako maaso. Tw’atuula awo ku butebe
bw’oku lubalaza nga tusobola bulungi okulengera obusozi bw’e Bugoloobi ne
Naggulu. Awo Chantal ng’amaze
okwogerera ku kasimu ke ak’omu ngalo, kwe kutandiika okumbuuza nti; “Ggwe
bakuyita ani?”
Ko nze nti; “Bampita Mukwasi!”
“Mukwasi oli wa ggwanga ki?”
Nnamuddamu nti; “ Ba Mukwasi tubeera Bagisu, oba
tuyite Abamasaaba okuviira ddala eri mu nsozi z’e Mbale.”
“Omanyi nnimi ki?”
Nze kwe kumwanukula nti; “Njogera Oluganda,
Olungereza, awamu n’Olumasaaba.”
Ko ye nti; “Zokka?”
Nange kwe kumuddamu nti; “N’endala nnaagenda nziyiga
mpola.”
Chantal kwe kuhhamba nti; “ Kati ojja kubeera ng’otukuumira ggeeti
buli misana okutuusa nga Askari
akomyewo buli lwa ggulo. Ate ojja n’okusiimulanga amaddinisa g’enju, osaawe
omuddo, olabirire embwa n’okwera mu luggya. N’ekirala ojja kuyambako abakozi abawala
okwoza n’okugolola engoye z’abakulu. Nja kuba nkusasula emitwalo ebiri buli
mwezi. Naye ojja kuba ng’oviira gy’osula, nja kukuwanga ssente ezikuzzaayo
n’okukuzza.”
Kaabula kata Chantal
mmugwe mu kifuba okumwebaza olw’okumponya obwa kireereese. Naye olw’okuba omukazi
ono yali anyirira nnyo, bwentyo nnatya okumuddugaza. Naye nze kwe kumubuuza
nti; “Nnyabo wange ntandiikirewo okukola kati?”
Ko ye nti; “Nedda, ojja kutandiika enkya. Kati genda
weetegeke. Enkya nkwagala wano ku ssaawa bbirir ez’oku makya.”
Bwe yamala okumpitirayitiramu byonna, y’ankwanga
ssiringisi lukumi ez’okunzizaayo. Bwe yaddayo mu nnyumba, ng’enda okulaba nga
ne Taata Derrick naye afulumye, ne tweggyawo.
Embwa nate zaatuboggolera nnyo nga bwe ziruma enjegere z’ekiyumba. Nneebuuza
engeri gye nnaasobola okulabiriramu agabwa agakambwe bwe gatyo nga ntandise
okukwazza egyange, ne nsoberwa.
Bwe twessa mu ddene, Taata Derrick y’andeka mu kibuga, naye n’ankwangayo ssiringi lukumi
olw’entambula, n’ansiibula. Awo nga nzenna nsanyuukiridde, we nnajjukirira nti
nnali nteekeddwa okusisinkana kyeruppe Andy
ku Tigers Club. Bwentyo nnaduka za
mbwa yogaayoga e Mengo ku Club House.
Bwe nnatuuka, nnasanga erinnya lyange eryali ku nnamba
nnya nga baaliyiseeko dda bali ku nnamba munaana. Bwe nnagezaako okugenda mu
lunyiriri lw’abayaaye mu nkuubo, b’ankwata amataayi. Waliwo kiyaaye omu
eyankwata jjeeke n’ansika era
okukakkana ng’anzibyeko obusente bwange Chantal
ne Taata Derrick bwe baali bampadde.
Omuyaaye olwafuluma, ssaddayo kumulaba. Awo abayaaye abalala kwe kusaakaanya
nga bwe banjereegerera nti; “Wabula boy ono
ffala nnyo! Obwedda Kingere ccali ali wano akunoonya kyokka ggwe
ng’okyali mu kusala nsawo za ba madam!”
Bwe nnawulira ebyo, emmeeme yange ne nennyika era ne mpulira
nga nnyoleddwa nnyo. Naye ssaalonzalonza, ne nfuluma mu nkuubo ne neetooloola
wabweru wa Club House. Siwena ne nzira
mu ddinisa lya offiisi ya Andy ne nningiza.
Uncle Simon olwandaba, n’ayima mu nda nga bw’ahhamba nti; “ Ggwe Mukwasi yitawo mangu eno! Obwedda
tukunoonya obadde obulidde wa?”
Ssaatawaana kumuddamu, wabula nnadduka za mbwa ne nzirayo
mu nkuubo okwesogga offiisi. Abayaaye abaali bagumbye mu lukuubo kwe kugezaako
okunsimbira ekkuuli nga bawoza kimu mbu bo be baali bansooseewo. Naye tuba
tukyezooba, Uncle Simon mwennyini n’aggulawo offiisi
n’ampita okuyingira. Abayaaye nnabaleka bakyakukkuluma, nze nnende ne nnyingira
okugasimbagana n’omuzungu omulundi gwange ogwali gusookedde ddala.
Kaabula kata ndowooze nti ndi mu maaso ga Katonda. Era
nnakubyakubyamu bye nnaagamba omuzungu, naye nga mu kaseera ako tewali kye
nnyinza kuyiiya. Nga bampadde n’akatebe kwe mba ntuula, omuzungu Andy, akulira Tigers Club mwene yatandika okunjokya kajjogijjogi w’ebebuuzo,
ng’eno Uncle Simon bw’awandiika mu katabo. Andy
y’ambuuza ebinkwatako, gye nnava, n’engeri gye nnatuukamu okubeera ku nguudo n’abayaaye.
Kuno kwali kusindika asitamye. Anti nnamulambululira ebinkwatako byonna,
olugero ne nduva ku ntono, ne ndutuusiza ddala ku muyaaye anzibyeko ssente
zange nga nnankayingira Club House.
Nnayogeranga mu lufuutifuuti ebigambo ebisinga obungi. Ate byo Andy bye yambuuzanga ng’ayogerera mu
nnyindo, nga Simon annyambako
okubitaputa. Byonna nga Andy amaze
okubiwulira, kwe kumbuuza nti; “Now, what
would you like Tigers Club to do for you?”
Nange olwawulira ng’omuzungu kennyini ambuuza ky’aba
ankolera, ne neemala eggoga. Anti abayaaye be nnasulanga nabo mu kkanisa baali
banzibiddeko nti; bw’oba oyagala omuzungu akuyambe mu bwangu, omusaba
kukuzzaayo mu kyalo akuweerezenga school
fees nga bw’osomera eyo. Era nange
bwentyo nnamusaba banzizeeyo e Salye ewa Jajja, kasita bansuubiza okumpeerera,
nnaasomeranga e Lweru gye nnali. Awo Andy
kwe kunziramu nti ekyo kyali kisoboka. Naye olw’okuba omwaka gwali gugenze
nnyo, nnali wa kulindako okutuusa omwaka oguddako, balyoke banzizeeyo e Salye
nsome. Era bansuubiza nti singa sseetaba mu byambyone n’ebikolwa eby’okunywa
enjaga, okunuusa amafuta g’ennyonyi, n’okubba, baali bajja kutuukiriza
ekisuubizo kyabwe.
Andy bwe yamala okufuna byonna ebinkwatako, n’ankuba
ekifaananyi, n’oluvannyuma n’anziriza ssente omuyaaye ze yali anzibyeko. Bwe
yambuuza erinnya ly’omuyaaye nga sirimanyi, abayaaye abalala ne balyogera. Olwo
Andy n’asala ku nsimbi omubbi ze yali
ateekeddwa okufuna singa yali tanzibyeko ezange. Bwentyo nnafuluma offiisi ya Andy nga muli mpulira emiryango
gy’eggulu gitandiise okweggula. Era sijjukira oba nga ddala waali wabaddeyo olunaku
olwali lunnyumidde okukira ku luno.
Olw’eggulo nnakasibira ku kkanisa ne nsooka mpa
n’obujulizi nga nneebaza Katonda olw’ebyo ebyali bintuuseeko mu bbanga
ery’olunaku olumu lwokka. Era eyo gye nnasanga ne Ssennyonjo, n’antwala ewuwe.
Ssennyonjo naye yali asula kumpi mu kasiisira ak’ebibaati emabbali w’omwala
wakati mu mwegotteko gw’obuyumba obulala okuliraana ebyuma by’obuwunga. Mu
kayumba yali asulamu n’omuvubuka omulala eyakomangawo amatumbi budde. Awo
Ssennyonjo kwe kundaga omufaliso gwe nnali ow’okusulangako. Nnasanyuka nnyo era
ne mmwebaza olw’okunnonda nfuuke mukwano gwe.
Olw’okuba obudde bw’ali bukyalaba, nnasalawo okusooka okugendako
ewa Nalongo, nange ku olwo ndyeko ekikungu. Era bwe gwali. Akawungeezi ako
nnakamala nnywa ku katunda, obushera,
ne ndagiiriza ne ku muceere n’ettooke ery’ekinyeebwa. Naye obudde bwankulako
bwe nneerabira ekkubo erinziza ewa Ssennyonjo ekiro. Nnabaguka okunoonya mu bissegguusi
bya Kisenyi, naye nga buli wempita ndaba, binnya, myala, byuma bya buwunga,
myegotteko gya buyumba, ggalagi za byuma bikadde, amabbaala n’ebiringa ebyo.
Nnatambula okwebungulula kumpi Kisenyi yenna naye nga ewa Ssennyonjo wambuze.
Eyo gye nnagwira ne ku ba malaaya abalejjesa emibiri, awamu ne ku bifo eby’ekigwenyufu
bye nnali mpulira obuwulizi mu hhambo. Mbu bamalaaya baali baagufuula mugano okufunza buli omu abayita
okumpi naddala mu ssaawa ez’ekiro. Era bwe kaakutandanga ne weeyisa okumpi ne
webalengera emibiri gyabwe ku minzaani, ng’ekikutuusibwako ofa okirojja.
Bwe nneeyongera okunoonya omuzigo gwa Ssennyonjo gye
guli, nneesanga ngudde ku gubinja gwa bamalaaya. Nabo olwali okundabako, banneebungulula
nga balowooza nti nange ndi muguzi. Tebaalwa ne batandiika okunsiiya n’okunsoya
obugambo nti; “Customer, jjangu wano
eno ya bbeeyi ntono. Lukumi lwokka round emu.
Round bbiri osasula lukumi mu bitaano
zokka!”
Nnali nkyetegereza omuwala eyali ambuulira ebbeeyi,
omukazi omulala kwe kunaawuuka eri n’ankwata ku mukono nga bw’ahhamba nti; “Wamma daddy
va ku oyo ayagala okukuliisa bye baliddemu! Jjangu ku eno ekyali fresh, enkumi ssatu zokka ekiro kyonna.”
Awo omulala kwe kumulya ekirimi nti; “Alimba! Fresh ki eyo gye yankamala okukomyawo? Wamma nze ndi
wano nkumi ttaano zokka, transnight.”
Mba nkyewuunya kiki ekigenda mu maaso, ne wabaawo omuwala
eyali yamyusa emimwa okukirako egy’akakolwa, eyajja n’aneekukuutitizaako nga
bw’ahhamba mu kaama nti; “Wamma mukwano, abo bakadde nnyo
baveeko. Jjangu eno eri muto munno. Kwatako bukwasi ogiwulire. Naye okukwatako
kwa ssiringi bitaano zokka! Bw’oba tosiimye, waliwo abansingako obuto abali mu
nnyumba gye nsobola okukutwala ne werobozaamu ku abo.”
Nze kwe kumuddamu nti; “Naye nze siri Customer, lwaki mwagala
okunkookoonya bye ssiigule?”
Awo omuwala kwe kukuba akakule nga bw’agamba banne
nti; “Oh! Bannange akasajja tekawera!”
Omulala eyali ayimiridde ebbali okumpi n’ekikondo
ky’amasannyalaze ng’ayambadde engoye enzirugavu kwe kuddamu nti; “Nze akasajja
nnakalabiddewo nga ka mpale enywera muguwa!”
Ekyavaamu erimu ku gakazi ery’agasambi aganene kwe
kunjoleekereza agagambo nti; “Ye ggwe kano
olina ki ky’omanyi? Akasajja okalabira nawo kafunya mugongo! Ako ne bwe kakusasula
ssente zaako, tekazimalaayo! Twagala tukayigirize emirimu nga kakyali kato,
kyokka kali mu kuweta mugongo!”
Awo omuwala eyabadde anneekukuutirizaako kwe
kwongerezaako nti; “Nze nkakutte nako naye nga tekawera. Mbadde ndowooza nkutte
na ku lukoba!”
Bwe nnalaba ng’ebigambo bya bamalaaya bijula okunjabya
amatu, ne nnyanguwa okubeggyamu sikulwanga bangwira ne bantaagula.
Bwe nnatuuka mu maaso, nnasanga omukazi omulala eyali
annyirira okusinga bonna be nnali ndabye. Teyalwa n’antaayiza nga bw’ahhamba nti; “Daddy,
jjangu tuteese. Nze siri muzibu nga bali b’olese. Engatto ya mutwalo gumu,
ssikaati ya nkumi ttaano, bbulawuzi n’akaleega nabyo bya nkumi ttaano. Ate zo
enviiri za kasanvu. Eby’ensula bya bwereere. Mpozzi ojja kunnyongerayo enkumi
ssatu ez’okusanyusibwa ekiro. Kati awamu ojja kusasula emitwalo esatu gyokka.
Naye nga tukyayinza okwongera okuteesa.”
Nneekanga nnyo okulaba omukazi omubalagavu bw’atyo okuba
ng’ali ku nguudo alejjesa mubiri gwe. Nneebuuza mu mutima gwange nti; ‘Omuwala
amata bw’ati lwaki tafumbirwa n’awona ogw’okusula mu mpewo n’okwerigombera
ssente?’ Naye nnagamba mu mutima gwange nti osanga nabo balina ebizibu
ebisingako ne bye nnali mpitamu. Ssaalwa mwana muwala ne mmuleka ng’akyayagala
okunsalirako ku bbeeyi. Nnawulira ng’ansooza buteddiza, naye teyampereekereza
kigambo kyonna.
Nneetooloolako ne mu bufunda obulala mu Kisenyi nga
nkyeyongera okunoonya omuzigo Ssennyonjo gwe yali antuttemu akawungeezi. Eyo
gye nnali mbulidde at’era gye nnasanga bamalaaya abalala nga nabo bali ku
mulimu gwe gumu. Awalala wo nnasanga basajja na bakazi ku nsonda z’obuyumba,
emmanju w’ebirabo by’omwenge, n’emabega w’ebinaabiro ng’omukwano gukute akati.
Bwo obugwenyufu bwe nnalaba ekiro kino, nnali
sibulowoozanga nako. Waliwo we nnayita ku muzigo ogwali gulekeddwa nga muggule
nga n’ettaala ekyayaka. Ng’enda okutunulako munda, amaaso nnagatuusiza ku mwana
muwala omuto, ng’omusajja amuganzise ku kiwempe wansi amukekemya bukoko.
Ekyewuunyisa, waaliwo n’omukazi omukulu eyali abafukamidde emirannamiro
ng’akutte amagulu g’omuwala, ng’amukayukira
mu ddoboozi ery’omwanguka nti; “Naki…! Tebakaaba bwe batyo! Omusajja mukwate
bulungi! Ojja kutufiiriza ssente!”
Kino kyampitirirako kata nnyimirire nneeyongere
okwetegereza. Naye mba nnaatera okutta ku bigere, ne nnengera akakuukuulu
k’abavubuka gy’endaga nga balinga abakuhhaanidde ku ttivi okulaba omupiira. Bwe nnabaatuukako,
ng’enda okulengera nga bonna amaaso bagamalidde mu ddinisa eryali eriggule.
Ssaalwa nange ne mbeegattako ndabe omupiira ogwali gugenda mu maaso. Nnagezaako
okufuna ekyanya nange ndabe, naye nga bangi bakunnukkirizza ensingo buli omu
ayaayaana okulaba ekiri munda. Awo kwe kuwulira omu ku balabi ng’agamba munne nti;
“ Ah! Kyeyune, omuwala yamutandise bubi nnyo! Y’ensonga lwaki afiiriddwa
ssente!”
Olwawulira ebigambo ebyo, nange ne neekwata ku
bibegaabega by’abavubuka ne nnengejja mu bbanga ne ndaba ekigenda mu maaso.
Oh! Nnalengera mu ddiiro ly’ennyumba eyali ennene nga
muteereddwamu ebiwujjo by’empewo nga bina, n’ebitaala ebyali bimyansa mu langi
ez’enjawulo. Baali bataddeko n’ennyimba ezikuba ebidongo byokka omutali
maloboozi g’abayimbi. Eddiiro lyali ligazi bulungi nga mulimu obumeeza, entebe
enneneko, n’ebitanda bibiri. Olwali okwetegereza, nnalengera abasajja abanene
bana abaali beetadde era nga baleebeeta ng’ebide by’embwa, nga bayimiridde ku
ludda lumu olw’eddiiro. Awo nze ne ndowooza nti bagenda mu mpaka za kumeggana ekigwo
ekiganda. Waavaayo omusajja eyali ayambadde ekkooti n’ettaayi, n’asoma amannya
g’abawala ku kapapula nti; “Bano be bagenda ku luzannya olw’akamalirizo; Hilda, Berinda, Amanda, ne Tracy .”
Amangu ago abawala abaasomebwa amannya ne bavaayo nga
bonna bambadde bulungi. Baali bawala nga baakula bulungi, batono era nga batemera
mu myaka nga kkumi na musanvu. Omu yali ayambadde empale ne bbulawuzi. Omulala
ng’ayambadde bbodingi. Ow’okusatu ng’ayambadde ssikaati empanvu ne bbulawuzi
ey’emikono emiwanvu. Ow’okuna ye yali ayambadde ekiteeteeyi ekiwanvu nga
n’omutwe agubisse tewali kitundu kya mubiri gwe kirabika. Baavaayo bukuukuubira
ne bayimirira wakati mu ddiiro nga buli omu atunudde mu basajja abana.
Omulangirizi teyalwa n’akommonta effirirbi, akazannyo ne kaggyibwako akawuuwo.
Awo nze kwe kubuuza omu ku bavubuka abandi okumpi nti; “Kano kazannyo ki?”
Ko ye nti; “Ggwe oviira wa atamanyi Bedroom Game Live?”
Ssaamuddamu ne neeyongera okuliisa ku maaso. Abantu
baali bayingidde nkumuliitu munda, naye nga bonna batudde. Ffe abaali balabira
mu ddinisa nnakivumbula nti twali twebbye bwebbi.
Abasajja baavaayo ku kituuti, buli omu n’alonda ku
bawala bano, ne batandiika okuzina mpolampola ng’abatalina kigendererwa.
Nnagenda okulaba nga buli mugogo gutandise okukola ebintu ebyanzigya ekifu ku
maaso. Nnasooka kulaba ng’omusajja eyali azina ne Hilda, atandiise okumwambulamu engoye. Omu ku balenzi abaali balaba
n’agamba nti; “Ah! Amutandise bubi! Naye owa bboodingi yandisinga.”
Ng’enda okutunula ku Berinda eyali ayambadde bboodingi, ng’omusjja amutuuzizza ku
kameeza agenda amusumulula ekyesibizibwa nga bw’amunywesa n’egiraasi y’amata.
Abo olwabaggyaako amaaso, nnalengera Amanda
eyali ayambadde ssikaati empanvu, ng’omusajja amuggyeemu bbulawuzi, asigazza
kaleega na ssikaati byokka. Nnali nkyetegereza Amanda, n’empulira ng’enduulu ekoledde. Bwe nnaakyusa amaaso ndabe
lwaki abalabi bakubye enduulu, nnagatuusiza ku Tracy .
Ono omusajja yali yamugudde dda mu mbugo amuvaabira nga nswa. Awo enduulu
n’esaanikira ekikaali kyonna obutasirika.
Nnali ndowooza nti ebintu bwe bityo bwe binaggwa,
mpozzi nga gakyali mabaga. Anti nnagenda okwebunguluza ku maaso, nga kumpi
abawala bonna bana abasajja bamaze okubambulamu engoye zaabwe zonna basigazza
buleega na buwale bwa munda. Ababiri baali bakyazina buswa, naye ng’ababiri
abalala batandikidde ddala okwerigomba. Tracy ne Hilda be baasooka okulya empanga.
Obuwale bwabwe bwonna baabwambulamu ng’abawendule ne babukanyugira abawagizi
abaali babakubira emizira ne babulwanira. Nnalengera omusajja omu ku balabi nga
yeesonseka akawale ka Hilda mu mpale
ye. Eddiiro lyonna ly’akwata omuliro, baana bawala n’abasajja baabwe bwe baatandika okwegadanga okw’akaasa mmeeme
wakati mu lujjudde lw’abantu. Waayita kumpi kitundu kya ssaawa nnamba nga ffe abali mu ddinisa tuli mu
kwesindika n’okwesikambula nga buli omu ayaayaana okwerolera ku miswaswangule
egyali mu kwerigomba ekirindi ng’ensi yonna eraba. Nze nnali mpulira maloboozi
ga bawala kusinda naye ng’ebisinga sibiraba. Nnagenda okuwulira ng’enduulu
yeeyongedde okukoleera, ne mpalampa ekisenge wakiri ebisigadde mbizigire waggulu mu kamooli bireme okumpitako.
Mba nnankatereera,
Omulamuzi kwe kulangirira nga Berinda
ne munne bwe baali boolekedde okuwangula
olwokaano. Olwo abakubi b’ebifaananyi ne batandika okwetala nga babeetooloola
wonna, nate ne bansiikiriza. Abakubi b’ebifaananyi baagenda okuvaawo, nga Berinda ne munne bali mu kweyambaza
ngoye n’okwesiimuula entuuyo, naye ng’abantu baleekana kimu nti; “Extra time! Extra time! Extra time!”
Omusajja olwamala ogugwe, yayingira mu mulyango
abaawanduse mwe baali bafulumidde, eddiiro n’alirekamu Berinda yekka. Awo abawagizi ba Berinda
ne bamukubira emizira nga bwe bamuyozaayoza olw’okutuuka ku buwanguzi. Omu ku
bawagizi kwe kuleekaana nti; “Berinda
tuweemu akasiibulizo!”
Awo nange kwe kwetereeza ndabeko bye nnali nsubiddwa
mu nsindikagano. Nnagenda okulaba nga muwalajjana atandiika okuzina nga yeeyambulamu
engoye lumu ku lumu okutuusiza ddala bwe yasigala obuswa. Awo abasazi b’empaka
kwe kumuleetera akagoye ak’akatimba ne bakamusiba mu kiwato era ne baggyawo
engoye ze yali yeeyambudde. Baamuyimiriza ku kituuti ng’atunudde mu bawagizi,
naye nga nange simuggyaako maaso.
Awo abakyala babiri, n’omusajja omu, ne baleeta
ekikopo ekya zaabu, ebirimba by’ebimuli, n’ebbaasa omwali akavangata ka ssente
ne babikwasa Berinda. Omulamuzi kwe
kulangirira nti; “Bannange abagenyi baffe, omuwanguzi w’empaka za Junior Bedroom Game Live ow’omwezi guno
ye Berinda…!”
Awo abantu bonna ne bakuba enduulu ng’abamu bwe
baleekaana nti; “Berinda nange
nkwetaagamu.’
Omusajja eyali akutte akazindaalo, kwe kubuuza Berinda nti; “Nnalulungi, owulira otya
oluvannyuma lw’okuwangula banno ekikumi abeetabye mu mpaka zino?”
Awo Berinda
nga yenna obuseko bumwetimbye ku matama kwe kuddamu nti; “Simanyi ngeri gye
nnyinza okwogeramu essanyu lye mpulira ku mutima. Naye nneebaza Katonda
ansobozesezza nze omwana mulekwa okuwangula akazannyo kano . Mbadde nvuganya n’abawala
bannantawunyikamu mu mpaka zino nga Amanda. Naye era nneebaza Katonda nti,
n’omusajja gwe nzannye naye abadde muguminkiriza ng’ate akazannyo akategeera
bulungi. N’abawagizi bange mbeebaza ak’ensusso, kubanga amagezi ge mubadde
mumpa nga ndi mu ddiiro, ge gansobozesezza okumalako. Naye ekisinga obukulu
kiri nti mmenyeewo likodi ya Amanda
ey’okumala eddakiika ennyingi mu kazannyo. Likodi kati njongeddeko eddakiika
abiri mu musanvu, era nsuubira nti ku mulundi oguddako, nja kukola n’okusingako
wano.”
Awo abantu bonna ne bakuba emizira ng’eno Berinda bw’ava ku siteegi.
Omusajja ow’ekkooti teyalwa nate n’alangirira mbu
kyali kikyali kituuza. Anti mbu akazannyo akaali kaddako ke k’abakulu akaali
ak’okuggya abantu ekifu ku maaso. Amangu ago mu lutimbe ne wavaayo abakyala
bana nga bonna bakunnumba bute, ne bayimirira wakati mu ddiiro nga bwe babuukabuuka
ng’abagenda mu mpaka z’okudduka. Omulanzi nate n’asoma amannya g’abasajja bana abaali bagenda mu mpaka ez’akamaliririzo. Awo
ne wafubutukayo abasajja nga banekede bulungi mu makooti, amataayi n’amakanzu.
Omulanzi teyalwa nate n’anyanyaagiza effirimbi akazannyo k’abakulu ne katandika
okutojjera. Ku luno abakazi ab’amabeere ageewuubira mu bbanga nga ag’ente
ensagala, be baakola ogw’okwambulamu abasajja engoye zaabwe nga batandiikira ku
mataayi. Bwe nnalaba nga batandise okuzina
n’okwegadanga mu ngeri eyanaamiriza, ne hhamba mu nda yange nti bino bwe sibyerekereze nnali wa
ku kifuuwa nga nkizza munda. Bwentyo, nnakka okuva mu kamooli gye nnali
nneekutte, ne nsalawo okudda ku kkanisa. Eby’okunoonya ewa Ssenyonjo nnasalawo
kubiddira nga bukedde. Naye nnagenda nzenna nga mpulira njaka, nsiriira, nzigwawo.
Ku lunaku olwaddako, nnabukeereza nkokola ne mbissaamu
engatto yogaayoga Namuwongo okutandiika omulimu gwange. Olwakonkona ku ggeeti, Askari n’anzigulirawo nga bw’annyombesa
nti nnali nteekeddwa okunyiga akapeesa ka ggeeti akade kavuge. Nange
olwayingira mu kikomera, nnatambula butereevu okweyanjula eri Chantal. Nnasanga baakyebaza yazimba
okuggyako abakozi. Mu bakozi mwe mwali ne mwana muwala omulungi lwondo eyali
atuggulidde eggulolimu nga ndi ne Taata Derrick.
Omuwala ono yali ayitibwa Mutoni, era ne ku luno y’eyahhamba nti abakulu mbalindireko awo ku lusebenju.
Nnamwetegereza nnyo nga muwanvu, w’akataketakke, era ng’atambuza ssimbo.
Gulabika gwali muze gwe gwa bulijjo okwambalanga obugoye obumpi obumukoma
waggulu w’amaviivi. Nnakivumbula nti Mutoni ono y’akola ogw’okulabirira abaana,
okulongoosa ennyumba, okwoza engoye n’okuzigolola. Omukozi omulala baali
bamuyita Mbabazi. Ono naye yali mulungi mata, nga mweru n’okukirako ettungulu,
naye nga si muwanvu nga Mutoni. Ono y’eyali akola ku by’okufumba n’okulya byonna.
N’oluusi yayambangako Mutoni okuyonja awaka ne mu nju. Mutoni yali ayogera
Oluganda olumenyefumenyefu, ng’ate ye Mbabazi alutereeza bulungi. Era bombi
baali basula mu kisenge ky’ekimu mu nnyumba yaabwe eyitibwa Boys Quarter.
Chantal bwe yazuukuka, yajja nga yenna akyesibye ttawulo,
n’atuula awo ku lubalaza we nnali ntudde, n’asala nako. Teyalwa n’addamu
okumbalira emirimu gye nnali nteekeddwa okukakkalabya. Naye ebyo yabyogera nga
nze ndi ku bunkenke, anti kumpi yali tayambadde, okuggyako ttawulo gye yali
asibidde waggulu mu kifuba. Teyalwa n’agiwenjulako katono okwongera okubikkako
ku kifuba, era n’antwala okunnyanjulira Mutoni ne Mbabazi ntandikenga okukola
nabo. Bwe yamala ogugwe, n’addayo mu nnyumba ye okwebaka.
Ku makya okwo Mutoni yasomba engoye empya n’enkadde
n’azisuula mu gubbaafu ogunene n’endala ne zigwa ebbali. Olwo n’alyoka ampita hhende ntandiike okwoza. Olwatuuka emmanju awaali ttanka
y’amazzi n’ennyumba y’abakozi, nnalengera entuumu y’engoye ng’ekirako olusozi
gambalagala. Okutunulako ebbali nga ndabawo ebbaafu nnya nnamba ne ssabbuuni w’obuwunga n’omuti. Ssaalwa nga
mbuuza amazzi gye gali ntere ntandiike okukwazza ogwandeese. Mba nkyabuuza, mu
nnyumba y’abakulu n’efubutukayo ekimyula ky’omuwala nga naye yeesibye ka
ttawulo akampi ddala. Y’ajja aleebaleeba ne ka bbulawuzi mu ngalo n’alagira bakamugololere.
Awo Mbabazi kwe kuhhamba nti; “Ssumulula ttaapu y’omukinaabiro,” era ye n’agenda mu maaso
n’okugololera muwala munne bbulawuzi. Bwe yamuddiza olugoye, nnyini lwo
n’awuuba enviiri ku mutwe, era n’anyeenya akabina ng’akazzaayo mu nnyumba
y’abakulu. Oluvannyuma ennyo ng’omuwala oyo avudde mu maka omwo, lwe
nnakivumbula mbu yali muwala wa mukulembeze wa ggwanga.
Ku olwo bwe nnamala okwoza, entuumu y’engoye, nnagenda
ku ggeeti okutandiika ogw’okuggulira emmotoka z’abakulu eziyingira n’ezifuluma.
Enjala nayo yali yeefudde mukoko ng’ensenkenya buteddiza okwagala
okuntinnyatinnya olw’ekaganga. Mba nkyerya nkuta za mimwa, ne zireeta Mbabazi
n’essowaani y’ebbumba engazi ng’ekira okwenkana olusaniya. Yahhambirawo nti; “Emmere yo yiino! N’engoye kati zimaze
okukala, kyandibadde kirungi singa otandiika okuzigolola.”
Olwamala okunkwasa emmere, n’andaga akabina ne yeddirayo.
Naye hhenda okubikkula ku bwaguuga bw’essowaani, ng’akatole
k’ettooke ke baali bataddeko, ne bw’aba omwana ayonka akalya n’asigala
ng’akyakaabira emmere. Olwo nze nnende eyabadde awagadde n’amannyo nga
nneesunze okulya ekigagga, mmiringuse eddigobe nsindise n’ebigere, nnasigala neekomba
ngalo. Ekyanzija enviiri ku mutwe nga nzizizzaayo essowaani, kwe kusanga nga
baana bawala balina emmere gye bayiye ku kasassiro. Baali bawoza kimu mbu
emmere baali bafumbye nnyingi nnyo era ng’abantu ebalemye okumalawo. Nnagamba
mu mmeeme yange nti wamma ggwe kisanga ataakitte.
Eky’emisana nga kiwedde, nnatakula omutwe nga bwe
nneewunaganya engeri gye nnaasobola okugololamu engoye. Naye abawala olwandaga eppaasi
y’amasannyalaze, kaabula kata kanzungu ankube kya bugazi. Anti nnali nsuubidde
nti ppaasi y’amasannyalaze gubeera guuma gunene nnyo era nga gwenkana kkabada
obunene. Naye hhenda okwetegereza nga ka ppaasi ke bandaga nkanyigira ne mu kikonde.
Era tebaalwa ne bandaga akameeza okugololerwa.
Nnatandika okukankana nga ntya nti ku luno amasannyalaze
gaali ga kuntuga butuzi. Naye nnaguma masajja ne ntandiika okugolola engoye.
Ebyembi nnali nzigololera mu kisenge
ky’abakozi abawala mwe basula. Nabo nga bonna balinga abawendule, baavaayo
yonna gye baali, ne badda ku buliri
bwabwe kinnoomu. Tebaalwa bombi ne batandiika okunsimba amaaso, ndowooza balabe
nga bwe ngolola engoye. Bombi baali bagalamidde ku buliri bwabwe nga bwe bagira
ne beerabako ne mu ndabirwamu zaabwe, n’okukebera ku bifaananyi byabwe mu zi
alubbaamu. Ekikolwa kino kyammalako nnyo emirembe. Buli lwe nnakubanga eriiso
lyange gye bali, nga lisanga omu bw’aba nga tali kwesiiga bizigo mu magulu,
omulala aba ali kwetereeza ssikaati n’okwekola obusolo. Nkugambye ng’emirimu
gye baali bayimbagatanyizza mu buliri bwabwe gikirako n’egy’omulwadde
w’olukuku.
Mutoni bwe yandaba nga ntunulatunula nnyo gye bali,
kwe kumbuuza nti; “Mwana we, engoye zikuremere okugorora?”
Nze nneewuunaganya bwe wuunaganya. Awo ye kwe
kunziramu amangu nti; “Nedda, tebagorora batyo. Reka nkurage!”
Amangu ago y’anzigyako ppaasi n’atandiika okugolola
essaati, empale n’ebiteeteeyi bakira nga bw’andagirira buli lumu bwe
balugolola. Bwe yamala, engoye n’azizingako bulungi era n’azitwalayo mu nnyumba
y’abakulu. Nnawulira bulungi nnyo era muli ne mpulira nga njagala nfuuke
mukwano gwe.
Olw’eggulo, Chantal
mwennyini y’ampita n’ankwanga ssente ez’okunzizaayo mu Kisenyi ewa Ssentongo
gye nnali hhenda okusula ku olwo. Naye nze ssaatawaana kulinnya
mmotoka. Nnatambuza bigere, essente ne hhenda okuziryamu ssabbuleenya n’akawunga ka mwogo ewa
Nalongo mu Kisenyi. Era ku olwo nange nnatuula mu baguzi b’emmere ewera, ne mpuuta
ne ku ssupu. Olwavaawo ne tukwatagana ne Ssennyonjo buto. Nnamugamba nti eggulo
nnali mbulidde mu Kisenyi ne nnemererwa okulaba omuzigo gwe. Bw’atyo naye teyali
mubi n’antwalayo nga bw’andagirira wenteekeddwa okuyitiranga okutuuka w’asula.
Bwentyo nnatandika okusulanga ewa Ssennyono mu muzigo ogwali guliraanye omwala
n’ebiyumba ebyali ku kalebwerebwe k’okwerindiggula ku ddimwa. Era eno gye
nnaviiranga buli ku makya ne njolekera Namuwongo ewa Chantal okukakkalabya emirimu.
Amaka ga Chantal
ne John gaali maka magundiivu nnyo.
Mu maka muno mwe mwali offiisi z’ekitongole ekikola ku by’abalambuzi ekiyitibwa
Watembezi Voyages Limited ekyali
kikulirwa kabwejungira mwennyini John.
Naye mu biseera mwe nnatuukira mu maka gano, mbu ensimbi zaali ekitongole
zikyevedde. Mbu abalambuzi baali tebakyajja mu Uganda . Kino kyali kivudde ku
bayeekera abaali beefudde mukoko mu kutirimbula abantu ba bulijjo omwali ne
bakyeruppe be baali bamizizza omukka omusu e Kabamba. Kuno kwali kwe gatiddwako
embeera eyali etenadda mu nteeko e Nairobi .
Anti bannalukalala abatasiba zikweya baali babandudde ekizimbe okwalinga
ekitebe kya Amerika ne bakireka ku ddimwa. Oluvannyuma lw’ebikola eby’ekitujju
bino, abalambuzi bangi okuva e Bulaaya baali beekengedde okujja ebuvanjuba bwa
Afirika lwa nsonga za butebenkevu. Kale olw’okuba Watembezi kyali kikola gwa kutambuza balambuzi mu Uganda , Rwanda
ne Kenya ,
emirimu gyali tegikyatambula bukwakku. Bwekityo ekitongole kyali kizinzeeko
ebyakyo kitere kyetegule ekyetere kya bbomu ezaali zikudde ejjembe.
John yali asiiba mu offiisi ye ng’ayomba n’abantu ku ssimu
era nga bangi abakekemya bukoko. Nze eyakolanga wabweru, nnamuwuliranga yeeswanta mu nju, ng’eno bw’akuba emmeeza
agakonde n’okusamba entebe, ndowooza nga yenna atuggubadde. Bwe yamalanga,
n’akoowoola Chantal gye yalinga,
n’alyoka amubwatukira mu matu ng’amubuuza lwaki essaati ye gy’asinga okwagala
tagiraba.
Lumu nnazza ogwa nnaggomola bwe nnatabika engoye
ezivaamu langi awamu n’essaati ya Boss
gye yali asinga okwagala, ne nzooleza wamu. Mutoni bwe yansanga nga nzooza,
n’abuuka mu bbanga nga bw’akutte ne ku mumwa n’akaaba nti; “Woowe maamaawe
tufudde…! “
Awo nze kwe kumubuuza ogubadde. Ye kwe kuhhamba nti essaati ya Boss yali eyozebwa yokka, era ku kino kye nnali nkoze, essaati ya John teyali yaakuvaamu langi ntabike.
Nange siwena kwe kuginnyika mu ssabbuuni w’obuwunga OMO ne Jik okumala enzingu
bbiri. Oluvannyuma nnagikunya ne ngitukuza bulungi era ne ngikuba ppaasi. Naye
nnagenda okugyetegereza, ng’essaati ya Boss
eremeddemu amabala. Awo Mutoni kwe kumpa amagezi nti hhende ngirage Chantal
era mwetondere. Nange olwamala okwegayirira Lugaba ambikkeko obusubi, kwe
kugenda ewa Chantal ne mmulaga
omusango gwe nnali nkoze. Olwetondera Chantal,
y’ansonyiwa era n’anfalaasira obutaddamu kumala gadibaga ngoye z’abakulu.
Ebyaddirira ssaabimanya.
Naye lwali lumu nga twankamala okunywa kyayi w’oku
makya, ne tuwulira ekintu ekibwatuka mu nju y’abakulu. Mutoni ne Mbabazi
olwagendayo, ng’enda okulaba nga bakomawo kiyumba anaagwa nga bonna beesisiwala
bakutte ne ku mimwa.Nange kwe kubabuulizaawo ogubadde. Ko Mbabazi nti; “Ggwe
towulidde kibwatuse? Abadde Boss
ng’ayita erinnya lya Chantal!”
Awo nze kwe kubabuuza nti; “Ate Chantal akoze musango ki?”
Mutoni kwe kumbuulira nti essaati gye nnayoleza mu
ngoye ezivaamu langi y’eyali ereese kalumanywera. Tuba tuli awo ne tulengera Boss mu nju nga yeecwacwana nga bwe
yeetenteggula, nkugambye n’amansuka ng’ava eno adda eri, yenna n’atuuyana
n’ennyindo. Chantal n’abaana be bonna
beekukuma mu kisenge ne bamira omukka okutuusa nga Boss avulumudde emmotoka ye ne byolera. Nze nnamuggulirawo ggeeti,
naye kaabula kata emmotoka agintomeze nkugambye ng’agivuga ng’omulalu. Ffenna
yatuleka tukute ku matama n’emimwa nga tulowooza nti omukulu agenze okutuleetera
abaserikale.
John yalina emmotoka ssatu. Bbiri ku zo zaali bbaasi
entonotono ezitambuza abalambuzi. Ate ey’okusatu kaali kamotoka katono ke yatambulirangamu
mu biseera bye eby’eddembe. Buli ku makya yabukeerezanga nkokola n’atikka
abaana be mu bbaasi okubatwala ku ssomero. Nnakivumbula nti abaana be baali
basomera ku ssomero ly’abaana ba babifeekeera mu Kampala . John
yali asasulira abaana be obutitimbe bw’ensimbi buli ttaamu. Bwe nnazibalaabalamu
nnakivumbula ng’omwana we owa Nursery ensimbi
z’amusasulira zaali zisobola okumpeerera okuva mu kibiina ekisooka, ne mmalako
ne ssiniya ey’omukaaga mu kyalo e Lweru, nga tebangobyemu.
Bwe nnalaba nga nkooye okuddangayo ewa Ssenyonjo mu
Kisenyi buli lunaku, nnasaba Chantal
nsulenga mu maka ge nga bwe nkola emirimu gye. Ebyo Chantal olwabiwulira n’ahhamba nti odda Mbale. Ku luno nnamwewuunya kubanga yali
andabikidde okuba omukazi ow’ekisa. Kubanga nzijukira lumu y’ansuulamu ekisero
kiramba eky’engoye n’engatto enkadde nneerobozeemu ezintuuka. Nange olwalaba ku
ngoye, zonna nnakukumba bukukumbi ezintuuka n’ezitantuuka. Bwe nnayoola engoye,
Mbabazi naye n’ansuulira omukono bwe y’ampa ensawo ye ennene emmese gye zaali ziwumudemu
ebituli. Nnabuukira waggulu, era byonna nnabyetikka lumu ne mbikuba ewa
Ssennyonjo nga bwe nteekateeka okubitwala e Salye.
Bwe nnalabikako mu kkanisa mu kusaba okw’ekiro nnali
nneesaze engoye enkadde naye nga za bbeeyi. Abalokole abaali basaba baatandika
okuntunuulira nga bwe beekuba obwama. Nange nagugubira ku kimu kya kwebaza
Namugereka nti; “Obeewo Kitange ggwe eyawanirira eggulu okutali mpagi. Ggwe
atonnyesa enkuba ey’amayinja ameeru. Ggwe ayakisa omuliro mu nkuba. Ggwe
asitula abakopi n’obatuuza wamu n’abalangira. Ggwe annyambazizza n’entonnya mmooli
n’okukirako ebimuli bya liiri. Webale nnyo Mukama. Nze eyali atya okutambulira
mu maaso g’abantu olw’engatto z’ebituli ku bisinziiro, laba kati ntambula
nkaga, n’okuyiguliza nga kwe ntadde! Weebale nnyo Mukama abimpadde. Amiina!”
Ewa Ssennyonjo nnali njagaddeyo nnyo. Naye nnatandika
okwetamwayo olwa mukwano gwe omulenzi eyakomangawo eyo ekiro mu ttumbi. Ono
yali yagufuula muze okutumbula leediyo ng’ate bw’ayimbisa ennyimba ze nnali
ssaagala kuwulira mu matu gange. Naye nnali nkyali ku gwa mbuzi kuyita mu
malagala, ate endiga n’ewalampa enju. Anti lumu Ssennyonjo y’ankubawo ekigwo
bwe nnamusanga mu nju n’omuwala embooko mu biseera aby’akawungeezi mu muzigo
gwaffe. Teyali mubi n’amunnyanjulira nti yali mukwano gwe. Bwentyo nange ne ndowooza
nti byali bikoma awo. Era ssaalwa n’enjala omufaliso gwange ku ttaka, ne nsoma
ku Baibuli ng’eno bwe ndowooza ebiddirira. Ng’enda okulaba ng’omuwala eyakyadde
taseguka.
Zaagenda okuwera essaawa mukaaga ogw’ekiro nga
Ssennyonjo n’omuwala balemeddeyo mu buliri, emboozi egudde amakerenda. Nnagenda
okulaba ng’ababadde banyumya bye mpulira, batandise okwogerera mu bumiro
n’okwekuba obwama nga kwe batadde n’okwesunaasuna. Awo nange omubiri ne
gukyamuka, Babibuli ne ngizza ku bbali. Mba nneesunga nate okulaba ku ssineema
etali nsasulire, Ssennyonjo n’aggyako amasannyalaze ne tusigala mu nzikiza. Awo
nze ne mmannya nti yali tamezze kyokka, naye n’okuluma yali alumye. Awo
nnasigaza kimu kwesunga kuwulira buyimba embooko y’omuwala bwe yali agenda
okukooloobeza wakati mu kizikiza. Naye bampita ku litalaba, anti mwana muwala
yali yankatandika bw’ati okulya mu ndago, nga bwe mpulira n’omusinde
gw’ekitanda, Ssennyonjo n’atumbula leediyo okugimalirayo ddala. Nnatandika
okusaba Lugaba wakiri amasannyalaze gaviireko ddala mpulirize ku muwala,
naye nga buteerere. Bwentyo nange
ebyaddirira ssaabimanya. Era enkeera nnaleka omwami n’omukyala bakyekulisa lugendo,
ne nkwata erinziza ewa Chantal.
Nga wayiseewo ebbanga, Chantal yamala n’anzikiriza okusulanga ewuwe. Naye y’ambuulirirawo
nti talina kisenge mwe yali ayinza okunsuza okuggyako emu ku mmotoka ya Watembezi eyali yafa nga tekyakola.
Nange olwetegereza emmotoka ng’ekyalimu emitto, ne nzikiriza okusulanga omwo.
Bwentyo nnasiibula Ssennyonjo, ne mmwebaza olw’okunjagala, era ne mmusuubiza
okudda mu Kisenyi okunona engoye zange bwe ndiba nzirayo e Salye.
Emyezi egyaddako nnagimala nsula mu mmotoka ya Watembezi nga nneezinze bugongolo. Embwa z’awaka ezaali
enkambwe n’okukira omusota omukubeko ze zaafuuka mikwano gyange ekiro.
N’abakulu olwalaba nga n’ogwo kusula wabweru ekiro ngusobola, ne batandiika
okunneesiga. Era lumu omukuumi wa ggeeti ekiro teyajja. Kale Chantal bwe yali agenda okukyakalamu ne
bba akawungeezi, kwe kundekera obuvunaanyizibwa obw’okubakuuma okutuusa nga
bakomyewo mbaggulirewo ggeeti. Nange ssaali mubi nga nneesolossa akayumba ka Askari. Nnalinda Chantal ne John okutuusiza
ddala essaawa musanvu ogw’ekiro naye ng’abakulu tebakubikako kya mu lubaale.
N’otulo tetwala ne kumpalabanya okukakkana nga ndi mu mattansejjere.
Eyo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro nnawulira ekintu ekikuba
ggeeti. Nnawamatuka mu tulo nga ndowooza nti abatujju baali batuzinzeeko. Naye
ng’enda okulaba nga zi maguja ebbiri zeetala bwe zitenga emikira n’okubuukira
ggeeti. Bwe nnalingiza mu kalabirwamu ka Askari
okulaba ekigenda mu maaso wabweru, amaaso nnagatuusiza ku John. Yali yeebagadde oguyinja ogunene,
era teyalwa n’asinziira n’agukasuka ku ggeeti be dduu…!Bakira nga bw’abwatuka
nga laddu nti; “Askar! Can’t you use your
brains?”
Olwalaba bino nnakimanya nti eyanjalula yali esiridde.
Nnadduka gya mbwa ne nzigulawo ggeeti nga nzenna nkankana bwe njugumira
ng’alimu empewo. Abakulu abaali beesiye amagengere tebaalwa ne bayingiza
emmotoka yaabwe munda. Nnali nnatidde dda nti John olunaamala okuva mu mmotoka yali wa kundya bunyama, naye si
bwe gwali. Boss olwali okusiba
emmotoka, yampita bukubirire n’ambuuza obanga embwa ze zaali ziridde emmere ne zikkuta.
Nange ssaali mubi ne mmukakasa nga bwe zaali ziridde ebicepere ne zisindisa
n’ebigere. Teyalwa n’akwata mukazi we ku mukono ne beesogga enju.
Embwa z’awaka zaali zirya mmere ya mu Super Market ey’enjawulo John gye yagulanga ku buli nkomerero ya
wiiki. Lwe yabanga eweddewo, olwo ne ziryoka zirya ku nnyama. Olwo nze enjala
gwe yali yafuula kimpe nkyekubire, siwena nange nnasookanga kutoola mugabo
gwange ku mmere y’embwa, olwo ne ndyoka nzigabula eyalinga esigaddewo. Oluusi
buli lwe nnaziyimbulanga okuva mu kiyumba kyazo, emisinde embwa zaagimaliranga ku kasassiro ow’ebiveera
ebya kyenvu. Nange bwe nnakimanya nti abawala baalinga basuula emmere ku
kasassiro, buli ku makya kwe nnakeereranga ne ngirondayo okugibwebwena.
Eyo mu matumbibudde nnakivumbula nti John yalinga alekayo mukazi we mu
kisenge, n’asojjolimba mpola yogaayoga abakozi abawala gye baali basula. Lumu
nnali nneebase mu mmotoka, ne mmuwulira ng’ayita Mutoni mbu amuggulirewo
akoleeze sseggereeti we. Bwe badda wabweru, ne batandiika okunyumya, naye nga
mpulira kuvuuvuuma kw’amaloboozi kwokka. Nnayagala nfulume mu mmotoka mpulire
bulungi bye byalinga banyumya, naye ng’oluggi lw’emmotoka lukubagana nnyo
nentya okumpulira.
Naye ekiro kimu
nnalwawo okuyingira ne nsigala ku ggeeti nga nkuuma. Kale bwe nnalaba ng’embwa
zidduka zidda ku nnyumba y’abakulu, ne nkimanya nti John yali afulumye. N’akataayi tekaasala nga yagobye dda bumale ku
luggi lw’abawala akonkona. Nange nnasojjolimba mpola yogaayoga ku nsonda y’ekisenge
ne neekukuma. Nnalengera John
ng’ennyumba y’abawala agigguza mabega. Bwe nnalaba ng’okugulu kwe okumu
kubulirayo mu mulyango, ne ndowooza nti nnali nkomye ku njokye. Naye nga
wayiseewo akabanga, nnapangapanga ebitoffaali ne mbiyimirirako, era ne neekwata
ku mitayimbwa gy’eddinisa, omutwe ne ngutuusa ku kamooli k’enju. Wano nnasobola
bulungi okulaba ebyali bigenda mu maaso mu kisenge ky’abawala.
Olw’okuba beerabira okuggyako amasannyalaze, bye
nnalaba ku kitanda kya Mutoni kaabula kata binsuulemu katwewungu. Anti
nnalengera ebintu ebisambagalira mu masuuka ameeru nga bwe bisikondoka
n’okusinda twawatwawa. Osanga sandibitegedde, naye Mbabazi bwe yalaba ng’afa
amabbabbanyi, n’abuukayo mu buliri bwe ng’ali buswa naye n’ayolekera ekitanda
kya Mutoni. Teyalwa n’amegguza eri amasuuka agaali gabisse abegadanga ne bagugumuka.
Nnali ndowooza nti John yali agenda
kwekandagga, naye si bwe gwali.
Nnalabira awo nga ye ne Mutoni bazzeemu buto okutandiikira we baali bakomye. Ye
Mbabazi naye yatuulira ddala awo ku buliri, naye nga banne ababiri balinga
abatamulabawo. Teyalwa naye ne yeerippa ku mugongo gwa John n’alemera kuli kabbaani ku ndongo. John teyalwa naye n’amukuba kya bugazi okumugatta ku munne Mutoni
wansi, wamma ggwe akaboozi ne kagenda butooke.
Bwe nnalaba nga musajja munnange asitukidde mu bawala
babiri balamba omulundi gumu, ne neerabira nti nnali nneetengeredde
bwetengerezi. Ebitoffaali kwe nnali nnyimiridde byayiringuka omulundi gumu ne binkuba
sseddume w’ekigwo ekyagugumula n’abaali mu kwerigomba ekirindi. Nnasitukiramu
ng’oweemu ne njokya omusubi yogaayoga mu mmotoka ne neebikka. Naye nnasigala
nneebuuza oba nga ddala bye nnali ndabye bibadde bituufu oba kirooto!
Lumu Chantal
yansasula omusaala gwange ogw’omwezi kata nzirike olw’essanyu. Era ku olwo
nnadduka ng’omuwendule ne nkasibira ewa Ssennyonjo mu Kisenyi. Ssennyonjo
nnakamutema nti ekiro ekyo nnali ng’enda mu kyalo okulaba ku Jajja. Musajja
wattu yakanda kunfalaasira nguminkirizeeko okutuusa ng’obudde bukedde, naye
ng’afuuyira ndiga mulere. Omwoyo gw’e Salye gwali gunninnye ku mutwe ng’emmandwa.
Era essaawa ziba ziwera nnya ez’ekiro ne neetikka ensawo n’engoye zange ne mbikuba
mu ppaaka empya. Olwatuuka, nnakanda kulinda emmotoka ezigenda e Lugazi oba e Buikwe
naye nga kulinga kukoowoola abombye. Bwe nnalaba nga bye nsiba bikutuka, engugu
ne nzeetikka buto era ne nzizza ewa Ssennyonjo. Naye teyali mubi n’anzikiriza
okudda mu nju ye nate.
Nnali mmaze ebbanga nga sisulako wa Ssennyonjo. Mpozzi
nzijukira olunaku lwe nnali omulwadde ne hhenda okulwalira mu muzigo gwe. Naye ekyantuukako ku
olwo kyo kyali kika. Anti mu ssaawa ez’akalasamayanzi, nnali nkyeganzise ku
buliri ng’obulwadde bunsenkenya, ne mpulira akagugumuko. Okusitula ku maaso,
gaatuukira ku mulenzi omu eyali ateredde ku muwala malaaya w’omu Kisenyi
ng’amufubutula nga nkoko, okukakkana nga bakasibidde mu muzigo gwa Ssennyonjo.
Nze eyali ku buliri nga neenyoola olw’obulumi, nnawulirirawo omulenzi ng’alya
mu ttama nti; “Malaaya ggwe mpa ssente zange! Nkugambye mpa ssente zange! Mpa!
Sisobola kukusalamu emirundi ebiri gyokka ate n’ogamba nti essente zange
ziweddeyo! Mpa ssente zange…!”
Awo nange kwe kuyimusa ku mutwe ntere ndabe ku muwala
omulenzi gwe yali ‘asazeemu emirundi ebiri’. Amaaso nnagatuusiza ku mbooko ya
muwala embalangu eyakala amaaso n’okukirako embwa ya nnamaaso. Yali ayambadde
ka bbulawuzi akamutippye ne ka ssikaati akampi ennyo, nga atayambadde asinga.
Naye era nneebuuza nti omuwala anyirira bw’ati lwaki tafuna musajja
n’afumbirwa? Naye mba nky’atadde ensaya, ne zireeta Ssennyonjo mwennyini nga
tasalikako musale. Yabuulizaawo ekibuuzo kimu nti; “Mmwe bano abaziba mmukola
ki mu nju yange?”
Teyalinda na kumuddamu, n’asumulula omusipi gw’empale
ye n’alyoka alirika mwana muwala egya Mbaguta nga kwa’atadde n’ensambaggere.
Omulenzi ye teyalinda biddirira n’abomba. Omuwala olwalaba nga Ssennyonjo
amukuba mizibu, n’atandika okwewoma nga bw’atambuza amagulu ge mu ngeri
esikiriza. Nze eyali ku kitanda ne ntandika okunyumirwa. Naye Ssennyonjo
yalemerako n’akuba mwana muwala empi nga bw’agamba nti; “Olwaleero kankumale
akababba!”
N’omuwala olwalaba nga Ssennyonjo ajula kumukkiriza e
kaganga, ne yeefunya omugongo era n’amuyita wansi mu magulu, omumpembe
n’abomba. Ssaamaya nate omulenzi gye yafubutuka, n’amuwondera buto nga bw’asaba
okumalayo ssente ze. Ssennyonjo baamuleka yeekyanga nga bwe yeesooza, nkugambye
ne yeetala enju n’okukirako Namutale omunyageko ente.
Ate era mu mwezi gwe gumu nga nkyasula ewa Ssennyonjo,
essaawa ezimu ez’ekiro nnazimalangako nkukunadde nga lumonde mu kikata. Anti
ekisenge ekyawula omuzigo gwe ku mulala kyali tekyatuuka waggulu ku mabaati.
Kale ng’ebigambo ebyogerwa ab’oku muliraano mu muzigo oguddako, tuba tubiwulira
bulungi nnyo. Olw’okuba Ssennyonjo ennaku ezisinga yakomangawo matumbibudde,
muliraanwa we Tomasi yali yamusoma essaawa z’addirako eka. Kale naye kye
yakolanga, kwe kwanguwanga okunyumya akaboozi ke ne bamalaaya be yasombanga
buli olukedde nga Ssennyonjo tanadda. Olwo nze eyalinga ayanguwa okudda awaka nendyoka
nkigwangako. Anti nga buli kiro ku ssaawa nga ssatu oba nnya nga mpulira
amaloboozi g’abawala abayimba oba abakaaba. Mu kusooka nnali ndowooza nti osanga Tomasi musawo alinawo akalwaliro
mw’ajjanjabira abalwadde. Anti nga buli kiro mpulira muwala wa njawulo gwe bali
okukuba empiso. Naye oluvannyuma nnakivumbula nti si ddwaliro. Olwo nange ne nkunkumulanga
okutu okuwulirizanga ekigenda mu maaso ku muliraano.
Okumanya Tomasi yali musajja wa ngeri nga ssiiti, lumu
yakola ekintu ekyanzigya n’enviiri ku mutwe. Anti nnali nnankamalira amatu gange
ku ttaka, ne mpulira amaloboozi g’abawala abangi mu kisenge kye nga bonna
bakuba emiranga ng’ate bwe basagambiza. Olwawulira ng’ebiwoobe bisusse
ew’omulamuzi, kwe kusalawo okugendako ku luggi lwe ebweru ndabe ogubadde. Nnagenda
okukwata ku luggi nga luggale lwa jjo. Kyokka nga kyo ekiri munda kisa kinegula.
Nange ssaalwa ne nzirayo mu muzigo gwaffe. Olwayingira, ne mpanga entebe n’emmeeza
ne mpalampa ekisenge ntere ndabe kiki ekyali kyetinze ewa munnaffe. Bye nnalaba
byo bizibu okunyumya. Naye nnalengera Tomasi mwennyini ng’akakkanye ku bawala
basatu balambirira abeebasizza ku kiwempe kimu. Abawala yali abava kumu nga
katogo. Yagiranga ne yeetala ng’ava ku ono n’adda ku oli ne ku mulala, ate
n’akomawo buto ku gwe yasookeddeko nga bonna agenda abayitamu lukwakwayo omu ku
omu. Ssaalinda kulaba bisingawo, ne nfuluma omuzigo okutuusa nga ssempala amalirizza
emirimu gye.
Ebyo byali bibaddewo mu biseera bya mabegako, era ne ku
luno nnali nneebase mu buliri bwe bumu ekiro ekyo ekyanfuukira omuteego ewa
Ssennyonjo. Nnamoga paka budde kkejenge era emmambya yagenda okusala nga
nkyatemya bukofu. Nneesunga nnyo okulaba ku Jajja gwe nnali mmaze ebbanga nga
ndowooza mmulowooze. Obudde bw’agenda okuvaako eddiba buti, nnensitukiramu
okukwata ezintwala mu Kyaggwe.
Jajja olwambuuza ekibuuzo ekyo, ne ndumuviira ku
ntono. Naye nnamugumya nti ku luno bya ddala, waliwo omuzungu eyeeyamye
okunzizaayo mu ssomero. Nti era yali asuubizza okusindika abantu be bajje e
Salye okukakasiza ddala obanga bye nnali mbagambye bituufu. Bwentyo ne mmugamba
nti buli kye banaamubuuza akiddemuu mu ngeri gye nnali mmuyitiddeyitiddemu. Ne
Jajja teyali mubi, n’ankakasa nti nnali situmye nneesitukidde.
Olw’okuba nnali nteekeddwa okuddayo ku mulimu ewa Chantal, e Salye nnawunyayo buwunyi.
Jajja ku luno nze nnamulekera ku busente, engoye enkadde awamu n’ensawo.
Bwentyo olwamusiibula, ku makya nnenkeera okuddayo ewa Chantal ku kibuga.
Ekyansanyusa nga nzizeeyo e Namuwongo, y’engeri abantu
b’awaka gye bannyanirizaamu. Bonna baalina essanyu lya nsusso, naddala abawala
Mutoni ne Mbabazi. Naye bwe nnatunula ku buseko bwabwe, ne nzijukira ekiro lwe nnaberengerera mu kamooli nga berigomba
abantu basatu ku kitanda kimu! Nannyeenya omutwe ng’embuzi etenda enkuba, ne tudda
ku birala.
Mu maka ga Chantal
mwalimu essimu ey’omu nju. Bw’atyo buli lwe baavangawo ne John, abakozi nga badduka za mbwa okugenda okukubira mikwano gyabwe
amasimu mu bubba. Nange lumu kwe kubasaba bannyambe nange nkube ku ssimu. Awo
Mutoni kwe kumbuuza nti; “Naawe orina abantu b’okubira essimu?”
Ko nze nti;” Njagala kukubira omuzungu eyansuubiza
okunziza mu kyalo nsome.”
Bwe nnabawa ennamba y’essimu, tebaalwa ne baginyiga.
Awo Mbabazi kwe kunkwasa ekikono ky’essimu n’ahhamba nti; “Yogera nti Hallow!”
Nange olwali okussa essimu ku kutu ne mpulira Uncle Simon ng’ambuuza. Awo nze kwe kumuddamu mu ddoboozi ery’omwanguka
nti; “Uncle, nze Mukwasi gwe mwasuubiza
okuzzaayo mu kyalo nsome!”
Uncle Simon kwe
kumbuuza nti; “Ee…! Mukwasi, bulijjo tukunoonya tukuzzeeyo mu kyalo, obadde
wabulira wa?”
Ko nze nti; “Ndi eno Namuwongo, nkola bwa mukomba
bbokisi mu maka g’omugagga, era nsula mu kimotoka kye ekikadde!”
Awo Simon
kwe kunziramu nti; “Kati yanguwa ojje ku Tigers
Club House nga lumu ogw’ekkumi n’ebiri tukuzzeeyo mu kyalo osome!”
Bwe nnawulira ebigambo ebyo, nnabanga aloota. Mutoni
ne Mbabazi baali ku kimu nti mbadde ndeekaanira nnyo ku ssimu, naye nga nze
ssibafaako, ndi mu kwezinira gudiikudde, nga n’amagulu nsitudde abiri nga
nkazaluggya. Naye tuba tukyegeyaageyaamu, ne tuwulira ehhombe y’emmotoka wabweru wa ggeeti. Oo! Wamma ggwe
twasattira ng’omukunku eyeekoonye. Mutoni ne Mbabazi baagenda babuuka bibanda
nga nnabugi si mufungize ne bafaafaaganira eyo ng’entungo eyiika. Nze
nnatebenta nzira ku ggeeti, ne nzigulirawo emmotoka y’abakulu. Ebikwata ku
byali bibadde bigenda mu maaso mu ddiiro
lyabwe, nze nneefuulira ddala ng’eyabyesamba nga nnaswi bwe yeesamba engalabi.
Olunaku Uncle
Simon lwe yandaga terwalwa ne lutuuka.
Awo nga luberyeberye mu mwezi ogwa
Ntenvu, nnabukeereza nkokola yogaayoga ku Tigers
Club House e Mengo okusisinkana Andy
ne Uncle Simon. Wadde nga ab’e Namuwongo nnabasiibula bulungi, ye Chantal nnamuleka ankiikidde ensingo olw’obutamugamba
nti nnali nky’asoma. Nange nammuddamu
nti olw’okuba omukisa nnali nfunye gwa Nanteza e Bulamba, nteekeddwa okuddayo
ntuule ebibuuzo byange ebya ssiniya ey’okuna, n’oluvannyuma ndidda mmuyambe
emirimu. Naye teyali mubi n’anjagaliza obuwanguzi mu misomo gyange. Bwentyo
nange kwe kumusiibula ne neepeca olw’e Mengo.
Bwe twamala okugula bye nnali nneetaaga, n’okunjiwamu
engoye empya ttuku, Uncle Simon emmotoka n’agikumamu omuliro. Pastor Chris naye teyabugumya na ku mbooge ne batuula mu maaso, olwo nze
ne nsowolera emabega n’ebintu byange bye baali banjiyeemu. Tetwalwa ne tusiibula
ekibuga Kampala .
Mu butuufu, nnawungirako ddala kata ngwemu n’ensimbu.
Buli pajero lwe yasalanga amakoona bw’eti, nze ne neesunako nkakase oba nga ddala
nze mwennyini oba ndi mu kirooto. Nnali situulangako mu mmotoka eya buyonjo
yonna, ng’oggyeeko akamotoka Winnie
ke yapangisa e Jinja. N’olulala Chantal
lwe yali antumye okumuyitira ddereeva wa Special
e Namuwongo. Naye ku luno Lugaba yali anviiriddeyo nange ne nsowolerako mu
mmotoka ey’ebbeeyi, essanyu ne lijula okunjabya.
Bwe twatereera mu luguudo lw’e Jinja nga tuyisizzaako
katono ettaawo ly’e Nakawa, nnatunulako emabega ntere nkube ku kibuga eriiso
lyange evannyuma. Nnalengera ebizimbe ebiwanvu emitala nga nabyo biringa
ebinkubira bye nti ‘munnaffe
tukulabyeko nnyo, naye tera otuviire’. Bino by’azijukiza ebiro ebyo mwe
nnakaabiranga amaziga nga ndi mu kisaawe ky’omu lubiri lwa Magulunnyondo e
Mengo. Anti omwo abavubuka ba Tigers Club
mwe beetendekeranga omupiira. Bakira nga buli lwe bamala okutendekebwa, nga
baweebwa eby’okunywa, ennanansi, emigaati n’amenvu ne beggweera. Olwo ffe
abaalinga bagenze okutunula nga bwe batendekebwa , ne twerya nkuta za mimwa.
Nnagiranga ne hhalamira wansi mu muddo ne nzibiriza ku maaso, ne ndaba langi eya
kisaayisaayi nga n’obuloboozi obukaaba nga ffirimbi buwuumira mu matu gange.
Bwe nnazibulanga ne nnengera ebizimbe gamulengejja mu kibuga nga biwanvuye
bikira kukoona ku ggulu. Eno nga biringa ebigamba nti, ‘ggwe ne bw’olikola
otya, tolina magezi na busobozi okutuyingiramu’. Naye kati ebyo byonna byali
biyise, nga nninga omusota ogweyibudde. Nga ndabika ng’agobye ku lubalama
lw’ennyanja; asomose ekibira galimwoleka; atuuse ku ntikko y’olusozi
gambalagala; awasiza obugole bw’embaga; era ataliddayo kuloza ku nnaku y’ensi.
Nnagenda okwejjuukiriza nga ttawuni y’e Lugazi
tugikubye amabega, tukutte ekikubo ekyali eky’ettaka okudda e Buikwe. Awo Uncle Simon n’ayongeza omuliro, nga bw’ambuuza kkubo ki lye tuba tukwata.
Awo nze ne nkola nga gwa kumusongera gye tuba tulaga, amakoona ag’okuweta,
n’obuwanvu bw’olugendo olusigaddeyo. Nnagiranga ne nkubyakubyamu ne ndowooza
engeri abatuuze be Salye gye banaatunulamu nga bandabye nsowodde mu mmotoka
pajero. Ye Jajja ndowooza essanyu lyali lya kumutta akkirire e kaganga azike.
Kwali kutemya kikkoowe nga twagguse dda buseke mu
ttawuni e Buikwe. Wano nnasala ag’enkolwa Uncle
Simon ne mmulagirira okuvuga ng’atuzza
mu Ajiija. Kino nnakikola olw’okwewala okuyita mu kkubo ly’omugga Musaamya
eryaliko akasozi akagulumivu. Bwe tutyo tw’ayitira Kawuulu, Malongwe, Ajiija, ne
Nsanvu era okugenda okukakkana ng’ekyalo Salye tuli nakyo butoola. Abatuuze
abaalinga mu kkubo bakira nga beesenda batere baviire ekyuma ky’omu Japani.
Olwo nga nnende ndi munda nsowoledde mu magulu ana olw’okukomawo ku kyalo nga
Kabaka. Olwatuuka ku kisaawe ewa Wawuuya, ne hhamba Uncle Simon nti; “Kati tutuuse. Naye weta emmotoka mpolampola
ogiyise awo mu mimwanyi n’ebitooke we wali akasiisira ka Jajja.”
Simon naye teyali mubi, emmotoka n’agibonga okukakkana nga
tusibidde mu luggya lwennyini olw’akasiisira ka Jajja.
Twasanga Jajja ng’enkuyege zikyamukubira enduulu. Yali
yalengedde dda emmotoka ng’ejja, bw’atyo naye kwe kwesimba obutengerera
yeetegereze olunnabe olumulumbye. Emmotoka olwasiba bw’eti, nze ne mbuukamu nga
bwe hhamba Uncle Simon ne Pastor Chris nti; “Ono ye
Jajja wange!”
Nabo tebaalwa ne babuukayo mu mmotoka, ne bajja nga
banjadde emikono gyabwe ne bamuwambaatira nga bwe bamunywegera, nkugambye
okugwa mu bifuba ne kufuuka okugwa mu bifuba. Uncle Simon teyalwa
n’atandika okunasula kkamera, ebimyanso nabyo ne bifuuka ebimyanso. Jajja
teyalwa n’atuleetera obutebe ne tutuulako, nkugambye ng’ekiri wali kikirako
n’ekyali ku njovu e Kavumba.
Jajja yatandiika n’okutwaniriza nate ng’ayogera
ebigambo tabimalaayo nti; “Bannange mbadde ng’afudde bwe ndabye ng’emmotoka
ekyama okujja mu luggya luno. Obutabalimba, eno y’emmotoka esookedde ddala
okujja ewange mu bulamu bwange. Ku kyalo kuno tekujjangako mmotoka kika bwe
kityo. Jjo nnasuze n’ekisulo ku liiso era bukedde omutima tegundi wamu. Era bwe
ndabye emmotoka nsoose kutya nga ndowooza nti muzzukulu wange ekomezzaawo
linnya, nga ye yasomoka dda. Bakama bange nsanyuse nnyo, era simanyi ngeri gye
nnyinza kubeebazaamu olw’okundabiririra omuzzukulu!”
Awo Uncle Simon kwe kuddamu nti; “Jajja, naffe
tusanyuse nnyo! Muzzukulu wo ono yali afudde, naye kati azaayuse. Twamusanga
eyo ku kibuga ng’abundabunda ne tumulonda. Naye teyali mubi, n’aba nga mwana
muteefu, era n’atulaga okwettanira kw’alina mu kusoma. Era bwe yatusaba
okumukomyawo eno addeyo asome, naffe ne tukiraba nga kitugwanidde okumanya
gy’aviira, n’essomero gy’anaasomeranga. Era kati ye ffe aba Tigers Club b’olabako.”
Pastor Chris
teyalwa n’aggyayo eby’okunywa n’emigaati wamma ggwe ne tulya ne tubwegera.
Jajja yali asituka mbu atuteekereko eky’eggulo, Uncle Simon n’akamutema
nti baali bagenda mu bwangu. Mbu waaliwo omwana omulala mu bitundu by’e
Bugerere gwe baali bagenda okukyalira. Jajja olw’awulira ebyo n’abayunjiza
enkota y’ettooke n’andagira okubagobera n’enkoko. Nange enkoko olwagikwata, ne tubibakwanga,
nate ne tuddamu buto okwegwa mu bifuba, nkugambye ebifuba nate ne bifuuka
ebifuba. Uncle Simon y’andagira okuyimirira awamu ne Jajja nga twekutte mu ngalo,
wamma ggwe n’alyoka atukuba ebifaananyi kata ebimyanso bituzibe n’amaaso.
Ebinyuma nga bwe bitatera kulwa, abagenyi baagambirawo
nti twewombeeke tusabeko. Naye tuba twakeewombeeka, ne mwannyinaze Kaakayi we
yajjira n’atweyungako. Pastor Chris olwafundikira essaala amangu ago
n’abuuza Kaakayi nti;“Muwala, walokoka?”
Kaakayi nga yenna amaviivi agamalidde ku ttaka, kwe
kuddamu mu kaloboozi akaseeneekerevu nti; “Nedda Ssebo!”
Chris olwawulira ebyo n’adda mu kumubuulira enjiri nga
bw’akikkaatiriza nti; “Bajajja baffe Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, ekibi
kyajja mu nsi. Abantu ffenna ne tuba nga tuzaalibwa mu kibi. So nga Katonda yatutonda
mu kifaananyi kye kyennyini. Naye omujeemu Setaani n’atukwakkulako obulungi bwa
Katonda n’atwambaza ekibi. Naye olw’okwagala kwa Katonda n’ekisa kye ekingi,
yawaayo omwana we omu yekka Yesu. Yesu yakka ku nsi mu kifaananyi ky’omubiri,
n’atufiirira ku musaalaba e Gologoosa, bwe tutyo ffenna ne tusonyiyibwa ekibi
Adamu kye yaleeta mu nsi. Naye ggwe ng’omu kikugwanidde okukkiriza nti Yesu
mwana wa Katonda gwe yawaayo ng’omutango n’akufiirira olw’ebibi byo; nti era
yafa n’awamba amaanyi ga Setaani emagombe, ate n’azuukira ggwe osobole okuba
n’obulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, okkiriza na mutima gwo, era n’oyatula
n’akamwa ko nti Yesu ye Mukama ku lw’ekitiibwa kya Katonda, olwo n’olyoka
olokoka okuva mu bibi byo ggwe ng’omu. Kubanga Yesu agamba nti; ‘Laba
nnyimiridde ku mulyango nkonkona. Omuntu yenna bw’awulira eddoboozi lyange
n’anzigulira, nnaayingira era ne tuliira wamu naye.’ Yesu ttakukaka. Ayagala
ggwe mwennyini weesalirewo. Y’ensonga lwaki akonkona bukonkonyi ku luggi lwo,
so ttasamba lusambe. Yesu kati mulamu, era emirimu gye agikolera mu ffe abantu
ng’ayita mu maanyi ag’omwoyo omutukuvu. Osaanye mwannyinaze okkirize, akuwe
essanyu, emirembe, n’obulamu obutaggwaawo. Ebizibu byo gy’emirimu gye;
okusaanyaawo amaanyi gonna ag’omulabe; emisambwa, emizimu, amayembe, emmandwa,
ebiteega na buli mwoyo ogwekulumbaza waggulu w’amagezi ga Katonda. Kale
mwannyinaze, wandyagadde okulokoka?”
Kaakayi nga yenna ebiyengeyenge bimujjudde mu maaso,
yagambirawo nti; “Yee..”
Awo Chris
kwe kumugamba ayatule ebigambo by’anaamugamba buli kimu nti; “Ayi Yesu!
Olwaleero mpulidde ekigambo kyo. Era nzikirizza n’omutima gwange. Bazadde bange
si be bansaliddewo, oba omuntu omulala yenna. Kati njatula n’akamwa kange nti
ndokose. Nsonyiwa ebibi byange. N’ebibi ba jajja bange bye b’ankolera. Ssangula
amannya gange okuva mu kitabo ky’okufa. Ogawandiike mu kitabo ky’obulamu.
Setaani nkwegaanye, n’enkola zo zonna ez’obulimba, obubbi, obussi,
n’okuzikiriza. Era okuva olwaleero, ndi mwana wa Katonda. Mu linnya erya Yesu,
Amiina!”
Pastor olwamala okwatuza Kaakayi ebigambo ebyo, n’amubuuza
nti; “Kati nnyabo owulira otya?”
Kaakayi naye n’addamu nti; “Kati nnyabo owulira otya?”
Awo ffenna n’atulekera ekibbo ky’enseko. Nate ne tuddamu
buto okwegwa mu bifuba, nkugambye ng’ekiri wali kisingako n’ekyali ku mbaga ya
Majanja.
Abagenyi tebaalwa emmotoka ne bagyevumba. Nange siwena
ne ngirinnya buto ntere ngyeyongeze. Olwasiibula, nnagamba Uncle Simon tuyitire mu kkubo ly’omu Salye wakati, nga mwe
tunaayita okubalagirira essomero lya ssiniya e Lweru gye liri. Bwentyo emmotoka
nange ne ngiremeramu . Twayita mu kyalo Salye naye nga buli maka na buli muntu
gwe tuyisaako emmotoka tumuleka ayasaamiridde nga bwe yeewuunya emmotoka
etunula ng’ennyonyi. Obwana bw’oku kyalo bwo bwagufuula mugano gwa nswa. Bakira
nga bugezaako okugoba emmotoka nga bwe buleekaanira waggulu nti;
“Eyo yange! Eyo yange! Eyo yange!”
Bwe tw’atuuka mu masahhanzira g’ekkubo eridda e Lweru ku masomero, ne nsiibula
abaagalwa. Uncle Simon yakwata mu
kawaligo n’aggyayo akavangata ka ssente empya ttukutuku n’azinkwanga. Nnakwata
ssente nga nzenna mpulira nzitya ng’ekyokya, ne nzikuba mu nsawo nga sizibaze
namu. Nnabeebaza nga ssimala, okutuusa bo bennyini bwe bansiibula, ne bahhamba nti lwe balikomawo okunkyalira lwe ndibatwala ku ssomero e Lweru ng’okusoma
kuzzeemu. Emmotoka olwasimbula, yandekera kafuufu, naye ng’essanyu erindi ku
mutima, ery’omwoki wa gonja biwero.
Bwentyo bwe nadda ku kyalo Salye nga nzenna obuseko
buneetimbye ku matama. Ate oba nnalwawo okukikkiriza nti nange nnali nnyambadde
ku ngatto ezitegeerekeka; nfunye ku ngoye ez’ebbeeyi; ntambuliddeko mu mmotoka
ey’akabi; mu nsawo yange mujudde obulindo bw’ensimbi; ŋŋenda okusulako ku
mufaliso ogwange; ate okusinga byonna, ŋŋenda kuddamu okukwazza emisomo gyange
nate.
Bya Mugoya Michael-0757540410
No comments:
Post a Comment