Muzzukulu, obulamu bwange bwetooloolera ku ggwe
Omuzimu
tebagusala mbalu newankubadde nga ggwe okyalowooza nti nange ngwa mu ttuluba
ly’emizimu. Singa kibadde kisoboka, nnandikweyambulidde n’olaba obanga ddala b’ansala
embalu oba nedda. Naye nga bw’oli omwana omuto, embugo zange kanjira nzirekako,
mmalirize okukunyumiza ku mirundi emingi gye nnasiibulangamu Jajja mu kaweefube
ow’okwetegula ekyalo Salye. Oluvannyuma nja kweyambulamu engoye zange zonna
nsigale buswa, olyoke okakase obanga ddala bansala embalu.
Okalya dda
ggwe wamma. Jajja omukyala eyali y’eyagalidde mu kibanja kya kojja we Kagode,
ku luno yali talina wadde enkoko etakula awaka. Bye yali asiba byonna byali bikutuka.
Enjala ani amuwadde akatebe nayo teyalwa n’etuzingako, wamma ggwe ne tutandika okusuliriranga
amazzi. Baliraanwa baffe abo’mu ddembo nabo baali ku yoleke ng’ensi nabo
bagiwanda bulusu, anti ng’ebayuuza nga balugu atannakwata muti. Bwe tutyo naffe
twasalawo okwekukuma mu kasiisira kaffe ne twesumaalika obwa nnamunigina,
ng’embwa tugikomba mannyo.
Ku ssomero
e Lweru abasomesa baabinsibira ku nnyindo ne bandaga eridda eka okunona ebisale
by’essomero. Era ssiniya ey’okuna nnagisomako omwezi gumu gwokka ne banziza eka
kipayoppayo. Bwentyo ne nzira mu gwa kukuba misota ku kyalo nga amagezi
ganneesibye. Buli lwe nnalengeranga bayizi bannange bwe twasomanga, nga mbakuba
ekimmooni ne neeyokya ensiko ensonyi nzitemereko ettaka.
Bwe nnalaba
nga ogw’okugumazanga embiro gunnyinze obuzito, nnasalawo okwekukumanga mu
kasiisira kange mugongo gwa mbwa, ke nnali nneezimbidde-anti akezimbira tekaba
kato. Omwo mwe nnasiibanga nga nnyumya n’ebifaananyi by’abasambi b’omupiira bye
nnali nnatimba ku bisenge, awamu n’okuyunganga waya z’emizindaalo ku luleereetu
gye nnasindogomyanga. Akasiisira nnali nnakateekako eddinisa ery’endabirwamu. Omugenyi yenna bwe
yakoowoolanga, nnasookanga kumuzigira mu ndabirwamu ne ndyoka nsalawo
okumuggulira oba obutamuggulira.
Bwe bw’awungeeranga
ne ndyoka hhenda ku
kisaawe ewa Wawuuya gye twakyangiranga akapiira n’abavubuka b’e Salye.
Olw’okuba nnali nnafunako ku buvune mu kugulu, emirundi egisinga nze nnaberanga
mu miti gya ggoolo. Kale bwe nnayimiriranga mu miti, wamma ggwe ne mbaka
omupiira nga n’obuwuka si butaliza. Olwo nga kye nduubirira nti osanga Lugaba
alimpandako eddusu abazungu ne bangula okuntwala okukwatira ettiimu y’eggwnaga.
Bannakyalo olw’alaba nga mu kubaka omupiira nkirako enkima, omulimu
ogw’okukwatiranga ekyalo Salye ne bagunkwanga.
Ng’oggyeeko
emipiira gye twasambanga buli ggulo, waliwo emirala egyalinga egy’akaasa mmeeme
nga gisombolola nnasiisi w’omuntu ateevuunya ng’obuwuka okujja okwerolera. Mu gino
twawakaniranga embuzi kimeeme, sinakindi obukalu bw’ensimbi. Waalingawo empaka
z’omupiira wakati w’abafumbo n’abawuulu, olwo nga nze nkwatira abawuulu. Oluusi
nga tusamba ogw’abanywi b’omwenge n’abatagunywa. Awo nga nkwatira abatagunywa.
Emirundi egisinga obungi, oludda lwe nnakwatiranga lwe lwagobanga. Anti
twalinanga omuvubuka muyizzi tasubwa ayitibwa Byansi nga talengera butimba akuba
bakuumi ba ggoolo bibuuzo. Ono y’eyankwasa n’ekinyegenyege eky’okuva mu ggoolo
nange omupiira ne ntandika okuguwenja n’ebigere. Akabanga kaayita mpa wekaaga,
nga mu kusamba nnamba musanvu siwunyikamu. Nnasomberanga Byansi emipiira olwo
mwana mulenzi n’alyoka ateebanga amagoolo okwagala okumuggwa mu magulu. Waalingawo
n’akaana akato akaayitibwanga Geofrey
nga kampi kawunya ttaka, ate nga mu butono kakirako n’akasubi. Naye ka Geofrey kaalina kye twayitanga “kkirita”
mu magulu. Bwe kaafunanga omupiira nga kasobola okusala amirangaatira
gy’agasajja agawanvu ne gagwa eri mu bisubi, olwo kko ne kaanika awo omupiira,
ng’era omuteebi agufuuwako bufuuyi eggoolo n’enywa.
Lumu
baayingiza ka Geofrey mu kisaawe ku
mupiira ogwaliko n’obugombe wakati w’abawuulu abatanywa mwenge, n’abafumbo abanywa
mwenge. Abafumbo baali bakulembedde abawuulu ku ggoolo emu ku bwereere ng’ate
obudde kumpi bwali buweddeyo. Nze ne Byansi abaali banoonyeza abawuulu amagoolo,
omupiira gwali gutufuukidde ezzike nga tutunula biriroliro, anti ng’abafumbo
batusinzizza ensumika. Ka Geofrey
olwayingira ekisaawe, enduulu n’ekoleera. Tebaalwa ne bakaweereza omupiira ku
ludda olwa kkono. Yakaya, eyali omusajja emmekete ow’ekiwago era emmundu
y’abafumbo emmenye, yali atukekememya bukoko mu kisaawe. Ono y’eyali ateebedde n’abafumbo
eggoolo yaabwe emu kwe baali batukulemberedde. Yakaya teyalwa n’ajja okutuuka
ka Geofrey nga yenna amazeeko nga
muwogo. Abalabi olw’alengera nga Yakaya yenna afubutuse ng’essolo egumba, ne batya
nti yali akaana ajja kukasambira ku mupiira kagwe eri era banaggyawo mulambo.
Ka Geofrey nako tekaali kabi, ne kamulinda
okutuuka, era omupiira ne kasongako musonge n’ekigere. Yakaya yayitawo zonna ne
beetomera ne mufumbo munne okukakkana nga bombi enkoona zinywegedde ettaka. Awo
enduulu n’ekoleera buto. Yakaya teyalwa n’asitukawo ku ddimwa nga yenna aliko
n’obumansuka n’alumba ka Geofrey
nate. Ku luno kaamwetoolooza ne kamala ne kamuyisa omupiira wakati mu magulu,
n’ayitawo ng’empewo n’agwa eri mu bipande. Tekaalwa omupiira ne kagusaliza
Byansi naye ataakola nsobi yonna n’agukuba mu katimba k’abafumbo. Yakaya
yagenda okusitukayo mu bipande gye yali agudde, ng’enduulu esaanikidde ekisaawe
kyonna ewawaaza n’amatu. Yalaba taabisobole, n’asaba okufuluma ekisaawe nga
bw’awenyera, alojja omugongo.
Ka Geofrey tekaalwa nate ne kafuna omupiira.
Kaasala agasajja agawanvu ne ganogoka ng’eno geetomera n’okugwa ebigwo. K’ampeereza
omupiira okumpi n’olukoloboze lw’ekkoona, wamma ggwe nange ne nkulukuta nagwo. Ssaabugumya
na ku mbooge omupiira ne ngusaza ne gugwa mu ntabwe ya ggoolo. Byansi
yaguzzaako buzza ekigere n’amala eggobe mu kibya. Omukuumi wa ggoolo y’abafumbo
yasigala abuuza abazibizi be obanga ddala eggoolo yali ennywedde. Omukommonsi w’effirimbi
naye teyalwa omupiira n’agumaliriza ng’abafumbo tubalinnye ku nfeete mu butikitiki
obusembayo. Abawagizi beetikka ka Geofrey
ku bibegaabega ne bagenda nga bakeetoolooza ekisaawe kyonna ng’eno bwe bayimba
ennyimba ezikasuuta. Okuva ku olwo abazannyi ob’oludda lw’abafumbo ne batandika
okutiisatiisa ka Geofrey nga bagamba
mbu kaali kayitirizza okubaswazanga mu maaso g’abakyala baabwe n’abaana.
Olw’alaba
ng’eby’omupiira bindiiridde ow’ejjokolera, nnasala ag’enkolwa ne nnimba Jajja
nti waaliwo bakyeruppe e Kampala
abaali beeyamye okumpeerera neeyongereyo n’emisomo gyange mu maaso. Era
nnamukakasa nti abazungu bano baali bampeerezza obubaka okuyita ku leediyo Sanyu
nga bansaba mbu hhendeyo gye
bali. Jajja teyalwa nga yeekwatakwata, bw’atyo mu ndyanga n’aggyamu obusente
n’abunkwanga ntere mbisseemu engatto okugenda okulaba abazirakisa bano. Jajja
yansibirira entanda nga bwa’ankuutira okutambula n’obwegenderea ennyo nneme
okugwa mu bidduka ebyali byegunjulidde ogw’okutirimbula abantu mu nsangi ezo.
Nange nnamukakasa nti nnali sijja kutwalira bulamu bwange mu ngalo kubanga
nnali nkimanyi nti asiika obulamu tassa mukono.
Nnende
ssente olwanzira mu ttaano, nnakasibira Jinja mu Busoga. Ng’oggyeeko okwagala
okulambula ku nnyanja Nalubaale, omugga Kiyira, entindo n’amakolero, nnali hhenze okulaba ku mwana muwala
Winnie, eyali yandya edda omwoyo.
Muwalajjana ono yali asula kumpi ne wooteeri eyitibwa Sunset. Yali muwala wa byomere Omunyankole eyali akola mu kitongole ky’amasannyalaze e Jinja.
Muzzukulu wa Wambazu ayitibwa Malima y’eyali yanzigirira Winnie. Olw’okuba Malima yali akulungudde ebbanga eriwerako mu
ssomero ly’abaana b’abaserikale, Jinja yali amumanyi bulungi. Kale bwe yajjako
e Salye ne mmugamba nti nnali njagala okufunayo omuwala munnakibuga anadda mu
bigere bya Kyakuwa, naye teyali mubi n’amunfunira. Mu kusooka, nnali si sisinkanangako
Winnie mu buntu, naye nga
tweweerezeganya amabaluwa n’ebifaananyi. Nange olwafuna endagiriro ye
gy’abeera, nga tulagaana olunaku lwe tulisisinkanirako. Olunaku mulindwa bwe
lwatuuka, ne mbissaamu engatto yogaayoga e Jinja.
Nnatambula
Jinja yenna okumwebungulula, ne nzizaako ne Njeru Town Council naye nga ewa Winnie
wambuze. Enjuba bwe yatandika okugolooba, ne mmanya nti ne ku luno nnali
wakukoma ku njokye. Naye mba nkyabutaabutanira mu kibuga, ne ngwa ku omu ku
mikwano gyange Kasozi, bwe twasomanga e Kawuulu. Ono y’eyandagirira Sunset Hotel gy’eri. Era y’ankwata ne ku
mukono n’antuusiza ddala ku wooteeri eno. Olw’alabawo, sijjukira oba nga ddala
Kasozi nnamusiibula. Anti nnadduka za mbwa ne ntandiikirawo okunoonya ennyumba
yonna eyeefaanaanyiriza ku eyo Winnie
gye yali yampeereza mu bimu ku bifaananyi bye.
Winnie yali antemezzaako nti olulengera eddinisa okusibiddwa
akawero akamyufu, nga mmanya nti ensolo ku kizigo kweri. Nange olw’alengera
ennyumba n’akawero, omutima gwantyemuukirawo, amameeme ne gankubagana, n’ekifu
ne kinzija ku maaso, nga sinnagasimbagana n’omwagalwa gwe nnali sirabangako mu
buntu. Nnasooka ne nnyimirira emabbali ku kikubo ekyali kisala nga kidda ku
nsibuko y’omugga Kiyira. Bwe nneetegereza ennyumba eyali ku luuyi olulala
nnagenda okulaba ng’efaananira ddala n’eyali mu kifaananyi. Yali nnyumba ya
kkalina emu naye nga teri mu lukomera. Yali mu kifo kisiriikirivu nnyo,
okuggyako obutiititi n’obukoola obwali bukunkumuka okuva ku miti egigyetoolodde
emabbali w’ekisaawe omwali ebimuli eby’amaggwa.
Nnatandika
okwekebera ndabe oba nga ddala nnali nnyambadde bulungi. Nnatunula ku mpale
yange jjiini eya bbululu omusiiwuukirivu, n’essaati yange ennene era
enzirugavu, n’amagatto gange aganene era agawanvu, wamma ne nkaada nga ndabira
ddala nti nnali nzigumidde. Olwali okuyimusa amaaso gange bwenti, nnagenda
okulaba ng’akawero akamyufu ku ddinisa kagiddwawo. Ng’enda okwetegereza, omutwe
gw’omuwala ogwali gwakulamu nga ogw’Omuyindi ne gulingiza mu ddinisa. Okutemya
n’okuzibula, ng’amaaso tugasisinkanyizza. Omuwala olwantunulako, n’amwenyaamu
katono, n’ankolera n’akabonero akategeeza nti ‘sigala awo nzija’.
Kaabula
kata ngwewo ekigwo. Omutwe gwange gwajjamu kanzungu n’emba ng’aloota. Amatu
gampaawaala, ebyoka ne bineggunda, ne njugumira kata ngwemu n’ekidumusi.
Naggyayo akatambaala kange akeeru be ttukutuku nneesiimuule ku ntuuyo ezaali
zinneetimbye mu bwenyi ne mu bulago, naye nga nninga aziyita okweyongera
okuttulukuka. Mba nkyatunula nkutujje ng’omuko akubagiza, ne zireeta mwana
muwala ng’atambuza essimbo n’akamwenyumwenyu akaali kamwetimbye ku maaso
ng’ajja gyendi.
Winnie yali muwala mubalagavu nnyo. Nga wa kigero, olususu
lw’akatakketakke, ennyindo ndaalo, amaaso ga ndege, ekyenyi kya masega, ebisige
bya Musoke, engalo za mbidde, nga n’amabeere ge ga nteeko. Olwo yagenda
okuntuukako angwe mu kifuba, nga nze amalusu nnamize dda muganda nzenna
njasaamiridde nkirako agabana ebikaawa. Era ye olw’ayita erinnya lyange mu
ddoboozi esseeneekerevu nti; “Hi
Mukwasi!” kata nnemererwe okuyitaba nti; “Hello
Winnie!” Olw’amala okwenywegera ne twekwata
mu mikono gyaffe gyombiriri nga bwe twetunula mu mmunye, buli omu n’anyeenya
omutwe gwe mu bumativu ng’ategeeza nti, ‘ddala ye ggwe.’ Awo ffembi ne tusiriikirira
okumala akabanga ng’ebigambo bitwesibye. Ekyavaamu ate ffembi ne tutumbuka
okuseka amagyemulukufu . Ndowooza ensonga y’olulimi y’eyali ereese embeteza.
Naye olw’okuba amabaluwa twali tugeewandiikira mu kinyanyimbe, tetwalwa ne tubaguka
okuwaya mu lufuutifuuti. Nze nnasooka okulya empanga ne mmugamba nti; “Honey, you may hear nothing from me on how I
appreciate your beauty, but beyond silence you have created a warm and
beautiful sound in my grateful heart. Always know, you’re worth more than you
think to me!”
Mwana
muwala olw’awulira ebigambo byange ebimusuuta, amaziga ne gamwetimba mu mmunye,
n’alyoka angwa nate mu kifuba ng’alinga omuwendule kata ankube kya bugazi. Naye
nange nnanywera ng’erima, nnensimba nnakakongo ne twenyweza nga ba kigwo, olwo
amabbabbanyi ne gajula okunzita. Bwe y’ateeka obumwa bwe okumpi n’okutu kwange,
y’ankuba akaama nti; “Always make me your
silent prayer, to protect you forever, and make me your blanket of care, to
keep you warm throughout the night!”
Eddoboozi
lya Winnie lyali sseeneekerevu nnyo
era mu matu gange ly’alekamu akawoowo akanyunyuntuvu nga ssaagala alekere awo
okwogera. Bwe nnawulira ebigambo bye, nze nnakimanya bumanya nti ku luno bwe
kataligirya, waakiri erizaala amasumba. Nnafumiitirizaamu nga bwe nneebuuza mu
mutima gwange nti, ‘nze ani, okuva eri mu bisegguusi by’e Salye kati ali mu
kifuba ky’omuwala wa nnaggwadda era nnalulungi akyamya n’abayise?’ Era tekaba
kuba kayembe kato akaawanuka ku muyembe ne kagwa awo okumpi, twali tetujja
kweta. Anti buli omu yali yeerippye mu kifuba kya munne ng’alemeddemu kabbaani
ku ndongo. Naye olweta, Winnie n’ahhamba nti yali agenda kukyusa
ngoye tulyoke tugende tusike ku mpewo nga tetunadda okwesuusuuta. Nange ssaali
mubi nnanyeenya bunyeenya mutwe nga kkonkome, ne mmuta agende yeekube ddikini.
Olw’akyusa bw’ati obuwufu n’ankuba amabega, nze nnatandika kumulega ntumbwe na
ntambula. Nnamwegeka amaaso obutagamuggyaako okutuusiza ddala ku lusebenju,
olwo naye n’alyoka atunula emabega. Y’ankwata lubona nga nkyayasaamiridde, olwo
ne nneebuzaabuza ng’abadde atamutunuulidde. Yamwenyaamu katono n’abulirayo,
olwo nze ne nsigala nga nneesigamye ku muti gw’omuyembe nkuba bulatti
ng’omulwadde omubatize.
Nnatandika
okukubyakubyamu ne ndowooza ku byali bigenda okuddirira. Olwo nnenseka
ekimugunyu bw’omu nga njula okufa essanyu. Nnatuuka n’okukuba enkanda wansi ne ndayira
nti okufa n’obutanyagwa, Winnie ye
muwala yekka ggwe nnali nteekeddwa okuwasa. Nti era kyali kigenda kuba kya
busirusiru nnyo nze okulekawo omuwala omulungi lwondo nga Winnie, ne mpaalira ku miswaswangule. Nnalabira ddala ng’obwedda
kye nnayagalizanga embazzi, kibuyaga yali amezze. Ku ssaawa eyo, tewaali kintu
kirala kyonna kye nnali njagala mu nsi, okuggyako Winnie yekka.
Mba
nkyamegeredde ng’akabwa akasibe ku ggaali, Winnie
n’akomawo nga yenna ayambadde atonnye mmooli. Yali ayambadde ekiteeteeyi
ekiwanvu obulungi nga kimukoma ku bukongovvule. Ky’aliko amapeesa okuviira
ddala wansi okutuukira ddala waggulu mu kiwato. Kale mwana muwala yali
asumuludde amapeesa okugatuusiza ddala waggulu w’amaviivi n’okweyongerayo. Kale
bwe yatambulangamu bw’ati, ng’okugulu kwe okumu kuviirayo ddala kwonna amaaso
ne galaba ebyalo, emiruka, n’amagombolola. Yali atikidde enkoofiira endukireko
ekimuli ng’akwatiddeko n’ensawo enzirugavu eyalukibwa mu ngeri y’omukeeka. Bwe yaantuukako
nga yenna yeekubye obuwoowo, olwo wamma ne nnyongera okumira emiganda
gy’amangota. Nnali nkyali mu kusala ntotto nga bwe nneebuuza gye tuba tulaga, Winnie n’andabula nti twali
tetuteekeddwa kukyalira ekibuga Jinja, kubanga eyo waaliyo ab’ehhanda be bangi abaali bayinza
okumusuula ku migandu. Nze kwe kumubuuza omuntu gwe yali alekedde awaka, era
obanga ddala ab’awaka baali tebategedde nti twali tugenda kubeyuka. Winnie y’ankakasa nti bazadde be bonna
baali bagenze Mbarara mu bugwanjuba bwa Uganda , kale yali asigaddewo bw’omu
mpozzi n’omukozi w’awaka.
Bwe tutyo
twakkiriziganya tugende mu kafo akeekusifu tukwate ku k’ewamala. Olwessa mu
ddene, twasibira ku Friends Corner e
Mbikko, wamma ggwe amatooke ne gagenda ebitege. Nneeyiira amanzaali ne mwana muwala,
emmere ne tusamba nsambe. Twalagiirizanga ebitaffuttafu naye nga nze nnende
ntudde ku ya lukugunyu. Anti nnagira ne neebuuza gye nnaggya ssente
ezinaabisasulira. Naye Winnie y’ankuba
enkyukwe, bwe yasowolayo akavangata k’ensimbi mu nsawo ye, n’atoolako ze
tulidde nga bw’alagiiriza n’ebyokunywa ebirala. Bwe twamala okweriisa
n’okwenywesa ebikyepere, ne tukkiriziganya okuddayo e Jinja.
Okuddayo e
Jinja twalinnya mmotoka ya buyonjo eyatutuusiza ddala awaka. Olw’asasula
ddereeva akake, Winnie y’ahhamba ngire nga nsigala
wabweru wansi w’omuti nga bwe mmulindako okudda. Obudde bwali bukutte
ng’essaawa ziringa ssatu ez’ekiro, ng’era omwezi gwememula bulungi ku ggulu.
Bwe yadda, y’ankwata ku mukono ne twesolossa ennyumba, ne twambuka amadaala,
yogaayoga mu kisenge kye kyennyini amakula.
Winnie olwasibawo oluggi, n’assaako ettaala, kaabula kata
ndowooze nti nnali ntuuse mu ggulu! Anti ekisenge kye kyonna kyali kimasaamasa,
kyakaayakana, n’okutemagana nga mukene. Y’andaga obuliri bwe mbu kwemba ntuula.
Obuliri nnabutuulako nga mbutya nkirako atudde ku mpiso. Nneebunguluza amaaso
gange mu kisenge kyonna nga nninga alaba ssineema. Winnie yali yatimba mu kisenge kye ebimuli n’ebifaananyi
by’abayimbi b’e Bulaaya okwali amannya nga Maria
Carey, Whitney Houston, Celine Dion, Toni Braxton, Vanessa Williams, Backstreet
Boys, Bad Boys, G-Unit n’ebiringa ebyo.
Olwo mbu ye yali yeeyita Whitney Houston,
erinnya lye yali yakyusa okweyita ‘Winnie
B Houston’. Teyalwa n’atandika
okunkoloobeza ezimu ku nnyimba za Whitney
omwali I’ll always Love You wamma
ggwe ne nnyumirwa nga sijulira leediyo.
Winnie olw’akoowa okunkoloobeza ennyimba, n’andeetera akatunda ne
tunywera ku ggiraasi emu nga bwe tukebera ne mu bifaananyi bye, awamu n’okusoma
mu mabaluwa ne mu bitontome by’Oluzungu bye tweweerezeganyanga. Akamu ku
bunyiriri bw’ebitontome bya Winnie
akaasinga okunkwata omubabiro, yali yakawandiika nti; “When Love says ‘yes,’ mountains move!” okutegeeza nti omukwano
kuseguukulula n’ensozi.
Winnie teyalwa n’anasula emmanduso ya ttivi n’ateekamu olutambi
lwa ssineema ne tutandiika okuliisa ku maaso. Yasemberera ddala wendi n’assa
omutwe gwe mu kifuba kyange, olwo ne tutandika okwerolera nga tugalamidde
ffembi mu buliri. Yatandika okunnyumiza mbu ssineema yali eyitibwa Taitanic, naye nga nze ndaba bipya. Anti
e Salye nnali ttivi mpulira mpulire mbu ly’ejjembe ly’omuzungu. Ng’ate ne
ffirimu ze twalabanga e Buikwe nga batutiisatiisa nti abantu banaafubutuka mu
ttivi bajje batutugumbule. Ye Winnie
yakwazza gwa kumbuulira n’okuntaputira ebitundu bya ssineema bye nnali sitegedde.
Ssineema yagenda okuggwa nga mwana muwala yeebikudde asigadde mu kakete, naye
nga nze nneefudde atamanyi kigenda mu maaso. Teyalwa n’ampanulirayo ttawulo era
n’andagirira ekinaabiro gye kyali ntere nneeyiweko amazzi mpeweere.
Olwavaayo mu
kinaabiro, nnasanga muwalajjana nga yeebambye kya bugazi mu buliri, kata nze nzireyo
mu kinaabiro gye nnali nvudde. Anti nnayasaamirira nzenna ne ntuuyana entuuyo
nga nzisaza bibatu, omwami eyali y’ankamala okunaaba. Winnie olw’alaba nga nvudde mu mbeera, kwe kumbuuza nti; “Honey! Is anything wrong?”
Ko nze
nti;“No dear, I am just impressed!”
Nnali
nkyali mu kwemotya, amasannyalaze ne gavaako, wamma obudde ne budda ku
bunnaabwo.
Enkeera
nnagenda okudda engulu ng’obudde Lugaba yabuggyeeko dda eddiba. Kyayi yali
yanninze dda awo ku kameeza n’ebigenderako. Olwo ye Winnie yali yeeyiyeemu dda yinifoomu y’essomero ng’ateekateeka
kweggyawo. Nange olw’alaba ng’obudde bututwala kasiribaggo, ne mpita mu byangu
ng’omukazi aziika muggya we, kyayi ne tumunywa bukubirire. N’okufuluma enju tw’ayita
mmanju, era sirowooza nti omukozi yakimanyaako nti waliwo omutujju eyasuze mu
nju ya bakama be. Olw’atuuka wabweru, nga mperekerako Winnie ku ssomero lye. Y’ansaba okumunonangako ku ssomero singa
nnabanga mmwetaaze mu kifo ky’okugendanga ewaabwe. Nange ekifo n’erinnya
ly’essomero lye nnabikwata bukusu. Twekuba obwama nga tetumala, ne twekuba
obuwuna nga tebuggwaayo, ne twesiibula nga tetugenda, okutuusa lwe nnamukuba
amabega, ne nkwata erinzizza ewaffe e Salye mu Buikwe.
Nnawulira nga
ndi mukoowu nnyo, era ng’omuntu yenna bw’antunulako tanjawula ku mutamiivu
eyasuze mu kirabo ky’omwenge. Nnatandika okwesalira omusango nga nneevuma
ekyali kintutte ew’omuwala ne ntuuka n’okusulayo ng’atalina waffe? Nnawulira
muli ng’omutima gwange Winnie
tegukyamwetaaga. Era nneebuuza nti bwe mba nga ddala omuwala ono nnali wa kumuwasa,
obwesige mbuggya wa nti yali talina balenzi balala? Nandiki, weyasoboledde okunkukusa
ne nsula mu kisenge kye, tewali balenzi balala be yali akukusa mu ngeri y’emu?
Ye abange, omudidi gw’ensimbi ze yali amogolako obumogozi, yaguggya wa?
Newankubadde nga bakadde be baali bagagga bavundu, muzadde nnabaki agonnomolera
muwala we obuwanana bw’ensimbi ebwenkanidde awo? Ebyo nga bikyali awo, Winnie yali asoma ng’ate nze nkuba misota
ku kyalo, bw’alisuumuuka mu misomo gye teyali wakwefuulira mu kiti nga mbazzi?
Awo nenkimanya nti wamma nnali nneetyabidde nzeka akalimu obuwuka. Ekibi kino
kyali kiyinza okulanya okukirako n’ehhoma ennene.
Singa kyali kinaazuulibwa nti nnali nsaalimbidde mu matwale ga beene
ng’omulaalo ow’amaddu akama n’obuyana, mpabaana yali etuuse okukaawa ekibumba.
Bwe nnaddayo
e Salye nnalimba Jajja nti abazungu be nnali hhenze
okukyalira ku kibuga, baali bansabye nzireyo oluvannyuma lwa wiiki bbiri. Era
mu wiiki ezo ebbiri mukazi watu yasulanga atawuka, ng’ensimbi azinoonya buyiso
atere aziwe omuzzukulu agende alabe abazungu. Newankubadde nga nnali nsekera mu
matabi ga ngalo, nnali muli nkyebuuza wa gye nnaalaga singa Jajja ampa ensimbi
ze nnali mmusabye.
Lumu mu
ttuntu nnali nankamalira amatu ku ttaka mpummuleko, ne ndoota nga Winnie ne Kitaawe, omusajja eyaliko sserumbeete
w’olubuto, nga bannonyeeko e Salye. Taata wa Winnie yali awanda muliro ng’abuuza okulaba ku kaggwensonyi eyali
atisse muwala we ettu ly’olubuto! Bakira ng’ayogera bwe yeecanga n’okusamba
buli ekimuyita mu maaso. Nange olw’alaba nga binkalidde ku mimwa, ne nkimanya
nti obulamu bwange bwali bufuuse ssengavuddengazzeemu ng’ayoza ayanika mu
ttaka. Bwentyo nnayasamya akamwa kange ntere mbyegaane. Winnie eyali akaaba olukeremette, y’antunuuliza amaaso ge y’antunuuliza
nga twankasisinkana wansi w’omuyembe e Jinja. Bwentyo nange kwe kutulika nzekka
ne nkaaba. Mba nkyasikondoka, kitaawe n’asowolayo omugemerawala era n’anteeka
ku mudumu gw’emmundu ng’ayagala antulise obwongo nzikirire e kaganga nzike.
Nnakuba omulanga ogw’omwanguka nga bwe mpamatuka mu tulo nti; “Tonzita
ssebo…omuwala nze nnamuwa olubuto…!”
Olwali
okusisimuka bwenti mu tulo, ne mpulira abantu abakonkona ku luggi. Emmeeme
yantyemuka ne ndowooza nti bye mbadde ndoota byandiba nga bya ddala. Nneemulula
mpola ne hhenda
okulingiza mu ddinisa. Nnalaba abakazi abazeeyi babiri nga bakutte ebitabo
ebiddugavu bayimiridde nabyo wabweru. Ssaali mubi nange nga mbaggulira ne mbawa
n’obutebe ne batuula ntende. Abakyala bano bombi nnali mbamanyi nga batuuze ku
kyalo Salye. Naye nnali sibeesembereza olw’ebigambo bye nnali mpulidde ng’abatuuze
baboogerako. Omu ku bo eyayitibwanga Maama Kiiwa kwe kwasamya akamwa n’ahhamba nti; “Muvubuka, ffe
tuli Balokole era tuzze tukubuulire ku kigambo kya Yesu.”
Omulala
eyayitibwanga Mugide kwe kwongerezaako nti; “Ye, Baibuli etugamba nti Bwe
muwuliranga ekigambo kye, temukakanyaza mitima gyammwe.”
Awo nze kwe
kumwanukula nti; “Omutima gwange si mukakanyavu.”
Awo Maama Kiiwa
kwe kubikkula ekitabo kye eky’eddiba eriddugavu naye ng’empapula njeru n’asomamu
nti; “Laba nnyimiridde ku mulyango nkonkona. Omuntu yenna bw’awulira eddoboozi
lyange n’aggulawo, nange nnaayingira ne ndiira wamu naye.”
Era
yeeyongerayo n’ahhamba nti;
“Enkomerero eri kumpi kutuuka. Abamu bagamba enaatuuka mu mwaka ogw’enkumi ebbiri.
Naye Katonda ayagala ffenna abajeemu okudda gy’ali. Yatuma omwana we Yesu
ng’ekirabo eky’omuwendo omungi era ekiweebwayo, okutufiirira ku musaalaba e
Ggologoosa, atulokole okuva mu kibi Jajja
waffe Adamu kye yaleeta mu nsi. Naye olw’okuba abaana b’abantu twazaalibwa mu
kibi ne mukwonoona, emitima gyaffe gy’akakanyizibwa omulabe Setaani eyagobwa mu
ggulu, bw’atyo n’atuziba amaaso obutalaba okusaasirwa okuli mu musaayi gwa Yesu,
tulokolebwe.”
Awo Mugide
kwe kwongerezaako nti; “Abo bonna abaasembeza Yesu okubeera omulokozi w’obulamu
bwabwe, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, abataazaalibwa na kwegomba
kwa mubiri, wabula olw’omwoyo. Era omuntu yenna bw’abeera mu Kristo Yesu, aba
afuuse kitonde kiggya. Eby’edda byonna biba biweddewo. Naye abo bonna
abakakanyaza emitima gyabwe ne bavvoola ekirabo Katonda mwene kye yatugemulira,
abateekeddeteekedde ggeyeena eyaka nabbambula w’omuliro n’ekibiriiti. Omwo
omulabe Setaani, emizimu gye, n’abajeemu bonna mwe balibengeyeza n’okuluma
obujiji emirembe n’emirembe.”
Maama Kiiwa
kwe kukkaatiriza nti; “Naye okusalawo kuli gy’oli. Katonda atadde obulamu
n’okufa mu maaso go. Era ayagala olondeko kimu. Naye nga yandyagadde olondeko
obulamu. Okkiriza na mutima gwo, era oyatula n’akamwa ko okuweebwa
obutuukirivu.”
Abazeeyi
baayogera ebyo byonna nga nze amaaso gali ku ttaka. Bwe baambuuza obanga
nandyagadde okulokoka, nnabaddamu kimu nti kammale okwerowooza. Nabo tebaali
babi nga bansiibula. Bwe nnalaba nga babuliddeyo, oluggi ne nduggalira ddala,
ne ndeeta n’entebe ne ngikomekako. Nnali mpulidde ebikolobero bingi abantu bano
abeeyita Abalokole bye baali bakola. Ekisooka, mbu baalinga basaba eyo mu
matumbibudde. Mbu ng’era ekibeera mu kusaba kwabwe okw’ekiro kikirako n’ekyali
ku njovu e Kavumba. Anti mbu baana bawala n’abakyala, engoye baazirekanga ku
mulyango gwa kkanisa. Olwo bo ne bayingira mu maaso ga Mukama nga bali buswa,
olw’okuba mbu ensi twagiyingira tuli bwereere era tugivaamu twanjala ngalo.
Ekirala, mbu buli musajja yenna eyawuliranga ng’ayagala okwemala eggoga,
yagendanga bugenzi awali abawala bano n’agambako omu nti; “Yesu akuntumye”.
Ekyo mbu kyali kimala bumazi omusajja okwewangulira ekijuujulu ky’omuwala
n’agenda okwetiriboosa.
Oluvuuvuumo
olulala lwo nnali nnaluwulira ku Mugide yennyini.Mbu ono ye baliraanwa be bonna
yali abasuza ku tebuukye, ng’abasera ekiro kyonna. Olw’amalanga ogw’obusezi
ekiro, n’atandika ogw’Obulokole emisana. Ye Maama Kiiwa mbu bbaawe ow’empeta
yali yabimusibira ku nnyindo lwa nsonga za kumuleekaaniranga ekiro kyonna mbu ng’akoowoola
erinnya lya Mukama. Ate ye Omulokole omulalala eyansabira okuwona ekigere ne kigaana,
nze mwene nnamusanga lubona nga yeevumba ekisiko ne Kositanti eyali
ateeberezebwa okuba omusezi. Bwentyo bwe nnagatagatta ebyambyone ebyo byonna,
nnalaba nga kyali kinneetaagisa okusooka okwerowooza nga sinnasalawo kiddirira.
Wiiki
ebbiri bwe zaayitawo, Jajja yankwanga ssente ntere hhende ndabe abazungu be nnali
mmulimbye. Bwentyo nange nneewaayo ng’enkoko emira ensanafu ne nsalawo okugenda
ku kibuga. Newankubadde ng’ekibuga Kampala nnali
mpulira kiwulire ku leediyo mbu tekiyitikamu, nnezzaamu amaanyi nti; kasita
nnagezaako e Jinja ne nvaayo nga tewali mmotoka enkoonye, bwentyo ne Kampala nnali wa kumuwona.
Era Jajja bwe nnali mmusiibula, nnamugamba nti ndi wakukulungula olunaku
lulamba ku kibuga nga ngasimbaganye ne bakyeruppe tugaayagaaya mu bigambo
ebikwata ku kusoma kwange. Ne Jajja yeeyongera okunkuutira nneegendereze nnyo
ebidduka naddala nga nsala enguudo mu kibuga. Nange olw’amala okweyiwamu
essweta yange ey’ebikuubo, n’empale yange eya bbululu ppaasi gye yali yayokyako,
ne nsiibula Jajja. Nnakwata akaveera aka kiragala mwe nnasitulira kasooli
omwokye, lumonde omuvumbike n’amenvu ga kivuuvu, wamma ggwe nnende ne njolekera
erintwala ku kibuga Kampala .
Emmotoka
nnagikwatira mu ttawuni e Buikwe n’entuusa e Lugazi gye nnasanga kamunye ezidda
e Kampala .
Emmotoka mwe nnatuula olwali okusimbula, ne hhamba mu
mutima gwange nti ekijja kyonna kijje, naye ndayira obutabulira mu kibuga Kampala . Kamunye mwe nnali
yali ewenyuka ng’akaweewo, naye nga ndaba tetutuuka Kampala . Kaabula kata nviiremu e Mukono nga
ndowooza nti tutuuse. Taba kuba musaabaze eyali antudde okumpi eyeewuunaganya
yekka nti; “Owange! Mukono naye wuuno akulaakulanye, oyinza okulowooza nti Kampala !” Nange olw’awulira
ebigambo ebyo, ne nzikakkana buto mu kafo kange.
Bwe
twatuuka e Seeta, kaabula kata era emmotoka ngifulume. Mu butuufu nnafuluma ne
kondakita ne mmuwa ssente ze. Naye bwe nnawulira ng’akyayita abasaabaze nti;
“Abagenderawo e Kampala
yiino etambulirawo;” emmotoka ne ngiddamu buto nga bwe neebwalabwala ng’akabwa
akabbi. Kaabula kata kondakita anvume, naye ndowooza y’andeka bulesi nga
yeebuuza ekyalo gye nva. Bwe nnakkalira obuto mu kafo kange, nnasalawo okutuula
ntereere bubya okutuusa emmotoka gye yali egenda.
Namanve
twamuyitamu bulungi, wuuyo Bweyogerere, Kireka, Banda, Nakawa, ne Lugogo. Olw’ayisaawo
katono, ekinyegenyege ne nkikwata era ne hhambirawo
kondakita “Nviiramu wano!” Anti nnali ntandiise okulengera ebizimbe galimwoleka
ku mutala oguddako. Ddereeva naye teyalwa emmotoka n’agisiba ne nvaamu
n’akaveera kange aka kiragala nga tekanva mu nkwawa.
Olwali
okussa ekigere kyange ku ttaka, nnatambulirawo nga ngoberera oluguudo olugenda
gye nnali nnengera ebizimbe ebiwanvu. Nnatambulanga nneekengera buli muntu andi
ku lusegere, anti nga bandabula dda nti mu Kampala buli omu muyaaye. Emmotoka zo zaali
ziteevuunya nga buwuka, era nga tewali muntu w’asobola okuyisa ekigere. Omutima
gwatandika okuntujja nga nneebuuza engeri gye nnaasalamu oluguudo okudda ku
ludda olulala. Bwentyo nnasalawo okugumira ku ludda lumu olw’oluguudo
sikulwanga ne tantala okusala ate ne ngwa ku kyokya.
Nneeyongera
okuseeyeggera nga kasooli omubisi okukakkana nga ntuuse enguudo we
zisisinkanira. Wano nnamanya nti emberenge yali egaze. Anti nnali nteekeddwa
okusala oluguudo okusobola okweyongerayo. Bwentyo nnayimiriramu katono ndabe
obanga emmotoka ezaali ziva ku ludda lw’e Bugoloobi zinaakendeera. Naye kuno
kwali nga kusiwa nsaano ku mazzi. Emmotoka zeeyongeranga bweyongezi nga ze
bampendulidde okunnemesa ekibuga. Olw’alaba ng’embeera etandiise okubijja,
nnasalawo okusala mwasanjala okwagala n’obutayagala. Nnafungiza ne ku mpale, olwo
ne ndyoka nsinziira ng’endiga egenda okutomera omuti. Nnafubutuka omulundi gumu
nga nnumye n’ogwengulu yogaayoga wakati mu luguudo. Naye ng’ekuba omunaku
bw’etekya, olwali okutuuka wakati mu luguudo bwenti, nnalengera Pajero ng’eva eri emazeeko nga muwogo
nga n’amataala emyansizza. Ku luno nnamanya bumanya nti nneesombedde sebukuule.
Siwena nnakyusizaawo obuwufu nga sseesiikidde na ku kanyeebwa ne mbuuka okugwa
eri ku bbali gye nnali nvudde. Ow’akagaali kaabula kata naye akampiseeko siba
kwevulungula ne neekasuka mu lukonko. Ssaatawaana kutunula bbali ndabe obanga
waaliwo abaali bansekerera. Naye ndowooza bangi baali beebuuza ekyalo gye nnali
nvudde. Ko akaveera kange aka kiragala sijjukira gye nnakasuula. Nteebereza
kaagwa wakati mu luguudo emmotoka ne zikalinnyirira.
Olw’alaba ng’emmotoka
zizze gawanye ng’ebisesemye, nnatandika okwemasagga ng’eggongolo essibe
akawero. Ebintu byali binsobedde eka ne mu kibira. Naye nga bwe baalugera nti
akufumbira ey’ebigere, omufumbira ya mutwe ne mwenkanya evvumbe, nange emmotoka
nnazifumbira ssekalootera. Nnasalawo okulinda abantu abasala oluguudo bawere.
Olw’alaba abasajja babiri nga bateekateeka okusala, nange ne mbegattako ne tusala
ffenna kirindi. Okutemya n’okuzibula nga ndi ku ludda lulala nsaayirira engere.
Olwatuuka
mu kibuga wakati, nnagamba bugambi nti kati wano ne bwenfa, kasita ntuseeko mu Kampala . Nnagiranga ne ntunulako
waggulu ne ndaba ebizimbe obwaguuga ebyagulumira kumpi kukoona ku ggulu. Okwo
nga kwossa nnasiisi w’omuntu n’emmotoka eziteevuunya ng’obuwuka n’okukuba kkerere,
wamma ggwe ne ntangaalirira nzenna nenta n’ensaya. Nnatambula Jinja Road
yonna ne ngikuba ku bbali. Nnazzaako
Kampala Road
ne mmalira ku ludda e Bombo.
Olwali
okutuuka okumpi ne Hotel Equatoria
gye nnawuliranga obuwulizi ku leediyo, enkuba bikokyo n’etandika okufudemba nga
gye bagoba mu ggulu. Enkuba yatonnya okumalira ddala kumpi essaawa bbiri
nambirira nga nze nnende n’abantu abalala tweggamye awo ku lubalaza lwa
wooteeri y’Omuyindi. Nnalengera omuwala eyali ayambadde empale empanvu
ng’ayimiridde mu kayumba k’essimu, atadde ekikono kyayo ku kutu ne ku mumwa
ng’ayogera olutamala. Olwamulaba, ne mmwegomba nga bwe nneebuuza mu mutima nti ndisoma ddi okutuukako awo
nange njogerereko ku ssimu? Mwana muwala bwe yamala okuta akaka, n’azzaako
ekikono ky’essimu, n’anyeenya akabina okweyongerayo. Nnafuba nnyo okumulaga nti
nnali mwetegereza, naye nga ye tanfaako okutuusa lwe yabulirayo nange ne ndyoka
muggyako amaaso.
Nnatandika
okulowooza nti singa ku ssaawa eyo nfunayo ekikazi kinnakibuga ekigagga ne kinnonda
okuva ku luguudo, ne bwe kihhamba
okumpasa nzikiriza bukkiriza ne hhenda okulya
ku mmaali yaakyo. Naye gye nnakomya okwegomba, n’ebikazi ebigagga gye by’akomya
okumpisaako emmotoka zi kapyata nga tewali wadde n’ekimu ekintunulako.
Ekyasinga okunzigya enviiri ku mutwe kwe kulaba nga n’abamu ku baana abavubuka
ab’ekigero kyange n’abawala abenkana Winnie,
nga bavulumula emmotoka ez’ebbeeyi ne njula okufa ensaalwa.
Enkuba
olwakya, nnagenda okwetegereza ng’oluguudo gye nnaviiridde sikyalujjukira
bulungi. Nnatandika okumala gataayaayaa nga bwe nsaba Lugaba annyambe wakiri
ndabe ku kipande ekiriko Jinja Road . Nneetooloola kumpi okumalako ekibuga
kyonna, naye nga Jinja Road
sigikubako kya mu lubaale. Waayita kumpi essaawa endala bbiri nnambirira nga
mpitaayita mu bizimbe ne mu nkuubo, ne ndyoka nnengera emmotoka eyali egenda
eyita nti ‘Mbale, Iganga, Jinja’. Wano nnassa ku kikkoowe ne ntandika n’okuyoya
okunywa ku lwendo lw’amazzi. Naye ekyasinga okunneewuunyisa kwe kulaba
ng’oluguudo lwe nnalabye ebuvanjuba, lulinga olulabikidde ebugwanjuba. Nnafunirawo
emmotoka edda ku lw’e Jinja ne ntuusa e Lugazi. Eyo gye nnafunira ezidda e
Buikwe, bwentyo nenzira e Salye nga nzenna mpita kuli, ggw’ate ssempala eyali
ava mu kibuga! Buli omu ku kyalo yali ateekeddwa okunkubira ey’Abayege.
Eka, nate
nnamatiza Jajja nti bakyeruppe baali beewaddeyo okumpeerera mu misomo gyange
naye nga bakyalina bye banneetaagako. Kale nno mbu kyali kinneetagisa okuddayo
nate ku kibuga nsobole okwongera okuttaanya ensonga ezaali zisigalidde. Jajja
naye teyalinda, oluvannyuma lwa wiiki emu n’annyongera ssente ntere nzireyo ku
kibuga. Ku luno nnali mpulidde ku kalango ku emu ku leediyo eyaweererezanga ku
kasozi Naggulu, nga baagala abantu abanaagaba omusaayi. Nange nnagamba mu
mutima gwange nti guno omusaayi gwonna gwe nnina ogw’obwereere, lwaki sigenda
ne ngabako akadomola nga kamu?
Olunaku
lwali lwa Kazooba, Jajja ne mmusiibula nate nti hhenze okulaba
Abazungu. Naye bw’atyo y’anjagaliza emikisa n’emirembe. Emmotoka nnagirinnya
bukyali, era essaawa zaagenda okuwera ennya ez’akalasamayanzi, nga nnagguse dda
buseke mu kibangirizi kya ssemateeka mu Kampala .
Wano we twali tuteekeddwa okugabira omusaayi. Leediyo y’e Nagglu yali
yeekobaanye n’etterekero ly’omusaayi e Nakasero, okufuna omusaayi basobole
okutaasa obulamu bw’abo abatagulina. Nange luno ssaalutumira mwana, era nze omu
ku baali abasaale mu kutona omusaayi ogwali gwetaagibwa. Kino ssakikola lwa kuba
nti nnalina omusaayi mungi oba olw’okugujuubanira eby’okulya, naye lwa kuba nnali
njagala nnyo leediyo eno era nga ngiwuliriza nnyo. Winnie y’eyali yanginjagazisa mbu ng’ekuba ekika ky’ennyimba ze
yali asinga okunyumirwa. Kale nno nange bwentyo nnali nnabuukira ekigaali kye,
leediyo eno nga njoota buliro.
Olw’amaliriza
okugaba omusaayi n’okunywa ku ssooda, nnabuulizaawo emmotoka ezidda e Naggulu
ntere hhende ndabe ku
bakozi ba leediyo eno be nnali mpulira obuwulizi mu kyalo. Bwe nnatuuka okumpi
ne Naggulu, amagezi ganneesiba. Anti nnalengera ennyumba ez’amategula nga
zibambye akasozi konna ne neebuuza nti omwana w’omuntu anaayisa wa ekigere?
Naye olw’ava mu mmotoka, nnasalinkiriza mpola mpola mu bikubo eby’ettaka
ng’olwo njolekedde entikko y’akasozi okwali omulongooti omuwanvu ennyo nga eby’olusolobyo
tonyumya. N’enkuba yatandika okuvaamu obuto, ne ntunulatunula okulaba wemba
nneggama naye nga buteerere. Anti buli nnyumba gye nnakubangako amaaso ng’eri
mu kikomera okuli ssehhenge,
ekifaananyi ky’embwa, akafaananyi k’akawanga k’omutwe gw’omuntu n’emmundu.
Bwentyo nneeyongera okusimba kasooli yogaayoga ku ntikko y’akasozi Naggulu. Eyo
gye nnasanga abakyala babiri ne mbabuuza wa leediyo gye nnali nnoonya we yali.
Tebaali babi ne bandagirira okweyongerayo katono. Olw’alengera ekisowaani
ekyakulanga ekibbo, olugali oba
essefuluya, mbu ekikasuka amaloboozi, nga kiwanikiddwa ku nnyumba eya kkalina
ebbiri, ne mmanya nti nnali ntuuse.
Bwe
nnatuuka ku kkalina, omuserikale nnamugamba kimu nti nva kugaba musaayi era nti
nzize okutumira ku Bantu bange. Naye teyambuuza bingi n’andeka okuyitawo.
Olwali okwesogga ennyumba, nnasanga abantu be nnali ssirabangako, naye
ng’amaloboozi gaabwe ngamanyi. Olwabagamba nti nnali nva kugaba musaayi ne basanyuka
nnyo. Era nnabakakasa nti ndi muwuliriza waabwe ow’olulango era nti nviiridde
ku kyalo Salye e Buikwe. Kino ky’abasanyula nnyo nate, era omu ku basomi
b’amawulire ag’olulimi Oluganda kwe kunnyambusa waggulu mu kkalina. Bwe
twatuuka mu nkuubo z’ebisenge, n’ansaba okutuulirako awo ku katebe nga bwe
mmulinda. Nnagenda okulaba ng’akomawo n’omuwala amata obuta eyampita ne tuyingira
mu kimu ku bisenge enkumuliitu. Kaabula kata ndowooze nti nnali ntuuse mu
ggulu. Naye olw’okuba ekisenge mwe twayingira kyali kyonna ky’asiigibwa langi
enzirugavu be zzigizigi, nnakiteebereza okuba nga ye situudiyo ya leediyo.
Omuwala
eyannyingiza mu situudiyo, yandagira ntuule ye nadda mu byuma. Yali muwala
muwanvu nnyo, ng’era mubalagavu naye nga
mu buddugavu n’enziiziiri emusinga obweru.Wabula go amannyo ge gaali meeru be
ttukutuku. Olw’atereera mu ntebe ye n’assa emizindaalo gy’okumatu ku mutwe ne tutandika
okuwaya. Olw’ebyuma bi kalimagezi ebyali enjolo, nnabulwa ne wentandikira
okubuuza. Omuwala olw’alaba ng’omumwa ngutunzeeko empiso, n’atandika
okumpitirayitiramu ku ngeri gy’akolamu emirimu gye ng’aweereza ku mpewo. Awo
nze kwe kumubuuza nti; “Owange obadde ki? Ng’oyogera nnyo! Eri tebaatuwulire?”
Ye kwe
kuseka nga bw’ahhamba nti; “Nedda!
Kati tetuli ku mpewo. Bwe nnabeera nga hhenda ku
mpewo nnaakubuulira osirike.”
Ko nze nti;
“Naye nga mpulira oluyimba lw’oli okuzannyira abakuwuliriza luli mu ddoboozi
lya wansi nnyo, abawuliriza banaaluwulira?”
Ko ye nti; “Baluwulira
bulungi nnyo, ne bwenkendeeza oba okwongeza eddoboozi wano mu situudiyo
tekitaataaganya maloboozi ga leediyo z’abatuwuliriza.”
Teyalwa
n’ayongeza eddoboozi ly’oluyimba ekisenge kyonna ne kiggunda okujula okunjabya
amatu. Ssaalwa ne mmukolera akabonero akategeeza nti ‘kendeeza mangu’ nga
nkutte ne ku matu. Bwe yakendeeza ebiggunda, nze kwe kumubuuza nti; “Zo
ennyimba z’oyagala ozinoonya otya n’ozifuna mu bwangu ddala ng’abakuwuliriza
bazikusabye?”
Ko ye nti; “Ekyuma
kino ki kalimagezi ky’ekikola ogw’okunoonya ennyimba mu bwangu. N’ekirala, nze ng’omuweereza
ow’oku mpewo, kingwanidde okuba ng’ennyimba n’abayimbi baazo abasinga obungi
mbamanyi bulungi ne kiryoka kinnyanguyira okuwa ekyuma ki kalimagezi
ebiragiro.”
Teyalwa
n’ampitiramuko ku ngeri gy’anoonyamu ennyimba abawuliriza ze baba bamusabye
ng’ali ku mpewo.
Twali
tukyawaya, n’ahhamba nti
yali agenda ku mpewo, n’olwekyo nnali nteekeddwa okubunira. Era teyalwa
n’akyusa nnamuziga mwe yali ayogerera n’alyoka afuuwa ekinyanyimbe mu ddoboozi
ery’eggono wamma ggwe ng’asingako ne bakyeruppe abaabitandikawo. Olw’amala,
n’akyusa nnamuziga n’agitunuza ku ludda olulala, emboozi yaffe n’egwa buto
amakerenda. Engeri mwana muwala ono gye yali anyumyamu, nze yannyumira nnyo era
nga ssaagala alekere awo okwogera. Naye ekyasinga okunennyamiza be bakubi
b’amasimu naddala agasajja agaalinga gakuba essimu buli ddakiika si lwa kuba
nti gaali gaagala okutumira, wabula okukwana muwala jjana ono.
Essimu ya
situudiyo yalinga emyansa bumyansa, olwo mwana muwala n’agyanukula nti; “Hello Sweetheart” era n’atandikirawo okusinda
omukwano n’ogusajja. Nze olw’alaba nga kimpitiriddeko siwena muwala jjana ne mmusiibulirawo
naye nga mmukiikidde ensingo n’okwekokkola obwenzi n’obukaba obubugaanye mu
bamu ku bakozi b’oku maleediyo. Yankuba ku mukono n’andagira okumulindako. Bwe yamaliriza
okwogera n’ogusajja ku ssimu, n’ambuuza ekibuuzo nti; “Ggwe tolina
b’otumirako?”
Nze kwe
kumuddamu nti; “Ab’okutumira nnina ntoko, mpozzi mpa ku kapapula kwemba
mpandiika obubaka, onaabantumirira nga nzizeeyo. Teyalwa n’ampa olupapula
olutukula ng’omuzira. Nange olw’amaliriza okuwandiika ab’okutumira nga Winnie y’asooka ku lukalala, olupapula
ne ndunkyusa. Ku luuyi olulala okwo kwe nnakulubuuta ebbaluwa mwe nnasindira
ennaku eyali empaazizza n’entuusa ne mu Kampala .
Era nnakubira nga nsaba abakulu n’abakozi ba leediyo eyo bansuule omukono okulaba
nga neeyongerayo n’emisomo gyange mu maaso. Olwali okussa omukono ku lupapula,
ne ndukwanga mwana muwala nga bwe mmusiibula. Naye teyandekerera n’akwata mu
ndyanga n’aggyamu essente nga bw’ahhamba nti; “Ezo
zinaakuyambako ku by’entambula.”
Kaabula
kata mmugwe mu kifuba okumwebaza, naye olw’okuba yali anyirira nnyo nnamutya,
bwentyo ne mmukwata bukwasi mu ngalo ne mmwebaza nnyo n’okulaama ne nnaama.
Bwe
nnafulumayo mu situudiyo nga nzenna mmegeredde, abakozi abalala be nnasanga nnaddamu
buto ne mbalamusa era ne mbasiibula nga bwe mbaagaliza obuwanguzi mu mirimu
gyabwe. Omusomi w’amawulire ag’olulimi Oluganda ye y’ansibirira entanda nga
bw’agamba nti; “Bw’obeera ng’ozzeeyo e Buikwe, Jajja mundabire nnyo, omuhhambire nti nange nze Jajja
w’abaana wano e Naggulu.”
Bwentyo bwe
nnasiibula Naggulu ne nkwata erinziza e Kampala
mu ttawuni. Ndowooza taba kuba mwana muwala eyampa ku nsimbi ezinzizaayo e
Buikwe, nnali wa kuzinoonyeza mu kiwato nga mazina. Anti nnagenda
okwekwatakwata, ng’ensimbi ze nnali nsigazza z’ezo zokka ezaali zisobola
okunzizaayo ewaffe mu kyalo. Kale bwe nnafuna emmotoka, ssaawa bbiri ez’ekiro z’ansanga
ndi mutaka ku kyalo Salye.
Bwe nnaddayo
ku kyalo Salye, amagezi nate ganneesiba. Nnatandika okulaba ng’ensi yali
enkutte entegetege n’amagulu. Jajja nnali sikyalina bingi bya kumulimba,
kubanga abazungu be nnali nga nkuutira akadingidi, baali mpewo buwewo era
ebyoya by’enswa. N’abakulu ba leediyo kwe nnali nsibidde olukoba, nnakanda
kulinda nfune okuddibwamu naye nga buteerere. Awaka nawo nga tetukyalinawo
kantu konna ke tusobola okuggyamu ekigulira Magala eddiba.
Oluusi
nnateranga okulowooza nti essaawa yonna ebbaluwa yali entuukako nga Winnie ankakasa nti olubuto lwe
lutandise okulabika. Era lumu nnali nky’alowooza ku miroboli egyali giyinza
okuva e Jinja, ne mpulira abantu abakonkona ku mulyango wabweru. Nnasooka
kutiira ddala nti ku luno y’andiba Winnie
ng’andeetedde olubuto. Nneemulula kibombyambwa ne hhenda okulingiza mu ddinisa.
Ng’enda okwetegereza, nga ku Mugide ne Maama Kiiwa kwe nkuba amaaso nate
ng’ogwokubuulira enjiri gubaleese gubaleebuukanya. Nange siwena oluggi nnaluggalira
ddala ne ntumbula ne leediyo, siri ku banabbi ab’obulimba.
Okwesibira
mu nnyumba gw’afuukira ddala muze. Okufulumako wabweru nnabanga hhenda kusamba mupiira oba
okunoonya obutiko, emiyembe ne ffene ku ttale. Ffene n’ebikajjo by’abatuuze
nnabiwenjanga buseenene, wamma ggwe ne mbakubya endubaale. Ogw’okubba emmere
y’abantu gwo nnali nnaguyiga nkyali muto.
Nzijukira
lumu lwe nnasitukira mu njole y’ebikajjo bya Yakobo ne mbikukusa yogaayoga mu
lusuku lwaffe olw’embidde, nnende ne mbibikkako n’essanja. Yakobo naye tawena
ebikajjo bye yajja abikonga lusu nga mbwa yogaayoga ng’atuuse eka. Aba akyabiyitirayitiramu Jajja,
ne zireeta muka Muserikale Maama Boy,
omukazi eyali asinda omukwano ogw’obubba ne Yakobo. Baba baky’atudde awo bombi
mu katebe wakati mu mukwano ogw’olusuusuuto, ne zireeta Muserikale naye ng’azze
okunoonya kiwagi eyali abbanga ebikajjo bye. Muserikale olw’akuba eriiso ku
mukyala we nga beesiisiitira ne Yakobo, n’asowolayo ejjambiya ng’ayagala
abasanjage obulere. Jajja y’eyataasa embeera bwe yava we yali atudde
n’afukamira ku maviivi ge abiri nga yeegayirira Muserikale asonyiwe abampembe.
Muserikale
nga yenna tasalikako musale yasemberera Yakobo we yali atudde n’alyoka ata
akaka nga bw’amuvuma obukopi n’okumulangira obwenzi obwamugobya ne ku kyalo gye
yava e Rwanda .
Maama Boy yalaba taabisobole ne yeemulula
busota n’abulawo mu kimpowooze ng’omukkuto gw’amenvu. Ebyo byonna byali bigenda
mu maaso nga Jajja akyali ku maviivi n’emikono awanise mu bbanga akuuta akalevu
Muserikale aleme kutemaatema Yakobo. Muserikale nga yenna ameze n’obuswiriri mu
nnyindo, yakyusa lumu obwanga n’awondera mukyala we.
Yakobo olwali
okulaba nga Muserikale abuliddeyo, olwo naye kwe kubuuka enswa n’amwolekeza
ebigambo endulundu nti; “Ee! Bw’oba weeyita musajja nnyo, komawo ontemeko.
Tokimanyi nti akaayanira omukwano taliwa? Ate gakyali mabaga, ne muwala wo
omukulu Namuzuula ndi kumpi kumuyigiriza entambula y’emmunyeenye n’omwezi…”
Jajja
olwalaba nga Yakobo anaatera okumuzaalira ebitukula, n’atandiika okumuwooyawooya
asirike. Nze nnali nneekukumye mu ffumbiro ng’ebigenda mu maaso mbizigirira mu
myagaanya gya luggi. Yakobo olw’ayogera ku muwala wa Muserikale omukulu,
emmeeme n’entyemuuka. Anti nange lumu nnali nneekobaanye ne Mahheeni, omuwala ono tumutunuze
mu mbuga ya kalinkwe Setaani. Twalinda ekiro kimu ng’abatuuze bali ku lumbe lwa
muzeeyi Wambazu eyatomerwa akagaali ka Ttabaalo n’afiirawo mbulaga,olwo ffe ne tugufuula
mugano. Tw’asooba mpola akawungeezi ne tugenda tubwama emabega w’ekinaabiro kya
Muserikale eky’essanja n’emmuli. Ye Mahheeni
yeekweka mabegako mu bitooke, olwo nze kabwejungira ne neekukumira ddala okumpi
n’ekinaabiro. Twali twakivumbudde dda nti Muserikale yali mu kiwenda
eky’okuwenja omuvubuka Ttabaalo eyali atomedde muzeeyi Wambazu n’afa, ye n’abomba.
Kale ffembi twakuba enkwawa ng’emitima gituli wamu nti ku luno muwala we
Namuzuula twali ba kumuwewa buswa.
Mba nkyagumbye,
ne zireeta Namuzuula nga yeesibye ttawulo. Yali asitudde n’amazzi mu bbaafu
ng’agenda kunaabako. Olw’esogga ekinaabiro, ttawulo n’agikasuka ku luwagi. Awo
nze ne neetereeza mu kafo kange mwe nnali mmulengerera obulungi. Bakira buli
lwe yakyukanga okweyiwako amazzi, nga nze amaaso ngamusimbye butatemya,
nnyumirwa okumala obumazi.
Nnali nninze
kimu Namuzuula amale okuzibiriza ng’anaaba ssabbuuni mu maaso, ndyoke nfubutuke
omulundi gumu mmuvumbagire nga kamunye bw’agwa mu nkoko. Naye aba akyekuuta mu
mugongo nga nange amangota mmira muganda,
ne mpulira ekintu ekifubutuka. Ng’enda okwetegereza nga munnange Mahheeni bamutwala ntyagi nga ne
nnabugi si mufungize. Muserikale yennyini y’eyali amutereddeko akafubutuko nga
tomwawula ku kkapa egoba emmese.Nange olw’alaba nga gususse ew’omulamuzi,
nnayitira mu kinaabiro ng’akasaale, ne ndyoka njokya omusubi ng’akamyu kadda ku
bbali. Namuzuula enkyukwe yamukuba kya bugazi era emiranga gye yatema gye gy’akomyawo
kitaawe obutatuwondera. Okuva ku olwo Muserikale ne tumuggyirako enkoofiira nga
si ye musajja omuntu gwe yali asobola okunyigira mu kikonde.
Kale nze
olw’alaba nga Yakobo yeereega obwenkanidde awo ku Muserikale, nnagamba mu
mutima nti ono alabika tamanyi nti ali mu kuzannya n’engo eriko omwana. Naye
okwereega kwabwe kwamponya obutangwa mu buwufu nti nze nnali nkukusa ebikajjo
byabwe. So ng’ate ne mu kakyo kano
nnali nnaatera okuttunkiza obuto omuze gw’okubba emmere y’abantu ku kyalo.
Lumu nnali
mpujaddeko mu kasiisira kange nga mpuliriza ku bidongo by’abazungu ku leediyo,
ekirowoozo ekipya ne kinzijira. Mmuli nnawulira nga kumpi buli luyimba nnali
ndumanyi oba nnali nduwuliddeko kalube lupya oba lukadde. Bwentyo nnayagala
nkyuseemuko mpulire ku ndongo n’enkuba y’ennyimba ze nnali sitera kwettanira.
Nnasalawo okukyusa akalimi ka leediyo ntere mpulire ku nnyimba ez’Abalokole
abagwi b’eddalu. Akalimi olw’akatuusa ku emu ku leediyo zaabwe ne nkaleka awo.
Bwe nnali nga nkyawuliriza ennyimba ezaali zitali kunnyumiramu wadde n’akamu,
leediyo teyalwa n’etandika okukuba obulango. Mu birango mwe mwali n’ekiranga
olukuhhaana
lw’enjiri ey’abakkiririza mu Baibuli
entukuvu. Olukuhhaana luno
mbu lwali lwa kukulungulira ddala ennaku musanvu ng’eby’okulya n’ensula byonna
bya bwereere eri abakkiriza abaviira ebweru wa Kampala . Lwali lugenda kubeera Bwaise ku
nkinkiizi z’ekibuga Kampala
era ng’omusumba ayitibwa Ssennyonga y’eyali aluwomyemu omutwe. Bwe nneerowoozaamu
nnagamba mu mutima nti newankubadde nga siri Mulokole, nnali nzikiririza mu
Baibuli. Kale nga siraba nsonga lwaki sseetaba mu lukuhhaana luno ne nfuna omukisa
gw’okusulako mu kibuga nga bwenjiiya n’engeri ey’okutetenkanyaamu obulamu. Ku
luno nnasalawo obutateganya Jajja nga mmusaba ssente z’entambula. Bwentyo
nnatunda omuzindaalo gwa leediyo yange mwe nnaggya ejjamba.
Zaali
ennaku z’omwezi kkumi nattaano mu mwezi ogwa Kasambula mu mwaka lukumi mu
lwenda mu kyenda mu mwenda, ne nsiibula Jajja. Nnamukakasa nti nnali ng’enda
okugasimbagana nate ne bakyeruppe okumalira ddala wiiki nnamba mu kibuga. Jajja
naye teyali mubi n’anzikiriza bwentyo ne neggyawo.
Olw’okuba
ekibuga nnali nkigenzeemuko emirundi ebiri mirambirira, okutuuka e Bwaise ku
kkanisa y’omusumba Ssennyonga tekyankaluubirira nnyo. Era olwava mu mmotoka
bwenti, nnalengera ekipande obwaguuga okwali kuwandiikiddwa erinnya
ly’ekkanisa. Nnende nnali nsuubidde okulaba ekkanisa eya kkalina nga munaana
n’okusingawo. Naye nkyambuukako okulaba olukunkumuli lw’abantu abaali baku hhaanidde mu kkanisa eyali
yaserekebwa amabaati n’emitayimbwa ng’ate byo ebisenge byayo tebyatuuka.
Ekkanisa yali yayawulwamu enkuubo empanvu, ng’olwo mu bibangirizi byazo mwe
muli obutebe obwa langi ez’enjawulo abakkiriza mwe batuula. Wabweru w’ekkanisa
waaliwo emmotoka za lumaggamagga okusinga nga za kika kya Pajero n’ebbaasi ezaali zireese abazungu. Emizindaalo gyo gyali
gibwatuka n’okukirako laddu . Era nnasanga omusumba w’ekkanisa yennyini nga
y’ali mu mitambo gy’okuliisa endiga ze ekigambo kya Yesu.
Omusumba
yanzigya enviiri ku mutwe. Yali musajja mumpimpi nga wa kigero, naye
ng’eddoboozi erimuvaamu lisisimulayo n’ennyenje ebuziizi. Yabwatukiranga ku
muzindaalo ng’era oyinza okulowooza nti ekkanisa agenda kugibambulako akasolya.
Ne bye yali ayogera nnali ssiwuliramu wadde n’ekimu okuggyako okulaba
ng’Abalokole baleekaanira waggulu n’okusaakaanya nti, “Amiinaa…!”
Nnali
nkyayasaamiridde, omuwala eyali ayimiridde ku mulyango gw’ekkanisa kwe kumbuuza
nti; “Ssebo wewandiisizza?”
Ko nze nti;
“Nedda nnyabo, twewandiisiriza wa?”
Awo omuwala
eyali ayambadde ssikaati empanvu ng’emukoma ku bukongovvule naye nga waggulu
ayambadde kakete, n’antwala mu weema mwe baali bawandiisiriza abagenyi. Olw’atuuka
mu weema, omuwala eyali yeesiize ebintu ku mimwa ng’akirako omuntu ava okuwuuta
omusaayi, kwe kumbuuza nti; “Ssebo tubuulire amannya go, ekyalo gy’oviiridde,
n’ekkanisa gy’osabiramu.”
Amannya
gange n’ekyalo gye nnali nviiridde nnabibagamba, naye eky’ekkanisa gye
nsabiramu kaabula kata ebigambo binkalire ku mimwa. Nnatakula omutwe okutuusa
lwe nnajjukira ekkanisa y’Abalokole e Buikwe, ne mbagamba erinnya eppangirire.
Awo omuwala kwe kunkwasa akapapula okwali amannya gange n’ennaku ze nnali
nteekeddwa okumala nga ndya, n’okusula mu lukuhhaana luno.
Olwazza akapapula kange mu ttaano, nenkuba akakule mu nda yange, ne nkyacanca
olw’okufuna omukisa ogw’okusulako mu kibuga. Ssaalwa ne nnyingira mu kkanisa
nange ntere mpulirize ku njiri ya Liisoddene eyali ekutte omuliro.
Bye nnalaba
mu kkanisa byannema amalojja. Anti bakira ng’omusumba buli kye yali ayogera,
ng’olwebeeya lw’Abalokole bamuwereekereza okusaakaanya n’okusagambiza
okw’omwanguka nti; “Alleluia….Amiina…” Abalala baasitulanga obutebe
kwe baalinga batudde ne babuwuuba mu bbanga nga bwe bazina ng’enje. Abandi
baali babuukabuuka ng’emmandwa be yali erinnye ku mitwe. Olwo nga gyo emizindaalo gibwatuka
bubwatusi ng’era kizibu okwawula eddoboozi ly’omusumba ku ly’omuvvuunuzi okumanya
ani omutuufu eyali abuulira.
Bwe
gwatuuka mu kusaba, wamma ggwe nate ne gubula asala. Nnalaba nga buli kimu
abakkiriza bano kye bakola kikolebwa mu ngeri ya ssengavuddengazzeemu ng’ayoza
ayanika mu ttaka. Nze nnali nkimanyi nti omuntu bw’abeera ng’asaba, ateekeddwa
okwewombeeka, okufukamira, n’okwogerera mu kaama n’eggonjebwa mu maaso ga
Mukama Katonda we. Naye Abalokole bano buli kimu baali bakikola mu ngeri ya
kifuulannenge. Anti nga basaba babwatuka n’okutulika ng’emberenge za kasooli mu
kyoto . Abalala
baali basamba obutebe n’ebisenge, abandi nga baasimula ng’embuzi, ate abalala
nga bakaaba ng’abafiiriddwa. Waaliwo n’abaali basinda ng’abali mu bulumi
bw’okuzaala, ate ng’abalala basiiya busiiya ng’abakwana.
Ebyo
nandibigumidde, naye ekyayongera okunkuba enkyukwe be baana bawala Abalokole abaajobojanga
ebigambo ebitategeerekeka n’okubisandabula ng’ekyalaani. Bakira nga bawanika
emikono gyabwe mu bbanga ne bagikankanyiriza kumukumu n’ekyaddiriranga kwe
kwemegguza eri ennume z’ebigwo ne basambagala nga bwe bawoowoola. Nnali
nkyayasaamiridde, n’omuvubuka eyandi okumpi awo naye n’awanuka nga gwe
basindise n’agwa kya bugazi mu butebe, wamma ggwe kata nfubutuke mu kkanisa.
Abalala bo baali mu gwakwetala nga bava eno badda eri nga bagenda bayoolayoola
abaalinga bagudde ebigwo nga bavuya, ne babatwala ku kituuti nga balinga emirambo.
Ku kituuti
kwali kuyimiriddeko ekibinja ky’abayimbi, nga kuliko emizindaalo, endongo,
n’ebyuma ebirala. Ekyanneewunyisa nga mu bayimbi mwennyini mwe mwali musinga be
nnayita abagwi b’ensimbu naddala abawala. Buli musumba lwe yabasongangamu
olugalo, kumpi nga kkwaya yonna yerindiggula ku ddimwa kirindi. Bwe nnalaba nga
kumpi buli omu mu kkanisa agwa bigwo, nze ne nsimba nnakakongo ne ndayira nti
wakiri okufiira mu kitooke kya gonja nnali siri wa kukombya nkoona yange ku
ttaka.
Bwe nnalaba
ng’ekkanisa enfuukidde ezzike, nnayagala nfulume kibombyambwa mbulewo. Naye
nnatya kimu nti baali bayinza okungombamu obwala nga balowooza nti mbadde mbega
oba omubbi. Bwentyo nnagumira mu katebe mwe nnali ntudde, ne nnindirira okulaba
ebiddirira.
Omusumba
yaleekaana omulundi gumu nti; “Alleluia…!”
Olwo
ekisibo kyonna ne kimuddamu nti; “Amen…!”
Oluvannyuma
omusumba yalagira abantu bonna okutuula, n’attunkiza buto enjiri ye ng’agamba
nti; “Yesu yeebazibwe!”
Bino
yabyogeranga waliwo n’omuvvuunuzi eyali avvuunula ebigambo okubizza mu Luganda
oba mu Lufuutifuuti. Omusumba yeeyongera okwogera nti; “ Omwoyo wa Mukama bw’akka wabeerawo enjawulo Amen! Omuliro ogwokya emizimu,
ebisiraani n’endwadde gulabisibwa, praise
God! Amaanyi agabuza ebizimba goolesebwa Halleluia! Ssiriimu ne kkansa biwonyezebwa, Mukama yeebazibwe. Baibuli
egamba nti Yesu ly’erinnya erisinga amannya amalala gonna Amen! Nti era buli vviivi livunname, na buli lulimi lwatule nti
Yesu ye Mukama Praise Jesus! Ggolokoka
ggwe abadde yeebase! Yambazibwa amaanyi, kubanga Mukama akuviiriddeyo Amen! I will do better for you than in the
beginning, says the Lord of Hosts.Tewali kya kulwanyisa ekyaweesebwa eri Israeli ekiriraba omukisa, Halleluia! Ekigambo kya Mukama gwe muliro ogwokya
ebizibu. Ensi n’okujjula kwayo byonna bya Mukama, Amen! Ffeeza ne zaabbu byonna bya Mukama, Praise God! Mukama agamba nti mungezese, munkeme n’ebiweebwayo
n’ekimu eky’ekkumi, mulabee… bwe ssiibaggulirewo ebituli by’eggulu…Ne mbatonnyeseza
omukisa…Ne mubulwa ne we munaagussa! Muleete ebimu eby’ekkumi mu nnyumba yange Says the Lord. Kati buli omu yimirira
n’ekiweebwayo kyo mu ngalo nkusabire omukisa. Wanika ekiweebwayo kyo mu bbanga.
Mumaze? Kati tandiika okukoowoola omukisa gwa ssente. Kkowoola nti; ‘Ssente…!
Jjangu…! Wendi…! Kati kati…! Mu linnya erya Yesu. Amen!’ Kiwedde!”
Omusumba
olwamala okubuulira, abakebezi ne baleeta ebisero, olwo buli Mulokole n’atambula mpola okugenda okusuula essente mu kibbo. Nze
nnasigala ntudde mu katebe nga nkutte ne ku ttama nneewuunya ebikuuno ne
katemba mu kkanisa.
Essaawa
az’amalya g’eky’emisana bwe zaatuuka, ffena abaali beewandiisizza twasimba lwa
kasota wabweru w’ekkanisa okugenda okufuna ku k’okuzza eri omumwa. Nnende nnali
nneesunze dda nti twali tugenda okulya enkoko, ennyama, amatooke n’emiceere tusambe
bisambe. Naye kyambuukako omugabuzi bwe yansalira kassoosi kamu kokka
ak’omuceere n’amansirako ne ssupu w’ebijanjaalo. Olwamala n’ayimirira nga
n’okuyiguliza kw’atadde alinda omuntu addako mu lunyiriri. Kaabula kata
nkimugambe nti ‘nnyabo yongerako ku mmere’ naye nentya okuswala, anti nga bahhamba dda mbu bannakibuga
balya mu nsawo zaabwe so si mu nnimiro.
Era n’obumere bwe bampa n’akataayi tekaasala ng’essowaani nkalu ya jjo, ne njula
okuddayo nsimbe buto olunyiriri.
Bwe nnaddayo
mu kkanisa munda, nnasanga abayimbi nga bali mu kukooloobya amatendo ga
Liisoddene. Abayimbi bano bansanyusa nnyo kubanga baali bayimba mu ngeri ya
kikugu nnyo ng’era oyinza okulowooza nti amaloboozi gaabwe gaviira ddala mu
ggulu. Ng’oggyeeko amaloboozi gaabwe amanyuunyuntuvu ennyo, kkwaya yali ejjudde
byana biwala ebinyirira nga ne bw’obiyuwako amazzi oganywa. Nneebuuza mu mutima
nti abawala ebijuujulu nga bano kiva ku ki okuba nga nabo bagwi ba nsimbu? Nnabuuza omu ku bakyala abaali bantudde okumpi
ensonga lwaki abantu baabadde bagwa ebigwo n’okujoboja ebigambo
ebitategeerekeka! Yanziramu nti abo omwoyo omutukuvu abeera abambadde bukanzu.
Nti n’abamu babeerako emizimu egiba gigugumuka okudduka omuliro gwa Yesu nga
gugyokya okuva ku muntu. Era teyalwa n’ambuuza nti; “Ssebo ggwe toli mulokole?”
Nze kwe kumuddamu kimu nti; “Nnyabo nnankalokoka!”
Tuba
tukyanyumya, ne zireeta kyeruppe naye n’atandiika okutuliisa ekigambo. Ono ye
endiga yasooka kuziramusa nga bw’aleekaana mu Luganda olumenyefumenyefu nti;
“Mukama yeezibabwee…!” Olwo ekisibo kyonna n’akiwa ekibbo ky’enseko. Kyeruppe
bye yabuulira byankwatako nnyo. Anti ffenna yatuzzaamu amaanyi nga bw’atugamba
nti; Bwe twali tetunnazaalibwa Mukama yatumanya. Era Mukama alina ebirowoozo
n’enteekateeka ennungi eri obulamu bwaffe. Katonda ayagala tubeere ba mukisa,
tugaggawale era tubeere mu bulamu obweyagaza. Ebyo byonna kyeruppe yabyogera
nga amaaso ngamusimbye sigamuggyaako. Era nnali mmaliridde okugenda
mmutuukirire amangu ddala nga yankamaliriza okubuulira, mmusindire ennaku
eyandi ku mwoyo. Naye olwali okuwunzika okubuulira kwe, n’ayita abaali baagala
okulokoka. Nze olwalaba nga nnamungi w’abantu akuluumulukuka okweyuna ekituuti,
nange ne mbuukira ekigaali.
Olwatuuka
mu maaso g’ekituuti, ffenna baatulagira okuzibiriza ku maaso, tuwanike
n’emikono gyaffe mu bbanga. Era ffenna wamu baatwatuza ebigambo nti;
“Ayi
Mukama. Olwaleero, nzikirizza n’omutima gwange, okwetwalira Yesu, abeere
omulokozi w’obulamu bwange. Nneegaanye ebikolwa by’eddiini, Setaani awamu
n’enkwe ze zonna. Era nkusaba onsonyiwe ebibi byange, ebibi by’abazadde bange,
n’ebibi bya bajajja bange byonna. Sssangula amannya gange okuva mu kitabo
ky’okufa, ogawandiike mu kitabo ky’obulamu. Era okuva olwaleero, njatula nti,
NDOKOSE! Mu linnya erya Yesu, Amiina.”
Olwamala
okwatula obulokozi, ng’enda okuzibula amaaso nga kyeruppe yabuzeewo dda. Nnali
ndoowooza era nti ke mmaze okwatula obulokozi, ng’enda kweddirayo ntuule. Naye
byali bya mpuna. Anti waliwo mwana muwala eyankwata ku mukono n’anziza ebbali.
Y’ambuuza amannya gange era n’ampa n’empapula ez’okujjuza nga bw’ansuuta
n’okunjozaayoza olw’okuvvuunuka ekizikiza ne ndaba omusana. Nnagenda okulaba
nga ne bannange bwe tubadde nabo balina ababakutte ku mikono. Mwana muwala
yeeyongera okumbuulira ebigambo bingi nti; “Mukwasi mukwano, nkuyozaayoza
olw’okwegaana Setaani, ensi, omubiri n’eddiini. Si kyangu omuntu okulokoka.
Kuba kikwetaagisa okusooka okuba omusirusiru n’olyoka olokoka era n’ogeziwala.
Naye bw’osooka okweyita omugezi, tosobola kulokoka, bw’otyo n’osigalirayo mu
busirusiru bwo, naye nga ggwe mwene tokimanyi. Eno gy’ozze, nsi ya mwoyo. Kati
ffubanga nnyo okulaba ng’osoma ekigambo kya Mukama-Baibuli, owulirizenga enjiri
buli lunaku, osabenga buli kiseera, okuhhaanenga
n’ab’oluganda, osiibengako, obuulirenga enjiri era owenga obujulizi n’okwebaza.”
Mwana
muwala yayogera ebigambo ebirala bingi naye nga nze bimpita ku matu ne bigwa
enkoto. Anti ebirowoozo byange byonna nnali mbimalidde ku kwetegereza ebbeere
lye eryali ly’atutunuka ng’ettutu mu bbulawuzi, nga buli lw’ayogera likankana
bukankanyi liti, wamma ggwe nenva mu mbeera. Awo omusumba kwe kutuyita ffenna
abaali bankalokoka. Era n’atulagira okweyawulamu ebibinja; abavubuka, abakyala,
abaami, abaana, awamu ne bannamukadde.
Nze nneeyunga ku kibinja ky’abavubuka.
Abavubuka
ffenna nga tutudde mu weema emu, omusajja gwe bayita Mitala omutume yajja okwogerako gye tuli.
Yatukakkanako ekiyiifuyiifu n’ayogera kaati ng’omusezi agula ekibya. Yayogera
lunye nti nga bwe twali tulokose, twali tuteekeddwa okwekuumira mu butukuvu nga
twewala obugwenyufu. Mbu eby’okwegadanga twali tuteekeddwa okubiviirako ddala
ng’embwa bwe yava ku nseko. Nti era ffenna abaalina bakabiite abawala
n’abalenzi be twalinga twerigomba nabo, twali tuteekeddwa okuddayo tukabateme
nti tulokose era tufuuse bitonde biggya. Nze nnakubyakubyamu ku ngeri gye nnali
ow’okukatema Winnie e Jinja nti eby’okweyagala
byali bikomye awo! Mba nkyabifumiitirizaako, omutume n’asoma mu Baibuli nti, omuntu
yenna bw’atunuulira omukazi n’amwegomba mu nda ye, olwo ng’amaze okumwendako.
Ebyo
olwangwa mu matu, ne nkimanya nti nze nnali siri wa kuwona omuliro gwa
ggeyeena. Kumpi buli muwala eyampitangako, yankyusanga ensingo okumwetegereza
entambula, akabina n’ebiringa ebyo. Olaba n’omuwala eyali antudde awo okumpi mu
weema eno naye yali antuuzizza ku ya lukugunyu! Anti yali ayambadde ssikaati ennyimpi
kwe yali atadde ne Baibuli, olwo nga nze ssitereera, buli ddakiika nga ngira ne
nkubayo ku liiso ndabe obanga ddala ssikaati yeeyongedde okuseeseetuka.
Mitala
teyalwa n’ayongerezaako nti; “Eri mmwe ababadde baagwenyuka edda nga musula mu
bikeesa, ebikiri n’ebimansulo; Mmwe ababadde bekatankira amagengere,
okufuuweeta sseggereeti n’enjaga; Mwe ababadde banyumirwa okulaba ssineema ez’obuseegu
n’ebifaananyi by’abakazi abali obukunya; Mwe abambala enkunamyo, ne ssiriiti
empanvu; Mmwe ababadde bakwabulamu embuto n’okulya ebisiyaga; Mmwe ababadde
bamuliisa maanyi era abasula mu buliri ekiro nga mwematiza; Essaawa y’eno
okwenenya kazambi oyo yenna munaazibwe n’omusaayi gwa Yesu.”
Awo nze kwe
kukwata ne ku ttama, anti nga kumpi buli kibi omubuulizi ky’amenye nkirinako
akakwate.
Era Omutume
yayongerezaako nti twali tugwanidde okwewala amalala, obujeemu, emputtu,
obulabbayi n’obunnanfuusi. Twali tuteekeddwa okutambula ng’abaana b’omusana nga
twewalira ddala ebikolwa eby’ekizikiza. Twatulenga nti Yesu ye Mukama kubanga
oyo yenna amwegaanira mu maaso g’abantu, naye alimwegaanira mu maaso ga kitaawe
ne bamalayika be mu ggulu. Yakubira atukuutira tufube okulaba nga tetugwa mu
kibi ky’obwenzi n’obukaba okutuusiza ddala nga buli omu ku ffe afunye omubeezi
omutuufu mu bufumbo obutukuvu. Nti era tuddeyo ku mirandira gyaffe we
twakyamira okuva ku Mukama twenenye. Omutume olwatusabira essaala, n’okutuwa
omukisa, n’atusiibula.
Ebigambo
bya Mitala byonna nnali mbikutte bukusu. Naye ng’ekyebuuzibwa mu mmeeme yange
kiri nti kyali kisoboka kitya okutuukiriza ebyo byonna ebyali binkuutiddwa?
Nandiki nnali wa kulindako mmale okwambazibwa amaanyi ag’omwoyo omutukuvu gwe
nnali mpulira ng’omubuulizi omulala amutugamba.
Ku ssaawa
nga bbiri ez’akawungeezi, bbaasi yatunonako ffenna abaali beewandiisizza
n’etutwala okunyiga otulo. Olw’okuba obudde bwali buzibye, ssaamanya luguudo
lwe twakwata, anti nga nnengera amataala g’emmotoka n’ebizimbe gokka. Naye waayita
akabanga mpa wekaaga nga twagguse dda bumale ku kasozi k’abayivu e Makerere.
Ndowooza olw’okuba ebiseera byali bya luwummula, kumpi ebisulo by’abayizi byonna
byali bikalu, kale omwo ffenna mwe twayegeka emba ne tunyiga otulo. Buli kisulo
twasulamu abantu bana bana. Abaatutwala baasookanga kutusoma mannya gaffe, olwo
ne tugenda okunona ekisumuluzo ky’ekisenge. Naye enkalu zaanoonya obukongovvule
ng’Abalokole abamu bakaayanira ebisumuluzo, ehhuumi
n’enyooka anti nga buli omu ayagala kweyuna budde awujjaaleko. Naffe olwafuna
ekisumuluzo kyaffe twakasibira mu bitanda by’abayizi nga buli omu mukoowu nnyo,
ennyindo y’enkata. Olwebaka bwenti mu buliri, nneebuuza ekibuuzo kimu nti; ‘Nze
ani okuva eri mu nsokoso e Salye nange okusulako e Makerere?’ Eddoboozi kwe
kunzijira mu nda yange nti;’Olaba osuze e Makerere, kitegeeza n’okusoma ojja
kusomera ddala otuukeyo!”
Mba
nkyakuba bulatti, nengwamu ekya wakayima eyo mu ttumbi. Olw’aggulawo oluggi
okugenda okunoonya kabuyonjo, nneerabira okukwata ennamba y’ekisenge mwe
mbadde. Bwe nnatuuka mu kabuyonjo, nayo yanfuukira omuteego, anti nga siraba
kinnya kwe nnaasitama. Nnanoonya ekinnya wonna naye nga bya mpuna. Bwe nnabikkula
ku kantu akeeru akaali kaakulamu ng’akatebe ka mwasajjute, nnalabamu amazzi
agefaanaanyiriza empitambi. Nneebuuza nti bannakibuga obubi babusuula mu nsuwa?
Nandiki kano
akantu akaalina emimwa nga egy’ensuwa omwana w’omuntu yali akasitamako atya?
Siwena ne nkawalampa anti ng’olubuto lunkuba Nnakabanda. Naye mba nkyawalampa,
ekigere kye nnasoosaayo ku ngulu, ne kiseerera omulundi gumu, okukakkana nga
ssekalootera mmukubye mu kitaba ky’omusulo. Nnasitukirawo bunnambiro nga nzenna
nvulubanye kazambi nkirako n’ekibe ekiyonsa okw’enkuba, ne njasimula omulundi
gumu kata omutwe gumbuukeko gugwe wali.
Ng’ebyoka
bikyaneggunda nnaddayo buto ku ‘kasuwa’ ne nkabikkula bulungi. Ku mulundi guno
nnakatuulako butuuzi naye nga ndi ku bunkenke, sikulwanga wabaayo omuntu ajja
n’ansanga ng’emirimu ngikola ntudde. Nga nteredde ku ‘kasuwa’ nnatandika
okusoma ebimu ku bintu abayizi b’e Makerere bye bawandiika mu kabuyonjo. Ekimu
kyali kisoma nti; Welcome to University
Hall, the home of goat., Ate nga kyo ekirala kisoma nti; There is nothing sweeter than climbing on a
University Girl! Ekirala ne kikyanukula nti; Man, you’re dead! Ssaatawaana kubitaputa , anti nnali mpita mu
byangu.
Olwamala
emirimu gyange, nnasibira mu kinaabiro okwegogola. Eyo nate gwajabagira buto.
Gwe ate munnange, nnanoonya ebbaafu nga ngirabako? Byansobera eka ne mu kibira.
Nnatakula omutwe okutuusa bwe nnajjukira olunaku luli lwe nnali e Jinja ewa Winnie. Anti eyo nnasanga ekinaabiro nga
kirimu obuntu bw’onyoola amazzi ne gajja. Naye obutafaananako n’ekinaabiro
kiri, kino kyo kyaliko obunyoola busatu bulambirira; akamyufu, akabbululu,
n’akeeru. Nnatandika okwebuuza kaliwa ku busatu kemba nnyoola. Kwe kusalawo nti
engeri obudde gye bwali nga bwa kiro, kannyoole akamyufu osanga kategeeza
kitangaala. Olw’akanyoola, amazzi gaavaayo nga galimu ekibuguumirize. Ssaalwa
ne mbuguumirira era engoye zange ne nzikasuka eri ntere nnaabe. Ee, ate oba
ewaffe e Salye ng’okunaaba ku mazzi agabuguma oteekeddwa kuba mwami waka! Kati
ate gano agaali wano ag’obwerere nnali ngalinza ki?
Mba
nkyasagambiza ng’eno bwe nnyumirwa erizzi, ng’enda okuwulira ng’amazzi ate
ganfuukidde ezzike. Gaasooka kumbabula mugongo ne ndowooza mbu bya muniino.
Kaabula kata olwenje lw’amazzi lummambule olususu lwonna siba kufubutuka ne mpenyuka
mizibu nga ndowooza nti amasannyalaze ge gaali gadobonkanye. Olwali okutuuka mu
lukuubo, ne nzijukira nti nnali nkunnumba bute ng’engoye nzireseeyo mu
kinaabiro.
Nnamala
kuluma na gwa ngulu okuggyayo engoye mu kinaabiro. Anti olwalengera ng’amazzi
mu kinaabiro ganyooka n’omukka, ne nkakasa nti wamma amasannyalaze ge gaali
gatabuse. Nneemulula mpola okunoonya wonna awali ekiti ekikalu nsobole
okuwendulayo engoye zange. Naye mba nnankesimba mu lukuubo, ne mpulira
enswagiro nga waliwo omuntu eyali ajja ku ludda gye nnali. Nnamansuka ng’omutego
ne neekukuma bugongolo mu emu ku nsonda mu lukuubo. Nnalengera omusajja
eyampitako obutereevu n’ayingira mu kinaabiro mwe mbadde. Kaabula kata
mmukoowoole okumulabula aleme kuyingirayo okugwa ku kibambulira
ky’amasannyalaze. Naye olw’okutya okundaba nga nkunyuuka buswa, nnabunira ne nninda
kimu kuwulira miranga eginaava mu kinaabiro. Nnakunkumula n’okutu naye nga
tewali kamunyeenya. Waayita akaseera katono omusajja y’omu n’ampitako nga
mulamu tteke taliiko bbala wadde olufunyiro. Nange olwalaba nga munnange
avuddeyo atemya bukofu, ne neemulula mpola ne nzirayo mu kinaabiro. Nnasanga
amazzi omusajja agasibye nga tegakyatiiriika nga n’omukka gwe nnali ndabye
gubuzeewo mu kimpoowooze. Olwawanulayo engoye zange ku kisenge, ssaalinda na
kuzambala. Nneesiba essaati mu kiwato ne mpita mu byangu okuddayo mpalangatanye
ekiwanga kyange mu kibatu.
Eyo mu
nkuubo nate emberenge yeeyongera okugaga. Anti nnali nneerabidde ennamba
y’ekisenge mwe nnali nneebase. Wamma ggwe ekuba omunaku tekya. Nnatunuulira
olunyiriri lw’enzigi z’ebisenge nga tewali kye nsobola kwawula ku kirala.
Olw’okuba nnali nneesuuliddeyo ogwa nnagamba ne ssikwata nnamba ya kisenge mwe
nnali nvudde, nate nnakifuuwa nga nkizza mu nda. Bwentyo essaawa ezaddako
nnazimala nkonkomalidde mu nkuubo okutuusa emmambya ng’esaze.
Nga Lugaba
obudde atandise okubuggyako eddiba, nnalengera Abalokole nga bafuluma kinnoomu
okuva mu bisulo byabwe, ne batandiika okusabira awo mu kibangirizi. Waliwo
omusajja omu Omulokole eyanzigya enviiri ku mutwe olw’engeri gye yali asabamu.
Yali aleekaanira waggulu nnyo mu ddoboozi essaakaavu ng’ate bw’aboggola
ng’omuyizzi ayasira embwa. Yateranga n’abwatuka nti;
“Mu linnya
erya Yesu! Nnyingirira amaanyi gonna ag’ekizikiza. Mpamba abafuzi ab’amasaza mu
bbanga. Nkowoola omuliro ogwokya. Nfaafaaganya amaanyi gonna aga lubaale,
amayembe, emmandwa, emisambwa, ebitambo, ebiffini, ebisiraani, ebipali,
ebikolimo, ebisulo, olutwe, ebiteega, nnabingi, abacwezi na buli ddogo lyonna
ery’ekika ky’ewaffe. Nnangirira omuliro okwokya buli muzimu ogutambulira mu
misota, amagiini agoogerera mu miti, empewo ezisiikuula ennyanja, emizimu
egireeta obubenje ku nguudo, na buli muzimu ogweyita amannya g’abantu. Nkowoola
amaanyi agakutula enjegere. Nfaafaaganya amaanyi ga Mukasa, Muwanga, Kkungu,
Kawuula, Kirookolooko, Nabuzaana, ne Kiwemuzi. Njokya omuzimu gwa Yezebbeeri
omwenzi ogufugira ku kasozi Makerere. Nkowoola eggye ery’omu ggulu ne mwoyo wa
Mukama okukka. Nneetoolooza ekifo kino kyonna n’omusaayi gwa Yesu. Kubanga
Baibuli egamba nti; Buli kye tunaasibanga ku nsi, ne mu ggulu kya kusibwanga.
Na buli kye tunaasumululanga ku nsi, kinaasumululwanga ne mu ggulu. Era nti mbawadde
obuyinza okulinnyanga ku misota n’enjaba ez’obusagwa wamu n’amaanyi gonna
ag’omubi, kubanga tuli bawanguzi n’okukirawo. Oyo ali mu ffe w’amaanyi okukira
Setaani ali mu nsi. N’olwekyo mpamba omulangira w’e Buperusi, omulangira w’e
Kkuulo, n’omulangira w’e Bbabulooni; mbamenya, mbasuula wansi mu bunnya
obutakoma, ne mu nnyanja eyaka n’omuliro n’ekibiriiti…”
Ebigambo
ebyo byonna yabiwalabula nga yenna azimbye ng’ekisaka, yeecwacwana, yeetala
adda eno adda eri nga Namutale omunyageko ente. Yagiranga n’abuukabuuka,
n’asamba ebbanga, n’akuba ebikonde mu mpewo, n’ekyavaamu n’akuba engalike nga
bw’ajoboja ebirala mu ngeri nti; “Shakatandala
maamaamaa! Yendere makasha ketendere. Lindiriri bboobboobbo…” Ng’enda okwetegereza
nga kumpi ekibangirizi kyonna kijjuddemu Abalokole abasaba mu ngeri y’emu.
Kaabula kata nange mbeegatteko naye nentya okuswala, anti nga ne bye nnaasaba
sibimanyi. Bwentyo kwe kusalawo okuddayo mu kinaabiro nneegogole bulungi mu
kwetegekera olunaku.
Kyayi ow’oku
makya twamunywa kikungu. Anti twatuulira ddala mu kizimbe abayivu b’e Makerere
mwe baliira. Obutafaananako na kya misana n’ekyeggulo, ku luno kyayi twanywa wa
mata,ne tumuwereekerezaako, amagi, emigaati n’ebikyepere ebyefaanaanyirizaako
ne bye nnalya ewa Winnie e Jinja.
Naye tuba twankamala okwemiisa ebya ssava, omu ku basumba eyali akoze ku
by’okusula n’alangirira nti;
“Ab’oluganda
Mukama yeebazibwe. Olwaleero buli kiisi eyavudde ewala nga naye toli musumba wa
kkanisa toteekeddwa kudda wano e Makerere. Mujja kusulanga ku kkanisa e Bwaise
nga munoonya amaaso ga Mukama. Kino kivudde ku bakyalakimpadde abeesuddemu
jjulume ekiro ne bamenya ekimu ku bisenge by’abasumba baffe ne bakuuliita
n’ebintu byabwe. Era kiteeberezebwa nti mu ffe wano mulimu emisege egyerimbise
mu maliba g’endiga. Ebyange bikomye awo.”
Bwe tutyo bwe twamaliriza okukwata ku k’e
Wamala, twessa mu ddene ne twolekera Bwaise okweyongera mu maaso n’olukuhhaana lw’abakkiririza mu
Baibuli. Ku olwo bye nnalaba mu kkanisa byali kumpi bye bimu ne bye nnali
ndabye eggulolimu. Ekyakyukako bwe bubaka obwali bubuulirwa abasumba
ab’enjawulo.
Obudde bwe
bwaziba, nate abasumba bo ne babatwala okusula e Makerere. Ffe abataali basumba
baatuleka mabega tusule nga tukoowoola Lugaba ekiro kyonna. Kino kyampisa bubi
nnyo kubanga nnali nneesunze okusulako nate e Makerere. Naye n’ekyokusula ku
kkanisa nnali nnakyesunze dda. Anti nnali njagala okulaba ku baana bawala be
nnawuliranga mbu baazikizanga amataala ekiro ne beeyambulamu engoye okusigala
obuswa, nga bwe bawanjagira Lugaba abagonnomoleko eky’amagero ky’abasajja
ab’ebbeeyi. N’ekirala nange nnali nnindiridde okwetwalira ku mukisa
ogw’okugamba ku omu ku bawala bano nti, ‘Yesu akuntumye,’ nzireyo e Salye nga
nneewangulidde ekimyula ky’omuwala munnakibuga. Naye kyambuukako eyo ekiro mu
ttumbi nga ssirabako wadde ku muwala n’omu eyeeyambula newankubadde okwolesa
okugulu kwe okumu bwe kuti. Bwe nnalaba ng’ekiro kinaatera okunsala, nnasalawo
okwetooloolako emmanju w’ekkanisa nti osanga nnaalaba ku muwala yenna gwe bali
okubuulira enjiri mu ngeri ey’ekifuulannenge. Naye era nnatengejjera busa.
Bakira nga buli gwe mpitako ali mu kaseera ka kwegayirira n’okunoonya obwenyi
bwa Liisoddene.
Mpozzi
waaliwo abawala abaali basabye ennyo ne bakka ne mu buziba bw’ennyanja. Era
bano ettumbi lya basanga otulo tubakubye kya bugazi nga bali mu kwebaza yazimba
kkanisa. Anti mbu omwoyo gwali gukyayagala okusaba naye ng’omubiri munafu. Mu
bano mwe mwali ne mwana muwala eyali yamyuka okukirako n’ettungulu. Ono ye otulo
twali tumukedde era zaagenda okuwera essaawa mukaaga ez’ekiro nga takyamanyi
bifa ku nsi. Yali yeebase ku mukeeka ng’era banne bamubisseeko essweta. Naye
gye yakoma okufuluuta, n’esswera gye yakoma okuseeseetuka, era okukakkana
ng’asigaza bugoye bwe bwokka. Bakira nga buli lwe yeegolola n’okwekyusa,
ng’obugoye bweyongera okwesika. Olwo nze eyali alozooledde ne njagala okugenda
mmubikke. Ekyo nandikikoze naye nkyazijukiza bingi;
Lumu e
Salye omu ku bawala ba ssenga wange yakyalako ewa Jajja. Ekiro ekyo bangoba mu
kisenge kyange mbu omugenyi y’aba akisulamu. Nange ssaali mubi ng’amakanda
ngazza mu ddiiro. Eyo ekiro mu ttumbi, ekirowoozo ekiwoomerevu kyanzijira. Nnayagala
okugenda ndoze ku mwenge gw’omugenyi nga tegunnatuuka mu mpaawo. Bwentyo bulangiti
nnagimegguza eri ne nkwata ttooki yange, era ne nsooba nga kkapa eriimisa
emmese yogaayoga mu kisenge ky’omugenyi. Nnasooka kuwuliriza bulungi nkakase
oba nga mwana muwala yali afuluuta. Olwawulira ng’ali mu mattansejjere, ne nnasula
ttooki yange ne mmumulisa mu maaso. Nnamukwatako ne mu kifuba wamma nga tewali
wadde kamunyeenya. Bwe nnalaba nga buli kimu kiri mulaala, ne mmulisa
emirannamiro ndabe obanga ddala amagulu ge gali mu kifo kye nnali njagala
gabeeremu. Ebyo byonna olwaggwa ne ntereeza empale yange olwo ne ntandika
n’okumubikkula mpolampola mu ngeri ey’eggwoowo nga bwe nfuuyirira n’olunwe
waleme kubaayo ampulira. Naye engoye mba
nnankazituusa eno waggulu w’amaviivi, omuwala n’akuba ekisisimuko nga bwe yeegolola
yenna bulambalamba. Oh! Kaabula kata eryandeese limbule. Nnabuuka ne ngwa eri
mu bintu n’enkoko ne zeekanga.
Jajja
olwawulira ebigwa, ne mmuwulira ng’awammanta okunoonya awali ekibiriiti.
Nneemulula busota mu bwangu ddala ne neesogga mu buliri bwange. Jajja yagenda
okujja n’akataala anoonye ekintu ekigudde, nga nze okufuluuta kwe nnimu ne bwongiwako
amazzi sigolokoka. Bwe yava mu ddiiro nga talabamu kasandali konna, n’ayolekera
ekisenge ky’omugenyi. Awo nnammuwulira ng’ayombesa mwana muwala nti; “Ggwe
muwala, bw’otyo bwe weebaka ewammwe? Weebikke, n’amagulu ogatereeze bulungi
ng’omuwala bw’abeera. Ate ssaagala kuddayo kukulaba nga weebakidde omugongo
bw’otyo!”
Bwe yamala
okusikondoka n’ebigambo, yaddayo mu kisenge kye n’azikiza n’akataala. Awo nze
ne ndyoka nzisa ku kikkoowe naye nga nkomye ku njokye.
Kale ku
kkanisa e Bwaise bwe nnalengera ekimyula ky’omuwala nga yeegolodde bwa ntoogo,
nnalowooza bingi, naye ne nzijukira nti nange nnali njatudde obulokozi. Nnali
nfuuse kitonde kiggya, ggwanga ddonde, kika kitukuvu era omwana w’omusana.
Bwentyo nnakyusa obuwufu ne nzirayo emabega w’ekkanisa nange Lugaba ne ntandika
okumulombojjera ebyandi ku mwoyo nga mmugamba nti;
“Ayi
kitange wadde nga simanyi engeri Abalokole gye bakusabamu, naye nkimanyi nti
onampuliriza. Lwaki tonzita nenva ku nsi kuno kwe mbonaabonera? Laba kati
sirina wadde wa kwegeka luba. Ndi mwavu lunkupe, emmombooze era omubungeeze.
N’essente ezimpeerera mu ssomero olaba nzinoonyeza mu kiwato nga mazina! Kale Winnie bw’alijjira wano ng’andeetedde
omwana nze ndimuliisa ki? Kyokka ggwe Mukama oli eyo waggulu otudde mu bitiibwa
byo okuba bulatti, ng’ate ffe abantu bo twerya nkuta za mimwa! Mukama nnyamba
afazaali enkya bwe nnaaba ntambula nnonde omudidi gwa ssente mu kkubo nange
mbeewo! Wakiri nfunira omuzungu kyeruppe ananfuniranga ku kigulira magala
eddiba. Oba si ekyo onkwanireyo omuwala ow’ebbeeyi nga mulokole nange
angaggawaze. Mukama naawe okiraba nga kino kika! Abantu ababi abasula mu
bikeesa n’ebimansulo ggw’ate b’oggonnomolako emikisa gya ssente. Ate ffe
abasula wano mu mpewo ng’ensiri zituluma n’otukookoonya bukookoonya
ng’otusuubiza ebyoya by’enswa! Kale wadde nga tompadde buwanana bwa nsimbi,
nnyamba wakiri nange nsome ntuukeko e Makerere. Mu linnya erya Yesu. Amiina!”
Ennaku
ezaddako nnazimala nnambula bitundu bya Kampala
naddala ebyo ebiriraanye Bwaise. Nnasookera Bwaise mu ttawuni, wuuyo Makerere
Kavule, Kaleerwe, ne Wandegeya. Nnabukeerezanga nkokola ne ntinattina nga bwe
nsaayirira engere ne ntambula mukungujjo okufefetta buli kanyomero k’omu
Kawempe. Awo mu budde obw’amalya g’ekyemisana ne ndyoka nkyusa obwanga okugenda
okuwunya ku gwa ddyo ku kkanisa.
Ebiseera
eby’eggulo nnabikulunguliranga ku kkanisa nga ndiisibwa ekigambo kya Lugaba.
Awo nnali nfuniddewo ne mukwano gwange ayitibwa Sam. Ono yali muvubuka
mujagujagu era y’eyantemyako nti twali tetuteekeddwa kusulanga ku kkanisa
wabula okuddayo e Makerere. Anti mbu ye yali akulungudde ebiro bibiri
birambirira ng’asula Makerere. Mbu yali asula mu kisenge abatujju kye baamenya
ne bakuuliita n’ebintu by’abasumba. Kale olw’okuba buli omu yali akyesambye,
Sam kwe kukyesolossa ne yeesumaalikamu obwannamunigina. Olw’okuba ekisenge
kyalimu ebitanda bibiri, nange nnali musaale okuddayo nate nsuleko e Makerere.
Bwe nnawulira amawulire amalungi gatyo, nnasambira mabega nga jjanzi era ku
lunaku lwa Kiwanuka, ne nsitula engugu nate ne nzikuba e Makerere.
Ekisenge
kyali nnamba H10 nga kirimu emmeeza bbiri, awateekebwa ebyeyambisibwa
n’ebitanda bibiri. Kyali ku kkalina waggulu era ng’eddinisa lyakyo lyoleka
bulungi ebigenda wabweru mu kkubo. Olwo nze olwayimanga waggulu mu kkalina,
kaabula kata abayita wansi mu kkubo mbafujjengako amalusu. Anti nnali nneewaga
muli nga mbuuza nti ‘ate eggulu negomba lyaki nga kati ndi mu kkalina? E Salye waliyo eyali asuzeeko mu nnyumba eya kkalina?
Eyo mu ttumbi
Sam yanzikakkanako ekiyiifuyiifu n’ansikambulayo mu tulo kifuba ddembe.
Yagiranga n’aboggola nti; “Mukwasi zuukuka twambale amaanyi tulwanyise emizimu!”
Bakira ng’ayatula amannya g’emizimu nga nze bwenziramu nti; “Tukumenyaamenya,
tukufufuggaza, vvaawo genda mu nsenyi enkalu.”
Ko Sam nti;
“Nedda Mukwasi. Buli lw’ogobera omuzimu mu nsenyi enkalu, gumala ne gudda.
Emizimu gigobere wansi mu bunnya obutakoma oba gyokye ogikasuke mu nnyanja
ey’omuliro.”
Kale Sam
buli lwe yayatulanga nti; “ Kibuuka omumbaale , Kawumpuli oba Kireereetu,” nga
nze nziramu nti; “Tukuwamba! Tukumenyaamenya! Tukwokya! Era tukusindika mu
nnyanja eyaka n’omuliro!”
Sam
yasabanga essaala mpanvu nnyo era oluusi yagendanga okuwunzika nga nze
nnabongoose dda ndi mu kwebaza yazimba Makerere. Olwo ye olwamalanga okwatula
‘Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo’ n’alyoka ansikambula buto mu tulo nga
bwannyombesa nti; “Mukwasi! Ffe tetuli baana ba tulo! Jjukira nti omulabe waffe
atambula nnyo ekiro ng’awuluguma ng’empologoma enoonya gw’enaalya. Okuviira
ddala mu biseera bya Yokaana omubatiza, abatwala obwakabaka bwa Katonda
babutwala na kuwaguza n’amaanyi. Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi! Golokoka
oyake, kubanga Mukama akuviiriddeyo. Mukama atadde abakuumi ku bbugwe wa
Yerusaalemi, tebeebakenga so tebaabongootenga okutuusa nga Mukama atufudde
ettendo. N’olwekyo muganda wange Mukwasi eno mu Bulokole si bintu bya
kubalaata. Tetulwanagana na mubiri na musaayi, wabula n’abafuzi ab’amasaza
ab’omu bbanga. Newankubadde ng’omubiri munafu kimanye bumanya nti ogwo guba
muzimu gwa tulo ogusindikiddwa Lusifa yennyini okuva emagombe gukulemese
okuwaguza eggulu. Kale weddeko!”
Olwawulira
ebigambo bya Sam, omutima gwange ne gutya nnyo. Nnatandika okulaba nga buli
mbeera eteeyagaza mu bulamu bwange yali eva ku mizimu. Kale bwentyo nange
nneerayirira okulwana obwezizingirire emizimu egyali ginsibyeko akanyaaga
ngituule ku nfeete. Anti atakulekera naawe tomulekera.
Olunaku
olusembayo mu lukuhhaana
lw’enjiri eno kaabula kata nalwo lunfuukire ekyambika. Ku olwo enkoko
twagikwata mumwa era essaawa zaagenda okuwera bbiri ez’oku makya nga
twakkalidde dda bubya mu bifo byaffe tulinda babuulizi. Abayimbi, abakubi
b’ebidongo, n’abakwata ebifaananyi nabo baali baatuuse dda nga beetala nga
butaayi ku nswa. Abayimbi n’ababuulizi b’enjiri olwatandika ogwabwe, wamma ggwe
ekkanisa n’ekwata omuliro. Omubuulizi omu eyali avudde mu ggwanga lya Liberia ,
yanzigya ekifu ku maaso bwe yafubutuka okuva ku kituuti ng’akamyu n’atyekuula
mizibu ng’ayita mu nkuubo z’ekkanisa. Abazungu nabo tebaalutumira mwana ne bamusimbako
ng’abagoba omubbi okwetooloola essinzizo lyonna. Olwalaba bino ne nkimanya nti
bukya nneewaana obuguminkiriza, ku luno ennamusa yali etuuse ku nnyooge.
Kaabula kata nange njokye omusubi, taba kuba mukyala eyali antudde okumpi
eyankuba ku mukono.
Olwali
okuddawo mu katebe, ng’enda okulengera ng’omubuulizi yazzeeyo dda ku kituuti
yekongolobojja na katemba mulala. Yatandika okutyabula amazina nga bwe yebonga
ng’enje. Yalagira abayimbi okukuba ebidongo, n’aggyamu essaati olwo n’alyoka
atyetyebula amazina kata agamale mu kiwato. Awo ekisibo kyonna ne kisituka mu
mizira emingi buli muntu n’anyeenya ku galiba enjole. Nnagenda okulaba nga
n’Abazungu amazina batuulako matuule ng’eno obuseko bubeetimbye ku matama.
Omubuulizi olwazzako essaati ye, n’alagira abaali bamuyambako okuzina baddeyo
batuule. Nnali ndowooza embeera emaze okudda mu nteeko, mpozi gakyali mabaga.
Omusajja omuzeeyi eyalina omutwe ogw’ekiwalaata naye yayimirira bukubirire nga
bw’alanya mu ddoboozi ery’omwanguka n’amaanyi nti; “Halleluia…! Halleluia…! Halleluia…!” Olwo ekisibo kyonna ne kisaakaanyiza
waggulu nti; “Amem…!” Ebyo byonna
baabikola nga nze nnende ntunula sseddoolo ng’omukadde ayogereza.
Ababuulizi
bonna ku lunaku olwo baali babwatuka nga laddu ng’era emizindaalo bajula
kugyabya. Abakubi b’ebifaananyi nabo baali bagufudde mugano. Ng’oluusi muba
muzibirizza ku maaso musaba, ekimyanso ne kibasala mu maaso, olwo nze ne ndowooza
nti omwoyo omutukuvu asse. Naye bwe nnakivumbula nti ebimyanso byali bya
kkamera, ne nzijukira mukwano gwange Byansi ku kyalo Salye bye yayogera. Yahhamba nti;
“Mukwasi,
abasumba b’Abalokole babeera bantu bakalabakalaba nnyo! Bwe batuuka nga baku hhaanya Abalokole bonna ne babalagira
bazibirize ku maaso nga basaba. Kale buli omu ng’awanise amikono mu bbanga
yeegayirira Lugaba, omusumba ng’akoona ku mukubi w’ebifaananyi n’anasula
kkamera. Ebifaananyi ebivaamu babiweereza emitala w’amayanja okusabirako
obuyambi. Omusumba bw’atuuka ku ssemazinga z’e Bulaaya awanjagira abazungu nti,
‘bannange munnyambe nnina bamuzibe be ndabirira mu Africa , n’ebifaananyi byabwe biibino nga basabiriza emmere.’ Awo
ng’abazungu bamuyiira ensimbi empya n’enkadde. Ffe eno tulaba basumba kwevuga
mu mmotoka kapyata n’okusula mu nnyumba eza kkalina ne tulowooza nti Katonda
y’abawadde, so nga bali ku magezi kwe batudde.” Byansi yanjokya ekibuuzo nti; “
Ggwe olowooza lwaki ekkanisa zaabwe ezisinga obungi ziba za biwempe n’ebibaati,
ng’abagoberezi baabwe basiiwuufu ng’evvu, ng’ate bo abasumba banyirira
n’oluzungu balwogerera mu nnyindo nga Bamerika?” Ekibuuzo ssaakiddamu wabula
nnanyeenya bunyeenya mutwe ng’embuzi etenda enkuba.
Mu kkanisa
abakwasi b’ebifaanayi bya ttivi nabo baali bambuzizzaako obwekyusizo. Buli
ddakiika nga batukubamu ebitaala ebyaka ng’enjuba nge’no bwe beeweta
n’okwenyoola nkugambye ng’oyinza okulowooza nti bakozi ba CNN oba BBC. Buli lwe
bammulisangamu ebitaala byabwe nga nze ntunula ebbali, sikulwanga bakwata
ekifaananyi kyange ne bakitwala e Bulaaya okusabirako obuyambi bwa bamuzibe ne
bakateeyamba.
Waliwo
omukyala omu omunene nnigiina gwe nnali nneetegereza mu kisibo. Engeri gye
lwali olunaku olusembayo, nnali nnerayiridde okwekwanirayo ekikazi ki tyagiri
nkiwanjagire ennaku yange, wakiri kintwale ewakyo. Anti nga sirina gadda Salye
kukuba misota ku kyalo. N’ekirala ekyali kinneegombesezza nnamudiguli ono gwe
mutima ogw’ekisa n’okufaayo bye yali asoose okunjolesa. Anti Abalokole baali
bagufudde muze okusitukasituka mbu bazina ettendo n’okusinza. Bino nze byali
bintamidde ddala era bwentyo nnasigalanga ntudde mu katebe kange, nga siri ku
bintu bimmalako mirembe. Omukyala ono bwe yandaba nga ntudde, n’ankoonako nga
bw’ambuuza mu ddoboozi ery’ekisa nti; “Muvubuka, oli mulwadde?”
Ko nze nti;
“ Nedda nnyabo wange.”
Ko ye
nti;“Lwaki tosituka mu ntebe ne tuzinira Mukama?”
Nange
ssaalwa nga nneesimba nga muti gwa ssimu ne ntandiika okukuba mu ngalo nga bwe
mbibyamu ne ku mazina.Naye kyeruppe gwe nnawulira nga bamuyita Michael Burns okuva mu Amerika bwe
yalinnya ekituuti okutandika okubuulira, yatuyita ffenna tusimbe lwa kasota
atusabire emikisa gya ddoola. Nange ssaalutumira mwana ne neeyunga mu lunyiriri
omusajja wa Katonda n’atandika okutulangirirako emikisa gy’okugenda mu Amerika.
Bwe nnatuuka w’ali, n’ankwanta mu kawompo, era n’alangirira ekigaambo nti; “Prosperity!” Olwo nange ne nziramu
n’amaanyi nti; ”Amen!”
Bwe naddayo
okutuula, nnasanga omukyala nnamudiguli naye akomyewo era ng’akalidde bubya mu
katebe ke. Olw’okuba obudde bwali bugenze, nnasalawo okukozesa akakisa kano mmweyanjulire,
ebinaddirira Lugaba y’anaabimanya. Ssaalwa nga mmumwenyezaamu katono ng’eno bwe
mmuweereza n’omukono gwange mmukwateko mu ngalo. Naye kyambuukako era kata ngwe
n’eri sseddume w’ekigwo, omukazi bwe yambwatukira nti; “Tonkwatako okunzigyako
amafuta gange!” Ebyo yabyogera bwe yeesisiwala ng’alabye ekitiisa oba
ekyenyinyaza. Ssaategeera kye yali ategeeza, era ssaalwa ne mmulekera ekyanya
ne ntuula mu katebe kange naye nga mwasimula bugolo.
Ng’olukuhhaana lunaatera okuggalwawo
mu butongole, omusumba yatulagira ffenna tuyimirire n’ebiweebwayo byaffe mu
ngalo. Era yakikkaatiriza nti guno gwali mukisa nnantalabikalabika ng’ekimuli
ky’endaggu. Era nti oyo yenna eyali ow’okugusubwa teyejjusanga. Awo kwe
kulangirira nti; “Buli omu teeka omukono mu nsawo yo. Ssikayo ssente zonna ne bweziba
za munyoto, owanike omukono gwo mu bbanga nkusabire omukisa.”
Amameeme
gankubagana n’entuuyo ne nzisaza bibatu. Anti mu nsawo nnali nsigazzamu
obusente butono ddala era ku buno kwe nnali nsibidde olukoba okumpakira nzireyo
mu kyalo e Salye. Naye bwe nnalaba nga kumpi buli omu awanise ssente, nange
ekinyegenyege ne kinkwata ezange nazo ne nzisowolayo. Kyokka nnali
nneerayiridde okuzizzaayo mu nsawo amangu ddala ng’omusumba amaze okuzisabira
omukisa. Naye mba nkyawanise omukono mu bbanga, ne mpulira nga waliyo omuntu
agukwatiddeyo. Bwe nnabbulula ku maaso, nga Sam kwe ndaba. Y’ahhamba kimu nti; “Mukwasi, sirina
wadde ekuba ennyonyi, kyokka nga nange nandyagadde okusiga. Naye katugatte
emikono, ffembi tufune omukisa mu ssente ezo z’owanise. Oh! Kaabula kata
mmutwale nga biralambadde. Naye olw’okuba omusumba yali atandise okutusabira
omukisa, nnasirika busirisi. Okusaba bwe kwaggwa, Sam yanneesibako kabbani ku
ndongo , ssente ne tuzitwalayo ffembiriri mu kibbo, naye nga nze mmukiikidde
ensingo.
Olukuhhaana bwe lutyo bwe lwaggwa,
buli omu abasumba ne bamusibirira entanda okuddayo gy’eyali avudde asaasaanye
amawulire amalungi. Nnawulira omusumba nga kino akissaako nnyo essira nti; “Mugende
mu mawanga gonna mmubuulire enjiri. Akkiriza enjiri eno anaalokolebwa.
Atagikkiriza, oy’omusango gumaze okumusinga. Mukama anoonya omuntu gw’anaatuma.
Omuntu oyo ye ggwe. Tokakanyaza mutima gwo.”
Ekiro
twakimala mu kisulo kyaffe e Makerere ne Sam, naye nga tweyaguza lugyo era
twasulirira mazzi. Enkeera amagezi gaatwesiba. Anti nga ku ffembi tewali n’omu
alina wadde ku nnusu emu bw’eti ey’okutuzzaayo mu kyalo. Awo nze kwe kukwata
Sam amataayi ne mmuwalakata nti y’eyandeetedde okusuulayo ssente zange mu kibbo
ky’ekkanisa. Ko ye nti ebyo twali tusaanye tubimme amazzi tuyimuse amaaso gaffe
eri Mukama. Y’ahhamba nti; “Mukwasi
wabaaki alina okukkiriza okutono? Lwaki okema Mukama? Tokimanyi nti Mukama si
mwana wa muntu okusekererwa? Omuntu ky’asiga ky’akungula. Bw’osigira mu
kwemulugunya, era olikungulira mu kwemulugunya!”
Bw’atyo Sam
bwe yata akaka ng’eno bwe yekuteera ng’ekyensuti gy’ejjiba. Byonna bye yayogera
byampita ku matu ne bingwa enkoto. Anti nnalaba nga njolekedde olusozi
gambalagala singa kantanda ne ssifuna ssente ezinzizaayo e Salye. Naye
olw’okuba Sam yali muvubuka mujagujagu, yayita lukwakwayo mu basumba abaali
bamyumyula engugu zaabwe, okukakkana ng’abakamuddemu ssente. Nnalabira awo
ng’akomawo n’obuseko ku matama n’akantema nti; “Mukwasi, Mukama akikoze! Kati
kwata zino zizo, ate ezisigaddeko zange.”
Wamma nange
nnasekera mu kikonde, era ssente olwanzira mu ttaano, ne tuwaanyisiganya ne Sam
endagiriro buli omu gy’abeera. Nnamusuubiza nti nnali wa kumukyalira mu bbanga
lya wiiki ng’emu ku kasozi Ggangu gye yali abeera. Ye kwe kundagirira nti; “
Bw’otuuka ku ludda Entebe, kwata eky’e Busaabala, ogoberere ekiguudo ekyo
kyokka paka ku kkanisa eri ku kasozi Ggangu. Awo bw’obuuza Sam, baba
baakuntuusizzaako dda.”
Nange
nnagamba bugambi nti osindise munya mu ssubi. Ebifuba twabigwahhanamu nga tetumala era
twayawukana tumaze kutuuka mu ppaaka ya mmotoka mu kibuga. Sam olwandaga
siteegi y’emmotoka ezidda e Ggangu, nange ne nkwata enziza e Buikwe mu Kyaggwe.
Jajja
nnamusanga nga mulamu tteke naye mbu ng’omwoyo gumuli mu mutwe olw’ebbanga lye
nnali nkulungudde ku kibuga. Y’hhamba nti;
“Muzzukulu olyose n’okomawo, omuntu anaanywa ku lwendo lw’amazzi. Anti mbadde
buli kaseera mpuliriza birango ku leediyo. Nga ndowooza nti oba wagwa mu
mmotoka ne zikugoya obulere. Naye Katonda yeebale okukukomyawo e Salye.”
Jajja bwe
yaleeta emmere nnalyako katono ddala, ne mmwebaza okufumba. Ko ye nti;
“Ee!
Bannakibuga baakusiize dda empisa ez’okuwunya obuwunya ku mukono! Mbu kati olwo
naawe okkuse! Ssebo kino kyalo. Liira ddala emmere nga nkyali mulamu. Bwendifa
olikomba ndagala.”
Nnasekamu
katono, Jajja ne mmuteerako olutambi lw’e Kampala .
Nnamukakasa ng’omukwano bwe gutusaza mu kabu n’abazungu. Nti era bwe
kataligirya, Jajja aliwulira buwulizi nti nnabuuse dda ndi mu mawanga g’e
Bulaaya. Naye ng’enkola yaabwe bw’eri, mbu era baali banneetaaga nzireyo. Ku
luno nga ndi wa kumalayo emyezi egiwerako, okutuusa lwe nnaafuna essomero. Awo Jajja
kwe kunziramu nti; “Muzzukulu, kati oyagala kunviira ddala ku maaso? Naye
kirungi, kubanga nze okukaaba kw’omutima gwange kwe kukulaba mu ssomero nate,
ebiseera byo eby’omu maaso biryoke bibeere bitangaavu. Naye ogenda ku kibuga
Mukwasi, weewale abayaaye. Weesambire ddala ebikolwa eby’efujjo n’abantu
abatategeerekeka. Naye okusingira ddala, abawala b’oku kibuga bannamyegiguula.
Kimanye nti oli mwana munaku. N’olwekyo ebyo ebiwala ebyeyerusa emimwa kw’ossa
n’okukikinaza obubina ng’enswa eyingira enkata byesambire ddala. Egyo misota
gye nnyini era enjaba ez’obusagwa. Naye nkwagaliza mikisa na buwanguzi.”
Ebigambo
bya Jajja kaabula kata binnyungule amaziga. Naye olw’okuba nze nzekka nnali
mmanyi ekituufu ekigenda mu maaso mu bulamu bwange, nnabimma amazzi ne ntandiika
okuyiiya ekiddirira.
Jajja yali
asigazza omuntu omu yekka awaka era nga ye Toyota omusajja eyali takomba bugonja nga
yeebakira byuma. Ennyumba yo yali ebamala bulungi okuggyako nti oluusi yali
etera okutonnya. Mpozzi omuntu omulala eyandiyambye ku Jajja yandibadde
mwannyinaze Kaakayi. Naye Kaakayi ensi yali yamuteeka dda mu katuubagiro ng’azina
n’owenkufu. Anti lumu twali ku kya ggulo, tugenda okulaba nga mwana muwala
ayingirawo n’omwana ku mugongo. Naffe tetwali babi nga tumwaniriza na mizira
n’okumukulisa ebidduka n’emisanvu gy’omu kkubo. Yali muwala ng’anyirira era nga
n’akaseko tekamuva ku matama. Kale olwalaba akanyiriro ne tulowooza nti munnaffe
yali ateredde ntende mu ddya lye. Naye teyalwa n’akatutema nga bbaawe
bw’amufuumudde n’omwana ku mugongo era ne yeerayirira n’okumuliisa akakanja
singa kamutanda n’alinnya ekigere mu maka ge nate. Mbu bbaawe yalina akawala
k’essomero ke yali aganzizza. Kale mbu kano
ke kaali kamulidde omwoyo ne kamulagira n’okunaabira mukyala we mu maaso. Mbu
Kaakayi yagezaako okwelwanako ataase eddya lye naye nga buteerere. Yatugamba
mbu olaba yatuuka n’okwambalagana obukanzu n’akawala, emitaafu ne gibeereega mu
byenyi, ne bawaanyisiganya n’ebisongovu, naye akawala ne kafuuka lumoonyere
ng’omulere gwa Ssuuna? Yagenda okulaba nga ne bbaawe takyamubuuza, takyalya
mmere ye waka, nga kw’ossa n’okukomawo amatumbi budde ng’awunya obuwoowo
bw’abakyala. Bw’atyo Kaakayi kwe kugamba nti bw’osikaasika ekitajja, ddiba lya
nkoko mu ngalo, naye kwe kumwenenya. Era kwe kusalawo okwabulira ekyalo Kasawo
mu Bugerere, n’ajja okubudama e Salye ewa Jajja.
Kaakayi
olwasimba amakanda e Salye, olwebeeya lw’abasajja abampi n’abawanvu, ab’embuto
n’abemigongo, ne batandiikanga okwesomba awaka mbu nga baagala kumuwasa.
Ssukaali, ssabbuuni, omunnyo, amafuta n’ebibiriiti by’atandiika okuyiika
ng’amazzi, Jajja n’abulwa ne gy’abissa. Naye mu bano bonna, omusajja omuvuma
ayitibwa Muzaale, y’eyalya empanga. Era waayita mbale ng’omukwano ne Kaakayi
gubasaza mu kabu. Nze mu kusooka nnalowooza nti byali bya muniino. Naye lumu
akawungeezi nnalengera nga Muzaale ne Kaakayi beesimbye ng’omusezi alya amenvu
mu kkoona okumpi n’omupaapaali. Siwena nange ne nsojjolimba mpola ne neekukuma
kinnya na mpindi emabega w’omupaapaali, ne ntega okutu. Nnagenda okuwulira nga
Muzaale ali ku mwannyinaze amusuubiza eggulu ku nsi. Bakira ng’agira n’amugamba
nti; “Nze gw’olaba ssiringa buno obusajjasajja bu mpale enywera muguwa. Okusoma
kwo nnasomera ddala era nze ne Headmaster
wa Makerere University tulinnya mu kimu. Ate zo ssente nnayonka
nnyonke okuva mu mabeere ga mmange. Buli lwe nziyita zimpitaba. Era ggwe
k’okkiriza n’onfumbirwa, amata, amagi, ennyama, enkoko n’amatooke bya
kukutama.”
Ebyo byonna
Muzaale yabyogeranga, nga ye Kaakayi amaaso tegava ku ttaka. Bakira
ng’akuulakuula obusubi, n’aluma enjala, n’awandiisa olwala lw’ekigere ku ttaka,
nkugambye ne yeemoola ng’olugave ludda bbali. Ekyavaamu Muzaale n’amukwata ku bibegaabega
byombi, n’akkiriza emikono gye ku gya Kaakayi, n’afukamira ne ku ttaka nga
bw’agamba nti; “Mukwano, abakyala bangi tebalina ssanyu mu bufumbo bwabwe. Si
lwakuba nti tebalya bulungi, oba nti embwa yabafiirako. Naye lwakuba basajja
baabwe be bano betuyita ‘nsindika njake.’ Balinga enkoko sseggwanga
ezitakookolima, embwa ezitaluma, oba effumu eritafumita. Naye nze Muzaale
gw’olaba kati, ndi musajja mmekete. Emirimu ngikoza maanyi. Obusozi mbuwalampa,
n’ebikko mbisaabala. Era bw’oba ombuusaabuusa nkoonaako bukoonyi bw’oti, oba
toolabe nga nnyimirira nsingeko n’omusumaali yinki mukaaga obuggumivu!”
Nze nnende
eyali yeekukumye, olwawulira ebyo enseko ze nnali nsibidde akabanga ne zijula
okunjabya. Ekyavaamu kwe kutulika omulundi gumu nga kasooli, ne ndyoka
nfubutuka ng’akaweewo okuyita mu bitooke, era nnakasibira waka mu nju. Mba
nnankatereera, ne zireeta ne Kaakayi nga yenna aweekeera ajula kugwa eri. Nze
kwe kumubuuza ekimutuuseeko. Ko ye nti; “ Ndeka bulesi, mbadde nva eri ku
muliraano, ensolo n’efubutuka mu kisiko kata entomere, era mpulira ensisi ejula
okunzita.”
Nnamusaasirako
katono, ne nzira ku byange naye nga nsekera mu matabi ga ngalo.
Lwali lumu,
Nakabugo Pajero, omukazi Muzaale gwe yali ayagala nga tannafuna Kaakayi,
yakivumbula nti waliwo omutujju asaalimbira mu matwale ge. Teyalwa n’ajja eka
nga yenna atunula ng’akatta akakube ku mpagi nkugambye nga tasalikako musale.
Nnali mpujaddeko katono mu kasiisira kange, ng’enda okuwulira ng’ekiri wabweru
kifumba mutuku. Olwalengeza mu ddinisa, amaaso nnagatuusiza ku Nakabugo ne
Kaakayi nga balya matereke. Ehhuumi
teyalwa n’eyaka, wamma ggwe enkalu ne zinoonya obukongovvule.
Mba
nkyakutte ku mumwa, Kaakayi n’amegguza eri Nakabugo. N’akataayi tekaasala nga
yamugudde dda mu mbugo amutaagula bugo. Okutemya n’okuzibula ng’ate Nakabugo
y’ali ku ngulu afukirira Kaakayi agakonde nga n’okuluma kw’atadde. Awo ne nkimanya
nti Kaakayi yali agudde ku ngo eriko omwana. Ssaalwa nange olutalo ne ndwenyigiramu
okutaasa embeera. Mba nankasikambula Nakabugo okumuggya ku Kaakayi, Jajja naye
n’ayingirawo nga bw’abuuza ogubadde. Ko nze nti; “Jajja naawe, ky’olabako
ky’obuuza? Luno lutalo kafungula nkete. Ggwe muzzukulu wo Kaakayi tomulaba? Muggya
we abadde amulyamu amaaso!”
Ebyo
nnabyogera ng’eno Nakabugo ne Kaakayi beewaanyisiganya agagambo agaakula ne
gawola. Kaakayi gwe nnali nkutte nga mmunywezezza, ekivumo ekimu
kyamuyitirirako, n’alwana okuneetaakuluzaako nga bw’aleekaana nti; “Mukwasi nze
nta, olukazi luno ndutuge butuzi! Lwaki lummanyirira obwenkanide awo? Lugira
akabina akalukulumbalira ku mugongo!”
Tuba
tunkyenyoola nga bwe tumuwooyawooya akakkane, Nakabugo naye n’azza omuliro nga
bw’avuma nti; “Geza oleete obugulu bwo wano wendi, olyoke olabe bwe sikuwuttule
ne nkumalamu okwo okwendeguza ng’embwa erunduzze!”
Jajja bwe
yabuuza ekyali kivuddeko embeteza, nga buli omu asonga mu munne nti; ‘Buuza
oyo!” Jajja kwe kusitukira mu Kaakayi n’amulagira okuddayo mu nju. Nange
Nakabugo ne mmulaga erimuzza ewuwe nga bwe mmugamba nti amaanyi tegalya, singa
ehhaaha ye kabaka w’ennyonyi. Ko
Nakabugo nti; “Ee! Ggwe olowooza akasanke ke kafuga ennyonyi?” Ssaamuddamu.
Kaakayi
ebiwundu twabimunyigira wiiki nnamba. Jajja yamugugumbula nnyo n’amulabula nti
obwenzi butinta ng’oluyiira lw’ekyanda ku kyalo Salye. Nti era okugugubira ku
basajja ba banne obulamu bwe yali abutadde mu katyabaga. “Abo abakazi b’olaba,
bakeera ku makya ne bakommonta emigwabi nga beeyambudde, ne balaamiriza emizimu
n’emisambwa okubeeyungako mu kaweefube ow’okukuuma oba okufuna abasajja.”
Muzeeyi bw’atyo bwe yabuulirira Kaakayi.
Waayita
mbale nga Kaakayi ne Muzaale nate bali butoola. Ku luno nange bampita ku
litalaba, era nnabimanya luvannyuma nti Kaakayi ali wa Muzaale atokosa ddigobe.
Jajja olwawulira nti muzzukulu we ayingidde mu bufumbo bwa kawundo kakubye
eddinisa, n’abissaamu engatto okugenda okumubuulirira obutafumbirwa musajja
mubutaabutanyi. Naye olugendo lwamumenyera bwereere. Anti Kaakayi yakuba
enkanda wansi, n’akomba ne ku erima, nti okufa n’obutanyagwa, ye yali tajja
kwabulira Muzaale. Jajja naye olwawulira ebyo, eby’okugoberera muzzukulu we mu
ddya n’abiggyamu enta.
Naye
abaalugera nti Liiso lya mukulu awaddugala we walaba, wamma baalutuusa. Ate
waayita mmeka nga Muzaale ne Kaakayi tebaawukanye? Mbu ekiro kimu Muzaale
yakomawo awaka nga yenna agangayidde amagengere , embwa agiyita hhwa. Ekyo mbu Kaakayi
yandikigumidde, naye eky’omusajja okwetikka Nakabugo bwe baali akabwa n’engo,
n’amuleeta mu kisenge kye, kyamusuula eddalu. Mbu Muzaale teyakoma awo
n’aggyayo n’omweyango olwo n’amukakkanako ekiyiifuyiifu n’amusakata emiggo egy’asigalawo ne gikwasaamu bitooke. Tawena
n’amukasukira n’obugoye bwe, n’aggyayo n’effumu olwo n’amutwala kiyumba anaagwa
ng’ekyo ku ttale. Kaakayi yatuuka ewa Jajja nga g’akaaba g’akomba. Jajja
olwamulabako, n’amuzza ebbali n’amubudaabuda. Bwe yamubuuza ensonga lwaki
Muzaale yali yeeyisizza ng’ensolo, Kaakayi yamuddamu nti naye tamanyi, naye mbu
bwe litalaba jjoogo, walabika waliwo amuloga.
Ebyo byonna
byaliwo mu biseera bya mabega. Naye kati Jajja yali yasigaza Toyota yekka mu maka. Kaakayi yali yaddayo e
Mbale mu Bugisu, okubeera ne Taata. Nange olwalaba ng’olunaku lwe nnasuubiza
Sam okugenda okumulaba lutuuse, ne nsiibula Jajja nga mmwagaliza emirembe, naye
n’anjagaliza obuwanguzi. Yantunula mu maaso, ng’emmunye mulimu ebiyengeyenge
n’ahhamba nti; “Muzzukulu,
obulamu bwange bwetooloolera ku ggwe. Genda mirembe!” Nange kwe kumuddamu nti; “Wewaawo!
Bye bye Jajja!”
Bya Mugoya Michael- 0757540410
Bya Mugoya Michael- 0757540410
No comments:
Post a Comment