Thursday, 17 November 2016

“OSIBUKA MU LULYO LW’ABAKOPI” #4



"Kino kyabayamba okuva mu kiyumba kyabwe ki baamututtebukya…"





TOKITWALA nti olw’okuba njogeddeko ku mizimu, amayembe, abafu n’emisambwa, n’olwekyo nange ndi muzimu. Naye kankunyumizeeko n’ebikwata ku maka mwe nnakulira, osanga onanzigya mu ttuluba ly’emizimu n’emisambwa.

Jajja Kayinza yali mukyala wa ssimbo naye nga bw’asoomoozebwa tanywa guteeka. Yali mukyala wa kigera, wakatakketakke, amaaaso ga ndege,  ng’alina omuzigo mu mannyo, so nga bw’aseka ku matama kujjako obunnya. Yalina eddoboozi esseeneekerevu omujjudde akawoowo, naye nga bwe yeebikka amazzi, ayogera alokompoka bulokomposi. Kayinza ono y’eyali Jajja atuzaalira taata Wadundu, ng’era yali emyaka gigenda gimuwuubira akatambaala.

Kayinza yali yasenga ku kyalo Salye mu kibanja kya kojja we Kagode oluvannyuma lwa kitaawe Nabende okukkirira gye batambuliza emigongo ng’obwato. Olw’okuba Kayinza yali akyalimu ku mbavu, Kagode yamuwa obuyinza okulabirira ekibanja ky’omugenzi kitaawe. Ekibanja kino kyali kiwereza ddala yiika ttaano obuwanvu n’obugazi. Kyali kiriraanye ekya muzeeyi Wambazu mu bugwanjuba, ate nga ku ludda lw’ebuvanjuba waliyo ettaka ly’omwana w’omwami ayitibwa Kalyabe. Kalyabye yali yeetoolooza ettaka lye ffaamu gagadde mwe baalundiranga amagana g’ente ze. Mu bukiika ddyo waalingayo ekibira luvookwaya, ate nga yo mu bukiika kkono waliyo ebisagazi eby’ayitibwanga ggwatamala. Mu kibanja mwe nnyini mwalimu essamba y’emmwanyi, ensuku z’embidde n’amatooke, awamu n’ebisaka ebyali by’alekebwa awo nnagalaale. Mwalimu n’emiti egy’ekika ky’omutuba, omuwawu, emivule, emikunyu, emisasa, amayirikiti, ensambya, ggasiya, emikoowekoowe, jjambula,emiwafu, enkandwa, enzibaziba n’emirala.

Jajja ne kabiite we Toyota baakolera wamu ne bazimba akasiisira ak’ekisenge ekimu n’eddiiro. Kino ky’abayamba okuva mu kiyumba kyabwe ki baamututtebukya ekyali ky’agwa olubege. Ky’abatwalira ebbanga lya mwezi mulamba okutema omusingi, okusima ebinnya n’okunoonya emiti egy’oku ttale. Ky’abatwalira omwezi omulala mulamba okupima n’okusimba emiti mu binnya, okunoonya emmuli, enzibaziba n’ebyessambwe  okubaga, okutema essubi ery’okusereka, okusamba ettaka ery’okumaala, awamu n’okuzzaako olufuufu, obusa n’omusenyu nga tebannagiyingira.

Olw’okujaguza okuyingira enju yaabwe empya, Jajja ne Toyota baasooka kuyiisa lyato ddamba ery’omwenge, ne battirako embuzi kimeeme awamu ne zisseggwanga nnya. Jajja ku luno yafumba ekijjulo makeke okwali omuwumbo gw’ebika by’amatooke ye bye yeerobozaamu. Mbu yali awoomerwa nnyo nnakitembe, mbwazirume ne nnakabululu. Okwo yafumbirako lumonde ow’ekika kya kawogo, mwezigumu, ne ntudde buleku. Olwo mukazi wattu n’alyoka yeetala nkugambye n’akirako n’akataayi ku nswa.

Mu bagenyi abayite  mwe mwali muzeeyi Wambazu n’owuwe mukyala Mbwali, muzeeyi Kositanti eyali ateeberezebwa okuba omusezi, awamu ne Wamboga, Kimeke ne Lumaanya, batabani ba Wambazu abaali beetongodde. Mu b’ehhanda abataalutumirwa mwana mwe mwali William omuzeeyi enkanyala muganda w’omugenzi Nabende, ssenga Kasifa ne kabiite we Walimbwa, ne Jajja Namagoye ekijjulo be ky’asanga nga bakkalidde dda bubya. Muboyi, omusajja enjasbiggu era wampaawo  eyali yeegulidde erinnya olw’okutimpulanga mukyala we Namagoye buli olukya, naye akabaga teyakeesulubabba. Abatuuze abalala bangi abaawagala amannyo gaabwe ne bajja okubeerawo ku kabaga. Naye abasinga baatunuulizanga muzeeyi William ekiziimuziimu nga bamwekengera. Anti mbu luwedde ku mpagala ono eyali atemera mu gy’obukulu ekikumi, yali aluddewo nnyo okufa. Kale bangi baali bamusongamu ennwe mbu y’eyali akungula banne okukkirira ekaganga ne bazika. Naye ebyo baabisiba ku mpagi ne basooka okweyiira amanzaali.

Wamma kyali kijjobi kye nnyini, era ky’abula omukombi. Abantu beemiisa ebya ssava nkugambye  ne basindisa n’ebigere.Nga bamaze okwekola ekigenyi, empaawo z’omwenge  zaggyibwayo gye zaali zikukumiddwa, olwo abafuuweesi b’ebbidde ne bakongojja omulangira Ssegamwenge ne Bukeerere n’amwenya. Kimeke ne Lumaanya nabo tebaalwa ne bassaako endongo wamma buli omu n’asituka okunyeenya ku galiba enjole. Endongo yakoonera ddala ppaka budde kkejenge.

Naye nga ku mbaga bwe kutabula musiiwuufu, ne ku kabaga kano kw’aliko ebyeneena ebyaleka abangi nga baanaamiridde. Omukyala Namagoye muka Muboyi, olw’alaba ng’omwenge gumulinnye ku mutwe, yagwa kya bugazi n’okufuluuta n’assa okwo. Waliwo omusajja kinanjokya nkimize ayitibwa Majengo, naye eyali ali okwota akabaga kano obuliro. Bw’atyo bwe yalengera nga Namagoye y’ebase magalabanjo, n’agamba nti omwangu y’atta enswa. Yasooba mpola nga bw’amagaamaga erudda n’erudda. Olwalaba nga mukyalawe taliiwo, so nga ne Muboyi takubikako kimunye, n’acacankya ng’akimezezza okw’enjala. Yasookera ku kusiisiitira Namagoye. Olw’alaba nga taliimu kamunyeenya, n’amwebagala mpola nga bw’afuuyirira n’olunwe. Naye aba akyamuwenjula embugo, Namagoye n’assa omukka nga kw’atadde n’okwegolola ng’eyali azuukuka. Majengo yamasukawo mangu ddala ng’omutego n’adda ebbali okumuliimisa nga kkapa ezannyisa emmese gy’emaze okwezza. Olw’alaba nga Namagoye azzeemu buto okufuluuta, Majengo n’amuvumbagira omulundi gumu okukakkana ng’amwebagadde yogaayoga mu lusuku lw’ebitooke emmanju. Aba yeetegeka okuvaabira omuyiggo gwe, n’awulira enswagiro mu kisaka ekyali okumpi n’olusuku. Olwatega okutu, yawulira eddoboozi ly’omusajja nga livuuvuuma awamu n’akaloboozi k’omukazi. Omukyala yatandika okukuba emiranga nga gwe batuga, ng’ate bw’asuusuuta Muboyi nga bw’ali omusajja siryampooli era enjasabiggu. Majengo okugenda okwetegereza obulungi, ng’eddoboozi lya mukyala we ly’awulira, ali mu kusuuta omusajja atali wuwe.

Majengo teyalwa ebya Namagoye n’abissa ku bbali, n’abuuka mu busungu obw’ettumbiizi obwagugumula abaali beerigombera mu kisaka. Yakomba mu kibatu nga bw’aleekaana nti;
“Bannange munnyambe! Muboyi wuuno! Ali ku mukyala wange! Amusomesa! Amusomesa entambula y’omwezi! Entambula y’omwezi n’emmunyeenye…!”

Abaali banyeenya ebiwato ku kabaga olwawulira akagugumuko mu lusuku, nabo kwe kudduka egy’embwa okujja okwerabira ku katemba atali musasulire. Baasanga Muboyi bubeefuka ne Majengo nga baagwahhanye dda mu malaka buli omu anoonya okulinnya munne ku nfeete. Bakyala baabwe bombirrii olw’alaba nga kino kifuuse kyebonere, kwe kukuba abaali bakuhhaanye eddolera, ne beetegula akabaga. Lumaanya ne Kimeke, abavubuka envuumuulo, beebaataawuluza abaali bambalaganye obukanzu nga betaaguddetaagudde bombi batonnya musaayi. Naye baabataasa tebannaggwa ggayahhano. Anti Majengo baamusikaasika ng’awambidde ku bisubi nga bw’alangira Muboyi olw’okuyimbagatanya obukopi n’okwendeekuluza ng’embwa ya nnamaaso. Bakira nga ne Muboyi azzaayo omuliro ng’alangira Majengo obwassekibotte n’okuba ekigwengeregweregere.

Majengo ne Muboyi baba bakyagwisanya obwenyi, ate akagugumuko akalala ne kabalukawo. Muka Wamboga omukyala eyalina akaloboozi akakirako ak’omwana omuto, naye yalaba ebikuuno. Mbu yali yeewunjuddeko katono emmanju, n’alengera omuntu eyali akunnumbira obute ku malaalo g’omugenzi Nabende. Muka Wamboga olw’alaba ebyeneena, n’akoleeza enduulu eyagumbulula n’abaali ku gwa Muboyi ne Majengo. Toyota y’eyasooka okudduukirira nga bw’abuuza ogubadde. Yali akyali mu bya mannyo wenu, nga ku Kositanti kw’akuba amaaso, akunyuuka buswa. Amangu ago Toyota ne yeecwacwana nga bw’alangira Kositanti obusezi obwali bumufudde kawakuzi n’okutuusa okumugobya mu kika ky’ewaabwe. Abalala olw’awulira ku ky’omusezi, nabo ne bakuhhaana beerabire ku mawale omulala eyali ku yoleke. Ne Kositanti olw’alaba ng’aluggulidde gye lutaggulirwa, nga n’abantu abaali bataamye obugo  bali kumpi okumugombamu obwala, omumpembe n’abomba. Abantu olw’alaba ng’omumpembe asazeewo kugumaza mbiro, nabo tebawena ne bamutwala nga biralambadde. Naye okugoba omusezi kuba nga kukowoola abombye. Era abaamugoba baakomawo nga bonna bagudde ensaya, nga  n’omusezi waayise buli omu atankanawo. Abaali bazze ku kabaga tebaaalwa buli kiisi n’alaba eryamuleese, sikulwanga wabaawo amawano amalala agabalukawo.

Olw’okuba omuto, ebintu ebyalinga bigenda mu maaso mu maka ga Jajja nnali ntankana bitankane. Naye Jajja yanjagala nnyo kata ankuze ekyejo. Yalwananga bwezizingirire okuntuusaako buli kika kya mmere na buli kalungi. Bwentyo nange nnalyanga emmere ne nkirako n’ekisokomi. Namiringusanga amagi ag’empogola, ne nnywa amata g’embuzi, ne mpuuta ssupu wa mukene n’obutiko, wamma ggwe bbambala ne ssabbuleenya nabyo ne mbibwebwena. Olw’avaawo ne neesokomera ebisoobooza, ebikoola by’amayuuni ebito, ensugga, essunsa, ddoodo, ejjobyo, n’ettimpa nkugambye ne ndya n’enkirako ekinyiinya. Nneggweeranga n’ebibbo by’entuntunu, enkenene, ffene, amapeera, amapaapaali, obutunda, wujju, emiyembe, amenvu n’amatungulu. Ebyo byonna nnabiryanga ne mbwegera nzenna n’okubejjagala ne nzisa okwo ng’olubuto lunkoma mu mannyo. Amayuuni, lumonde, balugu, musanyusa mmeeza, endaggu, amasebe, kivuuvu, amatooke n’ebiringa ebyo nabyo nnabirya ng’eyasimattuka Kkunsa. Okumanya ne jjanjaba, nnagenda ne ngejja omutwe n’akabuto ne katumbeera okwagala okwabika. Olwo nga buli ggolu eryasulanga mu ntamu kwe nnagolokokeranga ne nnywerako kyayi w’omujaaja, ekisubi oba ow’ebikajjo ebisekule. Ku ky’emisana nnakubanga luvuutu n’embajjo z’emiwogo n’ebijanjaalo, olwo ne ndyoka nkala omutwe ne gukirako empengere. Gyo emimmonde nnawoomerwanga mivumbike. Nnaginywerangako omubisi gwe basogozza ebigere, ne nnyongerezaako omugoyo gwa lumonde n’enswa, wamma ggwe ne ndya ne nsindisa n’ebigere.  Olwo ekiro bwe nnalinga mpalangasa ekiwanga kyange mu kibatu, kanfankunaaye gwe nnalyanga yankubyanga empiiyi ezaawaawaazanga n’amatu g’abebase.

Nnasulanga mu ddiiro ku biwempe by’amasanja n’enjulu, ne neebikka n’akadeeya k’emmwanyi. Oluusi Jajja yambikkanga bboodingi ye emu yokka gye yakeeranga okwambala bwe nnabanga sigikunkumuddeemu musulo. Mu ddiiro we nnasulanga, mwe mwali musula n’enkoko awamu n’embuzi ze twasibanga ku nkondo. Jajja ne Toyota bo baali  basula mu kisenge. Eyo mu ttumbi nnawuliranga ebintu ebikulungutana n’okukwakwaya mu kisenge kyabwe ne nnyimusa ku mutwe. Nnawuliranga omusinde gw’ekitanda nga ky’enyeenyeza kumukumu, ne ndowoozanga nti musisi y’eyali ayita mu kisenge ky’abakulu.

Zo emmese zaali zaagufuula mugano okuddanga ku bigere byange ne zibibwebwena okubyogoloza. Bwe nnazuukukanga ku maliiri nnasahhanga ebisinziiro by’ebigere byange byombi kubunye omusaayi n’ebiwundu. Naye emmese twazisalira ag’enkolwa ne tuzigulira kkapa nayo eyaziwenja obuseenene n’eziyunja obutooke okukakkana nga tufuma nfume. Kkapa olw’alaba ng’emmese ezirinnye ku nfeete, ate n’etandiika okundiisa akakanja. Yagufuulira ddala muze okwefubiitikanga mu buliri bwange ekiro ne twebaka ffembi.

Ekiro kimu nange nnalya ennumba, era kkapa ne ngyebagala  okukakkana nga ngikasuse ng’ekyonziira mu nsonda y’enkoko. Enkoko zaawamatuka we zisula ne zisaasaanira enju yonna okukakkana nga ne Jajja zimuggyeeyo mu tulo okujja okulaba bwe gubadde. Yasanga nazzeeyo dda mu kiriri kyange nneebaza yazimba. Jajja olwalengera kkapa ng’efubutuka mu nsonda n’alowooza nti eyize omuze ogw’okulya enkoko ze. Bw’atyo n’agyeewerera okugikola ekikyamu nga bukedde. Bwe yazikiza akataala n’addayo mu kisenge, ppuusi nayo teyalonzalonza n’egenda yeefubitika mu buliri bwabwe. Jajja olwawulira ekintu ekimutambulira mu magulu n’akuba omulanga ogw’omwanguka nga bw’abuukayo mu buliri. Toyota olwawulira ebikuuno mu nzikiza, n’afubutukayo mu kisenge okukakkana ng’akasibidde bweru mu bitooke anoonya wakwekukuma. Jajja olwakoleeza ka munaku tadooba alabe ebinene bya wanga, nga nate ku kkapa kw’akuba amaaso eri mu buliri yeegolodde. Enkeera kkapa teyalutonda. Anti yagirungira emmimbiri n’esirikka, tali ku muyaayu ogumusuza nga takombye ku mpeke ya tulo.

Nnali nnankawona olutalo lw’emmese ne kkapa, ate envunza nazo ne zisitula enkundi. Zino mbu  zaavanga mu buloolo bw’enkoko  n’enkukunyi ez’omunfuufu. Envunza zannuma wamma ggwe ne ziddako ne mu kati. Zannumiranga ddala wakati mu njala z’ebigere, ebisinziiro, amaviivi, enkugunyu, mu bibatu by’engalo, nkugambye kata n’amanyuma zigeesogge. Zaayambibwangako ensekere nazo ezaagumbanga mu ngoye n’enviiri z’okumutwe.Engoye nnayambalanga ssweta empanvu ng’ekiteeteeyi, era ng’oyinza okumpita omuwala, naye nga munda ssambaliramu mpale. Ensekere ez’omu ngoye nnazisalira ga kuzoolezanga mu mazzi agookya. Zo enviiri Jajja yaziwalakatanga ku mutwe  ng’akozesa akamwano. Okukakkana ng’ensekere nazo nfuma nfume.

Jajja olw’alaba nga mpuubaala nnyo awaka, n’asalawo okuleeta kizibwe wange okuva e Mbale ayitibwa Mafaabi, ntere nzannyenga naye. Mafaabi nnali mmusingako omwaka nga gumu nga ne mu kiwago mmukubya nkaaga. Kaali kaana ka lugoojanye naye nga tekanyigirwa mu kikonde. Kaalina omutwe ogwakasongola ng’effumu nga n’amaaso katunula kamoozoola mamoozoole. Era mu kusooka twabanga ku mbiranye nga tugujuubanira eby’okulya awamu n’okwesunaasunanga mu buliri mwe twasulanga ffembi. Naye bwe waayitawo ebbanga, omukwano gwatandika okutusaza mu kabu.Twatandikanga okwenjeera ku ttale n’ebibira nga tunoonya enkenene, entuntunu, amapeera, emiyembe, amatungulu n’ebirala. Eyo era gye twayitiranga ne tusooberera ffene n’ebikajjo by’abantu ne tulyoka tubba biri ne tuddako ne mu kati ne tuwodola. Jajja bwe yatutumanga emugga twaddukanga za mbwa nga tukulula ebigogo bye twayitanga emmotoka oba eggaali. Amazzi twagakimiranga mu budomola bwe twagendanga tukubisa amaviivi n’emikono okutuukira ddala emugga. Eyo amazzi twagasenanga mu kidiba okwayalirirwanga enkoma n’embaawo. Lumu Mafaabi yali afukamidde ku mwaliriro gw’olukoma ne yeefuula omulundi gumu okukakkana ng’ekoona enywedde mu kidiba ky’amazzi. Ssiba kumudduukirira mu bwangu, yali atandise okubbira.

Mafaabi yali mwana mawale ow’omutwe omunene ate nga wa lutwe. Olwamalanga okusena amazzi, ng’ayimirira ku myaliriro n’afuuyisa mu kidiba ng’eno bw’asagambiza. Lumu kalinda luzzi yamukwata lubona ng’akunkumula mu nsulo, n’alyoka atutwala kirinnyamutikka n’obudomola ne tubwerabirayo ku luzzi. Teyalwa n’atuwaabirayo ewa Jajja n’atuyisaako obuswanyu.

Ssaalwa nange ne mmera amampaati nga aga Mafaabi okujula n’okumusingako. Lumu twakivumbula nti omusajja ayitibwa Yakobo eyali alunda ente z’omwana w’omwami Kalyabe, yalina ebibala ebiyitibwa kkooko. Kale buli lwe twamulabanga ng’atwala ente okunywa, nga twemulula mpola ne tugenda tunoga kkooko. Naye lumu tuba tukyamubba, ne tumulengera ng’akomawo awalabanya muka Muserikale gwe baayitanga Maama Boy. Ono omukyala yali mulungi lwondo ng’akyamya n’abayise. Bwe twalaba ng’abagalana bazzegawanye, ne twekukuma awaziyivu tulabe gye banaasibira. Baatuyitako kasiribaggo nga bwe beekuba obuwuna n’obwama, okukakkana nga beevumbye enju ya Yakobo yennyini. Ssaalwa ne mbawondera mpola ne neekweka emmanju we nsobolera okuwulira obulungi ekigenda mu maaso mu nnyumba. Ne Mafaabi tawena n’agoba bumale nga yeetisse eddaala ly’omuti. Yaampeerawo amagezi nti nninnye ku ddaala ntuuke ku kamooli k’enju nsobole okulaba obulungi mu bisenge. Nange ssaalwa nga nnebereka ku ddaala yogaayoga waggulu mu kamooli.

Bwe nnazibirizaako eriiso lyange erimu okutunula obulungi mu kamooli, ekimunye  nakiggukiza ku bigere bina emirannamiro w’obuliri nga biringa ebikuba sikyakyala. Abantu bo bennyini nnali ssibalaba bulungi. Awo kwe kukka ne hhamba Mafaabi tukyuse eddaala okulizza ku kamooli akalala. Bwe twakyusa, nnaddayo bukubirire waggulu mu kamooli okuliisa ku maaso. Naye bye nnalaba byali bizibu okunyumya, era byanzigya n’ekifu ku maaso. Mafaabi olw’andaba nga nzenna mmegeredde nnyo, n’aleekaana mu kaama nti; “Mukwasi vvaayo mu kamooli nange ndabeko!”

Naye nga nze nnemedde ku ddaala  kabbaani ku ndongo, anti nga bye ndaba nange binnyumira okukamala. Mafaabi olw’alaba nga nneefudde mulungi omu, kwe kulinnya eddaala n’atuuka we nnali naye nga tasobola kutunula mu kamooli. Awo ye kwe kutandiika okunkaayanya nga bw’ansikambulayo ku kamooli mbu nveeyo naye anyumirweko. Naye nze nnasimbiraddala nnakakongo ne nnemerayo mu kamooli nga bwe nfuuyirira n’olunwe, abantu be nnali nningiriza baleme kutugwamu. Mafaabi olw’alaba nga mmuliddemu olukwe, n’aggyayo n’ago mu buto n’ansikayo ku kamooli. Ffembi twawanuka n’eddaala lyakwo ne tugenda twekkata ku ddimwa be ddu…wamma ggwe n’enfuufu n’efuumuuka. N’embwa ya Yakobo gye yava mpaawo yamany,a n’eryoka etutwala entyagi kata n’eryatuleese litubule.

Ennaku waayita mbale nate ne tuvumbula omuwala eyalungiwa n’awola. Ono yali muwala wa Haji Yusuufu eyali asomera e Malongwe mu kibiina kye tutaamanya. Naye olw’okuba yali akomangawo akawungeezi ng’ayitira mu kkubo mwe twalundiranga embuzi, twatandika okusala entotto. Ekigendererwa kyaffe kyali kyakumutuusaako ekyo kye twalaba Yakobo akola Maama Boy. Era ku olwo nze nnakulembera olukwe luno ne njoyoota akafo akeekusifu mu kisaka okumpiko n’ekkubo. Nnalongoosanga akafo, nga ye Mafaabi aliimisa okulaba oba ng’ensolo ku kizigo kweri. Nnali nkyalatta mu kisaka, Mafaabi n’afuuwa oluwa okuntemyako nti essaawa mulindwa yali etuuse. Nneesowolayo mu bwangu gye nnali nneekwese, ne twekukuma mu kafo kamu wamma ne tugumba.

Twamira omukka ne tusirika be cce, nga ntunnunsi zokka ze tuwulira. Tuba tukyamira amalusu, ne zireeta mwana muwala ng’aweekedde n’ensawo y’ebitabo bye ku mugongo. Mafaabi y’eyasooka okubuukayo n’amuvumbagira nga bw’amubaka emimwa aleme kukuba lube. Nange ssaalwayo ne mmuyambako ne tumegga. Mukazi wattu yagezaako okusambagala n’okutukuba agakonde mu migongo naye nga ffe tulemeddeko. Tetwalwa ne tumwebagala yogaayoga mu kafo kaffe akayooyoote. Olw’alaba ng’ettaka liramusizza enkoona ye, ne tuteekateeka okwekola ekigenyi. Ennamusa eba enaatera okutuuka ku nnyooge, ne zireeta muzeeyi Wambazu eyali awulidde akavuvuhhano mu kisaka ng’ayitawo mu kkubo. Olw’esogga mu kisaka okulaba emiroboli, yatusanga tukyenyoola ng’olutalo luzze wakati wange ne Mafaabi, anti nga buli omu akaayanira okulya empanga. Bwe tutyo bwe twalaba omuntu ow’okuna  mu lutalo, ne tumanya nti eyatwalula yali esiridde. Mafaabi y’eyasooka okupuluka n’amalamu omusubi. Olwo nga ye omuwala emiranga gy’akuba giwaawaaza n’amatu. Nange olw’alaba nga Wambazu angudde mu buwufu, ne neeyokya ensiko ne mmalamu omusulo. Bw’atyo muwala wa Haji bwe yatuwona. Naye twagenda twekokkola muzeeyi Wambazu eyaviirako olukwe lwaffe okugwa obutaka ne tukoma ku njokye.

Olunaku olwaddako, Wambazu yatuwaabirayo ewa Jajjja nga bwe yatukutte nga tuvaabira ebitali biramule. Ne Jajja olwawulira bino, n’amanya nti twali tutuuse okumuzaalira ebitukula makaayi by’azaala ku nsiko. Mu kifo ky’okumusuzanga ng’omutima gumwewanise, n’asalawo okunjawula ku Mafaabi.

Nga wayiseewo omwezi nga gumu, nnagwawo ekigo bwe baakantema nti nnali nteekeddwa okutandika okusoma. Ekkalaamu n’ebitabo Toyota yali yabikubye dda ku mmeeza nga binnindiridde. Jajja yali yangulidde dda empale muserebende eya kkaki awamu n’essaati eya kivuuvu. Olw’amala okubinkwanga, n’antuuza ebbali awo n’atandika okunsibirira entanda nti;

“Muzzukulu, kati okimanyi bulungi nti maama wo yakkirira dda ewa Ssenkaaba. Ate ne kitaawo musajja mpongabyoya atalina wadde enkoko etakula awaka. Nange Jajjaawo emyaka gineevedde era ennaku zange kati nzibalira ku ngalo. Toyota wuuyo naye omulaba ntakera akeera kwewaaga magengere na buli kasente k’afunawo kamuyita mu myagaanya gya ngalo. Kati ssaayo omwoyo ku bye nkubuulirira. Abaatusooka baalugera nti, ndikumma okulya ne nkulyowa omwoyo. Kimanye nti osibuka mu lulyo lwa bakopi, balukyolo era abaavu lunkuppe abatosobola kukuyimirizaawo singa obeera tosomye. Era kimanye nti ensi eno tekungulwa kubanga tubeeramu akabanga katono ddala. Naye bw’ogivaamu nga tolinaawo keweekoledde, toba wa njawulo ne ku mwana eyafa nga yankazaalibwa. Nze Jajjaawo ndi mumalirivu okulyanga amakaya n’okwesiba ekkutiya okulaba ng’osoma. Newankubadde ng’enfuna yaffe ya munguuba, nja kwesiba bbiri okulaba nga wakiri oyiga okuwandiika ebbaluwa n’okubala essente. Kale nno gy’ogenda, ekkalaamu gikwate kannabwala, ofunvubire era olwane masajja okulaba nga mu kika kyaffe namwo muvaamu omuntu omuyivu. Ssaagala okuddayo okuwulira ng’efujjo lye mubadde mukola ku Salye ng’ate olitutte ne ku ssomero. Mmanya ekikutwala ku ssomero era ofube okulaba ng’okituukiriza. Muzzukulu ssoma. Essuubi lyange n’erye kika kyonna liri mu ggwe. Tonswaza. Totuyiwaayo. Era enkya enkoko gikwate mumwa tugende nkuwandiise mu ssomero lye nkufunidde.”

Ye Mafaabi yali wakulindako omwaka omulala mulamba alyoke naye atandike okusoma. Kino kyampisa bubi nnyo kubanga nnali ssaagala Mafaabi kunva ku lusegere. Naye ekyazze kyo kiba kyazze. Bwentyo nnaguma wakati mu kuluma obujiji ne nsalawo okutandiika obulamu obuggya obw’essomero.



 Bya Mugoya Michael-0757540410

2 comments: