Wednesday, 16 November 2016

“EKITAMBO” KY’E BUGISU KIZINDA OBUGANDA #2



 Bya  Mugoya Michael
Lumu Kaakayi y’ansaba okumuwerekerako emugga…


NEWANKUBADDE ng’okyateebereza nti nze ayogera bino ndi muzimu, nzikiriza nti buli kitonde Gguluddene kye yateeka mu nsi, kirina entandiikwa n’enkomerero. Naye wakati mu lugendo lw’obulamu bwa buli kimu, mulimu ebiwonvu, ebikko, ensozi n’obwengula. Olugendo luba luwanvu nga mujjudde emisanvu, emiwaatwa, amaggwa, ebinnya, ebitiisa, ebisasamaza, ebyanaamiriza so n’ebisanyusa. Bw’okyusa amaaso go n’otunula emabega gy’ovudde wafumbekedde oluyoogaano lw’abawagizi n’abasunzi. So ng’ate gy’oyolekedde wajjudde abateesi n’abakwagaliza obuwanguzi.

Mu bulamu bwonna mubaamu ebirungi n’ebibi, ebikyamu n’ebituufu, ebinene n’ebitono, ebiwanvu n’ebimpi. Okulondawo kwo kwe kukutuusa gy’olaga, era kwe kusalawo enkomerero yo. Bangi batambulira mu nsi muno wakati mu maziga n’okuluma obujiji, nga tebalengera gye balaga, so nga ne gye bava bawandayo lulusu. Wakati mu kusiba emitaafu, balwana bwezizingirire okwanganga ebibasoomooza, naye bwe balemererwa, eyo y’eba enkomerero yaabwe. Era osanga ku ntaana zaabwe nga kwa wandiikibwako ebigambo nga bino nti;

“Eno y’entaana y’omulwanyi nnamige.
Yafa ng’alwanirira  ekintu kye yali amanyi nti ky’ekituufu.
Yali mutuufu nnyo….ensonga ye yali y’amazima.
Naye, kati laba yafa, gy’oli nti yali mukyamu.”

Wakati mu maziga agajjulujjulu n’okukuba emiranga, mmange Mutoonyi yanzisa ku nsi. Kigambibwa mbu nga bwe kitatera kubeera ku baana abalala nga bankazaalibwa, nze ssaakaaba wadde okutonnyesa ku zziga. Emmunye yange yali etukula ng’omuzira, era nga ntemya nga nkwale.Kino kyayanaamiriza nnyo abakulu, bwe batyo kwe kunnungira kanfaakunaaye w’eddagala ly’okuttale mu kyogero, okusinga ne bwe gwali gubadde. Ebitooke mu nsuku ezaagwa akaleka mu nsozi z’e Wanaale, obunyonyi, ebyekulula, amakonkome n’ebiwuka,  by’ebyaliwo ng’abajulizi ku lunaku lw’okuzaalibwa kwange, okutaaliko wadde na muzaalisa.

Mu nju ya kitange Wadundu nnasanyukiramu akaseera mpa wekaaga. Era n’ebbeere lya mmange baalinzigya mu kamwa, newankubadde nga nnali nkuzeemu, oluvannyuma lwa maama okukkiririra  ezirakumwa enviiri gye zittira ng’omuddo. Ne ku luno saatonnyeza wadde ku ttondo ly’ezziga. Ab’ekika abatera okugwa mu bintu by’abagenzi, luno lwabasala, anti buli kantu mmange ke yaleka, taata yakeddiza, anti tamanyiirwa banyazi n’abaleebeesi.

Newankubadde nga maama yali andeseewo, nze nnende nneeziniranga gudiikudde buli olukya ne ndatta n’okukirako eyakasibira e Mbale. Ye mwannyinaze omukulu Kaakayi yasiibanga akulukusa maziga okwagala okugamalayo mu kiwanga. Awo nze kwe kumusekereranga nga bwe mmwewuunya obutamanya nti maama gye yali agenze teyali wakumalayo myaka na bisiibo. Kaakayi kaabula kata ambajje oluyi, taba kuba Jajja Kayinza azaala taata, eyamutunuuliza eriiso eryogi naye nga lijjudde okusaasira. Jajja  yali omu ku bakyala abakungubazi abaasulanga mu lumbe lwa maama ku kyoto ky’omuliro wabweru mu luggya.Nze ne muganda wange omukulu Lojaasi, awamu ne Kaakayi twasulanga mu kisenge kya kitaffe gye twali tumaze ebbanga nga tetukkirizibwayo.

Wadde ng’ebyo byalinga bwe bityo, nze ebiro ebimu nnasooberezanga, nga bannannge bonna bali mu mattansejjere, nnengenda nkukuutiriza okutu kwange ku miwaatwa gy’oluggi lw’ekisenge kya taata. Nnali njagala okuvumbula ensonga lwaki taata n’omu ku bamaama baasulanga bokka. Naye gye nnakomyanga okuwuliriza ennyo, n’entunnunsi gye zaakomanga okunkubira okumukumu. Era ekiro kimu emmese yawanuka mu kasolya k’enju yaffe eyali ey’omwamba, n’egwa mu bintu. Awo nze kwe kufubutuka okuva ku luggi lwa taata okwesogga ekisenge kyaffe. Naye nnende nnatomera omwango gw’oluggi, n’enkoona n’enywegera ettaka. Nnasitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi ne neesogga ekiriri kyange nate. Muganda wange omukulu Lojaasi ne Kaakayi, baasisimuka mbagirawo oluvannyuma lw’okuwulira akagugumuko. Naye nze olwali okwebikka, ne nkona nzenna n’okufuluuta ne nteeka okwo. Taata yavaayo mu kisenge kye ne kamunaku ttadooba,  okujja okulaba ebigugumuse. Yabuulizaawo Lojaasi nti; “Ani abadde agwa mu masseppiki amatumbibudde gano?”

Ko Lojaasi nti; ”Erabika ebadde mmese!”

Olwali okwogera ekyo, emmese enjeru n’efubutuka mu kisero kya kasooli omukongole, n’eyita mu magulu ga taata, n’abuuka mu bbanga n’akataala ne kagwa. Emmese yeeyokya mu kinnya ekyali mu nsonda y’enju, enkoko y’obwana we yali esula. N’enkoko olwalaba emmese n’ebuuka mu bbanga nga bw’ekuba ebiwaawaatiro, n’akataala akaali kakyayakira ku ttaka ne kazikira. Kino kyamponya nnyo taata obutamanya nti nze abadde agezaako okuwuliriza biki bye yalinga akola ne maama mu matumbibudde.

Nnateranga okuwerekerako taata mu lusuku okuyunja enkota z’amatooke ge twayokyeranga mu kikoomi ky’omuliro ne tugalya. Naddala ku lumbe lwa maama, twayokya enkota eziwerako, awamu n’akaliga, ne sseggwanga, bye twalya mu bwangu tutere tusiibule ab’ewala.

Lumu Kaakayi y’ansaba okumuwerekerako emugga okwoza ku ngoye. Nange ssaali mubi ne mmulega entumbwe, yogaayoga ku mugga Namazyo. Naye bwe nnalaba nga Kaakayi amaziga ga kyamuli mu kiwanga, ne ntandiika okweraliikirira. Era kwe kumubuuza nti; “Kaakayi, lwaki tolina ssanyu? Buli kaseera nkulaba osiiwuuse ng’evvu, ng’ate n’amaaso go gengeredde ng’eryanda, gaagala okuyungula amaziga!”

Kaakayi yakyusa amaaso ge n’antunuulira enkaliriza nga bw’afeesa n’okumira amalusu. Nga wayiseewo akabanga, yambuuza nti; “Naye Mukwasi, ye ggwe wekka atanakuwala nga maama atuvudde ku maaso? Tonnakitegeera nti kati tuli bamulekwa, era mu kiseera ekitali ky’ewala tugenda okufuuka emmombooze era ababungeeze mu nsi?”

Awo nze kwe kuseka amajeemulukufu nga bwe mmukuba ku kibegaabega n’okumugumya nti; “Kaakayi, tosaanye kutya. Ekituufu kiri nti maama teyafa! Wabula yagenda kukyalirako bajajja ne baganda baffe abalala. Era wakudda mu bwangu ddala!”

Kaakayi olwawulira ebigambo byange, yayagala asekemu, naye nga n’agaseka tagalina. Bw’atyo kwe kussa engoye mu kkalaayi, n’ayiwamu amazzi era n’atandika okwoza nga bwangamba nti; “Naye maama bw’atalidda mu bwangu, lw’olikimanya nti gye yagenda terimwa binyeebwa.”

Ebigambo bye byankoona ku mutima, bwentyo ne ntandiika okubifumiitirizaako. Nnakubyakubyamu engeri gye baanziggya ku bbeere lya maama, ne bamutwala nga takyayogera. Ye lwaki ku olwo abantu baakungaana bangi awaka ng’ate bonna amaziga gabayitamu? Lwaki maama baamuzinga mu masuuka ameeru ne bamuganzika mu kinnya, n’olunannyuma ne bakiyiwamu ettaka? Ye lwaki bukya lubanga lwa mmindi, ku olwo kitaffe yatukkiriza okusulako mu kisenge kye?

Kaakayi bwe yandaba nga njasaamiridde, kwe kungamba nti; “Mukwasi, teweeraliikirira nnyo. Taata agenda okutufunirayo maama omulala tubeerenga naye.”

Nze kwekumubuuza nti;“Maama omulala oyo naye tayanirizibwe emagombe n’atadda?”

Ko Kaakayi nti;” Obulamu n’okufa byonna biri mu buyinza bwa Katonda.”

Awo nze kwe kwebuuza nti Katonda y’ani? Ye lwaki Katonda oyo asalawo okutirimbula abaagalwa baffe ate n’aleka abalabe abatuliisa akakanja nga bayinaayina? Naye nnalaba sirina kya kukikolera, ne mbimma amazzi, era ne ntandika okwanikira ku Kaakayi engoye awo ku mabbali g’omugga.

Emboozi y’okufa kwa maama tetwagigenda wala nnyo. Kaakayi yeefunyirira ku ngoye, era okugenda okugolola omugongo nga tuzeetikka kulaba lyatuleese. Twasaayirira engere, era okutemya n’okuzibula nga twagguse dda bumale eka. Bwe twatuuka, ne bakatutema nti ne mmwanyinaze omuto eyali ow’emyezi ebiri gyokka naye yali akkiridde e Kaganga!

Ku kino nnava mu kuloota ne nziramu ak’obuntu. Najjukira nti ssaali muto nnyo nga bwe nnali ndowooza. Nnakimanya nti okujja e Mbale nnali nkomyewo okuva e Buganda ne Jajja Kayinza eyali azze okujjanjaba maama Mutoonyi, eyali asigaddeko ekikubamukono. Era awo we nnajjukirira nti Jajja okuntwala e Buganda, yamala kunzigya ku mmange enkuyege bwe zaali nga zikyamukubira enduulu. Eby’e Buganda byo nnali nzijukira bya munguuba. Kaabula kata nneerabire nga bwe nnali ssirina wadde n’oluviiri olumu ku mutwe. Omutwe gwange gwalinga endeku eriko amatu. N’ebiguuna byali bya nneefunira, nga nzenna nzijudde ebisente n’ebibomboola mu mutwe ogwali gwasiiwuuka ng’ogusula mu vvu. Mu mutwe gwange mwali mwajjula amabwa n’ebirombe by’envunyu, n’amasira okwanyookeranga ensowera ne kawawa. Olwo ng’ekivundu n’ekkalalume ebinvaamu, n’atalina nnyindo abiwunyiza.

Lumu twali tutudde mu ggaali y’omukka egenda e Buganda, wakati mu nnasiisi w’omuntu eyali akubyeko mu kiyumba ekimu, abasaabaze bonna ne bakwata ku nnyindo zaabwe, nga bwe beenyinyimbwa n’okwekokkola ekivundu ekyali kifubutuka mu mutwe gwange. Jajja Kayinza yali ambisseeko ekitambaala ensowera zireme kungwa ku mabwa. Essajja erimu likaddugala eryali mu ggaali, kwe kujjonkera ne libwatuka mu busungu obw’ettumbiizi nti; “Eyo mwana y’ani ewunya muvundu nga wa mbwa ogufudde?”

Omu ku bakyala abaali batuulidde emabega, kwe kukwata ku nnyindo ze nga bw’akolola n’agamba nti; “Oo! Embuto zizaala! Newankubadde nga  ndi mugumba, nze ekyo ekikulekule ky’omwana bw’abeera owange mmuzaalukuka!”

Omu ku bazeeyi abaali bantudde okumpi ng’angulidde n’omunwe gwa kasooli, kwe kumuddamu nti; “Mwana wange! Oyogera bw’otyo lwakuba tonnamanya bulumi buli mu kuzaala. Naye lw’olibumanya, ne bwolizaala ekizeezengere olikiwambaatira.”

Awo Jajja Kayinza kwekwongerezaako nti; “Ndaba n’ezikookolima gaali magi.”

Ko essajja likaddugala nti; “Ee! Maama yange nnyabo, ekyo naffe gukimanyi, naye ezikokkolima tegwali magi muvundu ng’eyo mazzukulu yo!”
Awo abaali mu kiyumba ky’eggaali bonna kwekutumbuka nebaseka nnyindo yankolera.

Waliwo n’omusajja omulala eyaddugala ng’enziziiri, eyali awamu n’esajja likaddugala, eyamala okuseka n’endyoka mmulaba. Ono ye yaleeta kiteeso ng’ayogera asikondoka nti;
“Maganda yange mwenna ali wano. Nze gubadde guteesa nti, gasonde musente mutono mutono. Ffe gawe oyo makyala na mazzukulu ye, gagende gatuviire galinnye mu mamotoka!”
Awo abantu bonna ne batandika okukaayana nga bwe bakuba olube n’okuleekaanira waggulu ng’era kizibu okumanya kye baali boogera. Naye baba bakyakaayana ku ky’okukola, envuumuulo y’emboona y’omuyembe  yafubutukira mu ddinisa wabweru w’eggaali, n’egenda etimpula essajja likaddugala mu kawompo nga likyakaayana. Omuyembe gwonna gwalyabikira ku mutwe ne gussammukira n’abaali baliriraanye. Awo ekiyumba ky’eggaali kyonna ne kigwamu ensassagge. Twateebereza nti obumu ku bwana obwavu bw’empisa  mu byalo, bwe bwali buwereekereza eggaali y’omukka amayinja. Naye ekyakakkanya embeera kwe kutuuka amangu ku ssitenseni y’eggaali y’omukka e Buikwe mu Kyaggwe.

Nneeyongera okujjukira nti Jajja mu myaka gye egy’obukulu yali yafumbirwa eyo mu bitundu by’e Buikwe. Omwami we gwali mulangaatira gwa musajja Omulundi ayitibwa Toyota. Bwe tutyo okuva ku ssitenseni y’eggaali e Buikwe, twasaayirira engere okutuukira ddala ku kyalo ekiyitibwa Salye, gye twatuuka ekiro ng’ensowera tuzigobya lulimi.

Toyota lwali lusolobyo lwa musajja ng’era okuyingira mu nju kumpi asooka kwavula. Yali mu myaka ng’ataano egy’obukulu nga naye Jajja Kayinza amusinga emyaka kkumi ddambirira. Kyokka gw’omukwano gwali gubasaza mu kabu, naddala olw’okuba nti Jajja Kayinza emyaka gyali tegimulabika ku maaso.

Olunaku lwe nnatuukirako e Salye, Toyota lwamuzibirira bubi nnyo. Anti ekiro ekyo awaka tetwamusangawo. Yali agenze okwemiisa entabaaza bakadde. Naffe olwevumba enju, nga Jajja Kayinza atandika kutegeka ke tunazza eri olubuto. Nze nnadda mu kutuula ku katebe ne ntandika okukuba obulatti ng’omulwadde omubatize, ggwe ate omwami gwe baali babisse n’ekitambaala ku mutwe!”

Toyota y’adda mu mattansejjere nga yenna agangayidde omulangira Ssegamwenge awunya ng’ekisisiro. Jajja Kayinza olwaggulirawo omumpembe, yabuulizaawo nti; “Ee! Owange, olubuuya oluvundu waluguze wa ng’ojja?”

Ko Jajja nti; “Kyokka Toyota! Oluyise lubuuya? Oyo nno muntu!”

Toyota kwe kubuuza  nti; “ Mulambo?”

Yabuuza ng’eno bw’atambula ng’atagala okujja mu nsonda mwe nnali nnezingidde ng’olubwa oluliba olubbi ku kamwasajjutte. Bwe nnamoozoola amaaso ne ngamusimba, ye kwe kuyimirira n’antunuulira enkaliriza. Ekitambaala Jajja kye yali ambisse kyali kisirittuseeko katono, ng’era oludda lw’omutwe gwange olwa kkono lulabika. Ekivundu ekyava mu mabwa g’oku mutwe gwange kaabula kata Toyota kimukubewo ennume y’ekigwo. Yakwata ku nnyindo ze awamu n’omumwa n’afuluma wabweru nga yenna bw’afujjafujja nga kwatadde n’okwesisiwala. Yeevuma ekyali kimukomezzaawo awaka okwerekereza endeku y’enkangaali mukwano gwe Lubereto gye yali amugulidde.

Ekikolwa kino Jajja tekyamusanyusa. Yali mbu asuubidde Toyota okunsaasira n’okungumya ng’azizaamu essuubi nti nnali waakuwona. Naye gye yali asuubira abalamuzi, yasangayo bassi. Bw’atyo teyadda mu ssupu nnyama kuwola, n’asitukiramu yogaayoga ewa muliraanwa waffe ow’omuddembo ayitibwa Wambazu. Yali agenze okumwegayirira amwazike ekimu ku bisenge by’enju ye, mwemba mbukeeseza. Naye mukazi wattu yatengejjera busa, anti Wambazu ne mukyala we Mbwali nabo baali bagenze kwesiwa magengere. Bw’atyo Jajja yakomawo bukumbu ng’ogusima ebbumba. Ekiro ekyo Toyota ennyumaba yagaana okugisulamu, sikulwanga ekivundu kyange kimuzaalira ebitukula makaayi by’azaala ku nsiko.

E Buikwe nnakulungulayo ebbanga eriwera, nga Jajja Kayinza akyanzijanjaba ebiguuna n’amabwa. Mukazi wattu ntakera nga yeetala nga Namutale omunyageko ente, okunnoonyeza eddagala n’akokuzza eri omumwa. Bw’atyo yangerekeranga amagi g’empogola ku mmere, n’ankamiranga n’amata g’embuzi kimeeme, wamma ggwe ne mbyeggweeranga byonna.

Waliwo omukyala ayitibwa Nanteza eyalagirira Jajja nti omuzzukulu we okuwona ebiguuna by’amabwa, yali ateekeddwa okumunaaza mu mutwe ng’akozesa obusa bw’ente. Ne Jajja teyalonzalonza ng’agenda ateega ente y’omutaka mu kitundu ayitibwa Ssehhendo. Jajja yatuulira ddala kinnya na mpindi n’ente we yali eriira ku muguwa. Yali alindiridde kimu nti ente oluba okufulumya obusa, ng’asitukiramu abuyoolewo mangu ddala nga tebunnayingiramu biwuka. Yalindira ddala okutuusa essaawa mulindwa bwe yatuuka. Ente olwali okusuula obusa, Jajja n’asitukiramu ng’owemu agende abuyoolewo. N’ente olwalaba nga Jajja ajja amazeeko nga muwogo okugiremesa emirimu, n’egamba nti tondabanga. Mu kifo ky’okumusegulira, ente yamwolekeza olusambaggere olw’akadda-nnyuma ku ssaabiro, okukakkaana nga Jajja agudde kya bugazi mu lukonko. Yali akyakaaba twawa, ne zireeta Nanteza okusimbuliza ente ya muzeeyi we. Naye olwakuba eriiso ku nnamukadde, n’akimanyirawo nti ente yali ekimukoze. Yamuyoolayoolawo mangu mu mwala, n’amutuuza. Eky’omukisa omulungi yali talumiziddwa nnyo. Awo Nanteza kwe kukola omulimu Jajja gwe yali ajjiridde, era obusa n’abuyoolawo bulungi.

Bwe nnanaazibwa obusa bw’ente mu mutwe awamu n’eddagala lye ssaamanya, wamma ne ntandika okubeerako obulungi. Amabwa n’ebiguuna by’atandika okumpuubira akatambaala. Bwe tutyo twagenda okuyitibwa okuddayo e Mbale okujjanjaba maama eyali ku ndiri, nga nze mpoza lutabaalo. Okufa kwa mmwanyinaze omuto eyagoberera mmange, kwe kwanziggya enviiri ku mutwe, anti nazo zaali zitandise okumera. Oyo naye bwe baamussaayo gye batambuliza emigongo ng’obwato, Jajja Kayinza n’agamba taata Wadundu nti; “Omwana ono ow’ebiguuna nneewaddeyo okumulabirira. Ggwe kuza muzzukulu wange oy’omukulu Kaakayi, ne mutabani wo amuddako Lojaasi.”
Taata naye teyali mubi, n’akkiriza Jajja okweyongera okundabirira. Bwe tutyo, olwamala okwabya ennyimbe z’abagenzi, ne tweggyawo yogaayoga mu Buganda e Buikwe mu Kyaggwe ku kyalo Salye.




1 comment:

  1. Munaaye jajaja yebale kuba namutima gwakisa era nze ngambanti tosekerelanga balibubi anti nawe obatomanyi Kiki kyoliba.

    ReplyDelete