…amakanda
g’obukaba n’obwenzi obukulemberwa omyoyo egya Yezebbeeri ne Derira
egyalambikibwa mu kitabo ekitukuvu.
Zaali
ennaku z’omwezi abiri mu mwezi ogwa mukulukusa bitungotungo, ne neesogga
akasozi k’abayivu Makerere. Amabaluwa agaatuyita go twagajja ku bitongole
eby’amasomo ge tutwala. Nange ku olwo nnagendera mu mmotoka ya Tigers Club awamu ne Uncle Simon. Ono yali asookedde ku
kusisinkanamu ne Walude mu mboozi ey’akafubo. N’oluvannyuma bombi bansibirira
entanda nga banfalaasira okuba omuntumulamu e Makerere nneme okugwenyuka
n’okutemera ettaka ku misomo gyange.
Uncle Simon olwantuusa ku kisulo ekiyitibwa
Lumumba, y’ansiibula era olwo lwe lwasemba okumulabako. Bwentyo nnakwata
akafaliso kange yinki emu n’akasawo akafaanana ekikapu, ne neesogga Lumumba.
Nnasanga
abayizi bangi nga batikkula ku mamotoka agafaliso aganene, ensawo ez’ebyuma,
amaleediyo, ttivi, ffiriigi, ebiwujja empewo, ebyuma bi kalimagezi, nkugambye
mmenye ki ndeke ki. Olwo nze nnende eyali asitudde akafaliso n’ensawo efaanana
ekikapu ne njula okufa ensonyi.
Oluvannyuma
nnasoma ku lubaawo ne mu butabo bwe baali batuwadde, ne ngezaako okunoonya
ekifo we nnali nteekeddwa okuggya ekisumuluzo ky’ekisenge kyange. Olwatuuka
ew’omukulu eyali agaba ebisumuluzo, nnasangayo olukunkumuli lw’abayizi nga buli omu afunvubidde alwana
bwezizingirire okufuna ekisumuluzo kye. Bwe nnalaba ng’akatuubagiro kakyagenda
mu maaso, nnasalawo okusooka okugenda okwewandiisa ew’omukungu akulira Lumumba. Nnali
nkyasuubira nti okwewandiisa kwa bwerere, naye nnagwawo ekigwo bwe bansaba
ensimbi ez’okwewandiisa. Ssaalwa ne mpulugumya olukomo lw’essimu ewa Walude
okumutegeeza embeera nga bwe yali. Awo mukyala we kwe kundagirira ewa muganda
we naye eyasulanga e Makerere. Ono y’eyanzigya ku muguwa n’asasula ebisale
by’okwewandiisa mu kisulo.
Bwe naddayo
ku gw’ekisumuluzo, nnasanga ng’abayizi ababadde mu katuubagiro bakendedde. Era
olwatuuka ku mugguukirio, omwami eyali agaba ebisumuluzo yandagirira okugenda
mu kisenge B2-7 nti mwe nnali
nteekeddwa okusanga bannange. Nange saalonzalonza ne nnyambuka kkalina nga
ng’enda nsoma ku nnamba z’ebisenge okutuusa lwe nnasoma B2-7.
Olwali
okukonkona ku kisenge, nnasanga bannange basatu nga baakyesozze dda. Bwe
nnabalamusa, mwalimu Mugerwa ow’e Katikamu, Mudaki ow’e Nabumali, ne Mugalu
ow’e Mpigi. Bonsatule baali bakakaatanye n’agafaliso aganene, agasawo
ag’abasaabaze b’ennyonyi, ne bbulangiti ez’ebyoya. Olwo nze ow’akafaliso ka
yinki emu n’ensawo efaanana ekikapu awamu n’akasuuka akatambikka magulu,
ssaalwa ne mbukuba ku katanda wansi era nenfuluma.
Ekiro ekyo,
baatulagirira aw’okulya emmere era nange nempuubayo olubu lw’ebigere. Nnasanga
ng’abagabuzi emmere bagigabira ku ssowaani ez’amabaati. Nze olwafuna ennyama
n’omuceere ne mbisaanyaawo buteddiza. Bwenaddayo mu kisenge kyaffe,
nneebakirawo ng’eno bwe neebaza Lugaba olw’okuntuusa mu ttendekero ekkulu lye
nnali ngujuubanidde okusomeramu okuva mu buto.
Eyo ekiro
mu ttumbi ng’ennyindo zikyebaza eyazimba Lumumba, twagwamu ekikangabwa.
Twawulira akagugumuko wabweru omwali omusinde gw’abantu n’embuutu ezaagobererwa
oluyoogaano n’ennyimba ez’ekinnamagye. Ffenna abana twasituka ne tutuula ku
buliri bwaffe nga tukukunadde ng’obutiko. Twagenda okuwulira agasajja nga gajja
gasamba enzigi n’okukonkona nga bwe
galagira buli ali mu bisenge munda okuggulawo obukubirire. Twali tukyayasaamirirdde,
erimu ku gasajja ne lisamba oluggi lwaffe era ne lirusinsimula embuukuuli
y’omuggo kata lugwe munda. Essajja ly’aleekaanira waggulu nti;
“Freshers wake up now! It’s time to take
Gongom to Gongomese in Box. Gallant Elephants, the great Lumbox Empire has
arisen!”
Amangu ago
twawulira okusaakaanya n’okusagambiza nga kw’otadde n’okukuba olube
olw’amaanyi. Munnaffe Mudaki teyalwa n’aggulawo oluggi lw’ekisenge kyaffe. Agavubuka
agaali gambadde amataawo ag’akasaayi tegaalwa ne geesogga ekisenge kyaffe nga
gambalidde embuukuuli n’embuutu era nga galeekaanira waggulu nti;
“Weewee…!
Weewee…!
Ee Lumumba oyee…!
Ee Box oyee…!
Ee Makerere oyee…!
Raa…!
Aa…!
Aa!”
Awo bonna
kirindi ne babaguka okuyimba nti;
“Omuvubuka
oyo gwe mulaba
Kaali
kayaaye maama
Baamukutte
nga yekeja
Kaali
kayaaye maama
Ku muwala
wa Luboobi e Busukuma
Kaali
kayaaye maama…”
Agavubuka
tegaalwa ffenna ne gatwambulamu amasaati ne tusigala mu mpale zokka. Era
gaatufulumizaawo ne gatuddusa okutwetoolooza emyaliriro gya Lumumba yonna
okutuusa lwe gaatukkiriza mu kibangirizi ekya wansi. Omwo ffenna baatulagira
twebake ku ttaka mu maaso g’ekibumbe eky’ekyuma ekiyitibwa Gongom. Gongom baali
bamuyimirizza waggulu ku mmeeza nga bamwambazizza ekkanzu enjeru n’omunagiro
omuddugavu, era nga bamutikidde n’enkuufiira eya ddiguli. Olwo wakati mu magulu
ge nga baayokyezaayo omutayimbwa ogufubutukira mu maaso ga kkanzu ye,
okwefaanaanyirizaako omusajja amabbabbanyi gwe gakutte. Omutayimbwa gwa Gongom baali baagwambaza obupiira bu
galimpitawa nga n’obumu bulengejja ku mikono gye. Abamu ku ffe abaali bagaanyi
okuvunnama mu maaso ga Gongom,
agavubuka gaatugwako ekiyiifuyiifu ne gatukkata ku ddimwa nga bwe gatuyimbira
n’okumokkola agagambo ag’obuwemu.
Bwe baamala
okutuvunnamya mu maaso ga Gongom,
baatufulumizaawo Lumumba era ne batuddusa nga batuzza ku kisulo ky’abawala
ekiyitibwa Mary Stuart. Eyo nayo twasanga abawala
kumpi abaali bakuunyuuka obuswa nga basimbye lwa kasota mu maaso g’ekibumbe
ekikazi ekiyitibwa Gongomese. Baali bakyambazza bboodingi nga bakisibye
n’ekikooyi. Kale abalenzi ba Lumumba olwaleeta Gongom ne bamuteeka wamu ne Gongomese,
wamma ggwe ne gujabagira ng’omunafu azadde kaliira.
Ekyaddirira
kwe kulaba abavubuka envuumuulo ne baana bawala abaali bakunnumba kumpi obute,
nga benywegeragana nga n’abandi bwe babakubira obuluulu obw’oluleekereeke.
Ffenna nga
tulinga abawendule, twatandiika okudduka nga twetooloola ettendekero lya
Makerere lyonna. Twasookera ku kisomero ky’abasomesa, wuuyo ku kisulo
ky’abawala abeeyita Ziggoonya, tuutwo ku kisulo kya Bawemmese, ne tusala
yogaayoga ku Nkuruma, ne tumalayo
ekya Afirika ne Livingstone.
Twakomerawo ku tterekero ly’ebitabo ekkulu, ne tusalira ku kitongole ky’ennimi
ne tutuuka nate mu Lumumba.
Bwe twadda
mu Lumumba, ssentebe w’ekisulo yatwaniriza buto. Era nga ffenna tutudde
bukonge, ssentebe yawawula emimiro n’atugamba nti;
“Tubayozaayoza
olw’okwesogga Makerere, ate naddala okuleetebwa mu Lumumba. Bangi baasulanga mu
bitabo mbu balyoke basobole okuyita bajje wano, naye tekyasoboka. Eno gye
bayita Makerere, ennimiro y’emizabbibbu era ekibangirizi kya limbo n’amalaalo.
Ffe wano mu Lumumba tweyita Njovu. Ffe tukulembera, olwo abalala ne bakwebera.
Ye ffe amaaso ga Makerere. Ffe Teddy era ffe mutwe. Ffe magye, ffe ppoliisi era
ffe bakulembeze. Ye ffe abasajja ffekka, era abawala ab’e Makerere bonna, ye
ffe abaami baabwe!”
Awo
abavubuka bonna tebawena ne babaguka okuyimba oluyimba lwa Lumumba nti;
“Twesiimye
nnyo
Twesiimye
nnyo
Olwa
Lumumba yaffe
Ekitiibwa
kya Lumumba
Kyava dda
Naffe
tukikuumenga
Naayimba
ntya ne sitenda
Ssabasajja Gongom (Ee Gongom)
Asaana….”
Awo
baamokkolerawo eggambo eryanziba n’amatu, naye bo ne beeyongera mu maaso
n’okuyimba nti;
“…abakazi
bonna
Naffe
tumuyambenga…”
Ssentebe
yalangirira nti akawungeezi k’olunaku olwo, abalenzi ba Lumumba ffenna twali
baakulumala mu kisulo ky’abawala Mary
Stuart . Mbu ekyali kitutwalayo kwe kuketeza n’embooko z’abawala abapya era
mbu twewangulire ebijuujulu ebipya. Naye mbu twali tetuteekeddwa kwerabira
okusaba Gongom okutuwa obupiira bu
kalimpitawa, mu kwetegekera omukolo guno gwe baayita Mega Benching. Kale baagenda okutusiibula nga kumpi ffenna
tubaasimula bugolo.
Nze
nnasooka okwevuma lwaki abakulu b’ettendekero baasalawo okunteeka mu kisulo
eky’abayaga n’abakozi b’efujjo ekya Lumumba. Ate bwe nnasalawo okulambulako
Lumumba yonna, kyambuukako okulaba ng’ekisulo kyonna kitiiriika kazambi,
omusulo nga kw’otadde n’okuwunya ekivundu. Ebisenge byonna byali byatalaga, zi
kabuyonjo zonna nga ziyiikayiika kazambi nga kw’otadde n’emifulejje omwalegama
empitambi okunyooka ensowera ne kawawa. Okuggyako oludda okwali ekisenge mwe
nnali nsula lwokka lwe lwali oluyonjo ng’era oyinza okulowooza nti kitundutundu
kya ggulu.
Bwe
twatandiika okusoma, bakira nga buli muwala ambuuza ekisulo gye nsula ne mmugamba
nti Lumumba, ng’aneetegula. Bwe nnababuuza ensonga lwaki abalenzi ba Lumumba
batutya, abawala baatandika okunnyumiza ebikolobero bya Lumumba. Mbu baawulira
ng’abantu banyumya nti buli muwala agezaako n’alinnya ekigere kye mu Lumumba,
yavangayo nga kye bamukoze entungo ggobe.
Omu
yatunyumiza mbu mukwano gwe yali agenze okukyalirako omulenzi mu Lumumba.
Omulenzi teyalwa n’amuyungulira agavubuka ga muliisamaanyi. Mbu gaamukakkanako
ekiyiifuyiifu ne gamugagambula obunyama. Era yagenda okuvaayo nga takyetegeera.
Ye omuwala
omulala yannyumiza nti omulenzi gwe yali yaganza mu Lumumba, yamukaka omukwano
ng’ate oluggi lw’ekisenge mwe baali lukyali luggule. Era mbu akaboozi
baakanyumya nga buli muntu ayita wabweru aboota buliro. Mbu era ekyavaamu be
balenzi okwetuuma mu mulyango ne batandika okubakubira mu ngalo ng’eno bwe
bayimba.
Mbu ate
omuwala omulala, agalenzi ga kaggwensonyi olwamala okumukozesa ekirindi,
gaamwambulamu engoye ze zonna n’asigala buswa. Tegaalwa ne gamugobera wabweru
ng’ekyo ku ttale. Mbu yakunnumba bute ekiro ekyo mu Lumumba yonna ng’anoonya
w’aneewogoma. Omulenzi omu yamusanga nga yeekukumye mu kinaabiro. Mbu mu kifo
eky’okumujuna, yasumulula busumuluzi mpale ye naye ne yeemala eggoga. Yagezaako
okuluma mu kibatu naye nga tewali adduukirira nduulu.
Kale
abawala bwe baalabanga n’omutayimbwa gwa Gongom
nga gwambadde kkondomu, entengero ne zibakwatanga era nga Lumumba bagiyita
wala, sikulwanga bagwa ku kyokya.
Naye ebyo
abawala abasinga baali babitya lwa kuba baali bakyali bagenyi e Makerere. Bwe
baamala okumanyiira embeera, baatandika okukulummulukuka nga bava e Bule n’e Bweya,
okwesogga ebisulo by’abalenzi mu Lumumba. Era nga ku buli nkomerero ya wiiki,
nga kumpi mu buli kisulo kya mulenzi osangamu omuwala omu oba babiri
n’okusingawo. Abasinga baasulanga nayo mu Lumumba. Olwo ekiro mu ttumbi bwe
kaakutandanga n’ogenda ng’owuliriza ku buli luggi, bw’otawuliranga biggunda bya
leediyo entumbule, ng’owulira byeggunda bya bitanda n’obuyimba obuseeneekerevu.
Olwalaba
ng’embeera y’obugwenyufu mu Lumumba siigisobole, ne neegatta ku kibiina
ky’abavubuka Abalokole ekya Lumumba. Nnalwawo okukimanya nti mu Lumumba namwo
mulimu Abalokole. Naye ekyanzibula amaaso yali muvubuka Omuteeso eyakakkana ku Gongom n’amukiika embuukuuli y’omuggo mu
linnya lya Yesu. Bannalumumba olwalaba nga Gongom
waabwe agudde kyabugazi nga
n’omukono ogumu gumenyese, ne bayiikira omuvubuka ng’enjuki ne bamutaagula
bugo. Amangu ago Lumumba yonna yagwamu ensasage, agavubuka ga lumiramwoyo
agaali gambalidde embuukuuli n’ebitimba nga gataamye buyuki. Gaanyanyaagiza
emirere n’eŋŋombe nga bwe gakumba okwesogga ekibangirizi mwe twaliranga emmere.
Eyo baasangayo abayizi abaviira ebweru wa Lumumba nga bazze okusomeramu.
Agavubuka nga gonna tegawena, abayizi bonna gaababunya emiwabo ne bagenda nga
babuuka bibanda. Era bangi baagenda okufuluma mu Lumumba ng’ennyindo z’enkata
ng’ate n’abandi bavulubanye omusaayi olw’emiggo egya batimpulwa.
Omuvubuka
Omulokole eyakuba Gongom eky’obugazi,
naye baamutwala nga biwalattaka. Era abadduukirize baagenda okumutuusa mu
ddwaliro e Mulago nga musajja wattu takyamanyi biri ku nsi.
Okuva ku
olwo nnatandika okuwulira abavubuka Abalokole nga bakeera okuyimba buli ku
maliiri. Waaliwo Omusumba omuvubuka Omusoga ayitibwa Nagaya eyakeeranga
okukonkona ku nzigi zaffe tugende tusinze Liisoddene ng’obudde tannabuggyako
ddiba. Era Nagaya ono y’eyatubuuliranga enjiri ya Yesu ku makya nga tukuŋŋaanidde
mu kibangirizi kya Gongom. Bakira
ng’atufalaasira nti;
“Bannange
ab’oluganda, mmuyimirire munywere kubanga omulembe guno mubi, ate n’ekifo mwe
tuli si kirongoofu. Omulabe atweweredde okutuwewa ng’entungo, naye mugume
kubanga tuli wakati mu kugezesebwa. Naye bwe tunaayita mu kugezesebwa kuno, ffe
tunaabeera abasaale mu kugumya baganda baffe. Ow’oluganda Mukwasi, mu Lumumba
muno mwe musimbye amakanda g’obukaba n’obwenzi obukulemberwa omyoyo egya
Yezebbeeri ne Derira egyalambikibwa mu kitabo ekitukuvu. Omubi tajja, wabula
okubba, okutta, n’okuzikiriza. Naye totya, Baibuli egamba nti tuli bawanguzi
n’okukirawo. Era Yesu yajja okutuwa obulamu era tube n’obulamu mu bungi ddala…”
Bwe
twamalirizanga okugabana ku kigambo kya Namugereka, twagwaŋŋananga mu bifuba
era ne tusiibulagana n’obuseko ku matama. Okusaba kuno nnakugendangamu lunye,
okutuusiza ddala bwe nnatandika olusoma lw’omwaka gwange ogw’okubiri e
Makerere. Eby’abawala nnali mbyetegulide ddala era bo abankyaliranga baali abo
bokka be nnasomanga nabo e Nsambya ng’era bamuswaba.
Nnali
nneefuniddeyo ne mukwano gwange ayitibwa Musenze . Musenze ono naye yali asula
mu Lumumba era nga yali asomerera busomesa bwa lulimi Lungereza nange bwe
nnaliko. Eky’omukisa omubi, musajja wattu yali muzibe, ng’amaaso ge gaafa
takyalaba. Naye kino kye kyasinga okunsikiriza gy’ali. Nnali njagala okumanya
engeri omuvubuka ono gye yasomamu n’atuuka ne mu ttendekero erya waggulu.
Bwentyo buli lwe nnamusisinkananga mu kibiina, nnasookanga kumulamusa, ne tunyumyamu,
olwo ne ndyoka nzira ku byange.
Lumu
Musenze yantumira omuntu. Kale bwe nnagenda mu kisenge gy’asula mu Lumumba,
teyalwa n’ampitirayitiramu mu bizibu ebyali bimwolekedde ku kasozi k’abayivu.
Y’aŋŋamba nti omuyambi we ayitibwa Mwisuka, eyalinga amutwalanga okusoma
n’okumuleetera ku mmere, yali asazeewo okweddirayo mu kyalo kye. Mbu obulamu
bw’e Makerere bwali bumukaluubiridde kubanga ye yali teyasoma kimala. Kale mbu Musenze yali talina muntu mulala
yenna ayinza okumuyamba mu buzibe bwe. Kubanga yali yeetaaga omuntu
anaamusomeranga ku butabo, okumukwatanga ku mukono ng’agendako mu bifo
eby’enjawulo, sinakindi n’okumusuzanga awamu n’ebirala bingi.
Musenze bye
y’aŋŋamba byankwata ku Teddy era ne mmusuubiza nti nnali mwetegefu okumuyamba,
tusule, tutambule era tusomerenga wamu. Musajja wattu olwawulira ebyo, teyalwa
n’awammanta era n’angwa mu kifuba nga’anneebaza okumukkiriza okuyingira mu
bulamu bwange. Okuva ku olwo ne tufuuka bamukwano ddala era nga gututambuza
sserebu. Naye nnali nsoose kutya nga muli ndowooza nti abawala banandaba batya
nga ntambula n’omuntu omuzibe w’amaaso. Kyokka bwe nnakivumbula nti ate abawala
ku Musenze kwe bafiira, nange ne mmulemerako kabbaane ku ndongo.
Musenze
yali afuuse wattutumu nnyo mu bibiina gye twasomeranga, mu Lumumba ne mu Makerere
yonna. Kale olw’okuba nti nnali nfuuse mukwano gwe ow’okulusegere, bwentyo
nange ssaalwa ne ntutumuka. Era Musenze ng’amaze okumanyiira embeera,
y’ambikkulira ku kyama kye nti; “Mukwasi, mu kisenge kyange tusulamu babiri,
nze naawe. Ate ggwe obuliri bwo wabuleka mu B2-7
era tewali muntu abusulako. Kati mbadde nkusaba tuteese; Waliwo omuvubuka
Omunnakenya ayagala okupangisa ekimu ku bifo byaffe wano wensula mu C3-27. Ajja kuba ng’atuwa obuwanana
bw’ensimbi. Okwo bwe tunaagattako n’essente gavumenti z’etupokera, tunaaba
tetufuuse ba binnyonkondo? Ggwe Mukwasi ekyo okiraba otya?”
Awo nange
nnamugambirawo nti akkirize Omunnakenya okupangisa ekimu ku bifo bye mu kisenge
C3-27. Naye yali ateekeddwa okulaba
ng’abakungu abatwala Lumumba tebakimanyaako. Nze nnali nja kusigaza ekifo
kyange mu kisenge B2-7 era nga gye
nnali ow’okuviiranga mmuyambengako.
Waayita
mbale, Omunnakenya eyali yeeyita Kiyimba n’atandika okusula mu kisenge kimu ne
Musenze. Yamusasula omudidi gw’ensimbi nange ze ssaategeera muwendo. Naye ezo
ze twakyakalirangamu ne Musenze nga buli kye twegomba tukyetuusaako.
Naye
Kiyimba yamala n’afuukira Musenze omuteego. Mbu olw’okuba Musenze yali muzibe
nga talaba, Kiyimba yagufuula mugano nga gwa nswa. Bakira nga buli kiro Kiyimba
akyaza mukwano gwe omuwala eyeeyitanga Fidelis,
era empiki z’akaboozi k’omukwano ne bazeesa nga ne Musenze ali awo abawulira!
Bino Musenze yabinnyumizangako naye nze ne ndowooza nti yali mu kusaaga, anti
yakunyumirwanga nnyo.
Naye lumu
nnali ŋŋenze okukimira Musenze eky’emisana. Bwe nnadda, nnasanga oluggi
lw’ekisenge kyabwe nga luggule kyangaala. Naye ŋŋenda okutunula munda, nga Fidelis ne munne bali mu buliri berigomba tebamanyi na
biri ku nsi! Nange bwe nnalaba nga
binsobedde, nnakyusa obwanga ne mbuzza gye nsula.
Kiyimba
teyakoma awo n’asombanga ne mikwano gye agavubuka envuumuulo agaviira e Kenya
ne gasiibanga mu C3-27. Omwo nago mwe
gaaleetanga obuwala bu lukende lwa nnumba, ne beesiisiitira, ne banywa omwenge
n’enjaaye, ne batumbula galeediyo agaggunda, ne bakuba embeekuulo, nkugambye ne
gubula asala. Newankubadde nga nze ne Musenze
twali tetufaanaganya mize n’agavubuka gano, twekanga gagenda gafuuka
mikwano gyaffe mpolampola.
Bwe
nnatuuka mu mwaka gwange ogw’okubiri, nnakyusa ekisenge mwe nnali nsula, ne ntandika
okusulanga ne mukwano gwange Omutooro ayitibwa Katuuramu. Ono ye yali asomerera
bya bulimi. Kale olw’okuba nnali nvudde mu kisenge ky’omujjuzo gwa’abayizi
abana, nga kaakano tusula babiri ffekka, wamma ggwe ne nkyamuukirira. Nnende
eyakeeranga okusinza Liisoddene ne Balokole bannange, nnakoowa ne mbiviirako
ddala ng’embwa bwe yava ku nseko.
Nnatandika
okufuna ku kyanya eky’okukyazanga ku bawala. Omu ku bano ye yasooka
kunneesibako. Naye bwe nnakivumbula nti omuwala Sandra ono yaliko mukwano
gwa Kalule e Nsambya, ne nkimanya nti yali mulimba ng’ejjembe, bwentyo ne mmugendako
mpola. Naye yali muwala wa mbazuulu, era nga si mwetegefu kunvaako bukumbu. Era
teyalwa n’agufuula muze okunkyaliranga buli malya ga kya misana, era emmere
twagiryanga babiri nga bwe tusoma ne ku bitabo. Awo lumu Katuuramu kwe kuŋŋamba
nti; “Kirabika Sandra wamulya dda
omwoyo. Naye olw’okuba ggwe olwawo nnyo okwawula entungo ku ggobe, ekyo
tosobola kukiraba.”
Katuuramu nnamuddamu
kimu nti Sandra mukwano gwange wa
bulijjo era mmutwala nga mwannyinaze. Ye Sandra
yeeyongera okunkyaliranga era teyalwa n’atandiika n’okwebakanga mu buliri
bwange.
Lumu
omusomesa waffe y’ampa ekibuuzo ekikwata ku mikutu gy’ebyempuliziganya nti
nkinoonyerezeeko era nkisomese bannange mu kibiina. Nange ssaalwa nga nkola
okunoonyereza kwange bulungi ddala. Olunaku mulindwa bwe lwatuuka, bannange
abalala ne bawaayo okunoonyereza kwabwe mu bwangu. Naye nze nnasembayo
okusomesa, nga nnekedde bulungi mu ngoye empya, nnende nsibye n’ettaayi. Era
olwaweereza byonna bye nnali nnoonyerezza, nnaleka ng’abayizi bonna banyeenya
mitwe mu kumatira. Era abangi nze gwe baalonda okuba anyweddemu banange bonna
akendo.
Bwe
twafuluma ekibiina, olwebeeya lw’emiswaswangule gy’abawala ne bannebungulula
nga bampaanawaana n’okunneesesezaako, wamma ggwe ne mbula ne wempisa ekigere.
Mu bano mwe mwali n’omuwalajjana Omunyankole ayitibwa Katusiimire eyalungiwa
n’awola. Ono teyakoma ku kumpaana kwokka, wabula yamperekerako ne gye nnali
nsula mu Lumumba. Era ye olwantuusa mu Lumumba, wamma emboozi n’egwa
amakerenda. Yasooka kunneebuuzaako ku ngeri gye nkolamu okunoonyereza mu masomo
gange. Ko nze nti nkozesa omukutu ssemakutu ogw’ebyuma bikalimagezi oguyitibwa Internet. Teyalwa n’ansaba mbu nzije naye mmuyigirize
okukozesa omukutu ogwo.
Ekyo bwe
yakivaako, yatandika okumbuuza obanga nnali nnina omuwala yenna andya omwoyo.
Awo nange kwe kumuddamu nti; “Katusiimire, ye ggwe wekka gwe mbadde ndaba mu
bangi, naye nga ssirina ngeri gye nkutuukiriramu. Naye olwaleero k’ozze wano mu
kisenge mwe nsula, ate waliwo omulala an’antwala omwoyo okusinga ggwe?”
Twayogera
ku bintu bingi nnyo, era okugenda okuwunzika nga mwana muwala tayagala
kusiibula. Nnamuwooyawooya mpola nga bwe mmutiisa nti agavubuka ga Lumumba
gaali gayinza okumugajambula. Ekyo kyokka ky’ekyamukkirizisa okumuwerekera
addeyo gy’asula. Nange olwamuwerekera, nnamutuusiza ddala mu kisulo kye
gy’asula mu Makerere. Era olwali okwesimba mu mulyango bwenti, yannyanjulirawo
mu bawala banne nti nze mulenzi we, wamma ggwe ne nfa ekitiibwa.
Okuva ku
olwo nga nze ne Katusiimire omukwano gututambuza sserebu. Naye olw’okuba
ssaalina kasimu ka mungalo, nnakozesanga kasimu ka Musenze, olwo wamma omukwano
ne ngusinda n’omwana w’Omunyankole n’ensi n’eyanaamirira.. Katuuramu naye
teyalwa n’abigwamu, era n’anziza ebbali
nga bw’aŋŋamba nti; “Mukwasi osaanye
weekube mu kifuba! Ggwe wakula otya akyusakyusa abawala ng’engoye? Kati Sandra wamunaabira dda mu maaso
nandiki?”
Nze nange
nnamuddamu nga mmubuuza nti; “Katuuramu ye ggwe wekka atamanyi abawala b’e
Makerere? Abawala abali wano si kutta kulonda! Weerobozaamu ekika ky’osiimye
n’otwala!”
Katuuramu
ono naye yalina omuwala ayitibwa Annet
nga nabo emmere bagiriisa busongezo bwa ngalo. Bakira nga buli lw’akomawo okuva
mu kusoma, adda ne Annet ne beesonseka
mu buliri okuzannya, olwo wamma nze ne nfa ensaalwa.
Naye nange
lumu nnalaba ng’enkuba bikokyo efudembye n’etulekera empewo mu budde
obw’ekiboggwe, ne nkubira Katusiimire essimu nga mmusaba atere ajje ammalemu
empewo. Ye Katuuramu ne Annet baali
bakkalidde dda bubya ku kitanda kyabwe nga bemiisa eby’okunywa n’okumeketa
obumpwankimpwanki. Katusiimire teyalwa naye n’atuuka, awo wamma ggwe nange ne nzisa
ku kikkoowe. Mwana muwala olwakkalira, ffenna bana ne twesibira mu kisenge
kyaffe; babiri babiri ku buli buliri. Amasannyalaze nago tegaakola bubi ne gavaako,
nnetuba nga tetusobola kwawula kiro na misana.
Awo ffenna
nga tuyidde n’okuboobeera nga tuboobedde era nga tusigazza kimu kya kwesomola
ng’enkima erya amenvu, twawulira omuntu akonkona ku luggi. Bangi baali
bakonkonye naye ne tugaana okubaggulira era ne baddayo. Naye ono ye yalemerako.
Yakonkonkona n’ayagala n’okusamba oluggi. Awo Katusiimire kwe kunkuba akaama nti;
“Ggenda oggulirewo munnammwe!”
Awo nze kwe
kumuddamu nti; “Ssaagala bantu abansumbuwa nga ndi wamu ne kabiite wange.” Era
siwena ne nsika bbulangiti ne tweyongera okwebikka.
Eyali
akonkona bwe yalaba nga tufuuse bannampuliraziri, n’ateekako okwogeza ekkaaze
n’okuyita nti; “Mukwasi munzigulirewo!
Nze Sandra!”
Amangu ago,
ekibuguumirize kye nnali nfunye kyabulira mu mpewo. Nnatandika okutuuyana
ennyindo n’okutunula ebikalu. Ye Katuuramu n’owuwe baasirikirayo mu buliri
bwabwe gy’oli nti baali tebalina kye bawulidde. Sandra yeeyongera okukuba
oluggi nga bw’anyoola n’eppata yaalwo. Okwo yayongerezaako n’okukaaba nti; “Mukwasi!
Mukwasi…! Lwaki onkola kino? Nkimanyi nti mwoli mu buliri bwo era ompulira.
Ggulawo…!”
Awo
Katusiimire yenna ng’akyusizza ne ku ntunula, kwe kusituka n’atuula ku buliri
era n’ambuuza ng’emmeeme gwe yebbise nti; “Mukwasi bulijjo onnimbalimba nti
tolina muwala mulala gw’oyagala. Kati oyo ali mu kusamba oluggi mulenzi?”
Amangu ago
nange kwe kutuula ku buliri nga bwe mmugamba nti; “Mukwano kakkana. Wali
olabyeko enswa ng’egoba ennyonyi? Omuwala oyo anonye bitabo bye. Yabyerabidde
wano ng’awerekeddeko ku mukwano gwe omulenzi! Naye nange kati ndi kwewuunya
ekimukomezzaawo mu budde buno! Tobeera ng’olinayo omulenzi omulala gw’oyagala
nga y’amutumye atukwate?”
Ko
Katusiimire nti; “Ani? Nze? Sisobola kubeera na mulenzi mulala!”
Awo nze kwe
kumugamba nti; “Kale. Onzizizzaamu amaanyi. Gira nno twebake, oyo ali ku luggi
ajja kwerabirira.”
Tuba
twankaddayo mu bbulangiti, Sandra n’akonkona
buto nga bw’agamba nti;
“Mukwasi
nkuwulira oyogera n’omuntu, naye ggulawo! Lwaki tolina kisa n’obuntubulamu?”
Ekyavaamu
Katusiimire kwe kumegguza bbulangiti ebbali nga bwe yecwacwana nti; “Mukwasi,
mpa ekisumuluzo nzigulewo nkuviire webake ne mukazi wo! Mpa…!
Wakati mu
katuubagiro nga binsobedde eka ne mu kibira, nnatuuyana entuuyo ne ntandiika
n’okuzisaza ebibatu. Naye nnasalawo ne nsiiga Katusiimire akazigo era ne mmusiba
kantuntunu nti; “Dear ye ggwe wekka atamanyi Lumumba? Omuwala oyo
ali ku luggi abalenzi bandiba nga bamwambudde era ng’ali mu kunoonya
wakwekukuma. Kati naawe gira wetantale oggulewo okufuluma ekiro kino, ng’ate
n’amasannyalaze gavuddeko, olyoke olabe nga bwe bataakwambule bakugajambule
ng’otunula!”
Katusiimire
olwawulira ku bya Lumumba, teyalwa n’akakkana era n’addayo mu buliri. Nange
olwalaba ng’ekya Lumumba kinkoledde, ssaalwa ne nzirayo mu buliri nga bwe
nnyongerezaako nti; “Obudde bwe buti mu Lumumba bubeera bw’akabi nnyo eri
omuwala yenna. Kaakano agalenzi agalina embuukuuli n’ebitimba geeteeze mu buli
kanyomero ka Lumumba okuwamba buli muwala asajjalaatira wabweru. Era amagezi
genkuwa , toseguka mu kifo kyo, kubanga kati agasajja gandiba nga gatuwulira
n’ebyo byonna bye twogedde mu kyama!”
Katusiimire
olwawulira ebigambo ebyo, yazibiriza ne ku maaso, nga buli kye mmugamba
ky’amira. Ekyavaamu, Sandra eyali
asiriikirizza mu kukonkona, yasindika akabaluwa wansi w’oluggi. Nze olwalengera
akabaluwa ne nnyimbira Katusiimire ku tulo
tulo kwata omwana, era olwamulaba nga yenna takyayagala kuzibula ne ku
maaso, nnasooba mpola, akapapula ne nkasindika wansi w’ekitanda, ne nzirawo
buto ku kitanda. Tetwaddamu kuwulira muntu yenna akonkona nate, wamma ggwe
ebyaffe byonna ne bitereera. Nze nnali mu kufuuyirira lunwe amasannyalaze
galeme kudda mangu mu kazikiza ako. Nago gaawulira okusaba kwange, era gaagenda
okudda nga ne bw’aba lubaale takyalina ky’ataasa.
Awo ettaala
zonna nga ziri mu kwememula, Annet yeesuulamu
jjulume ng’ayagala Katuuramu amulinnyire mu bigere okuddayo mu kisulo kye
ekiyitibwa Afirika. Ne Katusiimire olwalaba nga muwala munne yeesaze akajegere,
naye n’akuba enkanda wansi nti teyali wa kusula mu Lumumba. Naffe olwalaba nga
baana bawala bakombye ku erima, ne tuteekateeka okubasomosa Lumumba.
Olw’okuba
obukuba bw’ali bwa lumaggamagga, mmanvuuli ya Sandra gye yali yaleka ewange, eyo gye twebikka ne Katusiimire nga
mmuwerekera okuddayo. Mu kkubo twasisinkana abamu ku bavubuka ba Lumumba Abalokole
abantunuuliza ekiziimuziimu nga beewuunya Omulokole awerekera omuwala ekimyula
mu budde ng’obwo! Omu kubo tawena kwe kunnamusa nti;
“ Ee! Brother
Mukwasi; Yesu yebazibwe!”
Nange kwe
kumuddamu nti; “Kituufu yeebazibwe!”
Okuva ku olwo
ssaddayo okugenda okusaba ne bannange. Ne mu kkanisa KPC nnagendangayo bbalirirwe
. Ye Musenze gwe nnateranga okutwala ku kkanisa yali afunye omuvubuka omulala
eyamutwalangayo. Nze nneyongera okukyamuukirira ne Katusiimire ng’obudde bwaffe
tubumalira mu kutaayaaya n’okukyalira ku bufo obw’omulembe obwetoolodde
Makerere. Byo eby’okunywa n’okulya e Wandegeya, Nakulabye ne mu kikumikikumi
kaabula kata tubimaleyo. Ebisinga obungi ku by’okulya Katusiimire
y’eyabisasuliranga, kale nze nnali sikozesa nnyo ssente ezange.
Bwe twalaba
ng’ebifo eby’okusanyukiramu kumpi byonna tubimazeeyo, ne tutandika okuteesa ku
nteekateeka ez’okwefumbiriganwa oluvannyuma nga tukubye emisomo gyaffe oluku mu
mutwe. Twasalawo abaana bameka be tunaazaala, awamu n’amannya gaabwe, wa gye
tunaazimba amaka gaffe, n’ekika ky’emmotoka gye tuneevugirangamu. Nkugambye nga
buli kye tuloota tukiteesaako.
Newankubadde
nga nnali ne wangulidde Katusiimire, nnasigala nga nkyalulunkanira abawala abalala
nga mbeetegereza wamma nga n’okubegomba kwe ntadde. Era nnagiranga ne nebbirira,
bangi ku bo ne mbasuulangayo obugambo, n’abandi ne mbatwalangako mu Lumumba gye
nnasulanga. Nnali nnankakwanayo ebimyula ebirala bibiri, Nambi naye n’attunkiza
buto ogw’okunkubiranga amasimu ng’ayita mu Katuuramu, mbu ng’ayagala naye
ankyalireko e Makerere. Anti ye yali asomera mu ttendekero ly’ebyobusuubuzi e
Nakawa. Kale nange ssaalonzalonza ne nzikiriza ajje okunkyalira.
Newankubadde
nga nnali mpezezza abawala bana balambirira be nnali nzannyira ku bwongo,
mwalimu omu ku bo omubalagavu ennyo gwe nnali nfiirako. Ono ye baali bamuyita Teddy
omuwala omulungi kalaala gwe nnalaba nga twankatandika okusoma e Makerere. Naye
bwe nnamukubiranga ennyo amasimu nga kwe ntadde n’okumukyalirakyalira mu kisulo
kye, teyalwa n’ayingirwamu akalangaala.
Anti nnali nkyeremye okumwatulira nti yali yandya dda obwongo.
Teddy ono
yali muwala Mulokole, mutono, kabirinnage, ng’era buli lwe mmutunulako, ebya
Katusiimire nga tonnyumiza. Naye lumu bwe nnakubira Teddy essimu ekiro, mwana
muwala yanzikakkanako n’anvuma okunoogoloza. Y’aŋŋamba nti ye takolagana na
bantu bakirumira mpuyi bbiri nga nze. Era y’ankakasa nti ye ng’omuwala
Omulokole, yali agenda okunsimba emikono angobeko emizimu gy’obwenzi n’obukaba
egyali ginneetimbye. Kale nange olwalaba nga mwana muwala annaabidde mu maaso,
ne mmwetegula, anti bw’otova ku mulungi.
Naye bwe
waayitawo akabanga, Teddy yansuubiza okunkyalirako mu Lumumba gye nnali nsula.
Bino olwangwa mu matu, nnagamba bugambi nti kye nnayagalizanga embazzi,
kibuyaga asudde. Naye waaliwo akawala akalala nze ne Musenze ke twali
twakazaako erya Kayoole-Okakunkumule, nako akaali kakwano kange ennyo. Kaali
kawala kayulu nga n’ensiri ekeesingira obunene, naye nze nnali nkaagalako bwa
kazannyirizi. Anti nga ko buli we kaba, kasiiba kalasana, n’okwogera ebigambo
ebitakwatagana nga kwe katadde okwesesa n’okubuukabuuka nga ttena.
Z’olaga
omulungi nga bwe zitalwa, olunaku Teddy lwe yalaga okunkyalira terwalwa ne lutuuka.
Yali wa kujja ku ssaawa mwenda ez’emisana zennyini. Ku olwo ekisenge kyaffe
kyonna nnakiyooyoota ne nzigula buli kasasiro yenna, ne nfuuyiramu n’obuwoowo.
Zo ennyimba nnamutegekera za Kirokole enzungu ffembi ze twanyumirwanga.
Nnabagulizaako ku Katuuramu nti waliwo omugenyi ow’enjawulo gwe nnali nneetegekera
okukyaza ku ssaawa mwenda. Katuuramu naye teyali mubi n’ampa ekyanya.
Essaawa
mulindwa bwe yali enaatera okutuuka, nnawulira omuntu akonkona ku luggi lwange.
Nnalubandulawo mu bwangu nga ndowooza nti Teddy yali agguse bumale. Naye bwe
nnalaba nga Musenze y’azze, kaabula kata oluggi ndumukube mu maaso. Musenze
yakantema nti Katusiimire y’amutumye antegeeze nti yali atekateeka okujja
okundabako ku ssaawa munaana. Nnaboggolera Musenze nti; “Ddayo mangu otegeeze
Katusiimire nti ssiriiwo!”
Awo Musenze
kwe kumbuuza nti; “Mukwasi obadde ki? Nga nkuwulira ossiza omukka kumukumu
ng’omuntu ava okudduka!”
Nze kwe
kumuddamu nti; “Musenze, nze nsazeewo kukwanamu Teddy kubanga ye muwala yekka
omulungi ennyo. Ate ekisinga obukulu, Mulokole ddala. Era ku ssaawa mwenda ajja
kuba yakkalidde dda bubya wano mu kisenge kyange!”
Musenze kwe
kunziramu nti; “Mukwasi wandiba nga kati ogenda okwerabira ku lutalo kafungula nkete
mu kisenge kyo olwaleero, anti Katusiimire agambye nti…”
Musenze
yali tannamalayo bigambo bye, Katuuramu naye n’ajja ng’ebigambo bimwokya omumwa
n’akantema nti; “Mukwasi, mbadde ndi mu kusoma, omuwala ayitibwa Nambi
n’ansindikira obubaka ku ssimu nti ajja ku ssaawa mwenda olwaleero. Mbu ayagala
okukulaba mu bwangu ddala kubanga ensonga nkulu nnyo!”
Awo Musenze
kwe kutulika n’aseka nnyindo yankolera, kata awanuke ne ku kkalina agwe. Nnali
nkyagoba minya, ate ebikere ne bisembera. Anti amangu ago Kayoole-Okakunkumule
nako tekaalwa ne kajja nga kabuukabuuka n’okweyogeza nti; “Naye mmwe mwaba ki?
Obwedda mbanoonya tukole ekibuuzo kye baatuwadde mu kibiina naye nga mwekwese
eno? Mukwasi yitawo mangu ompe amazzi. Ee…! Ye lwaki neerumya? Leka amazzi nze
mwennyini ngeesenere. Ha! Ye nga leero ekisenge kyammwe kinyirira ng’ekinya!
Ee! N’obuliri buyooyoote bulungi! Ati
owange, kanneebakeko kati, nnakooye bwa dda!”
Nnawulira
nga njagala ettaka limmire naye ne ligaana. Katuuramu naye bwe yalaba ng’ebintu
bimbuzizzaako embiibya, y’anziza ebbali n’atandiika okumbuulirira nti; “Mukwasi,
vva mu kuvulungutana ng’ayoza assa mu ttaka. Ssigaza omuwala omu yekka
gw’oyagala mu bulamu bwo. Awatali ekyo, ojja kweziika wekka ng’olaba. Kati laba
abawala b’oyagala bana balamba bagenda okusisinkanira mu kisenge kyaffe!
Olowooza ow’entumba taamere bbango?”
Awo nze kwe
kumubuuza nga ne saasaabaga nti; “Kati oyagala nze nkole ntya? Nnalagaana
n’omuwala omu yekka okukyala era nga ye Teddy. Naye kati bano ba Nambi,
Katusiimire, ne Kayoole-Okakunkumule bonna masanja gennyini agaagala
okunzaalira ebinene…”
Katuuramu
kwe kundya ekirimi nti; “Mukwasi kati tewakyali budde obw’okwonoona. Omuwala
ali kumpi kutuuka akusuule ku kibabu. Ky’oba okola kati, kwe kulagira kawakuzi
Kayoole-Okakunkumule agende ewa Musenze gy’aba akulindira. Leka nze nkubire
Nambi essimu mmugaane okujja aleme okukusuula ku maggwa. Ate ye Katusiimire nze
kammulindire wano ebweru. Bwe kamutanda n’ajja kati nja kumubuzaabuza mmutwale
ku canteen okutuusa nga Teddy amaze
okuyingira ekisenge. Naye singa ajja nga ggwe ne Teddy muli munda, mumusibireyo
wabweru, omukole kye wakola Sandra.”
Ko nze nti;
“Katuuramu tonzijukiza Sandra naye ayinza okujjira wano
n’anziza mu ndooliito!”
Ebyo
nnabyogera nga mmagaamaga ng’omubbi, sikulwanga Teddy ayingirawo nga
ssimulabye. Era nnaddukirawo za mbwa ng’agudde kawansazi ne neesogga buto
ekisenge kyange. Nnassanga Kayoole-Okakunkumule nga nnakyala yeegolodde ku
buliriri bwange nga takyamanyi n’ebiri ku nsi. Amangu ago nnamukakkanako ne mmusikambula
okuva mu buliri nga bwe mmugamba nti; “Vvaawo ogende mangu ewa Musenze! Nange
nzija mu bwangu tusomere eyo abasomesa bye baatuwadde.”
Kayoole-Okakunkumule
nga yenna tasalikako musale, y’ayomberawo nga bw’ambuuza nti; “Ekyo kyokka
ky’ekingobya ng’ekyo ku ttale? Ye bwe neebaka mu buliri bwo mbeera nkoze
musango ki? Bulijjo wano nga tubwebakamu ffembi naye n’otabungobaamu? Omaze
kulaba olwaleero lw’obuyooyoose lw’obungobamu? Nze gw’ogoba nange mmanyi
okuyooyoota obuliri okusingako ne wano. Mbwale obulabe?”
Kaabula
kata akawala nkabajje oluyi; naye mba njagala okukabwatukira mu matu, omuntu
n’akonkona ku luggi. Amangu ago nnayagala nneeyokye wansi w’ekitanda. Naye
ŋŋenda okuwulira nga Katuuramu y’aggulawo. Yampita nate wabweru n’aŋŋamba nti; “Nambi agaanye bye mmugambye, era agambye
nti wakiri anajja n’asulira eno ng’akulinda. Anti mbadde mmugambye nti otambuddemu.”
Awo nze kwe
kukayukira Katuuramu nti; “Ddamu okubire Nambi omugambe nti nnagenda Kenya !
Ompulira?”
Ko
Katuuramu nti; “Okalya dda kadda dda! Essimu yange eweddeko ssente!”
Amangu ago
nnaddayo mu kisenge ntere nnooonyeze Katuuramu ssente agende akubire Nambi.
Naye mba nankadda munda, Kayoole-Okakunkumule ne katandika nate okwetoola
ng’obukya nti; “Ee! Mukwasi labayo kati obuliri mbwaze bulungi nnyo! So nno
kirabika tubunyumiramu ffembi. Sigenda kwebaka wa Musenze. Eyo waliyo Kiyimba
ne Fidelis we. Kaneebake wano. Mmanya,
katwebake wano. Ee! Ye nga leero okyuse nnyo? Wenna nkulaba oli mu kudduka nga
bwe weetakula ng’essolo egumba!”
Naye mba
nkyatawuka nga bwe nnoonya we natadde ssente ezaali zimbuze, Katuuramu n’ampita
bukubirire wabweru. Yaŋŋamba nti yali alengedde Katusiimire ng’ayambuka ewa
Musenze mu kisenge C3-27. Awo nze kwe
kumugamba nti; “Dduka mangu ogende omugambe nti ova kuntwala mu ddwaliro era
nti nsigaddeko kikubamukono, bampadde n’ekitanda!”
Katuuramu
aba yankagenda, ne basisinkana ne Musenze naye eyali ajja ng’awammanta ekkubo
erimutuusa ku luggi. Amangu ago nnagenda okulaba ng’ate bombi bakomawo.
Nnabuulizaawo nti; “ Musenze, Katusiimire ali wuwo?”
Ko Musenze
nti; “Mukwasi, bw’oba omugezi dduka mangu wekweke mu Lumumba! Kubanga Katusiimire
abadde azze okumbuuza oba nga ddala obubaka bwe nnabutuusizza gy’oli. Naye nze
mmugambye nti agira annindako. Naye kyandibadde kirungi n’ofuna akafo
akeekusifu mu Lumumba ne weekweka. Abawala bano bonna abana tebeemanyi. Kale ne
bwebasisinkaganira ku luggi, bayinza obuteekengeregana nnyo. Naye singa bonna
bana bakusangawo mu room yo, musajja
wattu, abika ayambale!”
Awo nze kwe
kumugamba nti; “Olwaleero singa Teddy ajja wano n’atansangawo, ajja kukitwala
nti ndi muvubuka muyaaye, nti ndi mulimba, era talidda. Ate nga ye gwe nsinga
okwagala.”
Ko Musenze
nti; “Ky’oyagala okutegeeza nti bano abalala bo tobaagalangako? Ekituufu kiri
nti buli omu ku bawala bano abana omwagala. Naye kati osinga kwagala Teddy
kubanga tonnamumanya nnyo! Abawala bonna bana be bamu!”
Tuba
tukyali mu ebyo, essimu ya Katuuramu n’evuga. Bwe yamala okwogera n’ajja n’akantema
nti; “Nambi akubye essimu ng’agamba nti atuuse ku ggeeti eyingira mu Lumumba!”
Awo nze kwe
kubwatuka nti; “Kati Nambi kiki ekimuleese? Mbadde ndowooza nti twekyawa dda!”
Musenze kwe
kumbuuza ekibuuzo nti; “Ani yamuwa ennamba y’essimu ya Katuuramu? Si ye ggwe
mwene? Ekyo kitegeeza nti omuwala wali okyamwagala, era ng’otera n’okumukubira
ku masimu!”
Ssaalonzalonza
ne neesogga mu kisenge ne mbwatukira Kayoole-Okakunkumule mu matu nti;
“Naabugwamu! Vva ku buliri bwange ogende mu basajja bo!”
Kayoole-Okakunkumule
naye kwe kulya mu ttama nti; “Ssiva wano! Ye ggwe musajja wange wekka. Bw’oba
osobola jjangu onsitulire wamu n’obuliri otukasuke ebweru!”
Awo Musenze
kwe kwogerera wabweru nti; “Mukwasi, teweekooya, akawala kayoole,
okakunkumulemu omulundi gumu, n’oluvannyuma okate kagende.”
Mba nkyali
mu kwereega n’akawala mu kisenge, ne mpulira okukonkona okw’ekimpoowooze ku
mulyango. Amangu ago ka Kayoole-Okakunkumule akaali kankutte entegetege
n’amagulu ne kanta. Nnaduka mangu okulaba ani akonkonye. Naye ŋŋenda
okubandulawo oluggi nga ku Teddy y’ono. Amangu ago ebbugumu lyonna ne linzigwamu
ne mmanya nti wamma ebintu byali bimbuzizzaako embiibya.
Teddy
yammwenyezaamu katono nga bw’ambuuza nti; “Nnyingire?”
Ko nze nti;
“Nnyabo ekisenge kyonna kikyo, toteekeddwa kusaba lukusa kuyingira.”
Yali
aggyamu engatto ayingire, naye nze ne mmugaana, era n’ayingira nazo. Olwali
okuyingira, amaaso ne bagasimbagana ne Kayoole-Okakunkumule nga buli omu alinga
atidde munne. Kawala kattu nako tekaali kabi ne kamwaniriza bulungi nga bwe
kagamba nti; “Totya nnyabo, wano nange ndi mugenyi. Naye ndi mugenyi wa
Musenze.”
Era
tekaalwa ne kafuluma ne kampitako mu mulyango nga bwe kaŋŋamba mu luzungu nti; “The Cat is finally out of the bag.” Mbu
oluvannyuma lwa byonna kkapa yali ebuuseeyo mu kikapu, anti amazima gaali gazuuse.
Amangu ago Teddy
nnamulaga aw’okutuula, era yatuulira ddala ku buliri bwange, bwonna ne bufuuka
nga kwe ntuuzizza ekimuli kya looza. Nnamugamba nti “Mukwano nsonyiwa
olw’okusanga abagwira mu kisenge kyo.”
Awo ye kwe
kwogera ng’akerebera nga ssenga w’omugole nti; “Hm! Abadde nti nze y’abayingiridde
ne mbagwira mu mikolo.”
Nze kwe kuddamu
nti; “Toyogera bw’otyo mukwano. Ye ggwe mukolo gwange.”
Teddy kwe
kunziramu nti; “Naye tofaayo, mbadde nsaaga busaazi.”
Awo nze kwe
kumulamusa mu ngeri ey’eggonjebwa ennyo nti; “Nnyabo wange ndi musanyufu…”
Naye mba
sinnamalayo bigambo mu kamwa, omuntu n’akonkona ku luggi . Amangu ago omutima
gwantyemuka ne nkimanya nti ku ssaawa eyo ekizimba kyali kisambye eddagala.
Nnasooka kwe kwatakwata nga bwe neetooloola ekisenge kyonna. Nnakwatakwata ku
buli kintu nga nkisitula bwe nkizzaawo. Nnagenda okuzza amaaso ku Teddy, nga
naye agage agansimbye. Teyalwa n’anzijukiza nti; “Mukwasi, waliwo omuntu
akonkona ku luggi!”
Awo nange
kwe kwefuula abadde atabitegedde, era ne kwatakwata nga bwe ŋŋamba nti; “Oo! Oba ekisumuluzo nkisudde wa?”
Ko ye nti;
“Mukwasi oluggi si lusibe. Ky’ogamba walusibye?”
Ko nze nti;
“Ye nnyabo wange. Eky’omukisa omulungi ekisumuluzo kiikino nkirabye era
kanzigulewo.”
Olwassa
ekisumuluzo mu luggi, nnasiba lusibe nga bwe neeyogeza nti; “Ekisumuluzo kino
nakyo oba kibadde ki leero? Kati laba nate kigaanyi okuggulawo!”
Ko Teddy
nti; “Leka nkuyambeko!”
Nnali
nkyekikiitanyiza ku luggi, ne mpulira
eddoboozi lya Katuuramu ng’ayogera mpola nti; “Mukwasi totya, nze munno Katuuramu.
Nziguliraawo waliwo bye mbaleetedde.”
Ssaalwa
oluggi ne ndubandulawo nga bwe neeyogeza nti;
“Oo! Webale
Yesu, oluggi lubadde lutufuukidde omuteego!”
Amangu ago
Katuuramu n’ankwanga eccupa z’eby’okunywa bbiri awamu n’eby’okuliirako era ye
n’ansiibula nga bw’aŋŋamba nti; “Olwaleero ekibanyi kigenda okugwa n’amenvu.
Naye mbaagaliza eky’eggulo amakunale!”
Oluggi
nnalusibira ddala ne tusigala babiri n’ekijuujulu mu kisenge. Teddy yambuuza
ensonga lwaki nnali nsibyewo oluggi olwali lugaanye okweggula. Nze nnamuddamu
nti;
“Mukwano
obulamu bwo bwa muwendo mungi nnyo gyendi. Naawe Lumumba nga bw’ogimanyi
temuyitika muwala anyirira nga ggwe. Oyagala agasajja gakusikambule muno
gagende gakugajambule?”
Ko Teddy
nti; “Ssibirawo ddala.” Kuno kwalinga kusindika mpisi okugenda okuwooza
akatale. Awo mu mutima gwange ne ŋŋamba
nti; “Mwana muwala owedde!”
Emboozi
yagwira ddala amakerenda ne Teddy. Byo eby’okweraliikirira oba nga wanaabaawo
omuwala omulala an’ajja, nnabyerabira.
Nnali nkubye enkanda wansi ne nninnya n’ekigere mu kyoto nga ndayira nti ekijja kyo kijje naye
tewaabe kintu kinansuuza Teddy. Era zaagenda okuwera essaawa bbiri ez’ekiro nga
kitokota si kisaanikire, era nga bye tutayogeddeeko tebinnamanyika mu nsi.
Teddy
olwalaba ng’obudde bumuliiridde ow’ejjokolera, teyalwa n’ansiibula nga
bw’anneebaza olw’okumuwa omukisa ogw’okunkyalirako. Nange nnamukakasa nti we
nnali nsula naye waali wawe. Kale buli lw’abanga yeetaaze okujja okuwujjaalako,
ekisenge kyange kyali kiggule. Bwentyo bwe nnamala okumuwerekera, nnakomawo nga
nzenna nsambira mabega nga jjanzi. Nnatambula nga bwe neesesa nzekka
n’okumegerera nkugambye nenkyacanca ng’akimezezza okw’enjala.
Bwe nnadda
mu kisenge, nnasanga Katuuramu naye ateredde bubya n’omuwala omulala atali Annet. Baali banywedde ne ssooda Teddy
gwe yali affisizzaawo. Kale teyanninda kumubuuza bikwata ku muwala,
n’akantemerawo nti; “Mukwasi wabula tukuzannyidde ku bwongo! Okimanyi nti nze,
Musenze ne Kayoole-Okakunkumule obwedda tuli kukulimbalimba nti Nambi ne
Katusiimire bali kujja? Obwedda twagala okumanya muwala ki gw’osinga okwagala.
Naye leero lwe tukivumbudde. Kyokka Kayoole-Okakunkumule si musanyufu. Mbu
wamusaazisa nnyo n’alowooza nti mweyagalira ddala. Naye akikkirizza nti Teddy
y’andiba ng’alina ky’amusingako.
Katuuramu
bye yayogera byannyongera ssanyu era ne mbalekera ekisenge nze ne nnyambuka ku
mwaliriro oguddako okulaba Musenze.
Olwakonkona ku luggi ne ssiwulirayo kanigguusa konna, nnalowooza nti
osanga Musenze atambuddemu. Naye mba nsattulula ku bigere, ne mpulira eddoboozi
ly’omuwala munda. Awo nze kwe kutta ku bigere ne nzirayo ku luggi. Ssaddamu kukonkona.
Wabula nnakutama, ne nzibiriza ku liiso lyange erya kkono, ne nningiza mu
katuli k’ebisumuluzo ku luggi, nsobole okulaba ebiri munda.
Eriiso
lyange lyasooka ne lijjako ekifu. Anti nnalengera ebintu ebisambagalira mu
bbulangiti gy’oli nti waaliwo omuntu atugira omulala wansi! Ssaalwa ne
neetereeza okwetegereza obulungi. Nnalengera emitwe ebiri, ogumu nga gwa nviiri
mpanvu enduke era nga gutunudde mu kasolya. Ate omutwe omulala nga ggwo gwa
Musenze. Gwonna gwali gutuuyannye n’entuuyo, ng’omwami azisaza bibatu, wamma
ggwe ng’ekiri wali kinyeenya magi. Nnayagala nnyo ntegeere omuwala naye ne nnemwa.
Wabula kye nnamanya kyali nti omuwala oyo yali tasomera wamu naffe.
Bwe
nnaddayo okulaba Katuuramu, nnasanga yasiibudde dda owuwe. Awo nange kwe
kumubuuza ensonga eyali etuuseewo wakati we ne Annet. Katuuramu yalunviira ku ntono nga bw’akikkaatiriza nti ne
bw’aliba lubaale taliddayo kumutabaganya ne Annet.
Anti omu ku mikwano gye bwe baasomanga eby’obulimi yamubagulizaako ku bunnanfuusi
bwa Annet. Mbu waliwo essajja
ery’olubuto olunene lye baali balengedde nga lirina engeri gye likitizaamu ne Annet. Era ne Katuuramu teyalwa
n’abalonda kagere yogaayoga mu emu ku ziwooteeri gagadde mu Kampala wakati. Mbu eyo Annet yalengerwako n’essajja nga bagenda beekutte mu biwato. Mbu
Katuuramu yasooka kulowooza nti jajja n’omuzzukulu baali baagala kunyumya
kaboozi ak’ebisoko n’engero. Kale awatali wadde kukemetterera, Katuuramu
yakomawo nga yenna azimbye nga ssekoko era mu kwagala okwesasuza, y’akwanirawo
omuwala omulala ayitibwa Helen.
Mu nnaku
ezaddirira, Helen ekisenge kyaffe
yali akifudde kikye. Yakyaliranga Katuuramu ne bakisimba ne kiroka. Naye Annet teyadda mu bya mannyowenu nga munne amutwalako
omulenzi we. Oluvannyuma lwa Katuuramu okuliira ku nsiko enzingu eziwera, lumu Annet yamugwikiriza mu kisenge kye.
Mwana muwala nga yenna tasalikako musale yayokya Katuuramu kajjogijjogi
w’ebibuuzo ng’ayagala okumanya ensonga lwaki yali amwetegudde. Katuuramu
olwayanjula ensonga mu ddiiro, mwana muwala yakomba ne ku ppaasi ng’alayira nga
ye bw’atayagalangako essajja lyonna ery’olubuto olunene. Katuuramu naye tawena
n’amutegeeza nti bw’atayogera mazima, yali si mwetegefu kumuddiramu.
Annet olwalaba nga Katuuramu avudde mu mbeera, n’akkiriza nti waliwo
essajja eryamulimbalimba n’ensimbi ne limukaka omukwano, naye mbu kaakano asaba
kisonyiwo. Katuuramu olwawulira bino n’alinnya mu kyoto nga bw’alayira nti ye tayinza kuddira
mu muwala omusege obusege ogwerimbika mu ddiba ly’endiga. Nze nnasanga Annet afukamidde mu bigere bya Katuuramu
nga bw’afukumula amaziga agajjulujjulu, naye nga Katuuramu yeeremye. Ekyavaamu Annet n’ajulira gyendi. Naye Katuuramu
yandabula nti bwe mbeera nga nnali sikyayagala tube ab’omukwano, kantande
mpulirize ebyanjwanja Annet bye yali
alokompoka nabyo. Nange nnagamba kimu mu Teddy gwange nti abaagalana bwe
bayomba, tossaayo kikyo, era bwentyo ne mbaviira.
Katuuramu
yagugubira ku ky’okukyawa Annet era
bw’atyo n’amuleka ttayo, ye n’atandika okutijjanga ne Helen, omuwala bwe baava mu ssomero erimu ng’ate bombi olulimi
Olutooro bafuuwa lufuuwe.
Nnali nkyali
mu kwewuunya ebya Katuuramu ne Annet,
ate Musenze naye n’agwa ku kyokya. Anti waaliwo evvubuka eriyitibwa Mapuje,
eryali lyegunjulira ogw’okukaabya abawala akayirigombe buli ttumbi,
lyamukwanira omuswaswangule gw’omuwala mbu eyali yazaalako. Omuwala ono mbu
yasookera ku gwa kutwalanga Musenze ku kkanisa mbu batendereze Liisoddene nga
bali bombi. Kale Musenze naye teyali mubi ne batanula okuba ab’omukwano. Naye
mbu lumu Musenze yajjula ebitayidde. Kale omuwala olw’okwagala okwesasuza,
yasalawo okukuuliita n’essimu ya Musenze empya ttuku. Musenze yagenda
okuwammanta we yali alese essimu, ng’akayumba munyale. Yagezaako okumunoonyeza
mu kisulo kya Banaggoonya, naye ne bakamufuuwa nti omuwala teyali musomi w’e Makerere,
era mbu yali ayambako buyambi omuwala omuzibe ayitibwa Florence .
Nnende
nnali nkyalowooza nti bya kubalaata, kazzi mwana muwala yali yavudde dda mu
mbeera. Teyalwa eby’enviiri n’abivaako n’anvumbagira. Yammegga ekigwo kya
bugazi nga bw’akalabula empale yange n’enjala kata agyabuluzeemu. Go amapeesa
g’essaati alinga eyakunkumula amakunkumule. Nnayagala ntakize enduulu, naye ne ntya
nti bavubuka bannange banaakiwulira batya nti omuwala omuzibe yantunuzza mu
mbuga y’omulabe Setaani? Baali bajja kugamba nti nze nnabadde nkedde okuloza ku
mwenge.
Bwe nnalaba
nga mwana muwala anfuukidde ezzike, ne mmuviira era nenzira ku byange. Nabo
tebaalwa ne basiibula.
Okuva ku
olwo nga nze ne Florence tetulinnya mu kimu. Musenze naye tawena yalina akawala ke
nnasomanga nako akaayitibwanga Katalina. Kano
kaali kawala katono nga n’empewo esobola okukafuuwa ne kagwa. Naye kaali ka
mpisa era ng’obuntubulamu bwako abalenzi bubaleka bafumbya miyagi. Kale
olw’okuba nze nnali nkamanyi endya n’ensula, Musenze yansaba mbu mmukolere
obwakayungirizi.
Tetwalwa ne
tukyalira omukutu ssemakutu ogw’ebyuma bikalimagezi ne tuwanulako ebbaluwa
empandiike okuva ku www.lovingyou.com. Ebbaluwa
twagyokyesaamu era n’eweerezebwa e Wandegeya, Katalina gye yasulanga. Kino
Musenze yakikola amaze n’okuwaayo essimu ye empya ewa Katalina mbu
agimukuumire. Kale Katalina bwe yafuna omukuku gw’ebbaluwa emusaba omukwano,
n’assa Musenze akasiiso.
Lumu twali
tuteekeddwa okuwummula, Musenze n’asalawo okukubira ku Katalina essimu. Katalina
olwakimanya nti Musenze y’awulugumizza olukomo lw’essimu, tawena n’amuteera
akaka. Yavuma Musenze n’amwogoloza nga bw’amulangira obwenzi, n’obukaba
obwamutuusa n’okumuzibya amaaso. Era yamulabula nti ye takwanibwa ba muzibe
amuveeko.
Nze nnende
eyali ayimiridde ne Musenze ng’ayogera ku ssimu, encukwe yankuba bwe nnalaba
nga musajja wattu yeekubawo sseddume w’ekigwo. Era nnamuyoolayoolawo mu bwangu
ne mmukwata okumuzzaayo mu Lumumba. Ssaalwa ne nnumba Katalina okumubuuza
bigambo ki bye yali agambye Musenze. Naye teyagaana ne yeekokkola Musenze
olw’okumukwanira mu bbaluwa. Mbu ye ayagala abalenzi abeetuukira gyali bwe baba
betaaga omukwano gwe. Era okuva ku olwo,
Musenze ne Katalina tebaddayo kulima kambugu.
Naye nange
lumu enseko zankalira ku matama bwe nnali nga mpita ku kisulo kya Bannaggoonya
akawungeezi. Nnalengera Teddy ng’awerekera olulenzi olwali lunsinga obulungi
n’obuwanvu. Nnasooka kulowooza nti si ye Teddy okutuusa ye mwennyini bwe
yampita nti; “Mukwasi nkulabye awo!”
Bwe yamala
ne yeeyongerayo n’olulenzi lwe nga beekutte mu biwato. Nnasooka ne nkigumira
nga ndowooza nti osanga nnali ndoota. Naye ekiro ekirala nnali ŋŋenze ku
lukungaana lw’abavubuka Abalokole Bannamakerere oluyitibwa Prime Time ku kidiba ky’abawuzi, ne nnengera Teddy nate. Ku luno
era yalina olulenzi lwe nga batudde wamu n’obumwenyumwenyu ku matama. Nnali
nkyali mu kwemotya, bombi ne beggyawo nga batambula beerinnyako, nga n’emikono
gyabwe giyisinganyiziddwa mu biwato byabwe. Ku luno kaabula kata ntulike nga
bbomu njabike olw’ekiruyi .
Nnatandika
okwebuuza mu mmeeme yange ensonga lwaki Teddy yali asazeewo okwagalamu omulenzi
omulala? Ndowooza singa nnalina ebiwaawaatiro, nnandibuuse ng’empungu ne ŋŋenda
nkwakkula Teddy mu mannyo ga ggoonya gano ge nnali ndabyeko.
Lumu
nnakubira Teddy essimu mmubuuze ensonga lwaki yali andeseewo nze omulenzi eyali
yeewaddeyo okumufiirira! Naye bwe nnakuba essimu, Teddy yasindira kuli nga
bw’ali omulwadde era mbu teyeewulira bulungi. Nange nnakakkana era ne
mmusuubiza nti nnali ŋŋenda kuyimirira wamu naye mu kusaba, Lugaba amenyeemenye
amaanyi gonna ag’ekizikiza agaali gasazeewo okwegulumiza ku bulamu bwe. Era
ssaalwa ne mmulungira ankaccapa n’omuzigo ne binoga. Anti essimu yange gye
nnali nguze ku olwo nnagissaako essente eziwera. Siwena ne nfuna Baibuli
n’olupapula, ne mpandiikako essaala yonna nga bw’eneebeera. Eyo mu ttumbi
nnanyiga essimu, ne nzigyayo empapula kwe nnali mpandiise essaala. Nnagamba Teddy
nti;
“Wewombeeke
mu maaso ga Mukama, tukoowoole eggulu okutuusa ng’ofunye okuwonyezebwa. Baibuli
egamba nti babiri oba basatu nga bakuŋŋaanye, Mukama abeera wakati mu bo. Kati
fukamira ku maviivi go tukoowoole Yesu.”
Ssaalwa ne nsikayo
omukko gw’olupapula ne ntandika okusoma essaala ng’eno bwe neekyanga awamu
n’okusiiya nga gwe basunaasuna. Nnasoma essaala yonna nga mujjudde ennyiriri za
Baibuli mu bulambulukufu bwazo. Nnawulira Teddy ng’addamu ku ssimu nti; “Amina!
Kyekyo Mukama! Mu linnya lya Yesu! Shakatandalababa…”
n’ebirala.
Bwe
nnawunzika essaala ey’okuwonyezebwa , Teddy yanziramu nti; “Mukwasi bambi
webale nnyo! Kati mpulira bulungi. Katonda yebale eyakuwandiika ennyiriri z’ekigambo
kye ku Teddy gwo. Webale nnyo era Mukama akuwe omukisa.”
Ko nze nti;
“Ekitiibwa n’ettendo byonna mbiddiza Yesu, empologoma ya Yuda. Waayita ennaku
mbale, nga nate omukwano ne Teddy gutusaza mu kabu. Eyali aludde okunkyalira mu
Lumumba n’attunkiza buto okujjanga.
Lumu
Kiyimba eyasulanga ewa Musenze yakyawagana ne kabiite we Fidelis. Tawena n’afunayo omuwala Omugisu bitigibina omuswaswangule
eyeeyita Nasike. Omuwala ono ne Kiyimba baali bafuukidde Musenze omuteego. Anti
obudde bwagendanga okunyiimuula nga Nasike yagguse dda buseke ewa Kiyimba ne batandiika
amapenzi. Bakira nga bateekako ttivi ne balaba ssineema ez’obuseegu n’amazina
ag’ebimansulo. Ebyo olwabiggwanga ennyalwe, ne batumbula leediyo yonna n’eggunda
agayimba ag’abayimbi Abanigulo okuva mu Amerika. Nasike teyalwanga ne yeeyambulamu
engoye ze zonna n’asigala buswa mu kisenge. Newankubadde nga Musenze bino
teyabirabanga, okubiwulira obuwulizi byamuyisanga bubi nnyo.
Kayoole-Okakunkumule
naye teyabugumya na ku mbooge, n’ayita Nasike ku litalaba ne batandika
okutijjanga ne Kiyimba. Nasike yalaba taasobole bya kulwanira mulenzi,
olwokaano n’aluggyamu enta. Awo eŋŋambo ne ziyitiŋŋana mu bibiina gye
twasomeranga mbu Nasike ne Kayoole-Okakunkumule baali bakazi baggya abatalima
kambugu.
Nange
ssaamanya kitambo ki ekyayambala Kiyimba. Anti waayita mbale ba nnakamwantette ne babintuusaako nti Kiyimba ne Teddy omukwano
gwali gujula kubatta! Era tebyalwa ne bizuuka nti Kiyimba ewa Teddy yali
asiibula ku ssaawa za mu matumbibudde.
Ate olundi
nnalengera Teddy ku ssaawa ssatu ez’ekiro ng’afubutuka mu Lumumba kyokka nga
tatuuseeko wange. N’oluvanyuma nnawulira Kiyimba nga yewaana nti Teddy yali
amusula ku mwoyo nga lufuba era mbu ye y’atambuza omusaayi gwe. Teyalwa n’ampa
n’amagezi mbu tuwaanyisiganye abawala. Mbu ye yali anampa nnakampaata Nasike,
ate nze mmulekere Teddy. Naye nze nakimukakasizaawo nti nze sikolagana n’abawala
abagwenyufu nga Nasike. Ko Kiyimba nti; “Abadde nti mwembi muli Bagisu
Abamasaaba. Ggwe tokiraba nga mwesaana. Akawala kalungi, keeru, kasanyusa ate
kamanyi n’olulimi Olumasaaba!”
Awo nze kwe
kuseka n’eggimbi ku mwoyo ng’era bwe mmugamba nt; “Nnina omuwala omulala ye
Nambi asomera e Nakawa. Lw’alijja wano lw’olikimanya nti buno obuwala bw’e
Makerere bwe muwaanawaana, birerya, bisusunku era masanja gennyini!”
Ssaalwa ne ndagaana
ne Nambi okunkyalirako e Makerere. Waayita wiiki emu yokka mwana muwala n’ayingirawo
nga yenna ayaka ng’ettaala. Nange nnamulindira ku ggeeti ya Lumumba. Era ye y’ampitako
nga tandabye ne yeeyongerayo gye nnali mmulagiridde. Naye aba akyatambula,
erivubuka eriyitibwa Olaa ne limuwamba. Erivubuka lino lye lyali lisinga obwa
lujuuju n’obwa kasobeza mu Lumumba. Mbu lyali lisomerera by’amateeka naye nga
likulungudde emyaka egisoba mu munaana ku ttendekero e Makerere. Kale
lyasiibanga liwoggana mu Lumumba yonna nga likutte amaccupa g’omwenge ne
sseggereeti ku mumwa. Olwo olwasisinkananga abakuŋŋaanye mu bubinja, ne litandika
okusomesa enjiri ya pulezidenti Museveni n’eyali amuvuganya ayitibwa Besigye.
Naye nga buli kye lyogera likikomekkereza n’okuleekaanira waggulu nti;
“Olaa…Olaa…I am the man Olaa…!”
Olwo bo
abawala abetantalanga okweyingiza mu Lumumba ekiro, nga Olaa bw’alemwa
okubawamba, wakiri abayiira n’okubasammuliza omwenge.
Kale ne ku
luno Nambi bwe yajja, newankubadde obudde bwali bwa misana, Olaa y’etantala
okumuwamba. Naye nange gye nnafubutuka teyamanyayo, ne mmukwakkulako Nambi mu
ngalo ze. Era tetwalinda bya kwereega, nze ne ntambula ne Nambi butereevu
yogaayoga mu kisenge kyange.
Olwamala
okutuuza n’okubudaabuda Nambi, nnagenderawo butereevu okutemya ku mikwano
gyange bajje beerabire ku mbooko y’oluwala lwe nnabawaniranga. Era bangi
abeereeta ng’abalina bye bakimye mu kisenge kyange, Nambi yabaleka bayiika
ndusu. Nange ssaalwa ne nteesa ne Nambi ku ky’okuttunkiza obuto omukwano gwaffe
nga tugutandikira we twagukomya mu myaka egyo. Naye teyali mubi n’annyigira ku
liiso nti tukuume akaama kaffe. Era olw’eggulo olwo nnamutwala ku kyuma kya
bbanka, ne mmuyiira ku mudidi gw’ensimbi gavumenti gwe yalinga etugonnomolako
mu ngeri ey’ekyeyonoonero. Mwana muwala naye teyalwa n’anneebaza ak’ensusso nga
bw’ankuutira okukuuma akalagaane akatajja buliika.
Lumu
ensasagge yagwa mu kisenge kya Musenze ne Kiyimba. Anti Nasike yali nate
attunkizza buto okujjanga ewa Kiyimba ne basooka okwerigomba buli ku makya. Mbu
ate tebaakomanga awo, ekiro nakyo beekubiranga amasimu ne basindira okwo omukwano
ogw’omu mpewo ng’oyinza n’okulowooza nti bombi bali mu buliri bumu. Bino Teddy
olwamugwa mu matu n’ayitirawo Kiyimba bukubirire abitebye. Kiyimba yakakasa Teddy
nti ye musajja Mulokole nnyo yajjula n’omwoyo. N’olwekyo mbu yali tasobola
kukola kintu kya buseegu ekyenkanidde awo. Era yakakasa Teddy mbu ebibye ne
Nasike byali byakoma dda era nga ne Nasike yeefunirayo dda omusajja Omuyindi.
Naye waliwo
olunaku Nasike lwe yakeera neyeesogga ekisenge kya Kiyimba. Olw’okuba ku olwo
Musenze yalina essomo ery’oku makya, yanoonya omuntu omulala atali Kiyimba
amutwaleko mu kibiina. Bw’atyo n’aleka Kiyimba n’owuwe ng’omukwano bagukedde
nga kyayi.
Musenze bwe
yamaliriza okusoma, Teddy y’eyamuyambako okumuzzaayo mu Lumumba nga bwe
beetegekera olusoma oluddako mu ttuntu. Kale bwe batyo baagenda okutuuka ku
kisenge kya Musenze, nga wamma ekiri munda kisa kinegula. Anti Kiyimba yali
atumbudde leediyo ng’eri mu kukooloobya ennyimba z’ekirokole ezitendereza Yesu.
Omuntu yenna eyayitanga okumpi ng’ayinza okulowooza nti ekisenge ky’ekifuuse
ekitebe ky’ekkanisa lutikko, nandiki we wali akidiba kya Sirobowaamu
eby’amagero gye bisibuka.
Bwe batyo
Musenze ne Teddy bwe baagezaako okukonkona ku luggi, ku bali munda tewali n’omu
eyabawulira. Ekyavaamu Musenze kwe kugamba nti; “Ye lwaki neerumya n’okukonkona
ng’ate nnina ekisumuluzo ekyange?”
Teyalwa
n’agamba Teddy amukwatire ku bitabo bye, ye ne yeesokoola mu nsawo z’empale ye
n’aggyayo ekisumuluzo era n’akisindika mu luggi ne lweggula.
Oo! Teddy
olwali okukuba amaaso mu kisenge,yagatuusiza ku Kiyimba ne Nasike nga bombi
beyambudde bali buswa. Eky’okubeera obute mukazi wattu yandikigumidde, naye
eky’abampembe okuba nga baali beerippaganye kabbaani ku ndongo, ky’amulema
amalojja. Teddy yenna ng’asamaaliridde, Musenze omuzibe, y’eyamulaga
aw’okutuula. Awo Kiyimba ne Nasike ne beegattulula. Kiyimba y’aggyako leediyo
eyali esimbudde amatendo ga Mukama n’okusingako bamalayika ne bakerubbi mu
ggulu. Ye Nasike yeewumbawumbako amasuuka, n’ayambala obugoye bwe era n’atonta
nga tewali gw’anyeze. Ate ye Kiyimba yasooka kulamusa Teddy nga bw’ayogera mu
luzungu nti; “I am sorry!” Naye
teyalwa n’atambulamu. Ye Teddy baamuleka nga tanyega, takyetegeera era ng’ensi emufuukidde
ekyambika.
Kiyimba bwe
y’adduka yatuukira wange. Yajja ng’essaati ye nsumulule amapeesa, ate nga ne
zzipu y’empale ye agyerabiddeyo wansi. Teyalwa n’aŋŋamba nti; “Mukwasi, Musenze
ky’ankoze ggwe wekka asobola okuwoolera egwanga. Omusajja ansudde mu ntata.”
Nze nnali
nkyebuuza kiki ekiguddewo, Kiyimba naye teyalwa mu nnyama, n’anteerako olutambi
nga bwe gubadde. Era ye kwe kuŋŋamba nti; “Bulijjo wano ndowooza nti Musenze
kye wamukola ky’ekisinga obubi, naye ye ayisizza nawo!’
Emabegako,
nange nnali ntuusizza Musenze ku kyokya. Ku olwo nnali nkyazizza Teddy mu
kisenge kyange. Musenze bwe yakonkona ne mmuggulira, yambuulizaawo nti;
“Mukwasi, muno nga muwunya bulungi, okweseemu omuwala?”
Teddy
teyalwa kwe kunkolera akabonero nti nsirike. Era Musenze bwe yawammanta mu
kisenge nga Teddy yekukumye mu nsonda, ye n’abivaako ne tudda mu mboozi.
Twanyumyanga nze bwe mmusokaasoka ebibuuzo ebikwata ku Teddy. Musenze naye
teyalwa n’akyasanguza nti Teddy y’omu ku bawala abaamusala era atalina
ky’amugasa. Mbu yali yamusuubiza ebyoya by’enswa bingi, kale nga takyamwesiga.
Ebyo byonna yabyogera nga Teddy amwegese amaaso, naye nga ye Musenze musajja
wattu tamulaba olw’obuzibe.
Musenze bwe
yaddayo, Teddy n’ava mu mbeera. Newankubadde nga nnali mmuwooyezzawooyezza
obutawoolera gwanga, ye Teddy olwadda ewuwe, yaweereza Musenze obubaka
bw’essimu obwamuggya n’enviiri ku mutwe. Awo Musenze kwe kukigwamu nti nnali
mmuliddemu olukwe ne mmuleka okugeya omuwala nga tuli mu kisenge ky’ekimu.
Guno nange
gwampitirirako okulaba nga mikwano gyange gyombi gikoonaganye. Naye nnagenda ne
neezooba ne Teddy ne tutuula mu bigambo okutuusa lwe yasonyiwa Musenze era ne tusalawo
eggoye. Awo nange nneetoowaza mu maaso ga Musenze era n’anziriramu. Naye ku
luno, Kiyimba yali takyayinza kuyimirira mu maaso ga Teddy newankubadde ku
Musenze olw’ekyo kye yali amutuusizzaako.
Kiyimba bwe
yalaba nga bimusobedde eka ne mu kibira kwe kusalawo okugumaza embiro nga
n’essente za Musenze ez’obupangisa tazisasudde kuzimalayo. Oluvannyuma
twakivumbula nti yali afunyeeyo omuwala Munnakenya munne era ng’asulira ddala
ew’omuwala. Naye mbu lumu omuwala ono yakyaza omulenzi mu nju yaabwe, kyokka
n’atamwanjulira Kiyimba. Kiyimba naye teyali mubi n’abegattako, emboozi n’egwa
amakerenda. Omulenzi bwe yasiibula, omuwala ne Kiyimba nabo ne bamuwerekerako
ku siteegi y’emmotoka. Naye omuwala nga yenna teyeemotya, yalaga Kiyimba nti Kampala si bizimbe. Anti
yamulekawo ku siteegi y’emmotoka, ye ne yeggyawo n’omulenzi we. Omuwala yaleka
Kiyimba ng’atunula bijiijidde ng’embuzi ekaabira amalagala.
Musenze bwe
yalaba nga Kiyimba afuuse musu gw’e Kanyanya, n’afunayo omuvubuka omulugwala ayitibwa
Atibbuuni naye ffe gwe twali twakazaako erya Oluka, n’apangisa ekimu ku bitanda
bye. Oluka ono yali takomba bugonja ne bagunywa. Era kumpi buli kiro yasulanga
mu birabo by’omwenge e Wandegeya n’e Nakulabye. Eyo gye yavanga n’asimulula
otulo okutuusiza ddala essaawa musanvu ez’emisana. Olwamalanga okukimira
Musenze eky’emisana, ng’ayiwamu empale ye enzirugavu, essaati enzirugavu,
ekkooti enzirugavu, ettaayi enzirugavu, sitokisi enzirugavu, engato enzirugavu,
galubindi enzirugavu, n’akwatirako ffayiro enzirugavu, awamu n’ekkalaamu
enzirugavu, ng’ate naye mwennyini muddugavu akirako n’enziiziiri. Olwo nnende
n’alyoka akwata erimuzza mu kibiina okusoma. Kale bwe yayitanga mu Lumumba,
ng’oyinza n’okumutomera, okuggyako ng’amaze kuseka n’olaba amannyo ge ameeru.
Lumu mbu
Oluka yeesala ebyambalo bye ebiddugavu ng’agenda okuyitirayitiramu bayizi banne
ebyali bivudde mu kunoonyereza kwe. Naye mbu yali akyayogera, omusomesa n’amusala
ekirimi nga bw’abuuza abayizi ensonga lwaki baali basiriikiridde nnyo. Awo
akawala akamu kwe kuleekaanira waggulu nti; “Oyo atuyimiridde mu maaso yandiba Black Mamba!” Yali ategeeza mbu Oluka
alabika yali y’omu ku bamuntunsolo abaali begunjulidde ogw’okusakata
bannakibuga embooko ne bazimatira. Olwo ekibiina kyonna ne kitumbuka okuseka
amagyemulukufu.
Lumu
Musenze y’andekera ekisumuluzo ky’ekisenge kye. Ye mbu yali azzeemu okulokoka
envuunula bibya , ng’era waliwo omuwala eyali amutwala ekiro ekyo basule mu
kkanisa nga banoonya amaaso ga Mukama. Nnali nsazeewo okusula ewange. Naye
akawungeezi bwe nnagenda okuggulawo oluggi lw’ekisenge kyaffe, Katuuramu
yaleekaanira waggulu nti; “Lindako!” Naye olw’emputtu n’okusaagirira, nnagenda
mu maaso oluggi ne nduggula. Nnasanga Katuuramu ng’ayambala mpale, ng’ate ne mu
buliri bwe mwebaseemu omuwala eyali
yeebisse ku mutwe! Amangu ago oluggi nnaluzzaawo nga ntya okufuuka kiremya.
Mu biseera
ebyo nnali nkwanyeeyo akawala akava mu Ankole, nga kannakampiginya, akanyiikuuli, era akaali
kenkana akasubi obutono. Kano
baali bakayita ka Asa. Kale bwe nnalaba nga Musenze andekedde ekisenge kye, ne
mpita ka Asa nako akaali kanyirira ng’ejjenje essaabi, katere kajje. Bwe kajja,
twasulira ddala mu buliri bwa Musenze, anti nga tewali atukuba ku mukono.
Naye eyo mu
kinywambogo, Oluka yakomawo ng’omwenge gw’anywedde gukwata engo mu mannyo.
Olw’okuba oluggi twali tulisibidde munda, musajja wattu yagezaako okuggulawo
naye nga buteerere. Nze olwakimanya nti Oluka ayinza okuggulawo, akawala
akasirikitu nnakakasuka ne nkakweka wansi mu kitanda. Kaggyaayo bulungi mu
kitanda, ng’oyinza n’okulowooza nti muggo gwe nkukumyeyo.
Ssaalwa ne
neekwatakwata ntere nzigulirewo Oluka. Naye mba nankakwata ku luggi, Oluka
n’atandika okulusamba n’okulukuba emitayimbwa. Bakira ng’ayombera waggulu nti;
“Musenze….! Ogaanye okunzigulirawo but if
you dare open n’onzigulirawo, kennyingira munda ojja kukigwako!”
Oluka
yakuba oluggi ne ntuuka n’okulowooza nti alumenye. Bwe nnalaba ng’oluggi
lwandigwa munda, akawala ne nkakukunulayo mu kitanda, tutere twetegekere
okufubutuka tufulume singa essajja li Oluka liyingira. Naye mba ka Asa
nkyakabulizza mu nkwawa zange, Oluka n’alekera awo okukuba oluggi. Twamuwulira
ng’agenda ayomba n’okwedibonkola ng’ow’amalibu agaba ekibumba nti; “Musenze,
olinga angobye mu kisenge kyo olwaleero. Enkya buli kintu kyange kyonna ekiri
mu kisenge kyo nkitwala!”
Eddoboozi
bwe lyabulirayo, ffe ne tukwata ku luggi tutere tutonte. Naye kyatubuukako
okulaba ng’oluggi terweggula. Twafunvubira ne tulwanagana n’oluggi, naye nga
lwo lugaanye okweggula. Awo nze kwe kukwata kaziribongo kange ku mukono, ne tuddayo
ku buliri okutandikira we twali tukomye.
Ku makya,
enkoko twagikwata mumwa ne tulwanagana buto n’oluggi okutuusa bwe lweggula.
Twafuluma nga tutunula erudda n’erudda nga tutya Oluka okutugwamu. Bwe twatuuka
ebweru, oluggi nnaluggalawo buto, ka nzinkuunya kange ne nkalinnyira mu bigere
okukazzaayo gye kaali kasula.
Bwe nadda
ewange, nnasanga Katuuramu naye entuuyo akedde kuzisaza bibatu. Omuwala omulala
gwe yayagalako gye baasomeranga mu ssiniya, yali agaanye okumuviira mu kisenge
addeyo. Mbu mu kiro ekiwedde baali baasuze bejjukanya ebiwonvu n’ebikko gye
baasomeranga. Awo nange kwe kumukudaalira nti; “Katuuramu bulijjo wano
onsekerera mbu ndi mwenzi muzibu nnyo, naye kati Annet, Helen, n’oyo omuwala eyasuze muno bonna bannyoko?
Ko
Katuuramu nti; “Wakiri nze Katu waabwe nnina abawala basatu bokka. Naye ggwe
Mukwasi oli kumpi n’okuweza eddaziini y’abawala. Nkubuulire gye wasuze?”
Bwe nnalaba
ng’ebigambo bigenda kusansuka, eby’okwegyerega ne mbiggyamu enta.
Awo ne
Musenze we yatuukira ng’asaawa embaliga n’ambuuza nti; “Mukwasi, sinnamanya
kituuse ku Oluka! Anti ndaba ali mu kufulumya ebintu bye mu kasirise, ate
n’oluggi lw’ekisenge kyange lumenyeddwa.”
Nze kwe
kubuulira Musenze nti; “Oluka yakomyewo eyo mu matumbi budde; n’asamba oluggi
nga bw’alukuba embuukuuli n’emitayimbwa kata alubandulewo. Nange olwawulidde
ebyo n’entya nti omusajja ayinza okummaza emmere singa mmuggulirawo.”
Ko
Katuuramu nti; “Si ekyo kyokka ssebo, Mukwasi alina n’ekirala ekisinga obukulu
ky’aleseeyo.”
Awo nze kwe
kunyigira Katuuramu ku liiso nga bwe nseka ekimwngeru, n’abunira.
Oluvannyuma
Oluka yasenguka n’aviira Musenze ng’anyiize olw’okumusibira ebweru ng’ate
yasasula essente ez’obupangisa. Mbu naye ekyasinga okumunyiiza ye Musenze okumulimba
nga bw’amukakasa nga ye bwe yali asuze mu kkanisa ng’asaba.
Waliwo
olunaku Katusiimire lwe yansanga ne ka Asa nga ndi kukawerekerako mu tterekero
ly’ebitabo okusoma. Teyalwa ne yeekwata mu mbinabina n’amogola amaaso nga bw’aziimuula
ka Asa n’okutoomerera nti; “Asa simanyi oba nga ddala okimanyi nti oyo Mukwasi
mulenzi wange? Bw’oba ng’obadde tonnakimanya, olwaleero lw’oba okiyiga era
onneegendereze!”
Ko ka Asa
nti; “Munnange nsonyiwa. Mbadde sikimanyi. Naye nga bwe nkitegedde, tewakyali
mutawaana gwonna wakati wange naawe. Nkwatirako ne ku nsawo yange, nnaagisanga
ewuwo nga mmalirizza okusoma.”
Ebyo
baabyogera naye nga nze sirina kye mbanyega. Naye oTeddy gwange gwanyiigira
nnyo Katusiimire olw’okunninnyanga akagere buli olukedde ng’ate yali akimanyi
twali tetukyeyagala. Naye nnaguma ne mperekera ka Asa ne tugenda okusoma
ebitabo byaffe. Awo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro nga tumaze okusoma,
nnawerekerako ka Asa ewa Katusiimire okukimayo ensawo yaako. Bwe twatuuka, nze
ne nzita ku bigere ko ne kagenda okukonkona era ne bakaggulirawo. Amangu ago
kampita nti; “Mukwasi sooka ojje.”
Ko nze nti;
“Nedda ssaagala!”
Ko Asa nti;
“Ggwe jjangu olabe!”
Bwe
nnagenda okutunula mu kisenge kya Katusiimire, amaaso nnagatuusiza ku ye mwene
ng’ayambala akaleega, ng’ate mu buliri bwe mwebaseemu essajja. Awo ye kwe
kwetereeza ne yeeyogeza nga yenna akaze amaaso nti; “Mukwasi sweetheart, nga nsanyuse okukulaba!”
Kaabula
kata mmufujje amalusu mu maaso. Naye ekirungi ka Asa kaali kaatoddeyo dda
ensawo yaako. Era ko ke kaamusiibula, ne tweggyawo ffembi. Nnagenda
nkasokaasoka obugambo nti; “Kati ndowooza okikakassirizza ddala nti ggwe
gwenjagala wekka, so si Katusiimire.”
Kaasirika
busirisi ne tweyongerayo okutuusa gye twayawukanira ne twesiibula nga tetumala.
Musenze
naye olwalaba ng’asula bw’omu, n’ateesa ne mukwano gwe omuzibe ayitibwa Mwambu eyasulanga
mu kisulo ekiyitibwa Livingstone, ne bawaanyisiganya
abawala. Anti Mwambu yali yankawa Musenze omuwala ayitibwa Babirye bangi gwe
baali bagamba mbu amaaso gaamuli mu ngalo. Ate ye Musenze yawaayo Katalina,
eyali akyamulemye okumatiza.
Waayita
mbale Musenze n’atandika okuyiira Babirye omudidi gw’ensimbi wamma ggwe ne balya
obulamu okutuusa n’okulumya Mwambu. Awo nze kwe kusitukira mu Musenze ne mmugugumbula
olw’ekikolwa kye ne Mwambu. Nnamugamba nti; “Kuba kutyoboola ddembe ly’abakyala
bw’obawaanyisiganya ng’eby’amaguzi. Ekikolwa kyammwe Baibuli ekivumirira nnyo!”
Awo Musenze
kwe kumbuuza nti; “Ky’oyagala okutegeeza nti Baibuli ewagira abalenga abawala
ku mirengo nga ggwe Mukwasi bw’okola? Ate gakyali mabaga, ŋŋenda n’okufunayo
akawala akalala akato!”
Lumu
Musenze yabissaamu engatto n’agenda ku emu ku leediyo z’omu Kampala ng’ayagala okugezesa Babirye. Eyo
yalekayo erinnya ly’omuwala n’ebibakwatako bombi. Ekiro Musenze yansaba
mmuwerekereko mu kisulo ky’abawala Africa Babirye
gye yali asula. Tuba tukyali mu kkubo, omukozi w’oku leediyo y’omu Kampala n’awulugumiza
Musenze olukomo lw’essimu era n’amutegeeza nti yali butereevu ku mpewo za
leediyo. Yamusaba nti ayogererewo butereevu ne Babirye, ensi emuwulira. Awo Musenze
ne Babirye tebaalwa ne beereegera ku mpewo za leediyo nga Musenze alanga
Babirye okutya okwatula erinnya lye ku mpewo, ne mu lwatu nti ye mulenzi we.
Awo Babirye kwe kugamba nti yali atudde ne bazadde be e Kabalole, kale nga
tayinza kumala googera na muntu yenna ku ssimu oba ku leediyo. Awo Musenze kwe
kwekalakaasa nti; “Ekitegeeza tonjagala?”
Abaagalana
bombi beeregera ku ssimu ne ku mpewo za leediyo wamma ggwe ne Bukeerere
n’amwenya. Naye bwe tweyongerayo mu kisulo kya Africa , Babirye twamusanga ali ku buliri bwe yeegolodde n’amagulu
awanise. Musenze yamunyiigira nnyo olw’okumulimbira ku leediyo. Era enkeera bwe
twagenda mu kibiina okusoma, nga buli muyizi asonga mu Musenze olunwe nga
bekuba obwama nti; “Wuuyo eyayombedde omukwano ku mpewo za leediyo ng’ensi
yonna ewulira!”
Waayita
mbale Musenze n’addayoko e Busoga, era n’akomawo ng’afunyeeyo omuwala omulala
ayitibwa Tracy .
Waayita wiiki emu yokka, omuwala ono n’ayingirawo mu Lumumba ewa Musenze. Kale
olw’okuba Musenze yali asula bw’omu, Tracy bwe yatuuka yasimbira ddala amakanda mu
Lumumba n’atandika n’okutokosa eddigobe. Bino olwagwa Babirye mu matu,
yayambalira ku mugongo nga nswa atere agasimbagane ne Tracy .
Ye Musenze
ku olwo yaddukira wange n’alunviira ku ntono nti abawala baali baagala
okumusuula ku kibambulira. Naye nange y’ansanga ndi mu kasattiro. Anti nnali
mpandiise obubaka mu ssimu nga buwaana
Nambi obulungi, ate ebyembi ne mbusindika ku ssimu ya Teddy nga sigenderedde!
Amangu ago Teddy yawulugumya olukomo lw’essimu ng’ayagala okwekalakaasa, naye nze
nnagaanirawo okugikwata. Okuva ku olwo ne ndabira ddala ng’ebintu by’abawala byali
bindiiridde empinga era bwentyo ne neekuba mu kifuba, ne nsalawo okubiwummuza.
Ebyo byonna
byalinga bigenda mu maaso, obugugumuko bw’abayizi e Makerere nabwo ne bukuula
ejjembe.Kumpi nga buli mwezi wabeerawo okwekalakaasa kw’abayizi olw’ensonga
ezitali zimu. Abamu beekalakaasanga lwa nsonga za bya bufuzi, abalala lwa
bisale bya ttendekero, n’abandi lwa kunyigirizibwa olw’ensonga ezitali zimu.
Naye
akagugumuko kafungulankete, k’eko abayizi mwe beekalakaasiza olw’abakulu
b’ettendekero okusalawo okwongeza ebisale by’ebibuuzo ebiba biddiddwamu abayizi.
Mu kiro ekikeesa olunaku lw’akagugumuko, Lumumba yonna yasula ku bunkenke. Anti
omuvubuka empalakitale ayitibwa Mudaki eyali enjogeziyogezi ya Lumumba,
yeegattibwako ssentebe ayitibwa Nsubuga, Olaa, ne bamuntunsolo abalala, ne bakummakuma
Bannalumumba bonna okwekumamu ogutaaka.
Ekiro ekyo
baasooka kuyingirisa agayinja ne baziba enguudo zonna eziriraanye Lumumba. Era
buli mmotoka eyagezangako okweyisaawo, nga nnyiniyo bw’atasesema ssente enkalu,
endabirwamu z’emmotoka ye tezirutonda. Agavubuka agaali gataamye obugo gaakuma
ekyoto ky’omuliro wakati mu luguudo ne gafumbirako amaseppiki g’obuugi, buli
Munnalumumba ayagala okunywa n’anywako. Oluvannyuma gaatandika okwokya
ebipiira, okutulisa ebiriroliro n’okuyimba ennyimba ezisuuta Gongom ne Lumumba. Ekyaddirira kwali
kukola bukuukuulu n’okwogerera waggulu nga ffenna gatukumamu omuliro mbu
enkeera twambalire embuukuuli n’amayinja obwanga tubwolekeze abakulu
b’ettendekero. Awo obuluulu ne buvuga, ffenna ne tutanula okukuba ebidomola
n’okunyanyaagiza emirere egy’okwekalakaasa.
Eyo mu kinywambogo,
Mudaki yakulembera ogubinja gw’agavubuka galumiramwoyo ne batandika okukuba
n’okusamba buli luggi lw’ebisenge mu Lumumba. Ffe twawulira omusinde
gw’ensambaggere nga gujja ku ssipiidi eya yiriyiri, naffe ne tugugumuka nga bwe
tuleekaanira waggulu nti;
“Weewee…!
Ee Lumumba
oyee…!
Ee Lumbox oyee…!
Ee Makerere
oyee…!
Ee Retake fee zii…!”
Ffenna
tweyiwamu amataawo ag’akasaayi era ne twebagala embuukuuli n’amayinja okugenda
okwaŋŋanga abalabe baffe.
Twasooka
kuzinda oluguudo oluyitibwa Sir Apollo
Kaggwa, emmotoka ne tuziragira okuddayo gye zivudde. Abavuzi abaawalaza
empaka, twabakakkanako ekiyiifuyiifu ne tubalirika emigobante, egyasigalawo ne gikwasaamu
bitooke. Bannawalubwa emmotoka zaabwe twazaasayasa endabirwamu n’emipiira ne tugifumitafumita.
Ate tweziranga kulaba emmotoka ya gavumenti yonna. Olwagiyimirizanga, nga
tugiyiira olwenje lw’amafuta ne tugiteekera ne nabbambula w’omuliro n’eteta.
Abazivuga abasinga obungi emmotoka zaabwe baazibuukangamu ne bagula ennyonyi,
wamma ggwe ne byolera.
Bwe twalaba
ng’emmotoka mu luguudo zeevedde, ne tuyingirira amaduuka g’abasuubuzi e
Nakulabye. Gano kumpi gonna twaganyagulula okugaleka esseke. Agavubuka
gamuntunsolo gaalina ebyuma ebimenya kkofulu nnegeesogga amaduuka nga tewali
agakuba ku mukono. Olwo ffenna ne tulyoka tuyoola buli kya kulya, kunywa,
masimu, ngoye, mmalidaadi n’ebintu ebikalu, wamma ggwe ne twekola ekigenyi. Go
amacupa ga ssooda ne bbiya, ge twakozesanga okuwereekereza abantu abaalinga
bagezaako okutwaŋŋanga. Emidaala gy’ebiriibwa n’ebirabo by’emmere byonna
twabizingako ne tuleka bannyini byo nga bafumbya miyagi.
Waliwo
omuzimbi eyali ku kkalina waggulu. Olwalaba nga naye tumuwereekereza envuumuulo
z’amacupa, naye tawena n’akasuka olubaawo wansi ne lutimpula omu ku bayizi ku
ssekalootera. Twagenda okumuggyawo, nga mukalu wa jjo. Waliwo n’omuyizi
eyafubutula omukazi okuva mu kinaabiro ky’ebweru ng’anaaba. Omukazi naye
yakuunyuuka buswa nga ffenna tumulaba neyeesogga mu muzigo gwe. Omuyizi yenna
ng’aggyeemu n’essaati, yawondera omukyala ono yogaayoga ku mulyango gw’omuzigo
gwe. Omukazi naye olwalaba ng’omuyizi amulemeddeko, yafulumayo mu muzigo
n’olwenje lw’omusulo mu bbaafu, n’agumuyiira mu maaso yenna n’atotobana.
Twali
tukyali ku mugano gw’enswa, ne tuwulira nti ppoliisi yali eyungudde abampi
n’abawanvu okwebungulula Yunivasite yonna. Bakira nga bagugumula ebibinja
by’abekalakaasi nga babakubamu omukka ogubalagala. Waliwo n’ebyasi ebyakubwa mu
bannampulirazziri, okukakkana nga waliwo muyizi munnaffe alusuddemu akaba.
Bangi baalumizibwa era ne batwalibwa bunnambiro mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga
biwala ttaka. Abalala bo baagombebwamu obwala ne batikkibwa ku bimotoka
by’abaserikale ba kamyufu, era ne batwalibwa mu kkolokooni e Wandegeya, nga
tebeesiikidde na ku kanyeebwa. Naye ku bano abaakwatibwa, abasinga baali bayizi
bawala be bannyululanga mu bisulo byabwe ne mu binaabiro, abamu nga beesibye
ttawulo zokka.
Kale naffe
olwawulira nti ppoliisi yali ezze ku bannaffe ebakekemya bukoko, twagikuba
ekimmooni ne tuzinda Wandegeya. Oluguudo oludda mu kibuga twalussaamu emisanvu,
olwo ekibuga ne tukisalako. Twatandikirawo okukooloobya ennyimba nti;
“Police..
Our murderers
We shall never forget you!”
Oluvannyuma
twazinda amabajjiro g’e Makerere-Kavule bannyinigo bonna ne tubabunya emiwabo.
Twebagala essanduuko z’abafu ezisingayo ebbeeyi ne tuziddusa okuzitwala mu
Lumumba. Twali tugamba kimu nti mu zzo mwe twali tunaaziika bannaffe ppoliisi
be yali erumizza ekivu. Ppoliisi nayo olwawulira nti ababazzi twali tubaguddemu
nga kamunye mu nkoko, n’ejja n’ekimotoka ky’omukka ogubalagala. Bakamyufu
abaali bambadde obukookolo nga babagalide n’agamundu, baabuuka ku kimotoka nga
beswanta. Naffe olwalaba agasajja, ne tussaako kakokola tondeka nnyuma ne tumyansa
ne ssanduuko zaffe. Bakamyufu tebawena ne batuwondera nga batwolekeza ebisasi
by’omukka ogubalagala.
Twadduka za
mbwa ne tuyita mu kisulo ekiyitibwa Nkrumah,
wuuyo ku kizimbe ekikulu, ne tusalinkiriza okukakkana nga twesozze Lumumba.
Ppoliisi nayo yatulemerako okutuukira ddala ku ggeeti eyingira mu kisulo kya
Lumumba. Naffe bwe twayingiza essanduuko, twazikwekera ddala mu binaabiro
ebisembayo munda. Naye tuba twankazikukuma, ne tulaba bannaffe abalala nga
baduma muwawa. Mbu bakamyufu baali beesozze mu Lumumba. Ffenna twekukuma mu
bisenge byaffe n’enzigi ne tuzikomeka. Abappoliisi nabo tebawena ne bagenda nga
bafuuyira omukka ogubalagala mu myagaanya gy’emiryango gyaffe. Ffe abaali
beesibiddeyo munda kata tufe ekiziyiro. Naye twalinanga ebidomola by’amazzi,
era ago ge twannyikangamu obutambaala bwaffe ne tukunya amaaso galeme okuyisibwa
obubi.
Waliwo
omuserikale wa ppoliisi eyagezaako okuwalampa kkalina mbu alyoke ayingire mu
kisulo ky’abayizi ng’ayita mu ddinisa. Naye yali yankateeka amagalo ge ku
ddinisa, omwana n’agakuba ennyondo. Omupoliisi yawanuka n’akuba ssekalootera ku
luggya lwa ssementi yenna n’abyabyatala. Era banne baagenda okumuyoolawo
ng’obugere bukuba sikyakyala.
Omuserikale
ono yanzijukiza omubbi w’engoye abayizi ba Lumumba gwe baakasuka okuva ku
kkalina esembayo waggulu n’afiirawo mbulaga. Mbu ono waliwo abayizi abaamusanga
mu kisenge kyabwe ng’ali mu kweroboza mu ngoye zaabwe. Bo baagamba mbu omubbi
olwalaba nga bamukutte lubona, n’agamba nti; “Ee! Muzze? Kale mbalabyeko nnyo era
mweraba!” Olwamala ne yeekasuka okuyita mu ddinisa, n’akuba omutwe ku ddimwa,
n’asirikka. Naye bo abaali wansi baagamba nti omusajja abayizi baamusindika lwa
mpaka okuyita mu ddinisa.
Ate olulala
waliwo omubbi abayizi gwe baayambulamu engoye ne balyoka bamutwala entyagi
ng’akunyuuka buswa okukkirira amadaala ga kkalina. Ebyembi yatuukira mu
kibangirizi kya Bannalumumba mwe baali balabira omupiira gw’e Bungereza ku
ttivi. Bano olwakuba amaaso gaabwe ku mutujju, eby’omupiira ne babivaako.
Amangu ago baagugumuka, buli eyalina ky’akutte n’akikasuka ku kyalakimpadde.
Baamukuba obutebe, engatto, emisipi, amayinja n’obutayimbwa, era okukakkana
ng’omumpembe bamumizizza omukka omusu.
Abayizi
olwalaba ng’obugugumuko bw’ababbi bubanyumira nnyo, ne batandika okugugumulanga
abawala abaakyalanga mu Lumumba. Era omuwala yenna bwe kaamutandanga n’ajja mu
Lumumba mu biseera eby’eggandaalo, ng’akigwako. Anti abavubuka beekungannyanga
ne batandika okumukubira mu ngalo nga bwe bayimba nti;
“Omwana
agireese…
Agireese!
Nnyabo!
Agireese
ennyama!”
Olwo mukazi
wattu bwe yabanga ayambuka amadaala, nga n’agatambula gamubula. Baamukubiranga
olube okutuusa lw’atuuka ku luggi lw’omulenzi gw’ajjiridde. Bw’atamusaŋŋangayo,
nga nate gujabagira. Anti ng’olwo bamuwondera bonna nga bwe bamuwereekereza
agagambo ag’enkana Kkungu ne Migadde obunene.
Lumu waliwo
omuwala eyagezaako okuduma bwe yalaba ng’abalenzi bamuyeeya n’okumukuba olube.
Abavubuka olwalaba ng’omuwala asazeewo okugumaza embiro, ne bayoogaanira
waggulu, wamma enduulu n’esaanikira Lumumba yonna. Olwo naffe abaali
batabitegedde ne tuvaayo mu bisenge byaffe okulaba bwe gubadde. Twalengera
mwana muwala eyali ayambadde akakete ng’akkirira amadaala ku misinde
egy’ekizungirizi. Omu ku balenzi teyalwa n’amubaka ssikaati ye n’ekutuka, olwo
omuwala n’akunyuuka buswa. Ebyaddirira nange ssaabimanya.
Mu
kagugumuko k’abayizi akaali kakudde ejjembe, waliwo ekibinja ky’abayizi ekirala
ekyazinda ekibuga Kampala
wakati. Kino ky’agenda butereevu okusisinkana omwogezi w’olukiiko lw’eggwanga
olukulu. Naye baali bankatuuka ku kitebe, ne bagasimbagana buto ne bamuntunsolo
ba ppoliisi nga bambalidde ttanka z’omukka ogubalagala. Ekyavaamu abayizi ne beeyala
wakati mu luguudo, era ne balemesa ebidduka okuluyitamu. Ate bo bannamawulire
abaali batalutumidde mwana, abasinga kkamera n’ebyuma byabwe ebirala ebisaka
amawulire baabifiirwa. Anti abayizi abaali bataamye baabibanyakulangako,
n’ebindi ne babisaanyaawo.
Ng’abayizi
bagumbye mu maaso g’ekizimbe kya palamenti y’eggwanga, omwogezi w’olukiiko
lw’eggwanga yavaayo okujja okubawooyawooya. Yabagamba nti ensonga zaabwe
ezibaluma yali agenda okuzanja mu maaso
g’ababaka bazikubaganyeeko ebirowoozo. Nti naye ekisinga obukulu, yali agenda
okulagira abakulu ba Makerere bayimirize ekiteeso eky’okwongeza ebisale.
Abayizi olwawulira ng’omukulu ayogedde bulungi, ne bagumbulukuka nga bwe
bayimba nti; “Kati twagala Museveni yennyini y’aba ayogera gye tuli!”
Abayizi
tebaalwa ne basaasaanira ekibuga kyonna nga bakuba abantu emiggo n’okunyaga
amaduuka g’abasuubuzi Abayindi. Ekibuga kyonna kyagwamu ensasagge, n’oluguudo
oludda e Nakasero ew’omukulembeze w’eggwanga bannamagye ne baluggalawo
bukubirire. Abayizi baanyagulula amaduuka g’abantu nga bwe badduka okudda e
Makerere mu gubinja ogw’efujjo.
Naye baba
bankesogga akasozi Makerere, ebimotoka by’amagye ne biyingirawo nga kujjudde bakanywamusaayi abaali
babagalidde embuukuuli. Bano olwagwa mu bayizi, wamma ggwe ne bababunya emiwabo.
Baakwata bangi ku bayizi ne babasakata emiggo mizibu wamma n’egyasigalawo ne gikwasaamu
bitooke. Bamuntunsolo be baanunula n’omukulu wa ppoliisi abayizi gwe baali
bawambye nga bagenda bamwetoolooza ettendekero.
Naye
olutalo lweyongera okunyiinyiitira okutuusa omukulembeze w’eggwanga mwennyini
bwe yajja n’ennyonyi okukakkanya embeera. Anti abayizi baali bagobye ne katikkiro
w’eggwanga, gavumenti gwe yali ebasindikidde, nga bo bagamba nti baagala omukulembeze
w’eggwanga mwennyini ayogere gye bali. Kale n’omukulu teyali mubi n’avaamu mu
nnyonyi ye n’atandiika okubudaabuda abayizi ng’agamba nti; “Mmwe abasomesa b’e
Makerere lwaki mubonyaabonya batabani bange ne bawala bange? Essente gavumenti
z’ebasasula zibamala. N’olwekyo ssaagala kuddayo kuwulira nti abaana bange
mubasaba essente endala.”
Abayizi
olwawulira ebyo ne bakuba enduulu nga bwe baleekaanira waggulu nti; “Muzeeyi
obeewo! N’ekisanja bakikwongere! Naye akalulu kaffe tujja kukawa Besigye waffe
gwe wasibira e Luzira!”
Omukulembeze
w’eggwanga olwamala okuzza embeera mu nteeko, abasomesa b’e Makerere nabo ne beekumamu
ogutaaka. Anti bonna bassa ebikozesebwa wansi ne bagaana okuddayo okukwata ku
nnoni. Mbu nnabe yali avudde ku gavumenti eyali ebasuubizza okubongeza ensako
yaabwe, ate n’ebakudaalira mbu omusaala gwe baali bafuna gubamala. Bwe batyo
baagaana okuddayo okulinnya ekigere kyabwe mu kibiina. Olwo naffe abayizi ne
tusigala nga tutaayaaya nnagalaale. Gavumenti olwalaba ng’eby’ettendekero
ly’eggwanga ekkulu bifuuse nnamulanda ng’amabeere g’embwa, tewena n’eriggalawo!
Bya Mugoya Michael- 0757540410